Okuva -

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40


-Reset+

Essuula 1

1 Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaatuuka mu Misiri; buli muntu n'ennyumba ye n'ajja awamu ne Yakobo.
2 Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda;
3 Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini;
4 Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri.
5 Abantu bonna abaava mu ntumbwe za Yakobo ne baba emyoyo nsanvu: naye Yusufu yali ng'amaze okubeera mu Misiri.
6 Yusufu n'afa, ne baganda be bonna, n'emirembe giri gyonna.
7 Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo.
8 Awo ne walya kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu.
9 N'abagamba abantu be nti Laba, abantu b'abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe:
10 kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe, okulwana naffe, okugolokoka okuva mu nsi.
11 Kyebaava babateekako abakoza okubabonyaabonya n'emigugu. Ne bamuzimbira Falaawo ebibuga eby'amaterekero, Pisomu ne Lamusesi.
12 Naye nga bwe beeyongera okubabonyaabonya, bwe batyo bo bwe beeyongera obungi n'okubuna. Ne banakuwala olw'abaana ba Isiraeri.
13 Abamisiri ne babakoza emirimu abaana ba Isiraeri n'amaanyi:
14 ne bakaayisa obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n'ebbumba n'amatoffaali, era n'obuddu bwonna obw'omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n'amaanyi.
15 Kabaka w’e Misiri n'abagamba abazaalisa Abaebbulaniya, erinnya ly'omu Sifira, erinnya ly'ow'okubiri Puwa:
16 n'ayogera nti Bwe mubakolanga abakazi Abaebbulaniya emirimu egy'obuzaalisa, bwe mubalabanga nga bali ku ntebe; omwana bw'abanga ow'obulenzi, mumuttanga; naye bw'abanga ow'obuwala, abeeranga mulamu.
17 Naye abazaalisa ne bamutya Katonda, so kebaakola nga bwe baalagirwa kabaka w'e Misiri, naye baabakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu.
18 Kabaka w'e Misiri n'abayita abazaalisa, n'abagamba nti Kiki ekibakoza ekigambo ekyo, ne mubakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu?
19 Abazaalisa ne bamugamba Falaawo nti Kubanga abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga balamu, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga bamaze okuzaala.
20 Katonda n'akola bulungi abazaalisa: abantu ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo.
21 Awo kubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana.
22 Falaawo n'alagira abantu be bonna n'ayogera nti Buli mulenzi alizaalibwa mumusuulanga mu mugga, buli muwala mumulekanga.




Essuula 2

1 Omuntu ow'omu nnyumba ya Levi n’agenda n'awasa muwala wa Levi.
2 Omukazi n'aba olubuto n’azaala omwana wa bulenzi: naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu.
3 Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'amukolera ekibaya eky’ebitoogo, n'akisiiga ebitosi n’envumbo; omwana n'amuteeka munda; n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga.
4 Mwannyinna n’ayimirira wala amanye ekinaamubeerako.
5 Muwala wa Falaawo n’aserengeta okunaaba ku mugga; abazaana be ne batambula ku lubalama lw’omugga; n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta.
6 n'akisumulula, n'alaba omwana: laba, omwana n'akaaba; n'amusaasira, n'ayogera nti Ono ye munne w'abaana ba Baebbulaniya.
7 Awo mwannyina n'amugamba omuwala wa Falaawo nti ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana?
8 Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Kale. Omuwala n'agenda n'amuyita nnyina w'omwana.
9 Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo. Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa.
10 Omwana n'akula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'afuuka omwana we. N'amutuuma erinnya lye Musa, n'ayogera nti Kubanga namuggya mu mazzi.
11 Awo olwatuuka mu nnaku ziri, ng'amaze okukula Musa, n'abajjira baganda be n'alaba emigugu gyabwe: n'alaba omuntu Omumisiri ng'akuba omuntu Omwebbulaniya, ow'omu baganda be.
12 N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka amukuba Omumisiri, n'amukweka mu musenyu.
13 Awo ku lunaku olw'okubiri n'avaayo, laba, abasajja babiri ab'omu Baebbulaniya ne balwana: n'amugamba oli eyakola obubi nti Kiki ekikubizza munno.
14 N'ayogera nti Ani eyakuwa obukulu n'okutulamula ffe? Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri? Musa n'atya n'ayogera nti Mazima ekigambo kino kimanyise.
15 Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okumutta Musa. Naye Musa n'adduka mu maaso ga Falaawo, n'atuula mu nsi ya Midiyaani: n'atuula wansi okumpi n'oluzzi.
16 Ne kabona ow'e Midiyaani yalina abawala musanvu: ne bajja ne basena amazzi, ne bajjuza ebyesero ne bazinywesa endiga za kitaabwe.
17 Abasumba ne bajja ne babagoba: naye Musa n'agolokoka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe.
18 Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti Nga muzze mangu leero?
19 Ne boogera nti Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, nate n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo.
20 N'abagamba bawala be nti Ali luuyi wa? Kiki ekibalesezza omuntu oyo? Mumuyite alye emmere.
21 Musa n'akkiriza okutuula n'omuntu oyo: n'amuwa Musa muwala we Zipola.
22 N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Gerusomu: kubanga yagamba nti Nali mugenyi mu nsi etali yange.
23 Awo ennaku ziri bwe zaayitawo ennyingi, kabaka w'e Misiri n'afa: abaana ba Isiraeri ne basinda ku lw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kulinnya eri Katonda ku lw'obuddu bwabwe.
24 Katonda n'awulira okusinda kwabwe, Katonda n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo.
25 Katonda n'alaba abaana ba Isiraeri, Katonda n'abalowooza.




Essuula 3

1 Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w’e Midiyaani: n'atwala ekisibo ennyuma w'eddungu n'atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu.
2 Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka: n'atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira.
3 Musa n'ayogera nti Ka nneekooloobye kaakati, ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira.
4 Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno.
5 N'ayogera nti Tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye ensi entukuvu.
6 N'ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda.
7 Mukama n'ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku lw'abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe;
8 era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki; mu kifo eky'omu Kanani, n'eky'omu Kiiti, n'eky'omu Amoli, n'eky'omu Perizi, n'eky'omu Kiivi, n'eky'omu Yebusi.
9 Kale laba, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kwe baababonyaabonya Abamisiri.
10 Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri.
11 Musa n'agamba Katonda nti Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri?
12 N'ayogera nti Mazima ndibeera wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkutumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno.
13 Musa n'agamba Katonda nti Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? ndibagamba ntya?
14 Katonda n'agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe.
15 Katonda n'agamba nate Musa nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n'ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna.
16 Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri awamu, obagambe nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikidde ng'ayogera nti Mbajjiridde ddala, ndabye bye mukolebwa mu Misiri:
17 ne njogera nti Ndibalinnyisa okubaggya mu kibonoobono eky'e Misiri okuyingira mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki.
18 Balikuwulira eddoboozi lyo: olijja, ggwe n'abakadde ba Isiraeri, eri kabaka w'e Misiri, mulimugamba nti Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, yatujjira: kale nno, otulagire, tukwegayiridde, tugende olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe.
19 Era mmanyi nti kabaka w'e Misiri talibalagira kugenda, weewaawo era n'omukono ogw'amaanyi.
20 Nange ndigolola omukono gwange, ne nkuba Misiri n'amagero gange gonna ge ndikola wakati waayo: oluvannyuma lwago alibalagira.
21 Era ndibawa abantu abo okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri: awo lwe mulivaayo, temulivaayo bwereere:
22 naye buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oli abeera mu nnyumba ye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye: mulibiteeka ku batabani bammwe n'abawala bammwe; mulinyaga Abamisiri.




Essuula 4

1 Musa n'addamu n'ayogera nti Naye, laba, tebalinzikiriza so tebaliwulira ddoboozi lyange: kubanga balyogera nti Mukama teyakulabikira.
2 Mukama n'amugamba nti Kiki ekiri mu mukono gwo? N'ayogera nti Muggo.
3 N'ayogera nti Gusuule wansi. N'agusuula wansi, ne gufuuka omusota: Musa n'adduka mu maaso gaagwo.
4 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo: (n'agolola omukono gwe, n'agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe:)
5 Balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, nti akulabikidde.
6 Mukama n'amugamba nate nti Teeka omukono mu kifuba kyo. N'ateeka omukono gwe mu kifuba kye: bwe yaguggyaamu, laba, omukono gwe nga gulina ebigenge ng'omuzira.
7 N'ayogera nti Guzze omukono gwo mu kifuba kyo. (N'aguzza omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba, nga gufuuse ng'omubiri (gwonna).
8 Awo olulituuka bwe batalikukkiriza era bwe bataliwulira ddoboozi lya kabonero ak'olubereberye, balikkiriza eddoboozi ery'akabonero ak'okubiri.
9 Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira ddoboozi lyo, olisena ku mazzi g'omugga n'ofuka ku lukalu: amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omusaayi ku lukalu.
10 Musa n'agamba Mukama nti Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi, newakubadde okuva lw'oyogedde n'omuddu wo: kubanga soogera mangu, n'olulimi lwange luzito.
11 Mukama n'amugamba nti Ani eyakola akamwa k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba omuzibe w'amatu oba atunula oba muzibe w'amaaso? Si nze Mukama?
12 Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu n'akamwa ko, ndikuyigiriza by'olyogera.
13 N'ayogera nti Ai Mukama, tuma nno, nkwegayiridde, mu mukono gw'oyo gw'oyagala okutuma.
14 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti Alooni Omuleevi muganda wo taliiwo? Mmanyi nti ayinza okwogera obulungi. Era, laba, ajja okukusisinkana: bw'alikulaba, alisanyuka mu mutima gwe.
15 Naawe olimugamba, era oliteeka ebigambo mu kamwa ke: nange ndibeera wamu n'akamwa ko, n'akamwa ke, ndibayigiriza bye mulikola.
16 Naye alibeera mutegeeza wo eri abantu: awo alikubeerera kamwa, naawe olimubeerera nga Katonda.
17 Naawe olitwala omuggo guno mu mukono gwo, gw'olikoza obubonero.
18 Musa n’agenda n'addayo eri Yesero mukoddomi we, n'amugamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzireyo eri baganda bange abali mu Misiri, ndabe nga bakyali balamu. Yesero n'agamba Musa nti Genda n'emirembe.
19 Mukama n'agamba Musa mu Midiyaani nti Genda, oddeyo mu Misiri: kubanga abantu bonna abaali bakunoonya obulamu bwo bafudde.
20 Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo mu nsi y'e Misiri: Musa n'atwala omuggo gwa Katonda mu mukono gwe.
21 Mukama n'agamba Musa nti Bw'oliddayo mu Misiri, tolemanga kukola mu maaso ga Falaawo amagero gonna ge nteese mu mukono gwo: naye ndikakanyaza omutima gwe, talibaleka abantu okugenda.
22 Naawe oligamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri ye mwana wange, omubereberye wange:
23 nange nkugambye nti Leka omwana wange ampeereze; naawe ogaanyi okumuleka: laba, nditta omwana wo, omubereberye wo.
24 Awo (bwe baali nga bakyali) mu kkubo mu kisulo, Mukama n'amusisinkana n'ayagala okumutta.
25 Awo Zipola n'atwala ejjinja ly'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akisuula ku bigerebye; n'ayogera nti Oli baze wa musaayi era omwami w'obugole bw'omusaayi.
26 N'amuleka. N'alyoka ayogera nti Oli baze wa musaayi olw'okukomola.
27 Mukama n'agamba Alooni nti Genda mu ddungu omusisinkane Musa. N'agenda n'amulaba ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera.
28 Musa n'agamba Alooni ebigambo byonna ebya Mukama bye yamutuma, n'obubonero bwonna bwe yamulagira.
29 Musa ne Alooni ne bagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri:
30 Alooni n'ayogera ebigambo byonna Mukama bye yamugamba Musa, n'akola obubonero mu maaso g'abantu.
31 Abantu ne bakkiriza: bwe baawulira nti Mukama yabajjira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne bavuunama emitwe gyabwe, ne basinza.




Essuula 5

1 Awo oluvannyuma ne bajja Musa ne Alooni ne bagamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Leka abantu bange bankolere embaga mu ddungu.
2 Falaawo n'ayogera nti Mukama ye ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Isiraeri? Simanyi nze Mukama, era nate sirireka Isiraeri.
3 Ne boogera nti Katonda wa Baebbulaniya yatusisinkana: tukwegayiridde, leka tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe; aleme okutukuba ne kawumpuli oba n'ekitala.
4 Kabaka w'e Misiri n'abagamba nti Lwaki mmwe, Musa ne Alooni, okubalesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende eri emigugu gyammwe.
5 Falaawo n'ayogera nti Laba, abantu ab'omu nsi bangi kaakano, nammwe mubawummuza mu migugu gyabwe.
6 Ku lunaku luli Falaawo n'alagira abakoza b'abantu n'abaami baabwe, ng'ayogera nti
7 Temuwanga nate abantu essuubi ery'okukoza amatoffaali ng'edda: bagende beekuŋŋaanyize essubi.
8 N'omuwendo ogw'amatoffaali, gwe baakola edda, mugubasalire; muleme okugukendeezaako n'akatono: kubanga bagayaala; kyebava bakaaba nga boogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Katonda waffe.
9 Emirimu emizibu gisalirwe abasajja bagikole; baleme okuwulira ebigambo eby'obulimba.
10 Abakoza b'abantu ne bavaayo n'abaami baabwe, ne bagamba abantu nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Falaawo nti Siribawa ssubi.
11 Mugende mwekka, mwereetere essubi gye muyinza okuliraba: kubanga emirimu gyammwe tegirisalibwako n'akatono.
12 Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya ebisasiro nga tewali ssubi.
13 Abakoza baabwe ne babakubiriza, nga boogera nti Mutuukirize emirimu gyammwe, emirimu egya buli lunaku, nga bwe mwakola essubi bwe lyabangawo.
14 Abaami b'abaana ba Isiraeri, abakoza ba Falaawo be baakuza ku bo, ne bakubibwa, nga boogera nti Lwaki obutatuukiriza mulimu gwammwe jjo ne leero okukola amatoffaali ng'edda?
15 Awo ne bajja abaami b'abaanal ba Isiraeri ne bakaabira Falaawo, nga boogera nti Kiki ekikukoza bw'otyo abaddu bo?
16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, ne batugamba nti Mukole amatoffaali: era, laba, abaddu bo tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo.
17 Naye n'ayogera nti Mugayaala, mugayaala: kyemuva mwogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Mukama.
18 Kale kaakati mugende mukole emirimu; kubanga temuliweebwa ssubi,naye nammwe munaaleetanga omuwendo gw'amatoffaali.
19 Abaami b'abaana ba Isiraeri ne balaba nga balabye obubi bwe bayogera nti Temulikendeeza ku matoffaali gammwe n'akatono, emirimu egya buli lunaku.
20 Ne basisinkana Musa ne Alooni, abaali bayimiridde mu kkubo, nga bava eri Falaawo:
21 ne babagamba nti Mukama abatunuulire asale omusango; kubanga mukyayisizza okuwunya kwaffe mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g'abaddu be, okubawa ekitala mu mukono gwabwe okututta.
22 Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze?
23 Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bano; so tewabawonya abantu bo n'akatono.




Essuula 6

1 Mukama n'amugamba Musa nti Kaakano bw'oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n'omukono ogw'amaanyi alibaleka, era n'omukono ogw'amaanyi alibagoba mu nsi ye.
2 Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti NZE YAKUWA:
3 nnalabikira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo.
4 Ne nnyweza nate endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanani, ensi ey'okutambula kwabwe, gye baatambulamu.
5 Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange.
6 Kyova obabuulira abaana ba Isiraeri nti Nze Yakuwa, nange ndibaggyako emigugu egy'Abamisiri, ndibaggirawo obuddu bwabwe, ndibanunula n'omukono gwe ndigolola n'emisango eminene:
7 era ndibeetwalira okubeera eggwanga, nange ndibabeerera Katonda: nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe, abaggya mu migugu egy'Abamisiri.
8 Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa.
9 Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe.
10 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti
11 Yingira, ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri abaleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.
12 Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama ng'agamba nti Laba, abaana ba Isiraeri tebampulidde; Falaawo anampulira atya nze atakomolebwa mimwa?
13 Mukama n'agamba Musa ne Alooni, n'abalagira eri abaana ba Isiraeri n'eri Falaawo kabaka w'e Misiri, okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri.
14 Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe: abaana ba Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: Kanoki, ne Palu, Kezulooni, ne Kalumi: abo bye bika bya Lewubeeni.
15 N'abaana ba Simyoni; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani: abo bye bika bya Simyoni.
16 Ne gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe; Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali: n'emyaka egy'obulamu bwa Leevi emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
17 Abaana ba Gerusoni: Libuni ne Simeeyi, mu bika byabwe.
18 N'abaana ba Kokasi: Amulaamu ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri: n'emyaka egy'obulamu bwa Kokasi emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
19 N'abaana ba Merali; Makuli ne Musi. Abo bye bika by'Abaleevi mu mirembe gyabwe.
20 Amulaamu n'awasa Yokebedi muganda wa kitaawe; n'amuzaalira Alooni, ne Musa: n'emyaka egy'obulamu bwa Amulaamu emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
21 N'abaana ba Izukali: Koola, ne Nefega, ne Zikiri.
22 N'abaana ba Wuziyeeri; Misaeri, ne Erizafani, ne Sisiri.
23 Alooni n'awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
24 N'abaana ba Koola: Asira, ne Erukaana, ne Abiyasaafu; abo bye bika by'Abakoola.
25 Eriyazaali omwana wa Alooni, n'awasa mu bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja b'Abaleevi mu bika byabwe.
26 Abo ye Alooni ne Musa bali Mukama be yagamba nti Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri mu ggye lyabwe.
27 Abo be baagamba Falaawo kabaka w'e Misiri okuggya abaana ba Isiraeri mu Misiri: abo ye Musa ne Alooni bali.
28 Awo ku lunaku Mukama lwe yagamba Musa mu nsi y'e Misiri.
29 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti Nze Mukama: ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.
30 Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama nti Laba sikomolebwanga mimwa, Falaawo anampulira atya?




Essuula 7

1 Mukama n'agamba nti Laba, nkufudde Katonda eri Falaawo: era Alooni mugandawo alibeera nabbi wo.
2 Olyogera kye nkulagira: ne Alooni mugandawo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.
3 Nange ndikakanyaza omutima gwa Falaawo, ne nnyongeza obubonero bwange n'amagero mu nsi y'e Misiri.
4 Naye Falaawo talibawulira, nange nditeekako omukono gwange ku Misiri ne nfulumya eggye lyange, abantu bange abaana ba Isiraeri, mu nsi y'e Misiri, n'emisango eminene.
5 N’abo Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne mbaggyayo abaana ba Isiraeri mu bo.
6 Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yabalagira: bwe batyo bwe baakola.
7 Ne Musa yali nga yaakamala emyaka kinaana: ne Alooni nga yaakamala kinaana mu esatu, bwe baayogera ne Falaawo.
8 Mukama n'agamba Musa ne Alooni ng'ayogera nti
9 Falaawo bw'alibagamba ng'ayogera nti Mukoleewo eky'amagero: n'olyoka ogamba Aloni nti Twala omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gube omusota.
10 Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira: Aloni n’asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddube, ne guba omusota.
11 Falaawo naye nalyoka ayita abagezi n’abalogo: era nabo abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo n’amagezi gaabwe ag’ekyama.
12 Kubanga baasuula buli muntu omuggo gwe ne giba emisota naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe.
13 Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
14 Mukama n'agamba Musa nti Falaawo omutima gwe guzitowa, agaana okubaleka abantu.
15 Ogenda eri Falaawo enkya; laba, afuluma okugenda ku mugga; naawe oliyimirira ku mabbali g’omugga okumusisinkana; n’omuggo ogwafuuka omusota oligutwala mu mukono gwo.
16 N'omugamba nti Mukama, Katonda wa Baebulaniya, antumye gy’oli ng’ayogera nti Leka abantu bange, bampeerereze mu ddungu: era, laba, okutuusa kaakano towulira.
17 Bw’atyo Mukama bw'ayogera nti Ku kino kw’olimanyira nga nze Mukama: laba, ndikuba n’omuggo oguli mu mukono gwange ku mazzi agali mu mugga, galifuuka omusaayi.
18 N’eby’omu nnyanja birifa, omugga guliwunya: Abamisiri amazzi ag’omu mugga galibatama okunywako.
19 Mukama n’agamba Musa nti Gamba Alooni nti Twala omuggo gwo ogolole omukono gwo ku mazzi g’e Misiri, ku migga gyabwe, ku nsalosalo zaabwe, ne ku bidiba byabwe, ne ku nnyanja zaabwe zonna ez’amazzi, gafuuke omusaayi; era mulibeera omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri, mu ntiba ez’omuti ne mu nsuwa ez’amayinja.
20 Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n’ayimusa omuggo, n’akuba amazzi agali mu migga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi.
21 N’eby’omu muagga ne bifa; omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa amazzi mu mugga; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey’e Misiri.
22 Ne bakola bwe batyo abasawo Abamisiri mu magezi gaabwe ag’ekyama; Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
23 Falaawo n’akyuka n’agenda mu nnyumba ye.
24 Abamisiri bonna ne basima kumpi n’omugga bafune amazzi ag’okunywa; kubanga amazzi ag’omu mugga tebaayinza kunywako.
25 Ennaku musanvu ne zituukirira, Mukama ng’amaze okukuba omugga.




Essuula 8

1 Mukama n’agamba Musa nti yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw’atyo Mukama bwayogera nti Leka abantu bange, bampeereze.
2 Era bw’onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndikuba ensalo zo zonna n’ebikere:
3 n'omugga gulijula ebikere, ebiririnnya ne biyingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku kitanda kyo, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo eby'okugoyeramu:
4 n'ebikere biririnnya ku ggwe, era ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna.
5 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku nsalosalo, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri.
6 Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bisaanikira ensi ey'e Misiri.
7 N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri.
8 Falaawo n'alyoka abayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Musabe Mukama anziyeko ebikere nze n'abantu bange: nange naabaleka abantu, baweeyo saddaaka eri Mukama.
9 Musa n'agamba Falaawo nti Olw'ekyo weenyumiriza ku nze: mu biro ki mwe mba nkusabira ggwe n'abaddu ba n'abantu bo ebikere bizikirizibwe ku ggwe ne ku nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka?
10 N'ayogera nti Ku lwa jjo. N'ayogera nti Kibe ng'ekigambo kyo: olyoke omanye nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe.
11 N'ebikere birikuleka ggwe n'ennyumba zo n'abaddu bo n'abantu bo; birisigala mu mugga mwokka.
12 Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo: Musa n'akaabira Mukama ku lw'ebikere bye yamuleetera Falaawo.
13 Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa: ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku.
14 Ne babikuŋŋaanya entuumo n'entuumo: ensi n'ewunya.
15 Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebbanga weeriri ery'okuwummuliramu, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
16 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, ebe ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.
17 Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo n’akuba enfuufu y’ensi, ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo; enfuufu yonna ey'ensi n'eba ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri.
18 N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza; ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo.
19 Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti Eno ye ngalo ya Katonda: Falaawo n'akakanyala omutima gwe, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
20 Mukama n'agamba Musa nti Golokoka ku nkya mu matuluutulu oyimirire mu maaso ga Falaawo; laba, afuluma okugenda ku mazzi; omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze.
21 Naye bw'otoobaleke, laba, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ne mu nnyumba zo: n'ennyumba ez'Abamisiri zirijjula ebikuukuulu by'ensowera, era n'ebibanja mwe ziri.
22 Nange ndigyawulako ku lunaku luli ensi ey'e Goseni, abantu bange mwebasula, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke omanye nga nze Mukama ali wakati w'ensi.
23 Nange nditeekawo okununula wakati mu bantu bange n'abantu bo: jjo lwe kalibeerawo akabonero kano.
24 Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera ne bijja ebizibu mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be : ne mu nsi yonna ey'e Misiri ensi n'efa ebikuukuulu by'ensowera.
25 Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Mugende muweeyo saddaaka eri Katonda wammwe mu nsi eno.
26 Musa n'ayogera nti Si kirungi okukola bwe kityo; kubanga tuliwa eky'omuzizo eky'Abamisiri Mukama Katonda waffe: laba, bwe tulimuwa eky'omuzizo eky'Abamisiri mu maaso gaabwe, tebalitukuba amayinja?
27 Ka tugende olugendo olw'ennaku essatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira.
28 Falaawo n'ayogera nti Naabaleka; muweeyo saddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu: wabula kino kyokka, temugenda wala nnyo: munsabire.
29 Musa n'ayogera nti Laba nva mu maaso go, ndimusaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwewo eri Falaawo, eri abaddu be, n'eri abantu be, jjo: wabula kino kyokka, Falaawo aleme okweyongera nate okulimba obutaleka bantu, baweeyo saddaaka eri Mukama.
30 Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama.
31 Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa; n'amuggirawo ebikuukuulu by'ensowera Falaawo, abaddu be, n'abantu be; ne watasigala n'emu.
32 Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'atabaleka abantu.




Essuula 9

1 Mukama n'alyoka agamba Musa nti Yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti Baleke abantu bange bampeereze.
2 Kubanga bw'onoogaana okubaleka n'oyongera okubakwata,
3 laba, omukono gwa Mukama guli ku magana go agali mu ttale, ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga: nsotoka omuzibu ennyo.
4 Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri n'amagana ag'e Misiri; so tewalifa n'emu mu ago ag'abaana ba Isiraeri gonna.
5 Mukama n'assaawo ekiseera kye yayagala, ng'ayogera nti Jjo Mukama bw'alikola ekyo mu nsi.
6 Mukama n'akola kiri bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa: naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tewaafa n'emu.
7 Falaawo n'atuma, laba, mu magana g'Abaisiraeri tewaali newakubadde n'emu efudde. Naye Falaawo omutima ne gukakanyala, n'atabaleka abantu.
8 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Mwetwalire embatu ez'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu mu maaso ga Falaawo.
9 Era liriba nfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, liriba jjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo, mu nsi yonna ey'e Misiri.
10 Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne liba ejjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo.
11 Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa ku lw'amayute; kubanga, amayute gaali ku basawo, ne ku Bamisiri bonna.
12 Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa.
13 Mukama n'agamba Musa nti Ogolokoka enkya mu makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya, nti Leka abantu bange, bampeereze.
14 Kubanga omulundi guno naakuleetera ebibonobono byange byonna omutima gwo n'abaddu bo n'abantu bo; olyoke omanye nga tewali mu nsi yonna afaanana nga nze.
15 Kubanga kaakano nandigolodde omukono gwange, nandikukubye ggwe n'abantu bo ne kawumpuli, wandizikiridde mu nsi:
16 naye ddala mazima kyenvudde nkuyimiriza okukulaga amaanyi gange ggwe, era erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna.
17 Okutuusa kaakano weegulumizizza ku bantu bange, obutabaleka?
18 Laba, jjo nga mu kiseera kino nditonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikanga mu Misiri kasookedde esooka okubaawo okutuusa kaakano.
19 Kale, kaakano, tuma, oyanguye okuyingiza amagana go ne byonna by'olina mu ttale; buli muntu n'ensolo abanaalabika mu ttale abataaleetebwe mu nnyumba, omuzira gulibakuba, balifa.
20 Eyatya ekigambo kya Mukama mu baddu ba Falaawo n'abaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba:
21 ataakitya ekigambo kya Mukama n'abaleka abaddu be n'amagana ge mu ttale.
22 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ne ku muddo gwonna ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri.
23 Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu: Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi; Mukama n'atonnyesa omuzira ku nsi ey'e Misiri.
24 Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira, omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga.
25 Omuzira ne gukuba mu nsi yonna ey'e Misiri buli ekyali mu ttale, omuntu era n'ensolo; omuzira ne gukuba buli muddo ogw'omu nsuku, ne gumenya buli muti ogw'omu nsuku.
26 Mu nsi ey'e Goseni yokka, mwe baali abaana ba Isiraeri, mwe mutaali muzira.
27 Falaawo n'atuma, n'ayita Musa ne Alooni, n'abagamba nti Nnyonoonye omulundi guno: Mukama ye mutuukirivu, nange n'abantu bange tuli babi.
28 Musabe Mukama; kubanga okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira bimmaze; nange ndibaleka, muleme okulwawo nate.
29 Musa n'amugamba nti Bwe ndimala okuva mu kibuga, ne ndyoka mwanjululiza Mukama ebibatu byange; okubwatuka kuliggwaawo, so tewalibeera muzira nate; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.
30 Naye ggwe n'abaddu bo, mmanyi nga temulitya kaakano Mukama Katonda.
31 Obugoogwa ne sayiri ne bikubibwa: kubanga sayiri yali etanula okubala, n'obugoogwa bwali busansudde.
32 Naye eŋŋaano ne kusemesi tebyakubibwa: kubanga byali nga tebinnamera.
33 Musa n'ava mu kibuga eri Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye: okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, so enkuba n'etetonnya ku nsi.
34 Falaawo bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira n'okubwatuka nga biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be.
35 Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabaleka abaana ba Isiraeri; nga bwe yayogerera Mukama mu Musa.




Essuula 10

1 Mukama n'agamba Musa nti Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe:
2 era olyoke obuulire mu matu g'omwana wo ne mu g'omwana w'omwana wo, bye nkoze ku Misiri, n'obubonero bwange bwe nkoze wakati waabwe; mulyoke mumanye nga nze Mukama.
3 Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti Olituusa wa okugaana okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange, bampeereze.
4 Naye, bw'onoogaana okubaleka abantu bange, laba, jjo ndireeta enzige mu nsalo yo:
5 zirisaanikira kungulu ku nsi, ensi ereme okulabika: zirirya ebisigadde ebyawonawo, omuzira bye gwabalekera, ne zirya buli muti ogubamerera mu nsuku:
6 era ennyumba zo zirijjula, n'ennyumba z'abaddu bo bonna n'ennyumba z'Abamisiri bonna: nga bakitaawo bwe bataalaba newakubadde bakitaabwe ba kitaawo, okuva lwe baabeerawo ku nsi okutuusa leero. N'akyuka, n'ava eri Falaawo.
7 Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti Alituusa wa ono okutubeerera omutego? Leka abantu, baweereze Mukama Katonda waabwe: tonnamanya nga Misiri efudde?
8 Ne bazzibwa Musa ne Alooni eri Falaawo: n'abagamba nti Mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe: naye b'ani abaligenda?
9 Musa n'ayogera nti Tuligenda n'abaana baffe abato era n'abakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi era n'abaana baffe ab'obuwala, n'endiga zaffe era n'ente zaffe bwe tuligenda; kubanga obubi buli mu maaso gammwe kubanga kitugwanidde ffe okukolera Mukama embaga.
10 N'abagamba nti Mukama abe nammwe nga bwe ndibaleka mmwe n'abaana bammwe abawere: mulabe;
11 Nedda mmwe abasajja abakulu mugende kaakano, mumuweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala. Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo.
12 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri wabe enzige, zirinnye ku nsi ey'e Misiri, zirye buli muddo ogw'ensi, byonna byonna omuzira bye gwalekawo.
13 Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku luli obudde okuziba n'okukya; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba ne zireeta enzige.
14 Enzige ne zirinnya ku nsi yonna ey'e Misiri, ne zigwa mu nsalo zonna ez'e Misiri: zaali nzibu nnyo; edda n'edda tewabanga nzige nga ezo, newakubadde ennyuma waazo tewalibeera nga ezo.
15 Kubanga zaasaanikira kungulu ku nsi yonna, ensi n'efuusibwa ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti, omuzira bye gwalekawo: ne watasigala kintu kibisi, newakubadde omuti newakubadde omuddo ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri.
16 Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, nammwe.
17 Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, mumusabe Mukama Katonda wammwe, anziyeko olumbe luno lwokka.
18 N'ava eri Falaawo, n'asaba Mukama.
19 Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu; tewaasigala nzige n'emu mu nsalo yonna ey'e Misiri.
20 Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka abaana ba Isiraeri.
21 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekiwulikika.
22 Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba mu nsi yonna ey'e Misiri ennaku ssatu;
23 tebaalabagana, newakubadde omuntu yenna teyagolokoka mu kifo kye ennaku ssatu: naye abaana ba Isiraeri bonna baalina omusana mu nju zaabwe.
24 Falaawo n'ayita Musa n'ayogera nti Mugende muweereze Mukama; endiga zammwe n'ente zammwe ze zibazisigala zokka: abaana abawere nabo bagende nammwe.
25 Musa n'ayogera nti Kikugwanidde nate okutuwa mu mikono gyaffe saddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe.
26 Era n'amagana gaffe galigenda naffe; tewalisigala kinuulo n'ekimu; kubanga kitugwanidde okuzitwalako, tuweereze Mukama, Katonda waffe; era tetumanyi bye tulimuweerezesa Mukama, okutuusa lwe tulituuka eyo.
27 Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atayagala kubaleka.
28 Falaawo n'amugamba nti Vaawo wendi, weekuume, oleme okulaba amaaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabiramu amaaso gange, olifa.
29 Musa n'ayogera nti Oyogedde bulungi; siriraba nate maaso go.




Essuula 11

1 Mukama n'amugamba Musa nti Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu: bw'alibaleka, mazima alibagobera ddala muno.
2 Yogera kaakano mu matu g'abantu, basabe buli musajja eri muliraanwa we na buli mukazi eri muliraanwa we ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu.
3 Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri. Nate omuntu Musa yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri, mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu.
4 Musa n'ayogera nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Nga mu ttumbi ndifuluma wakati w'e Misiri:
5 n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuuka ku mubereberye w'omuzaana ali ennyuma w'olubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo.
6 Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo newakubadde tekulibaawo nate nga kuno.
7 Naye ku omu mu baana ba Isiraeri embwa terimuwagalako lulimi, ku muntu newakubadde ensolo : mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri ne Isiraeri.
8 Era abaddu bo bano bonna baliserengeta gye ndi balivuunamira nze, nga boogera nti Genda n'abantu bo bonna abakugoberera: oluvannyuma ndigenda. N'ava eri Falaawo n'obusungu bungi.
9 Mukama n'amugamba Musa nti Falaawo talibawulira: eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri.
10 Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo: Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabaleka abaana ba Isiraeri okuva mu nsi ye.




Essuula 12

1 Mukama n'abagamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti
2 Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka.
3 Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw'endiga, ng'ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw'endiga buli nnyumba:
4 era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga.
5 Omwana gw'endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi:
6 muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno: ekkuŋŋaaniro lyonna ery'ekibiina kya Isiraeri baligutta lwaggulo.
7 Era balitwala ku musaayi, baguteeke ku mifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira.
8 Awo balirya ennyama mu kiro kiri, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezikaawa.
9 Temugiryangako mbisi, newakubadde enfumbe n'amazzi wabula enjokye n'omuliro; omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo.
10 Nammwe temugiirekangawo okutuusa enkya; naye erekebwako okutuusa enkya muligyokya n'omuliro.
11 Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama.
12 Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama.
13 Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri.
14 Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, na mmwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo.
15 Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukuswa; era ne ku lunaku olw'olubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya emigaati egizimbulukuswa okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, omwoyo ogwo gulisalibwa ku Isiraeri.
16 Era ku lunaku olw'olubereberye walibabeerera okukuŋŋaana okutukuvu, era ku lunaku olw'omusanvu okukuŋŋaana okutukuvu; emirimu gyonna gyonna gireme okukolebwa mu nnaku ezo, wabula gye yeetaaga buli muntu okulya, egyo gyokka kye kirungi okukolebwa mmwe.
17 Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa; kubanga ku lunaku luno lwennyini lwe nziyiddemu eggye lyammwe mu nsi ey'e Misiri: kye munaavanga mulwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna mu tteeka eritaggwaawo.
18 Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo, mulirya emigaati egitazimbulukuswa, okutuusa olunaku olw'amakumi abiri mu lumu olweggulo.
19 Ennaku musanvu ekizimbulukusa tekirirabika mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya ekizimbulukuse, omwoyo ogwo gulisalibwa ku kibiina kya Isiraeri, bw'aliba munnaggwanga oba nga nzaalwa.
20 Temulyanga ekizimbulukuse; mu bifo byammwe byonna mulyanga emigaati egitazimbulukuswa.
21 Musa n'alyoka abayita abakadde bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti Mulonde mwetwalire abaana b'endiga ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mutte okuyitako.
22 Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya.
23 Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuubeeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba.
24 Era mulyekuuma ekigambo ekyo ng'etteeka eri ggwe n'eri abaana bo eritaggwaawo.
25 Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, muneekuumanga okuweereza kuno.
26 Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki?
27 mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bakutama ne basinza.
28 Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
29 Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'akuba abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo.
30 Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu.
31 N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera.
32 Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; mumpe omukisa nange.
33 N'Abamisiri ne babakubiriza abantu, okubanguyiriza okuva mu nsi; kubanga baayogera nti Tufudde fenna.
34 Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe.
35 Abaana ba Isiraeri ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, n'engoye:
36 Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri.
37 Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu Lameseesi okutuuka mu Sukkosi, ng'obusiriivu mukaaga abaatambula n'ebigere abasajja, era n'abaana.
38 Era n'ekibiina ekya bannaggwanga ne balinnya wamu nabo; n'endiga n'ente, ebisibo bingi nnyo.
39 Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna:
40 N'okutuula kw'abaana ba Isiraeri, kwe baatuula mu Misiri, gyali emyaka ebikumi bina mu asatu.
41 Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri.
42 Kye kiro ekisaanira okukyekuuma ennyo eri Mukama okubafulumya mu nsi ey'e Misiri: ekyo kye kiro kiri ekya Mukama ekisaanira abaana bonna aba Isiraeri okukyekuumanga ennyo mu mirembe gyabwe gyonna.
43 Mukama n'abagamba Musa ne Alooni nti Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna talyangako:
44 naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okumukomola, n'alyoka alyako.
45 Omugenyi n'omuwereeza aweebwa empeera tebalyangako.
46 Mu nnyumba emu mw'eneeriirwanga; totwalanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo; so temumenyanga ggumba lyayo.
47 Ekibiina kyonna ekya Isiraeri balikukwata.
48 Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okwekuuma okuyitako eri Mukama, abasajja be bonna bakomolebwenga, alyoke asembere akwekuume; anaabeeranga ng'enzaalwa: naye ataakomolebwenga yenna talyangako.
49 Walimubeerera etteeka limu enzaalwa n'omugenyi asula omumwe.
50 Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri bonna; nga Mukama bwe yabalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.
51 Awo ku lunaku luli Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri mu ggye lyabwe.




Essuula 13

1 Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti
2 Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo: ye wange.
3 Musa n'abagamba abantu nti Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: kubanga mu maanyi g'omukono Mukama mwe yabaggya mu kifo ekyo: tebalyanga ku migaati egizimbulukuswa.
4 Ku lunaku luno bwe munaavaamu mu mwezi ogwa Abibu.
5 Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajja bo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno.
6 Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, era ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga embaga eri Mukama.
7 Emigaati egitazimbulukuswa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukuswa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna.
8 Era onoomugambanga omwana wo olunaku luli, ng'oyogera nti Olw'ebigambo Mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri.
9 Era ginaakubeereranga akabonero ku mukono gwo, era ekijjukizo wakati w'amaaso go, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko: kubanga mu mukono ogw'amaanyi Mukama mwe yakuggira mu Misiri.
10 Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka.
11 Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa,
12 onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama.
13 Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onoogimenyanga obulago: era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga.
14 Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti Kiki kino? onoomugambanga nti Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu:
15 awo alwatuuka Falaawo bw'ataatuleka wabula olw'empaka, Mukama n'atta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo: kyenva mmuwa Mukama buli kiggulanda ekisajja, okuba ssaddaaka; naye ababereberye bonna ab'abaana bange mbanunula.
16 N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, n'ebiteekebwa wakati w'amaaso go: kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri.
17 Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri:
18 naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri.
19 Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye: kubanga yabalayiza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe.
20 Ne bava mu Sukkosi okutambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu.
21 Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkubo; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro;
22 empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaggwaawo mu maaso g'abantu.




Essuula 14

1 Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti
2 Bagambe abaana ba Isiraeri badde ennyuma basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni: emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja.
3 Falaawo aliboogerako abaana ba Isiraeri nti Bazingiziddwa mu nsi, eddungu libasibye.
4 Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera ennyuma waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama. Bwe batyo bwe baakola.
5 Ne bamugamba kabaka w'e Misiri nti Abantu badduse: omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza?
6 N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye:
7 n'atwala amagaali lukaaga amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna.
8 Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'agoberera abaana ba Isiraeri: kubanga abaana ba Isiraeri baafuluma n'okwewaana.
9 Abamisiri ne babagoberera ennyuma, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni.
10 Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abamisiri nga babagoberera ennyuma waabwe: ne batya nnyo: abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.
11 Ne bagamba Musa nti Kubanga tewali ntaana mu Misiri kyovudde otuleeta tufiire mu ddungu? Kiki ekikutukozezza bw'oti, okutuggya mu Misiri?
12 Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti Tuleke tuweereze Abamisiri? Kubanga kirungi okubaweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu.
13 Musa n'abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero : kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna.
14 Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika.
15 Mukama n'agamba Musa nti Kiki ekikunkaabizza? Bagambe abaana ba Isiraeri bagende mu maaso.
16 Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu: n'abaana ba Isiraeri banaagenda wakati w'ennyanja ku lukalu.
17 Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera: nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo, ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.
18 Abamisiri balimanya nga nze Mukama bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala.
19 Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda ennyuma waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira ennyuma waabwe;
20 n'ejja n'ebeera wakati w'eggye ly'e Misiri n'eggye lya Isiraeri; ne waba ekire n'ekizikiza, naye n'ereeta omusana ekiro : abo ne batabasemberera bali ekiro kyonna.
21 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu.
22 Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu: amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
23 Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira ennyuma waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abantu be abeebagala.
24 Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri.
25 N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa: Abamisiri ne boogera nti Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri.
26 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe.
27 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja.
28 Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaayingira mu nnyanja ennyuma waabwe; tewaasigala n'omu mu bo.
29 Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono.
30 Bw'atyo Mukama n'alokola Isiraeri ku lunaku luli mu mukono gw'Abamisiri; Isiraeri ne balaba Abamisiri nga bafudde ku mabbali g'ennyanja.
31 Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne bamutya Mukama; ne bamukkiriza Mukama n'omuddu we Musa.




Essuula 15

1 Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bamuyimbira Mukama oluyimba luno ne boogera nti Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala: Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga.
2 Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, Anfuukidde obulokozi bwange: Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza; Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza.
3 Mukama ye muzira okulwana: Mukama lye linnya lye,
4 Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja: N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu.
5 Obuziba bubasaanikidde: Basse mu buziba ng'ejjinja.
6 Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gulina ekitiibwa mu maanyi, Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe.
7 Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba: Otuma obusuugu bwo, ne bubasiriiza ng'ebisasiro.
8 Era n'omukka ogw'omu nnyindo zo amazzi gaalinnyisibwa. Ebitaba ne biyimirira entuumo; Obuziba ne bukwata mu mutima ogw'ennyanja.
9 Omulabe n'ayogera nti Naagoberera, naatuuka, naagereka omunyago: Okwegomba kwange kunakkusibsva ku bo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza.
10 Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira: Baasaanawo nga lisasi mu mazzi ag'amaanyi.
11 Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuvu, Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola amagero?
12 Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, Ensi n'ebamira.
13 Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula: N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu.
14 Amawanga gaawulira, ne gakankana: Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti.
15 Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya; Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana kubakwata: Abatuula mu Bukanani bonna bayenjebuka.
16 Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be weefunira.
17 Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza.
18 Mukama alifuga emirembe n'emirembe.
19 Kubanga embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja.
20 Miryamu, nabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina.
21 Miryamu n'abaddamu nti Mumuyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja.
22 Musa n'atambuza Isiraeri okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne bavaamu ne batuuka mu ddungu lya Ssuuli; ne bagenda ennaku ssatu mu ddungu ne batalaba mazzi.
23 Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa : kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala.
24 Abantu ne bamwemulugunyiza Musa, nga boogera nti Tunaanywa ki?
25 N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'e mpisa, n'abakemera awo;
26 n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya.
27 Ne batuuka Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu: ne basula awo awali amazzi.




Essuula 16

1 Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri.
2 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu:
3 abaana ba Isiraeri ne babagamba nti Waakiri twandifiiridde olw'omukono gwa Mukama mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala.
4 Mukama n'alyoka agamba Musa nti Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukuŋŋaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu.
5 Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omukaaga banaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakuŋŋaanya buli lunaku.
6 Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti Olweggulo lwe mulimanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri:
7 era enkya lwe muliraba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe ku Mukama: naffe ffe baani, n'okwemuluguaya ne mwemulugunyiza ffe?
8 Musa n'ayogera nti Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya emmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza: naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.
9 Musa n'agamba Alooni nti Bagambe ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Musembere mu maaso ga Mukama: kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.
10 Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mu kama ne kirabika mu kire.
11 Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti
12 Mpulidde okwemulugunya kw'abaaaa ba Isiraeri: obagambe, ng'oyogera nti Olweggulo munaalya ennyama, n'enkya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe.
13 Awo olweggulo obugubi ne bulyoka bulinnya ne busaanikira olusiisira: enkya olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira.
14 Olufu olwagwa bwe lwaggwaako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akatono ng'omusulo omukwafu oguba ku nsi,
15 Abaana ba Isiraeri bwe baakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti Kiki kino? kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya.
16 Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, mulikitwala, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye.
17 Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono.
18 Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakuŋŋaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakuŋŋaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya.
19 Musa n'abagamba nti Omuntu talekaawo okutuusa enkya.
20 Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu.
21 Ne bakunnaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya: era omusana bwe gwayakanga n'ekereketa.
22 Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi ebiri emmere, buli muntu kkomeri bbiri: abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa
23 N'abagamba nti Ekyo Mukama kye yayogera nti Enkya kye kiwummulo ekikulu, ssabiiti entukuvu eri Mukama: mwokye bye mwagala mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya.
24 Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira: n'etewunya, so ne mutaba na nvunyu.
25 Musa n'ayogera nti Mulye eno leero; kubanga leero ye ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale.
26 Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti, okwo teribeerawo.
27 Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bagenda abamu ku bantu okukuŋŋaanya, ne batagiraba.
28 Mukama n'amugamba Musa nti Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange?
29 Mulabe, kubanga Mukama abawadde ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere ey’ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusanvu.
30 Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu.
31 Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Manu: n'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki.
32 Musa n'ayogera nti Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi ey'e Misiri.
33 Musa n'amugamba Alooni nti Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde manu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe.
34 Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo.
35 Abaana ba Isiraeri ne baliira manu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya manu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani.
36 Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa.




Essuula 17

1 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, mu bisulo byabwe, mu kiragiro kya Mukama, ne basula mu Lefidimu; so nga tewali mazzi abantu banywe.
2 Abantu kyebaava bamuyombesa Musa, ne boogera nti Tuwe amazzi tunywe. Musa n'abagamba nti Lwaki okunnyombesa nze? Lwaki okumukema Mukama?
3 Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne bamwemulugunyiza Musa, ne boogera nti Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe n'ebisibo byaffe n'ennyonta?
4 Musa n'amukaabirira Mukama ng'ayogera nti Naabakola ntya abantu bano? babulako katono bankube amayinja.
5 Mukama n'amugamba Musa nti Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende.
6 Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri.
7 N'atuuma ekifo erinnya lyakyo Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki?
8 Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa Isiraeri mu Lefidimu.
9 Musa n'agamba Yoswa nti Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki: enkya naayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange.
10 N'akola bw'atyo Yoswa nga bwe yamulagira Musa, n'alwana n'Abamaleki : Musa ne Alooni ne Kuli ne balinnya ku ntikko y'olusozi.
11 Awo olwatuuka Musa bwe yayimusa omukono gwe, Isiraeri n'agoba: bwe yagussa omukono gwe, Abamaleki ne bagoba.
12 Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuli ne bawanirira emikomo gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa.
13 Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be n'obwogi bw'ekitala.
14 Mukama n'agamba Musa nti Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjuluzo okibuulire Yoswa mu matu ge: nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu.
15 Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa bendera yange:
16 n'ayogera nti Mukama alayidde: Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.




Essuula 18

1 Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri.
2 Yesero, mukoddomi wa Musa, n'atwala Zipola, mukazi wa Musa, bwe yamugoba,
3 ye n'abaana be babiri; erinnya ly'omu mu bo Gerusomu; kubanga yayogera nti Nali mugenyi mu nsi etali yange:
4 n'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti Katonda wa kitange yali mubeezi wange n'amponya mu kitala kya Falaawo:
5 Yesero, mukoddomi wa Musa, n'ajja n'abaana be ne mukazi we eri Musa mu ddungu eryo gye yasula ku lusozi lwa Katonda:
6 n'agamba Musa nti Nze mukoddomi wo Yesero nzize gy'oli ne mukazi wo n'abaana be bombi wamu naye.
7 Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti Otyanno? ne bayingira mu weema.
8 Musa n'abuuiira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era Mukama bwe yabawonya.
9 Yesero n'asanyuka ku lw'obulungi bwonna Mukama bwe yakola Isiraeri, kubanga yabalokola mu mukono gw'Abamisiri.
10 Yesero n'ayogera nti Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokola abantu mu mukono gw'Abamisiri.
11 Kaakano ntegedde nti Mukama ye mukulu okusinga bakatonda bonna: weewaawo mu kigambo mwe beenyumiririza ku bo.
12 Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda: Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda.
13 Awo olwatuuka enkya Musa n'atuula okubalamula abantu: abantu ne bayimirira nga beetoolodde Musa okusooka enkya okutuusa olweggulo.
14 Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wekka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde.
15 Musa n'agamba mukoddomi we nti Kubanga abantu bajja gye ndi okubuuza Katonda:
16 bwe baba n'ekigambo, ne bajja gye ndi; nange mbasaalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye.
17 Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti Ekigambo ky'okola si kirungi.
18 Tolirema kusiriira ggwe n'abantu bano abali awamu naawe: kubanga ekigambo kizitowa okusinga bw'oyinza ggwe: toyinza kukituukiriza wekka.
19 Kaakano wulira eddoboozi lyange, naakuteeseza ebigambo, Katonda abe naawe: obabeerere abantu eri Katonda, oleete ensonga eri Katonda
20 naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola.
21 Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda, ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi:
22 babasalire abantu omusango ebiseera byonna: kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka: bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe.
23 Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe.
24 Awo Musa n'awulira eddoboozi lya mukoddomi we, n'akola byonna bye yayogera.
25 Musa n'alonda abasajja abasaanye mu Isiraeri yenna, n'abakuza ku bantu, abakulu ab'enkumi, abakulu b'ebikumi, abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi.
26 Ne balamulanga abantu ebiseera byonna; ensonga enzibu baazireeteranga Musa, naye buli nsonga ntono baagiramulanga bokka.
27 Musa n'asiibula mukoddomi we; n'agenda mu nsi ye ye.




Essuula 19

1 Mu mwezi ogw'okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri, ku lunaku luli ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi.
2 Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi.
3 Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri
4 nti Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n'ebiwaawaatiro by'empungu era bwe nnabaleeta gye ndi.
5 Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna kubanga ensi yonna yange:
6 nammwe mulimbeerera obwakabaka bwa bakabona, n'eggwanga ettukuvu. Bino bye bigambo by'olibabuulira abaana ba Isiraeri.
7 Musa n'ajja n'ayita abakadde ab'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira.
8 Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti Byonna bye yayogera Mukama tulibikola. Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama.
9 Mukama n'amugamba Musa nti Laba, njija gy'oli mu kire ekizimbye, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna. Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu.
10 Mukama n'agamba Musa nti Genda eri abantu, obatukuze leero ne jjo, era bayoze engoye zaabwe,
11 beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu: kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi.
12 Naawe olibateekera abantu ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo: buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa:
13 omukono gwonna guleme okumukwatako, naye talirema kukubibwa mayinja oba kufumitwa; oba ensolo, oba muntu, taliba mulamu: eŋŋombe bw'erivuga ennyo, balisemberera olusozi.
14 Musa n'akka ng'ava mu lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe.
15 N'agamba abantu nti Mweteekereteekere alunaku olw'okusatu: temusemberera mukazi.
16 Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekizimbye ku lusozi, n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana.
17 Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi.
18 Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo.
19 Eddoboozi ly'eŋŋombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi.
20 Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'olusozi: Musa n'alinnya.
21 Mukama n'agamba Musa nti Serengeta, olagire abantu, baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okubula mu bo.
22 Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okugwa ku bo.
23 Musa n'agamba Mukama nti Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi: kubanga watulagira, ng'oyogera nti Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze.
24 Mukama n'amugamba nti Genda, oserengete; naawe olirinnya, ggwe ne Alooni wamu naawe; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okugwa ku bo.
25 Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.




Essuula 20

1 Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti
2 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu.
3 Tobanga na bakatonda balala we ndi.
4 Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka:
5 tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa;
6 era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange.
7 Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye.
8 Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga.
9 Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna:
10 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo:
11 kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza.
12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo.
13 Tottanga.
14 Toyendanga.
15 Tobbanga.
16 Towaayirizanga muntu munno.
17 Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.
18 Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala.
19 Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa.
20 Musa n'agamba abantu nti Temutya: kubanga Katonda azze okubakema, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona.
21 Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali.
22 Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe.
23 Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b'effeeza, newakubadde bakatonda b'ezzaabu, temubeekoleranga.
24 Ekyoto eky'ettaka onkolere, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo: buli wantu we njijukirizanga erinnya lyange ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa.
25 Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa.
26 So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako.




Essuula 21

1 Egyo gye misango gy'oliteeka mu maaso gaabwe.
2 Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga: awo ogw'omusanvu aligenda n'eddembe bwereere.
3 Oba nga yajja omu, agendanga omu: oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye.
4 Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu.
5 Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti Njagala mukama wange; mukazi wange; n'abaana bange; saagala kugenda n'eddembe:
6 Awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mufuubeeto; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.
7 Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, tagendanga ng'abaddu bwe bagenda.
8 Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga okununulibwa: okumuguza bannaggwanga taliragirwa, kubanga amulimbye.
9 Oba nga amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala.
10 Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obugole tabikendeezangako.
11 Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali bintu.
12 Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa.
13 Era omuntu bw'atateeganga, naye Katonda n'amuteeka mu mukono gwe; oyo ndikulagirira ekifo ky'aliddukiramu.
14 Omuntu bw'ajjanga ng'agira ekyejo ku munne, okumutta n'olukwe; omuggyanga ku kyoto kyange, afe.
15 Akubanga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.
16 Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mukono gwe, talemanga kuttibwa.
17 Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa.
18 Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda:
19 bw'agolokokanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango: naye amugattanga olw'ebiseera bye bye yamwonoonera, era alimuwonyeza ddala.
20 Era omuntu bw'akubanga omuddu we oba muzaana we n'omuggo bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubonerezebwa.
21 Naye bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga: kubanga oli bye bintu bye.
22 Era abantu bwe balwanalwananga, ne bakola obubi omukazi alina olubuto; olubuto ne luvaamu, naye akabi konna ne katabaawo: talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga.
23 Naye akabi bwe kabangawo, owangayo obulamu olw'obulamu,
24 eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere,
25 okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa.
26 Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye.
27 Omuntu bw'akubanga erinnyo ly'omuddu we oba erinnyo ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye.
28 Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremanga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango.
29 Naye ente nga yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye bw'ettanga amusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nannyiniyo attibwanga.
30 Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe.
31 Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangako omusango gwe gumu.
32 Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza amakumi asatu, era n'ente ekubibwanga amayinja.
33 Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu,
34 nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nannyinizo, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.
35 Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga.
36 Oba bwe kimanyibwanga nti ente yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeeranga kikye.




Essuula 22

1 Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga.
2 Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe.
3 Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe: kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe.
4 Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri.
5 Omuntu bw'aliisanga olusuku oba nnimiro y'emizabbibu, bw'agirekanga ensolo ye n'erya ku lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga.
6 Omuliro bwe gwakanga ne gulinnya mu maggwa, emitwalo gy'eŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa.
7 Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba bintu, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri.
8 Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne.
9 Kubanga buli kigambo eky'okwonoona, oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti Kye kino, ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oli Katonda gw'asaliranga omusango aliwanga emirundi ebiri.
10 Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba nte, oba ndiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba kufaafaagana, oba okugobebwa nga tewali muntu alaba:
11 ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nannyiniyo akikkirizanga, so taliwanga.
12 Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nannyiniyo.
13 Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa.
14 Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga taliiwo nannyinikyo, talemanga kumuliyira.
15 Nannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga: bwe kibanga eky'empeera, nga kyajja lwa mpeera yaakyo olw'okupangisa.
16 Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we.
17 Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato.
18 Omukazi omulogo tomulekanga mulamu.
19 Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa.
20 Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikirizibwanga ddala.
21 Era munnaggwanga tomwonoonanga, so tomukolanga bubi: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri.
22 Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga.
23 Bw'onoobabonyaabonyanga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwulira kukaba kwabwe;
24 era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa.
25 Bw'owolanga buli omu mu bantu bange ali naawe effeeza nga mwavu, tomubeereranga ng'omubanzi, so tomusaliranga magoba.
26 Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, omuddizangayo enjuba nga tennagwa:
27 kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe: aneebikka ki? awo, bw'anankaabiranga, naawuliranga; kubanga nnina ekisa.
28 Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo.
29 Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga.
30 Bw'otyo bw'onookolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze.
31 Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi: kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.




Essuula 23

1 Tokkirizanga kigambo kya bulimba: toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba.
2 Togobereranga bangi okukola obubi; so toyogeranga mu nsonga okyame eri abangu okukyusa omusango:
3 so tomusalirizanga omwavu mu nsonga ye.
4 Bw'osanganga ente ey'omulabe wo oba ndogoyi ye ng'ekyama, tolemanga kugimuleetera nate.
5 Bw'olabanga endogoyi y'oyo akukyaye ng'egalamizibbwa wansi w'omugugu gwayo, bw'oyagalanga obutamuyamba, tolemanga kumuyamba.
6 Tokyusanga musango gwa mwavu wo mu nsonga ye.
7 Weebalamanga mu kigambo eky'obulimba; so tomuttanga atalina kabi n'omutuukirivu: kubanga sirifuula omubi okubeera omutuukirivu.
8 Era toweebwanga kirabo: kubanga ekirabo kibaziba amaaso abatunula, kikyusa ebigambo by'abatuukirivu.
9 Tokolanga bubi munnaggwanga: kubanga mmwe mumanyi omutima gw'omunnaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri.
10 Era emyaka mukaaga osiganga ensi yo, n'okuŋŋaanyanga ebibala byayo:
11 naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye : gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni.
12 Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga: ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi.
13 Era mu bigambo byonna bye nnabagamba, mwekuumanga: so toyogeranga n'akatono erinnya lya bakatonda abalala newakubadde okuwulikika mu kamwa ko.
14 Buli mwaka emirundi esatu oneekuumiranga embaga.
15 Embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ogyekuumanga: ennaku musanvu olyanga egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu (kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri); so temulabikanga busa mu maaso gange n'omu:
16 era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro: era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro.
17 Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maaso ga Mukama Katonda.
18 Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'emigaati egizimbulukuswa; so n'amasavu ag'embaga yange tegasigalangawo ekiro kyonna okutuuka enkya.
19 Ebibereberye eby'ebisooka okubala eby'ensi yo obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina wagwo.
20 Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka.
21 Mumutunuulire, mumuwulire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye.
22 Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza.
23 Kubanga malayika wange alikulembera mu maaso go, alikuyingiza eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi, n'eri Omukanani, n'eri Omukiivi, n'eri Omuyebusi: nange ndibazikiriza.
24 Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe: naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe.
25 Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe.
26 Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo: omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza.
27 Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna.
28 Era ndisindika ennumba mu maaso go, eribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go.
29 Siribagoba mu maaso go mu mwaka ogumu; ensi ereme okuzika, so n'ensolo ey'omu nsiko ereme okweyongera ku ggwe.
30 Katono katono ndibagoba mu maaso go, okutuusa lw'olyeyongera, n'osikira ensi.
31 Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva mu ddungu okutuuka ku Mugga: kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe abatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go.
32 Tolagaananga ndagaano nabo, so ne bakatonda baabwe.
33 Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze: kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.




Essuula 24

1 N'agamba Musa nti Linnya eri Mukama, ggwe ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri; era musinzize wala:
2 Musa yekka asemberere Mukama; naye bo baleme okusembera so abantu baleme okulinnya awamu naye.
3 Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'emisango gyonna: abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikola.
4 Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri.
5 N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bookya ebyokwokya, ne bawaayo ebiweebwayo olw'emirembe eby'ente eri Mukama.
6 Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto.
7 N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'asoma mu matu g'abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by'ayogedde tulibikola, era tuliwulira.
8 Musa n'atoola omusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna.
9 Musa n'alyoka alinnya, ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri:
10 ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala.
11 So ku bakungu b'abaana ba Isiraeri n'atateekako mukono gwe: ne bamulaba Katonda, ne balya ne banywa:
12 Mukama n'agamba Musa nti Linnya gye ndi ku lusozi, obeereyo : nange ndikuwa ebipande by'amayinja, n'amateeka n'ekiragiro, bye mpandiise, obiyigirize.
13 Musa n'agolokoka ne Yoswa omuweereza we: Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda.
14 N'agamba abakadde nti Mutulindirire wano, okutuusa lwe tulibajjira nate: ne Alooni ne Kuuli, laba, bali wamu nammwe: buli alina ensonga, asemberere bo.
15 Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi.
16 Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga: ku lunaku olw'omusanvu n'ayita Musa ng'ayima wakati w'ekire.
17 Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
18 Musa n'ayingira wakati mu kire, n'alinnya ku lusozi: Musa n'amala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.




Essuula 25

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange.
3 Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo;
4 n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;
5 n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;
6 amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
7 amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba.
8 Era Bankolere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe.
9 Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola.
10 Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
11 Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola.
12 Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri.
13 Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikkako zaabu.
14 Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esituli bwenga n'egyo.
15 Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu.
16 Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa.
17 Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo.
18 Era olikola ba kerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira.
19 Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri.
20 Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira.
21 Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa.
22 Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri.
23 Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo.
24 Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola.
25 Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
26 Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.
27 Kumpi n'olukugiro we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmeeza.
28 Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo.
29 Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola.
30 Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo.
31 Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo:
32 n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo olw'okubiri:
33 ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo;
34 ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo:
35 n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo.
36 Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu.
37 Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo.
38 Ne makaasi waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi.
39 Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna.
40 Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.




Essuula 26

1 Era olikola eweema n'emitanda kkumi; ne bafuta erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oligikola.
2 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu.
3 Emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka; n'emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka.
4 Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
5 Olikola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutaada ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango zirirabagana zokka na zokka.
6 Era olikola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ogatte emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso: eweema eribeera emu.
7 Era olikola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: oligikola emitanda kkumi na gumu.
8 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu giribeera gya kigero kimu.
9 Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema.
10 Era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda gumu ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
11 Era olikola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo, oliteekamu ebikwaso mu ŋŋango, oligatta eweema, ebeere emu.
12 N'ekitundu eky'emitanda gy'eweema ekifikkawo ekireebeeta, ekitundu kimu eky'omutanda ekifikkawo, kirireebeeta ku mabega g'eweema.
13 N'omukono ogw'okuluuyi luno, n'omukono ogw'oku luuyi luli, ogufikkawo mu buwanvu bw'emitanda gy'eweema, gulireebeeta ku mbiriizi z'eweema eruuyi n'eruuyi, okugibikka.
14 Era olikola ku weema n'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, ne kungulu ekyokugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.
15 Era olikola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, ziyimirire.
16 Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanwu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo.
17 Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka: bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema.
18 Era olikola embaawo ez'eweema, embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo.
19 Era olikola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri:
20 era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi lw'obukiika obwa kkono, embaawo amakumi abiri:
21 n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu; n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
22 N'ez'oluuyi lw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba, olikola embaawo mukaaga.
23 Era olikola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega.
24 Ziriba bbiri bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo okutuuka empeta emu: bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'ensonda ebbiri.
25 Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
26 Era olikola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi olumu olw'eweema,
27 n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'eweema, ku luuyi olw'emabega, olw'ebugwanjuba.
28 N'omuti ogwa wakati w'embaawo guyitemu eruuyi n'eruuyi.
29 N'embaawo olizibikkako zaabu, era olikola empeta zaazo za zaabu omwokuteekera emiti: n'emiti oligibikkako zaabu.
30 Era olizimba eweema mu ngeri yaayo gye walagibwa ku lusozi.
31 Era olikola eggigi erya kaniki, n'ery'olugoye olw'effulungu, n'ery'olumyufu, n'erya bafuta ennungi erangiddwa: ne bakerubi omulimu ogw'abakozi ab'amagezi bwe lirikolebwa:
32 era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza.
33 Era oliwanika eggigi wansi w'ebikwaso, n'essanduuko ey'obujulirwa oligiyingiza eri munda w'eggigi: n'eggigi liryawulamu eri mmwe awatukuvu n'awasinga obutukuvu.
34 Era oliteeka entebe ey'okusaasira ku ssanduuko ey'obujulirwa mu wasinga obutukuvu.
35 N'emmeeza oligiteeka ebweru w'eggigi, n'ekikondo mu maaso g'emmeeza ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo: n'emmeeza oligiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
36 Era olikola oluggi olw'omulyango ogw'eweema, olwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza.
37 Era olikola empagi ttaano ez'omuti gwa sita ez'oluggi, olizibikkako zaabu; ebikwaso byazo biribeera bya zaabu: era olizifumbira ebinnya bitaano eby'ekikomo.




Essuula 27

1 Era olikola ekyoto n'omuti gwa sita, emikono etaano obuwanvu, n'emikono etaano obugazi; ekyoto kiryenkanankana: n'obugulumivu bulibeera emikono esatu.
2 Era olikola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya: amayembe gaakyo galibeera ga muti gumu nakyo; era olikibikkako ekikomo.
3 Era olikola entamu zaakyo ez'okutwaliramu evvu lyakyo, n'ebijiiko byakyo, n'ebibya byakyo, n'eby'okukwasa ennyama byakyo, n'emmumbiro zaakyo: ebintu byakyo byonna olibikola bya bikomo.
4 Era olikikolera ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa; ne ku kirukiddwa olikolako empeta nnya ez'ebikomo ku nsonda zaakyo ennya.
5 Era olikiteeka wansi w'omuziziko ogwetooloola ekyoto wansi, ekirukiddwa kituuke wakati mu bugulumivu obw'ekyoto.
6 Era olikola emisituliro egy'ekyoto, emisituliro gy'omuti gwa sita, oligibikkako ebikomo.
7 N'emisituliro gyakyo giriyingizibwa mu mpeta, n'emisituliro giribeera ku mbiriizi z'ekyoto zombi, okukisitula.
8 Olikikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda: nga bwe walagirirwa ku lusozi, bwe batyo bwe balikikola.
9 Era olikola oluggya lw'eweema: eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo walibeera ebitimbibwa eby'oluggya ebya bafuta erangiddwa emikono kikumi obuwanvu oluuyi olumu:
10 n'empagi zaalwo ziribeera amakusni abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
11 Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi obuwanvu, n'empagi zaalwo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
12 Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono amakumi ataano: empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi.
13 N'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebuvanjuba mu buvanjuba bulibeera emikono amakumi ataano.
14 Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.
15 Era eby'oluuyi olw'okubiri walibeera ebitimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.
16 Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono amakumi abiri, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza: empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina.
17 Empagi zonna ez'oluggya ezeetooloode ziribeerako emiziziko egya ffeeza: ebikwaso byazo bya ffeeza, n'ebinnya byazo bya bikomo.
18 Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi, n'obugazi amakumi ataano wonna wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo.
19 Ebintu byonna eby'omu weema mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo.
20 Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeeyituuni agakubibwa ag'ettabaaza, okwasa ettabaaza bulijo.
21 Mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva olweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama: linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna ku lw'abaana ba Isiraeri.




Essuula 28

1 Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni.
2 Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuvu olw'ekitiibwa n'olw'obulungi.
3 Era olibagamba bonna abalina omutima ogw'amagezi, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni okumutukuza, ampeereze mu bwa kabona.
4 Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona.
5 Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, nebafuta.
6 Era balikola ekkanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi.
7 Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu.
8 N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa.
9 Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri:
10 amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja ery'okubiri, nga bwe bazaalibwa.
11 Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri: oligeetoolooza amapeesa aga zaabu.
12 Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo.
13 Era olikola amapeesa aga zaabu:
14 n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa: era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa.
15 Era olikola eky'omu kifuba eky'omusango, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi: ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola.
16 Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo.
17 Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olw'olubereberye;
18 n'olunnyiriri olw'okubiri lya nawandagala, safiro, ne alimasi;
19 n'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, ne sebu, ne amesusito;
20 n'olunnyiriri olw'okuna berulo, ne onuku, ne yasipero: galyetooloozebwa zaabu we gaatonebwa.
21 N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri.
22 Era olikola ku ky'omu kifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi.
23 Era olikola ku ky'omu kifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka empeeta ebbiri ku nsonda ebbiri ez'eky'omu kifuba.
24 Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'eky'omu kifuba.
25 N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso.
26 Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda.
27 Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi.
28 Era balisiba eky'omu kifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu.
29 Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu ky'omu kifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
30 Era oliteeka mu ky'omu kifuba eky'omusango Ulimu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna.
31 Era olikola omunagiro ogw'omu kkanzu gwonna gwa kaniki.
32 Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe: gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituii eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa.
33 Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola:
34 endege eya zaabu n'ekkomamawanga, endege eya zaabu n'ekkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola.
35 Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa.
36 Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA.
37 N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga.
38 Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama.
39 Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza.
40 Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi.
41 N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona.
42 Era olibakolera seruwale za lugoye okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi:
43 era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira.




Essuula 29

1 Era bw'olibakola bw'otyo okubatukuza, bampeereze mu bwakabona: otwale ente ennume ento n'endiga ennume bbiri ezitaliiko bulema
2 n'emigaati egitazimbulukuswa, n'obugaati obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta: oligikola n'obutta obulungi obw'eŋŋaano.
3 Era oligiteeka mu kabbo kamu, oligireetera mu kabbo, awamu n'ente n'endiga ebbiri.
4 Ne Alooni n'abaana be olibaleeta ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, olibanaaza n'amazzi.
5 Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'eky'omu kifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi:
6 era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba.
7 N'olyoka otwala amafuta ag'okufukibwako, n'ogafuka ku mutwe gwe, n'omufukira amafuta.
8 Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo.
9 Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira: era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo: era olijjuza emikono gya Alooni n'abaana be.
10 Era olireeta ente mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'ente.
11 Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
12 N'otwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'ekyoto n'olunwe lwo; n'oyiwa omusaayi gwonna mu ntobo y'ekyoto.
13 Era olitwala amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku kyoto.
14 Naye ennyama y'ente, n'eddiba lyayo, n'obusa bwayo, n'obyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira: kye kiweebwayo olw'ebibi.
15 Era olitwala endiga emu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
16 Era olisala endiga, n'otwala omusaayi gwayo, n'ogumansira ku kyoto okukyetooloola.
17 Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo.
18 Era olyokera ku kyoto endiga ennamba: kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: lye vvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
19 Era olitwala endiga ey'okubiri; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
20 N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bisajja eby'oku bigere byabwe ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola.
21 Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye : naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be wamu naye.
22 Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye ndiga ey'okutukuza:
23 n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukuswa akali mu maaso ga Mukama:
24 era olibissa byonna mu ngalo za Alooni, ne mu ngalo z'abaana be; n'obiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
25 Era olibiggya mu ngalo zaabwe, n'obyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
26 Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama : era ekyo kinaabanga mugabo gwo.
27 Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be:
28 era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna: kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa: era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama.
29 N'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni binaabeeranga bya baana be abalimuddirira, okubifukirwangamu amafuta, n'okubitukulizibwangamu.
30 Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu.
31 Era olitwala endiga ey'okutukuza, n'ofumbira ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu.
32 Ne Alooni n'abaana be balirya ennyama y'endiga n'emigaati egiri mu kabbo, mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
33 Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa: naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu.
34 Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, n'obyokya ebirisigalawo n'omuliro: tebiririibwa, kubanga bitukuvu.
35 Bw'olikola bw'otyo Alooni n'abaana be, nga byonna bye nkulagidde: olibatukuliza ennaku musanvu.
36 Era onoowangayo buli lunaku ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi olw'okutangirira: era onoolongoosanga ekyoto, bw'onookikoleranga eky'okutangirira; era onookifukangako amafuta, okukitukuza.
37 Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga: era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu.
38 Kale by'onoowangayo ku kyoto bye bino; abaana b'endiga babiri abaakamala omwaka ogumu buli lunaku obutayosa.
39 Enkya onoowangayo omwana gw'endiga ogumu; n'akawungeezi onoowangayo omwana gw'endiga ogw'okubiri:
40 era awamu n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya yini eky'amafuta amakube; n'ekitundu eky'okuna ekya yini eky'envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa.
41 N'omwana gw'endiga omulala onoomuwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
42 Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama: awo we nnaasisinkaniranga nammwe, okwogerera awo naawe.
43 Era awo we nnaasisinkaniranga n'abaana ba Isiraeri; n'eweema eritukuzibwa n'ekitiibwa kyange.
44 Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto: ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona.
45 Era naatuulanga mu baana ba Isiraeri, era naabeeranga Katonda waabwe.
46 Nabo banaategeeranga nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke ntuule mu bo: nze Mukama Katonda waabwe.




Essuula 30

1 Era olikola ekyoto eky’okwoterezangako obubaane: olikikola n’omuti ogwa sita.
2 Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obugulumivu bwakyo mikono ebiri: amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo.
3 Era olikibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo; era olikikolako engule eya zaabu okwetooloola.
4 Era olikikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi kw'olizikolera; era ziribeera bifo bya misituliro okukisitulirangako.
5 Era olikola emisituliro n'omuti ogwa sita, n'ogibikkako zaabu.
6 Era olikiteeka mu maaso g'eggigi eriri okumpi n'essanduuko ey'obujulirwa, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, kwe nnaasisinkaniranga naawe.
7 Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa: buli nkya, bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga.
8 Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.
9 Temukyoterezangako obubaane obulala, newakubadde ekiweebwayo eky'okwokya, newakubadde ekiweebwayo eky'obutta: so temukifukirangako ekiweebwayo eky'okunywa.
10 Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka: n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna: kye kitukuvu ennyo eri Mukama.
11 Mukama n'agamba Musa nti
12 Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, bw'onoobabalanga; kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga.
13 Kino kye banaawanga, buli anaayitanga mu abo ababaliddwa anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: (sekeri emu yenkana ne gera amakumi abiri :) ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama.
14 Buli anaayitanga mu abo ababaliddwa, bonna abaakamala emyaka amakumi abiri oba kusingawo anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama.
15 Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga ku kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe.
16 Era onootwalanga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe.
17 Mukama n'agamba Musa nti
18 Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, okunaabirangamu: n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi.
19 Ne Alooni n'abaana be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe:
20 bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama:
21 banaanaabanga bwe baryo engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa: era kinaabeeranga kiragiro ennaku zonna eri bo, eri ye n'eri ezzadde lye mu mirembe gyabwe gyonna.
22 Nate Mukama n'agamba Musa nti
23 Era weetwalire ku by'akaloosa ebimanyibwa, muulo ekulukuta sekeri bitaano, ne kinamomo sekeri bibiri mu ataano, kye kitundu ky'omuwendo gwa muulo, ne kalamo empoomerevu sekeri bibiri mu ataano,
24 ne kasia sekeri bitaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, n'amafuta ag'omuzeyituuni emu:
25 era olibikoza amafuta amatukuvu ag'okufukibwangako, omugavu ogutabuddwa n'amagezi ag'omukozi w'omugavu: galiba mafuta amatukuvu ag'okufukibwangako.
26 Era oligafuka ku weema ey'okusisinkanirangamu, ne ku ssanduuko ey'obujulirwa,
27 ne ku mmeeza ne ku bintu byayo byonna, n'ekikondo ne ku bintu byakyo, ne ku kyoto eky'okwoterezangako,
28 ne ku kyoto eky'okwokerangako ne ku bintu byakyo byonna, ne ku kinaabirwamu ne ku ntobo yaakyo.
29 Era olibitukuza okubeera ebitukuvu ennyo: buli ekinaabikomangako kiriba kitukuvu.
30 Era Alooni n'abaana be olibafukako amafuta, n'obatukuza okumpeereza mu bwakabona.
31 Era oligamba abaana ba Isiraeri nti Gano ganaabeeranga mafuta matukuvu ag'okufukibwangako eri nze mu mirembe gyammwe gyonna.
32 Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa: ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli.
33 Buli alitabula agafaanana nago, na buli aligafukako ku munnaggwanga, alizikirizibwa okuva mu bantu be.
34 Mukama n'agamba Musa nti Weetwalire ebyakawoowo ebiwoomerevu, sitakite, ne onuka, ne galabano; ebyakaloosa ebiwoomerevu n'omugavu omulongoofu: byonna byenkane obuzito;
35 era olibikoza eky'okwoteza, akaloosa akakolebwa n'amagezi ag'omukozi w'akaloosa, akatabuddwamu omunnyo, akalongoofu, akatukuvu:
36 era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe: kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli.
37 N'eky'okwoteza ky'olikola temukyekoleranga mmwe mwekka nga bwe kitabulwa: kinaabeeranga kitukuvu gy'oli eri Mukama.
38 Buli anaakolanga agafaanana nago, okuwunyako, alizikirizibwa okuva mu bantu be.




Essuula 31

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Laba, mpise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'omu kika kya Yuda:
3 era mmujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola,
4 okulowooza emirimu egy'amagezi, okukola ne zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo,
5 ne mu kusala amayinja ag'okussaamu, ne mu kwola emiti, okukola mu buli ngeri ya kukola.
6 Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne mu mitima gyabwe bonna abalina emitima egy'amagezi ngitaddemu amagezi bakole byonna bye nkulagidde:
7 eweema ey'okusisinkanirangamu, ne ssanduuko ey'obujulirwa, n'entebe ey'okusaasira egiriko, n'ebintu byonna eby'omu weema;
8 n'emmeeza n'ebintu byayo, n'ekikondo ekirungi n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoto eky'okwoterezangako;
9 n'ekyoto eky'okwokerangako n'ebintu byakyo byonna, n'ekinaabirwamu n'entobo yaakyo;
10 n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona;
11 n'amafuta ag'okufukibwangako, n'eky'okwoteza eky'eby'akaloosa ebiwoomerevu ekya watukuvu: nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo.
12 Mukama n'agamba Musa nti
13 Era buulira abaana ba Isiraeri nti Mazima mukwatanga ssabbiiti zange: kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna; mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza.
14 Kyemunaavanga mukwata ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli: buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa: kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
15 Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama: buli anaakoleranga emirimu gyonna ku ssabbiiti, talemanga kuttibwa.
16 Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo.
17 Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera.
18 Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda.




Essuula 32

1 Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti Golokoka, otukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.
2 Alooni n'abagamba nti Mumenye ku mpeta eza zaabu, eziri mu matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere.
3 Abantu bonna ne bamenya ku mpeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni.
4 N'agitoola mu ngalo zaabwe, n'agiwumba n'ekyuma ekisala, n'agifuula ennyana ensaanuuse: ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri
5 Alooni bwe yalaba, n'azimba ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti Enkya wanaabeera embaga eri Mukama.
6 Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya.
7 Mukama n'agamba Musa nti Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza:
8 bakyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira: beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaaku ggya mu nsi y'e Misiri:
9 Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano era, laba, be bantu abalina ensingo enkakanyavu:
10 kale kaakano ndeka, obusungu bwange bwake nnyo ku bo, era mbazikirize: era ndikufuula ggwe eggwanga eddene.
11 Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti Mukama, kiki ekyasizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogw'obuyinza?
12 Lwaki okwogeza Abamisiri nti Yabaggiramu obubi, okubattira ku nsozi, n'okubazikiriza okuva ku maaso g'ensi? Oleke obusungu bwo obukambwe, ojjulukuke oleke obubi obwo eri abantu bo.
13 Ojjukire Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayiririra wekka n'obagamba nti Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna.
14 Mukama n'ajjulukuka n'aleka obubi bw'abadde ayogedde okubakola abantu be.
15 Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi.
16 N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande.
17 Yoswa bwe yawulira eddoboozi ly'abantu nga boogerera waggulu, n'agamba Musa nti Waliwo eddoboozi ery'okulwana mu lusiisira.
18 N'ayogera nti Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa: naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira.
19 Awo olwatuuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina: obusungu bwa Musa ne bwaka nnyo, n'akasuka ebipande mu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi,
20 N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri.
21 Musa n'agamba Alooni nti Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene?
22 Alooni n'ayogera nti Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo: gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi.
23 Kubanga baŋŋamba nti Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga: kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.
24 Ne mbagamba nti Buli alina zaabu yonna yonna, bagimenyeko; awo ne bagimpa: ne ngiteeka mu muliro, n'ennyana eno n'evaamu.
25 Awo Musa bwe yalaba ng'abantu bajeemye; kubanga Alooni yabajeemya okusekererwa abalabe baabwe:
26 Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi. Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali.
27 N'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Muteeke buli muntu ekitala kye ku kisambi kye, muddiiŋŋane mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, mutte buli muntu muganda we, na buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we.
28 Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa: ne bafa ku bantu ku lunaku luli abasajja nga nkumi ssatu.
29 Musa n'ayogera nti Mwetukuze leero eri Mukama, newakubadde okulwana buli muntu n'omwana we, era ne muganda we; alyoke abawe leero omukisa.
30 Awo olwatuuka enkya Musa n'agamba abantu nti Mwayonoonye ekyonoono ekinene: ne kaakano naalinnya eri Mukama; mpozzi naakola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe.
31 Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera bakatonda aba zaabu.
32 Naye kaakano, bw'onoosonyiwa ekyonoono kyabwe; naye bw'otoobasonyiwe, onsangule nze, nkwegayiridde, mu kitabo kyo kye wawandiika.
33 Mukama n'agamba Musa nti Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange.
34 Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako: laba, malayika wange anaakukulemberanga: era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe.
35 Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga baakola ennyana, Alooni gye yakola.




Essuula 33

1 Mukama n'agamba Musa nti Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo:
2 era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi:
3 mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki: kubanga nze siririnnya wakati mu mumwe; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: nneme okukuzikiriza mu kkubo.
4 Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala: ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo bye.
5 Mukama n'agamba Musa nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza: kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola.
6 Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo.
7 Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'agenda mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira.
8 Era Musa bwe yafulumanga n'agendanga mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema.
9 Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema: Mukama n'ayogera ne Musa.
10 Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema: abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye.
11 Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate: naye omuweereza we, Yoswa, omwana wa Nuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema.
12 Musa n'agamba Mukama nti Laba, ondagira nti Twala abantu bano: n'otoŋŋanya kumanya gw'onootuma awamu nange. Naye wayogera nti Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange.
13 Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo.
14 N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula.
15 N'amugamba nti Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano.
16 Kubanga kiritegeerebwa kitya nga nze nalaba ekisa mu maaso go, nze n'abantu bo? si kyekiriva kitegeerebwa kubanga ogenda naffe, n'okwawulwa ne twawulibwa, nze n'abantu bo, mu bantu bonna abali ku maaso g'ensi?
17 Mukama n'agamba Musa nti Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola: kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya.
18 N'ayogera nti Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo.
19 N'ayogera nti Naayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go, era naatendera erinnya lya Mukama mu maaso go; era naamukwatirwanga ekisa gwe naakwatirwanga ekisa, era naamusaasiranga gwe naasaasiranga.
20 N'ayogera nti Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu.
21 Mukama n'ayogera nti Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja:
22 awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaaba nga kiyita, naakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo:
23 ne nziyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange: naye amaaso gange tegaalabike.




Essuula 34

1 Mukama n'agamba Musa nti Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya.
2 Era enkya obe nga weeteeseteese, olinnye enkya ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko y'olusozi.
3 So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo.
4 N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoka enkya mu makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja.
5 Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'atendera erinnya lya Mukama.
6 Mukama n'ayita mu maaso ge, n'atendera nti Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi;
7 ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi: era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana.
8 Musa n'ayanguwa, n'avuunamya omutwe, n'asinza.
9 N'ayogera nti Bwe mba kaakano nga naalaba ekisa mu maaso go, ai Mukama, Mukama; atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo.
10 N'ayogera nti Laba, ndagaana endagaano: mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna: n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukoza kya ntiisa.
11 Lowooza kino kye nkulagira leero: laba, ngoba mu maaso go Omwamoli, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi.
12 Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe:
13 naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe:
14 kubanga toosinzenga Katonda mulala yenna: kubanga Mukama, erinnya lye Waabuggya, ye Katonda ow'obuggya:
15 tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babawa ssaddaaka bakatonda baabwe, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye;
16 n'otwalira abaana bo abasajja ku bawala baabwe, abawala baabwe ne bayenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babayenza abaana bo nga bagoberera bakatonda baabwe,
17 Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse.
18 Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu: kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri.
19 Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga.
20 N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununulanga n'omwana gw'endiga: era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga obulago bwayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu.
21 Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga: mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga.
22 Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti, ye y'omwaka omubereberye ogw'eŋŋaano, n'embaga ey'okutereka omwaka nga guweddeko.
23 Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri.
24 Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo: so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka.
25 Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukuswa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya.
26 Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo.
27 Mukama n'agamba Musa nti Ggwe wandiika ebigambo ebyo: kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri.
28 N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi.
29 Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo za Musa, bwe yakka okuva ku lusozi, Musa n'atamanya ng'omubiri ogw'amaaso ge gumasamasa olw'okwogera naye.
30 Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, omubiri ogw'amaaso ge ne gumasamasa; ne batya okumusemberera.
31 Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali: Musa n'ayogera nabo.
32 Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera: n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde naye ku lusozi Sinaayi.
33 Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge.
34 Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri bwe yalagirwanga;
35 abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, omubiri ogw'amaaso ge nga gumasamasa : Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye.




Essuula 35

1 Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola.
2 Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, ssabbiiti ey'okuwummula okutukuvu eri Mukama: buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga.
3 Temukumanga muliro gwonna mu nnyumba zammwe zonna ku lunaku olwa ssabbiiti.
4 Musa n'abuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti
5 Muggye ku bannammwe ekiweebwayo eri Mukama: buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama; zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo;
6 ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi;
7 n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita;
8 n'amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza;
9 n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba.
10 Era buli muntu mu mmwe alina omutima ogw'amagezi ajje akole byonna Mukama by'alagidde;
11 ennyumba, eweema yaayo n'eky'okugibikkako, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;
12 essanduuko, n'emisituliro gyayo, entebe ey'okusaasira, n'eggigi eryawulamu;
13 emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga;
14 era n'ekikondo eky'ettabaaza, n'ebintu byakyo, n'ettabaaza zaakyo, n'amafuta ag'ettabaaza;
15 n'ekyoto eky'okwoterezangako, n'emisituliro gyakyo, n'amafuta ag'okufukako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'omu mulyango ogw'eweema;
16 ekyoto eky'okwokerangako ekiweebwayo, era n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo;
17 ebitimbibwa eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byazo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya;
18 enninga ez'eweema, n'enninga ez'oluggya, n'emigwa gyabyo;
19 n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, eby'okuweererezangamu mu bwakabona.
20 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bava mu maaso ga Musa.
21 Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoyo gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu.
22 Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemu, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama.
23 Na buli muntu eyalabika ng'alina kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋoonge, n'abireeta.
24 Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama: na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta.
25 N'abakazi bonna abaalina emitima egy'amagezi ne balanga n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi.
26 N'abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza mu magezi ne balanga ebyoya by'embuzi.
27 N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku ky'omu kifuba;
28 n'eby'akaloosa, n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako, n'olw'obubaane obuwoomerevu.
29 Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, emitima gyabwe be gyakkirizisa okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa.
30 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Laba, Mukama ayise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda;
31 era amujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y'okukola:
32 n'okuyiiya emirimu egy'amagezi, n'okukola omulimu gwa zaabu, n'ogwa ffeeza, n'ogw'ekikomo,
33 n'ogw'okusala amayinja ag'okutona, n'ogw'okwola emiti, okukola buli ngeri y'emirimu egy'amagezi.
34 Era ateese mu mutima gwe okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani.
35 Abo abajjuzizza emitima gyabwe amagezi, okukola buli ngeri y'emirimu, egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omukozi ow'amagezi, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi egya bonna abakola emirimu gyonna gyonna, n'abo abayiiya emirimu egy'amagezi.




Essuula 36

1 Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina omutima ogw'amagezi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.
2 Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina , omutima ogw'amagezi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe, buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza okujja ku mulimu okugukola:
3 Musa n'abawa ekiweebwayo kyonna abaana ba Isiraeri kye baaleeta olw'emirimu egy'okuweereza okw'omu watukuvu, okugikola. Era ne bamuleeteranga ebiweebwayo n'emyoyo egy'eddembe buli nkya.
4 N'ab'amagezi bonna, abaakola emirimu gyonna egy'omu watukuvu, ne bava buli muntu ku mulimu gwe, gwe baali bakola;
5 ne bagamba Musa nti Abantu baleeta bingi ebisukkiridde ennyo okumala okukola emirimu, Mukama gye yalagira okukola.
6 Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna, nti Omusaja era n'omukazi alekere awo okukola nate omulimu gwonna ogw'ekiweebwayo eky'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta.
7 Kubanga ebintu bye baali nabyo byamala emirimu gyonna okugikola, era byasukkirirawo.
8 Na buli muntu eyalina omutima ogw'amagezi eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yagukola.
9 Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna gyali gya kigero kimu.
10 N'agatta emitanda etaano gyokka na gyokka: era n'emitanda etaano emirala n'agigatta gyokka na gyokka.
11 N'akola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte: era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
12 Yakola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri: eŋŋango zaalabagana zokka na zokka.
13 Era n'akola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, n'agatta emitanda gyokka m gyokka n'ebikwaso: eweema n'ebeera emu.
14 Era n'akola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: yakola emitanda kkumi na gumu.
15 Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu gyali gya kigero kimu.
16 N'agatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka.
17 N'akola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano n'azikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri.
18 Era n'akola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo okugatta eweema, ebeere emu.
19 Era n'agikolera eweema eky'okugibikkako eky'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge.
20 Era n'akola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, okuyimirira.
21 Emikono kkumi bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo.
22 Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka: bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema.
23 N'akola embaawo ez'eweema; embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo:
24 era n'akola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri.
25 Era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'akola embaawo amakumi abiri,
26 n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala.
27 Era ez'oluuyi olw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba n'akola embaawomukaaga.
28 Era n'akola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega.
29 Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu: bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi.
30 Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo.
31 Era n'akola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi lumu olw'eweema,
32 n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olulala olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'eweema ez'oluuyi olw'emabega olw'ebugwanjuba.
33 N'omuti ogwa wakati n'aguyisa wakati mu mbaawo eruuyi n'eruuyi.
34 N'embaawo n'azibikkako zaabu, n'akola empeta zaazo eza zaabu omw'okuteekera emiti, n'emiti n'agibikkako zaabu.
35 N'akola eggigi erya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yalikola.
36 N'alikolera empagi nnya ez'omuti gwa sita, n'azibikkako zaabu: n'ebikwaso byazo byali bya zaabu; n'azifumbira ebinnya bina ebya ffeeza.
37 N'alukolera akatimba oluggi olw'eweema, aka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza;
38 n'empagi zaako ttaano n'ebikwaso byazo: n'emitwe gyazo n'emiziziko gyazo n'abibikkako zaabu: n'ebinnya byazo bitaano byali bya bikomo.




Essuula 37

1 Bezaaleeri n'akola essanduuko ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo bwali emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu:
2 n'agibikkako zaabu ennungi munda ne kungulu, n'agikolera engule eya zaabu okwetooloola.
3 N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, mu magulu gaayo ana; empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olumu, n'empeta bbiri ku lubiriizi lwayo olw'okubiri.
4 N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu.
5 N'ayingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, okusitula essanduuko.
6 N'akola entebe ey'okusaasira eya zaabu ennungi: obuwanvu bwayo emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu.
7 N'akola bakerubi babiri aba zaabu; yabakola n'eyaweesebwa, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira;
8 kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi omu ku nsonda eyo: yakola bakerubi mu kitundu eky'entebe ey'okusaasira ku nsonda zaayo ebbiri.
9 Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi baatunuulira entebe ey'okusaasira.
10 N'akola emmeeza ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo emikono ebiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu:
11 n'agibikkako zaabu ennungi, n'agikolako engule eya zaabu okwetooloola.
12 N'agikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, n'alukolera olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola.
13 N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, n'ateeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana.
14 Kumpi n'olukugiro we zaali empeta, ebifo eby'emisituliro gisitulenga emmeeza.
15 N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu, okusitulanga emmeeza.
16 N'akola ebintu ebyabeeranga ku mmeeza, essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ebibya byayo, n'ensuwa zaayo, okufuka nabyo, ne zaabu ennungi.
17 N'akola ekikondo ekya zaabu ennungi: yakola ekikondo n'eyaweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo byali bya zaabu emu nakyo:
18 era amatabi mukaaga gaava ku mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olumu, n'amatabi asatu eg'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olw'okubiri:
19 ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli: bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo.
20 Ne mu kikondo mwalimu ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyabyo n'ebimuli byabyo:
21 n'omutwe gwali wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agaakivaako.
22 Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byali bya zaabu emu nakyo: kyonna kyali mulimu muweese ogumu ogwa zaabu ennungi.
23 N'akola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, ne zaabu ennungi.
24 Yakikola ne ttalanta eya zaabu ennungi, n'ebintu byakyo byonna.
25 N'akola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane eky'omuti gwa sita : obuwanvu bwakyo bwali mukono, n'obugazi bwakyo mukono, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo bwali emikono ebiri; amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo.
26 N'akibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo: n'akikolako engule eya zaabu okwetooloola.
27 N'akikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi, okuba ebifo eby'emisituliro okukisitulirangako.
28 N'akola emisituliro n'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu.
29 N'akola amafuta amatukuvu ag'okufukangako, n'obubaane obulongoofu obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu, ng'amagezi ag'omukozi w'omugavu bwe gali.




Essuula 38

1 N'akola ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo eky'omuti gwa sita: obuwanvu bwakyo bwali emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo emikono esatu.
2 N'akola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo gaali ga mulimu gumu nakyo: n'akibikkako ekikomo.
3 N'akola ebintu byonna eby'ekyoto, entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, n'eby'okukwasa ennyama, n'emmumbiro: ebintu byakyo byonna yabikola n'ebikomo.
4 N'akikolera ekyoto ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa, wansi w'omuziziko ogukyetooloola wansi, n'akituusa wakati mu bugulumivu obw'ekyoto.
5 N'afumbira empeta nnya ensonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okuba ebifo eby'e misituliro.
6 N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako ebikomo.
7 N'ayingiza emisituliro mu mpeta ez'oku mbiriizi ez'ekyoto, okukisitulirangako; yakikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda.
8 N'akola eky'okunaabirangamu eky'ekikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, n'endabirwamu ez'abakazi abaweereza abaaweerezanga ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
9 N'akola oluggya: ebyatimbibwa eby'oluggya eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo obukiika obwa ddyo byali bya bafuta ennungi erangiddwa, emikono kikumi:
10 empagi zaabyo zaali amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo byali bya ffeeza.
11 N'eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono emikono kikumi, empagi zaabyo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
12 N'ebyatimbibwa eby'oluuyi olw'ebugwanjuba bya mikono ataano, empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
13 N'eby'oluuyi olw'ebuvanjuba ku buvanjuba emikono ataano.
14 Ebyatimbibwa eby'oku luuyi olumu oluliko omulyango byali bya mikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu;
15 n'oluuyi olulala bwe lutyo; eruuyi n'eruuyi ku mulyango ogw'oluggya waaliwo ebyatimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu.
16 Ebyatimbibwa byonna eby'oluggya eby'enjuyi zonna byali bya bafuta ennungi erangiddwa.
17 N'ebinnya eby'empagi byali bya bikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza; n'emitwe gyazo gyabikkibwako ffeeza; n'empagi zonna ez'oluggya zaateekebwako emiziziko gya ffeeza.
18 N'akatimba ak'oluggi olw'oluggya kaali mulimu gwa mudaliza, ka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa : n'obuwanvu bwako bwali emikono abiri, n'obugulumivu mu bugazi bwako bwali emikono etaano, okwenkanankana n'ebyatimbibwa eby'oluggya.
19 N'empagi zaabyo zaali nnya, n'ebinnya byazo bina, eby'ebikomo; ebikwaso byazo bya ffeeza, n'eby'okubikka ku mitwe gyazo n'emiziziko gyazo bya ffeeza.
20 N'enninga zonna ez'eweema, n'ez'oluggya okwetooloola, byali bya bikomo.
21 Guno gwe muwendo ogw'ebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwa nga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona.
22 Ne Bezaaleeri, omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda, ye yakola byonna Mukama bye yalagira Musa.
23 Era wamu naye waaliwo Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani, omusazi w'amayinja, era omukozi ow'amagezi, era omudaliza wa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi.
24 Zaabu yonna gye baakoza omulimu mu mulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda, ne sekeri lusanvu mu amakumi asatu, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri.
25 Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi, ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri:
26 buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri, buli muntu eyayita okugenda mu abo abaabaliddwa, abaakamala emyaka abiri oba kusukkawo, abantu obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano.
27 Ne ttalanta kikumi eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi byava mu ttalanta kikumi, buli kinnya ttalanta.
28 Ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano n'azikoza ebikwaso eby'empagi, n'abikka ku mitwe gyazo, n'azikolako emiziziko.
29 N'ebikomo eby'ekiweebwayo; byali ettalanta nsanvu, ne sekeri enkumi bbiri mu bina.
30 Nabyo, n'abikoza ebinnya eby'oluggi olw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'ekyoto,
31 n'ebinnya eby'oluggya okwetooloola n'ebinnya eby'oluggi olw'oluggya, n'enninga zonna ez'eweema, n'enninga zonna ez'oluggya okwetooloola.




Essuula 39

1 Ne kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu Mukama nga bwe yalagira Musa.
2 N'akola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, erangiddwa.
3 Ne baweesa zaabu, ne bagifuula ebipaapi, ne bagikomolamu obunyere, okugirunga mu kaniki, ne mu lugoye olw'effulungu, ne mu lumyufu, ne mu bafuta ennungi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi.
4 Ne bagikolako eby'okubibegabega ebyagattibwa: yagattibwa ku nsonda zaayo zombi.
5 N'olukoba olw'alangibwa n'amagezi, olwagiriko, okugisibyanga, lwali lwa lugoye lumu nayo era omulimu gwalwo gwafaanaaa nga yo; lwa zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
6 Ne balongoosa amayinja aga onuku, ne gayingizibwa mu mapeesa aga zaabu, ne gasalibwako ng'akabonero bwe kasalibwa, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri bwe gaali.
7 N'agateeka ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukizanga eri abaana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
8 N'akola eky'omu kifuba, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi okufaanana ng'omulimu ogw'ekkanzu; kya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa.
9 Kyenkanankana enjuyi zonna; eky'omu kifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu.
10 Ne bakiteekamu ennyiziri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, ne topazi, ne kabunkulo lwe lwali olunnyiriri olw'olubereberye.
11 N'olunnyiriri olw'okubiri ejjinja erya nnawandagala, safiro, ne alimasi.
12 N'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, sebu, ne amesusito.
13 N'olunnyiriri olw'okuna berulo, onuku, ne yasipero: geetooloozebwa zaabu we gatonebwa.
14 Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri.
15 Ne bakola ku ky'omu kifuba emikuufu ng'emigwa, obw'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi.
16 Ne bakola amapeesa abiri aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba.
17 Ne bateeka emikuufu gyombi obwa zaabu obulangibwa ku mpeta zombi ku nkomerero ez'eky'omu kifuba.
18 N'enkomerero zombi endala ez'emikuufu gyombi egirangibwa ne baziteeka ku mapeesa gombi, ne bagateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso.
19 Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku nsonda zombi ez'eky'omu kifuba, ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda.
20 Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku by'oku bibegabega byombi eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi.
21 Ne basiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era eky'omu kifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 N'akola omunagiro ogw'omu kkanzu gwa mulimu ogulangibwa, gwa kaniki gwonna;
23 n'ekituli eky'omunagiro wakati mu gwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, nga guliko olukugiro okwetooloola ekituli kyagwo, guleme okuyuzibwa.
24 Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga aga kaniki n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, n'aga bafuta erangiddwa.
25 Ne bakola endege eza zaabu ennungi, ne bateeka endege wakati w'amakomamawanga ku birenge by'omunagiro okwetooloola, wakati w'amakomamawanga;
26 endege n'ekkomamawanga, endege n'ekkomamawanga, ku bireage by'omunagiro okwetooloola, okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
27 Ne bakolera Alooni ebizibawo ebya bafuta ennungi eby'omulimu ogulangibwa, n'abaana be,
28 n'ekiremba ekya bafuta ennungi, n'enkuufiira ennungi eza bafuta ennungi, ne seruwale eza bafuta ennungi erangiddwa,
29 n'olukoba olwa bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, omulimu ogw'omudaliza; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 Ne bakola akapande ak'oku ngule entukuvu aka zaabu ennungi, ne bakawandiikako abigambo, ng'ebiwandiikibwa ku kabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA.
31 Ne bakasibako akagoye aka kaniki, okukasiba ku kiremba waggulu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
32 Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa: era abaana ba Isiraeri baakola nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe baakola bwe batyo.
33 Ne bagireetera Musa ennyumba, Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;
34 n'eky'okubikkako eky'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, n'eky'okubikkako eky'amaliba g'eŋŋonge, n'eggigi eryawulamu;
35 essanduuko ey'obujulirwa, n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'okusaasira;
36 emmeeza, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga;
37 ekikondo ekirongoofu, eby'ettabaaza byakyo, bye by'ettabaaza eby'okulongoosebwanga, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta ag'ettabaaza;
38 n'ekyoto ekya zaabu, n'amafuta ag'okufukangako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'eweema;
39 ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo;
40 eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya, emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'eweema ey'okusisinkanirangamu;
41 ebyambalo ebyakolebwa obulungi eby'okuweererezangamu mu watukuvu, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweererezangamu mu bwakabona.
42 Nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola omulimu gwonna.
43 Musa n'alaba omulimu gwonna, era, laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala: Musa n'abasabira omukisa.




Essuula 40

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye olisimba ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu.
3 Era oligiteekamu essanduuko ey'obujulirwa, era olitimba eggigi ku ssanduuko.
4 Era oliyingiza emmeeza, n'oteekateeka ebintu ebigiriko; n'oyingiza ekikondo, n'okoleeza ettabaaza zaakyo.
5 Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky'okwoterezangako obubaane mu maaso g'essanduuko ey'obujulirwa, n'oteekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema.
6 Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'eweema ey'okusisinkanirangamu.
7 Era oliteeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okifukamu amazzi.
8 Era olisimba oluggya okwetooloola, n'otimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya.
9 Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ofuka ku weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna: era eribeera entukuvu.
10 Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto: n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo.
11 Era oligafukako ku kinaabirwamu n'entobo yaakyo, n'okitukuza.
12 Era olireeta Alooni n'abaana be ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi.
13 Era oliyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu; n'omufukako amafuta, n'omutukuza, ampeerereze mu bwakabona.
14 Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo:
15 n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna.
16 Musa n'akola bw'atyo: nga byonna Mukama bye yamulagira, bwe yakola bw'atyo.
17 Awo olwatuuka mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, eweema n'esimbibwa.
18 Musa n'asimba eweema, n'ateekawo ebinnya byayo, n'ayimiriza embaawo zaayo, n'ayingiza emiti gyayo; n'awangiza empagi zaayo.
19 N'atimba eweema ku nnyumba, n'agiteekako kungulu eky'okubikka ku weema; nga Mukama bwe yalagira Musa.
20 N'atwala obujulirwa n'abuteeka mu ssanduuko, n'assa emisituliro ku ssanduuko, n'ateeka entebe ey'okusaasira kungulu ku ssanduuko:
21 n'ayingiza ssanduuko mu weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'akisa essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bye yalagira Musa.
22 N'ateeka emmeeza mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa kkono, ebweru w'eggigi.
23 N'agiteekateekako emigaati mu maaso ga Mukama: nga Mukama bwe yalagira Musa.
24 N'ateeka ekikondo mu weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'emmeeza, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo.
25 N'akoleeza ettabaaza mu maaso ga Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa.
26 N'ateeka ekyoto ekya zaabu mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'eggigi:
27 n'akyoterezaako obubaane obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
28 N'ateekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema.
29 N'ateeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo ku mulyango ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'akiwaako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu.
31 Musa ne Alooni n'abaana be ne bakinaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe;
32 bwe baayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, baanaabanga: nga Mukama bwe yalagira Musa.
33 N'asimba oluggya okwetooloola eweema n'ekyoto, n'atimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. Bw'atyo Musa n'amala omulimu.
34 Ekire ne kiryoka kibikka ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba.
35 Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba.
36 Era ekire bwe kyaggibwanga ku weema, abaana ba Isiraeri ne batambulanga, mu lugendo lwabwe lwonna:
37 naye ekire bwe kitaggibwangako, ne batatambulanga okutuusa ku lunaku lwe kyaggibwangako.
38 Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna.