Yoswa

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24


-Reset+

Essuula 1

1 Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa, omwana wa Nuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti
2 Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe, n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.
3 Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnagamba Musa.
4 Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, gwe mugga Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba ensalo yammwe.
5 Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo: nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.
6 Ddamu amaanyi guma omwoyo: kubanga ggwe olibasikiza abantu bano ensi eno gye nnalayirira bajja baabwe okugibawa.
7 Naye mala okuddamu amaanyi n'okuguma ennyo omwoyo, okwekuumanga okukola ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange ge yakulagira: tokyamanga okugaleka ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.
8 Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw'onooterezanga bw'otyo ekkubo lyo, era bw'onooweebwanga omukisa bw'otyo.
9 Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.
10 Yoswa n'alyoka alagira abaami b'abantu, ng'ayogera nti
11 Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu, nga mwogera nti Mweteekereteekere emmere; kubanga ennaku essatu nga tezinnayita mugenda, okusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugirya.
12 Era Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase Yoswa n'abagamba, ng'ayogera nti
13 Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabalagira, ng'ayogera nti Mukama Katonda wammwe abawa ekiwummulo, era alibawa ensi eno.
14 Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balituula mu nsi Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye mmwe mulisomoka mu maaso ga baganda bammwe nga mulina eby'okulwanyisa, abazira mwenna ab'amaanyi, mulibabeera;
15 okutuusa Mukama lw'alimala okubawa baganda bammwe ekiwummulo, nga bw'awadde mmwe, era nabo lwe balimala okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa bo: ne mulyoka muddayo mu nsi gye mwalya, mugirye, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
16 Ne bamuddamu Yoswa, nga boogera nti Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga.
17 Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo: kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa.
18 Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga: naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.




Essuula 2

1 Yoswa omwana wa Nuni n'atuma abantu babiri nkiso okuva mu Sittimu okuketta, ng'ayogera nti Mugende, mukebere ensi ne Yeriko. Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.
2 Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi.
3 Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo: kubanga bazze okuketta ensi yonna.
4 Omukazi n'abatwala bombi, n'abakisa; n'ayogera nti Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nabadde simanyi gye bavudde.
5 awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda: abantu gye bazze simanyi: mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.
6 Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako emiti egy'obugoogwa, gye yali ateeseteese obulungi ku kasolya.
7 Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko: abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.
8 Bo nga tebanneebaka; n'alinnya gye bali ku kasolya;
9 n'agamba abantu nti Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna basaanuuka mu maaso gammwe.
10 Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi; be mwazikiririza ddala.
11 Naffe bwe twakiwulira emitima gyaffe ne giryoka gisaanuuka; so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna ku lwammwe: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.
12 Kale kaakati, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero ak'amazima:
13 era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa.
14 Abantu ne bamugamba nti Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe, bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.
15 Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwatanye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeera ku bbugwe.
16 N'abagamba nti Mugende ku lusozi, abaabagoberedde baleme okubasanga: era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.
17 Abantu ne bamugamba nti Tetulina musango ku kirayiro kyo kino ky'otulayizizza.
18 Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu: era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.
19 Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango: era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna:
20 Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.
21 N'ayogera nti Wabe ng'ebigambo byammwe bwe biri. N'abasindika, ne bagenda n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa.
22 Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba:
23 Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako.
24 Ne bamugamba Yoswa nti Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna basaanuukira ddala mu maaso gaffe.




Essuula 3

1 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka.
2 Awo ennaku ssatu bwe zaayita abaami ne bayita wakati mu lusiisira;
3 ne balagira abantu, nga boogera nti Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe; ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera.
4 Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo; ng'emikono enkumi bbiri gigerebwa: temugisemberera, muyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okutuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino.
5 Yoswa n'agamba abantu nti Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola eby'amagero mu mmwe.
6 Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti musitule essanduuko ey'endagaano, musomoke mukulembere abantu. Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu.
7 Mukama n'agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.
8 Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu Yoludaani.
9 Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mujje wano, muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.
10 Yoswa n'ayogera nti Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.
11 Laba, essanduuko ey'endagaano ya Mukama w'ensi zonna, ebakulembera okusomoka Yoludaani.
12 Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bika bya Isiraeri, buli kika omu.
13 Owo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gaggwaawo, ge mazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.
14 Awo, abantu bwe baava mu weema zaabwe, okusomoka Yoludaani, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano nga bakulembedde abantu;
15 era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula,)
16 amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne geekuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani: n'ago agakka ku nnyanja eye Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala: abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.
17 Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.




Essuula 4

1 Awo eggwanga lyonna bwe lyamala okuyitira ddala mu Yoludaani, Mukama n'agamba Yoswa, ng'ayogera nti
2 Mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bantu, mu buli kika omu,
3 era mubalagire, nga mwogera nti Mulonde wano wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona mwe byanyweredde, amayinja kkumi n'abiri, mugasomose, mugasse mu kisulo, kye munaasulamu ekiro kino.
4 Awo Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri, be yateekateeka mu baana ba Isiraeri, mu buli kika omu.
5 Yoswa n'abagamba nti Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, musitule buli muntu mu mmwe ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli:
6 ako kabe akabonero mu mmwe, abaana bammwe bwe banaabuuzanga mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amayinja gano amakulu gaago ki?
7 mulyoke mubagambe nti Kubanga amazzi ga Yoludaani gaggwaawo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama; bwe yayita mu Yoludaani, amazzi ne gaggwaawo: era amayinja gano galibeera ekijjuukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.
8 Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bw'abalagidde, ne balonda amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagatuusa mu kifo mwe baasula, ne bagassaawo.
9 Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira: era weegali ne kaakano.
10 Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira Yoswa: abantu ne banguwa ne bayita.
11 Awo, abantu bonna bwe baamala okuyita, essanduuko ya Mukama n'eryoka eyita, ne bakabona mu maaso g'abantu.
12 N'abaana ba Lewubeeni; n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri ne bayita nga balina ekyokulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba:
13 abantu ng'obukumi buna abeeteeseteese okulwana ne bayita mu maaso ga Mukama eri olutalo, mu lusenyi olw'e Yeriko:
14 Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso ga Baisiraeri bonna: ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa; ennaku zonna ez'obulamu bwe.
15 Mukama n'agamba Yoswa ng'ayogera nti
16 Lagira bakabona abasitula essanduuko ey'obujulirwa okulinnya okuva mu Yoludaani:
17 Awo Yoswa n'alagira bakabona ng'ayogera nti Mulinnye muve mu Yoludaani:
18 Awo bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okulinnya okuva wakati mu Yoludaani, n'ebigere bya bakabona ne birinnyibwa ku lukalu, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gadda mu kifo kyago, ne gayanjaala ku ttale lyagwo lyonna, ng'edda.
19 Abantu ne balinnya ne bava mu Yoludaani ku lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogw'olubereberye ne basula mu Girugaali, mu nsalo ey'ebuvanjuba ey'e Yeriko.
20 N'amayinja gali ekkumi n'abiri ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali.
21 N'agamba abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amakulu g'amayinja gano ki?
22 ne mulyoka mutegeezanga abaana bammwe; nga mwogera nti Abaisiraeri baayita mu Yoludaani muno nga lukalu:
23 Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okuyita; nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe; okutuuka bwe twamala okuyita:
24 amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo.




Essuula 5

1 Awo bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba; ne bakabona ab'Abakanani, abaali ku nnyanja, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okutuuka bwe twamala okusomoka, omutima gwabwe ne gusaanuuka, so nga tewakyali alina omwoyo mu bo; olw'abaana ba Isiraeri.
2 Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti Weekolere obwambe obw'amayinja, okomole nate abaana ba Isiraeri omulundi ogw'okubiri.
3 Yoswa ne yeekolera obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi olw'ebikuta.
4 Era eno ye nsonga eyabakomoza Yoswa: abasajja bonna abaava mu Misiri, abalwanyi bonna, ne bafiira mu ddungu mu kkubo, bwe baamala okuva mu Misiri.
5 Kubanga abantu bonna abaavaayo ne bakomolwa: naye abantu bonna abaazaalirwa mu ddungu mu kkubo nga bava mu Misiri nga tebakomolwanga.
6 Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka amakumi ana mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi abaava mu Misiri; lwe lyaggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama: Mukama be yalayirira obutabaganya kulaba nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okutuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
7 N'abaana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola: kubanga baali si bakomole, kubanga tebaabakomolera mu kkubo.
8 Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira ne bamala okuwona.
9 Mukama n'agamba Yoswa nti Leero njiringisizza ekivume eky'e Misiri okukibaggyako. Erinnya ery'ekifo kiri kyeryava liyitibwa Girugaali ne kaakano.
10 Abaana ba Isiraeri ne basula mu Girugaali; ne balya Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo mu lusenyi olw'e Yeriko.
11 Okuyitako ng'eweddeko ku lunaku olw'enkya ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukuswa ne kasooli omusiike, ku lunaku olwo.
12 N'emmaanu n'eggwaawo enkya, bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwaako; abaana ba Isiraeri ne bataba na mmaanu nate; naye ne balya ku mmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.
13 Awo, Yoswa bwe yali ng'asembedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, nga wayimiridde omuntu okumwolekera eyalina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amugamba nti Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?
14 N'ayogera nti Nedda; naye omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano. Yoswa n'amufukaamirira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti Mukama wange agamba atya omuddu we?
15 Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti Yambula engatto yo mu kigere kyo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu. Yoswa n'akola bw'atyo.




Essuula 6

1 (Era Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'abaana ba Isiraeri tewaali afuluma, newakubadde ayingira.)
2 Mukama n'agamba Yoswa nti Laba, nkukiwadde mu mukono gwo Yeriko, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi.
3 Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu. Bw'onookolanga bw'otyo ennaku omukaaga.
4 Ne bakabona omusanvu balisitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko: ne ku lunaku olw'omusanvu mulikyetooloola ekibuga emirundi musanvu; ne bakabona balifuuwa eŋŋombe.
5 Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe, abantu bonna ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene; bbugwe ow'ekibuga n'alyoka agwira ddala wansi, abantu ne balinnya buli muntu mu maaso ge.
6 Yoswa, omwana wa Nuni, n'ayita bakabona, n'abagamba nti Musitule essanduuko ey'endagaano, era bakabona musanvu basitule eŋŋombe musanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja bazikulembeze essanduuko ya Mukama:
7 Ne bagamba abantu nti Muyite, mwetooloole ekibuga, n'abalina eby'okulwanyisa bakulembere essanduuko ya Mukama.
8 Awo Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne bayita, ne bafuuwa eŋŋombe: essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako ennyuma.
9 Abalina eby'okulwanyisa ne bakulembera bakabona abaafuuwa eŋŋombe, ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko, nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
10 Yoswa n'alagira abantu, ng'ayogera nti Temwogerera waggulu, n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okwogerera waggulu; ne mulyoka mwogerera waggulu.
11 Bw'atyo yagyetoolooza ekibuga essanduuko ya Mukama, nga bakyetooloodde omulundi gumu ne bayingira mu lusiisira, ne basula mu lusiisira.
12 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama.
13 Ne bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko ya Mukama ne bagenda obutalinda, ne bafuuwa eŋŋombe: n'abalina eby'okulwanyisa nga babakulembedde: n'ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko ya Mukama nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
14 Ne ku lunaku olw'okubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira: bwe baakola bwe batyo ennaku mukaaga.
15 Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera enkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga emirundi musanvu bwe batyo: naye ku lunaku olwo beetooloola ekibuga emirundi musanvu.
16 Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga.
17 N'ekibuga kiriterekerwa Mukama, ekibuga ne byonna ebirimu: Lakabu omwenzi y'aliwona yekka, ye ne bonna abali awamu naye mu nnyumba, kubanga yakweka abatume, be twatuma.
18 Nammwe mwewalire ddala mu biterekeddwa Mukama, muleme okutwala ku biterekeddwa, nga mumaze okubitereka; bwe mutyo mwandifudde olusiisira lwa Isiraeri olukolimiddwa, era mwandirweraliikirizza;
19 Naye effeeza yonna n’ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby’ebyuma bye bitukuvu eri Mukama; birijja mu ggwanika lya Mukama.
20 Awo abantu ne baleekaana, ne bafuuwa eŋŋombe; awo, abantu bwe baawulira eddoboozi ery'eŋŋombe abantu ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, bbugwe n'agwira ddala wansi, abantu ne balinnya mu kibuga, buli muntu mu maaso ge, ne bamenya ekibuga.
21 Ne bazikiririza ddala ebyali mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi, abato n'abakulu; n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala.
22 Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti Mugende mu nnyumba ey'omwenzi, mumufulumye omukazi, ne by'alina byonna, nga bwe mwamulayirira.
23 Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bamufulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina; ne baganda be, ne byonna by'alina, era n'ekika kye kyonna ne babafulumya; ne babateeka ebweru ku lusiisira lwa Isiraeri:
24 Ekibuga ne bakyokya omuliro, n’ebyalimu byonna: naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma byokka baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama.
25 Naye Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe ne byonna bye yalina, Yoswa n'abawonya; n'abeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano; kubanga yakweka abatume, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko.
26 Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko: mu kufiirwa omwana we omubereberye mw'alissizaawo emisingi gyakyo, era mu kufiirwa omwana we omuto alisimba enzigi zaakyo.
27 Bw'atyo Mukama yabeeranga ne Yoswa; n'ebigambo bye ne byatiikirira mu nsi yonna.




Essuula 7

1 Naye abaana ba Isiraeri ne boonoona mu biterekeddwa: kubanga Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'atwala ku biterekeddwa: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku baana ba Isiraeri.
2 Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda e Ayi ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba olwa Beseri, n'abagamba nti Mulinnye mukette ensi. Abantu ne balinnya ne baketta Ayi.
3 Ne bakomawo eri Yoswa ne bamugamba nti Abantu bonna tebagendayo; naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu balinnye bakube Ayi; toteganya abantu bonna okugendayo; kubanga abaayo batono.
4 Awo ne balinnyayo ku bantu abasajja ng'enkumi ssatu; ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi.
5 N'ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga: ne babagoba okubaggya ku wankaaki okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa: emitima gy'abantu ne gisaanuuka, ne giba ng'amazzi.
6 Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olweggulo, ye n’abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe:
7 Yoswa n'ayogera nti Woowe, ai Mukama Katonda, okusomosa kiki ekyakusomosa abantu bano Yoludaani, okutuwaayo mu mikono egy'Abamoli, okutuzikiriza? singa twakkiriza okutuula emitala wa Yoludaani.
8 Ai Mukama, naayogera ntya, Abaisiraeri bwe bamaze okubakuba amabega abalabe baabwe?
9 Kubanga Abakanani n'abali mu nsi boana baliwulira, balituzingiza baliggya erinnya lyaffe ku nsi: naawe olirokola otya erinnya lyo ekkulu?
10 Mukama n'agamba Yoswa nti Golokoka; kiki ekikugwisizza bw'otyo okwevuunika?
11 Abaisiraeri boonoonye; era bamenye endagaano yange gye nnabalagira; era n'okutwala batutte ku biterekeddwa; era babbye, era bakuusizza, era babiyingizizza mu bintu byabwe.
12 Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne bakuba amabega abalabe baabwe, kubanga bafuuse abakolimiddwa, sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko.
13 Mukale, mutukuze abantu, mwogere nti Mwetukulize olunaku olw'enkya: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Waliwo ekiterekeddwa wakati mu ggwe; Isiraeri: toyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bo; nga temunnakiggyawo ekiterekeddwa mu mmwe.
14 Kale enkya munaasemberezebwa mu bika byammwe: awo, ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera mu nnyumba zaayo; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu buli muntu.
15 Awo olunaatuuka anaalondebwa ng'alina ekiterekeddwa anaayokebwa omuliro, ne by'alina byonna; kubanga amenye endagaano ya Mukama, era kubanga akoze obusirusiru mu Isiraeri.
16 Awo Yoswa n'akeera enkya, n'agolokoka, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; n'ekika kya Yuda ne kirondebwa:
17 n'asembeza enda ya Yuda; n'alonda enda eya Bazera: n’asembeza enda eya Bazera buli muntu buli muntu; Zabudi n'alondebwa:
18 n'asembeza ennyumba ye buli muntu buli mnntu; Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'alondebwa.
19 Yoswa n’agamba Akani nti Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri; omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.
20 Akani n'addamu Yoswa n'ayogera nti Mazima nnyonoonye eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, ne nkola bwe nti ne bwe nti
21 bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza ebikumi bibiri, n'olulimi olwa zaabu ekigero kyalwo esekeri amakumi ataano, ne ndyoka mbiyaayaanira, ne mbitwala; era, laba, bikwekeddwa mu ttaka wakati mu weema yange, ne ffeeza wansi waakyo:
22 Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda mbiro mu weema ye; era, laba, nga kikwekeddwa mu weema ye, n'effeeza wansi waakyo.
23 Nabo ne babiggya wakati mu weema; ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
24 Ne Yoswa n'Abaisiraeri bonna awamu naye ne batwala Akani, omwana wa Zeera, n'effeeza, n'ekyambalo, n'olulimu olwa zaabu; n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze; n'endiga ze, n'eweema ye ne byonna bye yalina: ne babalinnyisa mu kiwonvu Akoli:
25 Yoswa n'ayogera nti Kiki ekyakutweraliikirizisa? Mukama anaakweraliikiriza ggwe leero, Abaisiraeri bonna ne bamukuba amayinja; ne babookya omuliro, ne babakuba amayinja.
26 Ne bamutuumako entuumu ennene ey’amayinja ne kaakano; Mukama n'akyuka okuleka obusungu bwe obukabwe. Erinnya ery'ekiwonvu kiri kyeryava liyitibwa ekiwonvu Akoli, ne leero.




Essuula 8

1 Mukama n'agamba Yoswa nti Totyanga, so tokankananga: twala abantu bonna abalwanyi naawe, ogolokoke olinnye ku Ayi: laba, nkuwadde mu mukono gwo kabaka wa Ayi, n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye;
2 era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu: naye omunyago gwakyo n'ente zaakyo mulibyetwalira okuba ebinyage byammwe: muteegere ekibuga ennyuma waakyo.
3 Awo Yoswa n'agolokoka, n'abantu bonna abalwanyi, okulinnya ku Ayi; Yoswa n'alonda abantu obukumi busatu, abazira ab'amaanyi, n'abasindika ekiro.
4 N'abalagira ng'ayogera nti Laba, munaateegera ekibuga ennyuma w’e kibuga: temukiba wala nnyo ekibuga naye mwenna mweteeketeeke:
5 nange n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga: awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye, ne tulyoka tudduka mu maaso gaabwe;
6 nabo banajja okutugoberera, okutuusa lwe tunaabasendasenda okuva mu kibuga ewala; kubanga banaayogera nti Badduse mu maaso gaffe ng'olubereberye; kyetunaava tudduka mu maaso gaabwe:
7 nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne mukwata ekibuga: kubanga Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mukono gwammwe.
8 Awo, bwe munaamala okukwata ekibuga, ne mukyokya omuliro okugoberera ekigambo kya Mukama bwe munaakola: laba, nze mbalagidde.
9 Yoswa n'abasindika: ne bagenda we banaateegera, ne babeera wakati wa Neseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'e Ayi: naye Yoswa n'asula ekiro ekyo mu bantu.
10 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka; n'akuŋŋaanya abantu, n'alinnya, ye n'abakadde ba Isiraeri, mu maaso g'abantu ne bagenda e Ayi.
11 Abantu bonna, abalwanyi abaali naye, ne balinnya ne basembera ne batuuka ekibuga we kiraba, ne basimba olusiisira ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Ayi: era waaliwo ekiwonvu wakati we ne Ayi.
12 N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abateekateeka okuteega wakati wa Beseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga.
13 Bwe batyo bwe baateekateeka abantu, eggye lyonna eryali ku bukiika obwa kkono obw'ekibuga, era n'abateezi baabwe abaali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu.
14 Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yakiraba, ne banguwa ne bagolokoka, enkya, n'abantu ab'omu kibuga ne bajja ku Baisiraeri okulwana, ye n'abantu be bonna, ku kiseera ekiragiddwa, mu maaso ga Alaba; naye teyamanya nga waliwo abamuteeze ennyuma w'ekibuga.
15 Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne beefuula ng'abagobeddwa mu maaso gaabwe, ne baddukira mu kkubo ery'eddungu.
16 N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okubagoberera: ne bagoba Yoswa, ne basendebwasendebwa okuva mu kibuga ewala.
17 Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, atazze kugoba Isiraeri: ne baleka ekibuga nga kigguliddwawo ne bagoba Isiraeri.
18 Mukama n'agamba Yoswa nti Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga naakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.
19 N'abateezi ne bagolokoka mangu mu kifo kyabwe, ne baddukana mbiro bwe yamala okugolola omukono, ne bayingira mu kibuga, ne bakimenya; ne banguwa ne bookya ekibuga omuliro.
20 Ab'e Ayi bwe baalaba ennyuma waabwe, ne batunula, era, laba, omukka ogw'ekibuga nga gunyookera mu ggulu, ne bataba na maanyi ga kudduka okugenda eri newakubadde okudda eno: n'abantu abaali baddukidde mu ddungu ne babakyukirako abaabagoba.
21 Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi bamenye ekibuga, n'omukka ogw'ekibuga nga gunyooka, awo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi.
22 N'abalala bannaabwe ne bava mu kibuga okubalumba; ne babeera wakati mu Baisiraeri, abalala eruuyi n'abalala eruuyi: ne babakuba, obutaganya muntu kusigalawo newakubadde okudduka.
23 Ne kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa.
24 Awo Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala abaali mu Ayi bonna mu lusenyi, mu ddungu lye baabagoberamu, bonna ne bagwa n'obwogi bw'ekitala ne baggwaawo, Abaisiraeri bonna ne balyoka bakomawo e Ayi, ne bakikuba n'obwogi bw'ekitala.
25 Awo bonna abattibwa ku lunaku olwo, abasajja n'abakazi, baali kakumi mu enkumi bbiri, be bantu bonna abaali mu Ayi.
26 Kubanga Yoswa teyazza mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda, okutuusa lwe yamala okubazikiririza ddala abaali mu Ayi bonna.
27 Wabula ente n'omunyago ogw'ekibuga ekyo Abaisiraeri ne babyetwalira, okuba ebinyage byabwe, ng'ekigambo kya Mukama kye yalagira Yoswa.
28 Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akifuula ekifunvu emirembe gyonna, era ekyazika, ne kaakano.
29 Ne kabaka we Ayi n'amuwanika ku muti okutuusa olweggulo: enjuba bwe yagwa Yoswa n'alagira, ne baggya omulambo gwe ku muti, ne bagusuula ku muzigo: ku wankaaki ow'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ne kaakano.
30 Awo Yoswa n'alyoka azimbira Mukama ekyoto, Katonda wa Isiraeri, ku lusozi Ebali,
31 nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira abaana ba Isiraeri; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, ekyoto eky'amayinja amalamba, omuntu g'atassaako kyuma kyonna: ne bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ne bamuleetera ebiweebwayo olw'emirembe.
32 N'awandiika awo ku mayinja amateeka ga Musa, ge yawandiika, mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
33 N'Abaisiraeri bonna, n'abakadde baabwe, n'abaami, n’abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi ez'essanduuko mu maaso ga bakabona Abaleevi, abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, si nzaalwa bokka, naye ne bannaggwanga ekitundu kyabwe kumi olusozi Gerizimu gye lusimba, n’ekitundu kyabwe ekirala olusozi Ebali gye lusimba; nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira, basookenga okusabira omukisa abantu ba Isiraeri.
34 Oluvannyuma n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimira, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka.
35 Tewali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasoma mu maaso ag'ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri, n'abakazi, n’abaana abato, ne bannaggwanga abaatambulanga mu bo.




Essuula 9

1 Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsenyi, ne ku ttale lyonna ery'ennyanja ennene Lebanooni gye lusimba, Abakiiti, n'Abamoli, n'Abakanani, n'Abaperizi n'Abakiivi, Abayebusi, bwe baakiwulira;
2 ne balyoka bakuŋŋaanira wamu, okulwanyisa Yoswa n'Abaisiraeri, n'omwoyo gumu.
3 Naye abaali mu Gibyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku yeriko ne Ayi,
4 ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa;
5 n'engatto enkadde ezibotose mu bigere byabwe, era nga bambadde ebyambalo ebikadde; n’emmere yonna ey'entanda yaabwe ng'ekaliridde ng'ekutte obukuku.
6 Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira Girugaali, ne bamugamba ye n'abantu ba Isiraeri nti Tuvudde mu nsi wala: kale kaakano mulagaane naffe:
7 N'abantu ba Isiraeri ne bagamba Abakiivi nti Wozzi ewammwe muli wakati wansi yaffe; naffe tunaalagaana tutya nammwe?
8 Ne bagamba Yoswa nti Tuli baddu bo. Yoswa n'abagamba nti Muli baani? era muva wa?
9 Ne bamugamba nti Abaddu bo bavudde mu nsi wala nnyo okujja wano olw'erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga twawulira okwatiikirira kwe, ne byonna bye yakola mu Misiri,
10 ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka w'e Kesuboni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyali mu Asutaloosi.
11 N'abakadde baffe ne bonna abaali mu nsi yaffe ne batugamba nti Mutwalire olugendo olwo entanda mu mikono gyammwe mugende mubasisinkane, mubagambe nti Tuli baddu bammwe: kale kaakano mulagaane naffe.
12 Emmere yaffe eno twagisibirira entanda yaffe mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku:
13 n'amaliba gano ag’omwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise: n'ebyambalo byaffe bino engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo,
14 Abantu ne batwala ku ntanda zaabwe, ne batabuuza bigambo eri akamwa ka Mukama.
15 Yoswa n'alagaana nabo emirembe, n'alagaana nabo obutabatta: n’abakulu b'ekibiina ne babalayirira.
16 Awo mu nnaku essatu, nga bamaze okulagaana nabo, ne bawulira nga baliraanwa baabwe, era nga baali wakati waabwe.
17 Abaana ba Isiraeri ne batambula ne batuuka mu bibuga byabwe ku lunaku olw'okusatu: Ebibuga byabwe byali Gibyoni, ne Kefira, ne Beerosi, ne Kiriyasuyalimu.
18 N'abaana ba Isiraeri ne batabakuba, kubanga abakulu b'ekibiina baabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: N'ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulu.
19 Naye abakulu bonna ne bagamba ekibiina kyonna nti Twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: kale kaakano tetuuyinze kubakwatako.
20 Bwe tunaabakola bwe tutyo, okubaleka nga balamu; obusungu buleme okutubaako, olw'ekirayiro kye twabalayirira.
21 Abakulu ne bagamba nti Mubaleke nga balamu: ne babeera abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina kyonna; ng'abakulu bwe baabagamba.
22 Yoswa n'abayita n'abagamba nti Kiki ekyabatulimbya, nga mwogera nti Tuli wala nammwe, nga muli muffe?
23 Kale kaakano mukolimiddwa, so tewalibula kubeera mu mmwe abaddu ennaku zonna, abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ennyumba ya Katonda wange.
24 Ne bamuddamu Yoswa ne boogera nti Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa ensi yonna, n'okuzikiriza bonna abali mu nsi mu maaso gammwe; kyetwava tutya ennyo olw'obulamu bwaffe ku lwammwe, ne tukola bwe tutyo.
25 Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo: bw'olowooza nga kirungi era kituukirivu okutukola, kola bw'otyo.
26 Era bw'atyo bwe yabakola, n'abawonya mu mukono gw'abaana ba Isiraeri okubatta.
27 Ku lunaku luli Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne kaakano, mu kifo ky'anaalagiranga.




Essuula 10

1 Awo, Adonizedeki kabaka w’e Yerusaalemi bwe yawulira Yoswa bwe yamenya Ayi n'akizikiririza ddala; nti, bwe yakola Yeriko ne kabaka waamu, bw'atyo bwe yakola Ayi ne kabaka waamu; era ng'ab'omu Gibyoni baalagaana emirembe n'Abaisiraeri, era nga bali mu bo;
2 ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era kubanga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna bazira:
3 Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atuma eri Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, n'eri Piramu, kabaka w'e Yalamusi; n’eri, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, n'eri Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti
4 Mulinnye gye ndi mumbeere, tukube Gibyoni: kubanga baalagaana emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri.
5 Awo bakabaka abataano ab'Abamoli, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w'e Kebbulooni, kabaka w'e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka w’e Eguloni, ne bakuŋŋaanira wamu, ne balinnya, bo n'eggye lyabwe lyonna, ne basimba olusiisira ku Gibyoni, ne bakirwanyisa.
6 N'ab'e Gibyoni ne batumira Yoswa ku lusiisira ku Girugaali nga boogera nti Toddiriza mukono gwo ku baddu bo; olinnye gye tuli mangu, otuwonye, otubeere: kubanga bakabaka bonna ab'Abamoli abatuula mu nsi ey'ensozi bakuŋŋaanidde ku ffe.
7 Awo Yoswa n'ava mu Girugaali n'alinnya, ye n'abalwanyi bonna awamu naye, n'abazira bonna ab'amaanyi.
8 Mukama n'agamba Yoswa nti Tobatya, kubanga mbakuwadde mu mikono gyo: tewaabe muntu mu bo anaayimirira mumaaso go.
9 Awo Yoswa n'abajjirira mangu nga tebamanyi; kubanga yava Girugaali n'alinnya ekiro n'akeesa obudde.
10 Mukama n'abaswaza mu maaso ga Isiraeri, n'abattira ddala bangi mu Gibyoni, n'abagoba mu kkubo eririnnya e Besukolooni, n'abakuba okubatuusa ku Azeka ne ku Makkeda.
11 Awo, bwe badduka mu maaso ga Isiraeri, ne baserengeta e Besukolooni, Mukama n'asuula amayinja amanene nga gava mu ggulu n'abakuba mu Azeka; ne bafa: abaafa amayinja ag'omuzira ne basinga bali abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala.
12 Awo Yoswa n'agamba Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti Enjuba, yimirira ggwe ku Gibyoni; Naawe, omwezi, mu kiwonvu Ayalooni.
13 Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwalana eggwanga ku balabe baabwe. Ekyo tekyawandiikibwa mu kitabo kya Yasali? Enjuba n'erinda wakati mu ggulu, n'eteyanguwa kugwa ng'olunaku olulamba.
14 So tewali lunaku olwenkana olwo oba olwalusooka oba oluvannyuma lwalwo Mukama okuwulira eddoboozi ly'omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.
15 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.
16 Ne bakabaka abo abataano ne badduka, ne beekweka mu mpuku mu Makkeda.
17 Ne babuulira Yoswa nti Bakabaka abataano tubalabye, nga beekwese mu mpuku mu Makkeda.
18 Yoswa n'ayogera nti Muyiringisirize amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, mugiteekeko abantu babakuume;
19 naye mmwe temulinda; mugoberere abalabe bammwe, mubakube ab'ennyuma mu bo; temubaganya knyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mu mukono gwammwe.
20 Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri bwe baamalira ddala okutta abantu abangi ennyo, ne baggweerawo ddala, n'abaasigalawo mu bo ne bayingira mu bibuga ebiriko ebigo,
21 abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda n'emirembe: tewaali muntu eyagezaako okwogera okuvuma n'omu ku baana ba Isiraeri.
22 Yoswa n'alyoka ayogera nti Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano mu mpuku.
23 Ne bakola bwe batyo, ne baggyamu bakabaka bali abataano mu mpuku ne babamuleetera, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w’e Kebbulooni, kabaka w’e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka w'e Eguloni.
24 Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abaami ab'abalwanyi abaagenda naye nti Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano. Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe.
25 Yoswa n'abagamba nti Temutya, so temukankana, muddeemu amaanyi, mugume emyoyo: kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo.
26 Oluvannyuma Yoswa n'abafumita, n'abatta, n'abawanika ku miti etaano: ne bawanikibwa ku miti okutuusa olweggulo.
27 Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne babaggya ku miti, ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, ne kaakano.
28 Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu; n'abazikiririza ddala bo n'emyoyo gyonna egyalimu, n'atasigazaako n'omu: n'akola kabaka w’e Makkeda nga bwe yakola kabaka w’e Yeriko.
29 Yoswa n'ava mu Makkeda; n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Libuna, ne balwana n'ab'e Libuna.
30 Mukama nakyo n'akiwaayo, ne kabaka waamu, mu mukono gwa Isiraeri; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'atasigazaamu n'omu; n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.
31 Yoswa n'ava mu Libuna n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Lakisi, n'akisimbako olusiisira, n'akirwanyisa.
32 Mukama n'akiwaayo Lakisi mu mukono gwa Isiraeri; n'akimenya ku lunaku olwokubiri, n'akitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu, nga byonna bye yakola Libuna.
33 Kolamu kabaka w'e Gezeri n'alyoka alinnya okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba ye n'abantu be, n'atasigazaako n'omu.
34 Yoswa n'ava mu Lakisi, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Eguloni; ne bakisimbako olusiisira, ne bakirwanyisa;
35 ne bakimenya ku lunaku olwo, ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'agizikiririza ddala ku lunaku olwo; nga byonna bye yakola Lakisi.
36 Yoswa n'ava mu Eguloni, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Kebbulooni; ne bakirwanyisa:
37 ne bakimenya ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna, n'emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu, nga byonna bye yakola Eguloni; naye n'akizikiririza ddala, n'emyoyo gyonna egyalimu.
38 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Debiri; n'akirwanyisa:
39 n'akimenya ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna; ne babitta n'obwogi bw'ekitala, ne bazikiririza ddala emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu: nga bwe yakola Kebbulooni, bwe yakola bw'atyo Debiri, ne kabaka waamu; era nga bwe yakola Libuna, ne kabaka waamu.
40 Bw'atyo Yoswa bwe yakuba ensi yonna, ensi ey'ensozi; n'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ensenyi, n'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna; n'atasigazaako n'omu: naye n'azikiririza ddala bonna abassa omukka, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira.
41 Yoswa n'abakuba okuva ku Kadesubanea okutuuka ku Gaza; n'ensi yonna eya Goseni, okutuuka ku Gibyoni.
42 Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abamenya mulundi gumu; kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri.
43 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.




Essuula 11

1 Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yakiwulira; n'atumira Yobabu kabaka w’e Madoni, ne kabaka w’e Simuloni, ne kabaka w’e Akusafu
2 ne bakabaka abaali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, mu nsi ey'ensozi, ne mu Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez'e Doli ku luuyi olw'ebugwanjuba,
3 eri Omukanani ku buvanjuba ne ku bugwanjuba; n'eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi; n'eri Omuyebusi mu nsi ey'ensozi; n’eri Omukiivi Kerumooni gye lusimba mu nsi ey'e Mizupa.
4 Ne bajja, bo n'eggye lyabwe lyonna awamu nabo; abantu bangi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja bwe guli omungi, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo.
5 Awo, bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basimba olusiisira awamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri.
6 Mukama n'agamba Yoswa nti Totya olw'abo: kubanga jjo nga kaakano ndibawaayo bonna nga battiddwa mu maaso ga Isiraeri: embalaasi zaabwe olizitema enteega, n'amagaali gaabwe oligookya omuliro.
7 Awo Yoswa n'ajja, n'abalwanyi bonna awamu naye, ne babalumba ku mazzi ag'e Meromu nga tebamanyi, ne babagwako.
8 Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babagoba okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu Mizupe ku buvanjuba; ne babakuba obutasigazaako n'omu.
9 Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagidde: n'azitema enteega embalaasi zaabwe, n'ayokya omuliro amagaali gaabwe.
10 Yoswa n'adda ennyuma mu biro ebyo, n'amenya Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala; kubanga Kazoli edda liri kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.
11 N'emyoyo gyonna egyalimu ne bagitta n'obwogi bw'ekitala, ne bagizikiririza ddala: tewaasigalawo assa mukka: ne Kazoli n'akyokya omuliro.
12 N'ebibuga byonna ebya bakabaka bali, ne bakabaka baamu bonna, Yoswa n'abamenya n'abatta n'obwogi bw'ekitala, n'abazikiririza ddala nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira.
13 Naye ebibuga ebyayimirira ku bifunvu byabyo, Abaisiraeri ne batayokyako n'ekimu, wabula Kazoli kyokka; ekyo Yoswa n'akyokya.
14 N'omunyago gwonna ogw'ebibuga ebyo n'ente, abaana ba Isiraeri ne babyetwalira okuba ebinyage byabwe; naye buli muntu ne bamutta n'obwogi bw'ekitala, ne babazikiriza; ne batasigazaako muntu assa mukka.
15 Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, Musa bwe yalagira bw'atyo Yoswa: ne Yoswa bwe yakola bw'atyo; teyaleka kintu obutakikola mu byonna Mukama bye yalagira Musa.
16 Bw'atyo Yoswa bwe yatwala ensi eyo yonna ensi ey'ensozi, n'ey'obukiika obwa ddyo yonna, n'ensi yonna eya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ensi ey'ensenyi yaayo;
17 okuva ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri, okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni: ne bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita, n’abatta.
18 Yoswa n'alwawo ng'alwana ne bakabaka abo bonna.
19 Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, wabula Abakiivi abaali mu Gibyoni: baabimenya byonna mu kulwana.
20 Kubanga kyava eri Mukama okukakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, baleme okulaba ekisa, naye abazikirize, nga Mukama bwe yalagira Musa.
21 Yoswa n'ajja mu biro ebyo, n'amalamu Abanaki mu nsi ey'ensozi, mu Kebbulooni, mu Debiri, mu Anabi, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Isiraeri: Yoswa n'abazikiririza ddala, wamu n'ebibuga byabwe.
22 Tewaali Banaki abaasigalawo mu nsi ey'abaana ba Isiraeri: wabula mu Gaza, mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigala abamu.
23 Yoswa bw'atyo bwe yalya ensi yonna; nga byonna Mukama bye yagamba Musa: Yoswa n'agiwa Isiraeri okuba obusika nga bwe baayawulibwa mu bika byabwe. N'ensi n'ewummula okulwana.




Essuula 12

1 Bano be bakabaka ab'ensi abaana ba Isiraeri be baakuba, ne balya ensi yaabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni; ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba.
2 Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeera mu Kesuboni, era eyafuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yabboki, ye nsalo ey'abaana ba Amoni
3 ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kkubo ery'e Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, wansi wa Pisuga:
4 n'ensalo ya Ogi kabaka w'e Basani, ow'omu Balefa abaasigalawo, eyabeera mu Asutaloosi ne mu Ederei,
5 era eyafugira ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuuka ku nsalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi; ensalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni.
6 Musa omuweereza wa Mukama n'abaana ba Isiraeri baabakuba; ne Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa okugirya eri Abalewubeeni, n'Abagaasi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.
7 Era ne bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be baakuba emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri; Yoswa n'agiwa ebika bya Isiraeri okugirya nga bwe baayawulibwa;
8 mu nsi ey'ensozi, ne mu nsi ey'ensenyi, ne mu Alaba, ne ku nsozi awakkirwa, ne mu ddungu, ne mu nsi ey'obukiika obwa ddyo; Omukiiti, Omwamoli, n'Omukanani, Omuperizi, Omukiivi; n'Omuyebusi;
9 kabaka w'e Yeriko, omu; kabaka w’e Ayi, ekiriraanye Beseri, omu;
10 kabaka w’e Yerusaalemi, omu; kabaka w’e Kebbulooni, omu;
11 kabaka w'e Yalamusi, omu; kabaka w'e Lakisi, omu;
12 kabaka w'e Eguloni, omu; kabaka w'e Gezeri, omu;
13 kabaka w'e Debiri, omu; kabaka w'e Gederi, omu;
14 kabaka w'e Kaluma, omu; kabaka w'e Yaladi, omu;
15 kabaka w'e Libuna, omu; kabaka w'e Adulamu, omu;
16 kabaka w'e Makkeda, omu; kabaka w'e Beseri, omu;
17 kabaka w'e Tappua, omu; kabaka w'e Keferi; omu;
18 kabaka w'e Afeki, omu; kabaka w'e Lasaloni; omu;
19 kabaka w'e Madoni, omu; kabaka w'e Kazoli; omu;
20 kabaka w'e Simulonimeroni, omu; kabaka w'e Akusafu, omu;
21 kabaka w'e Taanaki, omu; kabaka w'e Megiddo, omu;
22 kabaka w'e Kedesi, omu; kabaka w'e Yokuneamu ku Kalumeeri, omu;
23 kabaka w'e Doli ku lusozi Doli, omu; kabaka w'e Goyiyimu mu Girugaali, omu;
24 kabaka w'e Tiruza, omu; bakabaka bonna amakumi asatu mu omu.




Essuula 13

1 Yoswa yali ng'akaddiye nga yaakamala emyaka mingi; Mukama n'amugamba nti Okaddiye, waakamala emyaka mingi, naye wasigaddewo ensi nnyingi nnyo okuliibwa.
2 Eno ye nsi esigaddewo: ebifo byonna eby'Abafirisuuti n'Abagesuli bonna;
3 okuva ku Sikoli, oguliraanye e Misiri, okutuuka ku nsalo ey'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ebalirwa Abakanani; abaami abataano ab'Abafirisuuti; Abagaza, n'Abasudodi, n'Abasukuloni, Abagitti, n'Abekuloni;
4 era n'abavi, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala ekyali ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey'Abamoli:
5 n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka ku Kamasi awayingirirwa:
6 abali mu nsi ey'ensozi bonna okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be Basidoni bonna; abo ndibagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri; kyokka ogigabire Isiraeri okuba obusika, nga bwe nnakulagira.
7 Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.
8 Awamu n'oyo Abalewubeeni n'Abagaadi baaweebwa obusika bwabwe, Musa bwe yabawa, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa;
9 okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni;
10 n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo ey'abaana ba Amoni;
11 ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka:
12 obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafuga mu Asutaloosi ne mu Ederei (oyo ye yasigalawo mu Balefa abaasigalawo); kubanga abo Musa yabakuba, n'abagoba.
13 Naye abaana ba Isiraeri tebaagoba Abagesuli newakubadde Abamaakasi: naye Gesuli ne Maakasi ne babeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano.
14 Ekika kya Leevi kyokka teyakiwa busika; ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwe, nga bwe yamugamba.
15 Musa n'akiwa ekika eky'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali.
16 N'ensalo yaabwe yava ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba;
17 Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni:
18 ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi;
19 ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu;
20 ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi;
21 n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, Musa gwe yakuba awamu n'abaami ab'e Midiyaani Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, abakungu ba Sikoni, abaabeera mu nsi.
22 Era ne Balamu, omwana wa Byoli, omulaguzi, abaana ba Isiraeri ne bamutta n'ekitala awamu n’abalala abattibwa.
23 N'ensalo ey'abaana ba Lewubeeni Yoludaani n'ensalo yaagwo. Obwo bwe bwali obusika bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
24 Musa n'akiwa ekika kya Gaadi, be baana ba Gaadi, ng'enda zaabwe bwe zaali.
25 N'ensalo yaabwe Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;
26 era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamaumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri;
27 ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
28 Obwo bwe busika bw'abaana ba Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
29 Musa n'agabira ekitundu eky'ekika kya Manase: n'omugabo gwali gwa kitundu eky'ekika ky'abaana ba Manase ng'enda zaabwe bwe zaali.
30 N'ensalo yaabwe yava ku Makanayimu, e Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n'ebibuga byonna bya Yayiri, ebiri mu Basani; ebibuga nkaaga:
31 n'ekitundu ekimu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byali bya baana ba Makiri omwana wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.
32 Obwo bwe busika Musa bwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ku Yeriko, ku luuyi olw'ebuvanjuba.
33 Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa busika: Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.




Essuula 14

1 Ne buno bwe busika abaana ba Isiraeri bwe baalya mu nsi ya Kaaani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuni, n'emitwe gy'ennyumba eza bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baabagabira,
2 mu kalulu ak'obusika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa, eri ebika omwenda n'ekitundu eky'ekika.
3 Kubanga Musa yali ng'agabye obusika obw'ebika bibiri n'ekitundu eky'ekika emitala wa Yoludaani: naye Abaleevi teyabagabira busika mu bo.
4 Kubanga abaana ba Yusufu baali ebika bibiri, Manase ne Efulayimu: ne batabawa mugabo mu nsi Abaleevi, wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye, ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.
5 Nga Mukama bwe yalagira Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo, ne bagabana ensi.
6 Abaana ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa mu Girugaali: ne Kalebu, omwana wa Yefune Omukenizi, n'amugamba nti Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa ku nze ne ku ggwe mu Kadesubanea.
7 Nali naakamala emyaka amakumi ana. Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; ne mmuleetera ebigambo nga bwe kyali mu mutima gwange.
8 Naye baganda bange abaalinnya nange ne basaanuusa omutima gw'abantu: naye nze nagobererera ddala Mukama Katonda wange:
9 Musa n'alayira ku lunaku luli, ng'ayogera nti Mazima ensi gy'olinnyeemu ekigere kyo eriba busika eri ggwe n'eri abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogobereredde ddala Mukama Katonda wange.
10 Ne kaakano, laba, Mukama ampangaazizza, nga bwe yayogera, emyaka gino amakumi ana mu etaano, okuva ku biro biri Mukama lwe yakigamba Musa ekigambo ekyo, Isiraeri bwe yatambuliranga mu ddungu: ne kaakano, laba, leero naakamala emyaka kinaana mu etaano.
11 Okutuusa kaakano nnina amaanyi leero nga bwe nnalina ku lunaku luli Musa lwe yantuma: ng'amaanyi gange bwe gaali mu biro biri, amaanyi gange bwe gali kaakano bwe gatyo, okulwana n'okufuluma n'okuyingira.
12 Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki mwe baali, n'ebibuga ebinene ebiriko ebigo: wozzi Mukama alibeera nange, nange ndibagoba, nga Mukama bwe yayogera.
13 Yoswa n'amusabira omukisa; n'amuwa Kalebu omwana wa Yefune Kebbulooni okuba obusika.
14 Kebbulooni kye lwava lubeera obusika bwa Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi, ne kaakano; kubanga yagobererera ddala Mukama Katonda wa Isiraeri.
15 N'erinnya lya Kebbulooni edda lyali Kiriasualuba; Aluba oyo yali mukulu mu Banaki. Ensi n'ewummula okulwana.




Essuula 15

1 N'akalulu ak'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali kaatuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, ku nkomerero ey'obukiika obwo.
2 N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwo yava ennyanja ey'omunnyo gy'eva, ku kikono ekiraba mu bukiika obwa ddyo:
3 n'ebuna ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka ku Zini, n'erinnya ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olwa Kadesubanea, n'eyita kumpi ne Kezulooni, n'erinnya ku Addali, n'ekyamira ku Kaluka:
4 n'eyita ku Azumoni, n'ekoma ku mugga ogw'e Misiri; n'enkomerero ez'ensalo zaali ku nnyanja: eyo y'eribeera ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo.
5 N'ensalo ey'ebuvanjuba yali nnyanja ya munnyo, okutuuka Yoludaani we gufukira. N'ensalo ey'oluuyi olw'obukiika obwa kkono yava ku kikono eky'ennyanja Yoludaani we gufukira:
6 n'ensalo n'erinnya ku Besukogula, n'eyita ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olwa Besualaba; n'ensalo n'erinnya n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni:
7 n'ensalo n'erinnya ku Debiri ng'eva mu kiwonvu Akoli, n'egenda ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'eraba e Girugaali, ye mitala w'ekkubo eririnnya ku Adummimu, oluli emitala w'omugga ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: n'ensalo n'eyita n'etuuka ku mazzi ag'e Ensemesi, n'enkomerero yaayo yali ku Enerogeri:
8 ensalo n'erinnya mu kiwonvu eky'omwana wa Kinomu n'etuuka ku muyegooyego ogw'omu Yebusi ku luuyi olw obukiika obwa ddyo (ye Yerusaalemi): ensalo n'erinnya kn ntikko ku lusozi oluli awakkirwa mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw'ebugwanjuba, ekyali mu nkomerero ey'ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono:
9 ensalo n'ereetebwa okuva ku ntikko ey'olusozi okutuuka ku luzzi olw'amazzi ga Nefutoa, n'ebuna ebibuga eby'oku lusozi Efuloni; ensalo n'ereetebwa ku Baala (ye Kiriyasuyalimu):
10 ensalo n'ekyama ng'eva e Baala ku luuyi olw'ebugwanjuba eri olusozi Seyiri, n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'olusozi Yealimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono (lwe Kyesaloni), n'ekka ku Besusemesi, n'eyita ku mabbali ag'e Timuna:
11 ensalo n'ebuna amabbali ag'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: ensalo n'ereetebwa ku Sikkeroni, n'eyita n’etuuka ku lusozi Baala, n'ekoma ku Yabuneeri; n'enkomerero z'ensalo zaali ku nayanja.
12 N'ensalo ey'ebugwanjuba yatuuka ku nnyanja ennene, n’ensalo yaayo. Eyo ye nsalo ey'abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng'enda zaabwe bwe zaali.
13 Ne Kalebu omwana wa Yefune n'amuwa omugabo mu baana ba Yuda, nga Mukama bwe yalagira Yoswa, ye Kiriasualuba, Aluba oyo yali kitaawe wa Anaki (ye Kebbulooni).
14 Kalebu n'agobamu abaana abasatu aba Anaki, Sesayi, ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki.
15 N'ava eyo, n'alinnya okulwanyisa abaali mu Debiri: n'erinnya lya Debiri edda lyali Kiriasuseferi.
16 Kalebu n'ayogera nti Anaakuba Kiriasuseferi n'akimenya, oyo naamuwa omuwala wange Akusa okumuwasa.
17 Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akimenya: n'amuwa Akusa muwala we okumuwasa.
18 Awo, bwe yajja gy'ali, n'asabisa kitaawe olusuku: n'ava ku ndogoyi ye; Kalebu n'amugamba nti Oyagala ki?
19 N'ayogera nti Mpa omukisa; kubanga ontadde mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, era mpa n'enzizi ez'amazzi. N'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
20 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali.
21 N'ebibuga eby'enkomerero eby'ekika eky'abaana ba Yuda, eri ensalo ey'e Domu ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, byali Kabuzeeri, ne Ederi, ne Yaguli;
22 ne Kina, ne Dimona, ne Adada;
23 ne Kedesi, ne Kazoli, ne Isunani;
24 Zifu, ne Teremu, ne Bealosi;
25 ne Kazolukadatta, ne Keriosukezulooni (ye Kazoli);
26 Amamu, ne Sema, ne Molada;
27 ne Kazalugadda, ne Kesumoni, ne Besupereti;
28 ne Kazalusuali, ne Beeruseba, ne Biziosia:
29 Baala, ne Yimu, ne Ezemu;
30 ne Erutoladi, ne Kyesiri, ne Koluma;
31 ne Zikulagi, ne Madumanna, ne Samusanna;
32 ne Lebaosi, ne Sirukimu, ne Ayini, ne Limmoni: ebibuga byonna biri amakumi abiri mu mwenda, n'ebyalo byabyo.
33 Mu nsi ey'ensenyi, Esutaoli, ne Zola, ne Asa;
34 ne Zanowa, ne Engannimu, Tappua, ne Enamu;
35 Yalamusi, ne Adulamu, Soko, ne Azeka;
36 ne Saalayimu, ne Adisaimu, ne Gedera, ne Gederosaimu; ebibuga kkumi n'ebina n'ebyalo byabyo.
37 Zenani, ne Kadasa, ne Migudalugadi;
38 ne Dirani, ne Mizupe, ne Yokuseeri;
39 Lalusi, ne Bozukasi, ne Eguloni;
40 ne Kabboni, ne Lamamu, ne Kitulisi;
41 ne Gederosi, Besudagoni, ne Naama, ne Makkeda; ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo:
42 Libuna ne Eseri, ne Asani;
43 ne Ifuta, ne Asuna, ne Nezibu;
44 ne Keira, ne Akuzibu, ne Malesa; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo.
45 Ekuloni n'ebibuga byamu n'ebyalo byakyo:
46 okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, byonna ebiriraanye Asudodi, n'ebyalo byabyo.
47 Asudodi, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo: okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'ennyanja ennene, n'ensalo yaayo.
48 Ne mu nsi ey'ensozi, Samiri, ne Yattiri, ne Soko;
49 ne Danna, ne Kiriasusanna (ye Debiri);
50 ne Anabu, ne Esutemo, ne Animu;
51 ne Goseni, ne Koloni, ne Giro; ebibuga kkumi n'ekimu n'ebyalo byabyo.
52 Alabu, ne Duma, ne Esani;
53 ne Yanimu, ne Besutappua, ne Afeka;
54 ne Kumuta, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni), ne Zioli; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo.
55 Mawoni, Kalumeeri, ne Zifu, ne Yuta;
56 ne Yezuleeri, ne Yokudeamu, ne Zanoa;
57 Kaini, Gibea, ne Timuna; ebibuga kkumi n'ebyalo byabyo.
58 Kalukuli, Besuzuli, ne Gedoli;
59 ne Maalasi, ne Besuanosi, ne Erutekoni; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo.
60 Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ne Labba; ebibuga bibiri n'ebyalo byabyo.
61 Mu ddungu, Besualaba, Middini, ne Sekaka;
62 ne Nibusani, n'ekibuga eky'Omunnyo, ne Engedi; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo.
63 Era Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi, abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu: naye Abayebusi ne babeera wamu n'abaana ba Yuda mu Yerusaalemi, ne kaakano.




Essuula 16

1 N'akalulu ak'abaana ba Yusufu kaava ku Yoludaani Yeriko we kiri, ku mazzi ag'e Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eririnnya nga liva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka ku Beseri;
2 ne kava mu Beseri ne kabuna Eruzi, ne kayita ku nsalo ey'Abaluki mu Atalosi;
3 ne kakka ku luuyi olw'ebugwanjuba ku nsalo ey'Abayafuleti, ku nsalo ey'e Besukolooni eky'emmanga, ku Gezeri; n'enkomerero zaako zaali ku nnyanja.
4 N'abaana ba Yusufu, Manase ne Efulayimu, ne batwala obusika bwabwe:
5 N'ensalo ey'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali yali bw'eti: ensalo ey'obusika bwabwe ku luuyi olw'ebuvanjuba yali Atalosuaddali, okutuuka ku Besukolooni eky'engulu;
6 ensalo n'ekoma ku luuyi olw'ebugwanjuba ku Mikumesasi ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'ebuvanjuba ku Taanasusuro, n'ekiyitako ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yanoa;
7 n'eva mu Yanoa n'ekka ku Atalosi, ne ku Naala, n'etuuka ku Yeriko, n'ekoma ku Yoludaani:
8 Okuva mu Tappua ensalo n'eyita ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku mugga Kana n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja. Buno bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali;
9 wamu n'ebibuga ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu wakati mu busika obw'abaana ba Manase, ebibuga byonna n'ebyalo byabyo.
10 Ne batagoba Bakanani abaali mu Gezeri: naye Abakanani ne babeera wakati mu Efulayimu, ne kaakano, ne bafuuka abaddu okukola emirimu emiragire.




Essuula 17

1 Ne kano ke kaali akalulu ak'ekika kya Manase kubanga oyo ye yali omubereberye wa Yusufu. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, kyeyava alya Gireyaadi ne Basani:
2 N'akalulu ak'abaana ba Manase abalala kaali ng'enda zaabwe bwe zaali; ak'abaana ba Abiezeri, n'ak'abaana ba Kereki, n'ak'abaana ba Asuliyeri, n'ak'abaana ba Sekemu, n'ak'abaana ba Keferi, n'ak'abaana ba Semida: abo be baana ab'obulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.
3 Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala ba bulenzi, wabula ab'obuwala: na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, ne Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza
4 Ne basemberera Eriyazaali kabona, ne Yoswa omwana wa Nuni, n'abakulu, nga boogera nti Mukama yalagira Musa okutuwa obusika mu baganda baffe: kyeyava abawa, nga Mukama bwe yalagira, obusika mu baganda ba kitaabwe.
5 Ebitundu kkumi ne bituuka ku Manase, obutassaako nsi ya Gireyaadi ne Basani, eri emitala wa Yoludaani;
6 kubanga abaana ba Manase abawala baalya obusika mu baana be ab'obulenzi: n'ensi ya Gireyaadi abaana abalala aba Manase ne bagirya.
7 N'ensalo ya Manase yava mu Aseri n'etuuka ku Mikumesasi, Sekemu gye kiraba; ensalo n'eyita ku mukono ogwa ddyo, n'etuuka ku abo abaali mu Entappua.
8 Ensi ya Tappua Manase n'agirya: naye Tappua (ekyali) mu nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu ne bakirya.
9 Ensalo n'ekka n'etuuka ku mugga Kana, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'omugga: ebibuga ebyo Efulayimu n'abirya mu bibuga bya Manase: n'ensalo ya Manase yali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omugga, n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja:
10 oluuyi olw'obukiika obwa ddyo Efulayimu n'alulya, n'oluuyi olw'obukiika obwa kkono Manase n'alulya, n'ennyanja yali nsalo ye; ne batuuka ku Aseri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ne ku Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba.
11 Manase n'alya mu (nsi) ya Isakaali n'eya Aseri, Besuseani n'ebibuga byakyo, ne Ibuleamu n'ebibuga byakyo, n'abali mu Doli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Endoli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Taanaki n'ebibuga byakyo, n'abali mu Megiddo n'ebibuga byakyo, ze nsozi essatu.
12 Naye abaana ba Manase ne batayinza kugobamu (abaali mu) bibuga ebyo; naye Abakanani ne baagala okubeera mu nsi eyo.
13 Awo, abaana ba Isiraeri bwe baafuna amaanyi, ne bakoza Abakanani emirimu emiragire, ne batabagobera ddala.
14 Abaana ba Yusufu ne bagamba Yoswa, nga boogera nti Kiki ekikumpeesezza akalulu akamu kokka n'ekitundu ekimu okuba obusika, kuba ndi ggwanga ddene, kuba okutuuka leero Mukama yampanga omukisa?
15 Yoswa n'abagamba nti Oba oli ggwanga ddene, golokoka ogende mu kibira, weesaayire omwo mu nsi ey'Abaperizi n'ey'Abalefa; kubanga ensi ey'ensozi ya Efulayimu ekufunza.
16 Abaana ba Yusufu ne boogera nti Ensi ey'ensozi tetumala: n'Abakanani bonna abali mu nsi ey'ekiwonvu balina amagaali ag'ebyuma, abo abali mu Besuseani n'ebibuga byakyo era n'abo abali mu kiwonvu eky'e Yezureeri.
17 Yoswa n'agamba ennyumba ya Yusufu, ye Efulayimu ne Manase, ng'ayogera nti Oli ggwanga ddene, era olina n'amaanyi mangi: toliba na kalulu kamu kokka:
18 naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago: kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi.




Essuula 18

1 N'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, ne basimba eyo eweema ey'okusisinkanirangamu: ensi n'ejeemulukuka mu maaso gaabwe.
2 Era waasigalawo mu baana ba Isiraeri ebika musanvu, ebitannagabana busika bwabyo.
3 Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?
4 Mwerondere abantu basatu buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonna, ne bagiwandiika bw'efaanana ng'obusika bwabwe bwe buli ne balyoka bajja gye ndi.
5 Era baligigaba ebitundu musanvu: Yuda alibeera mu nsalo ye ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ennyumba ya Yusufu eribeera mu nsalo yaabwe ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
6 Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi (bye muwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe.
7 Kubanga Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe; kubanga obwakabona bwa Mukama bwe busika bwabwe: ne Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.
8 Abantu ne bagolokoka ne bagenda: Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro:
9 Abantu ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bagiwandiika buli kibuga mu bitundu musanvu mu kitabo, ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Siiro.
10 Yoswa n'abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama: Yoswa n'abagabira eyo ensi abaana ba Isiraeri ng'emigabo gyabwe bwe gyali.
11 Akalulu ak'ekika eky'abaana ba Benyamini ne kajja ng'enda zaabwe bwe zaali; n'ensalo ey'akalulu kaabwe ne kasookera wakati mu baana ba Yuda n'abaana ba Yusufu.
12 N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwa kkono yava ku Yoludaani: ensalo n'erinnya ku muyegooyego ogw'e Yeriko ku luuyi oiw'obukiika obwa kkono, n'erinnya mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba; n'enkomerero zaayo zaali ku lukoola olw'e Besaveni.
13 Ensalo n'eva eyo n'eyita n'etuuka ku Luzi, ku muyegooyego ogw'e Luzi (ye Beseri), ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo; ensalo n'ekka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Besukolooni eky'emmanga.
14 Ensalo n'ereetebwa ne yeetooloola ku luuyi olw'ebugwanjuba (n'egenda) obukiika obwa ddyo ng'eva ku lusozi Besukolooni gye kiraba obukiika obwa ddyo; n'enkomerero zaayo zaali ku Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ekibuga eky'abaana ba Yuda olwo luuyi olw'ebugwanjuba.
15 N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo lwava Kiriyasuyalimu gye kikoma, ensalo n'ebuna ebugavanjuba, n'ebuna oluzzi olw'amazzi ga Nefutoa:
16 ensalo n'ekka olusozi gye lusimba oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, ekyali mu kiwonvu kya Lefa ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; n'ekka mu kiwonvu kya Kinomu, ku bbalama ery'omu Yebusi ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ekka ku Enerogeri;
17 n'ereetebwa ku bukiika obwa kkono, n'ekoma mu Ensemesi, n'ebuna Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo eririnnya okugenda Adummimu; n'eyita n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni;
18 n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'ekka mu Alaba:
19 ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: n'enkomerero z'ensalo zaali ku kikono eky'obukiika obwa kkono eky'ennyanja ey'omunnyo, Yoludaani we gufukira: eyo ye nsalo ey'obukiika obwa ddyo.
20 Ne Yoludaani gwali nsalo yaayo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obusika obw'abaana ba Benyamini, mu nsalo zaabwo ezeetoolodde ng'enda zaabwe bwe zaali.
21 Era ebibuga eby'ekika eky'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali byali Yeriko, ne Besukogula, ne Emekkezizi;
22 ne Besualaba, ne Zemalaimu, ne Beseri;
23 ne Avvimu; ne Pala, ne Ofula;
24 ne Kefalamoni, ne Ofuni, ne Geba; ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo;
25 Gibyoni, ne Laama, ne Beerosi;
26 ne Mizupe, ne Kefira, ne Moza;
27 ne Lekemu, ne Irupeeri, ne Talala;
28 ne Zeera, Erefu, n'Omuyebusi (ye Yerusaalemi), Gibeasi, (ne) Kiriasi; ebibuga kkumi na bina n'ebyalo byabyo. Obwo bwe busika obw'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali.




Essuula 19

1 N'akalulu ak'okubiri ne kagwira Simyoni kye kika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'obusika bwabwe bwali wakati mu busika obw'abaana ba Yuda.
2 Ne balya obusika bwabwe, Beeruseba oba Seba, ne Molada;
3 ne Kazalusuali, ne Bala; ne Ezemu;
4 ne Erutoladi, ne Besuli, ne Koluma;
5 ne Zikulagi, ne Besumalukabosi ne Kazalususa;
6 ne Besulebaosi, ne Salukeni; ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo.
7 Ayini, Limmoni, ne Eseri, ne Asani; ebibuga bina n'ebyalo byabyo:
8 n'ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, Laama eky'obukiika obwa ddyo. Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali:
9 Mu kitundu eky'abaana ba Yuda mwe mwava obusika obw'abaana ba Simyoni: kubanga omugabo ogw'abaana ba Yuda gwabalema okubuna: abaana ba Simyoni kyebaava balya obusika wakati mu busika bwabwe:
10 N'akalulu ak'okusatu ne kajja ku baana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'ensalo ey'obusika bwabwe yatuuka ku Salidi:
11 n'ensalo yaabwe n'erinnya ku luuyi olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku Malala, n'etuuka ku Dabbesesi; n'etuuka ku mugga Yokuneamu we kiraba;
12 n'eva ku Salidi n'ekyamira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey'e Kisulosutaboli; n'ebuna ku Daberasi, n'erinnya ku Yafiya;
13 n'eva eyo n'eyita ku luuyi olw'ebavanjuba n'etuuka ku Gasukeferi, ku Esukazini; n'ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea.
14 ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'etuuka ku Kannasoni n'enkomerero zaayo zaali ku kiwonvu Ifutakeri;
15 ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, ne Besirekemu: ebibuga kkumi na bibiri n'ebyalo byabyo.
16 Obwo bwe busika obw'abaana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
17 Akalulu ak'okuna ne kakwata Isakaali, be baana ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
18 N'ensalo yaabwe n'etuuka ku Yezuleeri, ne Kesulosi, ne Sunemu;
19 ne Kafalaimu, ne Sioni, ne Anakalasi;
20 ne Labbisi, ne Kisioni, ne Ebezi:
21 ne Lemesi, ne Engannimu, ne Enkadda, ne Besupazzezi;
22 ensalo n'etuuka ku Taboli, ne Sakazuma, ne Besusemesi; n'enkomerero z'ensalo yaabwe zaali ku Yoludaani: ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo.
23 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Isakaali: ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
24 N'akalulu ak'okutaano ne kakwata ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali.
25 N'ensalo yaabwe yali Kerukasi, ne Kali, ne Beteni, ne Akusafu;
26 ne Alammereki, ne Amadi, ne Misali; n'etuuka ku Kalumeeri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Sikolulibunasi;
27 n'ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Besudagoni, n'etuuka ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri; n'ebuna ku Kabuli ku mukono ogwa kkono,
28 ne Ebuloni, ne Lekobu, ne Kammoni, ne Kana, okutuuka ku Sidoni ekinene;
29 ensalo n'ekyamira ku Laama, ne ku kibuga ekiriko ekigo Tuulo; ensalo n'ekyamira ku Kosa; n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu:
30 era ne Uma, ne Afiki, ne Lekobu: ebibuga amakumi abiri mu bibiri n'ebyalo byabyo:
31 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
32 Akalulu ak'omukaaga ne kagwira abaana ba Nafataali, be baana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
33 N'ensalo yaabwe yava ku Kerefu, okuva ku mwera oguli mu Zaanannimu, ne Adaminekebu, ne Yabuneeri, okutuuka ku Lakkumu; n'enkomerero zaayo zaali ku Yoludaani:
34 ensalo n’ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Azunosutaboli, n’eva eyo n'ebuna ku Kukkoki; n'etuuka ku Zebbulooni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'etuuka ku Aseri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Yuda ku Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
35 N'ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, Zeri, ne Kammasi, Lakkasi, ne Kinneresi;
36 ne Adama, ne Laama, ne Kazoli;
37 ne Kesedi, ne Ederei, ne Enkazoli;
38 ne Ironi, ne Migudaleri, Kolemu, ne Besuanasi, ne Besusemesi; ebibuga kkumi na mwenda n'ebyalo byabyo.
39 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
40 Akalulu ak'omusanvu ne kagwira ekika ky'abaana ba Daani ng'enda zaabwe bwe zaali.
41 N'ensalo ey'obusika bwabwe yali Zola, ne Esutaoli, ne Irusemesi;
42 ne Saalabbini, ne Ayalooni, ne Isula;
43 ne Eroni, ne Timuna, ne Ekuloni;
44 ne Eruteke, ne Gibbesoni, ne Baalasi;
45 ne Yekudi, ne Beneberaki, ne Gasulimmoni;
46 ne Meyalakoni, ne Lakoni, n'ensalo Yafo gye kiraba.
47 Ensalo ey'abaana ba Ddaani n'ebuna ensi etali yaabwe: kubanga abaana ba Ddaani baalinnya ne balwanyisa Lesemu, ne bakimenya, ne bakitta n'ekitala ne bakirya, ne bakibeeramu, ne bakituuma Lesemu Ddaani, lye linnya lya Ddaani jjajjaabwe.
48 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
49 Bwe batyo bwe baamalira ddala okugaba ensi okuba obusika mu nsalo zaayo; n'abaana ba Isiraeri ne bawa Yoswa omwana wa Nuni obusika wakati waabwe:
50 nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga kye yasaba, ye Timunasusera mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'azimba ekibuga n'abeera omwo.
51 Obwo bwe busika, Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuni n'emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagabanira n'obululu okuba obusika mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema gye baakuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabana ensi.




Essuula 20

1 Mukama n'agamba Yoswa nti
2 Ogambe abaana ba Isiraeri nti Mweterekere ebibuga eby'okuddukirangamu, bye nnabagambako mu mukono gwa Musa:
3 omussi atta omuntu yenna nga tayagadde nga talabye alyoke abiddukirengamu: n'ebyo binaabanga ekiddukiro kyammwe eri omuwalanyi w'omusaayi.
4 Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, anaabuuliranga ensonga ye mu matu g'abakadde ab'ekibuga ekyo; nabo banaamutwalanga mu kibuga gye bali, banaamuwanga ekifo, alyoke ababeeremu.
5 Era oba ng'omuwalanyi w'omusaayi anaamugobereranga, tebaawengayo mussi mu mukono gwe: kubanga yakuba muntu munne nga talabye, nga tamukyawanga.
6 Naye anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa lw'anaayimiriranga mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango, okutuusa kabona asinga obukulu anaabeerangawo mu nnaku ezo lw'alifa: omussi n'alyoka addayo n'ajja mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, mu kibuga mwe yava okudduka.
7 Ne batereka Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni) mu nsi ey'ensozi eya Yuda.
8 N'emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, baatereka Bezeri mu lukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase.
9 Ebyo bye bibuga ebyalagirirwa abaana ba Isiraeri bonna, ne munnaggwanga abalimu, buli attanga omuntu yenna nga talabye addukire omwo, aleme okuttibwa n'omukono gw'omuwalanyi w'omusaayi, okutuusa lw'aliyimirira mu maaso g'ekibiina.




Essuula 21

1 Awo emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuni n'eri emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri:
2 ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti Mukama yalagira mu mukono gwa Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe.
3 Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo.
4 N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi: n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu.
5 N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi.
6 N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani; ebibuga kkumi na bisatu.
7 Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri.
8 N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa.
9 Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa:
10 ne biba bya baana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi: kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka.
11 Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
12 Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okubirya.
13 Ne bawa abaana ba Alooni kabona Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
14 ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
15 ne Koloni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
16 ne Aini n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga mwenda mu bika ebyo ebibiri.
17 Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
18 Anasosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
19 Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo, byabyo ebiriraanye.
20 N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu.
21 Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n’ebyalo byakyo ebiriraanye;
22 ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
23 Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gibbesoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
24 Ayalooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
25 Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri.
26 Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
27 (Ne bawa) abaana ba Gerusoni; ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri.
28 Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
29 Yalamusi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
30 Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
31 Kerukasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
32 Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bisatu.
33 Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
34 (Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebiriraanye,
35 Dimuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
36 Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebiriraanye,
37 Kedemosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
38 Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
39 Kesuboni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; byonna ebibuga bina.
40 Ebyo byonna byali bibuga bya baana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri.
41 Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga amakumi ana mu munaana n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
42 Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde: bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna
43 Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu:
44 Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe: so tewaali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe.
45 Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka.




Essuula 22

1 Awo Yoswa n'ayita Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase,
2 n'abagamba nti Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira:
3 temulekanga baganda bammwe ennaku ezo ennyingi okutuuka leero, naye mukutte ekiragiro eky'etteeka lya Mukama Katonda wammwe.
4 Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba: kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani.
5 Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna.
6 Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasindika: ne bayingira mu weema zaabwe.
7 Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani: naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba: Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa,
8 n'abagamba nti Mukomeewo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n’ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.
9 N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa.
10 Bwe baatuuka mu nsi eriraanye Yoludaani, eri mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ku Yoludaani, ekyoto ekinene ekitunuulirwa.
11 N'abaana ba Isiraeri ne bawulira nga kyogerwa nti Laba, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase bazimbye ekyoto ku muyegooyego ogw'ensi ya Kanani, mu nsi eriraanye Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri.
12 Abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, okulinnya okulwana nabo:
13 Abaana ba Isiraeri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ye Gireyaadi;
14 era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu nkumi za Isiraeri.
15 Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba nti
16 Ekibiina kya Mukama kyonna bwe kyogera bwe kiti nti Kyonoono ki kino kye mwayonoona eri Katonda wa Isiraeri, okukyama leero obutagoberera Mukama kubanga mwezimbira ekyoto, okujeemera Mukama leero?
17 Obubi bwa Peoli tebwatumala, bwe tutanneerongoosa okutuusa leero, newakubadde nga kawumpuli yajja ku kibiina kya Mukama,
18 mmwe okuwalirizibwa okukyama leero obutagoberera Mukama? era kubanga mujeemera Mukama leero, enkya n'alyoka asunguwalira ekibiina kyonaa ekya Isiraeri.
19 Naye era ensi ey'obutaka bwammwe oba nga si nnongoofu, kale musomoke muyingire mu nsi ey'obutaka bwa Mukama omuli eweema ya Mukama, mulye mu ffe: naye temujeemeranga Mukama, naffe temutujeemeranga nga muzimba ekyoto wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe.
20 Akani omwana wa Zeera teyayonoona kyonoono mu kyaterekebwa, obusungu ne bugwa ku kibiina kyonna ekya Isiraeri? omuntu oli n'atazikirira yekka mu bubi bwe.
21 Awo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddamu ne bagamba emitwe gy'enkumi za Isiraeri
22 nti Mukama, Katonda wa bakatonda, ye amanyi, era naye Isiraeri alimanya; singa mu kujeema oba mu kwonoona eri Mukama, (totulokola ffe leero,)
23 mwe twazimbira ekyoto okukyama obutagoberera Mukama; oba singa (twakizimba) okukiweerako ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo eky'obutta oba okukiweerako ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe Mukama yenayini akivunaane;
24 era singa tetwakola bwe tutyo olw'okwegendereza, nga tulowooza, nga twogera nti Mu biro ebigenda okujja abaana bammwe baliyinza okugamba abaana baffe nti Mmwe mulina ki ne Mukama, Katonda wa Isiraeri?
25 kubanga Mukama yafuula Yoludaani ensalo wakati mu ffe nammwe, mmwe abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi; temulina mugabo mu Mukama: bwe batyo abaana bammwe bandiresezza abaana baffe okutya Mukama.
26 Kyetwava twogera nti Kale tweteeketeeke okwezimbira ekyoto, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka:
27 naye kiribeera mujulirwa wakati mu ffe nammwe, ne mu mirembe gyaffe egirituddirira, tulyoke tuweereze Mukama mu maaso ge n'ebyokye byaffe ne ssaddaaka zaffe n'ebyaffe ebiweebwayo olw'emirembe; abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe mu biro ebigenda okujja nti Temulina mugabo mu Mukama.
28 Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tulyoka twogera nti Laba ekifaananyi eky'ekyoto kya Mukama, bajjajjaffe kye baakola, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka; naye ye mujulirwa wakati mu ffe nammwe.
29 Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, n'okukyama leero obutagoberera Mukama, okuzimba ekyoto olw'ebiweebwayo ebyokebwa, (oba) ebiweebwayo eby'obutta, oba olwa ssaddaaka, wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso g'eweema ye.
30 Awo Finekaasi kabona n'abakulu b'ekibiina, gye mitwe gy'enkumi za Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye boogera, ne basanyuka nnyo.
31 Ne Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona n'agamba abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase nti Leero tumanyi nga Mukama ali wakati mu ffe kubanga temwayonoona kyonoono ekyo eri Mukama: kaakano mubawonyezza abaana ba Isiraeri mu mukono gwa Mukama.
32 Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo okuva eri abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne bajja mu nsi ya Kanani, eri abaana ba Isiraeri, ne babaddiza ebigambo.
33 Ebigambo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri; abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne batayogera nate bigambo bya kulinnya okubalwanyisa, okuzikiriza ensi abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi mwe baali.
34 Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne bayita ekyoto Edi: nti Ye mujulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda.




Essuula 23

1 Awo ennaku nnyingi bwe zaayita Mukama bwe yawummuza Abaisiraeri mu balabe baabwe bonna abaabeetooloola, era Yoswa ng'akaddiye ng'amaze emyaka mingi;
2 Yoswa n'alyoka abayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n'emitwe gyabwe, n'abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti Nze nkaddiye, mmaze emyaka mingi:
3 nammwe mwalaba byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwanira.
4 Laba, mbagabidde amawanga gano agasigalawo, okuba obusika obw'ebika byammwe, okuva ku Yoludaani, awamu n'amawanga gonna ge nnazikiriza, okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba.
5 Ne Mukama Katonda wammwe ye alibasindika emberi yammwe n'abagoba mu maaso gammwe; nammwe mulirya ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba.
6 Kale mugume nnyo emyoyo okwekuumanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, muleme okugakyamirangamu ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono;
7 muleme okuyingiranga mu mawanga gano, agaasigala mu mmwe; newakubadde okwogeranga, ku linnya lya bakatonda baabwe, newakubadde okubalayizanga, newakubadde okubaweerezanga, newakubadde okubafukaamiriranga:
8 naye mwegattenga ne Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakolanga okutuusa leero:
9 Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi: naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa leero.
10 Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba.
11 Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe.
12 Naye oba nga munaddanga ennyuma n'akatono, ne mwegattanga n'amawanga gano agaasigalawo, ge gaagano agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwanga nabo, ne muyingiranga gye bali, nabo (ne bayingiranga) gye muli:
13 mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.
14 Era, laba, leero Ogenda olugendo ebintu byonna gye bigenda: nammwe mumanyi mu mitima gya mmwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonaa bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.
15 Awo olulituuka, ng'ebirungi byonna bwe byabajjira Mukama Katonda wammwe bye yabagamba, bw'atyo Mukama anaabaleeteranga ebibi byonna, okutuuka lw'alibazikiriza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.
16 Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.




Essuula 24

1 Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne beeraga mu maaso ga Katonda.
2 Yoswa n'agamba abantu bonna nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Bajjajjammwe baabeera mu biro eby'edda emitala w'Omugga, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli: ne baweereza bakatonda abalala.
3 Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne nnyongera ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.
4 Ne mpa Isaaka Yakobo ne Esawu: ne mpa Esawu olusozi Seyiri, okululya; Yakobo n’abaana be ne baserengeta mu Misiri. Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo, oluvannyuma ne mbaggyamu.
5 Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati waayo: oluvannyuma ne mbaggyamu.
6 Ne bajjajjammwe ne mbaggya mu Misiri: ne mutuuka ku nnyanja; n'Abamisiri ne bagoberera bajjajjammwe n'amagaali n'abeebagadde embalaasi ku Nnyanja Emmyufu.
7 Bwe baamukoowoola Mukama, n'assaawo ekizikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'abaleetako ennyanja, n’abasaanikira; n'amaaso gammwe gaalaba bye nnakola mu Misiri: nammwe ne mumala ennaku nnyingi mu ddungu.
8 Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani; ne balwana nammwe: ne mbawa mu mukono gwammwe, n'ensi yaabwe ne mugirya; ne mbazikiriza mu maaso gammwe:
9 Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n’ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira:
10 naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate: bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwe.
11 Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko: n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbawa mu mukono gwammwe.
12 Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe, n'ebagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newakubadde omutego gwo.
13 Ne mbawa ensi gy'otaakolera mirimu, n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; ensuku ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni ze mutaasimba ze mulyako.
14 Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.
15 Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannannyini nsi mwe muli: naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.
16 Abantu ne baddamu ne bagamba nti Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala;
17 kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati:
18 Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi: era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.
19 Yoswa n'agamba abantu nti Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutuukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe.
20 Oba nga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abaggya, n'alyoka akyuka n'abakola obubi, n'abazikiriza, ng'amaze okubakola obulungi.
21 Abantu ne bagamba Yoswa nti Nedda, naye tunaaweerezanga Mukama.
22 Yoswa n'agamba abantu nti Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga. Ne boogera nti Tuli bajulirwa.
23 Kale kaakano muggyeewo bakatonda abaggya abali mu mmwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama Katonda wa Isiraeri.
24 Abantu ne bagamba Yoswa nti Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n’eddoboozi lye tunaaliwuliranga.
25 Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu.
26 Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali ku kifo ekitukuvu ekya Mukama.
27 Yoswa n'agamba abantu bonna nti Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gye tuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye: kyelinaavanga libeera mujulirwa gye tuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.
28 Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe.
29 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'amaze emyaka kikumi mu kkumi.
30 Ne bamuziika mu nsalo ey'obutaka bwe mu Timunasusera, ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'olusozi Gaasi.
31 Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri.
32 N'amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baggya mu Misiri ne bajja nago, ne bagaziika mu Sekemu, mu kitundu eky'ensi Yakobo kye yagula eri batabani ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ebitundu ebya ffeeza kikumi: ne gaba obusika obw'abaana ba Yusufu.
33 Eriyazaali omwana wa Alooni n'afa; ne bamuziika ku lusozi lwa Finekaasi omwana we, lwe yaweebwa mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu.