Ekyamateeka

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34


Essuula 1

1 Bino bye bigambo Musa bye yabuulira Isiraeri yenna emitala wa Yoludaani mu ddungu, mu Alaba awoolekera Sufu, wakati We Palani ne Toferi ne Labani ne Kazerosi ne Dizakabu.
2 Lwe lugendo olw'ennaku ekkumi n'olumu okuva e Kolebu okuyita awali olusozi Seyiri okutuuka e Kadesubanea.
3 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi ana, mu mwezi ogw'ekkumi n'ogumu, ku lunaku olw'omwezi ogw'olubereberye, Musa n'ayogera n'abaana ba Isiraeri, nga byonna bwe byali Mukama bye yamulagira okubabuulira;
4 bwe yamala okutta Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, ne Ogi kabaka We Basani, eyatuulanga mu Asutaloosi, mu Ederei:
5 emitala wa Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa gye yatanulira okulangira amateeka gano,
6 ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe yayogerera naffe ku Kolebu, ng'ayogera nti Mwaludde okutuula ku lusozi luno:
7 mukyuke, mutambule, mugende mu nsi ey'ensozi ey'Abamoli, ne mu bifo byonna ebiriraanyeewo, mu Alaba, mu nsi ey'ensozi, ey'olusenyi, ne mu Bukiika obwa ddyo, ne ku ttale ly'ennyanja, ensi y’Abakanani, ne Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati.
8 Laba, ensi ngitadde mu maaso gammwe: muyingire, mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe, Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, okubawa bo n'ezzadde lyabwe eririddawo.
9 Nange nnayogera nammwe mu biro ebyo, nga ŋŋamba nti Nze siyinza kubasitula nzekka:
10 Mukama Katonda wammwe abongedde, era, laba, leero muli ng’emmunyeenye ez’omu ggullu okuba obungi.
11 Mukama, Katonda wa bajjajja bammwe, abongere emirundi lukumi okusinga nga bwe muli, era abawe omukisa, nga bwe yabasuubiza!
12 Nze nnyinza ntya nzekka okusitula okutegana kwammwe n'omugugu gwammwe n'okuyomba kwammwe?
13 Mwetwalire abasajja ab'amagezi era abategeevu era ab'amaanyi, ng'ebika byammwe bwe biri, nange ndibafuula abakulu bammwe.
14 Nammwe ne muddamu ne mwogera nti Ekigambo ky'oyogedde kirungi ffe okukikola.
15 Kale ne ntwala abakulu b'ebika byammwe, abasajja ab'amagezi, era ab'amaanyi, ne mbafuula abakulu bammwe, abaami b'enkumi, era abaami b'ebikumi, era abaami b'ataano, era abaami b'amakumi, era abamyuka, ng'ebika byammwe bwe biri.
16 Era nnakuutira abalamuzi bammwe mu biro ebyo, nga njogera nti Muwulirenga ensonga za baganda bammwe, musalirenga emisango egy'ensonga omuntu ne muganda we ne munnaggwanga ali awamu naye.
17 Temusalirizanga bwe munaasalanga emisango; munaawuliranga abato n'abakulu okubenkanyankanya; temutyanga maaso ga muntu; kubanga omusango gwa Katonda: era ensonga eneebalemanga mugireetanga gye ndi, nange naagiwuliranga.
18 Era nabalagira mu biro ebyo byonna eby'abagwanira okukola.
19 Awo ne tutambula okuva e Kolebu, ne tuyita mu ddungu liri lyonna eddene ery'entiisa lye mwalaba mu kkubo eriyita mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, nga Mukama Katonda waffe bwe yatulagira; ne tutuuka e Kadesubanea.
20 Ne mbagamba nti Mutuuse mu nsi ey’ensozi ey’Abamoli, Mukama Katonda waffe gy’atuwa.
21 Laba, Mukama Katonda wo attadde ensi mu maaso go: yambuka olye nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakugamba; totya so tokankana.
22 Ne musemberera buli muntu ku mmwe, ne mwogera nti Tutume abantu abanatukulembera, batume abantu abaatukulembera, batukulemberere ensi, bakomewo batubuulire ekkubo bwe liri lye tuba twambukiramu, n’ebibuga bwe biri mwe tulituuka.
23 Ekigambo ekyo ne kinsanyusa nnyo: ne nnonda ku mmwe abantu kkumi na babiri, buli kika omuntu omu:
24 ne bakyuka ne balinnya ku lusozi, ne batuuka mu kiwonvu kya Esukoli, ne bakiketta.
25 Ne batwala ku bibala by'ensi mu ngalo zaabwe, ne babireeta gye tuli, ne batubuulira ne boogera nti Ensi eyo nnungi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
26 Naye mmwe ne mutakkiriza kwambuka, naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe:
27 ne mwemulugunyiza mu weema zammwe, ne mwogera nti Kubanga Mukama yatukyawa, kyeyava atuggya mu nsi y'e Misiri, okutugabula mu mikono gy'Abamoli, okutuzikiriza.
28 Twambuka wa? baganda baffe batusaanuusizza emitima gyaffe, nga boogera nti Abantu banene bawanvu okusinga ffe; ebibuga binene, byazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu; era twalabayo abaana ba Abanaki.
29 Awo ne ndyoka mbagamba nti Temubatya, so temubatekemukira.
30 Mukama Katonda wammwe abakulembera ye anaabalwaniriranga, nga byonna bwe byali bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe;
31 ne mu ddungu, mwe walabira Mukama Katonda wo bwe yakusitula ng'omusajja bw'asitula omwana we, mu kkubo lyonna lye mwayitamu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.
32 Naye mu kigambo ekyo temwakkiriza Mukama Katonda wammwe,
33 eyabakulemberanga mu kkubo, okubanoonyezanga ekifo eky'okukubiramu eweema zammwe, ng'ayima mu muliro ekiro, okubalaganga ekkubo lye munaayitamu, ne mu kire emisana.
34 Awo Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe, n'asunguwala, n'alayira ng'ayogera nti
35 Mazima tewalibawo n'omu ku bantu bano ab'emirembe gino emibi aliraba ensi ennungi, gye nnalayirira okuwa bajjajja bammwe,
36 wabula Kalebu omwana wa Yefune, oyo y'aligiraba; era oyo ndimuwa ensi gye yalinnyako n'abaana be: kubanga yagoberera Mukama mu byonna:
37 Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe, ng'ayogera nti Naawe toliyingira omwo:
38 Yoswa omwana wa Nuni, ayimirira mu maaso go, oyo aliyingira omwo: mugumye omwoyo; kubanga ye aligisisa Isiraeri.
39 Era n'abaana bammwe abato, be mwayogera nga bagenda okuba omwandu, n'abaana bammwe, abatamanyi leero birungi newakubadde ebibi, bo baliyingira omwo, era ndigibawa bo, era baligirya.
40 Naye mmwe mukyuke mutambule mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu.
41 Ne mulyoka muddamu ne muŋŋamba nti Tusobezza ku Mukama; tunaayambuka ne tulwana, nga byonna bwe biri Mukama Katonda waffe bye yatulagira. Ne mwesiba buli muntu ebibye eby'okulwanyisa, ne mwanguwa okulinnya ku lusozi.
42 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Bagambe nti Temulinnya so temulwana; kubanga nze siri mu mmwe; muleme okugobebwa mu maaso g'abalabe bammwe:
43 Awo ne njogera nammwe, ne mutawulira; naye ne mujeemera ekiragiro kya Mukama ne mukwatibwa amalala, ne mulinnya ku lusozi.
44 Awo Abamoli abaatuulanga ku lusozi olwo, ne bafuluma okubalumba ne babagoba, ng'enjuki bwe zikola, ne babakubirakubira ku Seyiri okutuusa ku Koluma.
45 Ne muddayo ne mukaaba amaziga mu maaso ga Mukama; naye Mukama n'atawulira ddoboozi lyammwe, so n'atabategera kutu.
46 Awo ne mutuulira mu Kadesi ennaku nnyingi, ng'ennaku bwe ziri ze mwamalayo.
Essuula 2

1 Awo ne tulyoka tukyuka, ne tutambula mu ddungu mu kkubo eriyita mu Nnyanja Emmyufu, nga Mukama bwe yaŋŋamba: ne twetooloolera olusozi Seyiri ennaku nnyingi.
2 Mukama n'ayogera nange nti
3 Mwaludde okwetooloola olusozi luno: mukyuke mugende ebukika obwa kkono.
4 Naawe lagira abantu ng'oyogera nti Mugenda kuyita mu nsalo ya baganda bammwe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, era bo balibatya: kale mwekuume nnyo mwekka:
5 temuyomba nabo; kubanga sijja kubawa ku nsi yaabwe newakubadde awalinnyibwa n'ekigere: kubanga nawa Esawu olusozi Seyiri okuba obutaka.
6 Munaagulanga emmere na ffeeza gye bali mulyenga; era n'amazzi munaagagulanga na ffeeza gye bali munywenga.
7 Kubanga Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo: yamanya okutambula kwo mu ddungu lino eddene: emyaka gino amakumi ana Mukama Katonda wo ng'abeera wamu naawe; tewabangawo kye wabulwa:
8 Awo ne tuyita ku mabbali baganda baffe abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, mu kkubo lya Alaba okuva mu Erasi ne Ezyonigeba. Ne tukyuka ne tuyita mu kkubo ly'omu ddungu lya Mowaabu.
9 Mukama n'aŋŋamba nti Tosunguwaza Mowaabu so tolwana nabo mu lutalo: kubanga sijja kukuwa ku nsi ye okuba obutaka; kubanga nawa abaana ba Lutti Ali okuba obutaka.
10 (Abemi baatuulanga omwo olubereberye, eggwanga ekkulu, era eddene era eggwanvu nga Abanaki bwe bali;
11 era nabo baayitibwa Balefa, nga Abanaki bwe bali; naye Abamowaabu baabayita Bemi.
12 Era n'Abakooli baatuulanga ku Seyiri olubereberye, naye abaana ba Esawu ne babasikira; ne babazikiriza mu maaso gaabwe, ne batuula mu kifo kyabwe; nga Isiraeri bwe yakola ensi ey'obutaka bwe Mukama gye yabawa.)
13 Kale mugolokoke musomoke akagga Zeredi. Ne tusomoka akagga Zeredi.
14 Era ennaku ze twamala kasookedde tuva e Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi zaali emyaka amakumi asatu mu munaana; okutuusa emirembe gyonna egy'abalwanyi lwe baggweerawo wakati mu lusiisira, nga Mukama bwe yabalayirira.
15 Era omukono gwa Mukama gwalwananga nabo, okubazikiriza wakati mu lusiisira, okutuusa lwe baggwaawo.
16 Awo olwatuuka, abalwanyi bonna bwe baamala okuggwaawo era nga bafudde mu bantu,
17 Mukama n'alyoka aŋŋamba nti
18 Leero onooyita mu Ali, ye nsalo ya Mowaabu:
19 era bw'onoosemberera abaana ba Amoni era ng'oboolekedde, tobasunguwaza so toyomba nabo: kubanga sijja kukuwa ku nsi y'abaana ba Amoni okuba obutaka: kubanga nagiwa abaana ba Lutti okuba obutaka.
20 (Era n'eyo eyitibwa nsi ya Balefa: Balefa baagituulangamu edda; naye Abamoni baabayita Bazamuzumu;
21 eggwanga ekkulu era eddene era eggwanvu. nga Abanaki bwe bali; naye Mukama yabazikiriza mu maaso gaabwe; ne babasikira ne batuula mu kifo kyabwe:
22 nga bwe yakola abaana ba Esawu, abaatuula ku Seyiri, bwe yazikiriza Abakooli mu maaso gaabwe; ne babasikira, ne batuula mu kifo kyabwe okutuusa leero:
23 n'Abavi abaatuulanga mu byalo okutuuka ku Gaza, Abakafutoli abaava mu Kafutoli ne babazikiriza ne batuula mu kifo kyabwe.)
24 Mugolokoke, mutambule, muyite mu kiwonvu kya Alunoni: laba, ngabudde mu mukono gwo Sikoni Omwamoli, kabaka w'e Kesuboni, n'ensi ye: tanula okugirya, olwane naye mu lutalo.
25 Leero naasooka okuteeka entiisa yo n'ekitiibwa kyo ku mawanga agali wansi w'eggulu lyonna, abaliwulira ettutumu lyo ne bakankana ne balumwa ku bubwo.
26 Ne ntuma ababaka okuva mu ddungu ery'e Kedemosi eri Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'ebigambo eby'emirembe, nga njogera nti
27 Mpite mu nsi yo: naatambuliranga mu luguudo, sijja kukyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono.
28 Emmere ononguzanga na ffeeza ndyenga; n’amazzi onoonguzanga na ffeeza nywenga: kyokka mpitemu n'ebigere byange;
29 ng'abaana ba Esawu abatuula ku Seyiri, n'Abamowaabu abatuula mu Ali bwe bankola; okutuusa lwe ndisomoka Yoludaani okugenda mu nsi Mukama Katonda waffe gy'atuwa.
30 Naye Sikoni kabaka w'e Kesuboni n'atatuganya kuyita ku mabbali ge: kubanga Mukama Katonda wo yakakanyaza omwoyo gwe, n'amuwaganyaza omutima gwe alyoke amugabule mu mukono gwo nga leero.
31 Mukama n'aŋŋamba nti Laba, ntanudde okugabula Sikoni n'ensi ye mu maaso go: tanula okulya ensi ye olyoke ogisikire.
32 Sikoni n'alyoka asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna okulwanira e Yakazi.
33 Mukama Katonda waffe n'amugabula mu maaso gaffe; ne tumutta ye n'abaana be n'abantu be bonna.
34 Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo, ne tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato; tetwasigazaawo n'omu:
35 ente zokka ze twetwalira okuba omunyago, wamu n'ebyo bye twaggya mu bibuga bye twanyaga.
36 Okuva ku Aloweri ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, era okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu okutuusa ku Gireyaadi, tewali kibuga ekyatulema olw'obugulumivu bwakyo: Mukama Katonda waffe yagabula byonna mu maaso gaffe:
37 kyokka tewasemberera nsi y'abaana ba Amoni: oluuyi lwonna olw'omugga Yaboki, n'ebibuga eby'omu nsi ey'ensozi, ne yonna Mukama Katonda waffe gye yatugaana.
Essuula 3

1 Ne tulyoka tukyuka ne twambukira mu kkubo erigenda e Basani: Ogi kabaka We Basani n'asitula okutulumba, ye n'abantu be bonna, okulwanira Ederei.
2 Mukama n'aŋŋamba nti Tomutya: kubanga mmugabudde ye n'abantu be bonna n'ensi ye mu mukono gwo; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli abaatuulanga mu Kesuboni.
3 Awo Mukama Katonda waffe n'agabula mu mukono gwaffe ne Ogi kabaka We Basani n'abantu be bonna: ne tumutta okutuusa lwe watamusigalirawo n'omu:
4 Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo; tewali kibuga kye tutaabanyagaako; ebibuga nkaaga, ensi yonna eya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
5 Ebyo byonna byali bibuga ebyazimbibwako bbugwe omuwanvu n'enzigi n'ebisiba; obutassaako bibuga ebitaalina bbugwe bingi nnyo:
6 Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato.
7 Naye ente zonna n'ebyo bye twanyaga mu bibuga, ne twetwalira okuba omunyago.
8 Era mu biro ebyo ne tuggya ensi mu mukono gwa bakabaka bombi ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, okuva mu kiwonvu kya Alunoni okutuusa ku lusozi Kerumooni;
9 (Kerumooni Abasidoni bamuyita Siriyooni, n'Abamoli bamuyita Seniri;)
10 ebibuga byonna eby'omu lusenyi, ne Gireyaadi yonna, ne Basani yonna, okutuusa ku Saleka ne Ederei, ebibuga by'obwakabaka bwa Ogi mu Basani:
11 (Kubanga Ogi kabaka w'e Basani ye yasigalawo yekka ku abo abaasigalawo ku Balefa; laba, ekitanda kye kyali kya kyuma; tekiri mu Labba eky'abaana ba Amoni? obuwanvu bwakyo emikono mwenda, n'obugazi bwakyo emikono ena, ng'omukono gw'omuntu bwe guli.)
12 N'ensi eyo ne tugirya mu biro ebyo: okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kya Alunoni, n'ekitundu ky'ensi ey'ensozi eya Gireyaadi, n'ebibuga byayo n'abiwa Abalewubeeni n'Abagaadi:
13 n'ekitundu kya Gireyaadi ekyasigalawo, ne Basani yonna, obwakabaka bwa Ogi, nabiwa ekitundu ky'ekika kya Manase; ensi yonna eya Alugobu, ye Basani yonna, (Eyo eyitibwa nsi ya Balefa.
14 Yayiri mutabani wa Manase n'atwala oluuyi lwonna olwa Alugobu okutuuka ku nsalo y'Abagesuli n'Abamaakasi; n'agituuma ye Basani, ng'erinnya lye bwe lyali, Kavosuyayiri, okutuusa leero.)
15 Gireyaadi n'empaayo Makiri,
16 N'Abalewubeeni n'Abagaadi ne mbawa okuva ku Gireyaadi okutuusa ku kiwonvu kya Alunoni, ekiwonvu ekya wakati, n'ensalo yaakyo; okutuusa ku mugga Yaboki, ye nsalo y'abaana ba Amoni;
17 era ne Alaba ne Yoludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Eyomunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba.
18 Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira.
19 Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe (mmanyi nga mulina ebisibo bingi) binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa;
20 okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa.
21 Ne ndagira Yoswa mu biro ebyo nga njogera nti Amaaso go galabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano bombi: bw'atyo Mukama bw'alikola obwakabaka bwonna gye musomoka okugenda.
22 Temubatyanga: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo y'abalwanirira.
23 Ne nneegayirira Mukama mu biro ebyo nga ajogera nti
24 Ai Mukama Katonda, otanudde okulaga omuddu wo obukulu bwo n'omukono gwo ogw'amaanyi; kubanga katonda ki ali mu ggulu oba mu nsi ayinza okukola ng'emirimu gyo bwe giri era ng'ebikolwa byo eby'amaanyi bwe biri?
25 Nsomoke, nkwegayirira, ndabe ensi ennungi eri emitala wa Yoludaani, olusozi luli olulungi, ne Lebanooni.
26 Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira: Mukama n'aŋŋamba nti Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo.
27 Linnya ku ntikko ya Pisuga, oyimuse amaaso go otunule ebugwanjuba n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba, olabe n'amaaso go: kubanga tolisomoka Yoludaani guno.
28 Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba.
29 Awo ne tutuula mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli.
Essuula 4

1 Ne kaakano, ggwe Isiraeri, wulira amateeka n'emisango, bye mbayigiriza, okubikolanga; mulyoke mube balamu, muyingire mulye ensi Mukama Katonda wa bajjajja bammwe gy'abawa.
2 Temwongeranga ku kigambo kye mbalagira, so temukisalangako, mukwatenga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbalagira.
3 Amaaso gammwe galabye Mukama kye yakola olwa Baalipyoli: kubanga abantu bonna abaagoberera Baalipyoli, Mukama Katonda wo yabazikiriza wakati mu mmwe.
4 Naye mmwe abeegatta ne Mukama Katonda wammwe mukyali balamu buli muntu ku mmwe leero.
5 Laba, mbayigirizza amateeka n'emisango, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mukolenga bwe mutyo wakati mu nsi gye muyingiramu okugirya.
6 Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe mu maaso g'amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab'amagezi era abategeera.
7 Kubanga, ggwanga ki eririna katonda abali okumpi nga Mukama Katonda waffe bw'ali bwe tumukoowoolanga?
8 Era ggwanga ki ekkulu eririna amateeka n'emisango egy'ensonga ng'amateeka gano gonna bwe gali, ge ntadde mu maaso gammwe leero?
9 Kyokka weegendereze weekuume emmeeme yo ng'onyiikira, oleme okwerabira ebigambo amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez'obulamu bwo; naye mubitegeezenga abaana bo n'abaana b'abaana bo;
10 olunaku lwe wayimirira mu maaso ga Mukama Katonda wo ku Kolebu, Mukama bwe yaŋŋamba nti Nkuŋŋaanyiza abantu, nange naabawuliza ebigambo byange, bayige okuntyanga ennaku zonna ze banaabanga abalamu ku nsi, era bayigirizenga abaana baabwe.
11 Ne musembera ne muyimirira wansi w'olusozi; olusozi ne lwaka n'omuliro okutuusa ku mutima gw'eggulu, n'ekizikiza, n'ekire, n'ekizikiza ekikutte.
12 Mukama n'ayogera nammwe ng'ayima wakati mu muliro: mwawulira eddoboozi ly'ebigambo, naye ne mutalaba kifaananyi kyonna; ddoboozi lyokka.
13 N'ababuulira endagaano ye, gye yabalagira okukola, ge mateeka ekkumi; n'agawandiika ku bipande by'amayinja bibiri.
14 Mukama n'andagira mu biro ebyo okubayigiriza amateeka n'emisango, mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya.
15 Kale mwekuume nnyo; kubanga temwalaba kifaananyi kyonna kyonna ku lunaku Mukama lwe yayogera nammwe ku Kolebu ng'ayima wakati mu muliro:
16 mulemenga okweyonoona ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kifaanana ekintu kyonna, ekifaananyi ky'ekisajja oba eky'ekikazi,
17 ekifaananyi ky'ensolo yonna eri ku nsi, ekifaananyi ky'ennyonyi yonna erina ebiwaawaatiro ebuuka mu bbanga,
18 ekifaananyi ky'ekintu kyonna ekyewalula ku ttaka, ekifaaaanyi ky'ekyennyanja kyonna ekiri mu mazzi wansi w'ettaka:
19 era olemenga okuyimusa amaaso go mu ggulu, n'olaba enjuba n'omwezi n'emmunyeenye, lye ggye lyonna ery'omu ggulu, n'osendebwasendebwa n'obisinza, n'obiweereza, Mukama Katonda wo bye yagabira amawanga gonna agali wansi w'eggulu lyonna:
20 Naye Mukama yabatwala n'abaggya mu kikoomi eky'ekyuma, mu Misiri, okuba gy'ali abantu ab'envuma, nga leero.
21 Era nate Mukama yansunguwalira nze ku lwammwe, n'alayira nze obutasomoka Yoludaani, newakubadde okuyingira mu nsi eyo ennungi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obutaka:
22 naye kiŋŋwanira okufiira mu nsi muno, tekiŋŋwanira kusomoka Yoludaani: naye mmwe mulisomoka: ne mulya ensi eyo ennungi.
23 Mwekuume mulemenga okwerabira endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yalagaana nammwe, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, Mukama Katonda wo kye yakugaana.
24 Kubanga Mukama Katonda wo gwe muliro ogwokya, Katonda ow'obuggya.
25 Bw'onoozaalanga abaana n'abaana b'abaana, era nga mumaze ebiro bingi mu nsi, era nga mumaze okweyonoona, ne mwekolera ekifaananyi ekyole nga kirina engeri y'ekintu kyonna, ne mukola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, okumusunguwaza:
26 mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa eri mmwe leero, nga mulizikiririra ddala mangu ku nsi gye musomokera Yoludaani okugendamu okugirya; temuligimalako nnaku nnyingi, naye mulizikiririra ddala.
27 Era Mukama alibasaasaanya mu mawanga, era mulisigalawo batono mu bantu, Mukama gy'alibatwala ewala.
28 Era muliweerereza eyo bakatonda, emirimu gy'emikono gy'abantu, emiti n'amayinja, ebitalaba newakubadde okuwulira newakubadde okulya newakubadde okuwunyiriza.
29 Naye nga muyima eyo bwe munaanoonyanga Mukama Katonda wo, onoomulabanga bw'onoomunoonyanga n'omutima gwo gwonna n'obulamu bwo bwonna.
30 Bw'onooba ng'olabye ennaku; era ebyo byonna nga bikujjidde; mu nnaku ez'enkomerero onookomangawo eri Mukama Katonda wo, era onoowuliranga eddoboozi lye;
31 kubanga Mukama Katonda wo Katonda wa kusaasira; taakulekenga, so taakuzikirizenga, so teyeerabirenga ndagaano ya bajjajja bo gye yabalayirira.
32 Kubanga kale buuza ennaku ez'edda ezaakusooka, okuva ku lunaku Katonda lwe yatonda abantu ku nsi, era okuva ku nkomerero y'eggulu okutuuka ku nkomerero yaalyo, oba nga waabangawo ekifaanana ng'ekigambo kino ekikulu; oba kyawulirwanga ekiri bwe kityo.
33 Waabangawo abantu abaawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera nga liva wakati mu muliro, nga ggwe bwe wawulira, ne baba balamu?
34 Oba Katonda yali agezezzaako okugenda okwetwalira eggwanga ng'aliggya wakati mu ggwanga linnaalyo, n'okukema n'obubonero n'eby'amagero n'entalo n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa n'eby'entiisa ebikulu, nga byonna bwe byali Mukama Katonda wammwe bye yabakolera mu Misiri mu maaso gammwe?
35 Ggwe walagibwa bw'otyo olyoke omanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala wabula ye.
36 Yakuwuliza eddoboozi lye ng'ayima mu ggulu alyoke akuyigirize: ne ku nsi yakulabya omulimu gwe omunene; n'owulira ebigambo bye nga biva wakati mu muliro.
37 Era kubanga yayagala bajjajja bo, kyeyava alonda ezzadde lyabwe eriddawo, n'akuggya mu Misiri ye ng'abeera naawe olw'obuyinza bwe obungi;
38 okugoba mu maaso go amawanga agaakusinga obukulu n'amaanyi, okukuyingiza ggwe, okukuwa ensi yaabwe okuba obutaka, nga leero.
39 Kale manya leero, era okisse ku mwoyo, nga Mukama ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi: tewali mulala.
40 Era oneekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye, bye nkulagira leero, olabenga ebirungi ggwe n'abaana bo abaliddawo, era omale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama Katonda wo gy'akuwa, emirembe gyonna.
41 Awo Musa n'alyoka ayawula ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba;
42 omussi addukirenga omwo, anattanga munne ng'ataniddwa; so nga tamukyawanga; addukirenga mu kimu ku bibuga ebyo abeerenga omulamu;
43 Bezeri ekiri mu ddungu, mu lusenyi, okuba eky'Ababalewubeeni; ne Lamosi ekiri mu Gireyaadi okuba eky'Abagaadi; ne Golani ekiri mu Basani okuba eky'Abamanase.
44 Era gano ge mateeka Musa ge yateeka mu maaso g'abaana ba Isiraeri:
45 buno bwe bujulirwa n'amateeka n'emisango Musa bye yabuulira abaana ba Isiraeri bwe baava mu Misiri;
46 emitala wa Yoludaani, mu kiwonvu ekyolekera Besupyoli, mu nsi ya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga mu Kesuboni, Musa n'abaana ba Isiraeri gwe baakuba, bwe baava mu Misiri:
47 ne balya ensi ye, n'ensi ya Ogi kabaka We Basani, bakabaka bombi ab'Abamoli, abaabanga emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba;
48 okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu kye Alunoni, okutuusa ku lusozi Sayuuni (oyo Ye Kerumooni),
49 ne Alaba yonna emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okutuusa ku nnyanja ya Alaba, awali entunnumba za Pisuga.
Essuula 5

1 Awo Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, amateeka n'emisango bye njogera mu matu gammwe leero, mubiyige, mubikwatenga okubikola.
2 Mukama Katonda waffe yalagaanira endagaaao naffe ku Kolebu.
3 Mukama teyalagaana ndagaano eyo ne bajjajja baffe, naye naffe ffe, abali wano fenna nga balamu leero.
4 Mukama Yayogera nammwe nga mulabagana n'amaaso ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro,
5 (nnayimirira wakati wa Mukama nammwe mu biro ebyo, okubalaga ekigambo kya Mukama: kubaaga mwali mutidde olw'omuliro ne mutalinnya ku lusozi;) ng'ayogera nti
6 Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
7 Tobanga na bakatonda balala we ndi.
8 Teweekoleranga kifaananyi kyole, ekifaananyi ky'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, newakubadde wansi ku ttaka, newakubadde mu mazzi agali wansi w'ettaka:
9 tobivuunamiranga, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, awalana ku baaaa obubi bwa bajjajja baabwe, ne ku bannakabirye ne ku bannakasatwe ku abo abankyawa;
10 era addiramu abantu nkumi na nkumi ku abo abanjagala, abeekuuma amateeka gange.
11 Tolayiriranga bwereere linnya lya Mukama Katonda wo: kubanga Mukama talimutowooza nga taliiko musango omuntu alayirira obwereere erinnya lye.
12 Okwatanga olunaku olwa ssabbiiti okulutukuza, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira.
13 Ennaku omukaaga okolanga n'omala emirimu gyo gyonna:
14 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ya Mukama Katonda wo: tolukolerangako mirimu gyonna ggwe newakubadde mutabani wo newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo; newakubadde ente yo, newakubadde endogoyi yo, newakubadde ebisolo byo byonna, newakubadde munnaggwanga wo ali ewuwo; omuddu wo n'omuzaana wo bawummulenga: era nga naawe.
15 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akuggyamu n'engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa: Mukama Katonda wo kyeyava akulagira okwekuumanga olunaku olwa ssabbiiti.
16 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira: ennaku zo zibe nnyingi, era olabe ebirungi ku nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
17 Tottanga.
18 So toyendanga:
19 So tobbanga.
20 So towaayirizanga muntu munno:
21 So teweegombanga mukazi wa muntu munno, so toyaayaaniranga nnyumba ya muntu munno, newakubadde ennimiro ye, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna ekya muntu munno.
22 Ebigambo ebyo Mukama yabibuulira ekibiina kyammwe kyonna ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ne mu kire ne mu kizikiza ekikutte, n'eddoboozi ddene: n'atayongerako birala. N'abiwandiika ku bipande bibiri eby'amayinja n'agampa:
23 Awo olwatuuka, bwe mwawulira eddoboozi nga liva mu kizikiza wakati, olusozi nga lwaka omuliro, ne munsemberera, abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakadde bammwe;
24 ne mwogera nti Laba, Mukama Katonda waffe atulaze ekitiibwa kye n'obukulu bwe, era tuwulidde eddoboozi lye nga liva mu muliro: wakati: tulabye leero nga Katonda ayogera n'omuntu n'aba mulamu:
25 Kale kaakano twandifiiridde ki? kubanga omuliro guno omungi gunaatuzikiriza: bwe tunaawulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda waffe, tunaafa.
26 Kubanga ani ku balina omubiri bonna eyali awulidde eddoboozi lya Katonda omulamu nga lyogera nga liva mu muliro wakati, nga ffe bwe tuwulidde, n'aba mulamu?
27 Ggwe sembera owulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaayogera: olyoke otubuulire byonna Mukama Katonda waffe by'anaakubuulira; naffe tulibiwulira ne tubikola.
28 Mukama n'awulira eddoboozi ly'ebigambo byammwe bwe mwayogera nange; Mukama n'aŋŋamba nti Mpulidde eddoboozi ly'ebigambo by'abantu bano, bye bakubuulidde: boogedde bulungi byonna bye bagambye.
29 Singa mulimu omutima mu bo ogufaanana bwe guti n'okutya bandintidde ne beekuumanga ebiragiro byange byonna ennaku zonna, balyoke balabe ebirungi n'abaana baabwe emirembe gyonna
30 Genda obagambe nti Muddeeyo mu weema zammwe.
31 Naye ggwe, yimirira wano we ndi; nange n'akubuulira ekiragiro kyonna n'amateeka n'emisango by'olibayigiriza, balyoke babikolenga mu nsi gye mbawa okugirya.
32 Kale munaakwatanga okukola nga Mukama Katonda wammwe bwe yabalagira: temukyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
33 Munaatambuliranga mu kkubo lyonna Mukama Katonda wammwe lye yabalagira, mulyoke mubenga abalamu, era mulabe ebirungi, era mumale ennaku nnyingi mu nsi gye mulirya.
Essuula 6

1 Kale kino kye kiragiro, amateeka n'emisango, Mukama Katonda wammwe bye yalagira okubayigiriza, mulyoke mubikolenga mu nsi gye musomokera okugendamu okugirya:
2 otyenga Mukama Katonda wo, okwekuumanga amateeka ge gonna n'ebiragiro bye bye nkulagira ggwe n'omwana wo n'omuzzukulu wo, ennaku zonna ez'obulamu bwo; era olyoke owangaale ennaku nnyingi.
3 Kale wulira, ggwe Isiraeri, okwatenga okukola kutyo; olabenga ebirungi, era mwale nnyo, nga Mukama Katonda wa bajjajja bo bwe yakusuubiza, mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
4 Wulira, ggwe Isiraeri: Mukama Katonda waffe ye Mukama omu:
5 era onooyagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, n'amaanyi go gonna.
6 Era ebigambo bino bye nkulagira leero binaabanga ku mutima gwo:
7 era onoonyiikiranga okubiyigiriza abaana bo, era onoobyogerangako bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga:
8 Era onoobisibanga okuba akabonero ku mukono gwo, era binaabanga eby'oku kyenyi wakati w'amaaso go.
9 Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo, ne ku nzigi zo.
10 Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo okugikuwa: ebibuga ebinene ebirungi by'otaazimba,
11 n'ennyumba ezijjula ebirungi byonna, z'otajjuza, n'ebidiba ebyasimibwa, by'otaasima, ensuku ez'emizabibu n'emizeyituuni gy'otaasimba, n'olya n'okkuta;
12 n'olyoka weekuuma olemenga okwerabira Mukama: eyakuggya mu nsi y'e Misiri; mu nnyumba y'obuddu.
13 Onootyanga Mukama Katonda wo; era oyo onoomuweerezanga, era erinnya lye ly'onoolayiranga.
14 Temugobereranga bakatonda balala, ku bakatonda ab'amawanga agabeetoolodde;
15 kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wammwe ye Katonda ow'obuggya; obusungu bwa Mukama Katonda wo buleme okukubuubuukirako, n'akuzikiriza okukuggya ku maaso g'ensi.
16 Temukemanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwamukemera e Masa.
17 Munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe n'ebyo bye yategeeza; n'amateeka ge, ge yakulagira:
18 Era onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekituukirivu era ekirungi: olyoke olabenga ebirungi, era oyingire olye ensi ennungi Mukama gye yalayirira bajjajja bo,
19 okugobamu abalabe bo bonna mu maaso go, nga Mukama bwe yayogera.
20 Omwana wo bw'akubuuzanga mu biro ebigenda okujja, ng'ayogera nti Ebyo bye yategeeza, n'amateeka, n’emisango Mukama Katonda waffe bye yabalagira; amakulu gaabyo ki?
21 n'olyoka ogamba omwana wo, nti Twali baddu ba Falaawo mu Misiri; Mukama n’atuggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi:
22 era Mukama n’alaga obubonero n'eby'amagero, ebinene era ebizibu, ku Misiri, ku Falaawo, ne ku nnyumba ye yonna, mu maaso gaffe:
23 n'atuggya omwo, alyoke atuyingize, okutuwa ensi gye yalayirira bajjajja baffe.
24 Era Mukama n'atulagira okukolanga amateeka ago gonna, okutyanga Mukama Katonda waffe, olw'obulungi bwaffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga tuleme okufa, nga leero.
25 Era kinaabanga butuukirivu gye tuli, bwe tunaakwatanga okukola ekiragiro kino kyonna mu maaso ga Mukama Katonda waffe nga bwe yatulagira.
Essuula 7

1 Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogenda okulya, n'asimbula mu maaso go amawanga mangi, Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omwamoli, n'Omukanani; n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, amawanga musanvu agakusinga obukulu n'amaanyi;
2 era Mukama Katonda wo bw'alibagabula mu maaso go, naawe n'obatta; n'olyoka obazikiririza ddala; tolagaananga nabo ndagaano yonna, so tobalaganga kisa:
3 so tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo.
4 Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu.
5 Naye bwe muti bwe munaabakolanga; munaamenyaamenyanga ebyoto byabwe, mu naabetentanga n'empagi zaabwe, munaatemaatemanga ne Baasera baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebyole munaabyokyanga omuliro.
6 Kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.
7 Mukama teyabassaako kwagala kwe, so teyabalonda, kubanga mwasinga eggwanga lyonna obungi; kubanga mwali batono okusinga amawanga gonna:
8 naye kubanga Mukama abaagala, era kubanga ayagala okukwata ekirayiro kye yalayirira bajjajja bammwe, Mukama kyeyava abaggyamu n'engalo ez'amaanyi, n'abanunula mu nnyumba y'obuddu, mu mukono gwa Falaawo kabaka w’e Misiri.
9 Kale manya nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye okutuusa emirembe olukumi;
10 asasula abo abamukyawa ng'alabagana n'amaaso, okubazikiriza: taddirirenga eri oyo amukyawa, naye anaamusasulanga ng'alabagana n'amaaso.
11 Kale oneekuumanga ekiragiro ekyo, n'amateeka, n'emisango, bye nkulagira leero, okubikolanga.
12 Awo olulituuka kubanga muwulira emisango gino; ne mugikwata, ne mugikola; Mukama Katonda wo anaakukwatiranga endagaano n'okusaasira bye yalayirira bajjajja bo:
13 era anaakwagalanga anaakuwanga omukisa, anaakwazanga: era anaawanga omukisa ebibala by'omubiri gwo n'ebibala by'ettaka lyo, eŋŋaano yo envinnyo yo n'amafuta go, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo, mu nsi gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.
14 Onoobanga n'omukisa okusinga amawanga gonna: tewaabenga mugumba mu mmwe newakubadde omusajja newakubadde omukazi, newakubadde mu bisibo byo.
15 Era Mukama anaakuggyangako obulwadde bwonna; so taakussengako n’emu ku ndwadde embi ez'e Misiri, z'omanyi; naye anaazissanga ku abo bonna abakukyawa.
16 Era onoozikirizanga amawanga gonna Mukama Katonda wo g'anaakugabulanga; amaaso go tegaabasaasirenga: so toweerezanga bakatonda baabwe; kubanga ekyo kinaabanga kyambika gy'oli.
17 Bw'onooyogeranga m mutima gwo nti Amawanga gano gansinga obungi; nnyinza ntya okubanyaga?
18 tobatyanga; onojjukiriranga ddala Mukama Katonda wo bwe yakola Falaawo, ne Misiri yonna;
19 okukemebwa okunene amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero, n’engalo ez'amaanyi, n'omukono ogwagololwa Mukama Katonda wo bye yakuggisaamu: bw'atyo Mukama Katonda wo bw'anaakolanga amawanga gonna g'otya.
20 Era Mukama Katonda wo anaatumanga mu bo ennumba okutuusa abo abalisigalawo ne beekweka lwe balizikirira mu maaso ge.
21 Tobatekemukiranga: kubanga Mukama Katonda wo ali wakati wo, Katonda omukulu era ow'entiisa.
22 Era Mukama Katonda wo anaasimbulanga amawanga gali mu maaso go kinnalimu; toliyinza kubamalawo mulundi gumu, ensolo ez'omu nsiko zireme okweyongera okukuyinga.
23 Naye Mukama Katonda wo anaabagabulanga mu maaso go; era anaabeeraliikirizanga okweraliikirira okungi, okutuusa lwe balizikirira.
24 Era anaagabulanga bakabaka baabwe mu mukono gwo, era onoozikirizanga erinnya lyabwe okuva wansi w'eggulu: tewaabenga muntu anaayinzanga okuyimirira mu maaso go, okutuusa lw'olibazikiriza.
25 Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga omuliro: teweegombanga ffeeza newakubadde zaabu ebiriko, so teweetwaliranga, oleme okutegebwa mu ebyo: kubanga mizizo eri Mukama Katonda wo:
26 so toleetanga kintu kya muzizo mu nnyumba yo, naawe n'ofuuka ekyakolimirwa okufaanana nga kyo: onookikyayiranga ddala, era onookitamirwanga ddala; kubanga kiatu ekyakolimirwa.
Essuula 8

1 Ekiragiro kyonna kye nkulagira leero munaakikwatanga okukikola, mulyoke mubenga abalamu, mwalenga, muyingire mulye ensi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe.
2 Era onojjukiranga olugendo lwonna Mukama Katonda wo lwe yakutambuliza emyaka gino amakumi ana mu ddungu, akutoowaze, akukeme, okumanya ebyali mu mutima gwo, oba ng'ogenda okwekuumanga ebiragiro bye oba si weewaawo.
3 N'akutoowaza, n'akulumya enjala, n'akuliisa emmaanu, gye wali tomanyi, so ne bajjajja bo tebagimanyanga; akutegeeze ng'omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye olwa buli ekiva mu kamwa ka Mukama omuntu kyava aba omulamu.
4 Ebyambalo byo tebyakaddiyiranga ku ggwe, so n'ekigere kyo tekyazimbanga, emyaka gino amakumi ana.
5 Era onoolowoozanga mu mutima gwo ng'omuntu nga bw'akangavvula omwana we, bw'atyo Mukama Katonda wo bw'akukangavvula ggwe.
6 Era oneekuumanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n’okumutyanga.
7 Kubanga Mukama Katonda wo akuyingiza mu nsi ennungi, ensi ey'emigga gy'amazzi, ey'enzizi n'ebidiba, agakulukutira mu biwonvu ne ku nsozi;
8 ensi ey'eŋŋaano ne sayiri; n'emizabbibu n'emitiini n’emikomamawanga;
9 ensi mw'onooliiranga emmere n'etebula, toobengako ky'obulwa omwo; ensi amayinja gaayo kyuma, ne mu nsozi zaayo oyinza okusima ebikomo.
10 Era onoolyaaga n'okkuta, ne weebaza Mukama Katonda wo olw'ensi ennungi gye yakuwa.
11 Weekuumenga oleme okwerabira Mukama Katonda wo, obuteekuumanga biragiro bye n'emisango gye n'amateeka ge bye nkulagira leero:
12 bw'onoomalanga okulya n'okkuta, era ng'omaze okuzimba ennyumba ennungi n'okutuula omwo;
13 era ente zo n’embuzi zo nga zaaze, n'effeeza yo ne zaabu yo nga zaaze, ne byonna by'olina nga byaze;
14 kale omutima gwo gulemenga okugulumizibwa, ne weerabira Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu;
15 eyakuyisa mu ddungu eddene era ery'entiisa, omwali emisota egy'omuliro n’enjaba ez'obusagwa, n'ettaka erirumwa ennyonta awatali mazzi; eyakuggira amazzi mu lwazi olw'embaalebaale;
16 eyakuliisiza mu ddungu emmaanu, bajjajja bo gye batamanyanga; akutoowaze, akukeme, akukole bulungi ku nkomerero yo:
17 era olemenga okwogera mu mutima gwo nti Obuyinza bwange n’amaanyi g'omukono gwange bye binfunidde obugagga buno.
18 Naye onojjukiraaga Mukama Katonda wo, kubanga oyo yakuwa obuyinza okufuna obugagga; anyweze endagaano ye gye yalayirira bajjajja bo, nga leero.
19 Awo olunaatuukanga, bw'oneerabiranga Mukama Katonda wo n'ogoberera bakatonda abalala n'obaweereza n'obasinza, mbategeeza leero nga temuulemenga kuzikirira.
20 Ng'amawanga Mukama g'azikiriza mu maaso gammwe, bwe munaazikiriranga bwe mutyo; kubanga temwakkiriza kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.
Essuula 9

1 Wulira, ggwe Isiraeri: ogenda okusomoka Yoludaani leero, okuyingira okulya amawanga agakusinga obunene n'amaanyi, ebibuga ebinene ebyazimbibwako ebigo okutuuka mu ggulu,
2 abantu abanene abawanvu, abaana b'Anaki, b'omanyi, era be wawulirako nga bagamba nti Ani ayinza okuyimirira mu maaso g'abaana ba Anaki?
3 Kale manya leero nga Mukama Katonda wo ye wuuyo asomoka okukukulembera ng'omuliro ogwokya; ye alibazikiriza, era alibamegga mu maaso go: bw'otyo bw'olibagobamu, n'obazikiriza mangu, nga Mukama bwe yakugamba.
4 Toyogeranga mu mutima gwo, Mukama Katonda wo bw'alimala okubasindika mu maaso go, ng'ogamba nu Olw'obutuukirivu bwange Mukama kyavudde annyingiza okulya ensi eno: kubanga olw'obubi bw'amawanga ago Mukama kyava agagoba mu maaso go.
5 Si lwa butuukirivu bwo so si lwa bugolokofu bwa mutima gwo, kyova oyingira okulya ensi yaabwe: naye olw'obubi bw'amawanga ago Mukama Katonda wo kyava agagoba mu maaso go, era alyoke anyweze ekigambo Mukama kye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
6 Kale manya nga Mukama Katonda wo takuwa nsi eno nnungi okugirya lwa butuukirivu bwo; kubanga oli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu.
7 Jjukira teweerabiranga bwe wasunguwaza Mukama Katonda wo mu ddungu: okuva ku lunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri okutuusa lwe mwajja mu kifo kino; mujeemera Mukama.
8 Era ne ku Kolebu mwasunguwaza Mukama, Mukama n'abanyiigira okubazikiriza.
9 Bwe nnali nga mmaze okulinnya ku lusozi okuweebwa ebipande eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano Mukama gye yalagaana nammwe, ne ndyoka mmala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi.
10 Mukama n’ampa ebipande bibiri eby'amayinja ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda; era ku byo kwawandiikibwa ng'ebigambo byonna bwe biri, Mukama bye yayogera nammwe ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako.
11 Awo olwatuuka ennaku amakumi ana bwe zaayitawo emisana n'ekiro, Mukama n'ampa ebipande ebibiri eby'amayinja, bye bipande eby'endagaano.
12 Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ove wano oserengete mangu: kubanga abantu bo be waggya mu Misiri beeyoonoonye; bakyamye mangu okuva mu kkubo lye nnabalagira; beekoledde ekifaanaayi ekisaanuuse.
13 Era Mukama ne yeeyongera n'aŋŋamba nti Ndabye eggwanga lino, era, laba, lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu:
14 ndeka mbazikirize, nsangule erinnya lyabwe wansi w'eggulu: era ndifuula ggwe eggwanga eribasinga amaanyi n'obukulu.
15 Awo ne nkyuka ne nva ku lusozi, era olusozi nga lwaka omuliro: n’ebipande eby'endagaano byombi nga biri mu mikono gyange gyombi.
16 Ne ntunula, era, laba, mwali mumaze okusobya ku Mukama Katonda wammwe; mwali mumaze okwekolera ennyana ensaanuuse: mwali mumaze okukyama amangu okuva mu kkubo Mukama lye yabalagira.
17 Ne nkwata ebipande byombi, ne mbisuula mu mikono gyange gyombi, ne mbimenya mu maaso gammwe.
18 Ne nvuunamira mu maaso ga Mukama, ng'olubereberye, ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; saalyanga mmere so saanywanga mazzi; olw'okwonoona kwammwe kwonna kwe mwayonoona, nga mukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi okumusunguwaza.
19 Kubanga natya obusungu n'ekiruyi, Mukama bwe yali abasunguwalidde okubazikiriza. Naye Mukama n’ampulira n'omulundi guli.
20 Mukama n’asunguwalira nnyo Alooni okumuzikiriza: era ne nsabira ne Alooni mu biro ebyo.
21 Ne nzirira ekibi kyammwe, ennyana gye mwali mukoze, ne ngyokya omuliro, ne ngisambirira, nga ngisekulasekula nnyo, okutuusa lwe yafaanana ng'enfuufu: ne nsuula enfuufu yaayo mu kagga akaserengeta okuva ku lusozi.
22 Era e Tabera, n’e Masa, n'e Kiberosukataava mwasunguwalizaayo Mukama.
23 Awo Mukama bwe yabatuma okuva e Kadesubanea, ng'ayogera nti Mwambuke mulye ensi gye mbawadde; ne mulyoka mujeemera ekiragiro kya Mukama Katonda wammwe, so temwamukkiriza, so temwawulira ddoboozi lye.
24 Mujeemera Mukama okuva ku lunaku lwe nnabamanya.
25 Awo ne nvuunamira mu maaso ga Mukama ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ze nnavuunamirira; kubanga Mukama yali ayogedde ng'agenda okubazikiriza.
26 Ne nsaba Mukama ne njogera nti Ai Mukama Katonda, tozikiriza bantu bo na busika bwo, be wanunula olw'obukulu bwo, be waggya mu Misiri n'engalo ez'amaanyi.
27 Jjukira abaddu bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo; totunuulira bukakanyavu bwa bantu bano newakubadde obubi bwabwe newakubadde okwonoona kwabwe:
28 ensi gye watuggyamu ereme okwogera nti Kubanga Mukama teyayinza kubaleeta: mu nsi gye yabasuubiza; era kubanga yabakyawa, kyeyava abafulumya mu ddungu okubatta.
29 Naye be bantu bo, era bwe busika bwo, be waggyamu n'obuyinza bwo obungi n’omukono gwo ogwagololwa.
Essuula 10

1 Mu biro ebyo Mukama n'aŋŋamba nti Weetemere ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, olinnye gye ndi ku lusozi, weekolere essanduuko ey'omuti.
2 Era nnaawandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye bye wamenya, era onoobiteeka mu ssanduuko.
3 Awo ne nkola essanduuko ey'omuti gwa sita, ne ntema ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye, ne nninnya ku lusozi, nga nkutte ebipande ebibiri mu ngalo zange.
4 N'awandiika ku bipande, ng'okuwandiika okw'olubereberye bwe kwali, amateeka ekkumi, Mukama ge yababuulira ku lusozi ng'ayima wakati mu muliro ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako Mukama n'abimpa.
5 Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko, gye nnali nkoze; era biri omwo, nga Mukama bwe yandagira.
6 (Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera: Alooni n'afiira eyo, era eye gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'aweerezanga mu bwakabona mu kifo kye.
7 Ne bavaayo ne batambula okutuuka e Gudugoda; ne bava e Gudugoda ne batambula okutuuka e Yotubasa, ensi ey'emigga egy'amazzi.
8 Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okwebazanga erinnya lye, ne leero.
9 Leevi kyava alema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda be; Mukama bwe busika bwe, nga Mukama Katonda we bwe yamugamba.)
10 Ne mmala ennaku amakumi ana emisana n’ekiro ku lusozi, ng'omulundi ogw'olubereberye: Mukama n'ampulira n'omulundi ogwo; Mukama nga tagenda kukuzikiriza.
11 Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka, otambule ku lugendo lwo ng'okulembera abantu; era baliyingira balirya ensi gye nnalayirira bajjajja baabwe okubawa:
12 Ne kaakano, Isiraeri, Mukama Katonda wo akwagaza ki wabula okutyanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okumwagala, n’okuweereza Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna,
13 okwekuumanga ebiragiro bya Mukama n'amateeka ge, bwe nkulagira leero olw'obulungi bwo?
14 Laba, Mukama Katonda wo ye nnannyini ggulu, n'eggulu erya waggulu, ensi era n'ebigirimu byonna.
15 Mukama yasanyukira busanyukizi bajjajja be okubaagala, n'alonda ezzadde lyabwe eryaddawo, ye mmwe okusinga amawanga gonna, nga leero.
16 Kale mukomole ekikuta ky'omutima gwammwe, so temubanga nate ba nsingo nkakanyavu.
17 Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda era Mukama w'abaami, Katonda omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, atatya maaso ga bantu, so talya nguzi.
18 Asalira omusango mulekwa ne nnamwandu, era ayagala munnaggwanga, ng'amuwa eby'okulya n'eby'okwambala.
19 Kale mwagalenga munnaggwanga: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi y'e Misiri.
20 Onootyanga Mukama Katonda wo; eyo gw'onooweerezanga; era eyo gw'oneegattanga naye, n'erinnya lye ly'onoolayiranga.
21 Oyo lye ttendo lyo, era ye Katonda wo, eyakukolera ebyo ebikulu era eby'entiisa, amaaso go bye gaalaba.
22 Bajjajja bo baaserengeta mu Misiri nga bali abantu nsanvu; ne kaakano Mukama Katonda wo akufudde ng'emmuyeenye ez'omu ggulu olw'obungi.
Essuula 11

1 Kale onooyagalanga Mukama Katonda wo, ne weekuuma bye yakuutira n'amateeka ge n'emisango gye n'ebiragiro bye ennaku zonna.
2 Era mumanye leero: kubanga soogera na baana bammwe abatannamanya era abatannalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, obukulu bwe, engalo ze ez'amaanyi, n'omukono gwe ogwagololwa,
3 n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri Falaawo kabaka w’e Misiri n'ensi ye yonna;
4 era kye yakolera eggye ery'e Misiri; embalaasi zaabwe n'amagaali gaabwe; bwe yabakulukusizaako amazzi ag'Ennyanja Emmyufu bwe baali nga babagoberera, era Mukama bwe yabazikiriza okutuusa leero;
5 era bye yabakolera mu ddungu okutuusa lwe mwajja mu kifo kino;
6 era kye yakola Dasani ne Abiramu, abaana ba Eriyaabu, omwana wa Lewubeeni; ensi bwe yayasamya akamwa kaayo, n'ebamira bugobo, n'ab'omu nnyumba zaabwe, n'eweema zaabwe na buli kintu kiramu ekyabagoberera, wakati mu Isiraeri yenna:
7 naye amaaso gammwe gaalabanga omulimu gwonna omukulu ogwa Mukama gwe yakola.
8 Kale muneekuumanga ekiragiro kyonna kye nkulagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, muyingire mulye ensi gye musomokera okugendamu okugirya;
9 era mulyoke mumale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okugibawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
10 Kubanga ensi gy'oyingiramu okugirya, tefaanana ng'ensi y'e Misiri mwe mwava, mwe wasigiranga ensigo zo n'ogifukirira amazzi n'ekigere kyo, ng'ennimiro y'enva:
11 nate ensi gye musomokera okugendamu okugirya ye asi ey'ebiwonvu n'ensozi, enywa amazzi ag'enkuba eva mu ggulu:
12 ensi Mukama Katonda wo gy'ayagala; amaaso ga Mukama Katonda wo gaba ku yo ennaku zonna, okuva omwaka we gusookera okutuusa ku nkomerero ya gwo.
13 Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna,
14 naatonnyesanga enkuba y'ensi yammwe mu ntuuko zaayo, enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, okungulenga eŋŋaano yo n’envinnyo yo n'amafuta go.
15 Era naawanga omuddo mu nnimiro zo olw'ebisibo byo era onoolyanga n'okkuta.
16 Mwekuumenga omutima gwammwe guleme okulimbibwa, ne mukyama, ne muweereza bakatonda abalala, ne mubasinza;
17 obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba obutatonnyanga, n'ensi obutabalanga bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva ku nsi ennungi Mukama gy'abawa.
18 Kale mutereke, ebigambo byange ebyo mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; era munaabisibanga okuba akabonero ku mikono gyammwe, era binaabanga eby'oku kyenyi, wakati w'amaaso gammwe.
19 Era munaabiyigirizanga, abaana bammwe nga mubinyumya, bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga.
20 Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo ne ku nzigi zo:
21 ennaku zammwe zeeyongerenga, n'ennaku ez'abaana bammwe, ku nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okubawa, ng'ennaku ez'eggulu eriri waggulu w'ensi.
22 Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ekiragiro kino kyonna kye mbalagira, okukikola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okwegatta naye;
23 Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mulya amawanga agabasinga obunene n'amaanyi.
24 Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga; omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey'omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe.
25 Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.
26 Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa;
27 omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero:
28 n'okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, naye ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga.
29 Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogendamu okugirya, oliteeka omukisa ogwo ku lusozi Gerizimu, n'okukolimirwa okwo ku lusozi Ebali.
30 Ezo teziri mitala wa Yoludaani, ennyuma w'ekkubo ery'ebugwanjuba, mu nsi ey'Abakanani abatuula mu Alaba, ekyolekera Girugaali, ku mabbali g'emyera gya Mole?
31 Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, era muligirya, ne mutuula omwo.
32 Era munaakwatanga okukola amateeka gonna n'emisango bye nteeka mu maaso gammwe leero.
Essuula 12

1 Gano ge mateeka n'emisango, bye munaakwatanga okukola mu nsi Mukama Katonda wa bajjajja bo gye yakuwa okugirya, ennaku zonna ze munaabeererangamu abalamu ku nsi.
2 Temulirema kuzikiriza bifo byonna amawanga ge mulirya mwe baaweererezanga bakatonda baabwe, ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi:
3 era munaasuulanga ebyoto byabwe, era munaamenyaamenyanga empagi zaabwe, era munaayokyanga Abaasera baabwe n'omuliro; era munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; era mulizikiriza erinnya lyabwe mu kifo omwo.
4 Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe.
5 Naye mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza mu bika byammwe byonna okuteeka omwo erinnya lye, kye kifo mw'atuula, munaanoonyangayo, era onojjangayo;
6 era munaaleetanga eyo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ssaddaaka zammwe, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, era n'ebibereberye by’ente zammwe n'eby’endiga zammwe:
7 era munaaliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye munassangako emikono gyammwe, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe, Mukama Katonda wo mwe yakuweera omukisa.
8 Temukolanga ng'ebyo byonna bwe biri bye tukola wano leero, buli muntu ekiri mu maaso ge ekirungi;
9 kubanga temunnatuuka mu kuwummula ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw'akuwa.
10 Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abasisa, n'abawa okuwummula eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga n'okutuula ne mutuula mirembe;
11 awo olulituuka mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, munaaleetanga eyo byonna bye mbalagira, ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ne ssaddaaka zammwe, ebitundu byammwe eby'ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwonna obusinga obulungi bwe mweyama Mukama:
12 era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'Omuleevi ali munda w'enzigi zammwe, kubanga talina mugabo newakubadde obusika wamu nammwe.
13 Weekuumenga oleme okuweerayo ebyo bye muwaayo ebyokebwa mu buli kifo ky'olaba:
14 naye mu kifo Mukama ky'alyeroboza mu kimu ku bika byammwe; eyo gy'onooweeranga ebyo bw'owaayo ebyokebwa era eyo gy'onookoleranga byonna bye nkulagira.
15 Naye oyinza okutta ennyama n'okugirya munda w'enzigi zo zonna, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga, ng'omukisa gwa Mukama Katonda wo gwe yakuwa: abatali balongoofu n'abalongoofu bayinza okugiryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
16 Kyokka temulyanga ku musaayi; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi:
17 Toliiranga munda w'enzigi zo kitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, newakubadde eky'envinnyo yo, newakubadde eky'amafuta go, newakubadde ebibereberye by'ente zo newakubadde eby'endiga zo, newakubadde ekintu kyonna ku ebyo bye weeyama, newakubadde ebyo by'owaayo ku bubwo, newakubadde ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwo:
18 naye onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo: era onoosanyukiranga ebyo byonna by'onossangako omukono gwo mu maaso ga Mukama Katonda wo.
19 Weekuumenga oleme okwabulira Omuleevi ennaku zonna z'onoobeererangamu omulamu ku nsi yo.
20 Mukama Katonda wo bw'aligaziya ensalo yo, nga bwe yakusuubiza, naawe n'oyogera nti Naalya ennyama, kubanga emmeeme yo eyagala okulya ennyama; oyinza okulya ennyama, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kuli.
21 Oba ng'ekifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye kiriyinga okukuba ewala, onottanga ku nte zo ne ku mbuzi zo, Mukama ze yakuwa, nga bwe nnakulagira, era onooliiranga munda w'enzigi zo, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga.
22 Ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa, bw'otyo bw'onoogiryangako: atali mulongoofu n'omulongoofu banaagiryangako okwenkanankana:
23 Kyokka weetegereze olemenga okulya ku musaayi: kubanga omusaayi bwe bulamu; so toliiranga bulamu wamu n'ennyama.
24 Togulyanga; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi.
25 Togulyanga; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi.
26 Kyokka ebitukuvu byo by'olina n'obweyamo bwo onoobiddiranga n'oyingira mu kifo Mukama ky'alyeroboza;
27 era onooweerangayo ebyo by'owaayo ebyokebwa; ennyama n'omusaayi, ku kyoto kya Mukama Katonda wo: era omusaayi gwa ssaddaaka zo gunaafukibwanga ku kyoto kya Mukama Katonda wo; naawe onoolyanga ennyama.
28 Kwata owulirenga ebigambo ebyo byonna bye nkulagira; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi era eky'ensonga;
29 Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga mu maaso go, gy'oyingira okugalya, n'ogalya, n'otuula mu nsi yaabwe;
30 weekuumenga oleme okutegebwa okugagoberera, bwe galimala okuzikirira mu maaso go; era olemenga okubuuza ebya bakatonda baabwe ng'oyogera nti Amawanga gano gaweereza gatya bakatonda baabwe? era nange bwe nnaakolanga bwe ntyo.
31 Tokolanga bw'otyo Mukama Katonda wo: kubanga buli kigambo Mukama ky'ayita eky'omuzizo ky'akyawa bali baakikolanga bakatonda baabwe: kubanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe baabookyanga omuliro eri bakatonda baabwe.
32 Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga okukola: tokyongerangako, so tokisalangako.
Essuula 13

1 Bwe wanaabangawo wakati mu ggwe nabbi oba omuloosi w'ebirooto, n'akuwa akabonero oba eky'amagero,
2 akabonero ako oba eky'amagero ekyo ne kituukirira, kye yakugambako ng'ayogera nti Tugobererenga bakatonda abalala b'otomanyanga, era tubaweerezenga;
3 towuliranga bigambo bya nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto oyo: kubanga Mukama Katonda wammwe ng'abakema okumanya nga mwagala Mukama Katonda wammwe n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna.
4 Munaatambulanga okugoberera Mukama Katonda wammwe ne mwekuumanga ebiragiro bye ne muwuliranga eddoboozi lye, era munaamuweerezaaga, ne mwegattanga naye.
5 Era nabbi oyo oba omuloosi w'ebirooto anattibwanga; kubanga ayogedde eby'okujeemera Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, n'akununula mu nnyumba y'obuddu, okukusendasenda okukyama okuva mu kkubo Mukama Katonda wo lye yakulagira okutambulirangamu. Bw'otyo bw'onoggyangamu obubi wakati mu ggwe.
6 Muganda wo, mutabani wa nnyoko, oba mutabani wo, oba muwala wo, oba omukazi ow'omu kifuba kyo, oba mukwano gwo, aliŋŋanga obulamu bwo ggwe, bw'akusendasendanga ekyama, ng'ayogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala, b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo;
7 ku bakatonda ab'amawanga ababeetoolodde, abali okumpi naawe, oba abakuli ewala okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi:
8 tomukkirizanga so tomuwuliranga; so n'eriiso lyo terimusaasiranga, so tosonyiwanga, so tomukwekanga:
9 naye tolemanga kumutta; omukono gwo gwe gunaasookanga okuba ku ye okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubaako.
10 Era onoomukubanga amayinja afe; kubanga agezezzaako okukusendasenda okuva ku Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
11 Ne Isiraeri yenna anaawuliranga, ne batya, ne batakola nate bubi obwenkana awo wakati mu ggwe,
12 Bw'onoowuliranga nga boogera ku kimu ku bibuga byo, Mukama Katonda wo by'akuwa okutuula omwo, nga bagamba nti
13 Waliwo abantu abataliiko kye bagasa abavudde wakati mu ggwe, era abasenzesenze abatuula mu kibuga kyabwe, nga boogera nti Tugende tuweereze bakatonda abalala be mutamanyanga;
14 onookeberanga n'onoonya n'obuuliriza; era laba, oba nga kya mazima, ekigambo ne kitegeerekeka, ng'eky'omuzizo ekyenkana awo kikolerwa wakati mu ggwe;
15 tolemanga kutta abatuula mu kibuga omwo n’obwogi bw'ekitala, ng'okizikiririza ddala ne byonna ebikirimu n'ebisibo byakyo, n'obwogi bw'ekitala.
16 Era onookuŋŋaanyanga omunyago gwakyo gwonna wakati mu luguudo lwakyo, n'oyokya ekibuga omuliro, n'omunyago gwonna buli kantu konna, eri Mukama Katonda wo: era kinaabanga kifunvu ennaku zonna; tekirizimbibwa nate.
17 So tewabanga ku kintu ekyakolimirwa ekineegattanga n'omukono gwo: Mukama akyuke okuleka obusungu bwe obukambwe, akulage ekisa, akusaasire, era akwaze, nga bwe yalayirira bajjajja bo;
18 bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okukolanga ekiri mu manso ga Mukama Katonda wo ekirungi.
Essuula 14

1 Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe: temwesalanga, so temumwanga kiwalaata kyonna wakati w'amaaso gammwe olw'abafu.
2 Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, era Mukama yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.
3 Tolyanga kintu kyonna kya muzizo.
4 Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n’embuzi,
5 enjaza n’empeewo n’ennangaazi n'embulabuzi n'entamu n'enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko.
6 Na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era ekirina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, eyo gye munaalyanga.
7 Naye zino ze mutalyangako ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ku ezo ezirina ekinuulo ekyaseemu: eŋŋamira n'akamyu n'omusu, kubanga bizza obwenkulumo, naye tebyawulamu kinuulo, ebyo si birongoofu gye muli:
8 n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, eyo si nnongoofu gye muli: ku nnyama yaabyo temugiryangako, n'emirambo gyabyo temugikomangako.
9 Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba munaakiryanga:
10 na buli ekitalina maggwa na magamba temukiryanga; si kirongoofu gye muli.
11 Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.
12 Naye zino ze mutalyangako: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;
13 ne wonzi, n'eddiirawamu, ne kamunye n'engeri ye;
14 na buli namuŋŋoona n'engeri ye;
15 ne maaya, n'olubugabuga, n’olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;
16 n'ekiwuugulu, n'ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu;
17 n'ekimbaala, n'ensega, n'enkobyokobyo;
18 ne kasiida, ne ssekanyolya n'engeri ye, n’ekkookootezi, n'ekinyira.
19 Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli: tebiriibwanga.
20 Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.
21 Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka: oyinza okukiwa munnaggwanga ali munda w'enzigi zo akirye; oba oyinza okukiguza munnaggwanga: kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina wagwo.
22 Tolemanga kusolooza kitundu kya kkumi ku bibala byonna eby'ensigo zo ebinaavanga mu nnimiro buli mwaka.
23 Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n’eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.
24 Era oba ng'olugendo lunaakuyinganga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;
25 onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Kafonda wo ky'alyeroboza:
26 kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:
27 n’Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe.
28 Buli myaka esatu bwe giggwangako, onoofulumyanga ekitundu kyonna eky'ekkumi eky'ebibala byo mu mwaka ogwo, n'okiterekanga munda w'enzigi zo:
29 n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe, ne munnaggwanga, ne mulekwa, ne namwandu abali munda w'enzigi zo, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo gw'okola.
Essuula 15

1 Buli myaka omusanvu bwe giggwangako, onoosumululanga.
2 Era eno ye ngeri y'okusumulula okwo: buli abanja anaasumululanga ekyo kye yawola muliraanwa we; takibanjanga muliraanwa we era muganda we; kubanga okusumulula kwa Mukama nga kulangiddwa.
3 Munnaggwanga oyinza okukimubanja: naye ekintu kyonna ku bibyo ekiri ne muganda wo omukono gwo gunaakisumululanga.
4 Naye tewaabenga baavu gy'oli, (kubanga Mukama taalemenga kukuwa mukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya;)
5 kyokka bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwatanga okukolanga ekiragiro kino kyonna kye nkulagira leero.
6 Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa, nga bwe yakusuubiza: era onoowolanga amawanga mangi, naye teweewolenga; era onoofuganga amawanga mangi, naye tebaakufugenga ggwe.
7 Bwe wanaabanga gy'oli omwavu, omu ku baganda bo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, tokakanyazanga mutima gwo, so tofunyanga ngalo zo eri muganda wo omwavu:
8 naye tolemanga kwanjuluza ngalo zo gy'ali, so tolemanga kumuwola ebinaamumalanga olw'okwetaaga kwe mu ekyo ky'abuliddwa.
9 Weekuumenga waleme okubaawo mu mutima gwo ekirowoozo ekikodo, ng'oyogera nti Omwaka ogw'omusanvu, omwaka ogusumululirwamu, gunaatera okutuuka; eriiso lyo ne liba bbi eri muganda wo omwavu, n'otomuwa kintu; n'akoowoola Mukama ng'akuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
10 Tolemanga kumuwa, so n'omutima gwo tegunakuwalanga bw'omuwa: kubanga olw'ekigambo ekyo Mukama Katonda wo kyanaavanga akuwa omukisa mu mulimu gwo gwonna ne mu byonna by'onossangako omukono gwo.
11 Kubanga abaavu tebaliggwaawo mu nsi ennaku zonna: kyenva nkulagira nga njogera nti Tolemanga kwanjuluza ngalo zo eri muganda wo, eri ababo abeetaaga, era eri abaavu bo, mu nsi yo.
12 Bwe bakuguzanga muganda wo, omusajja Omwebbulaniya oba mukazi Omwebbulaniya, n'amala emyaka mukaaga ng'akuweereza; mu mwaka ogw'omusanvu n'olyoka omuteeranga ddala okukuvaako.
13 Era bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako, tomutanga nga talina kintu:
14 onoomulabiranga ebingi ku mbuzi zo ne ku gguuliro lyo ne ku ssogolero lyo: nga Mukama Katonda wo bwe yakuwa omukisa, bw'onoomuwanga bw'otyo.
15 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula: kyenva nkulagira ekigambo ekyo leero.
16 Awo olunaatuukanga bw'anaakugambanga nti Sijja kufuluma kukuleka; kubanga akwagala ggwe n'ab'omu nnyumba yo, kubanga alaba ebirungi ewuwo;
17 n'olyoka oddiranga olukato, n'oluyisa mu kutu kwe n'okwasa n'oluggi, naye anaabeeranga muddu wo ennaku zonna. Era n'omuzaana wo bw'onoomukolanga bw'otyo.
18 Tolowoozanga nga kizibu bw'onoomuteeranga ddala okukuvaako; kubanga yakuweerereza emyaka mukaaga okusinga emirundi ebiri oyo aweerereza empeera: era Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola.
19 Ebibereberye byonna ebisajja ente zo n'embuzi zo bye zinaazaalanga onootukuzanga eri Mukama Katonda wo: tokozanga mulimu gwonna kibereberye kya nte yo, so tosalanga byoya bya kibereberye kya mbuzi zo.
20 Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo buli mwaka mu kifo Mukama ky'alyeroboza, ggwe n'ab'omu nnyumba yo.
21 Era bwe kinaabangako obulema bwonna, bwe kinaawenyeranga oba bwe kinaabanga ekizibe ky'amaaso, obulema bwonna bwonna obutali bulungi; tokiwangayo eri Mukama Katonda wo.
22 Onookiriiranga munda w'enzigi zo: abatali balongoofu n'abalongoofu banaakiryanga okwenkanankana, ng'empeewo era ng'enjaza.
23 Kyokka tolyanga musaayi gwakyo; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi.
Essuula 16

1 Okwatanga omwezi Abibu, weekuumenga Okuyitako eri Mukama Katonda wo: kubanga mu mwezi Abibu Mukama Katonda wo mwe yakuggira mu Misiri ekiro.
2 Era onottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi n, ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
3 Tolyanga mmere nzimbulukuse wamu nakwo; onoomalanga ennaku musanvu ng'olya emmere eteri nzimbulukuse wamu nakwo, ye mmere ey'okunakuwala; kubanga wava mu nsi y'e Misiri ng'oyanguwa: ojjukirenga olunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwo.
4 So tewalabikanga gy'oli kizimbulukusa mu nsalo zo zonna ennaku musanvu; so tewasigalangawo ku nnyama, gy'onottanga ku lunaku olw'olubereberye akawungeezi, okusulawo okukeesa obudde.
5 Tottiranga Kuyitako munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo, Mukama Katonda wo z'akuwa:
6 naye mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy'onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng'egwa, mu biro bye waviiramu mu Misiri.
7 Era onookwokyanga n'okuliiranga mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza: era onookyukanga enkya, n'ogenda mu weema zo.
8 Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna.
9 Oneebaliranga ssabbiiti musanvu: okuva ku biro by'otanuliramu okussa ekiwabyo ku ŋŋaano ng'ekyali mu nnimiro kw'onoosookeranga okubala ssabbiiti omusanvu.
10 Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti eri Mukama Katonda wo ng'omuwa omusolo ogw'ekyo ky'owaayo ku bubwo eky'omukono gwo, ky'onowangayo nga Mukama Katonda wo bw'akuwa omukisa:
11 era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'Omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
12 Era onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri: era onookwatanga onookolanga amateeka gano.
13 Oneekuumiranga embaga ey'ensiisira ennaku musanvu, bw'onoobanga omaze okutereka eby'omugguuliro lyo n'eby'omu ssogolero lyo:
14 era onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n'omuddu wo n'omuzaana wo, n'Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w'enzigi zo.
15 Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky'alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw'engalo zo, era onoobanga n'essanyu jjereere. Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu:
16 Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu:
17 buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga ogwa Mukama Katonda wo gw'akuwadde:
18 Abalamuzi n'abaami onossangawo mu nzigi zo zonna Mukama Katonda wo z'akuwa, ng'ebika byo bwe biri: era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga.
19 Tokyamyanga musango; tosalirizanga bantu: so tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu.
20 Eby'obutuukirivu ddala by'onoogobereranga, olyoke obenga omulamu, osikire ensi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
21 Teweesimbiranga muti gwonna okuba Asera ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wo, ky'oneekoleranga.
22 So teweeyimiririzanga mpagi; Mukama Katonda wo gy'akyawa.
Essuula 17

1 Tosalanga okuba ssaddaaka eri Mukama Katonda wo ente newakubadde endiga eriko obulema oba ekitali kirungi kyonna: kubanga ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo.
2 Bwe wanaalabikanga wakati wo, munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo Mukama Katonda wo z'akuwa, omusajja oba mukazi, akola ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekibi, ng'asobya ku ndagaano,
3 era ng'agenze n'aweereza bakatonda abalala n'abasinza, oba njuba, oba mwezi, oba ku ggye ery'omu ggulu, bye ssaalagira;
4 ne bakubuulira era ng'okiwulidde, n'olyoka onyiikiranga okubuuliriza, era, laba, bwe kinaabanga eky'amazima, ekigambo ne kitabuusibwabuusibwa, ng'eky'omuzizo ekiri bwe kityo kikolerwa mu Isiraeri;
5 n'olyoka ofulumyanga omusajja oyo oba mukazi oyo, abakoze ekigambo ekyo ekibi, awali enzigi zo, omusajja oba mukazi; kale onoobakubanga amayinja bafe.
6 Olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba bajulirwa basatu, agenda okufa bw'anattibwanga; olw'akamwa k'omujulirwa omu tattibwanga.
7 Omukono gw'abajulirwa gwe gunaasookanga okumubaako okumutta, omukono gw'abantu bonna ne gulyoka gumubangako: Bw'otyo bw'onoggyangawo ekibi wakati wo.
8 Bwe wanaabangawo ensonga ekulema okugisalira omusango, nga bavunaana omusaayi n'omusaayi, nga bavunaana ensonga n'ensonga, era nga bavunaana omuggo n'omuggo, nga bawakanira ebyo munda w'enzigi zo: kale onoogolokokanga, n'oyambuka mu kifo Mukama Katonda ky'alyeroboza;
9 n'ojja eri bakabona Abaleevi, n'eri omulamuzi anaabangawo mu nnaku ziri: n'obuuza; era bo banaakulaganga ensala y'omusango:
10 naawe onookolanga ng'omusango bwe gunaabanga, gwe banaakulaganga nga bayima mu kifo Mukama ky'alyeroboza; era onookwatanga okukola nga byonna bwe binaabanga bye bakuyigiriza:
11 ng'etteeka bwe linaabanga lye banaakuyigirizanga, era ng'ensala bw'eneebanga gye banaakubuuliranga, onookolanga bw'otyo: tokyamanga okuva mu musango gwe banaakulaganga okugenda ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono:
12 Era omuntu anaakolanga eby'ekyejo, nga tawulira kabona ayimirira eyo okuweerereza mu maaso ga Mukama Katonda wo, oba mulamuzi, omuntu oyo anaafanga: era onoggyangawo obubi obwo mu Isiraeri.
13 Era abantu bonna banaawuliranga ne batya, ne batakola nate bya kyejo.
14 Bw'oliba ng'otuuse mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, n'ogirya, n'otuula omwo; n'oyogera nti Nassaawo kabaka okunfuga, era nga n’amawanga gonna aganneetoolodde;
15 tolemanga kussaawo oyo okuba kabaka okukufuga, Mukama Katonda wo gw'alyeroboza: omu ku baganda bo gw'olissaawo okuba kabaka okukufuga: si kirungi ggwe okussaawo munnaggwanga okukufuga, atali muganda wo.
16 Kyokka teyeefuniranga mbalaasi nnyingi, so tazzangayo bantu mu Misiri, alyoke yeefunire embalaasi ennyingi: kubanga Mukama yabagamba nti Temuddangayo nate mu kkubo eryo okuva kaakano.
17 So teyeefuniranga bakazi bangi, omutima gwe gulemenga okukyuka: so teyeefuniranga ffeeza nnyingi nnyo newakubadde zaabu.
18 Awo olulituuka bw'alituula ku ntebe y'obwakabaka bwe, alyewandiikira etteeka lino mu kitabo, ng'aliggya mu ekyo ekiri mu maaso ga bakabona Abaleevi:
19 era kinaabeeranga gy'ali, era anaakisomangamu ennaku zonna ez'obulamu bwe: ayige okutya Mukama Katonda we, okwekuumanga ebigambo byonna eby'etteeka lino n'ebiragiro bino okubikolanga:
20 omutima gwe gulemenga okugulumizibwa ku baganda be, era alemenga okukyama okuva mu kiragiro okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono: alyoke awangaale ennaku nnyingi mu bwakabaka bwe, ye n'abaana be, wakati mu Isiraeri.
Essuula 18

1 Bakabona Abaleevi, kye kika kyonna ekya Leevi, tebabanga na mugabo newakubadde obusika awamu ne Isiraeri: banaalyanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, n'obusika bwe.
2 So tebabanga na busika mu baganda baabwe: Mukama bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.
3 Era lino lye linaabanga ebbanja lya bakabona lye banaabanjanga abantu, abo abanaawangayo ssaddaaka, bw'eba ente oba ndiga, bawenga kabona omukono, n'emba zombi, ne ssebusa.
4 Ebibereberye by'eŋŋaano yo, eby'envinnyo yo n'eby'amafuta go, n'ebibereberye by'ebyoya by'endiga zo, onoobimuwanga,
5 Kubanga Mukama Katonda wo yamweroboza mu bika byo byonna, okuyimiriranga okuweerezanga n'erinnya lya Mukama, ye ne batabani be emirembe gyonna.
6 Era Omuleevi bw'anaavanga mu luggi lwonna ku nzigi zo mu Isiraeri yenna, mw'atuula, n'ajja mu kifo Mukama ky'alyeroboza, emmeeme ye nga yeegombera ddala okujja;
7 anaaweerezanga n'erinnya lya Mukama Katonda we, nga baganda be bonna Abaleevi bwe bakola, abayimirira eyo mu maaso ga Mukama,
8 Banaabanga n'emigabo egyenkanankana okulya, obutassaako ebyo ebivudde mu kutunda obutaka bwe.
9 Bw'olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, toyiganga kukola ng'eby'emizizo eby'amawanga gali bwe biri.
10 Tewalabikanga gy'oli muntu yenna ayisa mu muliro mutabani we oba muwala we, newakubadde akola eby'obufumu, newakubadde alaguza ebire; newakubadde omulogo, newakubadde omuganga,
11 newakubadde omusawo, newakubadde asamira omuzimu, newakubadde emmandwa, newakubadde abuuza abafu.
12 Kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama: era olw'emizizo egyo Mukama Katonda wo kyava abagoba mu maaso go.
13 Onoobanga eyatuukirira eri Katonda wo,
14 Kubanga amawanga gano g'olirya, bawulira abo abalaguza ebire n'abafumu: naye ggwe Mukama Katonda wo takuganyizza kukolanga bw'otyo.
15 Makama Katonda wo alikuyimusiza nabbi wakati wo, ku baganda bo, afaanana nga nze; oyo gwe muliwulira;
16 nga byonna bwe byali bye wasaba Mukama Katonda wo ku Kolebu ku lunaku olw'okukuŋŋaanirako, ng'oyogera nti Nneme okuwulira nate eddoboozi lya Mukama Katonda wange, era nneme okulaba nate omuliro guno omungi, nneme okufa.
17 Mukama n'aŋŋamba nti Boogedde bulungi ebyo bye bagambye.
18 Ndibayimusiza aabbi ku baganda baabwe, afaanana nga ggwe; era nditeeka ebigambo byange mu kamwa ke, era alibabuulira byonna bye ndimulagira.
19 Kale olulituuka buli ataliwulira bigambo byange by'alyogera mu linnya lyange, ndimulanga ekyo.
20 Naye nabbi anaayogeranga ekigambo mu linnya lyange nga yeetulinkiridde, bye simulagidde kwogera, oba anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, nabbi oyo anaafanga.
21 Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti Tunaategeeranga tutya ekigambo Mukama ky'atayogedde?
22 Nabbi bw'anaayogeranga mu linnya lya Mukama, ekigambo ekyo bwe kitajja so tekituukirira, ekyo kye kigambo Mukama ky'atayogedde: nabbi ng'akyogedde nga yeetulinkiridde, tomutyanga.
Essuula 19

1 Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga, Mukama Katonda wo ensi yaago gy'akuwa, on'obasikira, n'otuula mu bibuga byabwe ne mu nnyumba zaabwe;
2 olyeyawulira ebibuga bisatu wakati mu nsi yo, Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya.
3 Olyelimira oluguudo, era olisala mu nsalo z'ensi yo, Mukama Katonda wo gy'akusisa, okuba ebitundu bisatu, buli atta omuntu addukirenga omwo.
4 Era eno ye nsonga y'oyo atta omuntu anaddukiranga omwo n'aba nga mulamu: buli anattanga munne nga tamanyiridde, so nga tamukyawanga lubereberye;
5 ng'omuntu bw'ayingira mu kibira ne munne okutema omuti, n'agalula embazzi omukono gwe okutema omuti, embazzi n'ewanguka mu kiti kyayo, n'egwa ku munne, n'okufa n'afa; anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n'aba mulamu:
6 awalana eggwanga ly'omusaayi alemenga okugoberera eyatta omuntu, omutima gwe nga gukyasunguwadde, n'amutuukako, kubanga olugendo lunene, n'amufumita okumutta; so ga tasaanidde kufa, kubanga tamukyawanga lubereberye.
7 Kyenva nkulagira nga njogera nti Olyeyawulira ebibuga bisatu.
8 Era oba nga Mukama Katonda wo aligaziya ensalo yo, nga bwe yalayirira bajjajja bo, n'akuwa ensi yonna gye yasuubiza okuwa bajjajja bo;
9 bw'oneekuumanga ekiragiro kino kyonna okukikola, kye nkulagira leero, okwagalanga Mukama Katonda wo, n'okutambuliranga mu makubo ge bulijjo; n'olyoka weeyongerera ebibuga bisatu ebirala ku bino ebisatu:
10 omusaayi ogutaliiko musango guleme okuyiika mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, bwe kityo omusaayi ne gukubaako.
11 Naye omuntu yenna bw'akyawanga munne, n'amuteega, n'amugolokokerako, n’amufumita okumutta n'okufa n'afa; n'addukira mu kimu ku bibuga ebyo:
12 kale abakadde b'ekibuga kye, banaatumanga ne bamuggyayo, ne bamuwaayo mu mukono gw'oyo awalana eggwanga ly'omusaayi, afe.
13 Eriiso lyo terimusaasiranga; naye onoggyangawo mu Isiraeri omusaayi ogutaliiko musango, olyoke olabenga ebirungi.
14 Tojjululanga nsalo ya muliraanwa wo, ab'edda gye baasimba, mu busika bwo bw'olisika mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya.
15 Omujulirwa omu tagolokokeranga ku muntu olw'obutali butuukirivu bwonna oba olw'ekibi kyonna, mu kibi kyonna ky'ayonoona: olw'akamwa k'abajulirwa ababiri oba olw'akamwa k'abajulirwa abasatu ekigambo kinaanywezebwanga.
16 Omujulirwa atali mutuukirivu bw'agolokokeranga ku muntu yenna okutegeeza ng'akoze bubi;
17 abasajja bombi abawakana empaka ezo banaayimiriranga mu maaso ga Mukama, mu maaso ga bakabona n'abalamuzi abalibaawo mu nnaku ziri;
18 kale abalamuzi banaakemerezanga nayo: era, laba, omujulirwa oyo bw'abanga omujulirwa ow'obulimba, era ng'awaayirizza muganda we;
19 kale munaamukoleranga nga bw'abadde alowooza okukola muganda we: bw'otyo bw'onoggyangawo obubi wakati wo.
20 N'abo abasigalawo b'anaawuliranga ne batya ne batakola nate okuva ku biro biri obubi bwonna obuli ng'obwo wakati wo.
21 So n'eriisa lyo terisaasiranga; obulamu bugattwenga obulamu, eriiso ligattwenga eriiso, erinnyo ligattwenga erinnyo, omukono gugattwenga omukono, ekigere kigattwenga ekigere.
Essuula 20

1 Bw'otabaalanga okulwana n'abalabe bo, n'olaba embalaasi n'amagaali n’abantu abakusinga obungi, tobatyanga: kubanga Mukama Katonda wo ali wamu naawe, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.
2 Awo olunaatuukanga bwe munaasembereranga olutalo, kabona anajjanga n'ayogera n'abantu,
3 n'abagamba nti Wulira, ggwe Isiraeri, musemberera olutalo leero okulwana n'abalabe bammwe: omutima gwammwe teguddiriranga; temutya so temukankana, so temubatekemukira;
4 kubanga Mukama Katonda wammwe ye wuuyo agenda nammwe, okubalwanirira eri abalabe bammwe okubalokola.
5 Era abaami banaayogeranga n'abantu nga bagamba nti Muntu ki ali wano eyazimba ennyumba empya so nga tannagitukuza? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'agitukuza.
6 Era muntu ki ali wano eyasimba olusuku lw'emizabbibu, so nga tannalya ku bibala byalwo? agende addeyo eka aleme okufiira mu lutalo, omulala n’alya ebibala byalwo.
7 Era muntu ki ali wano eyayogereza omukazi, so nga tannamuwasa? agende addeyo eka, aleme okufiira mu lutalo, omulala n'amuwasa.
8 Era abaami baneeyongeranga okugamba abantu ne boogera nti Muntu ki ali wano atya era alina omutima oguddirira? agende addeyo eka, emitima gya baganda be gireme okusaanuuka ng'omutima gwe.
9 Awo olunaatuukanga abaami bwe banaamalanga okwogera n'abantu, banassangawo abakulu b'eggye okukulembera abantu.
10 Bw'onoosembereranga ekibuga okulwana nakyo, n'olyoka iokirangiriranga emirembe.
11 Awo olunaatuukanga, bwe kinaddangamu eby'emirembe, ne kikuggulirawo, abantu bonna abalabika omwo banaafuukanga ab'omusolo, era banaakuweerezanga.
12 Era bwe kitakkirizanga kulagaana mirembe naawe, naye nga kyagala okulwana naawe, n'olyoka okizingizanga:
13 era Mukama Katonda wo bw'anaakigabulanga mu mukono gwo, onottanga buli musajja waamu n'obwogi bw'ekitala:
14 naye abakazi n'abaana abato n'ebisibo ne byonna ebiri mu kibuga, omunyago gwakyo gwonna, oneetwaliranga okuba omunyago; era onoolyanga omunyago gw'abalabe bo, Mukama Katonda wo gwe yakuwa.
15 Bw'otyo bw'onookolanga ebibuga byonna ebikuli ewala ennyo, ebitali bya ku bibuga bya mawanga gano.
16 Naye ku bibuga by'abantu bano, Mukama Katonda wo b'akuwa okuba obusika, towonyangako kintu ekissa omukka kiremenga okufa:
17 naye onoobazikiririzanga ddala; Omukiiti, n'Omwamoli, Omukanani, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi; nga Mukama Katonda wo bwe yakulagira:
18 balemenga okubayigiriza okukola ng'eby'emizizo byabwe byonna bwe biri, bye baakoleraaga bakatonda baabwe; bwe mutyo mwandisobezza Mukama Katonda wammwe.
19 Bw'onoomalanga ebiro bingi ng'ozingizza ekibuga, ng'olwana nakyo okukinyaga, tozikirizanga miti gyakyo ng'ogigalulira embazzi; kubanga oyinza okugiryako, era togitemanga; kubanga omuti ogw'omu nsiko muntu, ggwe okuguzingiza gwo?
20 Emiti egyo gyokka gy'omanyi nga si miti gya kulyako, gy'onoozikirizanga gy'onootemanga; era onoozimbiranga ebigo ku kibuga ekirwana naawe, okutuusa lwe kirigwa.
Essuula 21

1 Omuntu bw'anaasangibwanga ng'attiddwa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okugirya, ng'ali mu nsiko, so tekimanyibwa bw'ali amukubye:
2 abakadde bo n'abalamuzi bo ne balyoka bafulumanga, era banaageranga okutuuka ku bibuga ebimwetoolodde oyo eyattibwa:
3 awo olunaatuukanga ekibuga ekisinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, abakadde b'ekibuga ekyo banaddiranga ente enduusi okugiggya mu nte, etekozebwanga mirimu, etewalulanga ng'eri mu kikoligo;
4 era abakadde b'ekibuga ekyo banaaserengesanga enduusi mu kiwonvu omuli amazzi agakulukuta, ekitali kirime so ekitali kisige, ne bakutula ensingo y'ente enduusi eyo mu kiwonvu:
5 awo bakabona abaana ba Leevi banaasemberanga; kubanga abo Mukama Katonda wo be yeeroboza okumuweerezanga, n'okusabanga omukisa mu linnya lya Mukama; era ng'ekigambo kyabwe bwe kinaabanga, bwe zityo buli mpaka na buli kulumbagana bwe binaamalibwanga:
6 awo abakadde bonna ab'ekibuga ekyo, abasinga okuba okumpi omuntu eyattibwa, banaanaabiranga engalo ku nte enduusi ekutuddwako ensingo mu kiwonvu:
7 era banaddangamu ne boogera nti Engalo zaffe si ze zaayiwa omusaayi guno, so n'amaaso gaffe tegaagulaba.
8 Sonyiwa, ai Mukama, abantu bo Isiraeri, be wanunula, so toganya musaayi ogutaliiko musango okuba wakati mu bantu bo Isiraeri. Kale omusaayi gunaabasonyiyibwanga.
9 Bw'otyo bw'onoggyangawo omusaayi ogutaliiko musango wakati wo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi.
10 Bw'onootabaalanga okulwana n'abalabe bo, Mukama Katonda wo n'abagabula mu mikono gyo, n'obatwala nga mwandu,
11 n'olaba mu mwandu omukazi omulungi, n'omwegomba, n'oyagala okumuwasa;
12 n'olyoka omutwalanga ewuwo mu nnyumba yo; naye anaamwanga omutwe gwe n'asala enjala ze;
13 era anaayambulanga ebyambalo eby'obunyage bwe, n'abeera mu nnyumba yo n'amala omwezi omulamba ng'akaabira kitaawe ne nnyina: kale oluvanayuma n'olyoka oyingira gy'ali; n'oba bba naye nga mukazi wo.
14 Awo olunaatuukanga, bw'otoomusanyukirenga n'akatono, onoomulekanga okugenda gy'ayagala; naye tomutundangamu bintu n'akatono, tomukolanga ng'omuzaana, kubanga wamutoowaza.
15 Omusajja bw'abanga n'abakazi babiri, omu nga muganzi, omulala nga mukyawe, era nga bombi baamuzaalira abaana, omuganzi n'omukyawe; era omwana ow'obulenzi omubereberye bw'abanga ow'omukyawe;
16 awo olunaatuukanga, ku lunaku lw'alisisa abaana be ebyo by'alina, tafuulanga mwana wa muganzi okuba omubereberye, omwana w'omukyawe, ye mubereberye, ng'akyali mulamu:
17 naye anakkirizanga omubereberye, omwana w'omukyawe, ng'amuwa emigabo ebiri ku ebyo byonna by'alina: kubanga oyo kwe kusooka kw'amaanyi ge; eby'omubereberye bibye.
18 Omuntu bw'abanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu, atakkiriza kugondera ddoboozi lya kitaawe, newakubadde eddoboozi lya nnyina, era newakubadde nga bamubonereza, nga takkiriza kubawulira:
19 kale kitaawe ne nnyina banaamukwatanga, ne bamufulumya eri abakadde ab'omu kibuga kyabwe, n'eri wankaaki w'ekifo kyabwe:
20 ne bagamba abakadde ab'omu kibuga kyabwe nti Omwana waffe ono mukakanyavu mujeemu, takkiriza kugondera ddoboozi lyaffe; wa mpisa mbi, era mutamiivu.
21 Abasajja bonna ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja okumutta: bw'otyo bw'onoggyangawo obubi okuva wakati wo; kale Isiraeri yenna anaawuliranga anaatyanga.
22 Era omuntu bw'aba ng'akoze ekibi ekisaanira okumussa; ne bamutta, n'omuwanika ku muti;
23 omulambo gwe tegusulanga ku muti, naye tolemanga kumuziika ku lunaku olwo; kubanga awanikiddwa ng'akolimiddwa Katonda; olemenga okugwagwawaza ensi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.
Essuula 22

1 Tolabanga nte ya muganda wo newakubadde endiga ye ng'ekyama, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kuzizza eri muganda wo.
2 Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali.
3 Era onookolanga n'endogoyi ye bw'otyo; era onookolanga n'ekyambalo kye bw'otyo; era onookolanga na buli kintu ekya muganda wo ekinaamubulanga naawe ng'okironze: okwekweka si kulungi.
4 Tolabanga ndogoyi ya muganda wo newakubadde ente ye ng'egudde mu kkubo, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kumubeera okuziyimusa nate.
5 Omukazi tayambalanga kya musajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi: kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wo.
6 Ekisu ky'ennyonyi bwe kiba nga kikuli mu maaso mu kkubo, ku muti gwonna oba wansi, obwana nga weebuli oba magi, nnyina ng'atudde ku bwana oba ku magi, totwalanga nnyina wamu n'amagi:
7 tolemanga kuta nnyina, naye oyinza okwetwalira obwana; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.
8 Bw'ozimbanga ennyumba empya, onookolanga omuziziko ku ntikko, ng'omuntu yenna ayimye okwo n'agwa, olemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba yo.
9 Tosiganga ngeri bbiri za nsigo mu lusuku lwo olw'emizabbibu: olemenga okufiirwa ebibala byonna, ensigo ze wasiga n'ekyengera eky'olusuku.
10 Tolimisanga nte n'endogoyi wamu.
11 Toyambalanga lugoye olugatta ebibiri, ebyoya ne segamwenge wamu.
12 Oneekoleranga amatanvuuwa mu mbiriizi nnya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala.
13 Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, n'ayingira gy'ali, n'amukyawa,
14 n'amuwawaabira eby'ensonyi, n'amuleetako erinnya ebbi, n'ayogera nti Nawasa omukazi ono, kale bwe nnamusembesera, ne ssimulabako bubonero bwa butamanya musajja:
15 awo kitaawe w'omukazi ne nayina ne balyoka baddira obubonero bw'omuwala oyo obw'obutamanya musajja ne babuleetera abakadde b'ekibuga mu mulyango:
16 kitaawe w'omuwala n’agamba abakadde nti Omusajja ono namuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye;
17 era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti Saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno. Kale ne bayaliira ekyambalo mu maaso g'abakadde b'ekibuga.
18 Awo abakadde b'ekibuga ekyo ne batwala omusajja oyo ne bamukuba;
19 ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi, ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga yamuleetako erinnya ebbi omuwala wa Isiraeri: era anaabanga mukazi we; tamugobanga ennaku ze zonna.
20 Naye oba ng'ekigambo kino kya mazima, obubonero bw'obutamanya musajja obutalabika mu muwala:
21 awo ne bafulumya omuwala oyo mu mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta: kubanga yakola obusirusiru mu Isiraeri, okwendera mu nnyumba ya kitaawe: bw'onoggyanga bw'otyo obubi wakati mu ggwe.
22 Bwe basanganga omusajja ng'asula n'omukazi eyafumbirwa bba, bombi bafenga omusajja eyasula n'omukazi, n'omukazi: bw'otyo bw'onoggyanga obubi mu Isiraeri.
23 Bwe wabangawo omuwala atamanyanga musajja ayogerezebwa omusajja, omusajja n'amusanga mu kibuga n'asula naye;
24 bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n'okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng'ali mu kibuga; n'omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe.
25 Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, omusajja n'amuwaliriza, n'asula naye; omusajja eyasula naye yekka y'anaafanga:
26 naye omuwala tolimukola kintu; ku muwala tekuli kibi ekinaamussa: kuba ng'omuntu bw'agolokokera ku munne n'amutta, n'ekigambo ekyo bwe kiri bwe kityo:
27 kubanga yamusanga mu nnimiro; omuwala ayogerezebwa n'akuba enduulu, ne watabaawo amulokola.
28 Omusajja bw'asanganga omuwala atamanyanga musajja, atayogerezebwa, n'amukwata n'asula naye ne babalaba;
29 kale omusajja eyasula naye anaamuwanga kitaawe w'omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano, era anaabanga mukazi we, kubanga yamutoowaza; tayinza kumugoba ennaku ze zonna.
30 Omusajja tawasanga mukazi wa kitaawe, so tabikkulanga lukugiro lwa kitaawe.
Essuula 23

1 Eyafumitibwa, oba eyasalibwako ebitundu by'omubiri gwe eby'ekyama, tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
2 Omwana omwebolereze tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku babe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
3 Omwamoni oba Omumowaabu tayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Mukama; okutuusa ku mirembe ekkumi tewabangawo ku bantu baabwe abayingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama ennaku zonna:
4 kubanga tebaabasisinkana mu kkubo nga balina emmere n'amazzi, bwe mwava mu Misiri; era kubanga baawerera Balamu omwana wa Byoli okumuggya mu Pesoli eky'omu Mesopotamiya, okukukolimira.
5 Naye Mukama Katonda wo yagaana okuwulira Balamu; naye Mukama Katonda wo n'afuula ekikolimo okuba omukisa gy'oli, kubanga Mukama Katonda wo yakwagala.
6 Tonoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe ennaku zo zonna emirembe gyonna.
7 Tokyawanga Mwedomu; kubanga muganda wo: tokyawanga Mumisiri; kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe.
8 Abaana bannakabirye abalibazaalirwa baliyingira mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
9 Bw'otabaalanga mu nsiisira okulwana n'abalabe bo, oneekuumanga mu buli kintu ekibi.
10 Bwe wabanga mu mmwe omusajja yenna, atali mulongoofu olw'ekyo ekinaamubangako ekiro, anaafulumanga mu lusiisira, tayingiranga munda w'olusiisira:
11 naye olunaatuukanga, obudde bwe buwungeeranga, anaanaabanga n'amazzi: kale enjuba bw'emalanga okugwa, n'ayingiranga mu lusiisira.
12 Era onoobanga n'ekifo ebweru w'olusiisira, gy'onoofulumanga:
13 era onoobanga n'ekifumu mu bintu byo; awo olunaatuukanga, bw'onoofulumanga n'otuula, onookisimyanga n'okyuka n'obikka ku ekyo ekinaakuvangamu:
14 kubanga Mukama Katonda wo atambulira wakati, mu lusiisira lwo, okukuwonya, n'okugabula abalabe bo mu maaso go; olusiisira lwo kye lunaavanga lubeera olutukuvu: alemenga okulaba mu ggwe ekintu kyonna ekitali kirongoofu, n’akukuba amabega.
15 Tozzanga eri mukama we omuddu eyabomba ku mukama we okujja gy'oli:
16 anaatuulanga naawe, wakati mu ggwe, mu kifo ky'anaayagalanga munda w'enzigi zo olumu, w'anaasinganga okusiima: tomujooganga.
17 Tewabanga mwenzi ku bawala ba Isiraeri, so tewabanga alya ebisiyaga ku batabani ba Isiraeri.
18 Toleetanga mpeera ya mwenzi, newakubadde empeera y'embwa, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo olw'obweyamo bwonna: kubanga ebyo byombiriri bya mizizo eri Mukama Katonda wo.
19 Towolanga muganda wo lwa magoba; amagoba ag'effeeza, amagoba ag'ebyokulya, amagoba ag'ekintu kyonna ekiwolwa olw'amagoba:
20 munnaggwanga si kibi okumuwola olw'amagoba; naye muganda wo tomuwolanga lwa magoba: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu byonna by'oteekako omukono gwo, mu nsi gy'oyingiramu okugirya.
21 Bw'oneeyamanga obweyamo Mukama Katonda wo, totenguwanga kubusasula: kubanga Mukama Katonda wo talirema kububuuza gy'oli: era kyandibadde kibi mu ggwe:
22 Naye bw'olekanga okweyama, tekiriba kibi mu ggwe.
23 Ekyali kivudde mu mimwa gyo onookyekuumanga n'okikola; nga bwe weeyama Mukama Katonda wo, ekiweebwayo ku bubwo, kye wasuubiza n'akamwa ko.
24 Bw'oyingiranga mu lusuku olw'emizabbibu olwa munno, si kibi okulya ezabbibu okukkuta nga bw'oyagala ggwe: naye toterekangako mu kintu kyo.
25 Bw'oyingiranga mu ŋŋaano etennakungulwa eya munno, si kibi okunoga ebirimba n'engalo zo; naye toteekanga kiwabyo kuŋŋaano etennakungulwa eya munno.
Essuula 24

1 Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatono mu maaso ge, kubanga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye:
2 Awo bw'abanga avudde mu nnyumba ye, ayinza okugenda okuba omukazi w'omusajja omulala.
3 Era bba ow'okubiri bw'amukyawanga, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba ow'okubiri bw'afanga, eyamuwasa;
4 bba ow'olubereberye, eyamugoba, tamutwalanga nate okumuwasa, bwe yamala okwonoonebwa; kubanga ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama: so tokozanga nsi bibi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.
5 Omusaja bw'awasanga omukazi omuggya, tatabaalanga na ggye, so tasalirwanga mirimu gyonna: anaamalanga omwaka gumu eka nga yessa, anaasanyusanga omukazi gw'awasizza.
6 Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw'omuntu.
7 Bwe basanganga omuntu ng'abba omuntu yenna ku baganda be abaana ba Isiraeri, n'amukola ng'omuddu, oba n'amutunda; kale omubbi oyo anattibwanga: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe.
8 Weekuumenga mu kibonobono eky'ebigenge, okwatirenga ddala okolenga byonna bakabona Abaleevi bye banaabayigirizanga: nga bwe nnabalagira bo, bwe mutyo bwe munaakwatanga okukola.
9 Jjukira Mukama Katonda wo bwe yakola Miryamu, mu kkubo bwe mwali muva mu Misiri.
10 Bw'oyazikanga munno ekintu kyonna ekyazikibwa, toyingiranga mu nnyumba ye okukima omusingo gwe.
11 Onooyimiriranga ebweru, n'omuntu gw'oyazika anaafulumyanga omusingo ebweru gy'oli.
12 Era bw'abanga omwavu, tosulanga ng'olina omusingo gwe:
13 tolemanga kumuddiza musingo obudde bwe bunaawungeeranga, alyoke asule mu kyambalo kye, era akusabire omukisa: era kinaabanga butuukirivu eri ggwe mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14 Tojooganga musenze akolera empeera omwavu eyeetaaga, bw'aba ku muwendo gwa baganda bo oba ku muwendo gwa bannaggwanga bo abali mu nsi yammwe munda w'enzigi zo:
15 ku lunaku lwe onoomuwanga empeera ye, so n’enjuba tegwanga ng'ekyaliyo; kubanga mwavu era agiteckako omwoyo gwe: alemenga okukaabiriranga Mukama okukuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
16 Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n'abaana tebattibwanga okubalanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta.
17 Tokyamyanga musango gwa munnaggwanga, newakubadde ogw'atalina kitaawe; so tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu:
18 naye onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
19 Bw'okungulanga ebikungulwa byo mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, toddangayo nate okukikima; kinaabanga kya muanaggwanga, ky'atalina kitaawe, era kya nnamwandu: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mulimu gwonna ogw'engalo zo.
20 Bw'okubanga omuzeyituuni gwo, toddanga mu matabi lwa kubiri: gunaabanga gwa munnaggwanga, gw'atalina kitaawe, era gwa nnamwandu.
21 Bw'okungulanga ezabbibu ez'omu lusuku lwo, toddangamu ng'omaze omulundi gumu: lunaabanga lwa munnaggwanga, lw'atalina kitaawe, era lwa nnamwandu.
22 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
Essuula 25

1 Bwe wabangawo empaka n'abantu, ne bajja okusalirwa omusango, ne bagubasalira; banaasaliranga omutuukirivu okugusinga, n’omubi okusingibwa;
2 awo olunaatuukanga, omubi bw'abanga azzizza ogunaamukubya, omulamuzi anaamugalamizanga, anaamukubiranga mu maaso ge, ng'obubi bwe bwe buli, emiggo emibale.
3 Ayinza okumusalira emiggo ana, tasussangawo: muganda wo alemenga okufaanana atali wa muwendo gy'oli, bw'abanga asussizzaawo ng'amukubye emiggo mingi okusinga egyo.
4 Togisibanga kamwa ente ng'ewuula.
5 Ab'oluganda bwe banaabeeranga awamu, omu ku bo n’afa, nga talina mutabani, omukazi w'oyo afudde tafumbirwanga walala atali wa luganda: muganda wa bba ayingire gy'ali, amuwase, amukolere ebigwanira muganda wa bba
6 Awo olunaatuukanga, omubereberye gw'alizaala y'anaasikiranga erinnya lya muganda we eyafa, erinnya lye liremenga okusangalibwa okuva mu Isiraeri.
7 Era omusajja bw'abanga tayagala kuwasa mukazi wa muganda we, mukazi wa muganda we ayambukenga mu mulyango eri abakadde, ayogere nti Muganda wa baze agaana okuyimusiza muganda we erinnya mu Isiraeri, tayagala kunkolera ebigwanira muganda wa baze.
8 Kale abakadde b'omu kibuga kyabwe bamuyitenga, bamugambe; kale bw'anaayimiriranga n'ayogera nti Saagala kumuwasa;
9 kale mukazi wa muganda we ajjenga gy'ali mu maaso g'abakadde, anaanule engatto mu kigere kye, awande amalusu mu maaso ge; addemu ayogere nti Bwe kityo bwe kinaakolerwanga,omusajja atazimba nnyumba ya muganda we.
10 Era erinnya lye liyitibwenga mu Isiraeri nti Nnyumba y'oyo eyanaanulirwa engatto.
11 Abasajja bwe babanga balwana bokka na bokka, mukazi w'omu n'asembera okulokola bba mu mukono gw'oyo amukuba, n'agolola omukono gwe, n'amukwata wamberi:
12 omutemangako omukono, eriiso lyo terisaasiranga.
13 Tobanga na bya kupima ebitali bimu, ekinene n'ekitono, mu nsawo yo.
14 Tobanga na bigero ebitali bimu, ekinene n'ekitono; mu nnyumba yo.
15 Obenga n'eky'okupima ekituukirivu ekitasoba; obenga n'ekigero ekituukirivu ekitasoba: ennaku zo zibenga nnyingi mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
16 Kubanga bonna abakola ebiri ng'ebyo, bonna abakola ebitali bya butuukirivu, muzizo eri Mukama Katonda wo.
17 Jjukira Amaleki bwe yakukolera mu kkubo bwe mwali nga muva mu Misiri;
18 bwe yakusanga mu kkubo, n'atta abasembi ennyuma wo, abanafu bonna ab'ennyuma, bwe wazirika era ng'okooye; n'atatya Katonda.
19 Awo olulituuka, Mukama Katonda wo bw'aliba ng'akuwadde okuwummula eri abalabe bo bonna enjuyi zonna, mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika okugirya; kyoliva osangula okujjukizibwa kwa Amaleki wansi w'eggulu: teweerabiranga.
Essuula 26

1 Awo olulituuka, bw'oliba ng'oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika, n'ogirya, n'otuula omwo;
2 olitoola ku bibereberye by'ebibala byonna eby'ettaka, by'oliggya mu nsi yo Mukama Katonda wo gy'akuwa: n'obiteeka mu kibbo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
3 Era olijja eri kabona alibaawo mu biro ebyo, n’omugamba nti Njatulidde leero Mukama Katonda wo: nga nnyingidde mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baffe okugituwa.
4 Kale kabona alitoola ekibbo ng'akiggya mu mukono gwo; n’akissa wansi mu maaso g'ekyoto kya Mukama Katonda wo.
5 Naawe oliddamu n'oyogera mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Omusuuli eyali ng'anaatera okubula ye yali kitange, n'aserengeta mu Misiri, n'atuula omwo, omuwendo gwe nga mutono; n'afuuka eyo eggwanga, eddene, ery'amaanyi, eryayala.
6 Abamisiri ne batukola bubi, ne batubonyaabonya, ne batuteekako obuddu obukakanyavu:
7 ne tukoowoola Mukama Katonda wa bajjajja baffe, Mukama n'awulira eddoboozi lyaffe, n'alaba okubonaabona kwaffe, n'okutegana kwaffe, n'okujoogebwa kwaffe:
8 Mukama n'atuggya mu Misiri n’engalo ez'amaanyi n'omukono ogwagololwa, n'entiisa ennyingi, n'obubonero n'eby'amagero:
9 n'atuyingiza mu kifo muno, n'atuwa ensi eno, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
10 Era kaakano, laba, ndeese ebibereberye eby'oku bibala by'ettaka, ly'ompadde ggwe, ai Mukama. Era olibiteeka wansi mu maaso ga Mukama Katonda wo n'osinza mu maaso ga Mukama Katonda wo:
11 era olisanyukira ebirungi byonna Mukama Katonda wo by'akuwadde ggwe n'ennyumba yo, ggwe n'Omuleevi ne munnaggwanga ali wakati wo.
12 Bw'onoomalanga okusolooza ekitundu eky'ekkumi eky'ekyengera kyo kyonna mu mwaka ogw'okusatu, gwe mwaka ogusoloolezebwamu ekitundu eky'ekkumi, n'olyoka okiwa Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, baliire munda w'enzigi zo bakkute;
13 era onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti Ebintu ebyatukuzibwa mbiggye mu nnyumba yange; era mbiwadde Omuleevi, ne munnaggwanga, n'atalina kitaawe, ne nnamwandu, ng'ekiragiro kyo kyonna bwe kiri kye wandagira: sisobezza ku biragiro byonna kimu, so sibyerabidde:
14 sikiryangako nga nkyali mu nnaku zange, so sikiterekangako nga siri mulongoofu, so sikiwangako olw'abafu: nnawulira eddoboozi lya Mukama Katonda wange, nkoze nga byonna bwe biri bye wandagira.
15 Tunula ng'oyima mu kifo kyo ekitukuvu mw'otuula, mu ggulu, owe omukisa abantu bo Isiraeri, n'ettaka ly'otuwadde, nga bwe walayirira bajjajja baffe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
16 Leero Mukama Katonda wo akulagira okukolanga amateeka gano n'emisango: kyonoovanga obyekuuma n'obikola n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.
17 Oyatudde leero Mukama nga ye Katonda wo, era ng'onootambuliranga mu makubo ge, ne weekuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye n'emisango gye; n'owuliranga eddoboozi lye:
18 era Mukama ayatudde leero ggwe okubeeranga eggwanga ery'envuma eri ye yennyini, nga bwe yakusuubiza, era weekuumenga ebiragiro bye byonna;
19 era akugulumizenga okusinga amawanga gonna ge yakola, olw'ettendo n'olw'erinnya n'olw'ekitiibwa; era obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo; nga bwe yayogera.
Essuula 27

1 Awo Musa n'abakadde ba Isiraeri, ne balagira abantu, nga boogera nti Mwekuumenga ekiragiro kyonna kye mbalagira leero.
2 Kale olulituuka ku lunaku olwo lwe mulisomoka Yoludaani okuyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, olyesimbira amayinja amanene, n'ogasiigako ennoni:
3 era oliwandiika ku go ebigambo byonna eby'amateeka gano, bw'olimala okusomoka; olyoke oyingire mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, nga Mukama, Katonda wa bajjajja bo, bwe yakusuubiza.
4 Awo olulituuka bwe muliba nga musomose Yoludaani; ne mulyoka musimba amayinja gano, ge mbalagira leero, ku lusozi Ebali, n'ogasiigako ennoni.
5 Era olizimbira eyo ekyoto kya Mukama Katonda wo, ekyoto eky'amayinja: togayimusangako kintu kya kyuma.
6 Ekyoto kya Mukama Katonda wo onookizimbyanga amayinja agatali mateme: era okwo kw'onooweeranga ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo:
7 era onoosalanga ebiweebwayo olw'emirembe, n'oliiranga eyo; era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo.
8 Era oliwandiikira ddala bulungi ku mayinja ago ebigambo byonna eby'amateeka gano.
9 Awo Musa ne bakabona Abaleevi ne bagamba Isiraeri yenna nti Musirike, muwulire, ggwe Isiraeri; leero ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo.
10 Kyonoovanga ogondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okolanga ebiragiro bye n'amateeka ge, bye nkulagira leero.
11 Awo Musa n'akuutiira abantu ku lunaku olwo, ng'ayogera nti
12 Bano be baliyimirira ku lusozi Gerizimu okusabira abantu omukisa nga mumaze okusomoka Yoludaani; Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini:
13 era bano be baliyimirira ku lusozi Ebali olw'okukolima; Lewubeetu; Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni; Ddaani, ne Nafutaali.
14 Kale Abaleevi baliddamu ne bagamba abasajja bonna aba Isiraeri n'eddoboozi ddene nti
15 Akolimirwe omuntu akola ekifaananyi ekyole oba ekifumbe, eky'omuzizo eri Mukama; omulimu gw'engalo z'omukozi, n'akisimba mu kyama. Abantu bonna ne baddamu ne bagamba nti Amiina.
16 Akolimirwe oyo anyooma kitaawe oba nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
17 Akolimirwe oyo ajjulula ensalo ya muliraanwa we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
18 Akolimirwe oyo akyamya omuzibe w'amaaso okuva mu kkubo. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
19 Akolimirwe oyo akyamya ensonga eya munnaggwanga n'atalina kitaawe ne nnamwandu. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
20 Akolimirwe oyo asula ne mukazi wa kitaawe; kubanga abikkudde olukugiro lwa kitaawe. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina:
21 Akolimirwe oya asula n'ensolo yonna yonna. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
22 Akolimirwe oyo asula ne mwannyina, muwala wa kitaawe oba muwala wa nnyina. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
23 Akolimirwe oyo asula ne mukoddomi we. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
24 Akolimirwe oyo akuba muliraanwa we mu kyama. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
25 Akolimirwe oyo alya empeera olw'okuttisa omuntu ataliiko musango. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
26 Akolimirwe oyo atanyweza bigambo by’amateeka gano okubikolanga. Abantu bonna ne bagamba nti Amiina.
Essuula 28

1 Awo olunaatuukanga, bw'onoonyiikiranga okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna bye nkulagira leero, okubikolanga, Mukama Katonda wo anaakugulumizanga okusinga amawanga gonna agali ku nsi:
2 n'emikisa gino gyonna ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw'onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo.
3 Onoobanga n'omukisa mu kibuga, era onoobanga n'omukisa mu kyalo.
4 Ekibala ky'omubiri gwo kinaabanga n'omukisa, n'ekibala ky'ettaka lyo, n'ekibala ky'ekisibo kyo, ezzadde ly'ente zo n'abaana b'embuzi zo.
5 Ekibbo kyo kinaabanga n'omukisa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu.
6 Onoobanga n'omukisa bw'onooyingiranga, era onoobanga n'omukisa bw'onoofulumanga:
7 Mukama anaakubiranga mu maaso go abalabe bo abakugolokokerako: banaafulumanga okukutabaala mu kkubo limu, ne baddukanga mu maaso go mu makubo musanvu.
8 Mukama anaalagiranga omukisa okuba ku ggwe mu mawanika go, ne mu byonna by'oteekako omukono gwo; era anaakuweeranga omukisa mu nsi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
9 Mukama anaakunywezanga okuba eggwanga ettukuvu eri ye, nga bwe yakulayirira; bw'onookwatanga ebiragiro bya Mukama Katonda wo n'otambuliraaga mu makubo ge.
10 Awo amawanga gonna ag'oku nsi ganaalabanga ng'otuumiddwa erinnya lya Mukama; ne gakutyanga:
11 Era Mukama anaakugaggawazanga olw'ebirungi, mu bibala by'omubiri gwo ne mu bibala by'ensolo zo ne mu bibala by'ettaka lyo; mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo okukuwa.
12 Mukama anaakuggulirangawo etterekero lye eddungi eggulu okugaba enkuba y'ensi yo mu budde bwayo, n'okuwa omukisa omulimu gwonna ogw'omukono gwo: era onoowolanga amawanga mangi; so teweewolanga.
13 Era Mukama anaakufuulanga omutwe so si mukira; era onoobanga waggulu wokka so si wansi; bw'oti onowuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wo; bye nkukuutira leero, okubikwatanga n'okubikolanga;
14 n'olema okukyamanga; okuva mu kigambo kyonna ku ebyo bye mbalagira leero, okugenda ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono, okugoberera bakatonda abalala okubaweereza:
15 Naye olulituuka, bw'otoliwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye byonna n'amateeka ge bye nkulagira leero okubikola; ebikolimo bino byonna birikujjira, birikutuukako.
16 Olikolimirwa mu kibuga, era olikolimirwa mu kyalo.
17 Ekibbo kyo kirikolimirwa n'olutiba lwo olw'okugoyeramu.
18 Ebibala by'omubiri gwo birikolimirwa, n'ebibala by'ettaka lyo, ezzadde ly'ente zo, n'abaana b'embuzi zo.
19 Onookolimirwanga bw'onooyingiranga era onookolimirwanga bw'onoofulumanga.
20 Mukama anaakusindikangako okukolimirwa n'okulemwa n'okunenyezebwa; mu byonna by'oteekako omukono gwo okukola, okutuusa lw'olizikirizibwa, n'okutuusa lw'olifaafaagana amangu; olw'obubi bw'ebikolwa byo ebyakunsengusa.
21 Mukama anaakulwazanga kawumpuli yeegattenga naawe okutuusa lw'alikumalawo okuva ku nsi, gy'oyingiramu okugirya.
22 Mukama anaakukubanga akakono, n'omusujja, n'okuzimba, n'okwokya okungi, n'ekitala, n'okwonooneka, n'okugengewala; era binaakugobereranga okutuusa lw'olizikirira.
23 N'eggulu lyo eriri waggulu ku mutwe gwo linaabanga kikomo, n'ettaka eriri wansi wo linaabanga kyuma.
24 Mukama anaafuulanga enkuba ey'ensi yo okuba effufugge n'enfuufu: mu ggulu mw'enaavanga okukka ku ggwe, okutuusa lw'olizikirizibwa.
25 Mukama anaakukubanga mu maaso g'abalabe bo: onoofulumanga okubatabaala mu kkubo limu, era onoddukanga mu makubo musanvu mu maaso gaabwe: era onooyuuganyizibwanga eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi:
26 N'omulambo gwo gunaabanga kya kulya kya nnyonyi zonna ez'omu bbanga, era kya nsolo ez'oku nsi, so tewaabengawo aliziguŋŋumula.
27 Mukama anaakuleetangako ejjute ery'e Misiri, n'amabwa, n'olukonvuba n'obuwere ebitakuwonyezekako:
28 Mukama anaakuleetangako eddalu n'obuzibe bw'amsaso n'okusamaalirira kw'omutima:
29 era onoowammantanga mu ttuntu, ng'omuzibe w'amaaso bw'awammantira mu kizikiza; so toolabenga mukisa mu makubo go: era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoonyagibwanga ennaku zonna, so tewaabengawo anaakulokola.
30 Onooyogerezanga omukazi, n'omulala anaasulanga naye: onoozimbanga ennyumba, so toobeerenga omwo: onoosimbanga olusuku lw'emizabbibu, so toolyenga bibala byalwo.
31 Ente yo enettirwanga mu maaso go, so toogiryengako: endogoyi yo eneenyagibwanga lwa maanyi mu maaso go, so teekuddizibwenga: endiga zo zinaagabirwanga abalabe bo, so toobengako anaakulokolanga.
32 Batabani bo ne bawala bo banaagabirwanga eggwanga eddala, era amaaso go ganaatunulanga ganaazibanga olw'okubeegomba okuzibya obudde: so tewaabengawo kintu ekinaabanga mu buyinza bw'omukono gwo.
33 Ebibala by'ettaka lyo, n'emirimu gyo gyonna, eggwanga ly'otomanyi liribirya; era onoojoogebwanga bujoogebwa era onoobetentebwanga ennaku zonna:
34 n'okulaluka n'olaluka olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga.
35 Mukama anaakulwazanga amaviivi n'amagulu ejjute ebbi, ly'otowonyezeka, okuva munda w'ekigere kyo okutuusa ku bwezinge bw'omutwe gwo.
36 Mukama anaakuleetanga ggwe ne kabaka gw'oliyimusa okukufuga, eri eggwanga ly'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala, emiti n'amayinja.
37 Era onoofuukanga ekyewuunyo, olugero, n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna Mukama gy’anaakutwalanga.
38 Onoofulumyanga mu animiro ensigo nnyingi, onooyingizanga ntono; kubanga enzige eneegiryanga:
39 Onoosimbanga ensuku z'emizabbibu n'ozirima, naye toonywenga ku nvinnyo yaamu newakubadde okukungula; kubanga akawuka kanaagiryanga.
40 Onoobanga n'emizeyituuni mu nsalo zo zonna, naye toosaabenga mafuta gaagyo; kubanga omuzeyituuni gwo gunaakunkumulanga ebibala byagwo.
41 Olizaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, naye tebaabenga babo; kubanga balitwalibwa mu busibe:
42 Emiti gyo gyonna n'ebibala by'ettaka lyo enzige eneebiryanga.
43 Munnaggwanga ali wakati mu ggwe aneeyongerayongeranga okulinnya waggulu okukusinga; naawe oneeyongerayongeranga okukka wansi.
44 Anaakuwolanga; naawe toomuwolenga: anaabanga mutwe, naawe onoobanga mukira.
45 Era ebikolimo ebyo byonna binaakujjiranga binaakugobereranga binaakutuukangako okutuusa lw'olizikirizibwa; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo, okukwata ebiragiro bye n'amateeka ge bye yakulagira:
46 era binaabanga ku ggwe okuba akabonero n'ekyewuunyo, ne ku zzadde lyo ennaku zonna:
47 kubanga tewaweereza Mukama Katonda wo n'essanyu era n'omutima ogujaguza, olw'ebintu byonna okuba ebingi:
48 kyonoovanga oweereza abalabe bo Mukama b'anaasindikanga okukulumba, ng'olumwa enjala n'ennyonta, era ng'oli bwereere, era ng'obulwa ebintu byonna: era anaateekanga ekikoligo eky'ekyuma ku nkoto yo, okutuusa lw'alimala okukuzikiriza.
49 Mukama alikuleetako eggwanga ng'aliggya wala mu nkomerero y'ensi, ng'empungu bw'ebuuka; eggwanga ly'otolitegeera lulimi lwalyo;
50 eggwanga ery'obwenyi obukambwe, eritalitya maaso ga bakadde, so teririsaasira bato:
51 anaalyanga ebibala by'ensolo zo, n'ebibala by'ettaka lyo, okutuusa lw'olizikirizibwa: era eritalikulekera ŋŋaano, newakubadde envinnyo, newakubadde amafuta, ezzadde ly'ente zo, newakubadde abaana b'embuzi zo, okutuusa lw'alikuzikiriza:
52 Era anaakuzingizanga mu miryango gyo gyonna, okutuusa enkomera zo empaavu eziriko ebigo ze weesiga lwe zirigwa mu nsi yo yonna: era alikuzingiza mu miryango gyo gyonna wmu nsi yo yonna, Mukama Katonda wo gy'akuwadde:
53 Era onoolyanga ebibala by'omubiri gwo ggwe, ennyama y'abaana bo ab'obulenzi n'ab'obuwala Mukama Katonda wo b'akuwadde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa abalabe bo kwe banaakuziyizanga;
54 Omusajja omugonvu mu mmwe era omwenaanyi ennyo, eriiso lye linaabanga bbi eri muganda we n'eri omukazi ow'omu kifuba kye, n'eri abaana be abasigadde abakyaliwo:
55 n'obutawa n'atawa muntu yenna ku bo ku nnyama y'abaana be b'anaalyanga nga taliiko ekimusigalidde; mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo gyonna.
56 Omukazi omugonvu mu mmwe era omwenaanyi, ataganya kulinnyisa ku ttaka kigere kye olw'okwenaanya n'obugonvu, eriiso lye linaabanga bbi eri bba ow'omu kifuba kye, n'eri mutabani we, n'eri muwala we;
57 n'eri omwana we omuto afuluma wakati w'ebigere bye, n'eri abaana be b'alizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw'okubulwa ebintu byonna: mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw'anaakuziyizanga mu miryango gyo.
58 Bw'otookwatenga bigambo byonna eby'omu mateeka gano ebiwandiikiddwa mu kitabo kino okubikolanga, olyoke otyenga erinnya lino ery'ekitiibwa era ery'entiisa, Mukama Katonda wo;
59 awo Mukama anaafuulanga ebibonyoobonyo eby'ekitalo, n'ebibonyoobonyo by'ezzadde lyo, ebibonyoobonyo ebinene era ebirwawo ennyo, era endwadde enkambwe era ezirwawo ennyo.
60 Era anaakuleetangako nate endwadde zonna ez'e Misiri ze watyanga; era zineegattanga naawe.
61 Era na buli ndwadde na buli kibonyoobonyo ekitawandiikiddwa mu kitabo eky'amateeka gano, ebyo Mukama anaabikuleetangako, okutuusa lw'olizikirizibwa.
62 Era mulisigalawo omuwendo gwammwe nga mutono, newakubadde nga mwali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu olw'obungi; kubanga tewawulira ddoboozi lya Mukama Katonda wo.
63 Awo olunaatuukanga Mukama nga bwe yabasanyukirako okubakola obulungi n'okubaaza; bw'atyo Mukama anaabasanyukirangako okubazikiriza n’okubafaafaaganya; era munaggibwangako okuva ku nsi gy'oyingira okugirya.
64 Era Mukama anaakusaasaanyanga mu mawanga gonna; okuva ku nkomerero y'ensi okutuusa ku nkomerero y'ensi; era onooweererezanga eyo bakatonda abalala b'otomanyanga ggwe newakubadde bajjajja bo, emiti n’amayinja.
65 Era mu mawanga ago toliraba kwesiima kwonna, so n'ekigere kyo tekiibengako we kirinnya okuwummula: naye Mukama anaakuwanga omutima ogukankana, n'amaaso agaziba, n'emmeeme ekoozimba,
66 n'obulamu bwo bunaabuusibwabuusibwanga mu maaso go; era onootyanga emisana n'ekiro, so toobengako kw'otegeerera obulamu bwo bwe bunaaba:
67 enkya onooyogeranga nti Singa buwungedde! era akawungeezi onooyogeranga nti Singa bukedde! olw'okutya kw'omutima gwo kw'onootyanga, n'olw'okulaba kw'amaaso go kw'onoolabanga.
68 Era Mukama alikuzza mu Misiri nate n'amaato, mu kkubo lye nnakugambako nti Toliriraba nate mulundi gwa kubiri: era eyo mulyetunda eri abalabe bammwe okuba abaddu n'abazaana, so tewaabengawo muntu anaabagulanga.
Essuula 29

1 Ebyo bye bigambo eby'endagaano Mukama gye yalagira Musa okulagaana n'abaana ba Isiraeri mu nsi ya Mowaabu, obutassaako ndagaano gye yalagaana nabo ku Kolebu.
2 Era Musa n'ayita Isiraeri yenna n'abagamba nti Mwalaba byonna Mukama bye yakolera mu maaso gammwe mu nsi y'e Misiri eri Falaawo n'eri abaddu be bonna n'eri ensi ye yonna;
3 okukema okukulu amaaso go kwe gaalaba, n'obubonero, n'eby'amagero biri ebikulu:
4 naye Mukama tabawadde mutima gwa kutegeera n'amaaso ag'okulaba n'amatu ag'okuwulira ne leero.
5 Nange naakamaze emyaka ana nga mbakulembera mu ddungu: ebyambalo byammwe tebikaddiye ku mmwe, n'engatto yo tekaddiye ku kigere kyo.
6 Temwalyanga ku mmere so temwanywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza: mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe:
7 Era bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w'e Kesuboni ne Ogi kabaka We Basani ne basitula okulwana naffe, ne tubatta:
8 ne tulya ensi yaabwe, ne tugiwa Abalewubeeni n'Abagaadi n'ekitundu ky'ekika ky'Abamanase, okuba obutaka.
9 Kale mwekuumenga ebigambo eby'endagaano eno, mubikolenga; mulyoke mulabenga omukisa mu byonna bye mukola.
10 Muyimiridde leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe; abakulu bammwe, ebika byammwe, abakadde bammwe, n'abaami bammwe, be basajja bonna aba Isiraeri,
11 abaana bammwe abato, abakazi bammwe, ne munnaggwanga wo ali wakati mu nsiisira zo; okuva ku mutyabi w'enku zo okutuuka ku musenyi w'amazzi go:
12 olagaane endagaano ya Mukama Katonda wo ne mu kirayiro kye, by'alagaana naawe leero:
13 akunyweze leero gy'ali ye okubanga eggwanga, era abeerenga Katonda gy'oli, nga bwe yakugamba, era nga bwe yalayirira bajjajja bo Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
14 So siragaana ndagaano eno ne ndayira ekirayiro kino eri mmwe mwekka;
15 naye eri oyo ayimiridde wano awamu naffe leero mu maaso ga Mukama Katonda waffe, era n'eri oyo atali wano wamu naffe leero:
16 (kubanga mumaayi bwe twatuulanga mu nsi y'e Misiri; era bwe twaggukira wakati mu mawanga ge mwayitamu;
17 era mwalabanga eby'emizizo byabwe, n'ebifaanaayi byabwe, emiti n'amayinja, effeeza n'ezaabu, ebyali mu bo;)
18 walemenga okuba mu mmwe omusajja oba mukazi oba nnyumba oba kika, akyamya omutima gwe leero okuva ku Mukama Katonda waffe, okugenda okuweereza bakatonda ab'amawanga gali; walemenga okuba mu mmwe ekikolo ekibala akalulwe ne abusinso;
19 era olunaatuukanga ng'awulira ebigambo eby'ekikolimo kino, ne yeenyumiriza mu mutima gwe, ng'ayogera nti Naabanga n'emirembe ne bwe nnaatambuliranga mu bukakanyavu bw'omutima gwange, okuzikiriza oyo atobye wamu n'omukalu:
20 Mukama taamusonyiwenga; naye obusungu bwa Mukama n'obuggya bwe ne biryoka binyookera omusajja oyo, n'ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino kinaamubangako, era Mukama anaasangulanga erinnya lye okuliggya wansi w'eggulu.
21 Era Mukama anaamwawuliranga obubi okumuggya mu bika byonna ebya Isiraeri, ng'ebikolimo byonna bwe biri eby'endagaano ewandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka.
22 Era ezzadde eririddawo abaana bammwe abaliyimuka okubaddirira, ne munnaggwanga aliva mu nsi y'ewala, balyogera, bwe baliraba ebibonyoobonyo by'ensi eyo n'endwadde Mukama z'agirwazizza;
23 era ng'ensi yaayo yonna kibiriiti na munnyo na kusiriira, nga si nsige, so tebala, so n'omuddo gwonna tegumera omwo, ng'okusuulibwa kw'e Sodoma ne Ggomola, Aduma ne Zeboyimu, Mukama bye yasuula mu busungu bwe ne mu kiruyi kye:
24 amawanga gonna galyogera nti Mukama ekimukozezza ensi eno bwe kityo kiki? okwokya kw'obusungu buno obungi makulu ki?
25 Abantu ne balyoka boogera nti Kubanga baaleka endagaano ya Mukama, Katonda wa bajjajja baabwe, gye yalagaana nabo bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri;
26 ne bagenda ne baweereza bakatonda abalala, ne babasinza, bakatonda be baali tebamanyi, era be yali tabawadde
27 obusungu bwa Mukama kye bwava bubuubuuka ku nsi eno, okugireetako ekikolimo kyonna ekiwandiikiddwa mu kitabo kino;
28 kale Mukama n'abasimbula mu nsi yaabwe, mu busungu ne mu kiruyi ne mu kunyiiga okungi, n'abasuula mu nsi endala, nga leero.
29 Eby'ekyama biba bya Mukama Katobda waffe: naye ebibikkulibwa biba byaffe era bya baana baffe, emirembe gyonna; tulyoke tukolenga ebigambo byonna eby'omu mateeka gano.
Essuula 30

1 Awo olunaatuukanga, ebyo byonna bwe birimala okukujjira, omukisa n'ekikolimo, bye ntadde mu maaso go, naawe bw'onoobijjukiranga mu mawanga gonna Mukama Katonda wo gy'akugobedde,
2 n'okomawo eri Mukama Katonda wo, n'ogondera eddoboozi lye nga byonna bwe biri bye nkulagira leero, ggwe n'abaana bo, n'omutima gwo gwonna, era n'emmeeme yo yonna;
3 Mukama Katonda wo n'alyoka akyusa okunyagibwa kwo; n'akusaasira, n'akomawo n'akukuŋŋaanya ng'akuggya mu mawanga gonna, Mukama Katonda wo gye yakusaasaanyiza.
4 Omuntu yenna ku babo abaagobebwa bw'aba ng'ali mu nsonda z'eggulu, Mukama Katonda wo anaakuggyanga eyo okukukuŋŋaanya, era anaakukimanga eyo:
5 era Mukama Katonda wo anaakuyingizanga mu nsi bajjajja bo gye baalya, naawe oligirya; era alikukola bulungi, alikwaza okusinga bajjajja bo.
6 Era Mukama Katonda wo alikukomola omutima, n'omutima gw'ezzadde lyo, okwagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, olyoke obe omulamu.
7 Era Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo, ne ku abo abaakukyawa, abaakuyigganyanga.
8 Era olikomawo n'ogondera eddoboozi lya Mukama, n'okola ebiragiro bye byonna, bye nkulagira leero.
9 Era Mukama Katonda wo alikwaza mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo, mu bibala by'omubiri gwo, ne mu bibala by'ekisibo kyo, ne mu bibala by'ettaka lyo, olw'obulungi: kubanga Mukama alikusanyukirako nate olw'obulungi, nga bwe yasanyukira ku bajjajja bo:
10 oba ng'oligondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka; oba ng'olikyukira Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.
11 Kubanga ekiragiro kino kye nkulagira leero tekiiyinze kukukaluubirira, so tekiri wala.
12 Tekiri mu ggulu n'okwogera n'oyogera nti Ani anaatulinnyira mu ggulu, akituleetere, akituwulize, tulyoke tukikole?
13 So tekiri mitala w'ennyanja n'okwogera n'oyogera nti Ani alituwungukira ennyanja; akituleetere, akituwulize, tulyoke tukikole?
14 Naye ekigambo kikuli kumpi nnyo, mu kamwa ko ne mu mutima gwo olyoke okikolenga.
15 Laba, leero ntadde mu maaso go obulamu n'obulungi, n'okufa n’obubi;
16 kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n'okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye, olyoke obenga omulamu oyalenga era Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu nsi gy'oyingira okugirya.
17 Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n'ogaana okuwulira, naye n'osendebwasendebwanga n'osinzanga bakatonda abalala n'obaweerezanga;
18 mbategeereza ddala leero nga temulirema kuzikirira; temulimala nnaku zammwe nnyingi ku nsi gy'osomokera Yoludaani okuyingira okugirya.
19 Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo:
20 okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, n'okwegattanga naye: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo: olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, okubawa.
Essuula 31

1 Awo Musa n'agenda n'abuulira Isiraeri yenna ebigambo ebyo.
2 N'abagamba nti Leero naakamaze emyaka kikumi mu abiri; sikyayinza kufuluma na kuyingira: era Mukama yaŋŋamba nti Tojja kusomoka Yoludaani ono.
3 Mukama Katonda wo y'alikukulembera okusomoka; ye alizikiriza amawanga gano mu maaso go, naawe oligalya: era Yoswa y'alikukulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.
4 Era Mukama alibakola nga bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b'Abamoli, n'ensi yaabwe; be yazikiriza.
5 Era Mukama alibagabula mu maaso gammwe, nammwe mulibakola ng'ekiragiro kyonna bwe kiri kye mbalagidde.
6 Beera n'amaanyi, guma omwoyo, totya so tobatekemukira kubanga Mukama Katonda wo ye wuuyo agenda naawe; taakulekenga so taakwabulirenga.
7 Awo Musa n'ayita Yoswa n’amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oligenda n'abantu bano mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okubawa; era oligibasisa.
8 Mukama ye wuuyo abakulembera; anaabeeranga naawe, taakulekenga so taakwabulirenga: totya so totekemuka.
9 Awo Musa n'awandiika amateeka gano n'agawa bakabona abaana ba Leevi, abaasitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'abakadde bonna aba Isiraeri.
10 Awo Musa n'abalagira ng'ayogera nti Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka ogw'okusumululiramu, mu mbaga ey'ensiisira.
11 Isiraeri yenna nga bazze okulabikira mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza, onoosomeranga amateeka gano mu maaso ga Isiraeri yenna mu matu gaabwe.
12 Okuŋŋaanyanga abantu; abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne munnaggwanga wo ali munda w'enzigi zo, bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka gano okubikola;
13 era abaana baabwe; abatannamanya, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda wammwe, ennaku zonna nga mukyatuula mu nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.
14 Mukama n'agamba Musa nti Laba, ennaku zo ziri kumpi kikugwanire okufa: yita Yoswa, mweyanjule mu weema ey'okusisinkanirangamu, ndyoke mmulagire. Awo Musa ne Yoswa ne bagenda ne beeyanjula mu weema ey'okusisinkanirangamu.
15 Awo Mukama n'alabikira mu weema mu mpagi y'ekire: empagi y'ekire n'eyimirira waggulu w'oluggi lw'eweema.
16 Mukama n'agamba Musa nti Laba, olyebaka ne bajjajja bo; n'abantu bano baligolokoka ne bagenda nga bayenda okugoberera bakatonda abalala ab'omu nsi, gye bagenda okubeeranga mu bo wakati, era balindeka ne bamenya endagaano yange gye nnalagaana nabo.
17 Obusungu bwange ne bulyoka bubuubuuka ku bo ku lunaku luli, nange ndibaleka, era ndibakisa amaaso gange, era baliriibwa, n'obubi n'ennaku ennyingi biribajjira; n'okwogera ne boogera ku lunaku luli nti Obubi buno si kye buvudde butujjira kubanga Katonda waffe tali mu ffe?
18 Era sirirema kukisa maaso gange ku lunaku luli olw'obubi bwonna bwe baliba nga bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala.
19 Kale nno kaakano mwewandiikire oluyimba luno, era oluyigirize abaana ba Isiraeri: oluteeke mu bumwa bwabwe, oluyimba luno lubeerenga omujulirwa wange eri abaana ba Isiraeri.
20 Kubanga bwe ndiba nga mbayingizizza mu nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe baliba nga balidde ne bakkuta, ne bagejja; ne balyoka bakyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange.
21 Awo olulituuka, obubi bungi n'ennaku bwe biriba nga bibajjidde, oluyimba luno lulitegeeza mu maaso gaabwe ng'omujulirwa; kubanga terulyerabirwa okuva mu bumwa bw'ezzadde lyabwe: kubanga mmanyi okulowooza kwabwe kwe bagoberera, ne kaakano, nga sinnabayingiza mu nsi gye nnalayirira.
22 Awo Musa n’awandiika oluyimba luno ku lunaku olwo, n'aluyigiriza abaana ba Isiraeri.
23 N'alagira Yoswa omwana wa Nuni, n'ayogera nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oliyingiza abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira: nange n'abeeranga wamu naawe.
24 Awo olwatuuka, Musa bwe yamalira ddala okuwandiika ebigambo eby'amateeka gano mu kitabo, okutuusa lwe byaggwa,
25 Musa n'alagira Abaleevi, abaasitulanga essanduuko y'endagaano ya Mukama ng'ayogera nti
26 Muddire ekitabo kino eky'amateeka; mukiteeke ku mabbali g'essanduuko y'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga eyo okuba omujulirwa gy'oli.
27 Kubanga mmanyi obujeemu bwo n'ensingo yo enkakanyavu: laba, nga nkyali mulamu nga nkyali wamu nammwe leero, mwabanga mwagala okujeemera Mukama; temulyeyongera nnyo nga mmaze okufa?
28 Mukuŋŋaanyize gye ndi abakadde bonna ab'ebika byammwe, n'abaami bammwe, ndyoke njogerere ebigambo bino mu matu gaabwe, era mpite eggulu: n'ensi okuba abajulirwa gye bali.
29 Kubanga mmanyi nga mulyeyonoonera ddala nga mmaze okufa, era mulikyama okuva mu kkubo lye nnabalagira; era obubi bulibabaako mu nnaku ez'enkomerero; kubanga mulikola ekiri mu maaso ga Mukama ekibi, okumusunguwaza olw'omulimu gw'emikono gyammwe.
30 Era Musa n'ayogerera mu matu g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ebigambo eby'oluyimba luno, okutuusa lwe byaggwa.
Essuula 32

1 Wulira, ggwe eggulu, nange naayogera; N’ensi ewulire ebigambo by’akamwa kange:
2 Okuyigiriza kwage kunaatonnya ng'enkuba, Okwogera kwange kunaagwa ng'omusulo; Ng'obukubakuba ku ssubi eggonvu, Era ng'oluwandaggirize ku muddo:
3 Kubanga naatendera erinnya lya Mukama: Muwe obukulu, Katonda waffe.
4 Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira; Kubanga amakubo ge gonna musango: Katonda ow'obwesigwa atalina bubi, Wa mazima oyo era wa nsonga.
5 Baakolanga ebitali bya butuukirivu eri ye, si baana be, lye bbala lyabwe: Gye mirembe emikakanyavu egyakyama.
6 Bwe musasula Mukama bwe mutyo, Mmwe abantu abasirusiru abatalina magezi? Si ye kitaawo eyakugula? Ye yakukola, ye yakunyweza ye.
7 Jjukira ennaku ez’edda, Lowooza emyaka gy'emirembe emingi: Buuza kitaawo, anaakulaga; Abakadde bo, banaakubuulira.
8 Ali waggulu ennyo bwe yawa amawanga obusika bwabwe, Bwe yayawula abaana b'abantu: Yassaawo ensalo z'amawanga Ng'omuwendo bwe gwali ogw'abaana ba Isiraeri.
9 Kubanga omugabo gwa Mukama be bantu be; Yakobo: gwe muteeko gw'obusika bwe.
10 Yamusanga mu nsi ey'eddungu, Era mu kigumbo ekyereere ensolo we zikaabira; Yamwetooloolanga, Yamujjanjabanga. Yamukuumanga ng'emmunye y'eriiso lye:
11 Ng'empungu esaasaanya ekisu kyayo, Epaapaalira ku bwana bwayo, Yayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n'abatwala, N'abasitulira ku byoya bye,
12 Mukama yekka Ye Yamukulembera, So tewabanga katonda, mulala wamu naye.
13 Yamulinnyisa ku bifo ebigulumivu eby'ensi, N'alya eky’engera eky’ennimiro; N'amunuunyanga omubisi gw'enjuki okuva mu lwazi, N'amafuta okuva mu lwazi olw'embaalebaale;
14 Omuzigo gw'ente n'amata g'endiga, N'amasavu g'abaana b'endiga, N'endiga ennume ez'engeri ey'e Basani, n'embuzi emmandwa; N'eŋŋaano eya ssava ng'amasavu g'ensigo; N'onywanga omwenge oguva mu musaayi gw'omuzabbibu.
15 Naye Yesuluuni n'asavuwala, n'asamba: Wasavuwala, wanenewala, wafuuka munyirivu: N'alyoka aleka Katonda eyamukola, N'anyooma Olwazi olw'obulokozi bwe.
16 Baamukwasanga obuggya ne bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo.
17 Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda, Bakatonda be bataamanyanga, Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke, Bajjajja bammwe be bataatyanga.
18 Lwazi eyakuzaala tomujjukira, Era weerabidde Katonda eyakuzaala.
19 Mukama n'akiraba n'abatamwa Olw'okusunguwaza kwa batabani be ne bawala be.
20 N'ayogera nti Naabakisa amaaso gange, Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba: Kubanga gye mirembe egy'ekyejo ekingi, Abaana omutali kukkiriza.
21 Bankwasanga obuggya n'ekyo ekitali Katonda; Bansunguwazanga n'ebigambo byabwe ebitaliimu: Nange ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga; Ndibasunguwaza n'eggwanga essirusiru.
22 Kubanga omuliro gukoledde mu busungu bwange; Era gwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era gwokya ensi n'ekyengera kyayo, Era gukoleeza ensozi we zisibuka.
23 Ndibatuumako obubi; Ndimalira obusaale bwange ku bo:
24 Balikoozimba n'enjala, n'okwokya okungi kulibamalawo, N'okuzikirira okukambwe; N'amannyo g'ensolo ndibasindikira, N'obusagwa bw'ebyewalula eby'omu nfuufu.
25 Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa, Ne mu bisenge entiisa; Kinaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi.
26 Nayogera nti Nandibasaasaanyizza wala, Nandimazeeyo okujjukirwa kwabwe mu bantu:
27 Singa saatya kusunguwaza kwa mulabe, Abaabakyawa baleme okwerimba, Baleme okwogera nti Omukono gwaffe gugulumizibwa, Era Mukama si y'akoze bino byonna:
28 Kubanga lye ggwanga eritamanyi kuteesa bigambo, So temuli kutegeera mu bo.
29 Singa ba magezi ne bategeera Ne balowooza enkomerero yaabwe ey'oluvannyuma!
30 Omu yandigobye atya olukumi; N'ababiri bandiddusizza batya akakumi, Lwazi waabwe singa teyabatunda, Era Mukama singa teyabagabula?
31 Kubanga olwazi lwabwe teruliŋŋanga olwazi lwaffe, Newakubadde abalabe baffe bennyini nga be basala omusango.
32 Kubanga omuzabbibu gwabwe gwava ku muzabbibu ogw'e Sodoma, Ne mu nnimiro ez'e Ggomola: Ezabbibu zaabwe zabbibu za mususa, Ebirimba byazo bikaawa:
33 Omwenge gwabwe busagwa bwa misota, Era busagwa bukambwe bwa mbalasaasa.
34 Kino tekyaterekwa gye ndi, Nga kiteekeddwako akabonero mu bugagga bwange?
35 Okuwalana kwange, n'okusasula, Obudde bwe bulituuka ekigere kyabwe ne kiseerera: Kubanga olunaku lwabwe olw'okulaba ennaku luli kumpi: N'ebigenda okubajjira biryanguwa:
36 Kubanga Mukama alisalira abantu be omusango; Era alyejjusa olw'abaddu be; Bw'aliraba ng'obuyinza bwabwe buweddewo, So tewali asigaddewo, oba musibe oba atali musibe.
37 Era ayogera nti Bakatonda baabwe bali ludda wa, Olwazi lwe beesiganga;
38 Abaalyanga amasavu ag'essaddaaka zaabwe, Abaanywanga omwenge ogw'ekyo kye baawangayo ekyokunywa. Bagolokoke bababeere, Babe ekigo kyammwe,
39 Mulabe kaakano nga nze, nze wuuyo, So tewali katonda wamu nange: Nze nzita; era nze mpa obulamu; Nfumise, era mponya: So tewali ayinza okulokola okuggya mu mukono gwange:
40 Kubanga ngolola omukono gwange eri eggulu, Ne njogera nti Nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna,
41 Bwe ndiwagala ekitala kyange ekimasamasa, Omukono gwange ne gukwata ku musango; Ndiwalana eggwanga ku balabe bange, Ndisasula abo abankyawa.
42 Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi, N'ekitala kyange kirirya ennyama; N'omusaayi gw'abo abattibwa n'abawambe, Okuva ku mutwe gw'abo abakulembera abalabe,
43 Musanyuke, mmwe amawanga, wamu n’abantu be. Kubanga aliwalana eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be, Era alisasula abalabe be okubonerezebwa; Era alitangirira elisi ye, abantu be.
44 Musa n'ajja n'ayogerera ebigambo byonna eby'oluyimba luno mu matu g'abantu, ye ne Koseya omwana wa Nuni:
45 Musa n'amalira ddala okwogera ebigambo ebyo byonna eri Isiraeri yenna:
46 n'abagamba nti Muteeke omutima gwammwe ku bigambo byonna bye mbategeeza leero; bye muliragira abaana bammwe, okukwata ebigambo byonna eby'amateeka ago okubikolanga.
47 Kubanga si kigambo ekitaliimu gye muli kubanga bwe bulamu bwammwe, era olw'ekigambo ekyo kyemunaavanga muwangaala ennaku zammwe ku nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.
48 Mukama n'agamba Musa ku lunaku olwo nti
49 Linnya ku lusozi luno Abalimu, ku lusozi Nebo, oluli mu nsi ya Mowaabu, olwolekera Yeriko; olengere ensi ya Kanani gye mpa abaana ba Isiraeri okuba obutaka:
50 ofiire ku lusozi lw'olinnyako, okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo; nga Alooni muganda wo bwe yafiira ku lusozi Koola, n'akuŋŋaanyizibwa eri abantu be:
51 kubanga mwansobyako wakati mu baana ba Isiraeri ku mazzi ag'e Meriba mu Kadesi, mu ddungu Zini; kubanga temwantukuza wakati mu baana ba Isiraeri.
52 Kubanga olirengera ensi mu maaso go; naye toligendayo mu nsi gye mpa abaana ba Isiraeri.
Essuula 33

1 Era guno gwe mukisa Musa omusajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isiraeri nga tannaba kufa.
2 N'ayogera nti Mukama yava ku Sinaayi, Era yabagolokokera ng'ava ku Seyiri; Yamasamasa okuva ku lusozi Palani, N'ava eri obukumi bw'abatukuvu: Ku mukono gwe ogwa ddyo kwaliko amateeka ag'omuliro gye bali:
3 Weewaawo, ayagala amawanga; Abatukuvu be bonna bali mu mukono gwo. Ne batuula ku bigere byo; Buli muntu aliweebwa ku bigambo byo.
4 Musa yatulagira amateeka, Obusika obw'ekibiina kya Yakobo.
5 Era yali kabaka mu Yesuluni. Emitwe gy'abantu bwe baakuŋŋaanyizibwa, Ebika byonna ebya Isiraeri wamu:
6 Lewubeeni abenga omulamu, alemenga okufa; Naye abasajja be babenga batono:
7 Era guno gwe mukisa gwa Yuda: n'ayogera nti Wulira Mukama, eddoboozi lya Yuda, Omuyingize eri abantu be: N'emikono gye yeerwanirira; Era onoobanga mubeezi eri abalabe be.
8 Ne ku Leevi n'ayogera nti Sumimu wo ne Ulimu wo biri n'omusajja wo atya Katonda, Gwe wakemera e Masa, Gwe wawakana naye ku mazzi ag'e Meriba;
9 Eyayogera ku kitaawe ne ku nnyina nti Simulabye; So teyakkiriza baganda be, So teyamanya baana be ye: Kubanga bakutte ekigambo kyo, Era beekuuma endagaano yo.
10 Banaayigirizanga Yakobo emisango gyo, Ne Isiraeri banaamuyigirizanga amateeka go: Banaateekanga eby'okwoteza mu maaso go, N'ekiweebwayo ekyokebwa ekiramba ku kyoto kyo.
11 Ebintu bye, Mukama, biwenga omukisa, Okkirize omulimu gw'emikono gye: Ofumitire ddala ebiwato byabwe abanaamugolokokerangako, N'abo abamukyawa balemenga okugolokoka nate.
12 Ku Benyamini n'ayogera nti Omwagalwa wa Mukama anaatuulanga mirembe awali ye; Amubikkako okuzibya obudde, Era atuula wakati w'ebibegabega bye
13 Ne ku Yusufu n'ayogera nti Ensi ye eweebwe Mukama omukisa; Olw'eby'omuwendo omungi eby'omu ggulu, olw'omusulo, N'olw'ennyanja egalamira wansi,
14 N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ebibala by'enjuba. N'olw'eby'omuwendo omungi ebiva mu kukula kw'emyezi,
15 N'olw'ebikulu eby'ensozi ez'edda, N'olw'eby'omuwendo omungi eby'ensozi ezitaggwaawo.
16 N'olw'eby'omuweado omungi eby'ensi n'okujjula kwayo, N'ekisa ky'oyo eyatuula mu kisaka: Omukisa gujje ku mutwe gwa Yusufu, Ne ku bwezinge bw'omutwe gw'oyo eyayawulibwa ne baganda be.
17 Ye nte ye embereberye, obukulu bwe bubwe; N'amayembe ge, mayembe ga mbogo: Aligasindisa amawanga gonna, enkomerero z'ensi: Era bwe bukumi bwa Efulayimu, Era ze nkumi za Manase.
18 Ne ku Zebbulooni n'ayogera nti Sanyuka, Zebbulooni; mu kufuluma kwo, Naawe, Isakaali, mu weema zo.
19 Baliyita amawanga eri olusozi; Banaaweeranga eyo ssaddaaka ez'obutuukirivu: Kubanga balinuuna okujjula kw'ennyanja, N'obugagga obukweke obw'omu musenyu.
20 Ne ku Gaadi n'ayogera nti Aweebwe omukisa oyo agaziya Gaadi; Atuula ng'empologoma enkazi, N'ataagula omukono; era obwezinge bw'omutwe.
21 Ne yeeterekera omugabo ogw'olubereberye, Kubanga, eyo ekitundu eky'omugabi w'amateeka, kyaterekwa; N'ajja awamu n'emitwe gy'abantu, Yakola eby'obutuukirivu, ebya Mukama, N'emisango gye eri Isiraeri.
22 Ne ku Ddaani n'ayogera nti Ddaani mwana wa mpologoma, Abuuka okuva mu Basani.
23 Ne ku Nafutaali n'ayogera nti Ggwe Nafutaali, akkuse obuganzi, Anyiye omukisa gwa Mukama: Ggwe lya obugwanjuba n'obukiika obwa ddyo.
24 Ne ku Aseri n'ayogera nti Aseri aweebwe omukisa gw'abaana; Asiimibwenga baganda be. Era annyikenga ekigere kye mu mafuta
25 Ebisiba byo binaabanga kyuma na lukomo; Era ng'ennaku zo, amaanyi go bwe ganaabanga bwe gatyo.
26 Tewali afaanana Katonda, ggwe Yesuluni, Eyeebagala ku ggulu olw'okukubeera, Era ku bbanga mu bukulu bwe obusinga:
27 Katonda ataggwaawo kye kifo ky'otuulamu, Era emikono egitaggwaawo gikuwanirira: Naasimbulamu abalabe mu maaso go, Naayogera nti Zikiriza.
28 Era Isiraeri atuula mirembe, Oluzzi lwa Yakobo luli lwokka, Mu nsi ey'eŋŋaano n'omwenge; Weewaawo, eggulu lye litonnya omusulo.
29 Olina omukisa ggwe Isiraeri: Ani akufaanana ggwe, eggwanga eryalokolwa Mukama, Engabo ey'okubeerwa kwo, Era kye kitala eky'obukulu bwo obusinga! Era abalabe bo balikujeemulukukira; Naawe olirinnya ku bifo byabwe ebya waggulu.
Essuula 34

1 Awo Musa n'ava mu nsenyi za Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko: Mukama n'amulaga ensi yonna eye Giriyaadi okutuusa ku Ddaani;
2 ne Nafutaali yonna, n'ensi, ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja ey'emabega;
3 n'Obukiika obwa ddyo, n'Olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko ekibuga eky'enkindu okutuusa ku Zowaali.
4 Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo nkugirengezezza n'amaaso go, naye tolisomoka kugendayo.
5 Awo Musa omuddu wa Mukama n'afiira eyo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
6 N'amuziika mu kiwonvu mu nsi ya Mowaabu awoolekera e Besupyoli: naye tewali muntu amanyi amalaalo ge ne leero.
7 Era Musa yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri bwe yafa; eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko.
8 Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Musa amaziga mu nsenyi za Mowaabu ennaku asatu kale ennaku ez'okukaabiramu nga banakuwalira Musa ne ziggwa.
9 Era Yoswa omwana wa Nuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
10 Era tewannayimuka mu Isiraeri nabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya ng'alabagana n'amaaso:
11 mu bubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna, n'eri ensi ye yonna;
12 ne mu mukono ogwo gwonna ogw'amaanyi, ne mu ntiisa eyo yonna ennene, Musa gye yakoleranga mu maaso ga Isiraeri yenna.