Ebyabaleevi

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27


-Reset+

Essuula 1

1 Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Omuntu yenna ku mmwe bw'awangayo ekitone eri Mukama, munaakiwangayo okukiggya ku nsolo, ku nte ne ku mbuzi.
3 Oba ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema: anaagiweerangayo ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
4 Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira.
5 Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, era banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
6 Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo.
7 Awo abaana ba Alooni kabona banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro:
8 awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto:
9 naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaayokeranga byonna ku kyoto, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
10 Era oba ng'awaayo ku kisibo, kwe kugamba nti ku ndiga oba ku mbuzi, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; anaawangayo nnume eteriiko bulema.
11 Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiika obwa kkono mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
12 Awo anaagisalangamu ebifi byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo: awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto:
13 naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaawangayo yonna, anaagyokeranga ku kyoto: kye kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
14 Era oba ng'awaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukaamukuukulu oba amayiba amato.
15 Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto:
16 awo anaggyangamu ekisakiro kyako awamu n'empitambi yaakyo, n'akisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu:
17 era anaakayuzanga n'ebiwaawaatiro byako, takasalangamu: awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.




Essuula 2

1 Era omuntu yenna bw'awangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kinaabanga kya butta bulungi: era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu:
2 awo anaakireeteranga abaana ba Alooni bakabona: naye anaakiggyangamu olubatu lwe olw'obutta obulungi bwakyo n'olw'amafuta gaakyo, awamu n'omugavu gwakyo gwonna; awo kabona anaabwokyanga okuba ekijjukizo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama:
3 n'ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.
4 Era bw'owangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga emigaati egitazimbulukuswa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibwako amafuta.
5 Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta.
6 Onookyawulangamu ebitundu, obufukeko amafuta: kye kiweebwayo eky'obutta.
7 Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaakolebwanga n'obutta obulungi wamu n'amafuta.
8 Awo onooleetanga ekiweebwayo eky'obutta ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kinaaleeterwanga kabona, naye anaakitwalanga eri ekyoto.
9 Awo kabona anaalobolanga ku kiweebwayo eky'obutta ekijjukizo kyakyo, anaakyokeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
10 N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro.
11 Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusa: kubanga temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
12 Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ekitone eky'ebibereberye: naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba evvumbe eddungi.
13 Era buli kitone eky'obutta bw'onoowangayo onookirungangamu omunnyo; so tokkirizanga ky'owaayo eky'obutta okubulwa omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonna onoowangayo omunnyo.
14 Era oba ng'owaayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo okuba ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye byo eŋŋaano ng'ekyali ku birimba eyokebwa n'omuliro, eŋŋaano embetentere ku birimba ebibisi.
15 Awo onoogifukangako amafuta, era onoogiteekangako omugavu: ekyo kye kiweebwayo eky'obutta.
16 Era kabona anaayokyanga ekijjukizo kyakyo, ekitundu ky'eŋŋano yaakyo embetente, n'ekitundu ky'amafuta gaakyo, wamu n'omugavu gwakyo gwonna:kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.




Essuula 3

1 Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; bw'anaawangayo ku nte, oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama.
2 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo gy'awaayo, n'agittira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
3 Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda,
4 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekiserige ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako.
5 Awo abaana ba Alooni banaagookeranga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
6 Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema.
7 Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekitone kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama:
8 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekitone kye, n'agittiranga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
9 Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu gaayo, omukira ogwa ssava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo; n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
10 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako.
11 Awo kabona anaagookeranga ku kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
12 Era oba ng'awaayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama:
13 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
14 Awo anaawangayo ku yo ekitone kye, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
15 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako.
16 Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto: kye ky'okulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro olw'evvumbe eddungi: amasavu gonna ga Mukama.
17 Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.




Essuula 4

1 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti
2 Buulira abaana ba Isiraeri ng'oyogera nti Omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo:
3 kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; awo awengayo olw'ekibi kye ky'ayonoonye ente ennume envubuka eteriiko bulema eri Mukama okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
4 Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'attira ente mu maaso ga Mukama.
5 Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri eweema ey'okusisinkanirangamu:
6 awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'amansira ku musaayi emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi ly'awatukuvu.
7 Awo kabona anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwoterezangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogw'ente anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
8 N'amasavu gonna ag'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi anagiggyangako; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda,
9 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anabiggyangako,
10 nga bwe gaggibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa.
11 N'eddiba ly'ente, n'ennyama yaayo yonna, wamu n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo,
12 ente yonna anaagitwalanga ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu, ewu we lifukwa, agyokyenga n'omuliro ku nku: evvu we lifukwa eyo gy'eneeyokerwanga.
13 Era oba ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaasobyanga, ekigambo ne kikwekebwa mu maaso g'ekibiina, era nga bakoze ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era nga bazzizza omusango;
14 ekibi kye boonoonye bwe kinaamanyibwanga, awo ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ne bagireetanga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu.
15 Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama: ne battira ente mu maaso ga Mukama.
16 Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente eri eweema ey'okusisinkanirangamu:
17 awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi.
18 Awo anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'omusaayi gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
19 N'amasavu gaayo gonna anaagagiggyangako, n'agookera ku kyoto.
20 Bw'atyo bw'anaakolanga ente; nga bwe yakola ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, bw'atyo bw'anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa.
21 Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente ey'olubereberye: kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.
22 Omukulu yenna bw'ayonoonanga, n'akola nga tamanyiridde ekigambo kyonna kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango;
23 ekibi ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, ennume eteriiko bulema;
24 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo olw'ekibi.
25 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.
26 N'amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasoyiyibwanga.
27 Era oba ng'omuntu yenna ku bantu ab'omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango;
28 ekibi kye ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, awo anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, enkazi eteriiko bulema, olw'ekibi ky'ayonoonye.
29 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa.
30 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto.
31 N'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; era kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.
32 Era oba ng'aleeta omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga enkazi eteriiko bulema.
33 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa.
34 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto:
35 n'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona annabyokeranga ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.




Essuula 5

1 Era oba ng'omuntu yenna ayonoona, ng'awulira eddoboozi ery'okulayiza, oba nga mujulirwa, oba nga yalaba oba nga yamanya, bw'ataakyogerenga, kale anaabangako obubi bwe:
2 era oba ng'omuntu yenna akoma ku kintu ekitali kirongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nsiko eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nnyumba eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ebyewalula ebitali birongoofu, naye ng'akwekeddwa; n'aba atali mulongoofu, kale ng'aliko omusango:
3 era oba ng'akoma ku butali bulongoofu bw'omuntu bwonna bwonna obumufuula atali mulongoofu, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango:
4 era oba ng'omuntu yenna alayira mangu n'emimwa gye okukola obubi, oba okukola obulungi, ekintu kyonna omuntu ky'anaayogeranga amangu n'ekirayiro, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango mu kimu ku bigambo ebyo:
5 awo olulituuka bw'anaabangako omusango mu kimu ku ebyo, kale anaayatulanga ekigambo kye yayonoona:
6 awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibi ky'ayonoonye, enkazi ey'omu kisibo, omwana gw'endiga oba mbuzi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye.
7 Era oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga eri Mukama okuba ekyo ky'awaayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonoonye, bukamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; akamu ka kiweebwayo kya kibi, ak'okubiri ka kiweebwayo ekyokebwa.
8 Awo anaabuleetanga eri kabona, naye anaasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibi, n'anyoola omutwe gwako ku bulago bwako, naye n'atakasalamu:
9 awo anaamansiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi ku mabbali g'ekyoto; n'omusaayi gwonna ogusigaddewo gunaatonnyezebwanga ku ntobo y'ekyoto: kye kiweebwayo olw'ekibi.
10 Era anaawangayo ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ng'ekiragiro bwe kiri: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.
11 Naye oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza bukaamukuukulu bubiri, newakubadde amayiba amato abiri, kale anaaleetanga okuba ekitone kye olw'ekigambo ky'ayonoonye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi; tateekangako mafuta, so tateekangako mugavu: kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi.
12 Awo anaabuleetanga eri kabona, kabona n'abutoolako olubatu lwe okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kye kiweebwayo olw'ekibi.
13 Ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye mu bigambo ebyo byonna, naye anaasonyiyibwanga: n'ekitundu ekinaafikkangawo kinaabanga kya kabona, ng'ekiweebwayo eky'obutta.
14 Mukama n'agamba Musa nti
15 Omuntu yenna bw'asobyanga, n'ayonoona nga tamanyiridde mu bigambo ebitukuvu ebya Mukama; kale anaaleetanga eri Mukama ekyo ky'awaayo olw'omusango, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosaliranga ffeeza mu sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, okuba ekiweebwayo, olw'omusango:
16 era anaagattanga olw'ekigambo ky'asobezza mu kigambo ekitukuvu era anaakyongerangako ekitundu eky'ekkumi, n'akiwa kabona: ne kabona anaamutangiriranga n'endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango, naye anaasonyiyibwanga.
17 Era omuntu yenna bw'anaayonoonanga, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga; newakubadde nga yali takimanyi, naye ng'aliko omusango, era anaabangako obubi bwe.
18 Awo anaatoolanga endiga ennume eteriiko bulema ng'agiggya mu ndiga ze, nga bw'onoosalanga, okuba ekiweebwayo olw'omusango n'agireeta eri kabona: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekigambo kye yasobya nga tamanyiridde n'atakitegeera, naye anaasonyiyibwanga.
19 Kye kiweebwayo olw'omusango: mazima ng'aliko omusango mu maaso ga Mukama.




Essuula 6

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu bigambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we;
3 oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo;
4 kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula
5 oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango.
6 Era anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusaago, eri kabona:
7 ne kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu bigambo byonna bye yali akoze ebimuleetako omusango.
8 Mukama n'agamba Musa nti
9 Lagira Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nku zaakyo ku kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuliro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga.
10 Era kabona anaayambalanga ekyambalo kye ekya bafuta, ne seruwale ye eya bafuta anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga evvu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto.
11 Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala evvu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu.
12 Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe.
13 Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto lutata; teguzikiranga.
14 Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiwecrangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto.
15 Era anaakitoolangako olubatu lwe, ku butta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, ne ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonna oguli ku kiweebwayo eky'obutta, n'akyokera ku kyoto okuba evvumbe eddungi, okuba ekijjukizo kyakyo eri Mukama.
16 N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuvu; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu mwe banaakiriiranga.
17 Tekyokebwanga n'ekizimbulukusa. Nkibawadde okuba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.
18 Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.
19 Mukama n'agamba Musa nti
20 Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekitundu kyabwo akawungeezi.
21 Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalanga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
22 Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonna eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna.
23 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga.
24 Mukama n'agamba Musa nti
25 Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo.
26 Kabona akiwaayo olw'ekibi y'aaaakiryanga: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
27 Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu.
28 Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi.
29 Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kye kitukuvu ennyo.
30 So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro.




Essuula 7

1 Era lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: kye kitukuvu ennyo.
2 Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango: n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku kyoto enjuyi zonna.
3 Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda
4 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana n'ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako:
5 awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango.
6 Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu: kye kitukuvu ennyo.
7 Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: etteeka lyabyo limu: kabona annakitangirizanga y'anaabanga nakyo.
8 Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, kabona oyo y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo.
9 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byonna ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo.
10 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabulwamu amafuta oba kikalu, abaana ba Alooni bonna banaabanga nakyo, buli muntu okwenkana ne munne.
11 Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe omuntu by'anaawangayo eri Mukama
12 Oba ng'agiwaayo olw'okwebaza, kale anaaweerangayo wa mu ne ssaddaaka ey'okwebaza emigaati egitazimbulukuswa egitabuddwamu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta, n'emigaati egitabudwamu amafuta, egy'obutta obulungi obunnyikidde.
13 Awamu n'emigaati egizimbulukuswa bw'anaawangayo ky'awaayo wamu ne ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe olw'okwebaza.
14 Era ku yo anaawangayo gumu ku buli kitone okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.
15 Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya.
16 Naye oba nga ssaddaaka gy'awaayo bweyamo, oba gy'awaayo ku bubwe, enerriibwanga ku lunaku lw'aweerako saddaaka ye: n'enkya ekinaafikkangako kinaaliibwanga;
17 naye ekinaafikkanga ku nnyama eya ssaddaaka ku lunaku olw'okusatu kinaayokebwanga n'omuliro.
18 Era oba ng'ennyama yonna eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eneeiibwanga ku lunaku olw'okusatu, tekkirizibwenga, so teemubalirwenga oyo agiwaayo: eneebanga ya muzizo, n'omwoyo ogunaagiryangako gunaabangako obubi bwe.
19 Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwanga; eneeyokebwanga n'omuliro. N'ennyama eyo, buli mulongoofu anaagiryangako:
20 naye omwoyo ogunaalyanga ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
21 Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu ekitali kirongoofu, obutali bulongoofu bw'omuntu, oba ensolo eteri nnongoofu, oba eky'omuzizo kyonna ekitali kirongoofu, n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
22 Mukama n'agamba Musa nti
23 Gamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku masavu, ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi.
24 N'amasavu g'eyo efa yokka n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo ganaabanga ga mirimu mirala gyonna: naye okulya temugalyangako n'akatono,
25 Kubanga buli alya ku masavu g'ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, omwoyo ogwo ogunaagalyangako gunaazikirizibwanga mu bantu be.
26 So temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, bwe guba ogw'ennyonyi newakubadde ogw'ensolo, mu nnyumba zammwe zonna.
27 Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be.
28 Mukama n'agamba Musa nti
29 Gamba abaana ba Isiraeri nti Awaayo ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekitone kye eri Mukama ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe:
30 engalo ze yennyini zinaaleetanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; amasavu n'ekifuba anaabireetanga, ekifuba kiwuubibwewuubibwenga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
31 Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto: naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be.
32 N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitulibwa ku ssaddaaka z'ebyo bye muwaayo olw'emirembe.
33 Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, y'anaabanga n'ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe.
34 Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nziye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, n'embiwa Alooni kabona n'abaana be, okuba ebbanja emirembe gyonna eri abaana ba Isiraeri.
35 Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, ku lunaku lwe yabaleeterako okuweereza Mukama mu bwakabona;
36 Mukama gwe yalagira okubawanga abaana ba Isiraeri; ku lunaku lwe yabafukirako amafuta. Linaabanga bbanja ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
37 Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'obutta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango; n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe;
38 Mukama lye yalagira Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku kwe yalagirira abaana ba Isiraeri okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama mu ddungu lya Sinaayi.




Essuula 8

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Twala Alooni n'abaana be awamu naye, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okufukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu amigaati egitazimbulukuswa;
3 okuŋŋaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
4 Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
5 Musa n'agamba ekibiina nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola.
6 Musa n'aleeta Alooni n'abaaaa be, n'abanaaza n'amazzi.
7 N'amwambaza ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olwo.
8 N'amussaako eky'oku kifuba: ne mu ky'oku kifuba yateeka Ulimu ne Sumimu.
9 N'amutikkira enkuufiira ku mutwe; ne ku nkuufiira, mu maaso gaayo, n'assaako ekipande ekya zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagira Musa.
10 Musa n'addira amafuta ag'okufukako, n'agafuka ku weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza.
11 N'amansirako ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukuza.
12 N'afuka ku mafuta ag'okufukako ku mutwe gwa Alooni, n'amufukako amafuta, okumutukuza.
13 Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yalagira Musa.
14 N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi.
15 N'agitta: Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna n'engalo ye, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukuza, okukitangirira.
16 N'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, Musa n'agookera ku kyoto.
17 Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa.
18 N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
19 N'agitta: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
20 N'asala mu ndiga ebitundu, byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu.
21 N'anaaza ebyenda n'amagulu n'amazzi Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto: yali kiweebwayo ekyokebwa olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 N'aleeta endiga ennume ey'okubiri, endiga ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga.
23 N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo,
24 N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna.
25 N'addira amasavu, n'omukira ogwa ssava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo:
26 ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukuswa ekyali mu maaso ga Mukama n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo:
27 n'ateeka byonna mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
28 Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa: byali bya kwawula olw'evvumbe eddungi: byali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
29 Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagira Musa.
30 Musa n'atoola ku mafuta ag'okufukako, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be awamu naye; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be awamu naye.
31 Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti Mufumbire ennyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagira nga njogera nti Alooni n'abaana be banaabiryanga.
32 Era ekinafikkawo ku nnyama ne ku migaati munaakyokya n'omuliro.
33 So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu.
34 Nga bwe kikoleddwa leero, bw'atyo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira.
35 Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanvu emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
36 Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira mu mukono gwa Musa.




Essuula 9

1 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri;
2 n'agamba Alooni nti Weetwalire ennyana ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ezitaliiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama.
3 Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, ezaakamaze omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
4 n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta: kubanga leero Mukama anaabalabikira.
5 Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama.
6 Musa n'ayogera nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira.
7 Musa n'agamba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyokebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira.
8 Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe.
9 Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto,
10 naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera kn kyoto; nga Mukama bwe yalagira Musa.
11 N'ennyama n'eddiba n'ayokera n'omuliro ebweru w'olusiisira.
12 N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna.
13 Ne bamuleetera ekiweebwayo ekyokebwa, ebitundu ebitundu kinnakimu, n'omutwe: n'abyokera ku kyoto.
14 N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.
15 N'aleeta ekitone eky'abantu, n'addira embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi ekyali ku bw'abantu, n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga n'eyolubereberye.
16 N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali.
17 N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako okujjuza olubatu lwe, n'agyokera ku kyoto, era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya.
18 Era n'atta ente n'endiga ennume, ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyali ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna,
19 n'amasavu g'ente: ne ku ndiga omukira ogwa ssava, n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba:
20 amasavu ne bagateeka ku bifuba n'ayokera amasavu ku kyoto:
21 n'ebifuba n'ekisambi ekya ddyo Alooni n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; nga Musa bw'alagidde.
22 Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiI weebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.
23 Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna.
24 Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne bavuunama amaaso gaabwe.




Essuula 10

1 Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni ne baddira ebyoterezo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omuliro, n'assaako eby'okwoteza, n'awaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama, gw'atalagiranga.
2 Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ga Mukama.
3 Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti Naatukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maaso g'abantu bonna naagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira.
4 Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kojja wa Alooni, n'abagamba nti Musembere, musitule baganda bammwe okubaggya mu maaso g'awatukuvu mubatwale ebweru w'olusiisira.
5 Awo ne basembera, ne babasitula nga bambadde ebizibawo byabwe ne babatwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bw'ayogedde.
6 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era aleme okusunguwalira ekibiina kyonna: naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya Mukama kw'ayokezza.
7 So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: kubanga amafuta ga Mukama ag'okufukako gali ku mmwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.
8 Mukama n'agamba Alooni nti
9 Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, ggwe newakubadde abaana bo awamu naawe, bwe munaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: linaabanga tteeka eritajjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna
10 era mulyoke mwawulengamu ebitukuvu n'ebitali bitukuvu, n'ebirongoofu n'ebitali birongoofu;
11 era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna Mukama ge yababuulirira mu mukono gwa Musa.
12 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali abaana be abaasigalawo nti Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, mugiriire awatali kizimbulukusa ku mabbali g'ekyoto: kubanga kye kitukuvu ennyo:
13 era munaagiriira mu kifo ekirukuvu, kubanga lye bbanja lyo, era bbanja lya baana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
14 N'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa munaabiriira mu kifo ekirongoofu; ggwe ne batabani bo ne bawala bo awamu naawe: kubanga biweebwa gy'oli okuba ebbanja lyo, era ebbanja ly'abaana bo, ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.
15 Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: era binaabanga bibyo, era bya baana bo awamu naawe, okuba ebbanja emirembe gyonna; nga Mukama bwe yalagira.
16 Musa n'anoonyeza ddala embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era, laba, ng'eyokeddwa: n'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti
17 Ekibalobedde okuliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'awatukuvu kiki, kubanga kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu manso ga Mukama?
18 Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; temwandiremye kugiriira mu watukuvu, nga bwe ndagidde.
19 Awo Alooni n'agamba Musa nti Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era bimbaddeko ebigambo ebyenkanidde wano: era singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?
20 Kale Musa bwe yawulira, n'ekiba kirungi nnyo mu maaso ge.




Essuula 11

1 Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni ng'abagamba nti
2 Mugambe abaana ba Isiraeri nti Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi.
3 Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era ekizza obwenkulumu, mu nsolo, ekyo kye munalyanga.
4 Naye bino bye mutalyanga ku ebyo ebizza obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli.
5 N'omusu kubanga guzza obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli.
6 N'akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli.
7 N'embizzi kubanga eyawulamu ekinuulo era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli.
8 Ku nnyama yaazo temulyangako, so n'emirambo gyazo temugikomangako; si nnongoofu gye muli.
9 Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga, ebyo bye munaalyanga.
10 Era buli ekitalina maggwa na magamba mu nnyanja ne mu migga, ku byonna ebitambulira mu mazzi ne ku biramu byonna ebiri mu mazzi, bya muzizo gye muli,
11 era binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, n'emirambo gyabyo munaagiyitanga gya muzizo.
12 Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli.
13 Na bino bye munaayitanga eby'omuzizo ku nnyonyi; tebiriibwanga, bya muzizo: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;
14 ne kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo;
15 buli namuŋŋoona n'engeri yaabo;
16 ne maaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;
17 n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkufufu;
18 n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega;
19 ne kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, n'ekkookootezi, n'ekinyira.
20 Ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana bya muzizo gye muli.
21 Naye bino bye muyinza okulya ku byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana, ebirina amagulu waggulu ku bigere byabyo, okugabuusa ku nsi;
22 bino bye muyinza okulya ku ebyo enzige n'engeri yaayo, n'enseenene n'engeri yaayo, n'akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo.
23 Naye ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebirina amagulu ana, bya muzizo gye muli.
24 Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaakomanga ku mulambo gwabyo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi
25 era buli asitula ku mulambo gwabyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
26 Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga terina kigere kyaseemu, so tezza bwenkulumu, si noongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu.
27 Era buli etambuza ebibatu byayo ku nsolo zonna ezitambuza amagulu ana, ezo si nnongoofu gye muli: buli anaakomanga ku mulambo gwazo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 Era oyo asitula omulambo gwazo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: ezo si nnongoofu gye muli.
29 Na bino bye bitali birongoofu gye muli ku byewalula ebyewalula ku nsi; eggunju, n'emmese, n'ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo,
30 ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu.
31 Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebyewalula: buli anaabikomangako, nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
32 Era ekintu kyonna ekinaagwibwangako kyonna kyonna ku byo, nga bifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo, oba kintu kyonna kyonna, ekikoza omulimu gwonna, kikigwaniranga okuteekebwa mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.
33 Na buli kintu eky'ebbumba, ekinaagwibwangamu kyonna kyonna ku byo, ekibanga mu kyo kyonna kinaabanga ekitali kirongoofu, nakyo munaakyasanga.
34 Eky'okulya kyonna ekirimu ekiriika, ekiyinza okufukibwako amazzi, kinaabanga ekitali kirongoofu: na buli kya kunywa ekinaaywebwanga mu buli kintu (ekiri bwe kityo) kinaabanga ekitali kirongoofu.
35 Era buli kintu ekinaagwibwangako ekitundu kyonna eky'omulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amasiga g'entamu, kinaamenyebwamenyebwanga: si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli.
36 Naye oluzzi oba obunnya omuli amazzi agakuŋŋaanyizibwa kinaabanga ekirongoofu: naye ekinaakomanga ku mulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu.
37 Era oba nga ku mulambo gwabyo kugwa ku nsigo yonna ey'okusiga egenda okusigibwa, yo eneebanga nnongoofu.
38 Naye oba ng'amazzi gafukibwa ku nsigo, ne ku mulambo gwabyo ne kugwa okwo, nga si nnongoofu gye muli.
39 Era oba ng'ensolo yonna, gye muyinza okulyako, efa; akoma ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
40 N'oyo anaalyanga ku mulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era n'oyo anaasitulanga omulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41 Na buli ekyewalula ekyewalula ku nsi kya muzizo; tekiriibwanga.
42 Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo.
43 Temwegwagwawazanga na kyewalula kyonna, so temwefuulanga nabyo abatali balongoofu, mubeere n'empitambi bwe mutyo.
44 Kubanga nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi.
45 Kubanga nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu.
46 Eryo lye tteeka ery'ensolo n'ery'ennyonyi n'erya buli kitonde ekiramu ekitambula mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalula ku nsi:
47 okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ekiramu ekiriika n'ekiramu ekitaliika.




Essuula 12

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu.
3 Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gunaakomolwanga.
4 Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe; takomanga ku kintu ekitukuvu, so tayingiranga mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa.
5 Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe.
6 Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga; ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona:
7 kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala.
8 Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.




Essuula 13

1 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Omuntu bw'anaabanga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe erungudde ku ddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwadde y'ebigenge ku ddiba ly'omubiri gwe, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona:
3 kale kabona anaakeberanga endwadde eri ku ddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, n'ekifaananyi ky'endwadde nga kifulumye wansi w'eddiba ly'omubiri gwe, nga ye ndwadde y'ebigenge: awo kabona anaamukeberanga, n'amwatulira nga si mulongoofu.
4 Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku ddiba ly'omubiri gwe, n'ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga tebufuuse bweru, kale kabona anaasibiranga ow'endwadde ennaku musanvu:
5 awo kabona alimukebera ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo; n'endwadde nga tebunye ku ddiba, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu endala:
6 awo kabona alimukebera nate ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, endwadde bw'eba nga tekyalabika nnyo, n'endwadde nga tebunye ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: nga kye kikuta: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu
7 Naye ekikuta bwe kinaabunanga ku ddiba, ng'amaze okweraga eri kabona olw'okulongoosebwa kwe, aneeraganga nate eri kabona:
8 kale kabona anaakeberanga, era, laba, ekikuta bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga bye bigenge.
9 Endwadde y'ebigenge bw'ebanga ekutte omuntu, awo anaaleetebwanga eri kabona;
10 kabona n'akebera, kale, laba, ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku ddiba, era nga kifudde obwoya okuba obweru, era ennyama enjere ennamu ng'eri awali ekizimba,
11 nga bye bigenge eby'edda ku ddiba ly'omubiri gwe, era kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: tamusibanga; kubanga oyo si mulongoofu.
12 Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku ddiba, ebigenge ne bibuna eddiba lyonna ery'omulwadde okuva ku mutwe okutuusa ku bigere, okulaba kwonna kabona kw'anaalabanga;
13 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, ebigenge bwe binaabanga bibunye omubiri gwe gwonna, anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: byonna bifuuse okuba ebyeru: oyo mulongoofu.
14 Naye ennyama enjere bw'eneerabikanga ku ye, anaabanga atali mulongoofu.
15 Awo kabona anaakeberanga ennyama enjere, n'amwatulira nga si mulongoofu: ennyama enjere si nnongoofu: bye bigenge.
16 Oba ennyama enjere bw'ekyukanga nate n'efuuka okuba enjeru, kale anajjanga eri kabona,
17 kabona n'amukebera: era, laba, endwadde bw'ebanga efuuse okuba enjeru, kale kabona anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: oyo mulongoofu.
18 Era omubiri bwe gunaabangako ejjute ku ddiba lyagwo, nalyo nga lyawona,
19 n'awaali ejjute ne wabaawo ekizimba ekyeru, oba mbalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona;
20 awo kabona anaakeberanga, era, laba, ekifaananyi kyakyo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga bufuuse okuba obweru, kale kabona anamwatuliranga nga si mulongoofu: ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute.
21 Naye kabona bw'anaakikeberanga, era, laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekifulumye wansi w'eddiba, naye nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu:
22 awo bwe kinaabunanga ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: eyo ye ndwadde:
23 Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, era nga tebunye, eyo nga ye enkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
24 Oba omubiri bwe gunaabangako okwokebwa n'omuliro ku ddiba lyagwo, ennyama ennamu eyokeddwa n'efuuka okuba embalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, oba njeru;
25 awo kabona anaagikeberanga: era, laba, obwoya obw'omu mbalabe erungudde bwe bunaabanga bufuuse okuba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye wansi w'eddiba; bino bye bigenge, byafuluma awaayokebwa: kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.
26 Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tefulumye wansi w'eddiba, naye nga terabika bulungi; kale kabona anaamusibiranga ennaku musanvu:
27 kale kabona alimukebera ku lunaku olw'omusaavu: bw'eneebunanga ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.
28 Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku ddiba, era nga terabika bulungi; nga kye kizimba eky'okwokebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.
29 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kirevu,
30 kale kabona anaakeberanga endwadde: awo, laba, ekifaananyi kyayo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, era nga mulimu enviiri eza kyenvu ez'entalaaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: ekyo kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu.
31 Era kabona bw'anaakeberanga endwadde ey'ekikakampa, era, laba, ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamusibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu:
32 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwadde: era laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye, so nga tewali nviiri za kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumye wansi w'eddiba,
33 kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era kabona anaasibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu endala:
34 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera ekikakampa: kale, laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye ku ddiba, n'ekifaananyi kyakyo nga tekifulumye wansi w'eddiba; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu.
35 Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku ddiba ng'amaze okulongoosebwa;
36 awo kabona anaamukeberanga: era, laba, ekikakampa bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, kabona tanoonyanga nviiri za kyenvu; oyo si mulongoofu.
37 Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo mulongoofu: kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
38 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'embalabe ezirungudde ku ddiba ly'omubiri gwabwe, ze mbalabe ezirungudde enjeru;
39 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, embalabe ezirungudde eziri ku ddiba ly'omubiri gwabwe bwe zinaabanga enjeruyeru; nga bwe butulututtu, nga bufulumye mu ddiba; oyo mulongoofu.
40 Era omusajja bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; (naye) mulongoofu.
41 Era bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'omu kawumpo, nga wa kiwalaata kya mu kawumpo; naye nga mulongoofu.
42 Naye endwadde enjeruyeru era emmyufumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ak'ekiwalaata; ebyo bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata.
43 Awo kabona anaamukeberanga: kale, laba, ekizimba eky'endwadde bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku ddiba ly'omubiri;
44 oyo nga wa bigenge, si mulongoofu: kabona talemanga kumwatulira nga si mulongoofu; endwadde ng'eri ku mutwe gwe.
45 Era omugenge alina endwadde, engoye ze zinaabanga enjulifuyulifu, n'enviiri ez'oku mutwe gwe tazisibangako, era anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayogereranga waggulu nti Siri mulongoofu, siri mulongoofu.
46 Ennaku zonna endwadde ng'ekyali ku ye anaabanga atali mulongoofu; si mulongoofu: anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.
47 Era n'ekyambalo ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kyambalo kya byoya bya ndiga oba kyambalo kya bafuta;
48 bwe bibanga ku wuuzi ez'obusimba oba ku z'obukiika; oba kya bafuta oba kya byoya; bwe bibanga ku ddiba oba ku kintu ekikolebwa n'eddiba;
49 endwadde bw'eneebanga eya nnawandagala oba emmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ndwadde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona:
50 awo kabona anaakeberanga endwadde, n'asibira ekiriko endwadde ennaku musanvu:
51 kale alikebera endwadde ku lunaku olw'omusanvu: endwadde bw'eneebanga ebunye ku kyambalo, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku ddiba, omulimu gwonna eddiba gwe likola; endwadde nga bigenge ebirya; nga si kirongoofu.
52 Awo anaayokyanga ekyambalo, oba wuuzi za busimba, oba za bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, omuli endwadde: kubanga ebyo bye bigenge ebirya; kinaayokebwanga mu muliro.
53 Era kabona bw'anaakeberanga, kale, laba, endwadde nga tebunye mu kyambalo, newakubadde mu wuuzi ez'obusimba, newakubadde mu z'obukiika, newakubadde mu kintu kyonna eky'eddiba;
54 kale kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, n'akisibira ennaku musanvu endala:
55 awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu.
56 Era kabona bw'anaakeberanga, era, laba, endwadde nga terabika bulungi ng'emaze okwozebwa, kale anaagiyuzanga okugiggya mu kyambalo oba mu ddiba, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika:
57 era bw'eneebanga ekyalabika mu kyambalo, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, ng'efuutuuka: onooyokyanga n'omuliro ekyo ekirimu endwadde.
58 N'ekyambalo oba wuuzi ez'obusimba, oba ez'obukiika, oba kintu kyonna eky'eddiba nga bwe kinaabanga, ky'onooyozanga, endwadde bw'eneebanga ebivuddemu, kale ne kiryoka kyozebwanga omulundi ogw'okubiri, ne kiba kirongoofu.
59 Eryo lye tteeka ery'endwadde y'ebigenge mu kyambalo eky'ebyoya oba mu kya bafuta, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obuliika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, okukyatuliranga nga kirongoofu, oba okukyatuliranga nga si kirongoofu.




Essuula 14

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lino lye linaabanga etteeka ly'omugenge ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe: anaaleetebwanga eri kabona:
3 awo kabona anaafulumanga mu lusiisira; kabona n'akebera, kale, laba, endwadde y'ebigenge bw'eneebanga ewonye ku mugenge;
4 kale kabona anaalagiranga okutwalira oyo agenda okulongoosebwa ennyonyi bbiri ennongoofu ennamu, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu:
5 awo kabona anaalagiranga okuttako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta:
6 n'ennyonyi ennamu anaagiddiranga n'omuti omwerezi n'olugoye olumyufu n'ezobu, n'annyika ebyo n'ennyonyi ennamu mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa ku mazzi agakulukuta:
7 awo anaamansiranga ku oyo agenda okulongoosebwako ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'ateera ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga.
8 N'oyo agenda okulongoosebwa anaayozanga engoye ze, n'amwa enviiri ze zonna, n'anaaba mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu: oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye anaamalanga ennaku musanvu ng'ali bweru w'eweema ye.
9 Awo olunaatuukanga ku lunaku olw'omusanvu, anaamwanga enviiri ze zonna okuziggya ku mutwe gwe n'ebirevu bye n'ebisige bye, enviiri ze zonna anaazimwanga: era anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, kale anaabanga mulongoofu.
10 Awo ku lunaku olw'omunaana anaddiranga abaana b'endiga abalume babiri abataliiko bulema, n'omwana gw'endiga omuluusi ogumu ogwakamaze omwaka ogumu ogutaliiko bulema, n'ebitundu bisatu eby'ekkumi eby'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, obutabuddwamu amafuta, n'ekibya kimu eky'amafuta.
11 Ne kabona amulongoosa anaateekanga omuntu agenda okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:
12 awo kabona anaddirangako gumu ku baana b'endiga omulume, n'aguwaayo okuba ekiweebwayo olw'omusango n’ekibya eky’amafuta, n’abiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama.
13 anattirwanga omwana gw'endiga omulume mu kifo mwe battira ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa, mu kifo ekiri mu kifo ekitukuvu: kubanga ekiweebwayo olw'ekibi nga bwe kiri ekya kabona, ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: ekyo kitukuvu nnyo;
14 kale kabona anaddiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'okukigere kye ekya ddyo:
15 kale kabona anaddiranga ku kibya ky'amafuta, n'agafuka mu kibatu eky'omukono gwe ye ogwa kkono:
16 awo kabona anannyikanga olunwe lwe olwa ddyo mu mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono, n'amansira ku mafuta n'olunwe lwe emirundi musanvu mu maaso ga Mukama:
17 ne ku mafuta agasigalawo agali mu mukono gwe kabona anaagateekanga ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'oku mukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango:
18 n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa: era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama.
19 Era kabona anaawangayo ekiweebwayo olw'ekibi, n'atangirira oyo agenda okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe: oluvannyuma n'alyoka atta ekiweebwayo ekyokebwa:
20 era kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta ku kyoto: era kabona anaamutangiriranga, kale anaabanga mulongoofu.
21 Era bw'anaabanga omwavu n'atayinza kufuna ebyenkana awo, kale anaddiranga omwana gw'endiga ogumu omulume okuba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu kimu eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta, n'ekibya ky'amafuta;
22 ne bakaamukuukulu babiri oba amayiba amato abiri, nga bw'anaayinzanga okufuna; erimu linaabanga ekiweebwayo olw'ekibi n'eddala ekiweebwayo ekyokebwa.
23 Ne ku lunaku olw'omunaana anaagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso ga Mukama.
24 Awo kabona anaddiranga omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, kabona n'abiwuuba mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa:
25 n'atta omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'aguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo:
26 awo kabona anaafukanga ku mafuta mu kibatu ky'omukono gwe ye ogwa kkono:
27 kabona n'amansira n'olunwe lwe olwa ddyo ku mafuta agali mu mukono gwe ogwa kkono emirundi musanvu mu maaso ga Mukama:
28 kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe n'agateeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okw'oyo agenda okulongoosebwa, ne ku kinkumu eky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kisajja eky'oku kigere kye ekya ddyo, mu kifo eky'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango:
29 n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona anaagateekanga ku mutwe gw'oyo agenda okulongoosebwa, akumutangirira mu maaso ga Mukama.
30 Era anaawangayo ku bakaamukuukulu omu, oba ku mayiba amato limu, nga bw'anaayinzanga okufuna;
31 nga bw'anaayinzanga okufuna, erimu lya kiweebwayo otw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obutta: era kabana anaatangiriranga oyo agenda okulongoosebwa mu maaso ga Mukama.
32 Eryo lye tteeka ly'oyo aliko endwadde y'ebigenge, atayinza kufuna bya kulongoosebwa kwe.
33 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
34 Bwe muliba nga mutuuse mu nsi ya Kanani, gye mbawa okuba obutaka, bwe nnaateekanga endwadde y'ebigenge mu nnyumba ey'omu nsi ey'obutaka bwammwe;
35 awo nannyini nnyumba anajjanga n'abuulira kabona nti Ennyumba efaanana gye ndi okubaamu endwadde:
36 kale kabona anaalagiranga okumalamu ebintu mu nnyumba, kabona nga tannaba kuyingira kulaba ndwadde, byonna ebiri mu nnyumba bireme okufuuka ebitali birongoofu: oluvannyuma kabona n'alyoka ayingira okulaba ennyumba:
37 kale anaakeberanga endwadde, era, laba, endwadde bw'eneebanga ku bisenge by'ennyumba nga byewummuddewummudde, enguudo oba nga za nnawaadagala oba mmyufumyufu, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye munda w'ekisenge;
38 awo kabona anaafulumanga mu nnyumba n'agenda ku mulyango gw'ennyumba, n'aggalira ennyumba ennaku musanvu:
39 kale kabona anaakomangawo ku lunaku olw'omusanvu, n'akebera: era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku bisenge by'ennyumba;
40 kale kabona anaalagiranga okuggyamu amayinja agaliko endwadde, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ebweru w'ekibuga:
41 era anaalagiranga ennyumba okugikolokota munda enjuyi zonna, era banaafukanga ennoni gye bakolokota ebweru w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu;
42 ne baddira amayinja amalala, ne bagateeka mu kifo ky'amayinja ago; n'addira ennoni endala, n'agisiiga ku nnyumba.
43 Awo endwadde bw'eneekomangawo n'efuutuuka ku nnyumba, ng'amaze okuggyamu amayinja, era ng'amaze okukolokota ennyumba, era ng'emaze okusiigibwako;
44 kale kabona anaayingiranga n'akebera, era, laba, endwadde bw'eneebanga ebunye ku nnyumba, ebyo nga bye bigenge ebirya mu nnyumba: nga si nnongoofu.
45 Awo anaayabyanga ennyumba, amayinja gaayo, n'emiti gyayo, n'ennoni yonna ey'ennyumba; era anaabisitulanga n'abiggya mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu.
46 Era nate buli anaayingiranga mu nnyumba ekiseera kyonna ng'ekyali nzigale anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
47 Era buli anaasulanga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze; n'oyo anaaliiranga mu nnyumba eyo anaayozanga engoye ze.
48 Era kabona bw'anaayingiranga, n'akebera, era, laba, endwadde nga tebunye ku nnyumba, ennyumba ng'emaze okusiigibwako; kale kabona anaayatuliranga ennyumba nga nnongoofu, kubanga endwadde ng'ewonye.
49 Awo anaddiranga olw'okulongoosa ennyumba ennyoayi bbiri, n'omuti omwerezi, n'olugoye olumyufu, n'ezobu:
50 n'attako emu ku nnyonyi mu kintu ky'ebbumba ku mazzi agakulukuta:
51 n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu n'ennyonyi ennamu, n'abinnyika mu musaayi gw'ennyonyi ettiddwa, ne mu mazzi ago agakulukuta, n'amansira ku nnyumba emirundi musanvu:
52 era anaalongoosanga ennyumba n'omusaayi gw'ennyonyi, n'amazzi ago agakulukuta, n'ennyonyi ennamu, n'omuti omwerezi, n'ezobu, n'olugoye olumyufu:
53 naye anaateeranga ennyonyi ennamu mu ttale mu bbanga okuva mu kibuga: bw'atyo bw'anaatangiriranga ennyumba: awo eneebanga nnongoofu.
54 Eryo lye tteeka ly'engeri yonna ey'endwadde y'ebigenge, era ery'ekikakampa;
55 era ery'ebigenge eby'okukyambalo, era ery'ennyumba;
56 era ery'ekizimba, era ery'ekikuta, era ery'embalabe erungudde:
57 okuyigirizanga bwe kinaabanga ekitali kirongoofu, era bwe kinaabanga ekirongoofu: eryo lye tteeka ly'ebigenge.




Essuula 15

1 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Mugambe abaana ba Isiraeri mubabuulire nti Omusajja yenna bw’abaabanga n’enziku eva mu mubiri gwe; nga simulongoofu olw'enziku ye.
3 Era buno bwe bunaabanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atonnya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno bwe butali bulongoofu bwe.
4 Buli kitanda omuziku ky'anaasulangako kinaabanga kitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga kitali kirongoofu.
5 Era buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
6 N'oyo anaatuulanga ku kintu kyonna omuziku ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
7 N'oyo anaakomanga ku mubiri gw'omuziku anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8 Era omuziku bw'anaawandanga amalusu ku mulongoofu; kale anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 N'amatandiiko gonna omuziku g'aneebagalirangako ganaabanga agatali malongoofu.
10 Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ekibadde wansi we anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'oyo anaasitulanga ebyo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
11 Na buli omuziku gw'anaakomangako, nga tannanaaba ngalo mu mazzi, anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
12 N'ekintu ky'ebbumba omuziku ky'anaakomangako kinaayasibwanga: na buli kintu ky'omuti kinaayozebwanga mu mazzi.
13 Era omuziku bw'anaalongoosebwangako enziku ye, kale aneebaliranga ennaku musanvu olw'okulongoosebwa kwe, n'ayoza engoye ze; n'anaaba omubiri gwe mu mazzi agakulukuta, n'aba mulongoofu.
14 Era ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga ba kamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, najja mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona:
15 kale kabona anaagawangayo, erimu lya kiweebwayo olw'ekibi, n'eddala lya kiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'enziku ye.
16 Era omusajja yenna bw'anaavangamu amaanyi, kale anaanaabanga omubiri gwe gwonna mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
17 Na buli kyambalo, na buli ddiba, omuli amaanyi, kinaayozebwanga n'amazzi, ne kiba ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi.
18 Era n'omukazi omusajja gw'anaasulanga naye n'amaanyi, bombi banaanaabanga mu mazzi, ne baba abatali balongoofu okutuusa akawungeezi.
19 Era omukazi bw'anaabanga n'enziku, n'enziku ye mu mubiri gwe nga ya musaayi, anaamalanga ennaku musanvu ez'okweyawula kwe: na buli anaamukomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
20 Na buli kintu ky'anaasulangako mu biro by'okweyawula kwe kinaabanga ekitali kirongoofu: era buli kintu ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
21 Na buli anaakomanga ku kitanda kye anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22 Na buli anaakomanga ku kintu kyonna ky'atuddeko anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
23 Era bwe kinaabanga ku kitanda, oba ku kintu kyonna ky'atuddeko, bw'anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
24 Era omusajja yenna bw'anaasulanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne buba ku ye, kale anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; na buli kitanda ky'anaasulangako kinaabanga ekitali kirongoofu.
25 Era omukazi bw'anaavangamu omusaayi gwe ennaku nnyingi so nga si bye biro eby'okweyawula kwe, oba bw'anaavangamu omusaayi okusukkirira ebiro eby'okweyawula kwe; ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe anaabanga nga bw'aba mu nnaku ez'okweyawula kwe: oyo nga si mulongoofu.
26 Buli kitanda ky'anaasulangako ennaku zonna z'anaaviirangamu omusaayi kinaabanga gy'ali ng'ekitanda eky'okweyawula kwe: era buli ky'anaatuulangako kinaabanga ekitali kirongoofu, ng'obutali bulongoofu obw'okweyawula kwe.
27 Era buli anaakomanga ku ebyo anaabanga atali mulongoofu, n'ayoza engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
28 Naye bw'anaalongoosebwanga olw'omusaayi okumuvaamu, kale aneebaliranga ennaku musanvu, oluvannyuma n'alyoka aba omulongoofu.
29 Awo ku lunaku olw'omunaana aneetwaliranga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri, n'agatwalira kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
30 Awo kabona anaawangayo erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okuba ekiweebwayo ekyokebwa; era kabona anaamutangiriranga mu maaso ga Mukama olw'okuvaamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe.
31 Bwe mutyo bwe munaayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleme okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu bo.
32 Eryo lye tteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amaanyi, n'okufuula ne gamufuula atali mulongoofu;
33 era ery'omukazi alwadde olw'okweyawula kwe, era ery'omuziku, omusaja, era ery'omukazi, era ery'oyo asula n'omukazi atali mulongoofu.




Essuula 16

1 Mukama n'ayogera ne Musa, batabani ba Alooni bombi nga bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa;
2 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja mu watukuvu munda w'eggigi buli biro, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku sanduuko; aleme okufa: kubanga naalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.
3 Bino Alooni by'anajjanga nabyo mu watukuvu: ng'alina ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
4 Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkufbira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala.
5 Awo anaatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
6 Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye.
7 Awo anaatwalanga embuzi zombi, n'aziteeka mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
8 Awo Alooni anaazikubiranga obululu embuzi zombi; akalulu akamu ka Mukama, n'akalulu ak'okubiri ka Azazeri.
9 Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
10 Naye embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneetekebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, okumutangirira, okugisindiikiriza eri Azazeri mu ddungu.
11 Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo o1w'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye, n'atta ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe:
12 awo anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, n'abuleeta munda w'eggigi:
13 awo anaateekaaga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, aleme okufa:
14 awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvanjuba; era anaamansiranga ku musaayi mu maaso g'entebe ey'okusaasira n'engalo ye emirundi musanvu.
15 Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi, n'akola omusaayi gwayo nga bw'akoze omusaayi gw'ente ennume, n'agumansira ku ntebe ey'okusaasira, ne mu maaso g'entebe ey'okusaasira:
16 era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna: era bw'atyo bw'anaakolanga eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
17 So temubanga muntu mu weema ey'okusisinkanirangamu, bw'anaayingiranga okutangirira mu watukuvu, okutuusa lw'anaafulumanga, ng'amaze okwetangirira ye n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri.
18 Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira: n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna.
19 N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.
20 Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu:
21 awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu, n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese:
22 era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu: kale embuzi anaagiteeranga mu ddungu.
23 Awo Alooni anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo:
24 awo anaanaabiranga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu.
25 N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26 N'oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
27 N'ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwayo oguyingizibwa okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira; ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo.
28 N'oyo abyokya anaayozanga ebyambalo bye n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
29 Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe:
30 kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga Mukama.
31 Olwo ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako gye muli, era munaabonerezanga emmeeme zammwe: lye tteeka ery'emirembe gyonna.
32 Era kabona, anaafukibwangako amafuta era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga era anaayambalanga ebyambalo ebya bafuta, ebyambalo ebitukuvu:
33 era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina.
34 Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka. N'akola nga Mukama bwe yalagira Musa.




Essuula 17

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti
3 Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira,
4 n'atagireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be:
5 abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.
6 Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
7 So tebakyawangayo ssaddaaka zaabwe eri embuzi ennume, ze bagoberera okwenda nazo. Eryo linaabanga tteeka gye bali ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
8 Era onoobagamba nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka,
9 n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
10 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; nnaateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be.
11 Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu.
12 Kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi:
13 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu.
14 Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.
15 Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulongoofu.
16 Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukizivu bwe.




Essuula 18

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Nze Mukama Katonda wammwe.
3 Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatuulangamu, temukolanga bwe mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ya Kanani, gye ndibatuusaamu, temukolanga bwe mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe.
4 Emisango gyange gye muba mukolanga, n'amateeka gange ge muba mwekuumanga, okubitambulirangamu: nze Mukama Katonda wammwe.
5 Kale mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange; ebyo omuntu bw'anaabikolanga, anaabanga mulamu olw'ebyo: nze Mukama.
6 Tewabanga ku mmwe anaasembereranga ow'obuko yenna, okubikkula ku nsonyi ze: nze Mukama.
7 Ensonyi za kitaawo, ze nsonyi za nnyoko, tozibikkulangako: ye nnyoko; tobikkulanga ku nsonyi ze.
8 Tobikkulanga ku nsonyi za musika wa nnyoko: ze nsonyi za kitaawo.
9 Ensonyi za mwannyoko azaalibwa kitaawo, azaalibwa nnyoko, oba yazaalibwa waka, yazaalibwa walala, ensonyi zaabwe tozibikkulangako.
10 Ensonyi za muwala wa mutabani wo, oba muwala wa muwala wo, ensonyi zaabwe tozibikkulangako: kubanga ensonyi zaabwe ze zizo ggwe.
11 Ensonyi za muwala wa mukazi wa kitaawo, kitaawo gw'azaala, oyo mwannyoko, tobikkulanga ku nsonyi ze.
12 Tobikkulanga ku nsonyi za ssenga wo: oyo wa buko ne kitaawo.
13 Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko: oyo wa buko ne nnyoko.
14 Tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa kitaawo, tosembereranga mukazi we: oyo ssenga wo.
15 Tobikkulanga ku nsonyi za muka mwana wo: oyo muka mutabani wo; tobikkulanga ku nsonyi ze.
16 Tobikkulanga ku nsonyi za muka muganda wo: ze nsonyi za muganda wo.
17 Tobikkulanga ku nsonyi z'omukazi n'eza muwala we; totwalanga muwala wa mutabani we, newakubadde muwala wa muwala we, okubikkula ku nsonyi ze; abo ba buko: ekyo kibi.
18 So totwalanga mukazi wamu ne muganda we, okuba muggya we, okubikkula ku nsonyi ze, wamu ne munne, ye ng'akyali mulamu.
19 So tosembereranga mukazi okubikkula ku nsonyi ze, ng'akyayawulibwa olw'obutali bulongoofu bwe.
20 So tosulanga na muka muliraanwa wo, okweyonoona naye.
21 So towangayo ku zzadde lyo okubayisa mu muliro eri Moleki, so tovumisanga linnya lya Katonda wo: nze Mukama.
22 Tosulanga na basajja, nga bwe basula n'abakazi: ekyo kya muzizo.
23 So tosulanga na nsolo yonna, okweyonoona nayo: so n'omukazi yenna tayimiriranga mu maaso g'ensolo, okugalamira nayo: okwo kwe kutabula.
24 Temweyonoonanga n'ebyo byonna byonna: kubanga olw'ebyo byonna amawanga goonoonese ge ngoba mu maaso gammwe:
25 n’ensi eyonoonese: kyenva ngiwalanako obutali butuukirivu bwayo, n'ensi esesemera ddala abagituulamu.
26 Kale mmwe mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange, so temukolangako ku by'emizzo ebyo byonna byonna; newakubadde enzaalwa, newakubadde omugenyi atuula mu mmwe:
27 (kubanga eby'emizizo ebyo byonna abasajja, ab'omu nsi baabikolanga, abaabasooka, n’ensi eyonoonese;)
28 ensi ereme okubasesemera ddala nammwe, bwe mugyonoonanga, nga bwe yasesemera ddala eggwanga eryabasooka.
29 Kubanga omuntu yenna bw'anaakolanga kyonna ku by'emizizo ebyo, abantu abo abaabikola banasibwanga okubaggya mu bantu baabwe.
30 Kyemunaavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga yonna ku mpisa ezo ez'emizizo, ezaakolebwanga okusooka mmwe, n'obuteeyonoonanga n'ezo: nze Mukama Katonda wammwe.




Essuula 19

1 Mukama n’ayogera ne Musa nti
2 Yogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.
3 Mutyenga buli muntu nnyina ne kitaawe, era mwekuumenga ssabbiiti zange: nze Mukama Katonda wammwe.
4 Temukyukiranga bifaanaayi, so temwekoleranga bakatonda basaanuuse: nze Mukama Katonda wammwe.
5 Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, munaagiwangayo era mukkirizibwe.
6 Ku lunaku olwo lwe munaagiweeraagako kwe munaagiriiranga, ne ku lw'enkya: era ekintu kyonna bwe kinaafikkangako okutuusa ku lunaku olw'okusatu, kinaayokebwanga omuliro.
7 Era bwe kinaaliibwangako n'akatono ku lunaku olw'okusatu, kiba kya muzizo; tekikkirizibwenga:
8 naye buli anaakiryangako anaabangako obutali butuukirivu bwe, kubanga avumisizza ekintu ekitukuvu ekya Mukama: era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
9 Era bwe munaakungulanga ebikungulwa by'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tokuŋŋaaayanga ebyerebwa ku bikungulwa byo.
10 So toyeranga mu lusuku lwo olw'emizabbibu, so tokuŋŋaanyanga bibala ebikunkumuka mu lusuku lwo olw'emizabbibu; onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.
11 Temubbanga; so temulyazaamaanyanga, so temulimbagananga mwekka na mwekka.
12 temulayiriranga bwereere linnya lyange, n'okuvumisa n'ovumisa erinnya lya Katonda wo: nze Mukama.
13 Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga: empeera y'omusenze akolera empeera tosulanga ng'oli nayo okukeesa obudde.
14 Tokolimiranga muggavu wa matu, so tomuteekerangawo nkonge omuzibe w'amaaso, naye onootyanga Katonda wo: nze Mukama.
15 Temusalanga misango egitali gya nsonga: tolowoozanga maaso ga mwavu, so tossangamu kitiibwa maaso ga wa maanyi: naye onoosaliranga muliraanwa wo emisango gya nsonga.
16 Tobanga wa nnimi ng'otambulatambula mu bantu bo; so toyimiriranga kulumba musaayi gwa muliraanwa wo: nze Mukama.
17 Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo: tolemanga kunenya muliraanwa wo, oleme okubaako ekibi ku lulwe.
18 Towalananga ggwanga, so tobanga na nge yonna eri abaana b'abantu bo, naye onooyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka: nze Mukama.
19 Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisanga nsolo zo ngeri ezitafaanana bumu: tosiganga mu nnimiro yo nsigo ey'engeri ebbiri: ekyambalo tekikubikkangako eky'engeri ebbiri ez'olugoye ezitabuddwa awamu.
20 Era buli anaasulanga n'omukazi, naye nga muzaana, ng'aliko bba amwogereza, era nga tanunulwanga n'akatono, so nga taweebwanga ddembe; banaabonerezebwanga, tebattibwanga, kubanga teyali wa busa.
21 Awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'omusango.
22 Awo kabona anaamutangirizanga endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maaso ga Mukama olw'ekibi kye yakola; kale anaasonyiyibwanga ekibi kye yakola.
23 Era bwe mubanga muyingidde mu nsi eyo, era nga mumaze okusimba emiti egy'engeri zonna egiriibwako, ne mulyoka muyita ebibala byagyo obutakomolwa bwagyo: emyaka esatu binaabanga gye muli ng'ebitali bikomole tebiriibwangako.
24 Naye mu mwaka ogw'okuna ebibala byayo byonna biriba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama.
25 Ne mu mwaka ogw'okutaano mulirya ku bibala byayo, ebawe ekyengera kyayo: nze Mukama Katonda wammwe.
26 Temulyanga kintu kyonna wamu n'omusaayi, so temuwanga ddogo, so temulagulanga.
27 Temumwanga nkiiya, so toyonoonanga nsonda za kirevu kyo.
28 Temwesalanga ku mubiri gwammwe olw'abafu, so temwesalangako bya buyonjo byonna: nze Mukama.
29 Tovumisanga muwala wo, okumufuula omwenzi; ensi creme okugoberera obwenzi, ensi n'ejjula ekibi.
30 Mwekuumenga ssabbiiti zange, era mutyenga awatukuvu wange: nze Mukama.
31 Temukyukiranga abo abasamira emizimu, newakubadde abalogo; temubanoonyanga, okwonooneka olw'abo: nze Mukama Katonda wammwe.
32 Oseguliranga alina envi, era ossangamu ekitiibwa amaaso g'omukadde, era otyanga Katonda wo: nze Mukama.
33 Era omugenyi bw'anaatuulanga naawe mu nsi yammwe, temumukolanga bubi.
34 Omugenyi anaatuulanga nammwe anaabanga gye muli ng'enzaalwa mummwe, era omwagalanga nga bwe weeyagala wekka, kubanga mwali bagenyi mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.
35 Temukolanga ebitali bya butuukirivu okusala emisango, okupima emikono, okupimira mu minzaani, newakubadde okugera.
36 Munaabanga ne minzaani ntuufu, n'ebigera bituufu, efa ntuufu, ne ini ntuufu: nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri.
37 Era mukwatenga amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: nze Mukama.




Essuula 20

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Era nate gamba abaana ba Isiraeri nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abatuula mu Isiraeri, anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki: talemanga kuttibwa: abantu ab'omu nsi banaamukubanga amayinja.
3 Era nange naamwolekezanga amaaso gange omuntu oyo, ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be; kubanga awaddeyo ku zzadde lye eri Moleki, okwonoona awatukuvu wange, n'okuvumisa erinnya lyange ettukuvu.
4 Era abantu ab'omu nsi bwe banaakisanga n'akatono amaaso gaabwe omuntu oyo, bw'anaawangayo ku zzadde lye eri Moleki, ne batamutta:
5 awo naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne baganda be, ne mmuzikiriza ye n'abo bonna abamugoberera okwenda, okwenda ne Moleki, okubaggya mu bantu baabwe.
6 N'omuntu anaakyukiranga abo abasamira emizimu, n'abalogo, okubagoberera okwenda, naamwolekezanga obwenyi bwange omuntu oyo ne mmuzikiriza okumuggya mu bantu be.
7 Kale mwetukuzenga mubeerenga abatukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
8 Era mwekuumenga amateeka gange, mugakolenga: nze Mukama abatukuza.
9 Kubanga buli anaakolimiranga kitaawe oba nnyina talemanga kuttibwa: ng'akolimidde kitaawe oba nnyina; omusaayi gwe gunaabanga ku ye.
10 N'omuntu anaayendanga ku mukazi w'omusajja omulala, anaayendanga ku mukazi wa muliraanwa we, omwenzi omusajja n'omwenzi omukazi tebalemanga kuttibwa.
11 N'omusajja anaasulanga ne mukazi wa kitaawe, ng'abikudde ku nsonyi za kitaawe: bombi tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.
12 Era omusajja bw'anaasulanga ne muka mwana we, bombi tebalemanga kuttibwa: nga bakoze okutabula; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.
13 Era omusajja bw'anaasulanga n'omusajja, nga bwe yandyebase n'abakazi, bombi nga bakoze eky'omuzizo: tebalemanga kuttibwa; omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.
14 Era omusajja bw'anaawasanga omukazi ne nnyina, ekyo kibi: banaayokebwanga omuliro ye nabo; muleme okuba ekibi mu mmwe.
15 Era omusajja bw'anaasulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa: era munattanga ensolo eyo.
16 Era omukazi bw'anaasembereranga ensolo yonna, n'agalamira nayo, omuttanga omukazi oyo n'ensolo: tebiremanga kuttibwa; omusaayi gwabyo gunaabanga ku byo.
17 Era omusajja bw'anaawasanga mwannyina, muwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina, n’alaba ensonyi ze, naye n'alaba ensonyi ze; kye kigambo eky'obuwemu; era banaazikirizibwanga mu maaso g'abaana b'abantu baabwe: ng'abikudde ku nsonyi za mwannyina; anaabangako obutali butuukirivu bwe.
18 Era omusajja bw'anaasulanga n'omukazi aliko endwadde ye, n'abikkula ku nsonyi ze; ng'afudde obwereere ensulo ye, naye ng'abikudde ku nsulo y'omusaayi gwe: awo bombi banaazikirizibwanga okuggibwa mu bantu baabwe.
19 So tobikkulanga ku nsonyi za muganda wa nnyoko; newakubadde eza mwannyina kitaawo: kubanga afudde obwereere ow'obuko: banaabangako obutali butuukirivu bwabwe.
20 Era omusajja bw'anaasulanga ne mukazi wa kojja we, ng'abikudde ku nsonyi za kojja we: banaabangako ekibi kyabwe; balifa nga tebalina baana.
21 Era omusajja bw'anaawasanga mukazi wa muganda we, bwe butali bulongoofu: ng'abikudde ku nsonyi za muganda we; tebaliba na baana.
22 Kyemunaavanga mwekuuma amateeka gange gonna, n'emisango gyange gyonna, ne mubikolanga: ensi, gye mbayingizaamu okutuula omwo, eremenga okubasesemera ddala.
23 So temutambuliranga mu mpisa z'eggwanga, lye ngoba mu maaso gammwe: kubanga baakolanga ebyo byonna, era kyenvudde mbakyawa.
24 Naye nabagamba mmwe nti Mulisikira ensi yaabwe, nange ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; nze Mukama Katonda wammwe, eyabaawula mu mawanga.
25 Kyemunaavanga mwawula ensolo ennongoofu n'eteri nnongoofu, n'ennyonyi eteri nnongoofu n'ennongoofu: so temufuulanga mmeeme zammwe za mizizo olw'ensolo, oba olw'ennyonyi, oba olw'ekintu kyonna eky'ekulula ku nsi, bye nnayawula gye muli obutaba birongoofu:
26 Era munaabanga batukuvu gye ndi: kubanga nze Mukama ndi mutukuvu, era nabaawula mu mawanga mubeere abange.
27 Era omusajja oba omukazi asamira omuzimu, oba omulogo, talemanga kuttibwa; banaabakubanga amayinja: omusaayi gwabwe gunaabanga ku bo.




Essuula 21

1 Mukama n'agamba Musa nti Yogera ne bakabona batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu eyeeyonoona olw'abo abaafa ku bantu be;
2 wabula olwa baganda be, abamuli okumpi mu luganda, nnyina ne kitaawe ne mutabani we ne muwala we ne muganda we;
3 n'olwa mwannyina atamanyanga musajja, amuli okumpi mu luganda, atalina bba, olw'oyo ayinza okweyonoona.
4 Tayonoonanga, bw'aba omukulu mu bantu be, okwevumisa.
5 Tebamwanga kiwalaata ku mutwe gwabwe, so tebamwanga nsonda za kirevu kyabwe, so tebeesalanga n'akatono ku mubiri gwabwe.
6 Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe: kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe: kyebanaavanga babeera abatukuvu.
7 Tebawasanga mukazi mwenzi,oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we.
8 Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo: anaabanga mutukuvu gy'oli: kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.
9 Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwaaga omuliro.
10 N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu mu baganda be, afukibwako ku mutwe amafuta agafukibwako, era ayawulibwa okwambala ebyambalo ebyo, tasumululanga nviiri za ku mutwe gwe, so tayuzanga ngoye ze;
11 so tayingiranga eri omulambo gwonna, so teyeeyonoonanga olwa kitaawe, newakubadde olwa nnyina;
12 so tafulumanga mu watukuvu, so tavumisanga watukuvu wa Katonda we; kubanga engule ey'amafuta agafukibwako aga Katonda wegali ku ye: nze Mukama.
13 Era anaawasanga omukazi nga tannamanya musajja.
14 Nnamwandu oba eyagobebwa oba aliko empitambi, omwenzi, abo tabawasanga: naye omuwala atamanyanga musajja ow'oku bantu be gw'anaawasanga.
15 So tavumisanga zzadde lye mu bantu be: kubanga nze ndi Mukama amutukuza.
16 Mukama n’agamba Musa nti
17 Gamba Alooni nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
18 Kubanga buli muntu yenna anaabangako obulema tasemberanga: omuzibe w'amaaso oba awenyera oba eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekisukkirira,
19 oba eyamenyeka okugulu, oba eyamenyeka omukono,
20 oba alina ebbango, oba mututuuli, oba aliko obulema ku liiso lye, oba alina obuwere, oba mubootongo, oba eyayatika enjagi;
21 tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: ng'aliko obulema; tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
22 Anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu.
23 Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama atukuzaawo.
24 Awo Musa n'agamba Alooni bw'atyo ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri.




Essuula 22

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Gamba Alooni ne batabani be, beewalenga ebintu ebitukuvu eby'abaana ba Isiraeri, bye batukuza gye ndi, era balemenga okuvumisa erinnya lyange ettukuvu: nze Mukama.
3 Bagambe nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyammwe lyonna mu mirembe gyammwe gyonna, anaasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye batukuza eri Mukama, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu maaso gange: nze Mukama.
4 Buli muntu yenna ow'oku zzadde lya Alooni aliko ebigenge oba alina enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusa lw'aliba omulongoofu. Era buli anaakomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu olw'abafu, oba omuntu avaamu amaanyi;
5 oba buli anaakomanga ku kyewalula kyonna ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, obutali bulongoofu bwonna bwaliko;
6 obulamu obwo obunaakomanga ku ebyo byonna anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'anaabye omubiri gwe mu mazzi.
7 Awo enjuba ng'egudde, anaabanga mulongoofu; oluvannyuma anaalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga gwe mugaati gwe.
8 Ekinaafanga kyokka, oba ekinaataagulwataagulwanga ensolo, talyangako okweyonoona nakyo: nze Mukama.
9 Kyebanaavanga beekuuma kye nnabateresa, balemenga okubaako ekibi olw'ekyo, ne bafiira mu kyo bwe banaakivumisanga: nze ndi Mukama abatukuza.
10 Tewabangawo mugenyi anaalyanga ku kintu ekitukuvu: omuyise ali ne kabona, oba omusenze akolera empeera, talyanga ku kintu ekitukuvu.
11 Naye kabona bw'anaagulanga obulamu bwonna, agulibwa n'ebintu bye, oyo anaalyangako; n'abo abazaalirwa mu nnyumba ye, abo banaalyanga ku mugaati gwe.
12 Era muwala wa kabona bw'anaafumbirwanga omugenyi, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu.
13 Naye muwala wa kabona bw'abanga nnamwandu, oba eyagobebwa, era nga talina mwana, era ng'akomyewo mu nnyumba ya kitaawe, nga mu buto bwe, anaalyanga ku mugaati gwa kitaawe: naye tewabangawo mugenyi anaalyanga ku gwo.
14 Era omuntu bw'anaalyanga ku kintu ekitukuvu nga tamanyiridde, kale anaakigattangako ekitundu kyakyo eky'okutaano, n'awa kabona ekintu ekitukuvu.
15 So tebavumisanga bintu bitukuvu bya baana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama;
16 ne babaleetako (bwe batyo) obutali butuukirivu obuleeta omusango, bwe balya ku bintu byabwe ebitukuvu: kubanga nze ndi Mukama abatukuza.
17 Mukama n'agamba Musa nti
18 Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri, obagambe nti Buli muntu yenna ow'oku nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abali mu Isiraeri, anaawangayo ekitone lye, bwe kinaabanga obweyamo bwabwe bwonna, oba ekiweebwayo kyonna kye bawaayo ku bwabwe, kye bawaayo eri Mukama okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
19 (munaawangayo) ennume eteriiko bulema ku nte, ku ndiga, oba ku mbuzi, mulyoke mukkirizibwe.
20 Naye ekintu kyonna ekiriko obulema, ekyo temukiwangayo: kubanga tekiibenga kya kukkirizibwa ku lwammwe.
21 Era buli anaawangayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukiriza obweyamo, oba okuba ky'awaayo ku bubwe, ku nte oba ku mbuzi, eneebanga ntuukirivu eryoke ekkirizibwe; tebangako bulema.
22 Enzibe y'amaaso, oba emmenyefu, oba ennema, oba eriko amabwa oba obuwere oba kabootongo, ezo temuziwangayo eri Mukama, so temubifuulanga ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama ku kyoto.
23 Oba ente oba omwana gw'endiga eriko ekintu kyonna ekisukkirira oba ekitatuuka mu bitundu byayo, eyo oyinza okuwaayo okuba ky'owaayo ku bubwo: naye okuba obweyamo tekkirizibwenga.
24 Eyabetentebwa enjagi zaayo, oba eyanyigibwa, oba eyayatika, oba eyasalibwako ezo, temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga bwe mutyo mu nsi yammwe.
25 So ne mu mukono gwa munnaggwanga temuwangayo mugaati gwa Katonda wammwe ogugendera ku ezo zonna; kubanga okwonooneka kwazo kuli mu zo, ziriko obulema: tezikkirizibwenga ku lwammwe.
26 Mukama n'agamba Musa nti
27 Ente oba ndiga oba mbuzi bw'eneezaalibwanga, eneemalanga ennaku musanvu ng'eyonka nnyina waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okukirawo enekkirizibwanga okuba ekitone ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
28 Era bw'eba ente oba ndiga, temugittanga yo n'omwana waayo byombi ku lunaku lumu.
29 Era bwe munaawangayo ssaddaaka ey'okwebaza eri Mukama, munaagiwangayo mulyoke mukkirizibwe.
30 Eneeriirwanga ku lunaku olwo; temugisigazangako okutuusa enkya: nze Mukama.
31 Kyemunaavanga mwekuuma ebiragiro byange, ne mubikola: nze Mukama.
32 So temuvumisanga linnya lyange ttukuvu; naye njagala okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri: nze Mukama abatukuza,
33 eyabaggya mu nsi y'e Misiri okuba Katonda wammwe: nze Mukama.




Essuula 23

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Embaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu, zino ze mbaga zange endagire.
3 Ennaku omukaaga zinaakolerwangako omulimu: naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombekerako, okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna: olwo ssabbiiti eri Mukama mu nnyumba zammwe zonna.
4 Zino ze mbaga endagire eza Mukama, kwe kukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo endagire.
5 Mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, kwe Kuyitako kwa Mukama.
6 Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eri Mukama: munaaliiranga ennaku musanvu emigaati egitazimbulukuswa.
7 Ku lunaku olw'olubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
8 Naye munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; te mukolanga mulimu gwa mikono.
9 Mukama n'agamba Musa nti
10 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, ne mulyokanga muleeta ekinywa eky'ebibereberye eby'ebikungulwa byammwe eri kabona:
11 naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, okukkirizibwa ku lwammwe: ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti kabona kw'anaakiwuubirawuubiranga.
12 Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
13 N'ekiweebwayo kyako eky'obutta kinaabanga ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama okuba evvumbe eddungi: n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa kinaabanga kya nvinnyo, ekitundu eky'okuna ekya ini.
14 So temulyanga mugaati newakubadde eŋŋaano ensiike newakubadde ebirimba ebibisi, okutuusa olunaku olwo, okutuusa lwe munaamalanga okuleeta ekitone kya Katonda wammwe: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.
15 Era muneebaliranga okuva ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti, okuva ku lunaku kwe mwaleetera ekinywa eky'ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa; wanaabangawo ssabbiiti musanvu ennamba:
16 okutuusa olw'enkya oluddirira ssabbiiti ey'omusanvu munaabalanga ennaku ataano: awo munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama.
17 Munaafulumyanga mu nnyumba zammwe emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu ebibiri eby'ekkumi ebya efa: ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n'ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama.
18 Era munaaleetanga wamu n'emigaati abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema abatannamala mwaka gumu, n'ente ento emu, n'endiga ennume bbiri: zinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
19 Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'abaana b'endiga abalume babiri abatannamala mwaka gumu okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe.
20 Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi: binaabanga bitukuvu eri Mukama bya kabona.
21 Era munaalangiranga ku lunaku olwo; wanaabangawo okukuŋŋana okutukuvu gye muli: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lye tteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna mu mirembe gyammwe gyonna.
22 Era bwe munaakungulanga ebikungulwa eby'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tolondanga ebyerebwa eby'ebikungulwa byo: onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.
23 Mukama n'agamba Musa nti
24 Gamba abaana ba Isiraeri nti Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka gye muli, ekijjukizo eky'okufuuwa amakondeere, okukuŋŋaana okutukuvu.
25 Temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
26 Mukama n'agamba Musa nti
27 Naye ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu lwe lunaku olw'okutangiririrako: lunaabanga kukuŋŋaana kutukuvu gye muli, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe; era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
28 So temukolanga mulimu gwonna ku luaaku olwo: kubanga lwe lunaku olw'okutangiririrako, okubatangirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
29 Kubanga buli bulamu bwonna obutaabonerezebwenga ku lunaku olwo, anaazikirizibwanga mu bantu be.
30 Era buli bulamu bwonna obunaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo, obulamu obwo naabuzikirizanga mu bantu be.
31 Temukolanga mulimu gwonna: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.
32 Lunaabanga gye muli ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe: ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi akawungeezi, okusooka akawungeezi okutuusa akawungeezi, muneekuumanga ssabbiiti yammwe.
33 Mukama n’agamba Musa nti
34 Gamba abaana ba Isiraeri nti Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira okumala ennaku musanvu eri Mukama.
35 Ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
36 Munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; nammwe munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kwe kukuŋŋaana okukulu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
37 Ezo ze mbaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu okuwangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, kinnakimu ku lunaku lwakyo:
38 obutassaako ssabbiiti za Mukama, n'ebirabo byammwe, n'obweyamo bwammwe bwonna, n'ebyo byonna bye muwaayo ku bwammwe, bye muwa Mukama.
39 Naye ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga ok'ukungula ebibala by'ensi, muneekuumiranga embaga ya Mukama ennaku musanvu: ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka.
40 Era ku lunaku olw'olubereberye muneetwaliranga ebibala by'emiti emirungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, n'emiti egy'oku migga; era munaasanyukiranga ennaku musanvu mu maaso ga Mukama Katonda wammwe.
41 Era munaagyekuumiranga okuba embaga eri Mukama ennaku musanvu buli mwaka: lye tteka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe: munaagyekuumiranga mu mwezi ogw'omusanvu.
42 Munaamalanga ennaku musanvu mu nsiisira: enzaalwa bonna ab'omu Isiraeri banaatuulanga mu nsiisira:
43 emirembe gyammwe giryoke gimanyenga nga natuuza abaana ba Isiraeri mu nsiisira, bwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.
44 Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga endagire eza Mukama.




Essuula 24

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi aga zeyituuni amakube olw'ettabaaza, okwasanga ettabaaza olutata.
3 Ebweru w'eggigi ery'obujulirwa, mu weema ey'okusisinkanirangamu, Alooni w'anaagirongooserezanga okusooka akawungeezi okutuusa enkya mu maaso ga Mukama olutata: linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
4 Ettabaaza anaazirongooserezanga ku kikondo ekirongoofu mu maaso ga Mukama olutata.
5 Era onoddiranga obutta obulungi, n'oggyamu emigaati kkumi n'ebiri emyokye: ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa binaabanga mu mugaati gumu.
6 Era onoogitegekanga embu bbiri, buli lubu mukaaga, ku mmeeza ennongoofu mu maaso ga Mukama.
7 Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
8 Buli ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.
9 Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu: kubanga mitukuvu nnyo gyali ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.
10 Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri: mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira;
11 mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya n'akolima; ne bamuleetera Musa. Ne nnyina erinnya lye Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani.
12 Ne bamusiba belyoke babuulirwe mu kamwa ka Mukama.
13 Mukama n'agamba Musa nti
14 Oyo akolimye mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.
15 Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaakolimiranga Katonda we anaabangako ekibi kye.
16 N'oyo anavvoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja: omugenyi naye era n'enzaalwa, bw'anawoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga.
17 N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa;
18 n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga: obulamu olw'obulamu.
19 Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo;
20 ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo: nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo.
21 N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga: n'oyo anattanga omuntu anattibwanga.
22 Munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
23 Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira; ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.




Essuula 25

1 Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, ensi n'eryokanga yeekuuma ssabbiiti eri Mukama.
3 Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliriranga emyaka mukaaga, n'okungula ebibala byalwo;
4 naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako eri ensi, ssabbiiti eri Mukama: tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo.
5 Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga: gunaabanga mwaka gwa kuwummula okw'okwewombeeka eri ensi.
6 Era ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe;
7 n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya.
8 Era oneebaliranga ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda.
9 Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna.
10 Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano, ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo bonna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze.
11 Omwaka ogwo ogw'ataano gunaabanga jjubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire.
12 Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro.
13 Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buli muntu mu butaka bwe.
14 Era bw'onooguzanga muliraanwa wo ekintu kyonna, oba by'onoogulanga mu mukono gwa muliraanwa wo, temulyazaamaanyagananga:
15 ng'omuwendo gw'emyaka bwe guli egiddiridde jjubiri, bw'onoogulaananga ne muliraanwa wo, era ng'omuwendo gw'emyaka egy'ebikungulwa bwe guli bw'anaakuguzanga.
16 Ng'emyaka bwe ginenkananga obungi bw'onooyongera bw'otyo ku muwendo gwakyo, era ng'emyaka bwe ginenkananga obutono bw'onoosalanga bw'otyo ku muwendo gwakyo; kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gw'akuguza.
17 So temulyazaamaanyagananga; naye otyanga Katonda wo: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
18 Kye munaavanga mukola amateeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era munaatuulanga mu nsi mirembe.
19 Era ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga okukkuta, ne mutuula omwo mirembe.
20 Era bwe munaayogeranga nti Tulirya ki mu mwaka ogw'omusanvu? laba, tetulisiga, so tetulikungula kyengera kyaffe:
21 kale naalagiranga omukisa gwange okubeera ku mmwe mu mwaka ogw'omukaaga, era gunaabalanga ebibala eby'emyaka gyonsatule.
22 Era munaasiganga mu mwaka gw'omunaana, ne mulya ku bibala ebyaterekebwa edda; okutuusa ku mwaka ogw'omwenda, ebibala byayo lwe birituuka, munaalyanga ku byaterekebwa edda.
23 So ensi tetundibwanga okugiviiramu ddala ennaku zonna; kubanga ensi yange: kubanga muli bagenyi era abayise gye ndi.
24 Ne mu nsi yonna ey'obutaka bwammwe munakkirizanga ensi okununulibwa.
25 Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze.
26 Era omuntu bw'atabangako anaakinunula, era ng'agaggawadde n'alaba ebinaamala okukinunula;
27 awo abalenga emyaka gye kyatundirwamu n'addiza ebisukkiriddemu amuntu gwe yakiguza; naye anaddanga mu butaka bwe.
28 Naye bw'aba nga tayinza kukyeddiza, kale ekyo kye yatunda kinaabeeranga mu mukono gw'oyo eyakigula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: awo kinaagenderanga mu jjubiri, naye anaddanga mu butaka bwe.
29 Era omuntu bw'atundanga ennyumba ey'okutuulamu mu kibuga ekiriko bbugwe, kale anaayinzanga okuginunula omwaka omulamba nga tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okununula.
30 Era bw'eteenunulirwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula okuba eyiye ennaku zonna, mu mirembe gye gyonna: tegenderanga mu jjubiri.
31 Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalirwanga wamu n'ennimiro ez'omu byalo: zinaayinzikanga okununulibwa, era zinaagenderanga mu jjubiri.
32 Naye ebibuga eby'Abaleevi, ennyumba ez'omu bibuga eby'obutaka bwabwe, Abaleevi banaayinzanga okuzinunula mu biro byonna.
33 Era omu ku Baleevi bw'anaanunulanga, kale ennyumba eyatundibwa, n'ekibuga eky'obutaka bwe, binaagenderanga mu jjubiri: kubanga ennyumba ez'omu bibuga eby'Abaleevi bwe butaka bwabwe mu baana ba Isiraeri.
34 Naye ennimiro ey'omu byalo ebiriraanye ebibuga byabwe tetundibwanga; kubanga bwe butaka bwabwe olw'ennaku zonna.
35 Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, omukono gwe ne guggwaamu amaanyi gy'oli; kale onoomuyambanga: anaatuulanga naawe ng'omugenyi era ng'omuwaŋŋanguse.
36 Tomutwalangako magoba newakubadde ebisukkirira; naye otyanga Katonda wo: muganda wo alyoke atuulenga naawe.
37 Tomuwolanga bintu byo lwa magoba, so tomuwanga byakulya byo olw'ebisukkirira.
38 Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, okuba Katonda wammwe.
39 Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde gy'oli, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga:
40 anaabeeranga name ng'omusenze akolera empeera era ng'omuwaŋŋanguse; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri:
41 n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be awamu naye, n'adda mu nda ze ye, ne mu butaka bwa bakitaawe mw'anaddiranga.
42 Kubanga baddu bange, be nnaggya mu nsi y'e Misiri: tebatundibwanga okuba abaddu.
43 Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo.
44 N'abaddu bo, n'abazaana bo, b'onoobanga nabo; ku mawanga agabeetoolodde, ku abo kwe munaagulanga abaddu n'abazaana.
45 Era ku baana b'abagenyi abatuula mu mmwe, ku abo kwe munaagulanga ne ku ŋŋanda zaabwe eziri nammwe, be baazaalira mu nsi yammwe: nabo banaabanga nvuma zammwe.
46 Era munaabafuulanga obusika eri abaana bammwe abanaabaddiriranga okuba nabo okuba envuma; ku abo kwe munaatwalanga abaddu bammwe ennaku zonna: naye baganda bammwe abaana ba Isiraeri temubafuganga mwekka na mwekka lwa maanyi.
47 Era omugenyi oba muwaŋŋanguse ali naawe bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde gy'ali, ne yeetunda eri omugenyi oba muwagganguse ali naawe, oba eri olukolo lw'enda z'omuwaŋŋanguse:
48 bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa; omu ku baganda be anaayinzanga okumununula:
49 oba kojja we, oba mutabani wa kojja we, anaayinzanga okumununula; oba omuntu yenna ku nda ze amuli okumpi mu luganda anaayinzanga okumununula oba bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula yekka.
50 Era anaabaliranga oyo eyamugula okuva ku mwaka mwe yeetundira gy'ali okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: n'omuwendo ogw'okutundibwa kwe gunaabanga ng'omuwendo gw'emyaka bwe gunaabanga; ng'ebiro eby'omusenze akolera empeera bwe biri bw'atyo bw'anaabanga naye.
51 Oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mingi, ng'egyo bwe giri bw'anazzanga bw'atyo ku muwendo ogw'okununulibwa kwe ng'aguggya ku bintu ebyamugula.
52 Era oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mitono okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, kale anaamubaliranga; ng'emyaka gye bwe giri bw'anazzanga bw'atyo omuwendo ogw'okununulibwa kwe.
53 Anaabanga naye ng'omusenze akolera empeera buli mwaka: tamufuganga lwa maanyi mu maaso go.
54 Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaagenderanga mu mwaka gwa jjubiri, ye n'abaana be awamu naye.
55 Kubanga abaana ba Isiraeri baddu gye ndi; be baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.




Essuula 26

1 Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, okulivuunamiranga: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
2 Mwekuumanga ssabbiiti zange, ne mussangamu ekitiibwa awatukuvu wange: nze Mukama.
3 Bwe munaatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola;
4 kale naawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.
5 N'okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n'okunoga kunaatuukanga ku biro eby'okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe.
6 Nange naawanga emirembe mu nsi, era munaagalamiranga so tewaabenga anaabatiisanga: era ndimalawo ensolo embi mu nsi, so n'ekitala tekiiyitenga mu nsi yammwe.
7 Nammwe munaagobanga abalabe bammwe, era bannagwanga mu maaso gammwe n'ekitala.
8 Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga akakumi: n'abalabe bammwe banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala.
9 Era naabassangako omwoyo, ne mbazaalisa, ne mbaaza; era naanywezanga endagaano yange nammwe.
10 Era munaalyanga ku byaterekebwa edda ebyaludde, era munaafulumyanga eby'edda olw'ebiggya.
11 Era naateekanga ennyumba yange mu mmwe: n'obulamu bwange tebuubakyawenga.
12 Era naatambuliranga mu mmwe ne mbeera Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange.
13 Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi y'e Misiri, muleme okuba abaddu baabwe; era mmenye ebisiba eby'ekikoligo kyammwe, ne mbatambuza nga mwesimbye.
14 Naye bwe mutampulirenga ne mutakola biragiro bino byonna:
15 era bwe munaagaananga amateeka gange, n'obulamu bwammwe bwe bunaakyawanga emisango gyange, n'obutakola ne mutakolznga biragiro byange byonna, naye ne muleka endagaano yange:
16 nange naabakolanga bwe nti; naalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, akakono n'omusujja, ebinaamalangamu amaaso, ne bikoozimbya obulamu: era munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga.
17 Era naaboolekezanga amaaso gange, nammwe munaakubibwanga mu maaso g'abalabe bammwe: ababakyawa be banaabafuganga; era munaddukanga nga tewali agoba.
18 Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, kale ndyeyongera emirundi musanvu okubabonereza olw'ebibi byammwe.
19 Era naamenyanga amalala ag'obuyinza bwammwe; era naafuulanga eggulu lyammwe okuba ng'ekyuma, n'ettaka lyammwe okuba ng'ekikomo:
20 n'amaanyi gammwe ganaagenderanga busa: kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo.
21 Era bwe munaatambuliranga mu kuyomba nange, ne mutampulira; ndyeyongeranga emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga.
22 Era naasindikanga mu mmwe ensolo ey'omu nsiko, eneebanyagangako abaana bammwe, era eneezikirizanga ebisibo byammwe, era eneebakendeezanga; n'amakubo gammwe ganaazikanga:
23 Era n'ebyo bwe binaalemwanga okubakomyawo gye ndi, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange;
24 kale nange naatambuliranga mu kuyomba nammwe; era naabakubanga emirundi musanvu, nze mwene, olw'ebibi byammwe.
25 Era naabaleetangako ekitala, ekinaawalananga eggwanga ery'endagaano; era munaakuŋŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byammwe: era naasindikanga kawumpuli ku mmwe; era munaagabulwanga mu mukono gw'omulabe.
26 Bwe nnaamenyanga omuggo gwammwe ogw'omugaati, abakazi kkumi banaayokeranga emigaati gyammwe mu kabiga kamu, era banazzanga nate emigaati gyammwe nga bagipimye mu minzani: era munaalyanga ne mutakutta.
27 Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, naye ne mutambuliranga mu kuyomba nange;
28 kale naatambuliranga mu kuyomba nammwe mu kiruyi; era naababonerezanga emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
29 Era munaalyanga ennyama ya batabani bammwe, n'ennyama ya bawala bammwe gye munaalyanga.
30 Era naazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba, ne nsuula emirambo gyammwe ku mirambo gy'ebifaananyi byammwe; n'obulamu bwange bunaabakyawanga.
31 Era naazisanga ebibuga byammwe, era naafuulanga awatukuvu wammwe malungu, so siiwulirenga lusu lw'akaloosa kammwe.
32 Era naafuulanga ensi ddungu: n'abalabe bammwe abagituulamu banaagyewuunyanga.
33 Nammwe naabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera: n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga.
34 Awo ensi n'eryokanga esanyukira ssabbiiti zaayo, ennaku zonna z'eneezikiranga nammwe nga muli mu nsi y'abalabe bammwe; awo ensi n'eryokanga ewummula n'esanyukira ssabbiiti zaayo.
35 Ennaku zonna z'eneezikiranga eneewummulanga; okuwummula okwo kw'etabanga nakwo ku ssabbiiti zammwe nga mukyalimu.
36 N'abo abanaasigalangawo ku mmwe, naasindikanga obutabaamu mwoyo mu mutima gwabwe mu nsi z'abalabe baabwe: n'eddoboozi ly'akasubi akamenyeka linaabagobanga; era banaddukanga ng'omuntu bw'adduka ekitala; era banaagwanga nga tewali agoba.
37 Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka ekitala, nga tewali agoba: so temuubenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe.
38 Era munaazikiriranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe bammwe eneebalyanga.
39 N'abo abanaasigalangawo ku mmwe banaakoozimbiranga mu butali butuukirivu bwabwe mu nsi z'abalabe bammwe; era ne mu butali butuukirivu bwa bajjajja baabwe mwe banaakoozimbiranga wamu nabo.
40 Era banaayatulanga obutali butuukirivu bwabwe, n'obutali bu tuukirivu bwa bajjajja baabwe, mu kusobya kwabwe kwe bansobyako, era nga tebaatambula nange,
41 era nga kyennaava ntambulira nange mu kuyomba nabo ne mbaleeta mu nsi y'abalabe baabwe, kubanga baatambulira mu kuyomba nange: kale omutima gwabwe ogutali mukomole bwe gunaatoowazibwanga, kale ne bakkiriza okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe;
42 awo ne ndyoka njijukira endagaano yange gye nnalagaana ne Yakobo; era n'endagaano gye nnalagaana ne Isaaka, era n'endagaano yange gye nnalagaana ne Ibulayimu naagijjukiranga: era najjukiranga ensi.
43 Era ensi banaagirekanga, n'esanyukira ssabbiiti zaayo, ng'ekyazise bo nga tebaliimu; era banakkirizanga okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe: kubanga baagaana emisango gyange, eyo ye nsonga, n'obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange.
44 Era naye ebyo byonna nga bimaze okubaawo, bwe banaabanga nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, siibagaanenga, so siibakyawenga, okubazikiririza ddala, n'okuleka endagaano yange gye nnalagaana nabo: kubanga nze Mukama Katonda waabwe:
45 naye najjukiranga ku lwabwe endagaano ya bajjajja baabwe, be nnaggya mu nsi y'e Misiri mu maaso g'amawanga, ndyoke mbeerenga Katonda waabwe: nze Mukama.
46 Ago ge mateeka n'emisango n'ebiragiro Mukama bye yassaawo wakati we n'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi n'omukono gwa Musa.




Essuula 27

1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omuntu bw'anaatuukirizanga obweyamo, emibiri ginaabanga gya Mukama ng'okubala kwo bwe kunaabanga.
3 N'okubala kwo okw'omusajja eyaakamaze emyaka abiri okutuusa ku myaka enkaaga, okubala kwo kunaabanga sekeri za ffeeza ataano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri.
4 Era bw'anaabanga ow'obuwala, kale okubala kwo kunaabanga sekeri asatu.
5 Era bw'anaabanga yaakamaze emyaka etaano okutuusa ku myaka abiri, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri abiri, n'okw'ow'obuwala sekeri kkumi.
6 Era bw'anaabanga yaakamaze mwezi gumu okutuusa ku myaka etaano, kale okubala kwo okw'ow'obulenzi kunaabanga sekeri za ffeeza ttaano, n'okubala kwo okw'ow'obuwala kunaabanga sekeri za ffeeza ssatu.
7 Era bw'anaabanga yaakamaze emyaka enkaaga n'okukirawo; bw'anaabanga omusajja, kale okubala kwo kunaabanga sekeri kkumi na ttaano, n'okw'omukazi sekeri kkumi.
8 Naye bw'anaabanga omwavu okusinga okubala kwo, kale anaayimirizibwanga mu maaso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo; ng'obuyinza bw'oyo eyeeyama bwe bunaabanga, bw'atyo kabona bw'anaamusaliranga.
9 Era bw'eneebanga ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekirabo eri Mukama, byonna omuntu yenna by'anaawangayo ku ezo eri Mukama binaabanga bitukuvu.
10 Tagikyusanga so tagiwaanyisanga, ekirungi mu kifo ky'ekibi, oba ekibi mu kifo ky'ekirungi: n'okuwaanyisa bw'anaawaanyisanga ensolo n'ensolo, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu.
11 Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekitone eri Mukama, awo anaayimirizanga ensolo mu maaso ga kabona:
12 kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga ggwe kabona bw'onoogiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo.
13 Naye okununula bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kyayo eky'okutaano ku bintu by'olamudde.
14 Era omuntu bw'anaatukuzanga ennyumba ye okuba entukuvu eri Mukama, kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga kabona bw'anaagiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo.
15 Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu by'olamudde, n'eba yiye.
16 Era omuntu bw'anaatukuzanga eri Mukama ekitundu ky'ennimiro y'obutaka bwe, kale okulamula kwo kunaabanga ng'okusigibwa kwayo bwe kunaabanga okusiga kwa komeri ogwa sayiri kunaalamulwanga sekeri eza ffeeza ataano.
17 Bw'anaatukuzanga ennimiro ye okuva ku mwaka gwa jjubiri, eneebanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga.
18 Naye bw'anaatukuzanga ennimiro ye jjubiri nga guweddeko, kale kabona anaamubaliranga ebintu ng'emyaka bwe giri egikyasigaddeyo okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, ne bakendeeza ku bintu bye walamula.
19 N'okununula oyo eyatukuza ennimiro bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu bye walamula, n'efuukira ddala yiye.
20 Era bw'ataayagalenga kununula nnimiro, oba bw'aba ng'aguzizza ennimiro omulala, tekyanunulibwanga nate;
21 naye ennimiro bw'eneegenderanga mu jjubiri, eneebanga ntukuvu eri Mukama, ng'ennimiro eyawongebwa; eneebanga ya kabona ya nvuma.
22 Era bw'anaatukuzanga eri Mukama ennimiro gye yagula, eteri ya mu nnimiro ya butaka bwe;
23 kale kabona anaamubaliranga omuwendo gw'ebintu bye walamula okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: era anaawanga ebintu bye walamula ku lunaku olwo, ng'ekintu ekitukuvu eri Mukama.
24 Mu mwaka gwa jjubiri ennimiro eneddanga eri oyo eyagitunda, ye nannyini butaka obw'ennimiro.
25 N'okulamula kwo kwonna kunaabanga nga sekeri bw'eri ey'omu watukuvu: gera amakumi abiri zinaabanga sekeri.
26 Wabula eggula enda mu nsolo, ebeera eya Mukama eggula enda, tewabangawo anaagitukuzanga; oba nga nte, oba nga ndiga, eba ya Mukama.
27 Era bw'eneebanga ya ku nsolo eteri nnongoofu, kale anaaginunulanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga, n'agattako ekitundu kyako eky'okutaano: oba bw'eteenunulibwenga, kale eneetundibwanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga.
28 Naye tewabanga kiatu ekyawongebwa, omuntu ky'anaawongeranga Mukama ku byonna by'alina, oba nga muntu oba nga nsolo, oba nga nnimiro ya butaka bwe, ekinaatundibwanga oba ekinaanunulibwanga: buli kintu ekyawongebwa kiba kitukuvu nnyo eri Mukama.
29 Tewabanga eyawongebwa, anaawongebwanga ku bantu, anaanunulibwanga; talemanga kuttibwa.
30 Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ensi, oba nga bya nsigo za nsi, oba nga bya bibala bya muti, bya Mukama: biba bitukuvu eri Mukama.
31 Era omuntu bw'anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby'ekkumi, anaagattangako ekitundu kyabyo eky'okutaano.
32 Era ebitundu byonna eby'ekkumi eby'ente oba eby'endiga, buli eyita wansi w'omuggo, ebitundu eby'ekkumi binaabanga bitukuvu eri Mukama.
33 Takeberanga oba nga nnungi oba nga mbi so tagiwaanyisanga: n'okuwaanyisa bw'anaagiwaanyisanga, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu: tenunulibwanga.
34 Ebyo bye biragiro, Mukama bye yalagira Musa olw'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi.