2 Samwiri

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24


-Reset+

Essuula 1

1 Awo olwatuuka Sawulo ng'amaze okufa, Dawudi ng'akomyewo ng'amaze okutta Abamaleki, era Dawudi ng'amaze ennaku bbiri e Zikulagi:
2 awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, laba, omusajja n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'ayuzizza ebyambalo bye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe: awo olwatuuka bwe yajja eri Dawudi, n'avuunama ne yeeyanza.
3 Dawudi n'amugamba nti Ova wa? N'amugamba nti Mponye mu lusiisira lwa Isiraeri.
4 Dawudi n'amugamba nti Byali bitya? Nkwegayiridde, mbuulira. N'addamu nti Abantu badduse mu lutalo, era n'abantu bangi bagudde bafudde; ne Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde nabo.
5 Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Omanyira ku ki nga Sawulo ne Yonasaani mutabani we bafudde?
6 Omulenzi eyamubuulira n'ayogera nti Bwe nnali ndi awo ku lusozi Girubowa, laba, Sawulo ne yeesigama ku ffumu lye; awo, laba, amagaali n'abeebagala embalaasi ne bamucocca.
7 Awo bwe yakebuka, n'andaba n'ampita. Ne nziramu nti Nze nzuuno.
8 N'aŋŋamba nti Ggwe ani? Ne mmuddamu nti Nze ndi Mwamaleki.
9 N'aŋŋamba nti Nkwegayiridde, yimirira ku mabbali gange onzite, kubanga obubalagaze bunkutte; kubanga obulamu bwange bukyali bulamu mu nze.
10 Awo ne nnyimirira ku mabbali ge, ne mmutta, kubanga nategeerera ddala nga tayinza kuba mulamu ng'amaze okugwa: ne ntwala engule eyali ku mutwe gwe n'ekikomo ekyali ku mukono gwe, era mbireese wano eri mukama wange.
11 Awo Dawudi n'akwata engoye ze n'aziyuza; era bwe batyo abasajja bonna abaali naye:
12 ne bawuubaala ne bakaaba amaziga ne basiiba ne bazibya obudde, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutabani we n'olw'abantu ba Mukama n'olw'ennyumba ya Isiraeri; kubanga bagudde n'ekitala.
13 Dawudi n'agamba omulenzi eyamubuulira nti Oli wa wa? N'addamu nti Ndi mwana wa munnaggwanga, Omwamaleki.
14 Dawudi n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okutya okugolola omukono gwo okuzikiriza oyo Mukama gwe yafukako amafuta?
15 Dawudi n'ayita omu ku balenzi n'ayogera nti Sembera omugweko. N'amufumita n'afa.
16 Dawudi n'amugamba nti Omusaayi gwo gubeere ku mutwe gwo; kubanga akamwa ko ye mujulirwa gy'oli ng'oyogera nti Nzise oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
17 Awo Dawudi n'akungubagira Sawulo ne Yonasaani mutabani we okukungubaga kuno:
18 n'alagira okuyigiriza abaana ba Yuda (oluyimba) olw'omutego: laba, lwawandiikibwa mu kitabo kya Yasali.
19 Ekitiibwa kyo, ai Isiraeri, kittiddwa ku bifo byo ebigulumivu. Ab'amaanyi nga bagudde!
20 Temukibuuliranga mu Gaasi, Temukyatulanga mu nguudo za Asukulooni; Abawala b'Abafirisuuti baleme okusanyuka, Abawala b'abatali bakomole baleme okujaguza.
21 Mmwe ensozi za Girubowa, Ku mmwe kuleme okubaako omusulo newakubadde enkuba, newakubadde ensuku ez'ebiweebwayo: Kubanga eyo engabo ey'ab'amaanyi gye yasuulibwa obubi, Engabo ya Sawulo, ng'ataafukibwako mafuta.
22 Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga nnyuma Okuva ku musaayi gw'abattibwa, ku masavu g'ab'amaanyi, N'ekitala kya Sawulo tekyakomangawo nga kyereere.
23 Sawulo ne Yonasaani baali balungi era ba kusanyusa mu bulamu bwabwe, Ne mu kufa kwabwe tebaayawulibwa; Baali ba mbiro okusinga empungu, Baali ba maanyi okusinga empologoma.
24 Mmwe abawala ba Isiraeri, mukaabire Sawulo, Eyabambaza engoye ezitwakaala ez'okwesiima, Eyayonja ebyambalo byammwe ne zaabu.
25 Ab'amaanyi nga bagudde wakati mu lutalo! Yonasaani attiddwa ku bifo byo ebigulumivu.
26 Nkunakuwalidde, muganda wange Yonasaani: Wansanyusanga nnyo nnyini: Okwagala kwo gye ndi kwali kwa kitalo, Nga kusinga okwagala kw'abakazi.
27 Ab'amaanyi nga bagudde, N'ebyokulwanyisa nga bizikiridde!




Essuula 2

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'abuuza Mukama ng'ayogera nti Nnyambuke mu kyonna ku bibuga bya Yuda? Mukama n'amugamba nti Yambuka. Dawudi n'ayogera nti Naayambuka wa? N'ayogera nti e Kebbulooni.
2 Awo Dawudi n'ayambukayo, era ne bakazi be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri.
3 N'abasajja be abaali naye n'abambusa, buli muntu n'ab'omu nnyumba ye: ne babeera mu bibuga eby'omu Kebbulooni.
4 Awo abasajja ba Yuda ne bajja, ne bafukira eyo amafuta ku Dawudi okuba kabaka w'ennyumba ya Yuda. Ne bamubuulira Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo.
5 Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'abagamba nti Muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalaga mukama wammwe ekisa kino, ye Sawulo, ne mumuziika.
6 Era nno Mukama abalagenga ekisa n'amazima: nange ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakola ekigambo kino.
7 Kale nno emikono gyammwe gibe n'amaanyi, era mube bazira: kubanga Sawulo mukama wammwe afudde, era ennyumba ya Yuda banfuseeko amafuta okuba kabaka waabwe.
8 Era Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lya Sawulo, yali atutte Isubosesi mutabani wa Sawulo, n'amusomosa n'amutwala e Makanayimu;
9 n'amufuula kabaka w'e Gireyaadi era ow'Abasuuli era ow'e Yezuleeri era owa Efulayimu era owa Benyamini era owa Isiraeri yenna.
10 (Isubosesi mutabani wa Sawulo yali yaakamaze emyaka ana bwe yatanula okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ebiri.) Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawvdi.
11 N'ebiro Dawudi bye yamala nga ye kabaka w'ennyumba ya Yuda mu Kebbulooni byali myaka musanvu ko emyezi mukaaga.
12 Awo Abuneeri mutabani wa Neeri n'abaddu ba Isubosesi mutabani wa Sawulo ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni.
13 Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'abaddu ba Dawudi ne bafuluma ne basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ne batuula, bano emitala w'eno w'ekidiba, na bali emitala w'eri w'ekidiba.
14 Awo Abuneeri n'agamba Yowaabu nti Nkwegayiridde, abalenzi bagolokoke bazannyire mu maaso gaffe. Yowaabu n'ayogera nti Bagolokoke.
15 Awo ne bagolokoka ne basomoka nga babaliddwa; aba Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo kkumi na babiri, ne ku baddu ba Dawudi kkumi na babiri.
16 Ne bakwata buli muntu munne omutwe, ne bafumita buli muntu olubiriizi lwa munne n'ekitala; awo ne bagwira wamu: ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Kerukasu-kazzulimu, ekiri mu Gibyoni.
17 Olutalo ne luba lukakanyavu nnyo ku lunaku olwo; Abuneeri n'agobebwa n'abasajja ba Isiraeri mu maaso g'abaddu ba Dawudi.
18 Era batabani ba Zeruyiya bonsatule baali eyo, Yowaabu ne Abisaayi ne Asakeri: era Asakeri yali wa mbiro ng'empeewo ey'omu ttale.
19 Asakeri n'agoberera Abuneeri; awo ng'agenda nga takyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okugoberera Abuneeri.
20 Awo Abuneeri n'akebuka n'ayogera nti Asakeri, ggwe wuuyo? N'addamu nti Nze nzuuno.
21 Awo Abuneeri n'amugamba nti Kyama ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku gwa kkono, okwate omu ku balenzi weetwalire ebyokulwanyisa bye. Naye Asakeri n'atakkiriza kukyama obutamugoberera.
22 Awo Abuneeri n'agamba Asakeri nate nti Kyama obutangoberera: kiki ekinaaba kikunkubya wansi? awo ndimuyimusiza ntya amaaso gange Yowaabu muganda wo?
23 Naye n'agaana okukyama: Abuneeri kyeyava amufumita olubuto n'omuwunda gw'effumu, effumu ne liyitamu ne ligukkira ennyuma we; n'agwira awo n'afiira mu kifo omwo: awo olwatuuka abo bonna abaatuuka mu kifo Asakeri we yagwira n'afa ne bayimirira.
24 Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoberera Abuneeri: awo enjuba n'egwa nga batuuse ku lusozi Amma, oluli mu maaso g'e Giya mu kkubo ery'eddungu ery'e Gibyoni.
25 Awo abaana ba Benyamini ne bakuŋŋaanira ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bayimirira ku ntikko y'olusozi.
26 Awo Abuneeri n'akoowoola Yowaabu n'ayogera nti Ekitala kirirya ennaku zonna? tomanyi nga walibaawo obubalagaze ku nkomerero ey'oluvannyuma? kale olituusa wa obutalagira bantu kuddayo obutagoberera baganda baabwe?
27 Yowaabu n'ayogera nti Katonda nga bw'ali omulamu, singa toyogedde, kale enkya abantu tebandiremye kugenda, so tebandigoberedde buli muntu muganda we.
28 Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu bonna ne bayimirira, so tebeeyongera kugoberera Isiraeri, so tebaalwana nate lwa kubiri.
29 Awo Abuneeri n'abasajja be ne batambula mu Alaba ne bakeesa obudde; ne basomoka Yoludaani, ne bayita mu Bisulooni yonna ne bajja e Makanayimu.
30 Awo Yowaabu n'addayo ng'alese okugoberera Abuneeri: awo bwe yakuŋŋaanya abantu bonna, ku baddu ba Dawudi nga kubuzeeko abasajja kkumi na mwenda ne Asakeri.
31 Naye abaddu ba Dawudi baali bafumise bwe batyo ku Benyamini n'abasajja ba Abuneeri n'okufa ne wafa abasajja ebikumi bisatu mu nkaaga.
32 Ne basitula Asakeri ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe eyali mu Besirekemu. Yowaabu n'abasajja be ne batambula ne bakeesa obudde, ne bubakeererera e Kebbulooni.




Essuula 3

1 Awo ne wabangawo obulwa bungi eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi: Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba n'amaanyi, naye ennyumba ya Sawulo ne yeeyongerayongeranga okuba ennafu.
2 Awo Dawudi n'azaalirwa abaana ab'obulenzi e Kebbulooni: n'omubereberye yali Amunoni, owa Akinoamu Omuyezuleeri;
3 n'ow'okubiri Kireyaabu, owa Abbigayiri mukazi wa Nabali Omukalumeeri; n'ow'okusatu Abusaalomu mutabani wa Maaka muwala ma Talumaayi kabaka w'e Gesuli;
4 n'ow'okuna Adoniya mutabani wa Kaggisi; n'ow'okutaano Sefatiya mutabani wa Abitali;
5 n'ow'omukaaga Isuleyamu, owa Egula mukazi wa Dawudi. Abo be baazaalirwa Dawudi e Kebbulooni.
6 Awo olwatuuka obulwa nga bukyaliwo eri ennyumba ya Sawulo n'ennyumba ya Dawudi, Abuneeri ne yeefuula ow'amaanyi mu nnyumba ya Sawulo.
7 Era Sawulo yalina omuzaana, erinnya lye Lizupa, muwala wa Aya: (Isubosesi) n'agamba Abuneeri nti Kiki ekikuyingizizza eri muzaana wa kitange?
8 Awo ebigambo bya Isubosesi ne bisunguwaza nnyo Abuneeri, n'ayogera nti Nze mutwe gw'embwa ogwa Yuda? Leero ndaga ekisa ennyumba ya Sawulo kitaawo, baganda be, ne mikwano gye, ne sikuwaayo mu mukono gwa Dawudi, era naye onnanze omusango ogw'omukazi oyo.
9 Katonda akole bw'atyo Abuneeri n'okukirawo, bwe sirikolera ddala Dawudi nga Mukama bwe yamulayirira;
10 okuggya obwakabaka ku nnyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba.
11 N'atayinza kumwanukula Abuneeri kigambo kirala, kubanga yamutya.
12 Awo Abuneeri n'atumira Dawudi ababaka ku bubwe ye, ng'ayogera nti Nannyini nsi ye ani? era nti Lagaana nange, era, laba, omukono gwange guliba naawe okukukyukiza Isiraeri yenna.
13 N'ayogera nti Kale; ndiragaana naawe: naye waliwo ekimu kye nkussaako nga toliraba maaso gange, bw'otolimala kuleeta Mikali muwala wa Sawulo, bw'olijja okulaba amaaso gange.
14 Awo Dawudi n'atumira Isubosesi mutabani wa Sawulo ababaka ng'ayogera nti Mpa mukazi wange Mikali gwe nnayogereza n'ebikuta ekikumi eby'Abafirisuuti.
15 Awo Isubosesi n'atuma n'amuggya ku bba, ye Palutieri mutabani wa Layisi.
16 Bba n'agenda naye ng'agenda ng'akaaba, n'amugoberera e Bakulimu. Awo Abuneeri n'amugamba nti Genda oddeyo: n'addayo.
17 Awo Abuneeri n'ateesa n'abakadde ba Isiraeri ng'ayogera nti Mu biro eby'edda mwayagala Dawudi okuba kabaka wammwe:
18 kale nno kaakano mukikole: kubanga Mukama yayogera ku Dawudi nti Mu mukono gw'omuddu wange Dawudi bwe ndirokola abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti ne mu mukono gw'abalabe baabwe bonna.
19 Abuneeri n'ayogera ne mu matu ga Benyamini: era Abuneeri n'agenda okwogera ne mu matu ga Dawudi e Kebbulooni byonna Isiraeri n'ennyumba yonna eya Benyamini bye baasiima.
20 Awo Abuneeri n'ajja eri Dawudi e Kebbulooni n'abasajja amakumi abiri wamu naye. Dawudi n'afumbira embaga Abuneeri n'abasajja abaali naye.
21 Awo Abuneeri n'agamba Dawudi nti Naagolokoka ne ŋŋenda ne nkuŋŋaanya Isiraeri yenna eri mukama wange kabaka, balagaane endagaano naawe, era ofuge bonna emmeeme yo be yeegomba. Dawudi n'asindika Abuneeri n'agenda mirembe.
22 Awo, laba, abaddu ba Dawudi ne Yowaabu ne bakomawo okukwekweta, ne baleeta nabo omunyago omungi: naye Abuneeri teyali ne Dawudi e Kebbulooni; kubanga yali amusindise, naye ng'agenze mirembe.
23 Awo Yowaabu n'eggye lyonna eryali naye bwe baatuuka, ne babuulira Yowaabu nti Abuneeri mutabani wa Neeri yazze eri kabaka, era yamusindise, era yagenze mirembe.
24 Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'ayogera nti Okoze ki? laba, Abuneeri yazze gy'oli; wamusindikidde ki, era agendedde ddala?
25 Omanyi Abuneeri mutabani wa Neeri ng'azze okukulimba n'okumanya bw'ofuluma n'oyingira n'okumanya byonna by'okola:
26 Awo Yowaabu bwe yafuluma okuva eri Dawudi, n'atuma ababaka okugoberera Abuneeri, ne bamukomyawo okuva ku luzzi lwa Siira: naye Dawudi n'atakimanya.
27 Awo Abuneeri bwe yakomawo e Kebbulooni, Yowaabu n'amwawulamu n'amutwala mu mulyango wakati okwogera naye mu kyama, n'amufumitira eyo olubuto, n'afa, olw'omusaayi gwa Asakeri muganda we.
28 Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwulira n'ayogera nti Nze n'obwakabaka bwange tetuliiko musango mu maaso ga Mukama ennaku zonna ogw'omusaayi gwa Abuneeri mutabani wa Neeri:
29 gugwe ku mutwe gwa Yowaabu ne ku nnyumba yonna eya kitaawe; so mu nnyumba ya Yowaabu temubulanga muziku oba mugenge oba eyeesigama ku muggo oba agwa n'ekitala oba abulwa emmere.
30 Bwe batyo Yowaabu ne Abisaayi muganda we bwe batta Abuneeri, kubanga yali asse muganda waabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo.
31 Awo Dawudi n'agamba Yowaabu n'abantu bonna abaali naye nti Muyuze engoye zammwe mwesibe ebibukutu mukaabe mu maaso ga Abuneeri. Kabaka Dawudi n'agoberera olunyo.
32 Ne baziika Abuneeri e Kebbulooni: kabaka n'ayimusa eddoboozi lye n'akaaba ku ntaana ya Abuneeri; abantu bonna ne bakaaba amaziga.
33 Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'ayogera nti Abuneeri yandifudde ng'omusirusiru bw'afa?
34 Emikono gyo tegyasibibwa, so n'ebigere byo tebyateekebwa mu masamba: Ng'omuntu bw'agwa mu maaso g'abaana b'obutali butuukirivu, bwe wagwa bw'otyo. Abantu bonna ne bamukaabira nate amaziga.
35 Abantu bonna ne bajja okuliisa Dawudi emmere obudde nga bukyali misana; naye Dawudi n'alayira ng'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, bwe nnaakomba ku mmere oba ku kirala kyonna, okutuusa enjuba lw'eneegwa.
36 Abantu bonna ne bakitegeera ne kibasanyusa: era nga byonna kabaka bye yakola bwe byasanyusanga abantu bonna.
37 Awo abantu bonna ne Isiraeri yenna ne bategeera ku lunaku olwo nga tekyava eri kabaka okutta Abuneeri mutabani wa Neeri.
38 Kabaka n'agamba abaddu be nti Temumanyi nga mu Isiraeri mugudde leero omusajja omukulu era ow'ekitiibwa.
39 Nange leero ndi munafu newakubadde nga nfukiddwako amafuta okuba kabaka: n'abasajja bano batabani ba Zeruyiya bannyinze obukakanyavu: Mukama asasule akoze ekibi ng'obubi bwe bwe buli.




Essuula 4

1 Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng'afiiridde e Kebbulooni, emikono gye ne giyongobera, Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.
2 Era Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri abaami b'ebibiina: omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini: (kubanga ne Beerosi kibalirwa Benyamini:
3 ab'e Beerosi ne baddukira e Gittayimu ne babeera eyo na guno gujwa.)
4 Era Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana eyalemala ebigere. Yali yaakamaze emyaka etaano ebigambo bwe byatuuka okuva mu Yezuleeri ebya Sawulo ne Yonasaani, omulezi we n'amusitula n'adduka: awo olwatuuka bwe yayanguwa okudduka n'agwa n'alemala. N'erinnya lye lyali Mefibosesi.
5 Awo batabani ba Limmoni Omubeerosi, Lekabu ne Baana, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi omusana nga gukazizza, bwe yali ng'awummudde mu ttuntu:
6 Ne bajjayo wakati mu nnyumba ng'abaagala okukima eŋŋaano; ne bamufumita olubuto: Lekabu ne Baana muganda we ne bawona.
7 Awo bwe baatuuka mu nnyumba, ng'agalamidde ku kitanda kye mu nju ye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako omutwe, ne batwala omutwe gwe, ne batambula mu kkubo erya Alaba ne bakeesa obudde.
8 Ne bamuleetera Dawudi omutwe gwa Isubosesi e Kebbulooni, ne bagamba kabaka nti Laba omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyanoonya obulamu bwo: era Mukama awalanye eggwanga lya mukama wange kabaka leero ku Sawulo ne ku zzadde lye.
9 Awo Dawudi n'addamu Lekabu ne Baana muganda we, batabani ba Limmoni Omubeerosi, n'abagamba nti Mukama nga bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange mu kulaba ennaku kwonna,
10 omuntu bwe yambuulira nti Laba, Sawulo afudde, ng'alowooza okuleeta ebigambo ebirungi, awo ne mmukwata ne mmuttira e Zikulagi, ye mpeera gye nnamuwa olw'ebigambo bye.
11 Kale, abantu ababi nga battidde omuntu omutuukirivu mu nnyumba ye ku kitanda kye, sirisinga nnyo kaakano kuvunaana musaayi gwe mu mukono gwammwe, ne mbaggya ku nsi?
12 Awo Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta ne babasalako engalo n'ebigere ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Naye ne batwala omutwe gwa Isubosesi ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.




Essuula 5

1 Awo ebika byonna ebya Isiraeri ne bajja eri Dawudi e Kebbulooni, ne boogera nti Laba, tuli magumba go era mubiri gwo.
2 Mu biro eby'edda, Sawulo nga ye kabaka waffe, ggwe wafulumya n'oyingiza Isiraeri: Mukama n'akugamba nti Ggwe olirunda abantu bange Isiraeri, era ggwe oliba mukulu wa Isiraeri.
3 Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaano e Kebbulooni mu maaso ga Mukama: ne bamufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri.
4 Dawudi yali yaakamaze emyaka asatu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka ana.
5 Yafugira Yuda e Kebbulooni emyaka musanvu ko emyezi mukaaga: ne mu Yerusaalemi yafugira Isiraeri yenna ne Yuda emyaka asatu mu esatu.
6 Awo kabaka n'abasajja be ne bagenda e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi, abaatuula mu nsi: abaagamba Dawudi nti Bw'otolimalawo bazibe ba maaso n'abawenyera, toliyingira muno: nga balowooza nti Dawudi tayinza kuyingira muno.
7 Era naye Dawudi n'amenya ekigo kye Sayuuni; ekyo kye kibuga kya Dawudi.
8 Dawudi n'ayogera ku lunaku olwo nti Buli anatta Abayebusi, ayambuke awali olusalosalo atte abazibe b'amasso n'abawenyera emmeeme ya Dawudi b'ekyawa. Kyebaava boogera nti Waliwo abazibe b'amasso n'abawenyera; tayinza kuyingira mu nnyumba.
9 Dawudi n'abeera mu kigo n'akiyita ekibuga kya Dawudi. Era Dawudi yazimba okwetooloola okuva e Miro n'okuzza munda.
10 Awo Dawudi ne yeeyongerayongeranga okuba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'eggye, yali naye.
11 Awo Kiramu kabaka w'e Ttuulo n'atumira Dawudi ababaka n'emivule n'ababazzi n'abazimbi b'amayinja; ne bazimbira Dawudi ennyumba.
12 Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezezza okuba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizizza obwakabaka bwe ku lw'abantu be Isiraeri.
13 Awo Dawudi ne yeeyongera okuwasa abazaana n'abakazi ng'abaggya mu Yerusaalemi, ng'amaze okuva e Kebbulooni: Dawudi n'azaalirwa nate abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
14 Era gano ge mannya g'abo abaamuzaalirwa mu Yerusaalemi; Sammuwa ne Sobabu ne Nasani ne Sulemaani,
15 ne Ibali ne Eriswa; ne Nefegi ne Yafiya;
16 ne Erisaama ne Eriyada ne Erifereti.
17 Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga bamaze okumufukako Dawudi amafuta okuba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi; Dawudi n'akiwulira n'aserengeta mu mpuku.
18 Awo Abafirisuuti baali bazze ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu.
19 Awo Dawudi n'abuuza Mukama nti Nnyambuke eri Abafirisuuti? on'obagabula mu mukono gwange? Mukama n'agamba Dawudi nti Yambuka: kubanga siireme kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo.
20 Dawudi n'ajja e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; n'ayogera nti Mukama amenye abalabe bange, ng'amazzi bwe gamenya. Kyeyava atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Baalupera.
21 Ne baleka eyo ebifaananyi byabwe, Dawudi n'abasajja be ne babitwala.
22 Awo Abafirisuuti ne beeyongera okwambuka olw'okubiri ne bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu.
23 Awo Dawudi bwe yabuuza Mukana n'ayogera nti Toyambuka: weetooloole ennyuma waabwe obafulume mu maaso g'emitugunda.
24 Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g’emitugunda, n’olyoka ogolokoka: kubanga awo Mukama ng'akukulembedde okukuba eggye ly'Abafirisuuti.
25 Awo Dawudi n'akola bw'atyo nga Mukama bwe yamulagira; n'atta Abafirisuuti okuva e Geba okutuusa lwe yatuuka e Gezeri.




Essuula 6

1 Awo Dawudi n'akuŋŋaanya nate abasajja bonna abalonde aba Isiraeri, obukumi busatu.
2 Sawudi n'agolokoka n'agenda n'abantu bonna abaali naye, okuva e Baale Yuda okuggyayo ssanduuko ya Katonda okugirinnyisa, eyitibwa Erinnya lyennyini, erinnya lya Mukama ow'eggye atuula ku bakerubi.
3 Ne bateeka ssanduuko ya Katonda ku ggaali empya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi: Uzza ne Akiyo, batabani ba Abinadaabu, ne bagoba eggaali empya.
4 Ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi n'essanduuko ya Katonda: Akiyo n'akulembera ssanduuko.
5 Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne bakubira mu maaso ga Mukama ebintu eby'emiberosi eby'engeri zonna n'ennanga n'entongooli n'ebitaasa n'ensaasi n'ebisaala.
6 Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n'agolola omukono gwe ku ssanduuko ya Katonda n'agikwatako; kubanga ente yeesittala.
7 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uzza; Katonda n'amukubira eyo olw'ekyonoono kye; n'afiira awo awali ssanduuko ya Katonda.
8 Awo Dawudi n'anyiiga kuba Mukama awamatukidde Uzza: n'ayita ekifo ekyo Perezuzza, ne leero.
9 Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'ayogera nti Essanduuko ya Mukama erijja etya gye ndi?
10 Awo Dawudi n'atayagala kujjulula ssanduuko ya Mukama okugireeta gy'ali, mu kibuga kya Dawudi; naye Dawudi n'agikyamya n'agiyingiza mu nnyumba ya Obededomu Omugitti.
11 Awo essanduuko ya Mukama n'emala emyezi esatu mu nnyumba ya Obededomu Omugitti: Mukama n'awa omukisa Obededomu n'ennyumba ye yonna.
12 Awo ne babuulira kabaka Dawudi nti Mukama awadde omukisa ennyumba ya Obededomu n'ebibye byonna olw'essanduuko ya Katonda. Dawudi n'agenda n'aggya essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n'agirinnyisa mu kibuga kya Dawudi ng'asanyuka.
13 Awo olwatuuka abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baali batambudde ebigere mukaaga, n'awaayo ente n'ekya ssava.
14 Dawudi n'azinira mu maaso ga Mukama n'amaanyi ge gonna; era Dawudi nga yeesibye ekkanzu eya bafuta.
15 Awo Dawudi n'ennyumba yonna eya Isiraeri ne balinnyisa essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu era nga bafuuwa ekkondeere.
16 Awo olwatuuka essanduuko ya Mukama bwe yali ng'eyingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'abuuka ng'azinira mu maaso ga Mukama; n'amunyooma mu mutima gwe.
17 Ne bayingiza essanduuko ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yali agisimbidde: Dawudi n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama.
18 Awo Dawudi bwe yali amaze okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu linnya lya Mukama ow'eggye.
19 N'agabira abantu bonna, ekibiina kyonna ekya Isiraeri, abasajja n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu. Awo abantu bonna ne baddayo buli muntu mu nnyumba ye.
20 Awo Dawudi n'akomawo okusabira ab'omu nnyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'afuluma okusisinkana ne Dawudi n'ayogera nti Kabaka wa Isiraeri ng'abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g'abazaana b'abaddu be, ng'omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi!
21 Dawudi n'agamba Mikali nti Kyabadde mu maaso ga Mukama, eyannonda okusinga kitaawo n'okusinga ennyumba ye yonna okunfuula omukulu w'abantu ba Mukama, owa Isiraeri: kyennaavanga nzannyira mu maaso ga Mukama.
22 Era neeyongeranga okwetoowaza okukirawo, era naabanga anyoomebwa mu maaso gange nze: naye abazaana b'oyogeddeko abo balinzisaamu ekitiibwa.
23 Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusa ku lunaku kwe yafiira.




Essuula 7

1 Awo olwatuuka kabaka bwe yatuula mu nnyumba ye, era Mukama ng'amuwadde okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola,
2 awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti Laba nno, nze ntuula mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ya Katonda etuula munda w'ebitimbe.
3 Awo Nasani n'agamba kabaka nti Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe.
4 Awo olwatuuka ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti
5 Genda obuulire omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ggwe olinzimbira ennyumba gye mba mbeeramu?
6 kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnaggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, ne leero, naye natambuliranga mu weema ne mu nnyumba entimbe.
7 Mu bifo byonna mwe nnatambulira n'abaana ba Isiraeri bonna, nali njogedde ekigambo n'ekika kyonna ekya Isiraeri, kye nnalagira okulunda abantu bange Isiraeri, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?
8 Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri:
9 era nabanga naawe buii gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.
10 Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ne mbasimba batuulenga mu kifo kyabwe bo, ne batajjulukuka nate; so n'abaana b'obubi nga tebakyababonyaabonya ng'olubereberye,
11 era ng'okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndikuwa okuwummula eri abalabe bo bonna. Era nate Mukama akubuulira nga Mukama alikukolera ennyumba.
12 Ennaku zo bwe ziriba nga zituukiridde naawe nga weebakidde wamu ne bajjajjaabo, ndissaawo ezzadde lyo eririddawo eririva munda yo, era ndinyweza obwakabaka bwe.
13 Oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ey'obwakabaka bwe ennaku zonna.
14 Nze ndiba kitaawe naye aliba mwana wange: bw'anaabanga ng'akoze ekitali kya butuukirivu, naamukangavvulanga n'omuggo ogw'abantu n'enga ez'abaana b'abantu;
15 naye okusaasira kwange tekuumuvengako, nga bwe nnakuggya ku Sawulo, gwe nnaggyawo mu maaso go:
16 N'ennyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso go: entebe yo erinywezebwa ennaku zonna.
17 Awo ng'ebigambo ebyo byonna bwe biri n'okwolesebwa okwo kwonna, bw'atyo Nasani bwe yabuulira Dawudi.
18 Awo Dawudi kabaka n'alyoka ayingira n'atuula mu maaso ga Mukama; n'ayogera nti Nze ani, ai Mukama Katonda, n'ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano?
19 N'ekyo ne kiba nga kikyali kigambo kitono mu maaso go, ai Mukama Katonda; era naye oyogedde ku nnyumba y'omuddu wo okumala ebiro bingi ebiribaawo; n'ekyo ng'engeri y'abantu bw'eri, ai Mukama Katonda!
20 Era kiki Dawudi ky'ayinza okukugamba nate? kubanga omanyi omuddu wo, ai Mukama Katonda.
21 Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, okutegeeza omuddu wo.
22 Ky'obeeredde omukulu, ai Mukama Katonda: kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe.
23 Era ggwanga ki erimu mu nsi erifaanana abantu bo, erifaanana Isiraeri, Katonda be yagenderera okwenunulira okuba abantu be, n'okwekolera erinnya, n'okubakolera ebikulu, n'okukolera ensi yo eby'entiisa, mu maaso g'abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri, okubaggya mu mawanga ne bakatonda baabwe?
24 Ne weenywereza abantu bo Isiraeri okuba abantu gy'oli ennaku zonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
25 Era kaakano, ai Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde.
26 Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri: n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
27 Kubanga ggwe, ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti Ndikuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okukusaba okusaba kuno.
28 Era nno, ai Mukama Katonda, ggwe Katonda, n'ebigambo byo mazima, era osuubizizza omuddu wo ekigambo ekyo ekirungi
29 kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna: kubanga ggwe, ai Mukama Katonda, okyogedde: era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.




Essuula 8

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula: Dawudi n'aggyayo olukoba lw'ekibuga nnyina w'ensi mu mukono gw'Abafirisuuti.
2 N'akuba Mowaabu, n'abagera n'omugwa, ng'abagalamiza wansi; n'agerako emigwa ebiri egy'okutta n'omugwa ogumu omulamba ogw'okuwonya abalamu. Abamowaabu ne bafuuka baddu ba Dawudi ne baleeta ebirabo.
3 Era Dawudi n'akuba ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yagenda okujeemulula amatwale ge ku Mugga.
4 Dawudi n'amuggyako abasajja abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu, n'abatambula n'ebigere obukumi bubiri: Dawudi n'azitema enteega embalaasi zonna ez'amagaali, naye n'aterekako ez'amagaali kikumi.
5 Awo Abasuuli ab'e Ddamasiko bwe bajja okudduukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja obukumi bubiri mu enkumi bbiri.
6 Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko: Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
7 Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
8 Ne mu Beta ne mu Berosayi, ebibuga bya Kadadezeri, kabaka Dawudi n'aggyamu ebikomo ebyayingirira obungi.
9 Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawulira nga Dawudi akubye eggye lyonna erya Kadadezeri,
10 awo Toyi n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amukuba: kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta wamu naye ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo:
11 n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gye yawonga gye yaggya ku mawanga gonna ge yawangula;
12 ku Busuuli ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki ne ku munyago gwa Kadadezeri, mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba.
13 Dawudi ne yeefunira erinnya bwe yakomawo ng'amaze okukuba Abasuuli mu Kiwonvu eky'Omunnyo, abasajja kakumi mu kanaana.
14 N'ateeka ebigo mu Edomu; yateeka ebigo okubuna Edomu, Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
15 Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna: Dawudi n'asalira abantu be bonna emisango gya nsonga era gya mazima.
16 Ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'eggye; ne Yekosaffaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza:
17 ne Zadoki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; ne Seroya ye yali omuwandiisi;
18 ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; ne batabani ba Dawudi be baali abakulu.




Essuula 9

1 1 Dawudi n'ayogera nti Wakyaliwo asigaddewo ku nnyumba ya Sawulo, mmukole eby'ekisa ku lwa Yonasaani?
2 Awo waaliwo ku nnyumba ya Sawulo omuddu erinnya lye Ziba, ne bamuyita eri Dawudi; kabaka n'amugamba nti Ggwe Ziba? N'ayogera nti Omuddu wo ye wuuyo.
3 Kabaka n'ayogera nti Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukole eby'ekisa kya Katonda? Ziba n'agamba kabaka nti Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.
4 Kabaka n'amugamba nti Ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
5 Awo kabaka Dawudi n'atuma n'amuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.
6 Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'ayogera nti Mefibosesi. N'addamu nti Laba omuddu wo.
7 Dawudi n'amugamba nti Totya: kubanga siireme kukukola bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.
8 Ne yeeyanza n'ayogera nti Omuddu wo ye ani ggwe okutunuulira embwa enfu nga nze bwe ndi?
9 Awo kabaka n'ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n'amugamba nti Byonna ebyabanga ebya Sawulo n'eby'ennyumba ye yonna mbiwadde omwana wa mukama wo.
10 Naawe onoomulimiranga ettaka, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga: naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange. Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano n'abaddu amakumi abiri.
11 Awo Ziba n'agamba kabaka nti Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga. Mefibosesi, bwe yayogera kabaka, anaalyanga ku mmeeza yange ng'omu ku baana ba kabaka.
12 Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
13 Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi: kubanga yalyanga bulijjo ku mmeeza ya kabaka; era yalemala ebigere bye byombi.




Essuula 10

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, Kanuni mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2 Dawudi n'ayogera nti Naakola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankola eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni.
3 Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya?
4 Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'abasindika.
5 Awo bwe baakibuulira Dawudi, n'atuma okubasisinkana; kubanga abasajja abo ne bakwatibwa nnyo ensonyi. Kabaka n'ayogera nti Mubeere e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula, mulyoke mukomewo.
6 Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Dawudi ng'abatamiddwa, abaana ba Amoni ne batuma ne bagulirira Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere obukumi bubiri, ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi, n'abasajja ab'e Tobu abasajja kakumi mu enkumi bbiri.
7 Awo Dawudi bwe yakiwulira, n'atuma Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.
8 Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango: n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale.
9 Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'ennyuma we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli:
10 abantu bonna abalala n'abakwasa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, n'abasimba ennyiriri okwolekera abaana ba Amoni.
11 N'ayogera nti Abasuuli bwe banannema, kale ggwe onombeera: naye abaana ba Amoni bwe banaakulema, kale najja ne nkuyamba.
12 Ddamu amaanyi twerage obusajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe: era Mukama akole nga bw'asiima.
13 Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli: ne badduka mu maaso ge.
14 Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n' alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo n'ajja e Yerusaalemi.
15 Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne bakuŋŋaana.
16 Awo Kadadezeri n'atuma n'aggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga: ne bajja e Keramu, Sobaki omukulu w'eggye lya Kadadezeri ng'abakulembedde.
17 Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, n'asomoka Yoludaani n'ajja e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi ne balwana naye.
18 Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu, n'abeebagala embalaasi obukumi buna, n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo.
19 Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni.




Essuula 11

1 Awo olwatuuka omwaka bwe gwatuukirira mu kiseera bakabaka mwe batabaalira, Dawudi n'atuma Yowaabu n'abaddu be awamu naye ne Isiraeri yenna; ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi.
2 Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka: era ng'ayima ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira.
3 Awo Dawudi n'atuma n'abuuza omukazi bw'ali. Ne wabaawo eyayogera nti Oyo si Basuseba muwala wa Eriyaamu, mukazi wa Uliya Omukiiti?
4 Awo Dawudi n'atuma ababaka n'amutwala; n'ayingira gy'ali n'asula naye; (kubanga yali alongoosebwa obutali bulongoofu bwe;) omukazi n'addayo mu nuyumba ye.
5 Omukazi n'aba olubuuto; n'atuma n'abuulira Dawudi n'ayogera nti Ndi lubuto.
6 Dawudi n'atumira Yowaabu nti Mpeereza Uliya Omukiiti. Yowaabu n'aweereza Uliya eri Dawudi.
7 Awo Uliya bwe yajja gy'ali, Dawudi n'amubuuza Yowaabu bwe yali n'abantu bwe baali n'olutalo bwe lwali.
8 Dawudi n'agamba Uliya nti Serengeta mu nnyumba yo onaabe ebigere. Uliya n'ava mu nnyumba ya kabaka, ne wamugoberera omuwumbo (gw'emmere) oguvudde eri kabaka.
9 Naye Uliya n'asula ku mulyango gw'ennyumba ya kabaka wamu n'abaddu bonna aba mukama we, n'ataserengeta mu nnyumba ye.
10 Awo bwe baamubuulira Dawudi nti Uliya teyaserengese mu nnyumba ye, Dawudi n'agamba Uliya nti Tovudde mu lugendo? kiki ekyakulobedde okuserengeta mu nnyumba yo?
11 Uliya n'agamba Dawudi nti Essanduuko ne Isiraeri ne Yuda basula mu nsiisira; ne mukama wange Yowaabu n'abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale mu bbanga; nze nno naagenda mu nnyumba yange okulya n'okunywa n'okusula ne mukazi wange? nga bw'oli omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu sijja kukola kigambo ekyo.
12 Awo Dawudi n'agamba Uliya nti Mala wano n'olwa leero, enkya nkusindike. Awo Uliya n'amala olunaku olwo n'olw'enkya mu Yerusaalemi.
13 Awo Dawudi bwe yamuyita n'alya n'anywera mu maaso ge; n'amutamiiza: awo akawungeezi n'afuluma okusula ku kitanda kye wamu n'abaddu ba mukama we, naye n'ataserengeta mu nnyumba ye.
14 Awo olwatuuka enkya Dawudi n'awandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiweerereza mu mukono gwa Uliya.
15 N'awandiika mu bbaluwa nti Muteeke Uliya mu maaso awali olutalo olw'amaanyi; mumwabulire, balyoke bamufumite afe:
16 Awo olwatuuka Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'awa Uliya ekifo we yamanya nga we wali abazira.
17 Abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwana ne Yowaabu: awo ku bantu ne kufaako abamu, ku baddu ba Dawudi; Uliya Omukiiti naye n'afa.
18 Awo Yowaabu n'atuma n'abuulira Dawudi eby'olutalo byonna;
19 n'akuutira omubaka ng'ayogera nti Bw'oliba ng'omaze okubuulira kabaka eby'olutalo byonna,
20 awo alunaatuuka kabaka bw'anaasunguwala, n'akugamba nti Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi: n'ekibuga okulwana? temwamanya nga baliyima ku bbugwe okulasa:
21 ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? omukazi teyamukasukako enso ng'ayima ku bbugwe n'afiira e Sebezi? kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi ne bbugwe? awo onooyogera nti N'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.
22 Awo omubaka n'agenda n'ajja n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma.
23 Omubaka n'agamba Dawudi nti Abasajja baatuyiwako amaanyi ne batulumba ebweru mu bbanga, ne tufunvubira nabo okutuusa awayingirirwa mu mulyango.
24 Abalasi ne balasa abaddu bo nga bayima ku bbugwe; era ku baddu ba kabaka kufuddeko abamu, n'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.
25 Awo Dawudi n'agamba omubaka nti Bw'otyo bw'oba ogamba Yowaabu nti Ekigambo ekyo kireme okukunyiiza, kubanga ekitala kirya nga kyenkanya omuntu ne munne: weeyongere okunyweza olutalo lwo okulwana n'ekibuga okimenye: era omugumyanga omwoyo.
26 Awo muka Uliya bwe yawulira bba ng'afudde n'akungubagira bba we.
27 Awo bwe yamala okwabya olumbe, Dawudi n'atuma n'amuleeta ewuwe, n'aba mukazi we n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Naye ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama.




Essuula 12

1 Awo Mukama n'atuma Nasani eri Dawudi. N'ajja gy'ali n'amugamba nti Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga ne munne nga mwavu.
2 Omugagga yalina endiga n'ente nnyingi nnyo nnyini:
3 naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k'endiga akaluusi ke yagula n'akalera: ne kakulira wamu naye n'abaana be; kaalyanga ku kamere ke ye, ne kanywa ku ndeku ye ye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy'ali nga muwala we.
4 Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo, n'alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy'ali, naye n'atwala omwana gw'endiga ogw'omwavu, n'agufumbira omusajja azze gy'ali.
5 Dawudi n'asunguwalira nnyo omusajja; n'agamba Nasani nti Mukama nga bw'ali omulamu, omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa:
6 era alizzaawo omwana gw'endiga emirundi ena, kubanga yakola ekyo, era kubanga teyalina kusaasira.
7 Awo Nasani n'agamba Dawudi nti Ye ggwe. Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nakufukako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri ne nkuggya mu mukono gwa Sawulo;
8 ne nkuwa ennyumba ya mukama wo, ne bakazi ba mukama wo ne mbakuwa mu kifuba kyo, ne nkuwa ennyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'ebyo singa bibadde bitono, nandikwongeddeko bino na bino.
9 Kiki ekikunyoomezza ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maaso ge ebibi? osse Uliya Omukiiti n'ekitala n'otwala mukazi we okuba mukazi wo, n'omutta n'ekitala eky'abaana ba Amoni.
10 Kale nno ekitala tekiivenga mu nnyumba yo ennaku zonna; kubanga onnyoomye nze n'otwala mukazi wa Uliya Omukiiti okuba mukazi wo.
11 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikuyimusizaako obubi obuliva mu nnyumba yo ggwe, era nditwala bakazibo mu maaso go ne mbawa muliiraanwa wo, era alisula ne bakazi bo mu maaso g'enjuba eno.
12 Kubanga ggwe wakikola mu kyama: naye nze ndikola ekigambo ekyo mu maaso ga Isiraeri yenna ne mu maaso g'enjuba.
13 Awo Dawudi n'agamba Nasani nti Nnyonoonye Mukama. Nasani n'agamba Dawudi nti Mukama naye aggyeewo ekyonoono kyo; toofe.
14 Naye kubanga owadde abalabe ba Mukama ebbanga ddene okuvvoola olw'ekikolwa ekyo, omwana akuzaaliddwa talirema kufa naye.
15 Awo Nasani ne yeddirayo mu nnyumba ye. Awo Mukama n'alwaza omwana muka Uliya gwe yazaalira Dawudi, n'alwala nnyo.
16 Dawudi kyeyava amwegayiririra omwana eri Katonda; Dawudi n'asiiba n'ayingira n'agalamira ku ttaka okukeesa obudde.
17 Awo abakadde ab'omu nnyumba ye ne bagolokoka (ne bayimirira) w'ali, okumuyimusa okuva wansi: naye n'atakkiriza so teyalya mmere nabo.
18 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaddu ba Dawudi ne batya okumubuulira omwana ng'afudde: kubanga baayogera nti Laba, omwana bwe yali ng'akyali mulamu ne twogera naye, n'atawulira ddoboozi lyaffe: kale aneeraliikirira atya bwe tunaamubuulira omwana ng'afudde?
19 Naye Dawudi bwe yalaba abaddu be nga boogerera wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'afudde: Dawudi n'agamba abaddu be nti Omwana afudde? Ne boogera nti Afudde.
20 Awo Dawudi n'ava wansi n'agolokoka n'anaaba n'asaaba amafuta n'awaanyisa ebyambalo bye; n'ajja mu nnyumba ya Mukama n'asinza: n'alyoka ajja mu nnyumba ye; awo bwe yayagala ne bateeka emmere mu maaso ge n'alya.
21 Awo abaddu be ne bamugamba nti Kigambo ki kino ky'okoze? Wasiiba n'okaabira omwana bwe yali ng'akyali mulamu; naye omwana ng'afudde, n'ogolokoka n'olya ku mmere.
22 N'agamba nti Omwana bwe yali ng'akyali mulamu, nasiiba ne nkaaba: kubanga nayogera nti Ani amanyi oba nga Mukama tankwatirwe kisa omwana abe omulamu.
23 Naye kaakano ng'amaze okufa, nandisiibidde ki? nnyinza okumukomyawo? nze ndigenda gy'ali naye ye talikomawo gye ndi.
24 Dawudi n'akubagiza Basuseba mukazi we n'ayingira gy'ali n'asula naye: n'azaala omwana ow'obulenzi n'amutuuma erinnya lye Sulemaani. Mukama n'amwagala;
25 Mukama n'atuma mu mukono gwa Nasani nnabbi, n'amutuuma erinnya lye Yedidiya, ku lwa Mukama.
26 Awo Yowaabu n'alwana ne Labba eky'abaana ba Amoni n'amenya ekibuga kya kabaka.
27 Awo Yowaabu n'atumira Dawudi ababaka n'ayogera nti Nnwanye ne Labba, n'okumenya mmenye ekibuga eky'amazzi.
28 Kale nno kuŋŋaanya abantu bonna abasigaddewo ozingize ekibuga okimenye: nneme okumenya ekibuga ne bakituuma erinnya lyange.
29 Dawudi n'akuŋŋaanya abantu bonna n'agenda e Labba, n'alwana nakyo n'akimenya.
30 N'aggya engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwali talanta eya zaabu, ne mu yo nga mulimu amayinja ag'omuwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. N'aggyamu omunyago ogw'ekibuga, mungi nnyo nnyini.
31 N'aggyamu abantu abaali omwo, n'abassa wansi w'emisomeeno n'amannyo ag'ekyuma n'embazzi ez'ekyuma, n'abayisa mu kyokero ky'amatoffaali: awo bw'atyo bwe yakola ebibuga byonna eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonna ne baddayo e Yerusaalemi.




Essuula 13

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwagala.
2 Awo Amunoni ne yeeraliikirira bw'atyo n'okulwala n'alwala olwa mwannyina Tamali; kubanga yali tannamanya musajja; Amunoni n'akirowooza nga kizubu okumukola ekigambo kyonna.
3 Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi: era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo.
4 N'amugamba nti Ekikukozza bw'otyo bulijjo bulijjo kiki, ggwe omwana wa kabaka? tombuulire? Amunoni n'amugamba nti Njagala Tamali mwannyina muganda wange Abusaalomu.
5 Awo Yonadabu n'amugamba nti Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze: kale kitaawo bw'aliba ng'azze okukulaba, n'omugmaba nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, ampe emmere okulya, era afumbe emmere mu maaso gange ngirabe ngiriire mu ngalo ze.
6 Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza: awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange ndiire mu ngalo ze.
7 Awo Dawudi n'atuma eka eri Tamali ng'ayogera nti Genda nno eri ennyumba ya muganda we Amunoni omufumbire emmere.
8 Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya muganda we Amunoni; ye ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya n'abumba emigaati mu maaso ge n'ayokya emigaati.
9 N'addira ekikalango n'agifuka mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti Abasajja bonna bave we ndi. Ne bava w'ali buli musajja.
10 Amunoni n'agamba Tamali nti Leeta emmere mu kisenge ndiire mu ngalo zo. Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agireeta mu kisenge eri Amunoni mwannyina.
11 Awo bwe yagimusembereza okulya n'amukwata n'amugamba nti Jjangu osule nange, mwannyinaze.
12 N'amuddamu nti Nedda, mwannyinaze, tonkwata; kubanga tekigwanidde kukola kigambo ekifaanana bwe kityo mu Isiraeri: tokola busirusiru buno.
13 Nange nno naatwala wa obuwemu bwange? naawe oliba ng'omu ku basirusiru mu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, yogera ne kabaka; kubanga tajja kukunnyima.
14 Naye n'atakkiriza kuwulira ddoboozi lye: naye kubanga yamusinga amaanyi n'amukwata n'asula naye.
15 Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti Golokoka ogende.
16 N'ayogera nti Nedda, kubanga ekyonoono kino ekinene ky'onkola ng'ongoba kisinga kiri ky'onkoze. Naye n'ataganya kumuwulira.
17 Awo n'alyoka ayita omuddu we eyamuweerezanga n'ayogera nti Fulumya nno omukazi ono ave we ndi, osibe oluggi ennyuma we.
18 Era yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi: kubanga bwe baayambalanga bwe batyo abawala ba kabaka abatamanyi musajja. Awo omuddu we n'amufulumya n'asiba oluggi ennyuma we.
19 Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka omukono gwe n'agenda ng'akaaba.
20 Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti Amunoni mwannyoko abadde naawe? naye kaakano sirika, mwannyinaze: ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo. Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba.
21 Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo.
22 Abusaalomu n'atayogera ne Amunoni newakubadde ebirungi newakubadde ebibi: kubanga Abusaalomu n'akyawa Amunoni, kubanga yali akutte Tamali mwannyina.
23 Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'eidiga ze e Baalukazoli, ekiri ku nabbali ga Efulayimu: Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna.
24 Abusaalomu n'ajja eri kabaka n’ayogera nti Laba nno, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde, kabaka n'abbaddu be bagende n'omuddu wo.
25 Kakaka n'agamba Abusaalomu nti Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera. N'amutayirira: naye n'atakkiriza kugenda, naye n'amusabira mukisa.
26 Awo Abusaalomu n'ayogera nti ogaanyi, nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe. Kabaka n'amugamba nti Ekinaaba kimutwala nawe kiki?
27 Naye Abusaalomu n'amutayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28 Awo Abusaalomu n'alagira abaddu be ng'ayogera nti Mwekkaanye nno, omutima gwa Amunoni nga gusanyuse olw'omwenge; awo bwe nnaabagamba nti Mufumite Amunoni, mumutte, temutya: si nze mbalagidde? mugume emyoyo mube abazira.
29 Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka, ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.
30 Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nga boogera nti Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu.
31 Awo kabaka n'agolokoka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna ne bayimirira gy'ali nga bayuzizza engoye zaabwe.
32 Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti Mukama wange aleme okulowooza nga basse abalenzi bonna abaana ba kabaka; kubanga Amunoni yekka ye afudde: kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'akimalirira okuva ku lunaku lwe yakwata Tamali mwannyina.
33 Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza ng'abaana ba kabaka bonna bafudde: kubanga Amunoni yekka ye afudde.
34 Naye Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyakuumanga n'ayimusa amaaso ge n'atunula, awo, laba, abantu bangi nga bajja nga bafuluma mu kkubo ery'oku lusozi ennyuma we.
35 Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti Laba, abaana ba kabaka batuuse: ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe guli bwe gutyo.
36 Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, awo, laba, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba: era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini.
37 Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'anaakuwaliranga mutabani we buli lunaku.
38 Awo Abusaalomu n'adduka n'agenda e Gesuli, n'amalayo emyaka esatu.
39 Dawudi ne yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu: kubanga yakubagizibwa olwa Amunoni, okuba ng'afudde.




Essuula 14

1 Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n'ategeera ng'omutima gwa kabaka guli eri Abusaalomu.
2 Yowaabu n'atuma e Tekowa n'akimayo omukazi ow'amagezi n'amugamba nti Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, nkwegayiridde, so tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro bingi ng'akaabira omufu:
3 oyingire eri kabaka omugambe bw'otyo. Awo Yowaabu n'amuweerera ebigambo.
4 Awo omukazi ow'e Tekowa bwe yayogera ne kabaka, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza n'ayogera nti Mbeera, ai kabaka.
5 Kabaka n'amugamba nti Obadde otya? N'addamu nti Mazima nze ndi mukazi nnammwandu, ne baze yafa.
6 Era omuzaana wo yalina abaana babiri, ne balwana bombi ku ttale, so nga tewali wa kubataasa, naye omu n'afumita munne n'amutta.
7 Kale, laba, ekika kyonna kimugolokokeddeko omuzaana wo era bayogera nti Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta; tutte bwe tutyo n'omusika: kale bwe batyo banaazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna.
8 Awo kabaka n'agamba omukazi nti Genda ewuwo, nange n'alagira ebigambo byo bwe binaaba.
9 Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti Mukama wange, ai kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange: kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka.
10 Kabaka n'ayogera nti Buli anaakugambanga ekigambo kyonna, omuleetanga gye ndi so talikukwatako lwa kubiri.
11 Awo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, kabaka ajjukire Mukama Katonda wo, awalana eggwanga ly'omusaayi aleme okweyongera okuzikiriza, baleme okuzikiriza mutabani wange. N'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu, tewaliba luviiri lumu lwa mutabani wo oluligwa wansi.
12 Awo omukazi n'ayogera nti Nkwegayiridde, omuzaana wo ayogere ekigambo ne mukama wange kabaka. N'ayogera nti Yogera.
13 Omukazi n'ayogera nti Kale wateesezza ki ekigambo ekifaanana bwe kityo eri abantu ba Katonda? kubanga kabaka bw'ayogera ekigambo ekyo, aliŋŋanga aliko omusango, kubanga kabaka takomyawo eka owuwe eyagobebwa.
14 Kubanga kitugwanira okufa, era tuliŋŋanga amazzi agayiise wansi agatayinzika kuyooleka nate; so Katonda taggyaawo bulamu, naye n'asala amagezi oyo eyagobebwa aleme okuba omudduse gy'ali.
15 Kale nno kubanga nzize okwogera ekigambo ekyo ne mukama wange kabaka, kyenvudde njija kubanga abantu bantiisizza: omuzaana wo n'ayogera nti Kaakano naayogera ne kabaka; mpozzi kabaka alikola omuzaana we by'amwegayiridde.
16 Kubanga kabaka anaawulira, okuwonya omuzaana we mu mukono gw'omusajja ayagala okunzikiriza fembi ne mutabani wange okutuggya mu busika bwa Katonda.
17 Awo omuzaana wo n'alyoka ayogera nti Nkwegayiridde, ekigambo kya mukama wange kabaka kibeere kya kusanyusa: kubanga mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda okwawulamu ebirungi n'ebibi: era Mukama Katonda wo abeere naawe.
18 Awo kabaka n'alyoka addamu n'agamba omukazi nti Tonkisa, nkwegayiridde, ekigambo kyonna kye nnaakubuuza. Omukazi n'ayogera nti Mukama wange kabaka ayogere kaakano.
19 Kabaka n'ayogera nti Omukono gwa Yowaabu guli naawe mu bino byonna? Omukazi n'addamu n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde: kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna:
20 okuwaanyisa ekigambo bwe kifaanana omuddu wo Yowaabu kyavudde akola kino: era mukama wange mugezigezi ng'amagezi bwe gali aga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.
21 Kabaka n'agamba Yowaabu nti Laba nno, ekigambo kino nkikoze: kale genda omukomyewo omulenzi Abusaalomu.
22 Awo Yowaabu n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka: Yowaabu n'ayogera nti Leero omuddu wo amanyi nga ŋŋanze mu maaso go, mukama wange, ai kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amwegayiridde.
23 Awo Yowaabu n'agolokoka n'agenda e Gesuli n'aleeta Abusaalomu e Yerusaalemi.
24 Kabaka n'ayogera nti Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okulaba amaaso gange. Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka.
25 Awo mu Isiraeri yenna temwali n'omu wa kutenderezebwa nga Abusaalomu olw'obulungi bwe: okuva ku bigere bye wansi okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi.
26 Awo bwe yasalanga enviiri ze, (era buli mwaka bwe gwaggwangako n'azisalanga: kubanga, zaamuzitoowereranga kyeyava azisala:) n'apima enviiri ez'oku mutwe gwe ne ziba sekeri ebikumi bibiri, ng'okupima kwa kabaka bwe kwali.
27 Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'obulenzi basatu n'ow'obuwala omu, erinnya lye Tamali: yali mukazi wa maaso malungi.
28 Awo Abusaalomu n'amala emyaka ebiri emirambirira mu Yerusaalemi; n'atalaba maaso ga kabaka.
29 Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali: awo n'atumya nate omulundi ogw'okubiri, naye n'atakkiriza kujja.
30 Kyeyava agamba abaddu be nti Laba, ennimiro ya Yowaabu eriraanye n'eyange, era alina sayiri eyo; mugende mugyokye. Awo abaddu ba Abusaalomu ne bookya ennimiro.
31 Awo Yowaabu n'alyoka agolokoka n'ajja eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amugamba nti Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange?
32 Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti Laba nakutumira nga njogera nti Jjangu wano, nkutume eri kabaka okwogera nti Njijiridde ki okuva e Gesuli? mbeera kubeera eyo ne kaakano kyandibadde kirungi gye ndi: kale nno ndabe amaaso ga kabaka; era oba nga mulimu obutali butuukirivu mu nze, anzite.
33 Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira: awo bwe yayita Abusaalomu, n'ajja eri kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka: kabaka n'anywegera Abusaalomu.




Essuula 15

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge.
2 Abusaalomu n'agolokokanga mu makya n'ayimirira ku kkubo erya wankaaki: awo olwatuuka omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga eyali ey'okujja eri kabaka okusalirwa omusango, awo Abusaalomu n'amuyitanga n'amugamba nti Oli wa ku kyalo ki? N'ayogera nti Omuddu wo wa kika kimu kya Isiraeri.
3 Abusaalomu n'amugamba nti Laba, ebigambo byo birungi bya nsonga; naye tewali muntu kabaka gw'atikkidde okukuwulira.
4 Abusaalomu n'ayogeranga era nti Singa nze nfuuliddwa mulamuzi mu nsi, buli muntu alina ensonga yonna oba musango ajjenga gye ndi, nange nandimukoledde eby'ensonga!
5 Awo olwatuuka omuntu yenna bwe yasemberanga okumweyanza, n'agololanga omukono gwe n'amukwatako n'amunywegera.
6 Awo bw'atyo Abusaalomu bwe yakolanga Isiraeri yenna abajjanga eri kabaka okusalirwa emisango: awo Abusaalomu n'abba bw'atyo emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri.
7 Awo olwatuuka emyaka ana bwe gyaggwa Abusaalomu n'agamba kabaka nti Nkwegayiridde ŋŋende nsasule obweyamo bwange, bwe nneeyama Mukama, e Kebbulooni.
8 Kubanga omuddu wo yeeyama obweyamo bwe nnali nga ntuula e Gesuli mu Busuuli, nga njogera nti Mukama bw'alinzirizaayo ddala e Yerusaalemi, kale ndiweereza Mukama.
9 Kabaka n'amugamba nti Genda mirembe. Awo n'agolokoka n'agenda e Kebbulooni.
10 Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni .
11 Era ne wagenda ne Abusaalomu abasajja ebikumi bibiri abaava e Yerusaalemi, abaayitibwa ne bagenda nga tebamanyiridde; so tebaategeera kigambo kyonna.
12 Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi Omugiro, eyateesanga ebigambo ne Dawudi, okuva mu kibuga kye, e Giro, ng'awaayo ssadaaka. Okwekoba okwo ne kuba n'amaanyi; kubanga abantu beeyongerayongeranga bulijjo abaali ne Abusaalomu.
13 Awo ne wajja omubaka eri Dawudi ng'ayogera nti Emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri gigoberedde Abusaalomu.
14 Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti Tugolokoke tudduke; bwe tutadduke tewaabeewo ku ffe anaawona Abusaalomu: mwanguwe okugenda, aleme okututuukako amangu n'atuleetako akabi, n'atta ekibuga n'obwogi bw'ekitala.
15 Awo abaddu ba kabaka ne bagamba kabaka nti Laba, abaddu bo beeteseteese okukola kyonna mukama wange kabaka ky'anaayagala.
16 Kabaka n'afuluma n'ab'omu nnyumba ye bonna ne bamugoberera. Kabaka n'aleka abakazi kkumi abazaana okukuuma ennyunba.
17 Awo kabaka n'afuluma, abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki.
18 Abaddu be bonna ne bamuyitako ku mabbali; n'Abakeresi bonna n'Abaperesi bonna n'Abagitti bonna, abasajja lukaaga abaamugoberera okuva e Gaasi, ne bayita mu maaso ga kabaka.
19 Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti Naawe ogendera ki naffe? ddayo obeere ne kabaka: kubanga oli mugenyi era eyagobebwa; ddayo ewuwo ggwe.
20 Ggwe eyajja olwa jjo, nandikutambuzizza eruuyi n'eruuyi wamu naffe leero, kubanga nze ŋŋenda gye nnyinza okugenda? ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe.
21 Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga.
22 Awo Dawudi n'agamba Ittayi nti Genda osomoke. Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye.
23 Ensi yonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka: ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni,abantu bonna ne basomokera awali ekkubo eridda mu ddungu.
24 Awo, laba, Zadooki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga bali naye, nga basitula essanduuko ey'endagaano ya Katonda; ne bassa essanduuko ya Katonda, Abiyasaali n'ayambuka okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.
25 Kabaka n'agamba Zadooki nti Situla essanduuko ya Katonda ogizzeeyo mu kibuga: bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, aligindaga yo era n'ennyumba ye:
26 naye bw'alyogera bw'atyo nti Sikusanyukira n'akatono; laba, nze nzuuno, ankole nga bw'asiima.
27 Era kabaka n'agamba Zadooki kabona nti Ggwe toli mulabi? ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi naawe, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali.
28 Laba, nze ndirindirira ku misomoko egy'omu ddungu okutuusa ekigambo lwe kiriva gye muli okuntegeeza.
29 Awo Zadooki ne Abiyasaali ne basitula essanduuko ya Katonda ne bagizza e Yerusaalemi: ne babeera eyo.
30 Awo Dawudi n'alinnya awayambukirwa ku lusozi olw'emizeyituuni, n'akaaba amaziga ng'alinnya; era yali yeebisse omutwe nga talina ngatto: n'abantu bonna abaali naye ne beebikka buli muntu omutwe ne balinnya, nga bakaaba amaziga nga balinnya.
31 Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti Akisoferi ali mu bo abeekobaanye ne Abusaalomu. Dawudi n'ayogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru.
32 Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka ku ntikko awalinnyirwa, kwe baayimanga okusinza Katonda, laba, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe:
33 Dawudi n'amugamba nti Bw'onooyita nange, ononzitoowerera:
34 naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti Nze naabanga omuddu wo, ai kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda, bwe ntyo bwe naabanga omuddu wo kaakano: kale ononzitira okuteesa kwa Akisoferi.
35 Era tolina eyo wamu naawe Zadooki ne Abiyasaali bakabona? awo olunaatuukanga buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga Zadooki ne Abiyasaali bakabona.
36 Laba, balina eyo gye bali batabani baabwe bombi. Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; era abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kigambo kye munaawuliranga.
37 Awo Kusaayi mukwano gwa Dawudi n'ayingira mu kibuga; Abusaalomu n'ayingira mu Yerusaalemi.




Essuula 16

1 Awo Dawudi bwe yali ng'ayise ku ntikko awayambukirwa ebbanga ttono, laba, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'asisinkana naye ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri n'ebirimba eby'eza bbibu enkalu kikumi, n'eby'ebibala eby'ekyeya kikumi, n'ekita ky'omwenge.
2 Kabaka n'agamba Ziba nti Bino amakulu gaabyo ki? Ziba n'ayogera nti Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga; n'emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi okulya; n'omwenge abaliyongobera mu ddungu banywe.
3 Kabaka n'ayogera nti N'omwana wa mukama wo ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, abeera e Yerusaalemi: kubanga ayogedde nti Leero ennyumba ya Isiraeri erinziriza obwakabaka bwa kitange.
4 Awo kabaka n'agamba Ziba nti Laba, ebya Mefibosesi byonna bibyo. Ziba n'ayogera nti Neeyanze; ŋŋanje mu maaso go, mukama wange, ai kabaka.
5 Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, laba, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera: n'afuluma n'ajja, n'akolima ng'ajja ng'akolima.
6 N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna aba kabaka Dawudi: n'abantu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi baali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
7 Awo Simeeyi n'ayogera bw'atyo bwe yakolima nti Vaawo; vaawo, ggwe omusajja ow'omusaayi, era omusajja wa Beriali:
8 Mukama azzizza ku ggwe omusaayi gwonna ogw'ennyumba ya Sawulo, mu kifo kye mw'oyima okufuga; era Mukama awaddeyo obwakabaka mu mukono gwa Abusaalomu mutabani wo: era, laba, oteegeddwa mu lukwe lwo ggwe, kubanga oli musajja wa musaayi.
9 Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti Embwa eno enfu ekinaaba kimukolimizza mukama wange kabaka kiki? nsomoke, nkwegayiridde, mmuggyeko omutwe.
10 Kabaka n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Kubanga akolima era kubanga Mukama amugambye nti Kolimira Dawudi; kale anaayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo?
11 Dawudi n'agamba Abisaayi n'abaddu be bonna nti Laba, mutabani wange eyava mu ntumbwe zange anoonya obulamu bwange: Omubenyamini oyo taasinge nnyo? mumuleke akolime; kubanga Mukama amulagidde.
12 Mpozzi Mukama anaatunuulira ekibi ekinkoleddwa, era Mukama alinsasula obulungi olw'okunkolimira leero.
13 Awo Dawudi n'abasajja be ne batambula mu kkubo: Simeeyi n'ayita ku lusozi okumwolekera, n'akolima ng'agenda, n'amukasuukirira amayinja n'ayiwa enfuufu.
14 Kabaka n'abantu bonna abaali naye ne bajja nga bakooye; n'aweereraweerera eyo.
15 Awo Abusaalomu n'abantu bonna abasajja ba Isisaeri ne bajja e Yerusaalemi ne Akisoferi wamu naye.
16 Awo olwatuuka Kusaayi Omwaluki, mukwano gwa Dawudi, bwe yajja eri Abusaalomu, Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Kabaka abeere omulamu, kabaka abeere omulamu.
17 Abusaalomu n'agamba Kusaayi nti Kino kye kisa kyo eri mukwano gwo? ekyakulobera okugenda ne mukwano gwo kiki?
18 Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Nedda; naye oyo Mukama n'abantu bano n'abasajja ba Isiraeri bonna gwe balonze n'abanga wuwe era n'abeeranga naye.
19 Era nate nandiweerezza ani? sandiweererezza mu maaso g'omwana we? nga bwe nnaweererezanga mu maaso ga kitaawo, bwe ntyo bwe nnaabeeranga mu maaso go.
20 Awo Abusaalomu n'agamba Akisoferi nti Sala amagezi bwe tuba tukola.
21 Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Yingira eri abazaana ba kitaawe b'alese okukuuma ennyumba: awo Isiraeri yenna baliwulira nga kitaawo akutamiddwa: awo emikono gya bonna abali naawe ne giryoka giba n'amaanyi.
22 Awo ne bamutimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'ayingira eri abazaana ba kitaawe mu maaso ga Isiraeri yenna.
23 N'okuteesa kwa Akisoferi, kwe yateesanga mu biro ebyo, kwabanga ng'omuntu bw'abuuza awali ekigambo kya Katonda: bwe kutyo bwe kwabanga okuteesa kwonna okwa Akisoferi eri Dawudi era n'eri Abusaalomu.




Essuula 17

1 Era nate Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Ka nnonde nno abasajja kakumi mu enkumi bbiri ng'olokoke ngoberere Dawudi ekiro kino:
2 era naamutuukako ng'akooye n'emikono gye nga minafu ne mmutiisa: n'abantu bonna abali naye banadduka; era naakuba kabaka yekka:
3 n'abantu bonna naabakomyawo gy'oli: omusajja gw'onoonya kyenkana bonna nga abakomyewo: kale abantu bonna baliba mirembe.
4 Ekigambo ekyo Abusaalomu n'akisiima nnyo n'abakadde ba Isiraeri bonna.
5 Awo Abusaalomu n'ayogera nti Mpitira nno ne Kusaayi Omwaluki, tuwulire era ye ky'anaayogera.
6 Awo Kusaayi ng'azze eri Abusaalomu, Abusaalomu n'amugamba nti Akisoferi ayogedde bw'atyo: tunaakola nga bw'ayogedde? oba nga si weewaawo, yogera ggwe.
7 Awo Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Okuteesa Akisoferi kw'aleese omulundi guno si kulungi.
8 Era nate Kusaayi n'ayogera nti Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale: era kitaawo musajja mulwanyi, so talisula na bantu.
9 Laba, kaakano yeekwese mu bunnya oba walala: awo olunaatuuka bwe wanaabaawo ku bo abamu abanaagwa olubereberye, buli anaawulira anaayogera nti Wabaddewo okuttibwa kungi mu bantu abagoberera Abusaalomu.
10 Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋanga omutima gw'empologoma, aliyongoberera ddala: kubanga Isiraeri yenna bamanyi kitaawo nga musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira.
11 Naye nze nkuwa amagezi okukuŋŋaanya gy'oli Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi; naawe mwene otabaale.
12 Awo tulimusanga mu kifo w'alirabikira, naffe tulimugwako ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka: naye n'abasajja bonna abali naye tetulisigazaako n'omu.
13 Era nate bw'aliba nga agenze mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.
14 Awo Abusaalomu n'abasajja ba Isiraeri bonna ne boogera nti Okuteesa kwa Kusaayi Omwaluki kusinze okuteesa kwa Akisoferi. Kubanga Mukama yali ataddewo okutta okuteesa okulungi okwa Akisoferi, Mukama alyoke aleete obubi ku Abusaalomu.
15 Awo Kusaayi n'agamba Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde amagezi Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri: nange mmuwadde amagezi bw'entyo ne bwe ntyo.
16 Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti Tosula kiro kino ku misomoko egy'omu ddungu, naye tolema kusomoka; kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.
17 Era Yonasaani ne Akimaazi ne babeera ku Enerogeri; omuzaana n'agendanga n'ababuulira; ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: kubanga tebandiyinzise kulabika nga bayingira mu kibuga.
18 Naye omulenzi n'abalaba n'abuulira Abusaalomu: ne bagenda bombi mangu ne bajja mu nnyumba ey'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
19 Omukazi n'addira ekisaanikizo n'akisaanikira ku kamwa k'oluzzi, n'afukako eŋŋaano ensekule; so tewaali kigambo ky'amanyibwa.
20 Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba; ne boogera nti Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa? Omukazi n'abagamba nti Basomose akagga ak'amazzi. Awo bwe baamala okubanoonya ne batayinza kubalaba, ne baddayo e Yerusaalemi.
21 Awo olwatuuka nga bamaze okugenda ne balinnya ne bava mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: ne bagamba Dawudi nti Mugolokoke musomoke amazzi mangu: kubanga gano ge magezi Akisoferi g'abasalidde.
22 Awo Dawudi n'agolokoka n'abantu bonna abali naye ne basomoka Yoludaani: emmambya bwe yasala nga tekubuzeeko n'omu ku bo atannasomoka Yoludaani.
23 Awo Akisoferi bwe yalaba nga tebakutte kigambo kyateesezza, n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agolokoka n'addayo eka mu kibuga kye, n'alongoosa ennyumba ye, ne yeetuga; n'afa ne bamuziika mu ntaana ya kitaawe.
24 Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu n'asomoka Yoludaani, ye n'abasajja ba Isiraeri bonna wamu naye.
25 Abusaalomu n'afuula Amasa omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Era Amasa yali mwana wa musajja erinnya lye Isira Omuisiraeri eyayingira eri Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
26 Awo Isiraeri ne Abusaalomu ne basiisira mu nsi ya Gireyaadi.
27 Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka e Makanayimu, Sobi mutabani wa Nakasi ow'e Labba eky'abaana ba Amoni ne Makiri mutabani wa Ammiyeri ow'e Lodebali ne Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu,
28 ne baleeta ebitanda, n'ebibya, n'entamu, n'eŋŋaano, ne sayiri, n'obutta, n'eŋŋaano ensiike, n'ebijanjaalo, n'empindi, n'empokya ensiike,
29 n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya: kubanga baayogera nti Abantu balumiddwa enjala era bakooye era balumiddwa ennyonta mu ddungu.




Essuula 18

1 Awo Dawudi n'abala abantu abali naye n'abateekako abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi.
2 Dawudi n'agaba eggye, ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Yowaabu n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti Nange mwene siireme kutabaala nammwe.
3 Naye abantu ne boogera nti Tootabaale ggwe: kubanga ffe bwe tunadduka tebasseeyo mwoyo eri ffe; so ffe bwe tunaafaako ekitundu kyaffe, tebasseeyo mwoyo eri ffe: naye ggwe ku ffe wenkana kakumi omuwendo: kale nno ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng'oyima mu kibuga.
4 Kabaka n'abagamba nti Kye musiima kye nnaakola. Kabaka n'ayimirira ku mabbali g'omulyango, abantu bonna ne bafuluma ebikumi n'enkumi.
5 Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu. Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu.
6 Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri: olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.
7 Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja obukumi bubiri.
8 Kubanga olutalo lwabuna eyo ensi yonna: ekibira ne kitta abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyatta.
9 Awo Abusaalomu yali ali awo n'asisinkana n'abaddu ba Dawudi. Abusaalomu ne yeebagala ennyumbu ye, ennyumbu n'eyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gukwata ku mwera, n'asitulibwa wakati w'eggulu n'ensi; ennyumbu gye yali yeebagadde n'etambula mu maaso.
10 Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti Laba, ndabye Abusaalomu ng'awanikiddwa ku mwera.
11 Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti Okulaba nno okirabye, kale kiki ekikulobedde okumukubira eyo wansi? nange nandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi n'olukoba.
12 Omusajja n'agamba Yowaabu nti Newakubadde nga ŋŋenda okuweebwa mu ngalo zange ebitundu ebya ffeeza olukumi, naye sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka: kubanga twali tuwulira kabaka n'alagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mwekuume waleme okubaawo anaakoma ku mulenzi Abusaalomu.
13 Naye singa nkoze eby'obulimba okutta obulamu bwe, (so tewali kigambo ekikwekebwa kabaka,) kale ggwe kennyini wandyeggyeeyo.
14 Awo Yowaabu n'ayogera nti Siyinza kutootatoota naawe bwe ntyo. N'addira obusaale busatu mu ngalo ze n'abumufumita Abusaalomu mu mutima, bwe yali ng'akyali mulamu wakati mu mwera.
15 N'abalenzi kkumi abaatwalanga ebyokulwanyisa ebya Yowaabu ne bazingiza Abusaalomu ne bamufumita ne bamutta.
16 Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne bakomawo okugoberera Isiraeri: kubanga Yowaabu yabaziyiza.
17 Ne batwala Abusaalomu ne bamusuula mu bunnya buli obunene mu kibira, ne bamutuumako entuumo y'amayinja nnene nnyo: awo Isiraeri yenna ne baddukira buli muntu mu weema ye.
18 Era Abusaalomu bwe yali ng'akyali mulamu yaddira empagi eri mu kiwonvu kya kabaka n'agyesimbira: kubanga yayogera nti Sirina mwana kwe balijjuukirira erinnya lyange: n'ayita empagi erinnya lye ye bwe lyali: era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.
19 Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki n'ayogera nti Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be.
20 Yowaabu n'amugamba nti Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala: naye leero tootwale bigambo, kubanga omwana wa kabaka afudde.
21 Awo Yowaabu n'agamba Omukusi nti Genda obuulire kabaka byolabye. Omukusi n'akutamira Yowaabu n'adduka.
22 Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki ne yeeyongera okugamba Yowaabu omulundi ogw'okubiri nti Ka mmale gadduka nange, nkwegayiridde, ngoberere Omukusi. Yowaabu n'ayogera nti Oyagalira ki okudduka; mwana wange, ataaweebwe mpeera olw'ebigambo?
23 (N'ayogera nti) Naye ka mmale gadduka. N'amugamba nti Dduka. Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n ayisa Omukusi.
24 Awo Dawudi yali atudde wakati w'emiryango ebiri: omukuumi n'alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, kale, laba, omusajja ng'adduka yekka.
25 Omukuumi n'ayogerera waggulu n'abuulira kabaka. Kabaka n'ayogera nti Oba ng'ali omu, aleese ebigambo mu kamwa ke. N'ayanguwa okujja n'asembera kumpi.
26 Omukuumi n'alaba omusajja ow'okubiri ng'adduka: omukuumi n'akoowoola omuggazi n'ayogera nti Laba, omusajja ow'okubiri ng'adduka yekka. Kabaka n'ayogera nti Era naye aleese ebigambo.
27 Omukuumi n'ayogera nti Ndowooza ng'enziruka y'oyo akulembedde eriŋŋanga enziruka ya Akimaazi mutabani wa Zadooki. Kabaka n'ayogera nti Ye musajja omulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi.
28 Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti Mirembe. N'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka n'ayogera nti Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abaagololera omukono gwabwe ku mukama wange kabaka.
29 Kabaka n'ayogera nti Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe? Akimaazi n'addamu nti Yowaabu bwe yatuma omuddu wa kabaka, nze omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye ne simanya bwe lwabadde.
30 Kabaka n'ayogera nti Weekooloobye oyimirire eno. Ne yeekooloobya n'ayimirira buyimirizi.
31 Kale, laba, Omukusi n'ajja; Omukusi n'ayogera nti Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo: kubanga Mukama awalanye eggwanga lye leero ku abo bonna abaakugolokokerako.
32 Kabaka n'agamba, Omukusi nti Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe? Omukusi n'addamu nti Abalabe ba mukama wange kabaka n'abo bonna abaakugolokokerako okukukola akabi babe ng'omulenzi oyo bw'ali.
33 Awo kabaka ne yeeraliikirira nnyo n'alinnya n'agenda mu nju eri ku wankaaki n'akaaba amaziga: awo ng'agenda n'ayogera bw'atyo nti Ai, mwana wange Abusaalomu, mwana wange, mwana wange Abusaalomu! singa nkufiiridde, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!




Essuula 19

1 Awo ne babuulira Yowaabu nti Laba, kabaka akaaba amaziga akungubagira Abusaalomu.
2 Awo ku lunaku olwo okuwangula ne kufuuka okukungubaga eri abantu bonna: kubanga abantu ne bawulira nga boogera ku lunaku olwo nti Kabaka anakuwalira mutabani we.
3 Awo abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwaatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo.
4 Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti mwana wange Abusaalomu, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!
5 Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'ayogera nti Oswazizza leero amaaso g'abaddu bo bonna, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo;
6 kubanga oyagala abakukyawa n'okyawa abakwagala. Kubanga oyatudde leero ng'abakulu n'abaddu si kintu gy'oli: kubanga leero ntegedde, singa Abusaalomu abadde mulamu naffe fenna nga tufudde leero, kale wandikisiimye nnyo.
7 Kale nno golokoka ofulume oyogere n'abaddu bo bulungi: kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, tewaabeere naawe ekiro kino omusajja n'omu: n'ekyo kirisinga obubi ennaku zonna ze waakalaba okuva mu buto bwo ne kaakano.
8 Awo kabaka n'agolokoka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti Laba, kabaka atudde mu mulyango: abantu bonna ne bakiikira kabaka. Awo Isiraeri yali addukidde buli muntu mu weema ye.
9 Abantu bonna ne baba nga bawakana mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti Kabaka ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; kale kaakano adduse Abusaalomu okuva mu nsi.
10 Ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kiki ekibalobera okwogera ekigambo eky'okukomyawo kabaka?
11 Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti Mugambe abakadde ba Yuda nti Kiki ekibalwisa mmwe okukira bonna okukomyawo kabaka mu nnyumba ye? kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna bituuse eri kabaka, okumuleeta mu nnyumba ye.
12 Mmwe muli baganda bange, mmwe muli magumba gange n'omubiri gwange: kale kiki ekibalwisa okukira bonna okukomyawo kabaka?
13 Era mugambe Amasa nti Toli magumba gange na mubiri gwange? Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga toliba mukulu wa ggye mu maaso gange ennaku zonna mu kifo kya Yowaabu.
14 N'akutamya emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ng'omutima gw'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti Komawo ggwe n'abaddu bo bonna.
15 Awo kabaka n'akomawo n'ajja ku Yoludaani. Abayuda ne bajja e Girugaali okugenda okusisinkana ne kabaka, okusomosa kabaka Yoludaani.
16 Awo Simeeyi mutabani wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'abasajja ba Yuda okusisinkana ne kabaka Dawudi.
17 Era ne waba naye abasajja lukumi aba Benyamini, ne Ziba omuddu w'ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n'abaddu be amakumi abiri nga bali naye; ne basomoka Yoludaani kabaka nga waali.
18 Eryato ne liwunguka okuwungula ab'omu nnyumba ya kabaka n'okukola nga bw'anaasiima. Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunamira kabaka ng'asomose Yoludaani.
19 N'agamba kabaka nti Mukama wange aleme okunzisaako obutali butuukirivu, so tojjukira ekyo omuddu wo kye yakola ng'agira ekyejo ku lunaku mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi, kirumye omwoyo kabaka.
20 Kubanga omuddu wo amanyi nga nayonoona: laba, kyenvudde njija leero nga nze nsoose ennyumba yonnaeya Yusufu okuserengeta okusisinkana ne mukama wange kabaka.
21 Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta?
22 Dawudi n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? wanaabaawo anattibwa leero mu Isiraeri? kuba simanyi nga ndi kabaka wa Isiraeri leero?
23 Kabaka n'agamba Simeeyi nti Toofe. Kabaka n'amulayirira.
24 Awo Mefibosesi mutabani wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana ne kabaka; era yali tanaabanga bigere newakubadde okumwa ebirevu newakubadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe.
25 Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi?
26 N'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, omuddu wange yannimba: kubanga omuddu wo yayogera nti Naateeka amatandiiko ku ndogoyi ngyebagale ŋŋende ne kabaka; ku banga omuddu wo mulema.
27 Era yawaayiriza omuddu wo eri mukama wange kabaka; naye mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda: kale kola ekiri mu maaso go ekirungi.
28 Kubanga ennyumba yonna eya kitange baali bafu bufu mu maaso ga mukama wange kabaka: naye n'otuuza omuddu wo mu bo abalya ku mmeeza yo ggwe. Kale nnina nsonga ki neeyongere okukaabira kabaka?
29 Kabaka n'amugamba nti Ekikwogeza ki nate ku bigambo byo? Nze njogera nti Ggwe ne Ziba mugabane ensi.
30 Mefibosesi n'agamba kabaka nti Weewaawo, atwale byonna, kubanga mukama wange kabaka atuuse mirembe mu nnyumba ye ye.
31 Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'aserengeta okuva e Logerimu; n'asomoka Yoludaani wamu ne kabaka okumusomosa Yoludaani.
32 Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga yaakamaze emyaka kinaana: era yali amuliisizza kabaka bwe yali atuula e Makanayimu; kubanga yali musajja mukulu nnyo.
33 Kabaka n'agamba Baluzirayi nti Jjangu osomoke nange, nange ndikuliisiza wamu nange mu Yerusaalemi.
34 Baluzirayi n'agamba kabaka nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange zenkana wa, nnyambuke ne kabaka ŋŋende e Yerusaalemi?
35 Leero naakamaze emyaka kinaana: nnyinza okwawulamu ebirungi n'ebibi? omuddu we, awoomerwa bye ndya oba bye nnywa? nkyayinza okuwulira eddoboozi ly'abasajja abayimba n'abakazi abayimba? kale omuddu wo yandibeeredde ki nate azitoowerera mukama wange kabaka?
36 Omuddu wo ayagala okusomoka Yoludaani obusomosi wamu ne kabaka era olw'ekyo kabaka yandimpeeredde ki empeera eyenkanidde awo?
37 Nkwegayiridde, omuddu wo addeyo nate afiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange ne mmange. Naye, laba, omuddu wo Kimamu; oyo ye aba asomoka ne mukama wange kabaka; era omukolanga ky'olisiima.
38 Kabaka n'addamu nti Kimamu anaasomoka nange, era ndimukola ky'olisiima: era kyonna ky'olyagala okunteekako, ndikukikolera.
39 Abantu bonna ne basomoka Yoludaani kabaka n'asomoka: kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; n'addayo mu kifo kye ye.
40 Awo kabaka n'asomoka n'agenda e Girugaali, Kimamu n'asomoka naye: abantu bonna aba Yuda ne basomosa kabaka era n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri.
41 Awo, laba, abasajja ba Isiraeri bonna ne bajja eri kabaka ne bagamba kabaka nti Baganda baffe abasajja ba Yuda bakubbidde ki, ne basomosa Yoludaani kabaka n'ab'omu nnyumba ye n'abasajja ba Dawudi bonna wamu naye?
42 Awo abasajja ba Yuda bonna ne baddamu abasajja ba Isiraeri nti Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda: kale musunguwalira ki olw'ekigambo ekyo? twali tulidde n'akatono ekintu kyonna ekya kabaka? oba atuwadde ekirabo kyonna?
43 Awo abasajja ba Isiraeri ne baddamu abasajja ba Yuda ne boogera nti Ebitundu kkumi ebya kabaka byaffe, era ffe tulina bingi mu Dawudi okukira mmwe: kale mwatunyoomera ki obutasooka kubuuza ffe nga muteesa naffe okukomyawo kabaka waffe? Ebigambo eby'abasajja ba Yuda ne bisinga obukambwe ebigambo eby'abasajja ba Isiraeri.




Essuula 20

1 Awo omusajja wa Beriali yali ali eyo, erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, Omubenyamini: n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde buli muntu mu weema ze, ggwe Isiraeri.
2 Awo abasajja ba Isiraeri bonna ne baddayo okuleka okugoberera Dawudi ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli: naye abasajja ba Yuda ne beegatta ne kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.
3 Awo Dawudi n'ajja mu nnyumba ye e Yerusaalemi; kabaka n'atwala abakazi kkumi abazaana be, be yali alese okukuuma ennyumba, n'abateeka mu kkomera n'abaliisanga, naye n'atayingira gye bali. Awo ne basibibwa okutuusa ku lunaku kwe baafiira nga tebalina ba bbaabwe.
4 Awo kabaka n'agamba Amasa nti Mpitira abasajja ba Yuda bakuŋŋaane ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe obeeranga wano.
5 Awo Amasa n'agenda okukuŋŋaanya Yuda: naye n'amala ebiro okukira bye yamuteekerawo.
6 Dawudi n'agamba Abisaayi nti Kaakano Seba mutabani wa Bikuli alitukola obubi okusinga Abusaalomu bwe yakola: twala abaddu ba mukama wo omugoberere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona okuva mu maaso gaffe.
7 Ne wafuluma okumugoberera abasajja ba Yowaabu n'Abakeresi n'Abaperesi n'abasajja bonna ab'amaanyi: ne bava mu Yerusaalemi okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli.
8 Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri mu Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Era Yowaabu yali yeesibye ebyambalo bye eby'entalo bye yayambala, era nga kuliko olukoba n'ekitala nga kisibiddwa mu kiwato kye mu kiraato kyakyo; awo ng'afuluma n'ekisowokamu ne kigwa.
9 Yowaabu n'agamba Amasa nti Oli mirembe, muganda wange? Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.
10 Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu: n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; n'afa. Yowaabu ne Abisaayi muganda we ne bayigganya Seba mutabani wa Bikuli.
11 Awo ne wayimirira wali omu ku balenzi ba Yowaabu n'ayogera nti Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu.
12 Era Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Awo omusajja oyo bwe yalaba ng'abantu bonna bayimiridde buyimirizi, n'asitula Amasa n'amuggya mu luguudo n'amutwala ku ttale, n'amusuulako ekyambalo, bwe yalaba buli amuyitako ng'ayimirira.
13 Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beeyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuyigganya Seba mutabani wa Bikuli.
14 N'atambula n'abunya ebika byonna ebya Isiraeri n'atuuka e Aberi ne Besumaaka n'Ababeri bonna ne bakuŋŋaana ne bamugoberera nabo.
15 Ne bajja ne bamuzingiza mu Aberi eky'e Besumaaka, ne batuuma ekifunvu ku kibuga nga kyolekera ekigo: abantu bonna abaali ne Yowaabu ne bakoonanga bbugwe okumusuula.
16 Awo omukazi ow'amagezi n'ayogerera waggulu ng'ayima mu kibuga nti Muwulire, muwulire; mbeegayiridde, mugambe Yowaabu nti Sembera wano njogere naawe.
17 N'amusemberera; omukazi n'ayogera nti Ggwe Yowaabu? N'addamu nti Nze nzuuyo. N'alyoka amugamba nti Wulira ebigambo eby'omuzaana wo. N'addamu nti Mpulira.
18 N'alyoka ayogera nti Edda baayogeranga nti Tebalirema kubuuliza magezi e Yaberi: ne bamalira awo ekigambo.
19 Nze ndi wa ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Isiraeri: oyagala okuzikiriza ekibuga ne nnyina w'abaana mu Isiraeri: oyagalira ki okumira obusika bwa Mukama?
20 Yowaabu n'addamu n'ayogera nti Kiddire eri, kiddire eri nze okumira oba okuzikiriza.
21 Ekigambo si bwe kiri bwe kityo: naye omusajja ow'ensi ey'ensozi eya Efulayimu, erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, agololedde omukono gwe ku kabaka, ku Dawudi: mumuweeyo ye yekka, nange n'ava ku kibuga. Omukazi n'agamba Yowaabu nti Laba, omutwe gwe gunaakasukibwa eri ggwe ku bbugwe.
22 Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'amagezi ge. Ne bamusalako omutwe Seba mutabani wa Bikuli, ne bagukasuka eri Yowaabu. N'afuuwa ekkondeere, ne basaasaana okuva ku kibuga, buli muntu mu weema ve. Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi eri kabaka.
23 Awo Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lyonna erya Isiraeri: ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi;
24 ne Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo: ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza:
25 ne Seva ye yali omuwandiisi: ne Zadooki ne Abiyasaali be baali bakabona:
26 ne Ira Omuyayiri naye yali mukulu wa Dawudi.




Essuula 21

1 Awo ne waba enjala ku mirembe gya Dawudi emyaka esatu buli mwaka nga guddirira gunnaagwo; Dawudi n'anoonya amaaso ga Mukama. Mukama n'ayogera nti Lwa Sawulo na lwa nnyumba ye ey'omusaayi, kubanga yatta Abagibyoni.
2 Kabaka n'ayita Abagibyoni n'abagamba: (era Abagibyoni tebaali ba ku baana ba Isiraeri naye ba ku kitimdu ekyasigala eky'Abamoli; n'abaana ba Isiraeri baali babalayiridde: Sawulo n'ayagala okubatta ng'akwatiddwa obuggya olw'abaana ba Isiraeri ne Yuda:)
3 Dawudi n'agamba Abagibyoni nti Naabakolera ki? era naatangirira na ki, mulyoke musabire omukisa obusika bwa Mukama?
4 Awo Abagibyoni ne bamugamba nti si kigambo kya ffeeza oba zaabu eri ffe ne Sawulo oba nnyumba ye; so tekitusaanira kutta muntu yenna mu Isiraeri. N'ayogera nti Kye munaayogera naakibakolera.
5 Ne bagamba kabaka nti Omusajja eyatuzikiriza n'atusalira amagezi, tumalibwewo obutabeera mu nsalo zonna eza Isiraeri,
6 baweeyo eri ffe abasajja musanvu ku batabani be, tubawanike eri Mukama mu Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama. Kabaka n'ayogera nti Ndibawaayo.
7 Naye kabaka n'asonyiwa Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo, olw'ekirayiro kya Mukama ekyali wakati waabwe, wakati wa Dawudi ne Yonasaani mutabani wa Sawulo.
8 Naye kabaka n'atwala batabani ba Lizupa muwala wa Aya bombi, be yazaalira Sawulo, Alumoni ne Mefibosesi: ne batabani ba Mikali muwala wa Sawulo abataano, be yazaalira Aduliyeri mutabani wa Baluzirayi Omumekolasi:
9 n'abawaayo mu mikono gy'Abagibyoni, ne babawanikira ku lusozi mu maaso ga Mukama, ne bafiira wamu (bonna) omusanvu: era battibwa mu biro eby'amakungula nga kyebijje bisooke, amakungula ga sayiri nga gatanudde okubaawo.
10 Awo Lizupa muwala wa Aya n'addira ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku makungula we gaasookera okutuusa amazzi lwe gabafukibwako agava mu ggulu; n'ataganya nnyonyi za mu bbanga kubagwako emisana newakubadde ensolo ez'omu nsiko ekiro.
11 Ne babuulira Dawudi Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakola.
12 Dawudi n'agenda n'aggya amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we ku basajja ab'e Yabesugireyaadi, abaali bagabbye mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye baagawanikira ku lunaku Abafirisuuti kwe battira Sawulo e Girubowa:
13 n'aggyayo amagumba ga Sawulo n'amagumba ga Yonasaani mutabani we; ne bakuŋŋaanya amagumba g'abo abaawanikibwa.
14 Ne baziika amagumba ga Sawulo ne Yonasaani mutabani we mu nsi ya Benyamini mu Zeera mu ntaana ya Kiisi kitaawe: ne bakola byonna kabaka bye yalagira. Awo oluvannyuma lw'ebyo Katonda ne yeegayirirwa ensi.
15 Awo Abafirisuuti ne balwana nate ne Isiraeri; Dawudi n'aserengeta n'abaddu be wamu naye n'alwana n'Abafirisuuti: Dawudi n'ayongobera.
16 Awo Isubibenobu ow'oku baana b'erintu liri, obuzito bw'effumu lye sekeri za kikomo ebikumi bisatu, nga yeesibye (ekitala) ekiggya, n'ayagala okutta Dawudi.
17 Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'amuddukirira n'afumita Omufirisuuti n'amutta. Awo abasajja ba Dawudi ne bamulayiyira nga boogera nti Tokyatabaala naffe oleme okuzikiza ettabaaza ya Isiraeri.
18 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne waba nate entalo n'Abafirisuuti e Gobu: awo Sibbekayi Omukusasi n'atta Safu ow'oku baana b'erintu liri.
19 Awo ne waba nate entalo n'Abafirisuuu e Gobu; awo Erukanani mutabani wa Yaale-ole-gimu Omubesirekemu n'atta Goliyaasi Omugitti, olunyago lw'effumu lye lwaliŋŋnga omuti ogulukirwako engoye.
20 Ne waba nate entalo e Gaasi, ne wabaayo omusajja omuwanvu ennyo, eyalina engalo omukaaga ku buli mukono n'obugere omukaaga ku buli kigere, omuwendo gwabyo abiri mu bina; era naye yazaalirwa erintu liri.
21 Awo bwe yasoomoza Isiraeri, Yonasaani mutabani wa Simeeyi muganda wa Dawudi n'amutta.
22 Abo abaana baazaalirwa erintu liri e Gaasi; ne bagwa n'omukono gwa Dawudi n'omukono gw'abaddu be.




Essuula 22

1 Awo Dawudi n'agamba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu mukono gwa Sawulo:
2 n'ayogera nti Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange era omulokozi wange, owange nze;
3 Katonda ow'olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga; Engabo yange, era ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange; Omulokozi wange, ggwe omponya mu kyejo.
4 Naakaabira Mukama, asaanidde okutenderezebwa: Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange.
5 Kubanga amayengo ag'okufa gazingiza, Amataba ag'obutatya Katonda ne gantiisa.
6 Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Ebyambika eby'okufa byantuukako.
7 Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama, Weewaawo, nakaabira Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu yeekalu ye, Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.
8 Ensi n'eryoka esagaasagana n'ekankana, Emisingi gy'eggulu ne gijjulukuka Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde.
9 Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze, N'omuliro ogwava mu kamwa ke ne gwokya: Ne gukwata amanda.
10 Yakutamya n'eggulu n'aserengeta; Ekizikiza ekiziyivu ne kiba wansi w'ebigere bye.
11 Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by'empewo.
12 N'afuula ekizikiza okuba eweema ezimwetooloola: Amazzi we gakuŋŋaanira, ebire ebiziyivu eby'omu ggulu.
13 Okumasamasa okwali mu maaso ge Ne kwasa amanda ag'omuliro.
14 Mukama n'abwatuka ng'ayima mu ggulu, Ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye.
15 N'alasa obusaale n'abasaasaanya; N'aweereza okumyansa n'abeeraliikiriza.
16 Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Olw'okunenya kwa Mukama, Olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze.
17 Yatuma ng'ayima waggulu n'antwala; N'ampalula n'anziya mu mazzi amangi;
18 N'amponya eri omulabe wange ow'amaanyi, Eri abo abaankyawa; kubanga bannyinga amaanyi.
19 Bangwako ku lunaku kwe nnalabira ennaku: Naye Mukama ye yannyweza.
20 Era n'anfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi: Yamponya kubanga yansanyukira.
21 Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ansasudde ng'obulongoofu bw'engalo zange bwe bwali.
22 Kubanga nakuumanga amakubo ga Mukama, So siddanga ku Katonda wange lwa kyejo.
23 Kubanga emisango gye gyonna gy'abanga mu maaso gange: N'amateeka ge sigavangamu.
24 Era nabanga eyatuukirira eri ye, ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange.
25 Mukama kyavudde ansasula ng'obutuukirivu bwange bwe bwali: Ng'obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge.
26 Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa, Awali omuntu eyatuukirira oneeraganga mutuukirivu;
27 Awali omulongoofu oneeraganga mulongoofu; Era awali omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
28 Era olirokola abantu abaabonyabonyezebwa: Naye amaaso go gatunuulira ab'amalala obasse wansi.
29 Kubanga ggwe ttabaaza yange, ai Mukama: Era Mukama alyakira ekizikiza kyange.
30 Kubanga ku lulwo nziruka mbiro ne nnumba ekibiina: Ku lwa Katonda wange mbuuka ekigo:
31 Katonda ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakemebwa; Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.
32 Kubanga ani Katonda wabula Mukama? Oba ani lwazi wabula Katonda waffe?
33 Katonda kye kigo kyange eky'amaanyi: Era aluŋŋamya eyatuukirira mu kkubo lye.
34 Afuula ebigere bye okuba (ng'ebigere) by'ennangaazi: Era anteeka ku bifo byange ebigulumivu.
35 Ayigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gitega omutego ogw'ekikomo.
36 Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
37 Wagaziya ebisinde byange wansi wange, Ebigere byange ne bitaseerera.
38 Nayigganya abalabe bange, ne mbazikiriza; So saakyuka nate nga tebannamalibwawo.
39 Era mbamazeewo ne mbafumitira ddala n'okuyinza ne batayinza kugolokoka: Weewaawo, bagudde wansi w'ebigere byange.
40 Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Owangudde wansi wange abo abangolokokerako.
41 Era abalabe bange obankubizza amabega, nzikirize abo abankyawa.
42 Baatunula naye tewali wa kulokola; Baatunuulira Mukama naye n'atabaddamu.
43 Awo ne mbasekulirasekulira ddala ng'enfuufu ey'oku nsi, Nabasamba ng'ebitosi eby'omu nguudo ne mbasaasaanya.
44 Era omponyezza mu kuwakana kw'abantu bange; N'onkuuma okuba omutwe gw'amawanga: Eggwanga lye ssimanyanga Lirimpeereza.
45 Bannaggwanga balinjeemulukukira: Nga kyebajje bampulire baliŋŋondera.
46 Bannaggwanga baliggweerera, Era baliva mu bifo byabwe eby'ekyama nga bakankana.
47 Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe; Agulumizibwe Katonda ow'olwazi olw'obulokozi bwange:
48 Ye Katonda ampalanira eggwanga, N'assa amawanga wansi wange,
49 Era anziya mu balabe bange: Weewaawo, ongulumiza okusinga abo abangolokokerako: Omponya eri omusajja ow'ekyejo.
50 Kyennaava nkwebaza, ai Mukama, mu mawanga, ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.
51 Awa kabaka we obulokozi obunene: Era amukola eby'ekisa ekingi oyo gwe yafukako amafuta, Dawudi n'ezzadde lye emirembe gyonna.




Essuula 23

1 Bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera, Era omusajja eyagulumizibwa waggulu ayogera, Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta, Era asanyusa olwa zabbuli za Isiraeri:
2 Omwoyo gwa Mukama gw'ayogerera mu nze, Ekigambo kye ne kiba ku lulimi lwange.
3 Katonda wa Isiraeri yayogera, Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba: Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu, Afuga ng'atya Katonda,
4 Aliba ng'omusana gw'enkya, enjuba bw'evaayo, Obudde obw'enkya obutaliiko bire; Omuddo omugonvu (bwe guva) mu ttaka, Olw'okwaka okutangalijja enkuba ng'ekedde.
5 Mazima ennyumba yange si bw'eri bw'etyo eri Katonda; Naye yalagaana nange endagaano eterivaawo, Eyeeteeseteese mu byonna era ey'enkalakkalira; Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era kye nneegomba kyonna, Newakubadde nga takikuza.
6 Naye abatatya Katonda bonna baliba ng'amaggwa ag'okusindikibwa, Kubanga tegayinza kukwatibwa na mukono:
7 Naye omuntu agakomako Kimugwanira okubeerera ddala n'ekyuma n'olunyago lw'effumu; Era galyokerwa ddala omulizo mu kifo kyago.
8 Gano ge mannya ag'abasajja ab'amaanyi Dawudi be yalina: Yosebubasusebesi Omutakemoni, omukulu w'abaami; era bwe yali bw'atyo Adino Omwezeni, eyalwana n'olunaana abattirwa awamu.
9 Ereazaali n'amuddirira mutabani wa Dodayi omwana w'Omwakoki omu ku basajja abasatu ab'amaanyi abaali ne Dawudi, bwe baasoomoza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, n'abasajja ba Isiraeri nga bagenze:
10 n'agolokoka n'atta Abafirisuuti omukono gwe ne gukoowa, omukono gwe ne gwegatta n'ekitala: Mukama n'aleeta okuwangula okunene ku lunaku olwo; abantu ne baddayo ennyuma we okunyaga obunyazi.
11 Ne Samma mutabani wa Agee Omukalali ye yamuddirira. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanye okuba ekibiina awaali omusiri ogw'ebijanjaalo; abantu ne badduka Abafirisuuti.
12 Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti: Mukama n'aleeta okuwangula okunene.
13 N'abasatu ku bakulu amakumi asatu ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu biro eby'amakungula eri empuku Adulamu; n'ekibiina ky'Abafirisuuti baali basiisidde mu kiwonvu Lefayimu.
14 Era Dawudi yali mu mpuku mu biro ebyo n'Abafirisuuti ab'omu kigo baali mu Besirekemu.
15 Awo Dawudi ne yeegomba n'ayogera nti Singa wabaddewo anannywesa amazzi agava mu luzzi olw'e Besirekemu oluli ku wankaaki!
16 N'abasajja abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye n'atakkiriza kunywako, naye n'agafuka eri Mukama.
17 N'ayogera nti Kiddire eri, ai Mukama, nze okukola kino: nnywe omusaayi gw'abasajja abagenze n'obulamu bwabwe? kyeyava agaana okunywako. Ebyo abasajja abasatu ab'amaanyi bye baakola.
18 Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasatu abo. N'agalula effumu lye okulwana n'ebikumi bisatu n'abatta n'aba n'erinnya mu abo abasatu:
19 Teyali wa kitiibwa okusinga abasatu abo? kyeyava afuuka omukulu waabwe: era naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye.
20 Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri wa Mowaabu bombi: era yaserengeta n'atta empologoma wakati mu bunnya mu biro eby'omuzira:
21 era yatta Omumisiri, omusajja omulungi: era Omumisiri yali akutte effumu mu mukono gwe; naye n'aserengeta gy'ali ng'alina omuggo, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri n'amutta n'effumu lye ye.
22 Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi.
23 Yasinga ekitiibwa abo amakumi asatu naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi.
24 Ne Asakeri muganda wa Yowaabu yali wa ku makumi asatu abo: Erukanani mutabani wa Dodo Omubesirekemu;
25 Samma Omukalodi; Erika Omukalodi;
26 Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa;
27 Abiyezeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukussai;
28 Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa;
29 Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'abaana ba Benyamini;
30 Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow'oku bugga obw'e Geyaasi;
31 Abi-aluboni Omwalubasi, Azumavesi Omubalukumi;
32 Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani;
33 Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali;
34 Erifereti mutabani wa Akasubayi omwana w'omu Maakasi, Eriyamu mutabani wa Akisoferi Omugiro;
35 Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi;
36 Igali mutabani wa Nasani ow'e Zoba, Bani Omugaadi;
37 Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, abaatwaliranga ebyokulwanyisa Yowaabu mutabani wa Zeruyiya;
38 Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli;
39 Uliya Omukiiti: omuwendo gwa bonna amakumi asatu mu musanvu.




Essuula 24

1 Awo obusungu ne bumukwata nate Mukama eri Isiraeri, n'abaweerera Dawudi ng'ayogera nti Genda obale Isiraeri ne Yuda.
2 Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gw'abantu.
3 Yowaabu n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo ayongere nno ku bantu, bwe benkana obungi, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe: naye mukama wange kabaka lwaki okusanyukira ekigambo ekyo?
4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu n'abakulu b'eggye. Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka okubala abantu ba Isiraeri.
5 Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yazeri:
6 ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimukodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni,
7 ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani: ne bamalira ku bukiika obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba.
8 Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bajja e Yerusaalemi emyezi mwenda ko ennaku abiri nga giyiseewo.
9 Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu gwe babaze: era waaliwo mu Isiraeri abasajja abazira obusiriivu munaana abaasowolanga ebitala; n'abasajja ba Yuda baali abasajja obusiriivu butaano.
10 Awo omwoyo ne guluma Dawudi bwe yamala okubala abantu. Dawudi n'agamba Mukama nti Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze: naye kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo.
11 Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'ayogera nti
12 Genda ogambe Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkuteekeddewo bino bisatu; weerobozeeko ekimu nkukikole.
13 Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi n'amubuulira n'amugamba nti Emyaka egy'enjala musanvu girikujjira mu nsi yo? Oba oliddukira emyezi esatu mu maaso g'abalabe bo, bo nga bakuyigganya? oba walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? teesa nno olowooze bwe mba mmuddamu oyo antumye.
14 Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: tugwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi: ne ssigwa mu mukono gwa bantu.
15 Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo: awo ku bantu ne kufaako abasajja obukumi musanvu okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba.
16 Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
17 Awo Dawudi n'agamba Mukama bwe yalaba malayika eyalwaza abantu n'ayogera nti Laba, nze nnyonoonye, era nze nkoze eby'obubambaavu: naye endiga zino, bakoze ki bo? nkwegayiridde, omukono gwo gulwane nange n'ennyumba ya kitange.
18 Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi ku lunaku olwo n'amugamba nti Yambuka ozimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
19 Awo Dawudi n'ayambuka nga Gaadi bwe yayogera nga Mukama bwe yalagira.
20 Awo Alawuna n'atunula n'alaba kabaka n'abaddu be nga bajja nga bamusemberera: Alawuna n'afuluma n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
21 Awo Alawuna n'ayogera nti Mukama wange kabaka ajjiridde ki eri omuddu we? Dawudi n'ayogera nti Okugulaana naawe egguuliro; okuzimbira Mukama ekyoto, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.
22 Alawuna n'agamba Dawudi nti Mukama wange kabaka atwale aweeyo by'anaasiima byonna: laba, ente ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebintu ebiwuula n'amatandiiko g'ente okuba enku:
23 bino byonna, ai kabaka, Alawuna abiwa kabaka. Alawuna n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo akukkirize.
24 Kabaka n'agamba Alawuna nti Nedda; naye n'aligulaana naawe n'ebintu; so siiweeyo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange ebitanzitidde byange. Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ne sekeri eza ffeeza ataano.
25 Awo Dawudi n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Mukama ne yeegayiririrwa ensi, kawumpuli n'aziyizibwa mu Isiraeri.