1 Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5

0:00
0:00

-Reset+

Essuula 1

1 Ekyabaawo okuva ku lubereberye; kye twawulira, kye twalaba n'amaaso gaffe, kye twatunuulira, era engalo zaffe kye zaakwatako, ebya Kigambo eky'obulamu
2 (n'obulamu bwalabisibwa, ne tulaba, era tutegeeza, era tububuulira mmwe obulamu obwo obutaggwaawo, obwabaawo awali Kitaffe ne bulabisibwa gye tuli);
3 kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo;
4 n'ebyo tubiwandiika ffe, essanyu lyaffe liryoke lituukirire.
5 Ne kino kye kigambo kye twawulira ekyava mu ye era kye tubuulira mmwe, nga Katonda gwe musana, so mu ye ekizikiza temuli n'akatono.
6 Bwe twogera nga tussa kimu naye ne tutambuliranga mu kizikiza, tulimba ne tutakola mazima;
7 naye bwe tutambulira mu musana, nga ye bw'ali mu musana; tussa kimu fekka na fekka, n'omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi kyonna.
8 Bwe twogera nga tetulina kibi, twekyamya fekka so nga n'amazima tegali mu ffe.
9 Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali bya butuukirivu.
10 Bwe twogera nga tetwonoonanga, tumufuula mulimba, so nga n'ekigambo kye tekiri mu ffe.