2 Ebyomumirembe

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36


-Reset+

Essuula 1

1 Awo Sulemaani mutabani wa Dawudi n'anywezebwa mu bwakabaka bwe, Mukama Katonda we n'aba naye, n'amugulumiza nnyo.
2 Sulemaani n'ayogera ne Isiraeri yenna, abaami b'enkumi n'ab'ebikumi n'abalamuzi na buli mukulu mu Isiraeri yenna, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe.
3 Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna wamu naye ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakola mu ddungu.
4 Naye essanduuko ya Katonda Dawudi yali agirinnyisizza n'agiggya e Kiriyasuyalimu n'agireeta mu kifo Dawudi kye yagitegekera: kubanga yali agikubidde eweema e Yerusaalemi.
5 Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleri mutabani wa Uli mutabani wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama: Sulemaani n'ekibiina ne bagendanga gye kiri.
6 Sulemaani n'ayambukayo eri ekyoto eky'ekikomo mu maaso ga Mukama ekyali ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
7 Mu kiro ekyo Katonda n'alabikira Sulemaani, n'amugamba nti Saba kye mba nkuwa.
8 Sulemaani n'agamba Katonda nti Walaga Dawudi kitange ekisa kingi, n'onfuula kabaka mu kifo kye.
9 Kale, ai Mukama Katonda, ekigambo kye wasuubiza Dawudi kitange kinywezebwe: kubanga onfudde kabaka w'abantu abafaanana enfuufu ey'oku nsi obungi.
10 Mpa nno amagezi n'okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g'abantu bano: kubanga ani ayinza okusalira emisango abantu bo bano abenkanidde awo obukulu?
11 Katonda n'agamba Sulemaani nti Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, so tosabye bugagga, ebintu, newakubadde ekitiibwa, newakubadde obulamu bw'abo abakukyawa, so tosabye kuwangaala; naye weesabidde amagezi n'okumanya, osalirenga emisango abantu bange, be nkufuulidde kabaka:
12 amagezi n'okumanya oweereddwa; era ndikuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa by'atabanga nabyo n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba oluvannyuma lwo aliba nabyo.
13 Awo Sulemaani n'ava ku lugendo lwe n'ajja eri ekifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni, ng'ava mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ajja e Yerusaalemi; n'afuga Isiraeri.
14 Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi: era yalina amagaali lukumi mu bina n'abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.
15 Kabaka n'afuula ffeeza ne zaabu mu Yerusaalemi okuba ng'amayinja obungi, okuba ng'amayinja, n'emivule yagifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu nsenyi obungi.
16 Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri; abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo.
17 Era eggaali baalikimanga nga baliggya mu Misiri nga lijjirira (sekeri) lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bassekabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bassekabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.




Essuula 2

1 Awo Sulemaani n'ayagala okuzimbira erinnya lya Mukama ennyumba, n'ennyumba y'obwakabaka bwe.
2 Sulemaani n'ayawula abasajja obukumi musanvu, okwetikkanga emigugu, n'abasajja obukumi munaana abaatemanga ku nsozi, n'enkumi ssatu mu lukaaga okubalabiriranga.
3 Sulemaani n'atuma eri Kulamu kabaka w'e Ttuulo ng'ayogera nti Nga bwe wakolanga Dawudi kitange n'omuweereza emivule okuzimba ennyumba okubeera omwo, bw'otyo bw'oba okola nange.
4 Laba, nzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba okugiwonga eri ye, n'okwotereza mu maaso ge obubaane obw'eby'akaloosa ebiwoomerevu, n'olw'emigaati egitaggwaawo, n'olw'ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi, ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaatekebwawo eza Mukama Katonda waffe. Kino kye kiragiro eky'emirembe gyonna eri Isiraeri.
5 N'ennyunba gye nzimba nnene: kubanga Katonda waffe mukulu okusinga bakatonda bonna.
6 Naye ani ayinza okumuzimbira ennyumba, kubanga eggulu n'eggulu erya waggulu taligyamu? nze nno nze ani mmuzimbire ennyumba, wabula okwoterezanga obubaane mu maaso ge?
7 Kale nno, mpeereza omusajja alina amagezi okukola omulimu ogwa zaabu, ne ffeeza n'ebikomo n'ebyuma, n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne kaniki, era omutegeevu okukola enjola ez'engeri zonna, okuba awamu n'abasajja ab'amagezi abali nange mu Yuda ne mu Yerusaalemi, Dawudi kitange be yateekateeka.
8 Era mpeereza n'emivule n'emiberosi n'emitoogo ng'ogiggya ku Lebanooni: kubanga mmanyi ng'abaddu bo bategeevu okutema emiti ku Lebanooni; era, laba, abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo,
9 okunteekerateekera emiti mingi: kubanga ennyumba gy'eŋŋenda okuzimba eriba nnene kitalo.
10 Era, laba, ndiwa abaddu bo, ababazzi abatema emiti, ebigero eby'eŋŋaano empuule obukumi bubiri, n'ebigero ebya sayiri obukumi bubiri, n'ebita eby'omwenge obukumi bubiri, n'ebita eby'amafuta obukumi bubiri.
11 Awo Kulamu kabaka w’e Ttuulo n'addamu ng'awandiika ebbaluwa n'agiweereza Sulemaani, nti Kubanga Mukama ayagala abantu be, kyeyava akufuula kabaka waabwe.
12 Era Kulamu n'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe eyatonda eggulu n'ensi, awadde Dawudi kabaka omwana omutegeevu, eyaweebwa amagezi n'okumanya, agenda okuzimbira Mukama ennyumba n'okuzimbira obwakabaka bwe ennyumba.
13 Kaakano nno mpeerezza omusajja ow'amagezi eyaweebwa okutegeera, owa Kulamu kitange,
14 Omwana w'omukazi ow'oku bawala ba Ddaani, ne kitaawe yali musajja wa Ttuulo, ow'amagezi okukola omulimu ogwa zaabu n'ogwa ffeeza n'ogw'ebikomo n'ogw'ebyuma n'ogw'amayinja n'ogw'emiti n'ogw'engoye ez'effulungu ne kaniki ne bafuta ennungi n'engoye entwakaavu; era n'okwola enjola ez'engeri zonna, n'okugunja engeri yonna egunjibwa: alagirwe ekifo wamu n'abasajja bo ab'amagezi n'abasajja ab'amagezi aba mukama wange Dawudi kitaawo.
15 Kale nno, eŋŋaano ne sayiri, amafuta n'omwenge, mukama wange bye yayogerako; atume eri abaddu be:
16 naffe tulitema emiti ku Lebanooni, nga bw'olyagala obungi: era tuligireeti gy'oli nga tugikulula ku nnyanja ne tugituusa e Yopa; naawe oligirinnyisa e Yerusaalemi.
17 Awo Sulemaani n'abala bannaggwanga bonna abali mu nsi ya Isiraeri ng'okubala bwe kwali Dawudi kitaawe kwe yababala: ne walabika kasiriivu mu obukumi butaano mu enkumi ssatu mu lukaaga.
18 N'assaawo obukumi musanvu ku bo okwetikkanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemanga ku nsozi n'abalabirizi enkumi ssatu mu lukaaga okukozanga abantu.




Essuula 3

1 Awo Sulemaani n'atanula okuzimba ennyumba ya Mukama Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama kwe yalabikirira Dawudi kitaawe, gye yateekateeka mu kifo Dawudi kye yalagira, mu gguuliro lya Olunaani Omuyebusi.
2 Awo n'atanula okuzimba ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi ogw'okubiri mu mwaka ogw'okuna kasookedde alya obwakabaka.
3 Era gino gye misingi Sulemaani gye yakuba okizimba ennyumba ya Katonda Obuwanvu bwayo mu mikono ng'ekigero eky'olubereberye bwe kyali bwali emikono nkaaga, n'obugazi emikono amakumi abiri.
4 N'ekisasi ekyali mu maaso g'ennyumba, obuwanvu bwakyo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugulumivu kikumi mu abiri: n'akibikkako munda zaabu ennongoofu.
5 N'ennyumba ennene n'agibikkako embaawo ez'emiberosi gye yabikkako zaabu ennongoofu, n'akolako enkindu n'emikuufu.
6 N'ayonja ennyumba n'amayinja ag'omuwendo omungi olw'obulungi: ne zaabu yali zaabu Eyepaluvayimu.
7 Era n'ennyumba n'agibikkako zaabu, emiti n'emiryango n'ebisenge byayo n'enzigi zaayo; ne bakerubi ababajje ku bisenge.
8 N'akola ennyumba entukuvu ennyo; obuwanvu bwayo ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali bwali emikono amakumi abiri, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri: n'agibikkako zaabu ennongoofu, eweza talanta lukaaga.
9 N'obuzito bw'emisumaali bwali sekeri eza zaabu amakumi ataano. N'abikkako zaabu enju eza waggulu. N'azibikkako zaabu.
10 Ne mu nnyumba entukuvu ennyo n'akolamu bakerubi babiri ab'omulimu ogw'ebifaananyi; ne bababikkako zaabu.
11 N'ebiwawaatiro bya bakerubi obuwanvu bwabyo emikono amakumi abiri: n'ekiwawaatiro kya kerubi omu kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba; n'ekiwawaatiro eky'okubiri nakyo bwe kityo kya mikono etaano, nga kituuka ku kiwawaatiro kya kerubi munne.
12 N'ekiwawaatiro kya kerubi munne kyali kya mikono etaano, nga kituuka ku kisenge ky'ennyumba: n'ekiwawaatiro ekirala nakyo kya mikono etaano, nga kyegatta n'ekiwawaatiro kya kerubi munne.
13 Ebiwawaatiro bya bakerubi abo byebamba emikono amakumi abiri: era baayimirira ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe nga gatunuulira ennyumba.
14 N'akola eggigi lya kaniki n'olugoye olw'effulungu n'olutwakaavu ne bafuta ennungi, n'alikolako bakerubi.
15 Era n'akola mu maaso g'ennyumba empagi bbiri, obugulumivu bwazo emikono amakumi asatu mu etaano, n'omutwe ogwali ku zo kinneemu gwali emikono etaano.
16 N'akola emikuufu awayimibwa okwogera, n'agiteeka ku ntikko z'empagi; n'akola amakomamawanga kikumi n'agateeka ku mikuufu.
17 N'asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku mukono ogwa ddyo n'ey'okubiri ku gwa kkono; n'atuuma ey'oku mukono ogwa ddyo erinnya lyayo Yakini, n'erinnya ly'ey'oku gwa kkono Bowaazi.




Essuula 4

1 Era yakola n'ekyoto eky'ekikomo, obuwanvu bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugazi bwakyo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwakyo emikono kkumi.
2 Era n'akola n'ennyanja ensaanuuse ey'emikono kkumi okuva ku mugo okutuuka ku mugo, nneekulungirivu n'obugulumivu bwali emikono etaano; n'omugwa ogw'emikono amakumi asatu ne gugyetooloola.
3 Era wansi waayo waaliwo ekifaananyi ky'ente, ekigyetooloolera emikono kkumi, nga kigyetooloola ennyanja enjuyi zonna. Ente zaali embu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.
4 Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira ebugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira ebuvanjuba: n'ennyanja ng'eteekeddwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda.
5 N'obugazi bwayo luta; n'omugo gwayo gwakolebwa ng'omugo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: ensuwa enkumi ssatu ezaayingiramu ne zigyamu.
6 Era n'akola eby'okwolezaamu kkumi, n'ateeka ebitaano ku mukono ogwa ddyo, n'ebitaano ku gwa kkono, okubyolezangamu; ebintu eby'ekiweebwayo ekyokebwa baabyolezanga omwo, naye ennyanja yali ya bakabona okunaabirangamu.
7 N'akola ebikondo kkumi bya zaabu ng'ekiragiro kyabyo bwe kyali; n'abiteeka mu yeekaalu, ku mukono ogwa ddyo bitaano, ne ku gwa kkono bitaano.
8 Era n'akola n'emmeeza kkumi, n'aziteeka mu yeekaalu, ku luuyi olwa ddyo ttaano, ne ku lwa kkono ttaano. N'akola ebibya kikumi bya zaabu.
9 Era nate n'akola oluggya lwa bakabona, n'oluggya olunene, n'enzigi z'oluggya, enzigi zaazo n'azibikkako ebikomo.
10 N'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo.
11 Kulamu n'akola entamu n'ebisena n'ebibya. Awo Kulamu n'amala okukola omulimu gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Katonda:
12 empagi zombi n'embuto, n'emitwe gyombi egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi;
13 n'amakomamawanga ebikumi bina ag'oku bitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bikompe byombi eby'emitwe egyali ku mpagi.
14 Era n'akola n'entebe, n'ebyolezebwamu n'abikola ku ntebe:
15 ennyanja emu n'ente kkumi na bbiri wansi waayo.
16 Era n'entamu n'ebisena n'amakato agakwasa ennyama n'ebintu byonna ebyako Kulamu kitaawe n'abikolera kabaka Sulemaani olw'ennyumba ya Mukama, bya bikomo bizigule.
17 Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati wa Sukkosi ne Zereda.
18 Bw'atyo Sulemaani bwe yakola ebintu byonna bingi nnyo nnyini: kubanga ebikomo obuzito bwabyo tebwategeerekeka.
19 Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda, era n'ekyoto ekya zaabu, n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga;
20 n'ebikondo n'ettabaaza zaabyo, zaakirenga mu maaso g'awayimibwa okwogera ng'ekiragiro bwe kyali, bya zaabu nnungi nnongoofu;
21 n'ebimuli ne ttabaaza ne makaasi, bya zaabu, zaabu ntuukirivu;
22 n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu: n'omulyango gw'ennyumba, enzigi zaayo ez'omunda ez'omu kifo ekitukuvu ennyo n'enzigi z'ennyumba, ye yeekaalu, zaali za zaabu.




Essuula 5

1 Bwe gutyo omulimu gwonna Sulemaani gwe yakola olw'ennyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga; effeeza ne zaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Katonda.
2 Awo Sulemaani n'alyoka akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu kibuga kya Dawudi, ye Sayuuni.
3 Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira eri kabaka ku mbaga, eyabaawo mu mwezi ogw'omusanvu.
4 Awo abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, Abaleevi ne basitula essanduuko.
5 Ne balinnyisa essanduuko n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona Abaleevi ne babirinnyisa.
6 Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali ne baba mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente, ezitagattika newakubadde okubalika obungi.
7 Awo bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa okwogera mu nnyumba, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.
8 Kubanga bakerubi bayanjala ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky'essanduuko, bakerubi ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo waggulu.
9 N'emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima awali essanduuko mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye n'atagiraba ayima ebweru: era ekyali eyo ne leero.
10 Temwali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi Musa bye yateeka omwo ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, we baava mu Misiri.
11 Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, (kubanga bakabona bonna abaali eyo baali beetukuzizza, so tebaakwata mpalo zaabwe;
12 era n'Abaleevi abayimbi, bonna, Asafu, Kemani, Yedusuni, ne batabani baabwe ne baganda baabwe, nga bambadde bafuta ennungi, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ne bayimirira ku nkomerero y'ekyoto ey'ebuvanjuba, era wamu nabo bakabona kikumi mu abiri nga bafuuwa amakondeere:)
13 awo olwatuuka abaafuuwa n'abayimbi nga bafaanana omu, okuwuliza eddoboozi erimu nga batendereza nga beebaza Mukama, era bwe baayimusa eddoboozi lyabwe n'amakondeere n'ebitaasa n'ebintu ebivuga, ne batendereza Mukama, nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna: awo ennyumba n'eryoka ejjula ekire, ennyumba ya Mukama,
14 bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjula ennyumba ya Katonda.




Essuula 6

1 Awo Sulemaani n'alyoka ayogera nti Mukama ayogedde ng'anaatuulanga mu kizikiza ekikutte.
2 Naye nze nkuzimbidde ennyumba ey'okubeeramu, n'ekifo ky'onoobeerangamu emirembe gyonna.
3 Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa: ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bayimirira.
4 N'ayogera nti Mukama Katonda wa Isiraeri yeebazibwe, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, era akituukirizza n'emikono gye, ng'ayogera nti
5 Okuva ku lunaku lwe nnaggya abantu bange mu nsi y'e Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimbira omwo ennyumba, erinnya lyange libeere omwo; so seerobozanga muntu yenna okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri:
6 naye neerobozezza Yerusaalemi, erinnya lyange libeere omwo; era neerobozezza Dawudi okufuga abantu bange Isiraeri.
7 Kale kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri ennyumba.
8 Naye Mukama yagamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimbira erinnya lyange ennyumba, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo:
9 era naye ggwe tozimbanga nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba.
10 Era Mukama atuukirizza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, era ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katcnda wa Isiraeri ennyumba.
11 Era ntadde omwo essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana n'abaana ba Isiraeri.
12 N'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama, ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali n'ayanjuluza engalo ze:
13 (kubanga Sulemaani yali akoze ekituuti eky'ebikomo, obuwanvu bwakyo emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, n'obugulumivu bwakyo emikono esatu, n'akiteeka wakati mu luggya; n'ayimirira okwo, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso g'ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n'ayanjuluza engalo ze eri eggulu:)
14 n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, tewali Katonda akufaanana, mu ggulu newakubadde mu nsi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
15 eyanyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, era okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe luri leero.
16 Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, nyweza eri omuddu wo Dawudi kitange ekyo kye wamusuubiza ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe, okutambuliranga mu mateeka gange nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
17 Kale nno, ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe; kye wagamba omuddu wo Dawudi.
18 Naye Katonda alituula mazima ddala n'abantu ku ttaka? laba, eggulu n'eggulu erya waggulu toligyamu; kale ennyumba eno gye nzimbye eyinza etya ggwe okugigyamu?
19 Naye lowooza okusaba kw'omuddu wo n'okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabye mu maaso go:
20 amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako ng'oliteeka omwo erinnya lyo; okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino.
21 Era owuliranga okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wuliranga ggwe ng'oyima mu kifo kyo ky'obeeramu, ng'oyima mu ggulu; era bw'onoowuliranga, osonyiwanga.
22 Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamulayiza ekirayiro ky'aba alayira, n'ajja n'alayira ng'ayima mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno:
23 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, okolanga, osaliranga abaddu bo omusango, ng'osasula ababi, okumuleetako ekkubo lye; era ng'oweesa obutuukirivu omutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli.
24 Era abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; ne bakyuka nate ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne beegayiririra mu maaso go mu nnyumba eno:
25 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga okwonoona kw'abantu bo Isiraeri, obakomyangawo nate mu nsi gye wawa bo ne bajjajja baabwe.
26 Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga:
27 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwanga ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'onoobayigirizanga ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweerezanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
28 Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli bw'anafaanananga atya, n'endwadde bw'eneefaanananga etya;
29 kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n'obuyinike bwe ye, n'ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno:
30 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu, osonyiwanga osasulanga buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu;)
31 balyoke bakutye okutambuliranga mu makubo go ennaku zonna ze balimala mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
32 Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa; bwe banajjanga ne basaba nga batunuulira ennyumba eno;
33 owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.
34 Abantu bo bwe banaatabalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne bakusabanga nga batunuulira ekibuga kino kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
35 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe owozanga ensonga yaabwe.
36 Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi oba wala oba kumpi;
37 naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi ey'okusibibwa kwabwe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
38 bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey'okusibibwa kwabwe gye baabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajja baabwe, n'ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;
39 kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeeramu owozanga ensonga yaabwe; osonyiwanga abantu bo abakwonoonye.
40 Kale, ai Katonda wange, nkwegayiridde amaaso go gazibukenga n'amatu go gawulirenga okusaba okunaasabirwanga mu kifo kino.
41 Kale nno golokoka, ai Mukama Katonda, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu, ggwe n'essanduuko ey'amaanyi go: bakabona bo, ai Mukama Katonda, bambale obulokozi, n'abatukuvu bo basanyukire obulungi.
42 Ai Mukama Katonda, tokyusanga maaso g'oyo gwe wafukako amafuta: jjukira okusaasirwa kwa Dawudi omuddu wo.




Essuula 7

1 Awo Sulemaani bwe yamala okwogera omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka; ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
2 Bakabona ne batayinza kuyingira mu nnyumba ya Mukama kubanga ekitiibwa kya Mukama kijjudde ennyumba ya Mukama.
3 Abaana ba Isiraeri bonna ne batunuulira, omuliro bwe gwaka, ekitiibwa kya Mukama ne kiba ku nnyumba; ne bavuunama amaaso gaabwe ku mayinja amaaliire, ne basinza, ne beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 Awo kabaka n'abantu bonna ne baweerayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
5 Kabaka Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri, n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Awo kabaka n'abantu bonna ne bawonga ennyumba ya Katonda.
6 Bakabona ne bayimirira ng'emirimu gyabwe bwe gyali; era n'Abaleevi nga balina ebintu ebivuga ebya Mukama, Dawudi kabaka bye yakola okwebaza Mukama, kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna, Dawudi bwe yatenderezanga olw'okuweereza kwabwe: bakabona ne bafuuwa amakondeere mu maaso gaabwe; Isiraeri yenna ne bayimirira.
7 Era Sulemaani n'atukuza oluggya wakati olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; kubanga yaweerayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe: kubanga ekyoto eky'ekikomo Sulemaani kye yakola tekyayinza kugyako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu.
8 Awo Sulemaani n'afumba embaga mu biro ebyo ey'ennaku musanvu, ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene ennyo, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri.
9 Awo ku lunaku olw'omunaana ne bakuŋŋaanya okukuŋŋaana okutukuvu: kubanga embaga ey'okuwonga ekyoto baagikwatira ennaku musanvu, n'embaga ennaku musanvu.
10 Awo ku lunaku olw'amakumi abiri mu ssatu olw'omwezi ogw'omusanvu n'asindika abantu mu weema zaabwe, nga basanyuse era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bwe yali alaze Dawudi, ne Sulemaani, ne Isiraeri abantu be.
11 Bw'atyo Sulemaani bwe yamala ennyumba ya Mukama n'ennyumba ya kabaka: ne byonna ebyayingira mu mutima gwa Sulemaani okukola mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ye n'abituusa bulungi.
12 Mukama n'alabikira Sulemaani kiro n'amugamba nti Mpulidde okusaba kwo ne nneeroboza gye ndi ekifo kino okuba ennyumba ey'okuweerangamu ssaddaaka.
13 Bwe nnaggalangawo eggulu waleme okuba enkuba, oba bwe nnaalagiranga enzige okulya ensi, oba bwe nnaaweerezanga kawumpuli mu bantu bange;
14 abantu bange abatuumiddwa erinnya lyange bwe baneetoowazanga ne basaba ne banoonya amaaso gange ne bakyuka okuleka amakubo gaabwe amabi; kale naawuliranga nga nnyima mu ggulu ne nsonyiwa okwonoona kwabwe ne mponya ensi yaabwe.
15 Kale amaaso gange ganaazibukanga n'amatu gange ganaawuliranga okusaba okunaasabibwanga mu kifo kino.
16 Kubanga kaakano nneerobozezza ennyumba eno ne ngitukuza, erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna: n'amaaso gange n'omutima gwange binaabeeranga eyo obutayosa.
17 Naawe, bw'onootambuliranga mu maaso gange, nga Dawudi kitaawo bwe yatambulanga, n'okola nga byonna bwe biri bye nnakulagira, n'okwata amateeka gange n'emisango gyange;
18 kale naanywezanga entebe ey'obwakabaka bwo nga bwe nnalagaana ne Dawudi kitaawo nga njogera nti Tewaakubulenga musajja okuba afuga mu Isiraeri.
19 Naye bwe munaakyukanga ne muleka amateeka gange n'ebiragiro byange bye ntadde mu maaso gammwe, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubasinza:
20 awo ndibasigulira ddala ne mbaggya mu nsi yange gye mbawadde; n'ennyumba eno gye ntukuzizza olw'erinnya lyange ndigisuula okuva mu maaso gange, era ndigifuula olugero n'ekigambo eky'obuwemu mu mawanga gonna.
21 N'ennyumba eno empanvu eyenkanidde awo buli anaagiyitangako aneewuunyanga era anaayogeranga nti Kiki ekikozezza bwe kityo Mukama ensi eno n'ennyumba eno?
22 Kale banaddangamu nti Kubanga baaleka Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bakwata bakatonda abalala ne babasinza ne babaweereza: kyeyava abaleetako obubi buno bwonna.




Essuula 8

1 Awo olwatuuka emyaka amakumi abiri bwe gyayitawo Sulemaani mwe yazimbira ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ye,
2 ebibuga Kulamu bye yawa Sulemaani, Sulemaani n'abizimba n’atuuza omwo abaana ba Isiraeri.
3 Awo Sulemaani n'agenda Kamasuzoba n'akimenya.
4 n'azimba Tadumoli mu ddungu n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu yazimba mu Kamasi.
5 Era, n’azimba ne Besukolooni ekya waggulu, ne Besukolooni ekya wansi, ebibuga ebiriko enkomera ne bbugwe n’enzigi n'ebisiba;
6 ne Baalasi n’ebibuga byonna eby'okuterekeramu Sulemaani bye yalina, n'ebibuga byonna eby'amagaali ge n'ebibuga eby'abasajja be abeebagala embalaasi, ne byonna Sulemaani bye yayagala okuzimba olw'okwesanyusa kwe mu Yerusaalemi ne mu, Lebanooni ne mu nsi yonna ey'amatwale ge.
7 Abantu bonna abaasigalawo ku Bakiiti n'Abamoli n'Abaperini n'Abakiivi n'Abayebusi abatali ba ku Baisiraeri;
8 ku baana baabwe abaasigalawo oluvannyuma lwabwe mu nsi, abaana ba Isiraeri be bataazikiriza, ku abo Sulemaani kwe yasoloozanga (abaddu) ne leero.
9 Naye ku baana ba Isiraeri Sulemaani teyafuulangako baddu olw'omulimu gwe; naye ne baba basajja balwanyi era abakulu b'abaami be era abafuga amagaali ge n'abasajja be abeebagala embalaasi.
10 Era bano be baali abaami abakulu aba kabaka Sulemaani, ebikumi bibiri mu ataano abaafuganga abantu.
11 Sulemaani n'ayambusa muwala wa Falaawo ng'amuggya mu kibuga kya Dawudi n'amuleeta mu nnyumba gye yamuzimbira: kubanga yayogera nti Mukazi wange tajja kubeera mu nnyumha ya Dawudi kabaka wa Isiraeri, kubanga ebifo bitukuvu essanduuko ya Mukama gye yatuuka.
12 Awo Sulemaani n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto kya Mukama kye yazimba mu maaso g'ekisasi,
13 ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, ng'awaayo ng'ekiragiro kya Musa bwe kyali ku ssabbiiti n'emyezi nga kye gijje giboneke ne ku mbaga ezaalagirwa, emirundi esatu buli mwaka, ku mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ne ku mbaga eya ssabbiiti ne ku mbaga ey'ensiisira.
14 N'agaba empalo za bakabona olw'okuweereza kwabwe ng'ekiragiro kya Dawudi kitaawe bwe kyali, n'awa Abaleevi ebyo bye baalagirwa, okutenderezanga n'okuweereza mu maaso ga bakabona, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali: era n'abaggazi ng'empalo zaabwe bwe zaali ku buli mulyango: kubanga bw'atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira.
15 Ne batava mu kiragiro kya kabaka kye yalagira bakabona n'Abaleevi olw'ekigambo kyonna oba olw'ebintu ebyaterekebwa.
16 Awo omulimu gwonna ogwa Sulemaani ne gutegekerwa olunaku olw'okussaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama n'okutuusa lwe yaggwa. Bw'etyo ennyunba ya Mukama n'etuusibwa ddala.
17 Awo Sulemaani n'agenda Eziyonigeba ne Erosi ekiri ku ttale y'ennyanja mu nsi ya Edomu.
18 Kulamu n'amuweereza mu mikono gy'abaddu be ebyombo n'abaddu abaamanya ennyanja; ne bajja wamu n'abaddu ba Sulemaani e Ofiri, ne bakimayo zaabu talanta ebikumi bina mu ataano, ne bazireeta eri kabaka Sulemaani.




Essuula 9

1 Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja okukema Sulemaani n’ebibuuzibwa ebizibu, e Yerusaalemi, ng'alina abaddu bangi nnyo n’eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa ne zaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi: awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.
2 Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza.
3 Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
4 n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe; n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnnyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye.
5 N'agamba kabaka nti Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange kyali kya mazima eky'ebikolwa byo n'amagezi go.
6 Era naye sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nnajja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu kya bukulu bw'amagezi go: osinga ettutumo lye nnawulira.
7 Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go.
8 Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusanyukira okukuteeka ku ntebe okuba kabaka olwa Mukama Katonda wo: kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okukolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.
9 Awo n'awa kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri, n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: so tewaabaawo bya kaloosa ebyenkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi w'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
10 Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi.
11 Kabaka n'akola n'emitoogo entindo ez'ennyumba za Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: so tewaalabikanga edda mu nsi ya Yuda egifaanana bwe gityo.
12 Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo bye yaleetera kabaka. Awo n'akyusa n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be.
13 Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta za zaabu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
14 obutassaako eyo abasuubuzi n'ab'obuguzi gye baaleetanga: ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abakulu b'ensi ne baleetera Sulemaani zaabu n'effeeza.
15 Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo ebikumi bibiri ebya zaabu empeese: buli kagabo n'akawaako (sekeri) za zaabu lukaaga.
16 N'akola engabo ebikumi bisatu ebya zaabu empeese; buli ngabo n'agiwaako sekeri ebikumi bisatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni.
17 Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi.
18 Entebe yaliko amadaala mukaaga, era yaliko entebe ey'ebigere eya zaabu, era gaasibibwa n'entebe, era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.
19 N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga: tewali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana.
20 Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: ffeeza teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani.
21 Kubanga kabaka yalina malikebu ezaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; malikebu ez'e Talusiisi zajjanga mulundi gumu buli myaka esatu nga zireeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge.
22 Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi.
23 Bakabaka b'ensi bonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
24 Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka.
25 Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya olw'embalaasi n'amagaali, n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.
26 Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo ey'e Misiri.
27 Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi.
28 Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna.
29 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Nasani nnabbi ne mu ebyo bye yalagula Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi okwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati?
30 Sulemaani n'afugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana.
31 Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.




Essuula 10

1 Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu okumufuula kabaka.
2 Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe yakiwulira, (kubanga yali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani,) Yerobowaamu n'ava mu Misiri n'akomawo.
3 Ne batuma, ne bamuyita; awo Yerobowaamu ne Isiraeri yenna ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti
4 Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula, ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tunaakuweerezanga.
5 N'abagamba nti Mumale ennaku ssatu, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda.
6 Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bonna?
7 Ne bamugamba nti Bw'onookola eby'ekisa abantu bano n'obasanyusa n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.
8 Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge.
9 N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?
10 Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11 Era nno kubanga kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze naayongeranga ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.
12 Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu.
13 Awo kabaka n'abaddamu n'ebboggo, kabaka Lekobowaamu n'aleka okuteesa kw'abakadde;
14 n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali ng'ayogera nti Kitange yafuulanga ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze naayongerangako: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.
15 Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Katonda kye yaleeta, Mukama anyweze ekigambo kye kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro.
16 Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nti Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: buli muntu mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri yenna ne baddayo mu weema zaabwe.
17 Naye abaana ba Isiraeri abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18 Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Kadolaamu eyali omukulu w'omusolo; abaana ba Isiraeri ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka Lekobowaamu n'ayanguwa okulinnya mu ggaali lye okuddukira mu Yerusaalemi.
19 Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero.




Essuula 11

1 Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba ya Yuda ne Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu.
2 Naye ekigambo kya Mukama ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti
3 Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka lwa Yuda, ne Isiraeri yenna mu Yuda ne Benyamini, ng'oyogera nti
4 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ebigambo bya Mukama ne baddayo ne baleka okutabaala Yerobowaamu.
5 Awo Lekobowaamu n'abeera mu Yerusaalemi n'azimba ebibuga mu Yuda okuba ebigo.
6 N'azimba Besirekemu ne Etamu ne Tekowa
7 ne Besuzuli ne Soko ne Adulamu
8 ne Gaasi ne Malesa ne Zifu,
9 ne Adorayimu ne Lakisi ne Azeka
10 ne Zola ne Ayalooni ne Kebbulooni, ebiri mu Yuda ne mu Benyamini, ebibuga ebiriko enkomera.
11 Ebigo n'abizimbako enkomera, n'abiteekamu abaami n'emmere ey'okuterekebwa n'amafuta n'omwenge.
12 Ne mu buli kibuga kinnakimu n'ateekamu engabo n'amafumu, n'abinyweza nnyo nnyini. Yuda ne Benyamini ne baba babe.
13 Bakabona n'Abaleevi abaali mu Isiraeri yonna ne bagendanga gy'ali okuva mu nsalo zaabwe zonna.
14 Kubanga Abaleevi baaleka ebyalo byabwe eby'oku bibuga n'obutaka bwabwe ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi: kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba baleme okuweererezanga mu bwakabona bwabwe eri Mukama:
15 ne yeetekerawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu n'ab'embuzi ennume n'ab'ennyana ze yakola.
16 Awo ne babagoberera bonna abaateeka emitima gyabwe okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri ab'omu bika byonna ebya Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi okuwaayo ssaddaaka eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
17 Bwe batyo ne banyweza obwakabaka bwa Yuda, ne bamunywereza emyaka esatu Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani: kubanga baatambulira emyaka esatu mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani.
18 Awo Lekobowaamu n'afumbirwa omukazi Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era owa Abikayiri muwala wa Eriyaabu mutabani wa Yese;
19 n'amuzaalira abaana ab'obulenzi; Yewusi ne Semaliya ne Zakamu.
20 Oluvannyuma lwe n'afumbirwa Maaka muwala wa Abusaalomu; oyo n'amuzaalira Abiya ne Attayi ne Ziza ne Seromisi.
21 Lekobowaamu n'ayagala Maaka muwala wa Abusaalomu okukira bakazi be bonna n'abazaana be bonna; (kubanga yawasa abakazi kkumi na munaana n'abazaana nkaaga, n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu munaana n'ab'o buwala nkaaga).
22 Lekobowaamu n'assaawo Abiya mutabani wa Maaka okuba omukulu, asinga baganda be obukulu: kubanga yayagala okumufuula kabaka.
23 N'akola eby'amagezi, n'asaasaanya batabani be bonna mu nsi zonna eza Yuda ne Benyamini, mu buli kibuga ekiriko olukomera: n'abawa ebyokulya bingi nnyo. N'abanoonyeza abakazi bangi.




Essuula 12

1 Awo olwatuuka obwakabaka bwa Lekobowaamu bwe bwanywezebwa n'aba n'amaanyi, kale n'aleka amateeka ga Mukama, ne Isiraeri yenna wamu naye.
2 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa kabaka Lekobowaamu Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi, kubanga basobezza Mukama,
3 ng'alina amagaali lukumi mu ebikumi bibiri n'abasajja abeebagala embalaasi obukumi mukaaga: n'abantu abajja naye abaava mu Misiri nga tebabalika; Abalubimu n'Abasukkiyimu n'Abaesiyopya.
4 N'amenya ebibuga ebiriko enkomera ebya Yuda, n'ajja e Yerusaalemi.
5 Awo Semaaya nabbi n'ajja eri Lekobowaamu n'eri abakulu ba Yuda abaali bakuŋŋaanidde e Yerusaalemi olwa Sisaki, n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Munvuddeko, nange kyenvudde mbaleka mu mukono gwa Sisaki.
6 Awo abakulu ba Isiraeri ne kabaka ne beetoowaza; ne boogera nti Mukama mutuukirivu.
7 Awo Mukama bwe yalaba nga beetoowazizza, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Semaaya nga kyogera nti Beetoowazizza; siribazikiriza: naye naabawaako okuwonyezebwa, n'obusungu bwange tebulifukibwa ku Yerusaalemi mu mukono gwa Sisaki.
8 Era naye baliba baddu be; bamanye okuweereza kwange n'okuweereza kw'obwakabaka bw'ensi bwe kufaanana.
9 Awo Sisaki kabaka w'e Misiri n'atabaala Yerusaalemi n'aggyayo obugagga obw'omu nnyumba ya Mukama n'obugagga obw'omu nnyumba ya kabaka; byonna n'abitwalira ddala: n'aggyayo engabo zonna eza zaabu Sulemaani ze yakola.
10 Kabaka Lekobowaamu n'akola engabo ez'ebikomo okudda mu bifo byazo, n'aziteresa mu mikono gy'abaami b'abambowa abaakuumanga oluggi lw'ennyumba ya kabaka.
11 Awo olwatuuka kabaka buli lwe yayingiranga mu nnyumba ya Mukama, abambowa ne bajja ne bazisitula, ne bazizza mu nju ey'abakuumi.
12 Awo bwe yeetoowaza, obusungu bwa Mukama ne bukyuka okumuvaako, aleme okumuzikiririza ddala: era nate mu Yuda mwalabika ebirungi.
13 Awo kabaka Lekobowaamu ne yeenywereza mu Yerusaalemi n'afuga, kubanga Lekobowaamu yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu gumu bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na musanvu mu Yerusaalemi, ekibuga Mukama kye yeeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri okuteeka omwo erinnya lye: n’erinnya lya nnyina lyali Naama Omwamoni.
14 N'akola ebyali ebibi, kubanga teyakakasa mutima gwe okunoonya Mukama.
15 Era ebikolwa bya Lekobowaamu, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Semaaya nnabbi n'ebya Iddo omulabi ng'engeri bw'eri ey'ebitabo eby'okuzaalibwa? Ne wabanga entalo eri Lekobowaamu ne Yerobowaamu obutayosa.
16 Lekobowaamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi: Abiya mutabani we n'afuga mu kifo kye.




Essuula 13

1 Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yerobowaamu Abiya n'atanula okufuga Yuda.
2 N'afugira emyaka esatu mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyali Mikaaya muwala wa Uliyeeri ow'e Gibeya. Ne wabanga entalo eri Abiya ne Yerobowaamu.
3 Abiya n'alumba ng'alina eggye ery'abasajja abazira abalwanyi, abasajja abalonde obusiriivu buna: Yerobowaamu n'asimba ennyiriri okulwana naye ng'alina abasajja abalonde obusiriivu munaana ab'amaanyi abazira.
4 Abiya n'ayimirira ku lusozi Zemalayimu oluli mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ayogera nti Mumpulire, mmwe Yerobowaamu ne Isiraeri yenna;
5 temwagwana kumanya nga Mukama Katonda wa Isiraeri yawa Dawudi obwakabaka bwa Isiraeri okumala emirembe gyo, ye ne batabaai be n'endagaano ey'omunnyo?
6 Naye Yerobowaamu mutabani wa Nebati omuddu wa Sulemaani mutabani wa Dawudi n'agolokoka n'ajeemera mukama we.
7 Ne wakuŋŋaana gy'ali abasajja abataliiko kye bagasa, abaana ba Beriali, abeenyweza eri Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani, Lekobowaamu ng'akyali muto n'omutima gwe nga mugonvu, so nga tayinza kubaziyiza.
8 Awo kaakano mulowooza okuziyiza obwakabaka bwa Mukama mu mukono gwe batabani ba Dawudi; era muli kibiina kinene, era waliwo nammwe ennyana eza zaabu Yerobowaamu ze yabakolera okuba bakatonda.
9 Temwagoba bakabona ba Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, ne mwerondera bakabona ng'empisa bw'eri ey'amawanga ag'omu nsi endala? kale buli ajja okwetukuza ng'alina ente ento n'endiga ennume musanvu, oyo ayinza okuba kaboa w'abo abatali bakatonda.
10 Naye ffe, Mukama ye Katonda waffe, naffe tetumuvangako; era (tulina) bakabona abaweereza Mukama, batabani ba Alooni n'Abaleevi, mu mulimu gwabwe:
11 era bookya eri Mukama buli nkya na buli kawungeezi ebiweebwayo ebyokebwa n'obubaane obuwoomerevu: n'emigaati egy'okulaga nagyo bagiteekateeka ku mmeeza ennongoofu: n'ekikondo ekya zaabu n'ettabaaza zaakyo, okwakanga buli kawungeezi: kubanga ffe tukwata ebyo Mukama Katonda waffe bye yakuutira; naye mmwe mwamuvaako.
12 Era, laba, Katonda ali naffe, atukulembedde, ne bakabona be nga balina amakondeere agalawa, okugalaya okulwana nammwe. Ai abaana ba Isiraeri, temulwana ne Mukama Katonda wa bajjajjammwe; kubanga temuulabe mukisa.
13 Naye Yerobowaamu n'abafulumya ennyuma abateezi: awo ne baba mu maaso ga Yuda, abateezi ne baba ennyuma waabwe.
14 Awo Yuda bwe baakebuka, laba, olutalo nga lubafulumye mu maaso n'ennyuma: ne bakaabira Mukama, bakabona ne bafuuwa amakondeere.
15 Awo abasajja ba Yuda ne boogerera waggulu: awo abasajja ba Yuda nga boogerera waggulu, olwatuuka Katonda n'akuba Yerobowaamu ne Isiraeri yenna mu maaso ga Abiya ne Yuda.
16 Abaana ba Isiraeri ne badduka mu maaso ga Yuda: Katonda n'abagabula mu mukono gwabwe.
17 Abiya n'abantu be ne babatta olutta olunene: n'okugwa ne kugwa ku Isiraeri nga battiddwa abasajja abalonde obusiriivu butaano.
18 Bwe batyo abaana ba Isiraeri ne bawangulwa mu biro ebyo, abaana ba Yuda ne basinga, kubanga beesiga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
19 Abiya n'ayigganya Yerobowaamu, n'amuggyako ebibuga, Beseri n'ebibuga byako, ne Yesana n'ebibuga byako, ne Efulooni n'ebibuga byako.
20 So Yerobowaamu teyafuna nate amaanyi ku mirembe gya Abiya: Mukama n'amulwaza n'afa.
21 Naye Abiya n'afuuka ow'amaanyi, n'awasa abakazi kkumi na bana n'azaala abaana ab'obulenzi amakumi abiri mu babiri n'ab'obuwala kkumi na mukaaga.
22 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Abiya n'amakubo ge n'ebigambo bye byawandiikibwa mu bitegeeza bya nnabbi Iddo.




Essuula 14

1 Awo Abiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, Asa mutabani we n'afuga mu kifo kye: ku mirembe gye ensi n'etereerera emyaka kkumi.
2 Asa n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga:
3 kubanga yaggyawo ebyoto ebya bannaggwanga n'ebifo ebigulumivu n'amenya empagi n’atemaatema ba Asera;
4 n'alagira Yuda okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okukwata amateeka n'ekiragiro.
5 Era n'aggyawo mu bibuga byonna ebya Yuda ebifo ebigulumivu n'ebifaananyi by'enjuba: obwakabaka ne butereera mu maaso ge.
6 N'azimba ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: kubanga ensi yali eteredde so teyalina ntalo mu myaka egyo; kubanga Mukama yamuwa okuwummula.
7 Kubanga yagamba Yuda nti Tuzimbe ebibuga bino, tubikoleko bbugwe n'ebigo, enzigi n'ebisiba; ensi ekyali mu maaso gaffe, kubanga tunoonyezza Mukama Katonda waffe; tumunoonyezza, naye atuwadde okuwummula enjuyi zonna. Awo ne bazimba ne balaba omukisa.
8 Era Asa yalina eggye abaakwatanga engabo n'amafumu, abaava mu Yuda obusiriivu busatu; n'abaava mu Benyamini abaakwatanga engabo ne banaanuula emitego, obusiriivu bubiri mu obukumi munaana: abo bonna basajja ba maanyi abazira.
9 Zeera Omwesiyopya n'abatabaala ng'alina eggye kakadde n'amagaaii ebikumi bisatu; n'ajja e Malesa.
10 Awo Asa n'afuluma okumusisinkana, ne basimba ennyiriri mu kiwonvu Zefasa e Malesa.
11 Asa n'akaabira Mukama Katonda we n'ayogera nti Mukama, tewali muyambi akwenkana ggwe wakati w'abalina (abalwanyi) abangi, n'abo abatalina maanyi: tuyambe, ai Mukama Katonda waffe; kubanga tukwesiga, ne mu linnya lyo mwe tutabaalidde ekibiina kino. Ai Mukama, ggwe Katonda waffe; omuntu aleme okukusinga.
12 Awo Mukama n'akuba Abaesiyopya mu maaso ga Asa ne mu maaso ga Yuda; Abaesiyopya ne badduka.
13 Asa n'abantu be abaali naye ne babacocca ne babatuusa e Gerali: ne kugwa ku Baesiyopya bangi bwe batyo n'okuyinza ne batayinza kuddamu amaanyi; kubanga baazikirizibwa mu maaso ga Mukama ne mu maaso g'eggye lye; ne banyaga omunyago mungi nnyo.
14 Ne bakuba ebibuga byonna ebyetoolodde Gerali; kubanga entiisa ya Mukama yabatuukako: ne banyaga ebibuga byonna: kubanga byalimu omunyago mungi.
15 Era ne bakuba eweema ez'ente, ne banyaga endiga nnyingi nnyo n'eŋŋamira, ne baddayo e Yerusaalemi.




Essuula 15

1 Omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Azaliya mutabani wa Odedi:
2 n'afuluma okusisinkana Asa n'amugamba nti Mumpulire, mmwe Asa ne Yuda yenna ne Benyamini: Mukama ali nammwe bwe munaabanga naye; era bwe munaamunoonyanga, munaamulabanga; naye bwe munaamuvangako, anaabavangako mmwe.
3 Era ebiro bingi Isiraeri nga talina Katonda ow'amazima era nga talina kabona ayigiriza era nga talina mateeka:
4 naye bwe baakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri nga balabye ennaku ne bamunoonya, ne balyoka bamulaba.
5 Ne mu biro ebyo nga tewali mirembe eri oyo eyafulumanga newakubadde eri oyo eyayingiranga, naye okweraliikirira kungi ne kuba ku bonna abaatuula mu nsi ezo.
6 Ne bamenyekamenyeka, eggwanga nga lirumba ggwanga linnaalyo, n'ekibuga nga kirumba kibuga kinnaakyo: kubanga Katonda yabeeraliikiriza ng'abalabya ennaku zonna.
7 Naye mubenga n'amaanyi, so n'emikono gyammwe tegiddiriranga: kubanga omulimu awammwe guliweebwa empeera.
8 Awo Asa bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ebyo Odedi nnabbi bye yalagula, n'aguma omwoyo n'aggyawo eby'emizizo byonna mu nsi yonna eya Yuda ne Benyamini ne mu bibuga bye yaggya ku nsi ey'ensozi eya Efulayimu; n'azza obuggya ekyoto kya Mukama ekyali mu maaso g'ekisasi kya Mukama.
9 N'akuŋŋaanya Yuda yenna ne Benyamini n'abo abaabeeranga nabo abaava mu Efulayimu ne Manase ne mu Simyoni: kubanga baamusenga bangi nnyo nga bava mu Isiraeri, bwe baalaba nga Mukama Katonda we ali naye.
10 Awo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okusatu mu mwaka, ogw'ekkumi n'etaano ogw'okufuga kwa Asa.
11 Ne baweerayo ku lunaku olwo eri Mukama nga baggya ku munyago gwe baaleeta ente lusanvu n'endiga kasanvu.
12 Ne bayingira mu ndagaano okunoonya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna;
13 era buli atakkirizenga kunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri attibwenga, oba muto oba mukulu, oba musajja oba mukazi.
14 Ne balayirira Mukama n'eddoboozi ddene n'okwogerera waggulu n'amakondeere n'eŋŋombe.
15 Yuda yenna ne basanyukira ekirayiro ekyo: kubanga baali balayidde n'omutima gwabwe gwonna ne bamunoonya n'okwagala kwabwe kwonna; ne bamulaba: Mukama n'abawa okuwummula enjuyi zonna.
16 Era ne Maaka nnyina Asa kabaka n'amugoba mu bwannamasole kubanga yali akoze ekifaananyi ky'omuzizo okuba Asera; Asa n'atema ekifaananyi kye n'akifuula nfuufu n'akyokera ku kagga Kidulooni.
17 Naye ebifo ebigulumivu ebyaggibwawo mu Isiraeri: naye mutima gwa Asa gwatuukirira ennaku ze zonna.
18 N'ayingiza mu nnyumba ya Katonda ebintu kitaawe bye yawonga n'ebintu bye yawonga ye yennyini, effeeza n'ezaabu n'ebintu.
19 Ne watabanga ntalo nate okutuusa omwaka ogw'asatu mu etaano ogwa Asa.




Essuula 16

1 Awo mu mwaka ogw'asatu mu mukaaga ogw'okufuga kwa Asa, Baasa kabaka wa Isiraeri n'atabaala Yuda, n'azimba Laama obutaganya muntu kufuluma newakubadde okuyingira eri Asa kabaka wa Yuda.
2 Awo Asa n'aggya effeeza n'ezaabu mu by'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'omu nnyumba ya kabaka, n'atumira Benikadadi kabaka w'e Busuuli eyabeeranga e Ddamasiko, ng'ayogera nti
3 Waliwo endagaano eri nze naawe, nga bwe yali eri kitange ne kitaawo: laba, nkuweerezza ffeeza n'ezaabu: genda omenye endagaano yo eri Baasa kabaka wa Isiraeri anveeko.
4 Awo Benikadadi n'awulira kabaka Asa, n'atuma abakulu b'eggye lye okulumba ebibuga bya Isiraeri; ne bakuba Iyoni ne Ddaani ne Aberumayimu n'ebibuga byonna eby'okuterekeramu ebya Nafutaali.
5 Awo lolwatuuka Baasa bwe yakiwulira n'aleka okuzimba Laama n'akomya omulimu gwe.
6 Awo kabaka Asa n'amenya Yuda yenna; ne baggyawo amayinja ag'e Laama n'emiti gyakyo. Baasa bye yazimbya; n'abizimbya Geba ne Mizupa.
7 Era mu biro ebyo Kanani omulabi n'ajja eri Asa kabaka wa Yuda n'amugamba nti Kubanga weesiga kabaka w'e Busuuli n'oteesiga Mukama Katonda wo, eggye lya kabaka w'e Busuuli kye livudde liwona mu mukono gwo.
8 Abaesiyopya n'Abalubimu tebaali ggye ddene kitalo, nga baalina amagaali n'abeebagala embalaasi bangi nnyo nnyini? naye kubanga weesiga Mukama, yabagabula mu mukono gwo.
9 Kubanga amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw'ali ow'amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy'ali. Mu kino okoze eky'obusirusiru; olw'ekyo okuva leero ojja kubanga n'entalo.
10 Awo Asa n'alyoka asunguwalira omulabi, n'amuteeka mu nju ey'ekkomera; kubanga yali amuliko ekiruyi olw'ekigambo ekyo. Asa n'ajooga abamu ku bantu mu biro ebyo.
11 Era, laba, ebikolwa bya Asa ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
12 Ne mu mwaka ogw'amakumi asatu mu mwenda ogw'okufuga kwe Asa n'alwala ebigere; endwadde ye n'enyiikira nnyo: naye bwe yalwala n'atagenda eri Mukama naye eri abasawo.
13 Asa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'afiira mu mwaka ogw'ana mu gumu ogw'okufuga kwe.
14 Ne bamuziika mu ntaana ze ye ze yeebajjira mu kibuga kya Dawudi, ne bamuteeka ku kitanda ekyajjula eby'akaloosa ebiwoomerevu n'envumbo ez'engeri nnyingi, ebyalongoosebwa n'amagezi g'abafumbi ba kalifuwa: ne bamunyookereza bingi nnyo nnyini.




Essuula 17

1 Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye, ne yeenyweza okulwana ne Isiraeri.
2 N'ateeka eggye mu bibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yalya.
3 Mukama n'aba ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu makubo ag'olubereberye aga kitaawe Dawudi n’atagenda eri ba Baali;
4 naye n'agendanga eri Katonda wa kitaawe, n'atambulira mu mateeka ge so si ng'ebikolwa bya Isiraeri bwe byali.
5 Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo.
6 Omutima gwe ne gugulumizibwa mu makubo ga Mukama: era n'aggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda.
7 Era mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'atuma abakungu be, Benikayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda;
8 era wamu nabo Abaleevi, Semaaya ne Nesaniya ne Zebadiya ne Asakeri ne Semiramoosi ne Yekonasaani ne Adoniya ne Tobbiya ne Tobadoniya, Abaleevi; era wamu nabo Erisaama ne Yekolaamu, bakabona.
9 Ne bayigiriza mu Yuda nga balina ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu.
10 Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, n'okulwana ne batalwana ne Yekosafaati.
11 Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo ne ffeeza okuba omusolo; era n'Abawalabu ne bamuleetera embuzi, endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu.
12 Yekosafaati n'aba mukulu nnyo nnyini; n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'okuterekeramu.
13 Era yalina emirimu mingi mu bibuga bya Yuda; n'abasajja abalwanyi n'abasajja ab'amaanyi abazira mu Yerusaalemi.
14 Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; ku Yuda abaami b'enkumi; Aduna omwami, era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu busatu:
15 n'eyamuddirira Yekakanani omwami, era wamu naye obusiriivu bubiri mu obukumi munaana:
16 n'eyamuddirira Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe eri Mukama; era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu bubiri:
17 ne ku Benyamini; Eriyada omusajja ow'amaanyi omuzira, era wamu naye obusiriivu bubiri, abaakwatanga emitego n'engabo:
18 n'eyamuddirira Yekozabadi, era wamu naye akasiriivu mu obukumi munaana, abeeteeseteese okulwana.
19 Abo be baaweerezanga kabaka, obutassaako abo kabaka be yateeka mu bibuga ebyaliko enkomera okubuna Yuda yonna.




Essuula 18

1 Era Yekosafaati yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini; n'afuuka mukoddomi wa Akabu.
2 Awo emyaka bwe gyayitawo n'aserengeta eri Akabu e Samaliya. Akabu n'amuttira endiga n'ente nnyingi nnyo, ye n'abantu abaali naye, n'amusemberera okutabaala e Lamosugireyaadi (wamu naye).
3 Awo Akabu kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati kabaka wa Yuda nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi? Awo n'amuddamu nti Nze ninga ggwe bw'oli, n'abantu bange ng'abantu bo; era (tunaabanga) wamu naawe mu ntalo ezo.
4 Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, buuza ekigambo kya Mukama leero.
5 Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ebikumi bina, n'abagamba nti Tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Katonda alikigabula mu mukono gwa kabaka.
6 Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuzeeko?
7 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama: naye mmukyawa; kubanga tandagulangako birungi wabula ebibi ebyereere; oyo ye Mikaaya mutabani wa Imula. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.
8 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula.
9 Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, nga batudde mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagula mu maaso gaabwe.
10 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.
11 Ne bannabbi bonna ne balagula bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
12 Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba, ebigambo bya bannabbi bimubuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi.
13 Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Katonda wange ky'anaagamba, ekyo kye nnaayogera.
14 Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? N'ayogera nti Mwambuke mulabe omukisa; era baligabulwa mu mukono gwammwe.
15 Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n'ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama?
16 N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe: baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe.
17 Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Sikugambye nga taalagule birungi eri nze wabula ebibi?
18 N'ayogera nti Kale muwulire ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
19 Mukama n'ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu kabaka wa Isiraeri ayambuke e Lamosugireyaadi agwe; Omu n'ayogera bwatyo; omulala n'ayogera bw'atyo.
20 Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze nnaamusendasenda.
21 Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. N'ayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma, okole bw'otyo.
22 Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano; era Mukama akwogeddeko akabi.
23 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'amukuba Mikaaya ku matama, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe.
24 Mikaaya n'ayogera nti Laba, oliraba ku lunaku olwo bw'oliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka.
25 Awo kabaka wa Isiraeri n’ayogera nti Mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka;
26 mwogere nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.
27 Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna.
28 Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.
29 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula ne bayingira mu lutalo.
30 Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami b'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.
31 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; kyebaava bakyama okulwana naye: naye Yekosafaati n'ayogerera waggulu, Mukama n'amuyamba; Katonda n'abamuggyako.
32 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, kale ne bakomawo okumugoberera.
33 Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde, n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumitiddwa nnyo.
34 Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: naye kabaka wa Isiraeri ne yeekakaabiriza mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, okutuusa akawungeezi: awo enjuba bwe yali ng'egwa n'afa.




Essuula 19

1 Awo Yekosafaati kabaka wa Yuda n'akomawo mu nnyumba ye mirembe e Yerusaalemi.
2 Yeeku mutabani wa Kanani omulabi n'afuluma okumusisinkana n'agamba kabaka Yekosafaati nti Kirungi ggwe okuyamba ababi n'obaagala abo abakyawa Mukama? olw'ekigambo ekyo obusungu bukuliko obuva mu maaso ga Mukama.
3 Naye mu ggwe mulabise ebirungi, kubanga waggyawo Baaserosi mu nsi, n'okakasa omutima gwo okunoonya Katonda.
4 Awo Yekosafaati n'abeeranga e Yerusaalemi: n'afuluma nate mu bantu okuva e Beeruseba okutuuka mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abakomyawo eri Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
5 N'assaawo abalamuzi mu nsi okubuna ebibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda, buli kibuga kinnakimu,
6 n'agamba abalamuzi nti Mulowooze bye mukola: kubanga temulamulira bantu wabula Mukama; era ye ali wamu nammwe mu kusala emisango.
7 Kale nno entiisa ya Mukama ebeere ku mmwe; mwekuume mukole bwe mutyo: kubanga tewali butali butuukirivu eri Mukama Katonda waffe newakubadde okusosola mu bantu newakubadde okulya enguzi.
8 Era mu Yerusaalemi Yekosafaati mwe yassa ku Baleevi ne bakabona ne ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri olw'okulamula kwa Mukama n'olw'empaka. Ne bakomawo e Yerusaalemi.
9 Awo n'abakuutira ng'ayogera nti Bwe mutyo bwe muba mukola mu ntiisa ya Mukama n'obwesigwa era n'omutima ogwatuukirira.
10 Era baganda bammwe abali mu bibuga byabwe bwe banaaleetanga gye muli okukaayana kwonna, eruuyi omusaayi n'eruuyi omusaayi, eruuyi etteeka n'eruuyi ekiragiro, eruuyi ebyakuutirwa n'eruuyi emisango, munaabalabulanga baleme okuzza omusango eri Mukama, obusungu ne bujja bwe butyo ku mmwe ne ku baganda bammwe: mukolenga bwe mutyo obutabaako musango.
11 Era, laba, Amaliya kabona omukulu yabafuga mu bigambo byonna ebya Mukama; ne Zebadiya mutabani wa Isimaeri, omukulu w'ennyumba ya Yuda, mu bigambo byonna ebya kabaka: era n'Abaleevi banaabanga baami mu maaso gammwe. Mube n'amaanyi mukole, era Mukama ayambenga abakozi b'obulungi.




Essuula 20

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo abaana ba Mowaabu n'abaana ba Amoni era wamu nabo abamu ku Bamoni ne batabaala Yekosafaati okulwana naye.
2 Awo ne wajja abantu abaamugamba Yekosafaati nti Eggye ddene likutabadde eriva emitala w'ennyanja e Busuuli; era, laba, bali mu Kazazonutamali (ye Engedi).
3 Yekosafaati n'atya ne yeeteekateeka okunoonya Mukama; n'alangira okusiiba mu Yuda yonna.
4 Yuda ne bakuŋŋaana okunoonya okubeerwa eri Mukama: baaviira ddala mu bibuga byonna ebya Yuda okunoonya Mukama.
5 Yekosafaati n'ayimirira mu kkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi mu nnyumba ya Mukama mu maaso g'oluggya oluggya;
6 n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wa bajjajjaffe, toli Katonda mu ggulu? era si ggwe ofuga obwakabaka bwonna obw'amawanga? ne mu mukono gwo mwe muli obuyinza n'amaanyi n'okubaawo ne watabaawo ayinza okukuziyiza.
7 Ai Katonda waffe, si ggwe wagoba abaali mu nsi eno mu maaso g'abantu bo Isiraeri, n'ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo emirembe gyonna?
8 Ne babeera omwo, era bakuzimbidde omwo ekiggwa olw'erinnya lyo, nga boogera nti
9 Obubi bwe bunaatutuukangako, ekitala, omusango, oba lumbe oba njala, tunaayimiriranga mu maaso g'ennyumba eno ne mu maaso go, (kubanga erinnya lyo liri mu nnyumba eno,) ne tukukaabira nga tulabye ennaku, naawe oliwulira n'olokola.
10 Kale nno tunuulira abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri be wagaana Isiraeri okutabaala bwe baava mu nsi y'e Misiri, naye ne bakyama okubavaako ne batabazikiriza;
11 laba, bwe batusasula, okujja okutugoba mu butaka bwo bw'otuwadde okulya.
12 Ai Katonda waffe, tolibasalira musango? kubanga tetulina maanyi n'akatono eri eggye lino eddene eritutabadde: so tetumanyi bwe tuba tukola; naye amaaso gaffe gakutunuulira ggwe.
13 Yuda yenna ne bayimirira mu maaso ga Mukama nga balina abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe, n'abaana baabwe.
14 Awo omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Benaya mutabani wa Yeyeri mutabani wa Mattaniya Omuleevi ow'oku batabani ba Asafu wakati mu kibiina;
15 n'ayogera nti Muwulire, mmwe Abayuda mwenna, nammwe ababeera mu Yerusaalemi, naawe, kabaka Yekosafaati: bw'atyo bw'abagamba Mukama nti Temutya mmwe so temukeŋŋentererwa olw'eggye lino eddene; kubanga olutalo si lwammwe naye lwa Katonda.
16 Enkya muserengete mulwane nabo: laba, bambukira awalinnyirwa e Zizi; nammwe mulibasanga ekiwonvu we kisibuka mu maaso g'eddungu Yerweri.
17 Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno: mwesimbe muyimirire buyimirizi mulabe obulokozi bwa Mukama obuli nammwe, ggwe Yuda ne Yerusaalemi: temutya so temukeŋŋentererwa: enkya mubatabaale; kubanga Mukama ali nammwe.
18 Awo Yekosafaati n'avuunama amaaso ge ku ttaka: ne Yuda yenna n'ababeera mu Yerusaalemi ne bavuunama mu maaso ga Mukama, nga basinza Mukama.
19 Abaleevi ab'oku baana b'Abakokasi n'ab'oku baana b'Abakola ne bayimirira okutendereza Mukama Katonda wa Isiraeri n'eddoboozi ddene nnyo nnyini.
20 Ne bagolokoka enkya mu makya ne bafuluma mu ddungu ery'e Tekowa: awo bwe baali nga bafuluma Yekosafaati n’ayimirira n'ayogera nti Mumpulire, mmwe Abayuda nammwe ababeera mu Yerusaalemi; mukkirize Mukama Katonda wammwe, bwe mutyo bwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, bwe mutyo bwe munaalaba omukisa.
21 Awo bwe yamala okuteesa n'abantu, n'assaawo abo abanaayimbira Mukama ne batendereza obulungi bw'obutukuvu nga bafuluma nga bakulembedde eggye ne boogera nti Mwebaze Mukama; kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Awo bwe baatanula okuyimba n'okutendereza, Mukama n’ateekawo abateezi okuteega abaana ba Amoni ne Mowaabu n'ab'oku lusozi Seyiri, abaali batabadde Yuda; ne bakubibwa.
23 Kubanga abaana ba Amoni ne Mowaabu baalumba ab'oku lusozi Seyiri, okubatta n'okubazikiririza ddala: awo bwe baamalira ddala ab'oku lusozi Seyiri, buli muntu ne beegatta okuzikiriza munne.
24 Awo Yuda bwe baatuuka ku kigo ekikuumirwako eky'omu ddungu, ne batunuulira eggye, kale, laba, nga mirambo egigudde wansi, so tewaali abaawona.
25 Awo Yekosafaati n'abantu be bwe baatuuka okubaggyako omunyago, ne basanga mu bo obugagga bungi n'emirambo n'ebintu eby'omuwendo omungi, bye beeyambulira bokka, obungi bwabyo ne bibalema okutwala: ne bamala ennaku ssatu nga banyaga omunyago, bwe gwali mungi bwe gutyo.
26 Awo ku lunaku olw'okuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu Beraka; kubanga eyo gye beebaliza Mukama: ekifo ekyo kyekyava kituumibwa erinnya kiwonvu Beraka ne leero.
27 Awo ne baddayo, buli muntu owa Yuda n'ow'e Yerusaalemi, Yekosafaati ng'abakulembedde, okuddayo e Yerusaalemi nga basanyuse; kubanga Mukama abawadde okusanyukira abalabe baabwe.
28 Ne bajja e Yerusaalemi nga balina entongooli n'ennanga n'amakondeere eri ennyumba ya Mukama.
29 Entiisa ya Katonda n'eba ku bwakabaka bwonna obw'ensi bwe baawulira Mukama ng'alwana n'abalabe ba Isiraeri
30 Awo amatwale ga Yekosafaati ne gatereera: kubanga Katonda we yamuwa okuwummula enjuyi zonna.
31 Yekosafaati n'afuga Yuda: yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Azuba muwala wa Siruki.
32 N'atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi.
33 Era naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; so n'abantu nga tebannaba kukakasa mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.
34 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Yeeku mutabani wa Kanani, ebyayingizibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri.
35 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yekosafaati ne yeegatta ne Akaziya kabaka wa Isiraeri; oyo n'akola bubi nnyo:
36 ne yeegatta naye okusiba ebyombo eby'okugenda e Talusiisi: ne basibira ebyombo e Ezyonigeba.
37 Awo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow'e Malesa n'alagula ku Yekosafaati ng'ayogera nti Kubanga weegasse ne Akaziya, Mukama azikirizza emirimu gyo. Ebyombo ne bimenyeka n'okuyinza ne bitayinza kugenda e Talusiisi.




Essuula 21

1 Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2 Era yalina ab'oluganda batabani ba Yekosafaati, Azaliya ne Yekyeri ne Zekkaliya ne Azaliya ne Mikayiri ne Sefatiya: abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.
3 Kitaabwe n'abawa ebirabo ebikulu, zaabu ne ffeeza n'ebintu eby'omuwendo omungi, n'ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.
4 Awo Yekolaamu bwe yamala okulinnyisibwa mu bwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala n'abamu ab'oku bakulu ba Isiraeri.
5 Yekolaamu yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
6 N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
7 Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yalagaana ne Dawudi, era nga bwe yasuubiza okumuwa ettabaaza n'abaana be emirembe gyonna.
8 Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka.
9 Awo Yekolaamu n'asomoka n'abaami be n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali.
10 Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo wansi w'omukono gwe kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.
11 Era nate n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'ayenza abaabeeranga mu Yerusaalemi, n'akyamya Yuda.
12 Awo ne wamujjira ekiwandiike ekyava eri Eriya nnabbi ekyogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo newakubadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda;
13 naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oyenza Yuda n'ababeera mu Yerusaalemi, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola; era, n'okutta watta baganda bo ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi:
14 laba, Mukama alirwaza abantu bo kawumpuli mungi n'abaana bo ne bakazi bo n'ebintu byo byonna:
15 naawe oliba n'endwadde nnyingi ebyenda byo nga; birwadde okutuusa ebyenda byo lwe birikuvaamu olw'endwadde eya buli lunaku.
16 Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gw'Abafirisuuti eri Yekolaamu, n'ogw'Abawalabu abaliraanye Abaesiyopya:
17 ne batabaala Yuda, ne bakiwagula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya kabaka ne batabani be ne bakazi be; ne watamusigalirawo mwana n'omu wabula Yekoyakaazi omuto ow'oku baana be,
18 Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Mukama n'amulwaza ebyenda endwadde etewonyezeka.
19 Awo olwatuuka ebiro bwe byayitawo emyaka ebiri nga giwedde ebyenda bye ne bimuvaamu olw'endwadde ye n'afa endwadde nnyingi. Abantu be ne batamunyookereza ng'okunyookeza kwa bajjajjaabe.
20 Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi: n'agenda nga tewali amwegomba; ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.




Essuula 22

1 Awo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya omwana we omuto kabaka mu kifo kye: kubanga ekibiina ky'abasajja abajja n'Abawalabu mu lusiisira baali basse abakulu bonna. Awo Akaziya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'afuga.
2 Akaziya yali yaakamaze emyaka amakumi ana mu ebiri bwe yatanula okufuga; n’afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye yali Asaliya muwala wa Omuli.
3 Era naye n'atambulira mu makubo g'ennyumba ya Akabu: kubanga nnyina ye yamuweereranga okukola obubi.
4 N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga abo be baamuweereranga, kitaawe ng'amaze okufa, okumuzikiriza.
5 Era yatambulanga ng'okuteesa kwabwe bwe kwali n'agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isiraeri okulwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne bafumita Yolaamu ekiwundu.
6 Awo n'akomawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu bye baamufumitira e Laama bwe yalwana ne Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Azaliya mutabani wa Yekolaamu kabaka wa Yuda n'aserengeta okulambula Yekolaamu mutabani wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwadde:
7 Era okuzikirira kwa Akaziya kwava eri Katonda, kubanga yagenda eri Yolaamu: kubanga bwe yajja, n'agenda ne Yekolaamu eri Yeeku mutabani wa Nimusu Mukama gwe yali afuseeko amafuta okumalawo ennyumba ya Akabu.
8 Awo olwatuuka Yeeku bwe yali ng'akomekkereza omusango ku nnyumba ya Akabu n'asanga abakulu ba Yuda n'abaana ba baganda ba Akaziya nga baweereza Akaziya, n'abatta.
9 N'anoonya Akaziya ne bamukwata, (era yali nga yeekwese mu Samaliya,) ne bamuleeta eri Yeeku ne bamutta; ne bamuziika, kubanga baayogera nti Ye mutabani wa Yekosafaati eyanoonya Mukama n'omutima gwe gwonna. Ennyumba ya Akaziya n'eteba na maanyi okunyweeza obwakabaka.
10 Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n’agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka ery'ennyumba ya Yuda.
11 Naye Yekosabeyaasi muwala wa kabaka n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n'amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, n'amuteeka n'omulezi we, mu kisenge ekisulibwamu. Awo Yekosabeyaasi muwala wa kabaka Yekolaamu muka Yekoyaada kabona, (kubanga yali muganda wa Akaziya,) n'amukweka Asaliya, n'atamutta.
12 Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n'afuga ensi.




Essuula 23

1 Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada ne yeenyweza n'alagaanya abaami b'ebikumi, Azaliya mutabani wa Yerokamu ne Isimaeri mutabani wa Yekokanani ne Azaliya mutabani wa Obedi ne Maaseya mutabani wa Adaya ne Erisafaati mutabani wa Zikuli.
2 Awo ne batambulatambula mu Yuda ne bakuŋŋaanya Abaleevi okuva mu bibuga byonna ebya Yuda, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri, ne bajja e Yerusaalemi.
3 Ekibiina kyonna ne balagaana endagaano ne kabaka mu nnyumba ya Katonda. Awo n'abagamba nti Laba, mutabani wa kabaka anaafuga, nga Mukama bwe yayogera ebya batabani ba Dawudi.
4 Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abayingira ku ssabbiiti, ku bakabona ne ku Baleevi, banaabanga baggazi ba nzigi;
5 n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku nnyumba ya kabaka; n'ekitundu eky'okusatu banaabanga ku mulyango ogw'omusingi: n'abantu bonna banaabanga mu mpya ez'ennyumba ya Mukama.
6 Naye walemenga okubaawo anaayingira mu nnyumba ya Mukama wabula bakabona n'abo ab'oku Baleevi abaweereza; abo banaayingiranga, kubanga batukuvu: naye abantu bonna banaakwatanga okukuuma kwa Mukama.
7 Era Abaleevi baneetooloolanga kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingiranga mu nnyumba attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga.
8 Awo Abaleevi ne Yuda yenna ne bakola nga bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti; kubanga Yekoyaada kabona teyasiibula mpalo.
9 Awo Yekoyaada kabona n'awa abaami b'ebikumi amafumu n'obugabo n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Katonda.
10 Awo n'assaawo abantu bonna, buli muntu ng'akutte ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n’ennyumba awali kabaka enjuyi zonna.
11 Awo ne bafulumya omwana wa kabaka ne bamutikkira engule ey'obwakabaka ne bamuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka, Yekoyaada ne batabani be ne bamufukako amafuta; ne boogera nti Kabaka abe mulamu.
12 Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu, nga baddukana era nga batendereza kabaka, n'ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama:
13 n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ye awayingirirwa, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi eyo ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere; era n'abayimbi nabo ne bakuba ebintu ebivuga ne baleetereza oluyimba olw'okutendereza. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogera nti Bujeemu, bujeemu.
14 Awo Yekoyaada kabona n'afulumya abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera attibwe n'ekitala; kubanga kabona yayogera nti Temumuttira mu nnyumba ya Mukama.
15 Awo ne bamusegulira; n'agenda awayingirirwa mu mulyango ogw'embalaasi mu nnyumba ya kabaka: ne bamuttira eyo.
16 Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano naye yennyini n'abantu bonna ne kabaka, babeerenga abantu ba Mukama.
17 Awo abantu bonna ne bagenda mu ssabo lya Baali, ne balimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto.
18 Awo Yekoyaada n'assaawo obwami obw'oku nnyumba ya Mukama wansi w'omukono gwa bakabona Abaleevi, Dawudi be yateekateeka mu nnyumba ya Mukama okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, nga basanyuka era nga bayimba, nga Dawudi bwe yateekateeka.
19 N'assaawo abaggazi ku nzigi z'ennyumba ya Mukama, walemenga okuyingira omuntu yenna atali mulongoofu olw'ekigambo kyonna.
20 N'atwala abaami b'ebikumi n'abakungu n'abakulu b'abantu n'abantu bonna ab'omu nsi; n'aserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama: ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango ogw'engulu eri ennyumba ya kabaka, ne batuuza kabaka ku ntebe y'obwakabaka.
21 Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne batta Asaliya n'ekitala.




Essuula 24

1 Yowaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.
2 Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku zonna eza Yekoyaada kabona.
3 Yekoyaada n'amuwasiza abakazi babiri; n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Yowaasi n'ayagala okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
5 N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti Mufulume mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku Isiraeri yenna ffeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe buli mwaka, era temulema kwanguya ekigambo ekyo. Era naye Abaleevi ne batakyanguya.
6 Awo kabaka n’ayita Yekoyaada omukulu n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okusalira Abaleevi okuleetanga omusolo gwa Musa omuddu wa Mukama olw'eweema ey'obujulirwa nga bagusolooza ku Yuda ne ku Yerusaalemi ne ku kibiina kya Isiraeri?
7 Kubanga batabani ba Asaliya, omukazi oyo omubi, baali bamenye ennyumba ya Katonda; era n'ebintu byonna ebyawongebwa eby'omu nnyumba ya Mukama ne babiwa Babaali.
8 Awo kabaka n'alagira ne bakola essanduuko, ne bagiteeka ebweru awali oluggi olw'ennyumba ya Mukama.
9 Ne balangira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi okuleetera Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yateeka ku Isiraeri mu ddungu.
10 Awo abakulu bonna n'abantu bonna ne basanyuka ne baleeta ne basuula mu ssaaduuko okutuusa lwe baamala.
11 Awo olwatuuka mu kiseera ekyo lwe baaleetanga essanduuko mu nju kabaka w'ateeseza ebigambo mu mukono gw'Abaleevi, era bwe baalaba nga mulimu ebintu bingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu ne bajja ne baggyamu ebintu mu ssanduuko, ne bagitwala ne bagizza mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne basolooza ebintu bingi nnyo.
12 Awo kabaka ne Yekoyaada ne bagiwa abo abaakolanga omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama; ne bagulirira ab'amayinja n'ababazzi okuddaabiriza ennyumba ya Mukama era n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
13 Awo abakozi ne bakola omulimu ne bakamala, ne basimba ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza.
14 Awo bwe baamalira ddala, ne baleeta ebintu ebyafikkawo mu maaso ga kabaka ne Yekoyaada, ne babikoza ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama, ebintu ebiweereza era eby'okuwongeramu, n'ebijiiko, n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza. Ne bawangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama obutayosanga ennaku zonna eza Yekoyaada.
15 Naye Yekoyaada n'akaddiwa, ng'ajjudde ennaku ng'awangadde ennaku nnyingi n'afa; yali yaakamaze emyaka kikumi mu amakumi asatu we yafiira.
16 Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi mu bakabaka kubanga yakola bulungi mu Isiraeri n'eri Katonda n'ennyumba ye.
17 Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde abakulu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawulira.
18 Ne balekanga ennyumba ya Mukama Katonda: wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n'ebifaananyi: obusungu ne bujja ku Yuda ne ku Yerusaalemi olw'omusango gwabwe ogwo.
19 Era naye n'abatumiranga bannabbi okubakomyawo eri Mukama; ne babanga bajulirwa eri bo: naye ne bataganyanga kutega matu.
20 Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona; n'ayimirira wagguluko awali abantu n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti Musobezanga ki ebiragiro bya Mukama n'okuyinza ne mutayinza kulaba mukisa? kubanga mwaleka Mukama, era naye kyavudde abaleka mmwe.
21 Ne bamwekobaana era olw'ekiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya olw'oku nnyumba ya Mukama.
22 Bw'atyo Yowaasi kabaka n'atajjukira kisa kye yakolwa Yekoyaada kitaawe, naye n'atta mutabani we. Awo bwe yali ali kumpi okufa n'ayogera nti Mukama akitunuulire akivunaane.
23 Awo olwatuuka omwaka bwe gwayitawo eggye ery'Abasuuli ne limutabaala: ne bajja eri Yuda ne Yerusaalemi ne bazikiriza abakulu bonna ab'abantu okubamalawo mu bantu, ne baweereza omunyago gwabwe gwonna eri kabaka w'e Ddamasiko.
24 Kubanga eggye ery'Abasuuli lyajja nga balina ekibiina ky'abasajja ekitono; Mukama n'agabula mu mukono gwabwe eggye eddene ennyo nnyini, kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
25 Awo bwe baamuvaako (kubanga baamuleka obulwadde nga bumukutte nnyo) abaddu be ye ne bamwekobaana olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira ku kitanda kye n'afa: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka:
26 Era bano be baamwekobaana; Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu.
27 Era ebya batabani be n'emigugu egyamuteekebwako bwe gyali emikulu n'okuzimba nate ennyumba ya Katonda, laba, byawandiikibwa mu bitegeeza eby'ekitabo kya bassekabaka. Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.




Essuula 25

1 Amaziya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: n'erinnya lya nnyina lyali Yekoyadaani ow'e Yerusaalemi.
2 N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebigolokofu, naye si na mutima ogwatuukirira.
3 Awo olwatuuka obwakabaka bwe bwanywezebwa gy'ali, n'alyoka atta abaddu be abatta kabaka kitaawe.
4 Naye n'atatta baana baabwe, naye n'akola ng'ekyo bwe kiri ekyawandiikibwa mu mateeka ag'omu kitabo kya Musa nga Mukama bwe yalagira nti Kitaabwe talangibwanga gwa baana be okumutta, so n'abaana tebalangibwanga gwa bakitaabwe okubatta; naye buli muntu alangibwenga okwonoona kwe ye okumutta.
5 Era nate Amaziya n'akuŋŋaanya Yuda, n'abateekateeka ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali nga batwalibwa abaami b'enkumi n'abaami b'ebikumi, Yuda yenna ne Benyamini: n'ababala abaakamaze emyaka amakumu abiri n'okukirawo, n'abalaba nga basajja abalonde obusiriivu busatu, abaayinza okutabaala, abaayinza okukwata effumu n'engabo.
6 Era n'agulirira abasajja ab'amaanyi abazira kasiriivu ng'abaggya mu Isiraeii, olwa talanta eza ffeeza kikumi.
7 Naye ne wajja gy'ali omusajja wa Katonda ng'ayogera nti Ggwe kabaka, eggye lya Isiraeri lireme okugenda naawe; kubanga Mukama taliwamu ne Isiraeri, tali wamu n'abaana bonna aba Efulayimu.
8 Naye bw'onooyagala okugenda, kola eby'obuzira, beera n'amaanyi olw'olutalo: Katonda alikumegga mu maaso g'abalabe; kubanga Katonda alina obuyinza okuyamba n'okumegga.
9 Awo Amaziya n'agamba omusajja wa Katonda nti Naye tunaakola tutya olwa talanta ekikumi ze mmaze okuwa eggye lya Isiraeri? Omusajja wa Katonda n'addamu nti Mukama ayinza okukuwa ebisinga ennyo ebyo.
10 Awo Amaziya n'abaawulamu, eggye eryali lizze gy'ali nga livudde mu Efulayimu, okuddayo ewaabwe: obusungu bwabwe kyebwava bubuubuuka ennyo eri Yuda, ne baddayo ewaabwe nga baliko ekiruyi kingi.
11 Awo Amaziya n'aguma omwoyo n'atabaaza abantu be n'agenda mu kiwonvu eky'omunnyo n'atta ku baana ab'oku Seyiri kakumi.
12 Abaana ba Yuda ne bawamba ne batwala kakumi abalala, ne babaleeta waggulu ku lwazi, ne babasuula wansi okuva ku bbanga ly'olwazi, n'okumenyeka ne bamenyeka.
13 Naye abasajja ab'omu ggye Amaziya lye yazzaayo baleme okutabaala naye, ne bagwa ku bibuga bya Yuda okuva e Samaliya okutuuka e Besukolooni, ne battamu enkumi ssatu, ne banyaga omunyago mungi.
14 Awo olwatuuka Amaziya bwe yakomawo ng'asse Abaedomu, n'aleeta bakatonda b'abaana ab'oku Seyiri, n'abasimba okuba bakatonda be, n'avuunama mu maaso gaabwe n'abootereza obubaane.
15 Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Amaziya, n'amutumira nnabbi n'amugamba nti Wagenderanga ki eri bakatonda b'abantu abataawonya bantu baabwe bo mu mukono gwo?
16 Awo olwatuuka bwe yali ng'ayogera naye kabaka n'amugamba nti Twali tukuyingizizza ggwe mu bateesa ne kabaka? lekera awo; wandikubiddwa lwa ki? Awo nnabbi n'alekera awo n'ayogera nti Mmanyi nga Katonda amaliridde okukuzikiriza kubanga wakola ekyo n'otowulira kuteesa kwange.
17 Awo Amaziya, kabaka wa Yuda, n'ateesa ebigambo n'atumira Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Jjangu tulabagane n'amaaso.
18 Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atumira Amaziya kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Omwennyango ogwali ku Lebanooni gwatumira omuvule ogwali ku Lebanooni nga gwogera nti Wa muwala wo mutabani wange amufumbirwe: awo ensolo ey'omu nsiko eyali ku Lebanooni n'eyitawo n'erinnyirira omwennyango.
19 Oyogera nti Laba, okubye Edomu; n'omutima gwo gukugulumizizza okwenyumiriza: obeere nno eka; lwaki okweyingiza mu bitali bibyo n'ofiirwa, n'ogwa, ggwe ne Yuda wamu naawe?
20 Naye Amaziya n'atakkiriza kuwulira; kubanga kyava eri Katonda abagabule mu mukono gw'abalabe baabwe, kubanga baanoonyanga bakatonda ba Edomu.
21 Awo Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'atabaala; ye ne Amaziya kabaka wa Yuda ne balabaganira n'amaaso e Besusemesi ekya Yuda.
22 Yuda n'agobebwa mu so ga Isiraeri; ne baddukira buli muntu mu weema ye.
23 Awo Yekoyaasi kabaka wa Isiraeri n'awambira Amaziya kabaka wa Yuda mutabani wa Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi e Besusemesi, n'amuleeta e Yerusaalemi n'amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku mulyango gwa Efulayimu okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda, emikono ebikumi bina.
24 N'anyaga ezaabu n'effeeza yonna n’ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya Katonda wamu ne Obededomu, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya kabaka, era n'emisingo nabo, n'addayo e Samaliya
25 Awo Amaziya mutabani wa Yowaasi kabaka wa Yuda n'awangaala emyaka kkumi n'etaano Yowaasi mutabani wa Yekoyakaazi kabaka wa Isiraeri ng'amaze okafa.
26 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Amaziya, ebyasooka n'ebyamalirvvako, laba, tebyawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri?
27 Era okuva mu biro Amaziya lwe yakyuka obutagoberera Mukama ne bamwekobaana mu Yerusaalemi; n'addukira e Lakisi naye ne batuma e Lakisi okumugoberera ne bamuttira eyo.
28 Ne bamuleetera ku mbalaasi, ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.




Essuula 26

1 Awo abantu bonna aba Yuda ne baddira Uzziya eyali yaakamaze emyaka ekkumi n'omukaaga ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe Amaziya.
2 N'azimba Erosi, n'akizzaayo eri Yuda, kabaka ng'amaze okwebakira awamu ne bajjajjaabe.
3 Uzziya yali yaakamaze emyaka kkumi na mukaaga bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yekkiriya ow'e Yerusaalemi.
4 N'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Amaziya bye yakola.
5 Ne yeesimba okunoonya Katonda mu nnaku za Zekkaliya eyalina okutegeera mu kwolesebwa kwa Katonda: era ebiro byonna lwe yanoonyanga Mukama, Katonda n'amulabyanga omukisa.
6 Awo n'atabaala n'alwana n'Abafirisuuti n'amenyera ddala bbugwe wa Gaasi ne bbugwe wa Yabune ne bbugwe wa Asudodi; n'azimba ebibuga mu nsi ya Asudodi ne mu Bafirisuuti.
7 Katonda n'amuyambanga ng'alwana n'Abafirisuuti n'Abawalabu abaabeeranga mu Gulubaali n'Abamewunimu.
8 Abamoni ne bawanga Uzziya ebirabo: erinnya lye ne lyatiikirira n'okutuusa awayingirirwa e Misiri; kubanga yaba n'amaanyi mangi nnyo nnyini.
9 Era nate Uzziya n'azimba ebigo mu Yerusaalemi ku luggi olw'oku nsonda ne ku luggi olw'omu kiwonvu ne bbugwe w'akyukira, n'abinyweza.
10 N'azimba ebigo mu ddungu n'abajja ebidiba bingi, kubanga yalina ebisibo bingi; ne mu biwonvu ne mu lusenyi: era yalina abalimi n'abalongoosa emizabbibu ku nsozi ne mu nnimiro engimu; kubanga yayagala nnyo okulima.
11 Era nate Uzziya yalina eggye ery'abasajja abalwanyi, abaatabaalanga ebibiina n'ebibiina, ng'omuwendo gw'okubalibwa kwabwe bwe gwali Yeyeri omuwandiisi gwe yabala, ne Maaseya omwami wansi w'omukono gwa Kananiya omu ku baami ba kabaka.
12 Omuwendo gwonna ogw'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, gwali enkumi bbiri mu lukaaga.
13 Era wansi w'omukono gwabwe ne waba eggye eryayigirizibwa, obusiriivu busatu mu kasanvu mu bitaano, abaalwananga n'obuyinza bungi nnyo, okuyambanga kabaka eri abalabe.
14 Uzziya n'abategekera eggye lyonna engabo n'amafumu n'enkuufiira n'ebizibawo eby'ebyuma n'emitego n'amayinja ag'okuvuumuula.
15 N'akolera mu Yerusaalemi ebyuma ebyagunjibwa abasajja ab'amagezi okubanga ku bigo ne ku nkomera eby'okulasa obusaale n'amayinja amanene. Erinnya lye ne lyatiikirira wala; kubanga yayambwanga kitalo okutuusa lwe yafuna amaanyi.
16 Naye lwe yafuna amaanyi omutima gwe ne gugulumizibwa n'okukola n'akola eby'obukyamu n’ayonoona Mukama Katonda we; kubanga yayingira mu yeekaalu ya Mukama okwotereza obubaane ku kyoto eky'obubaane.
17 Azaliya kabona n'ayingira ng'amuvaako ennyuma, era wamu naye bakabona ba Mukama kinaana abasajja abazira:
18 ne baziyiza Uzziya kabaka, ne bamugamba nti Si mulimu gwo, Uzziya, okwotereza Mukama obubaane wabula gwa bakabona batabani ba Alooni abaayawulibwa okwotezanga obubaane: va mu kigwa; kubanga oyonoonye; so tekiriba kya kitiibwa kyo okuva eri Mukama Katonda.
19 Awo Uzziya n'asunguwala; era yali alina ekyoterezo mu mukono gwe okwoteza obubaane; awo ng'asunguwalidde bakabona ebigenge ne bifuutuuka mu kyenyi kye mu maaso ga bakabona mu nnyumba ya Mukama ku mabbali g'ekyoto eky'obubaane.
20 Awo Azaliya kabona omukulu ne bakabona bonna ne bamutunuulira, era, laba, ebigenge nga bimukutte mu kyenyi, ne banguwa okumusindiikiriza okuvaamu; weewaawo, ye yennyini n'ayanguwa okuvaamu kubanga Mukama amulwazizza.
21 Uzziya kabaka n'abanga omugenge okutuusa ku lunaku kwe yafiira, n'abeeranga mu nnyumba eyayawulibwa nga mugenge; kubanga yaggibwa mu nnyumba ya Mukama: Yosamu mutabani we n'abanga mukulu w'ennyumba ya kabaka, ng'alamula abantu ab'omu nsi.
22 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Uzziya, ebyasooka n'ebyamalirwako, Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi yabiwandiika.
23 Awo Uzziya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika wamu ne bajjajjaabe mu kibanja eky'okuziikangamu ekya bassekabaka; kubanga baayogera nti Mugenge: Yosamu mutabani we n'amuddira mu bigere.




Essuula 27

1 Yosamu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yerusa muwala wa Zadoki.
2 N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali kitaawe Uzziya bye yakolanga: era naye teyayingiranga mu yeekaalu ya Mukama. Abantu ne beeyongeranga okukola eby'obukyamu.
3 N'azimba oluggi olwa waggulu olw'omu nnyumba ya Mukama, n'azimba bingi ku bbugwe wa Oferi.
4 Era n'azimba ebibuga mu nsi ey'ensozi eya Yuda, ne mu kibira n'azimbamu enkomera n'ebigo.
5 Era n'alwana ne kabaka w'abaana ba Amoni n'abawangula. Abaana ba Amoni ne bamuwa mu mwaka ogwo ffeeza talanta kikumi n'eŋŋaano ebigero kakumi ne sayiri kakumi. Era ebyenkana n'ebyo abaana ba Amoni ne bamusasula mu mwaka ogw'okubiri ne mu gw'okusatu.
6 Awo Yosamu n'afuuka ow'amaanyi kubanga yateekateeka amakubo ge mu maaso ga Mukama Katonda we.
7 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosamu n'entalo ze zonna n'amakubo ge, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.
8 Yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi.
9 Yosamu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi: Akazi mutabani we n'amuddira mu bigere.




Essuula 28

1 Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, n'atakola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe:
2 naye n'atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isiraeri, era n'akolera Babaali ebifaananyi ebisaanuuse.
3 Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'ayokera abaana be mu muliro ng'emizizo gy'ab'amawanga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
4 N'aweerangayo n'ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi.
5 Mukama Katonda we kyeyava amugabula mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli; ne bamukuba ne batwala ku babe ekibiina kinene eky'abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Era n'agabulwa mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri, n'amukuba olutta lunene.
6 Kubanga Peka mutabani wa Lemaliya yatta mu Yuda ku lunaku lumu kasiriivu mu obukumi bubiri, bonna basajja bazira; kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
7 Zikuli omusajja ow'amaanyi owa Efulayimu n'atta Maaseya mutabani wa kabaka ne Azulikamu saabakaaki ne Erukaana eyaddirira kabaka.
8 Abaana ba Isiraeri ne batwala nga basibe ku baganda baabwe obusiriivu bubiri, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, era ne babaggyako omunyago mungi, ne baleeta omunyago e Samaliya.
9 Naye nnabbi wa Mukama yali eyo erinnya lye Odedi: naye n'afuluma okusisinkana eggye eryajja e Samaliya, n'abagamba nti Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abagabula mu mukono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu.
10 Ne kaakano mwagala okufuga abaana ba Yuda ne Yerusaalemi, okuba gye muli abaddu n'abazaana: naye nammwe temuliiko byonoono byammwe mmwe bye mwayonoona Mukama Katonda wammwe?
11 Kale nno mumpulire, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe: kubanga ekiruyi ekikambwe ekya Mukama kibaliko.
12 Awo abamu ku mitwe gy'abaana ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Salumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi ne bayimirira okuziyiza abo abaava mu ntalo,
13 ne babagamba nti Temuyingizanga wano abasibe: kubanga mwagala ekyo ekirituleetako ekyonoono eri Mukama okwongera ku bibi byaffe ne ku kwonoona kwaffe: kubanga okwonoona kwaffe kunene, era waliwo ekiruyi ekikambwe eri Isiraeri.
14 Awo abasajja abakutte ebyokulwanyisa ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulu n'ekibiina kyonna.
15 Abasajja abaatuddwa amannya gaabwe ne bagolokoka ne baddira abasibe, ne bambaza omunyago abo bonna mu bo abaali obwereere mu bo n'omunyago, ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta, ne basitulira ku ndogoyi bonna ku bo abanafu, ne babatuusa e Yeriko ekibuga eky'enkindu eri baganda baabwe; awo ne balyoka baddayo e Samaliya.
16 Mu biro ebyo kabaka Akazi n'atumira bakabaka b'e Bwasuli okumuyamba.
17 Kubanga Abaedomu baali bazze olw'okubiri ne bakuba Yuda ne banyaga abasibe.
18 Era n'Abafirisuuti ne batabaala ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'omu bukiika obwa ddyo obwa Yuda, ne bamenya Besusemesi ne Ayalooni ne Gederosi ne Soko n'ebibuga byako ne Timuna n'ebibuga byako, Gimuzo nakyo n'ebibuga byako: ne babeeranga omwo.
19 Kubanga Mukama yatoowaza Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri; kubanga yali akoze eby'ekyejo mu Yuda n'ayonoona nnyo Mukama.
20 Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amweraliikiriza naye n'atamuwa maanyi.
21 Kubanga Akazi yaggya ekitundu ky'ebintu mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka n'ey'abakulu, n'akiwa kabaka w'e Bwasuli: naye ne kitamuyamba.
22 Ne mu kiseera mwe yalabira ennaku ne yeeyongera nate okusobya Mukama, oyo kabaka Akazi.
23 Kubanga yawaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaamukuba: n'ayogera nti Kubanga bakatonda ba bakabaka w'e Busuuli babayamba kyennaava mpaayo ssaddaaka eri bo bannyambe. Naye ne bamuzikiriza ne Isiraeri yenna.
24 Akazi n'akuŋŋaanya ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'atemaatema ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'aggalawo enzigi z'ennyumba ya Mukama; ne yeekolera ebyoto mu Yerusaalemi mu buli kafo.
25 Ne mu buli kibuga kya Yuda kinnakimu n'akolamu ebifo ebigulumivu okwotereza obubaane bakatonda abalala, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26 Era ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
27 Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemi; kubanga tebaamuyingiza mu masiro ga bassekabaka ba Isiraeri: Keezeekiya mutabani we n'amuddira mu bigere.




Essuula 29

1 Keezeekiya yatanula okufuga nga yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano; n'afugira emyaka amakumi abiri mu mwenda mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Abiya muwala wa Zekkaliya.
2 N'akolanga ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga byonna bwe byali Dawudi kitaawe bye yakolanga.
3 Mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe mu mwezi 'ogw'olubereberye n'aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama n'aziddaabiriza.
4 N'ayingiza bakabona n'Abaleevi n'abakuŋŋaanyiza mu kifo ekigazi ku luuyi olw'ebuvanjuba,
5 n'abagamba nti Mumpulire, mmwe Abaleevi; kaakano mwetukuze, mutukuze n'ennyumba ya Mukama Katonda wa bajjajjammwe, muggyeemu eby'obugwagwa mu kifo ekitukuvu.
6 Kubanga bajjajjaffe baasobyanga ne bakolanga ebyali mu maaso ga Mukama Katonda waffe ebibi ne bamuleka ne bakyusa amaaso gaabwe okuva eri ekifo Mukama mw'abeera ne bakikuba amabega gaabwe.
7 Era ne baggalawo enzigi z'ekisasi, ne bazikiza ettabaaza, so tebootezanga bubaane newakubadde okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa' mu kifo ekitukuvu eri Katonda wa Isiraeri.
8 Obusungu bwa Mukama kyebwavanga bubeera ku Yuda ne Yerusaalemi, era abawaddeyo okubayuuganya eruuyi n'eruuyi, okusamaalirirwa n'okusoozebwa, nga bwe mulaba n'amaaso gammwe.
9 Kubanga, laba, bakitaffe baagwa n'ekitala ne batabani baffe ne bawala baffe ne bakazi baffe kyebaava babeera mu busibe.
10 Era kiri mu mutima gwange okulagaana endagaano ne Mukama Katonda wa Isiraeri, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kituveeko.
11 Baana bange, temutenguwanga nno: kubanga Mukama abalonze okuyimiriranga mu maaso ge okumuweerezanga, era mubeerenga abaweereza be, mwotezenga obubaane.
12 Awo Abaleevi ne balyoka bagolokoka, Makasi mutabani wa Amasayi, ne Yoweeri mutabani wa Azaliya, ab'oku baana ba Bakokasi: n'ab'oku baana ba Merali, Kiisi mutabani wa Abudi, ne Azaliya mutabani wa Yekalereri: n'ab'oku Bagerusoni, Yowa mutabani wa Zimma, ne Edeni mutabani wa Yowa:
13 n'ab'oku baana ba Erizafani, Simuli ne Yeweri: n'ab'oku baana ba Asafu, Zekkaliya ne Mattaniya
14 n'ab'oku baana ba Kemani, Yekweri ne Simeeyi: n'ab'oku baana ba Yedusuni, Semaaya ne Wuziyeeri
15 Ne bakuŋŋaanya baganda baabwe ne beetukuza ne bayingira ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali olw'ekigambo kya Mukama, okulongoosa ennyumba ya Mukama.
16 Bakabona ne bayingira mu luuyi olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama okugirongoosa, ne baggyamu eby'obugwagwa byonna bye baalaba mu yeekaalu ya Mukama, ne babireeta mu luggya olw'ennyumba ya Mukama. Abaleevi ne babiddira okubifulumya ebweru eri akagga Kiduloni.
17 Era ne basookera ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye okutukuza, ne ku lunaku olw'omwezi olw'omunaana ne batuuka ku kisasi kya Mukama; ne batukuza ennyumba ya Mukama nu nnaku munaana: ne ku lunaku olw'ekkumi n'omukaaga olw'omwezi ogw'olubereberye ne bamalira ddala.
18 Awo ne balyoka bayingira eri Keezeekiya kabaka munda w'eriyumba ne boogera nti Tumaze okulongoosa ennyumba ya Mukama yonna n'ekyoto ekiweerwako ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebintu byakyo byonna n'emmeeza ey'emigaati egy'okulaga n'ebintu byayo byonna.
19 Era nate ebintu byonna kabaka Akazi bye yasuula bwe yayonoona nga ye afuga, tubitegese ne tubitukuza; era, laba, biri mu naaso g'ekyoto kya Mukama.
20 Awo Keezeekiya kabaka n'agookoka mu makya, n'akuŋŋaanya abakulu b'ekibuga, n'ayambuka mu myumba ya Mukama.
21 Ne baleeta ente musanvu n'endiga ennune musanvu n'abaana b'endiga musanvu n'embuzi ennume musanvu okuba ekiweebwayo olw'ekibi olw'obwakabaka n'olw'ekigwa n'olwa Yuda. N'alagira bakabona batabani ba Alooni okubiweerayo ku kyoto kya Mukama.
22 Awo ne batta ente, bakabona ne batoola omusaayi, ne bagumansira ku kyoto: ne batta embuzi ennume, ne banansira omusaayi ku kyoto: ne batta n'abaana b'endiga, ne bamansira omusaayi ku kyoto.
23 Ne basembeza embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga kabaka n'ekibiina; ne baziteekako emikono:
24 bakabona ne bazitta ne bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi n'omusaayi gwazo ku kyoto, okutangirira Isiraeri yenna: kubanga zabaka yalagira okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo olw'ekibi olwa Isiraeri yenna.
25 N'ateeka Abaleevi mu nnyumba ya Mukama nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Gaadi omulabi wa kabaka n'ekya Nasani nnabbi: kubanga ekiragiro kyava eri Mukama mu bannabbi be.
26 Abaleevi ne bayimirira nga balina ebintu bya Dawudi, ne bakabona nga balina amakondeere.
27 Keezeekiya n'alagira okuweerayo ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. Awo ekiweebwayo ekyokebwa bwe kyatanula okuweebwayo, era n'oluyimba lwa Mukama ne lutanula, n'amakondeere wamu n'ebintu bya Dawudi kabaka wa Isiraeri.
28 Awo ekibiina kyonna ne basinza abayimbi ne bayimba, n'abafuuwa amakondeere ne bafuuwa; ebyo byonna ne byeyongera okubaawo okutuusa ekiweebwayo ekyokebwa lwe kyaggwaawo.
29 Awo bwe baamalira ddala okuwaayo, kabaka ne bonna abaali bali awo naye ne bavuunama ne basinza.
30 Era nate Keezeekiya kabaka n'abakulu ne balagira Abaleevi okuyimba okutendereza Mukama, mu bigambo bya Dawudi n'ebya Asafu omulabi. Ne bayimba okutendereza n'essanyu ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
31 Awo Keezeekiya n'addamu n'ayogera nti Kaakano nga mwewonze eri Mukama, musembere muleete ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaliza mu nnyumba ya Mukama. Ekibiina ne bayingiza ssaddaaka n'ebiweebwayo okwebaza; ne bonna abaalina nmutima ogwagala ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa.
32 N'omuwendo gw'ebiweebwayo ebyokebwa ekibiina bye baaleeta gwali ente nsanvu, endiga ennume kikumi, n'abaana b'endiga ebikumi bibiri: ebyo byonna byali bya kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
33 N'ebintu ebyawongebwa byali ente lukaaga n'endiga enkumi ssatu.
34 Naye bakabona ne bayinga obutono ne batayinza kubaaga ebiweebwayo ebyokebwa byonna: baganda baabwe Abaleevi kyebaava babayamba okutuusa omulimu lwe gwaggwaawo era okutuusa bakabona lwe baamala okwetukuza: kubanga Abaleevi baasinga bakabona okuba n'omutima omugolokofu okwetukuza.
35 Era n'ebiweebwayo ebyokebwa byali bingi nnyo n'amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe n'ebiweebwayo ebyokunywa ebya buli kiweebwayo ekyokebwa. Awo okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama ne kuteekebwateekebwa bwe kutyo.
36 Awo Keezeekiya n'asanyuka n'abantu bonna olw'ekyo Katonda kye yategekera abantu: kubanga ekigambo ekyo baakikolera awo mangu ago.




Essuula 30

1 Awo Keezeekiya n'atumira Isiraeri yenna ne Yuda, era n'awandiikira ebbaluwa Efulayimu ne Manase, bajje mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri.
2 Kubanga kabaka yali ateesezza ne bakulu be n'ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi okukwatira Okuyitako mu mwezi ogw'okubiri.
3 Kubanga tebaayinza kukukwatira mu biro ebyo, kubanga bakabona baali tebannaba kwetukuza abangi ab'okumala, so n'abantu nga tebannakuŋŋaanira e Yerusaalemi.
4 Ekigambo ekyo ne kiba kirungi mu maaso ga kabaka n'ekibiina kyonna.
5 Awo ne bassaawo etteeka okulangira okubuna Isiraeri yenna okuva e Beeruseba okutuuka e Ddaani, bajje okukwata Okuyitako eri Mukama Katonda wa Isiraeri e Yerusaalemi: kubanga tebaakukwatanga abangi ennyo bwe batyo nga bwe kyawandiikibwa.
6 Awo ababaka ne bagenda nga balina ebbaluwa ezaava eri kabaka n'abakulu be okubuna Isiraeri yonna ne Yuda, era ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali, nti Mmwe abaana ba Isiraeri, mukyukire nate Mukama Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, akomewo eri ekitundu kyammwe ekifisseewo ekiwonye mu mukono gwa bakabaka b'e Bwasuli.
7 So temufaanana bajjajjammwe ne baganda bammwe abaasobyanga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'okuwaayo n'abawaayo eri okuzikirira nga bwe mulaba.
8 Kale mmwe temuba ba nsingo nkakanyavu nga bajjajjammwe bwe baali; naye mweweeyo eri Mukama, muyingire mu kigwa kye kye yatukuza emirembe gyonna, muweereze Mukama Katonda wammwe, ekiruyi kye ekikambwe kikyuke kibaveeko.
9 Kubanga bwe munaakyukira nate Mukama, baganda bammwe n'abaana bammwe baliraba okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, ne bakomawo mu nsi eno: kubanga Mukama Katonda wammwe wa kisa, asaasira, so taakyusenga amaaso ge okubavaako, mmwe bwe munaddanga gy'ali.
10 Awo ababaka ne bayita mu nsi ya Efulayimu n'eya Manase nga babuna ebibuga ne batuuka mu Zebbulooni: naye ne babasekerera nnyo ne babaduulira.
11 Era naye abamu ku Aseri ne Manase ne Zebbulooni ne beetoowaza ne bajja e Yerusaalemi.
12 Era ne mu Yuda ne muba omukono gwa Katonda okubawa omutima gumu n'okukola ekiragiro kya kabaka n'eky'abakulu olw'ekigambo kya Mukama.
13 Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi okukwata embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa mu mwezi ogw'okubiri, ekibiina kinene nnyo nnyini.
14 Ne bagolokoka ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi n'ebyoto byonna eby'obubaane ne babiggyawo, ne babisuula mu kagga Kidulooni.
15 Awo ne balyoka batta Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'okubiri: bakabona n'Abaleevi ne bakwatibwa ensonyi, ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama.
16 Ne bayimirira mu kifo kyabwe nga bwe baalagirwa ng'amateeka bwe gali aga Musa omusajja wa Katonda: bakabona na bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gw'Abaleevi.
17 Kubanga mu kibiina mwalimu bangi abateetukuzizza: Abaleevi kyebaava balagirwa omulimu ogw'okutta Okuyitako olwa buli muntu ataali mulongoofu, okubatukuza eri Mukama.
18 Kubanga ku bantu bangi nnyo nnyini, bangi ku Efulayimu ne Manase, Isakaali ne Zebbulooni, baali tebeetukuzizza, naye ne bamala galya Okuyitako naye si nga bwe kyawandiikibwa. Kubanga Keezeekiya yali abasabidde ng'ayogera nti Mukama ow'ekisa asonyiwe buli muntu
19 asimba omutima gwe okunoonya Katonda Mukama, Katonda wa bajjajjaabe, newakubadde nga talongoosebwa ng'okunaazibwa okw'omu kigwa bwe kuli.
20 Awo Mukama n'awulira Keezeekiya, n'awonya abantu.
21 Abaana ba Isiraeri abaali bali awo e Yerusaalemi ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ennaku musanvu n'essanyu lingi: Abaleevi ne bakabona ne batendereza Mukama buli lunaku, nga bayimba n'ebintu ebivuga ennyo eri Mukama.
22 Keezeekiya n'ayogera ebigambo eby'okusanyusa n'Abaleevi bonna abaalina amagezi mu kuweereza Mukama. Awo ne baliira ennaku omusanvu okumala embaga, nga bawaayo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe, era nga baatulira Mukama Katonda wa bajjajaabwe.
23 Awo ekibiina kyonna ne bateesa ebigambo okukwata ennaku musanvu endala: ne bakwata ennaku musanvu endala n'essanyu.
24 Kubanga Keezeekiya kabaka wa Yuda n'awa ekibiina okuba ebiweebwayo ente lukumi n'endiga kasanvu; n'abakulu ne bawa ekibiina, ente lukumi n'endiga kakumi: ne bakabona bangi nnyo ne beetukuza.
25 Ekibiina kyonna ekya Yuda wamu ne bakabona n'Abaleevi n'ekibiina kyonna ekyava mu Isiraeri n'abagenyi abaava mu nsi ya Isiraeri n'abatuula mu Yuda ne basanyuka.
26 Awo ne waba essanyu lingi mu Yerusaalemi: kubanga okuva mu biro bya Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri tewabangawo ebifaanana ebyo mu Yerusaalemi:
27 Awo bakabona Abaleevi ne bagolokoka ne basabira abantu omukisa: eddoboozi lyabwe ne liwulirwa, okusaba kwabwe ne kulinnya mu kifo ekitukuvu mw'abeera, mu ggulu.




Essuula 31

1 Awo ebyo byonna bwe byaggwa, Isiraeri yenna abaali bali awo ne bavaayo ne bagenda mu bibuga bya Yuda, ne bamenyaamenya empagi, ne batemaatema Baasera, ne bamenyera ddala ebifo ebigulumivu n'ebyoto mu Yuda yonna ne Benyamini, era ne mu Efulayimu ne Manase, okutuusa lwe baabizikiriza byonna. Awo abaana ba Isiraeri bonna ne baddayo buli muntu mu butaka bwe, mu bibuga byabwe bo.
2 Awo Keezeekiya n'assaawo empalo za bakabona n'Abaleevi ng'empalo zaabwe bwe zaali, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, bakabona era n'Abaleevi, olw'ebiweebwayo ebyokebwa n'olw'ebiweebwayo olw'emirembe, okuweerezanga n'okwebazanga n'okutendererezanga mu nzigi ez'olusiisira lwa Mukama.
3 Era n'assaawo omugabo gwa kabaka ogw'oku bintu bye olw'ebiweebwayo ebyokebwa, olw'ebiweebwayo ebyokebwa eby'enkya n'eby'akawungeezi, n'ebiweebwayo ebya ssabbiiti n'eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga ezaalagirwa nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama.
4 Era nate n'alagira abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi okuwangayo omugabo gwa bakabona n'Abaleevi, beeweeyo eri amateeka ga Mukama.
5 Awo etteeka bwe lyalangirwa, amangu ago abaana ba Isiraeri ne baleeta bingi nnyo ebibereberye eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta n'omubisi gw'enjuki n'ebibala byonna eby'omu nnimiro, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu byonna ne bakireeta, bingi nnyo.
6 Abaana ba Isiraeri ne Yuda abaabeeranga mu bibuga bya Yuda, era nabo ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'ente n'endiga, n'ekitundu eky'ekkumi eky'ebintu ebyawongebwa ebyayawulirwa Mukama Katonda waabwe, ne babituuma entuumo.
7 Mu mwezi ogw'okusatu mwe baatanulira okutandika entuumo ne bazimalira mu mwezi ogw'omusanvu.
8 Awo Keezeekiya n'abakulu bwe bajja ne balaba entuumo, ne beebaza Mukama n'abantu be Isiraeri.
9 Awo Keezeekiya n'abuuzagana ne bakabona n'Abaleevi eby'entuumo.
10 Azaliya kabona asinga obukulu ow'omu nnyumba ya Zadoki n'amuddamu n'ayogera nti Abantu kasookedde batanula okuleeta ebitone mu nnyumba ya Mukama, nga tulya nga tukkuta nga tulemerwa ddala: kubanga Mukama awadde abantu be omukisa; n'ebyo ebifisseewo bye bintu bino ebyenkanidde awo.
11 Awo Keezeekiya n'alyoka alagira okutegeka enju mu nnyumba ya Mukama; ne bazitegeka.
12 Ne bayingiza ebitone n'ebitundu eby'ekkumi n'ebintu ebyawongebwa, n'obwesigwa: era Konaniya Omuleevi ye yali omukulu waabwe, ne Simeeyi muganda we ye yamuddirira.
13 Ne Yekyeri, ne Azaziya, ne Nakasi, ne Asakeri, ne Yerimosi, ne Yozabadi, ne Eryezi, ne Isumakiya, ne Makasi, ne Benaya be baali balabirizi wansi w'omukono gwa Konaniya ne Simeeyi muganda we olw'ekiragiro kya Keezeekiya kabaka ne Azaliya omukulu w'ennyumba ya Katonda.
14 Ne Kole mutabani va Imuna Omuleevi, omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba, ye yali omukulu w'ebyo bye baawaayo eri Katonda ku bwabwe, okugaba ebirabo bya Mukama n'ebintu ebitukuvu ennyo.
15 Era wansi w'oyo Edene ne Miniyamini ne Yesuwa ne Semaaya, Amaliya ne Sekaniya, mu bibuga bya bakabona, mu mulimu gwabwe ogwalagirwa, okuwanga baganda baabwe mu mpalo, abakulu era n'abato:
16 obutassaako abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasajja bwe kwali, abaakamaze emyaka esatu n'okukirawo, buli eyayingira mu nnyumba ya Mukama, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali, olw'okuweereza kwabwe mu ebyo bye baalagirwa, ng'empalo zaabwe bwe zaali;
17 n'abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali ku bakabona ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, n'Abaleevi abakamaze emyaka amakumi abiri n'okukirawo, mu ebyo bye baalagirwa ng'empalo zaabwe bwe zaali;
18 n'abo abaabalibwa ng'okuzaabwa kwabwe bwe kwali ku baana baabwe bonna abato, abakazi baabwe ne batabani baabwe ne bawala baabwe, okubuna ekibiina kyonna: ubanga beetukuza mu butukuvu mu mulimu gwabwe ogwalagirwa:
19 era olwa batabani ba Alooni bakabona abaali mu nnimiro ez'omu byalo eby'ebibuga byabwe, mu buli kibuga kinnakimu, mwalimu abasajja abaayatulwa amannya gaawe okuwa emigabo abasajja bonna ab'omu bakabona n'abo bonna abaabalibwa ng'okuzaalibwa bwe kwali mu Baleevi.
20 Era bw'atyo Keezekiya bwe yakola ne mu Yuda yonna; n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebirungi era eby'ensonga era eby'obwesigwa.
21 N'omulimu gwonna gwe yatandika mu kuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda ne mu mateeka ne mu biragiro okunoonya Katonda we n'agukola n'omutima gwe gwonna, n'alaba omukisa.




Essuula 32

1 Awo oluvannyuma lw'ebyo n'obwesigwa obwo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'ajja n'ayingira mu Yuda, n'asiisira okwolekera ebibuga ebiriko enkomera, n'alowooza okubyeriira.
2 Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng'amaliridde okulwana ne Yerusaalemi,
3 n'ateesa n'abakulu be n'abasajja be ab'amaanyi okuziba amazzi ag'omu nzizi ezaali ebweru w'ekibuga; ne bamuyamba.
4 Awo abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n'akagga akayita wakati mu nsi nga boogera nti Bakabaka b'e Bwasuli okujja ne basanga amazzi amangi lwaki?
5 N'aguma omwoyo n'azimba bbugwe yenna eyali amenyese n'amugulumiza okwenkana n'ebigo, ne bbugwe omulala ebweru, n'anyweza Mirro mu kibuga kya Dawudi, n'akola ebyokulwanyisa n'engabo bingi nnyo.
6 N'assaawo abaami abalwanyi okufuga abantu, n'abakuŋŋaanyiza gy'ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w'ekibuga, n'ayogera nabo ebigambo eby'okusanyusa nti
7 Mube n'amaanyi mugume emyoyo, temutya so temukeŋŋentererwa olwa kabaka w'e Bwasuli newakubadde eggye lyonna eriri naye: kubanga waliwo omukulu ali naffe okusinga abali naye:
8 wamu naye waliwo omukono ogw'omubiri; naye wamu naffe waliwo Mukama Katonda waffe okutuyamba n'okulwana entalo zaffe. Abantu ne banywerera ku bigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.
9 Oluvannyuma lw'ebyo Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli n'atuma abaddu be e Yerusaalemi (era yali ng'ayolekedde Lakisi n'amaanyi ge gonna wamu naye,) eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n'eri Yuda yenna abaali e Yerusaalemi, ng'ayogera nti
10 Bw'atyo bw'ayogera Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli nti Mwesiga ki n'okulinda ne mulinda okuzingizibwa mu Yerusaalemi?
11 Keezeekiya tabasendasenda okubawaayo okufa enjala n'ennyonta, ng'ayogera nti Mukama Katonda waffe alituwonya mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli?
12 Keezeekiya oyo si ye yaggyawo ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'alagira Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto ekimu kyokka, era okwo kwe munaayotererezanga obubaane?
13 Temumanyi nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag'omu nsi endala? Bakatonda b'amawanga ag'omu nsi ezo baayinza n'akatono okuwonya ensi zaabwe mu mukono gwange?
14 Katonda ki ku bakatonda bonna ab'amawanga gali bajjajjange ge baazikiririza ddala, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe ayinze okubawonya mu mukono gwange?
15 Kale nno Keezeekiya aleme okubalimba newakubadde okubasendasenda bw'atyo, so temumukkiriza: kubanga tewali katonda ow'eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange: kale okusinga ennyo Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?
16 Abaddu be ne beeyongera okuvuma Mukama Katonda n'omuddu we Keezeekiya.
17 Era n'awandiika okuvvoola Mukama Katonda wa Isiraeri, n'okumwogerako obubi nti Nga bakatonda b'amawanga ag'omu nsi endala abataawonya bantu baabwe mu mukono gwange, bw'atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw'ataliwonya bantu be mu mukono gwange.
18 Ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene mu lulimi olw'Abayudaaya eri abantu ab'e Yerusaalemi abaali ku bbugwe, okubatiisa, n'okubeeraliikiriza; balyoke bamenye ekibuga.
19 Ne boogera ku Katonda ow'e Yerusaalemi nga bamufaananya bakatonda ab'amawanga ag'omu nsi omulimu gw'emikono gy'abantu.
20 Keezeekiya kabaka ne Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi ne basaba olw'ekigambo ekyo ne bakaaba eri eggulu.
21 Mukama n'atuma malayika n'amalawo abasajja bonna ab'amaanyi abazira n'abakulu n'abaami mu lusiisira lwa kabaka w'e Bwasuli. Awo n'addayo mu nsi ye amaaso ge nga gakwatiddwa ensonyi: Awo bwe yatuuka mu ssabo lya katonda we, abo abaava mu ntumbwe ze ye ne bamuttira eyo n'ekitala.
22 Bw'atyo Mukama bwe yawonya Keezeekiya n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli ne mu mukono gw'abalala bonna n'abaluŋŋamya enjuyi zonna.
23 Awo bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, n'ebintu eby'omuwendo omungi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda: n'okugulumizibwa n'agulumizibwa mu maaso g'amawanga gonna okuva ku lunaku olwo.
24 Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa: n'asaba Mukama; n'ayogera naye n'amuwa akabonero.
25 Naye Keezeekiya n'atasasula nate ng'ekisa bwe kyali kye yakolwa; kubanga omutima gwe gwegulumiza: obusungu kyebwava bubeera ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi.
26 Era naye Keezeekiya ne yeetoowaza olw'amalala ag'omutima gwe, ye n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi, obusungu bwa Mukama ne butabatuukako ku mirembe gya Keezeekiya.
27 Era Keezeekiya yalina obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo nnyini: ne yeefunira amawanika aga ffeeza n'aga zaabu n'ag'amayinja ag'omuwendo omungi n'ag'eby'akaloosa n'ag'engabo n'ag'ebintu byonna ebirungi;
28 era n'ennyumba ez'okuterekeramu omwaka ogw'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta: n'ennyumba ez'ebisolo eby'engeri zonna n'amagana mu bisibo.
29 Era ne yeefunira ebibuga n'embuzi n'ente bye yalina bingi nnyo: kubanga Katonda yali amuwadde ebintu bingi nnyo nnyini.
30 Oyo Keezeekiya n'aziba oluzzi olwa waggulu olw'amazzi aga Gikoni, n'agaluŋŋamya okugaserengeseza ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga kya Dawudi. Keezeekiya n'alaba omukisa mu mirimu gye gyonna.
31 Naye mu bigambo by'ababaka b'abakulu b'e Babulooni abaamutumira okubuuza eky'amagero ekyakolebwa mu nsi, Katonda n'amuleka okumukema alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.
32 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Keezeekiya n'ebirungi bye yakola, laba, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
33 Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika awalinnyirwa mu masiro ga batabani ba Dawudi: Yuda yenna n'abo abaabeeranga mu Yerusaalemi ne bamussaamu ekitiibwa bwe yafa. Manase mutabani we n'amuddira mu bigere.




Essuula 33

1 Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
3 Kubanga yazimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yamenyaamenya; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Baasera n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza.
4 N'azimba ebyoto mu nnyumba ya Mukama, Mukama gye yagambako nti Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.
5 Era n'azimbira eggye lyonna ery'omu ggulu ebyoto mu mpya ebbiri ez'ennyumba ya Mukama.
6 Era n'ayisa mu muliro abaana be mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n'alaguza ebire n'aba n'eby'obulogo n'eby'obuganga: n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.
7 N'asimba ekifaananyi ekyole eky'esanamu kye yakola mu nnyumba ya Katonda, Katonda gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneerobozezza mu bika byonna ebya Isiraeri we nnaateekanga erinnya lyange emirembe gyonna:
8 so sijjululenga nate kigere kya Isiraeri okuva mu nsi gye nnateekerawo bajjajjammwe; bwe baneekuumanga okukola byonna bye mbalagidde, amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo mu mukono gwa Musa.
9 Manase n'awabya Yuda n'abali mu Yerusaalemi ne bakola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga, Mukama ge yazikiririza mu maaso g'abaanai ba Isiraeri.
10 Mukama n'ayogerako ne Manase n'abantu be: naye ne batawulira.
11 Mukama kyeyava abaleetako abaami b'eggye lya kabaka w'e Bwasuli, ne batwalira Manase mu njegere, ne bamusiba n'amasamba, ne bamutwala e Babulooni.
12 Awo bwe yalaba ennaku, ne yeegayirira Mukama Katonda we ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe.
13 N'amusaba; ne yeegayirirwa ye n'awulira okwegayirira kwe n'amukomyawo e Yerusaalemi mu bwakabaka bwe. Awo Manase n'amanya Mukama nga ye Katonda.
14 Awo oluvannyuma lw'ebyo n'azimba bbugwe ow'ebweru ku kibuga kya Dawudi ku luuyi lwa Gikoni olw'ebugwanjuba mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu mulyango ogw'ebyennyanja; ne yeetoolooza Oferi n'akigulumiza waggulu nnyo nnyini: n'ateeka abaami abazira mu bibuga byonna ebya Yuda ebyaliko enkomera.
15 N'aggyawo bakatonda ab'amawanga n'ekifaananyi mu nnyuniba ya Mukama n'ebyoto byonna bye yali azimbye ku lusozi olw'ennyumba ya Mukama ne mu Yerusaalemi, n'abisuula ebweru w'ekibuga.
16 N'azimba obuggya ekyoto kya Mukama n'aweerayo okwo ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe n'ez'okwebaza, n'alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isiraeri.
17 Naye abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, naye eri Mukama Katonda waabwe yekka.
18 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Manase n'okusaba kwe yasaba Katonda we n'ebigambo by'abalabi abaayogereranga naye mu linnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri, laba, byawandiikibwa mu bikolwa bya bassekabaka ba Isiraeri.
19 N'okusaba kwe era Katonda bwe yeegayirirwa ye n'okwonoona kwe kwonna n'okusobya kwe n'ebifo mwe yazimbira ebifo ebigulumivu n'asimba Baasera n'ebifaananyi ebyole nga tannaba kwetoowaza: laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Kozayi.
20 Awo Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu nnyumba ye ye: Amoni mutabani we n'amuddira mu bigere.
21 Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi.
22 N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi nga Manase kitaawe bwe yakolanga: Amoni n'awangayo ssaddaaka eri ebifaananyi ebyole byonna Manase kitaawe bye yakola n'abiweerezanga.
23 N'ateetoowaza mu maaso ga Mukama nga Manase kitaawe bwe yeetoowaza; naye Amoni oyo ne yeeyongerayongeranga okusobya.
24 Abaddu be ne bamwekobaana ne bamuttira mu nnyumba ye ye.
25 Naye abantu ab'omu nsi ne batta bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.




Essuula 34

1 Yosiya yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi.
2 N'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambuliranga mu maknbo ga Dawudi kitaawe n'atakyukira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
3 Kubanga mu mwaka ogw'omunaana ogw'okufuga kwe, ng'akyali muto, n'atanula okunoonya Katonda wa Dawudi kitaawe: ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri mwe yatanulira okulongoosa Yuda ne Yerusaalemi okumalamu ebifo ebigulumivu ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse.
4 Ne bamenyaamenyera ebyoto bya Babaali mu maaso ge; n'ebifaananyi by'enjuba ebyali waggulu ku byo n'abitemaatema; ne Baasera n'ebifaananyi ebyole n'ebifaananyi ebisaanuuse n'abimenyaamenya n'abifuula enfuufu n'agimansira ku malaalo g'abo abaabiwongeranga.
5 Era n'ayokera amagumba ga bakabona ku byoto byabwe, n'alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.
6 Era bw'atyo bwe yakola ne mu bibuga bya Manase ne Efulayimu ne Simyoni okutuuka ku Nafutaali mu matongo gaabyo enjuyi zonna.
7 N'amenyaamenya ebyoto, n'asekula Baasera n'ebifaananyi ebyole n'abifuula enfuufu, n'atemaatema ebifaananyi byonna eby'enjuba okubuna ensi yonna eya Isiraeri, n'akomawo e Yerusaalemi.
8 Awo mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'okufuga kwe bwe yamala okulongoosa ensi n'ennyumba, n'atuma Safani mutabani wa Azaliya ne Maaseya eyafuga ekibuga ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza okuddaabiriza ennyumba ya Mukama Katonda we.
9 Ne bajja eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abaggazi gye baali basoloozezza mu mukono gwa Manase ne Efulayimu ne ku kitundu kyonna ekya Isiraeri ekifisseewo ne ku Yuda yenna ne Benyamini ne ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi.
10 Ne bagiwaayo mu mukono gw'abakozi abaalabiriranga ennyumba ya Mukama; abakozi abaakola omulimu mu nnyumba ya Mukama ne bagiwa okulongoosa n'okuddaabiriza ennyumba;
11 baagiwa ababazzi n'abazimbi, okugula amayinja amabajje n'emiti egy'okuyunga n'okubajja emiti egy'ennyumba bassekabaka ba Yuda ze baazikirizanga.
12 Abasajja ne bakola omulimu n'obwesigwa: abalabirizi baabwe be bano, Yakasi ne Obadiya, Abaleevi ab'oku batabani ba Merali; ne Zekkaliya ne Mesullamu, ab'oku batabani b'Abakokasi, okugikoza: n'abalala ku Baleevi, bonna abalina amagezi ag'ebintu ebivuga.
13 Era baalabirira abeetissi b'emigugu, ne bakoza bonna abaakola omulimu mu kuweereza okw'engeri zonna: ne ku Baleevi kwaliko abawandiisi n'abaami n'abaggazi.
14 Awo bwe baggyamu effeeza eyaleetebwa mu nnyumba ya Mukama, Kirukiya kabona n'alaba ekitabo eky'amateeka ga Mukama agaaweerwa mu mukono gwa Musa.
15 Awo Kirukiya n'addamu n'agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Kirukiya n'awa Safani ekitabo.
16 Awo Safani n'atwala ekitabo eri kabaka, era n'addiza kabaka ebigambo nti Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola.
17 Era baggyeemu effeeza ezaasangibwa mu nnyumba ya Mukama ne baziwa mu mukono gw'abalabirizi ne mu mukono gw'abakozi.
18 Awo Safani omuwandiisi n'abuulira kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'asoma omwo mu maaso ga kabaka.
19 Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo eby'amateeka n'ayuza ebyambalo bye.
20 Awo kabaka n'alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani ne Abudoni mutabani wa Mikka ne Safani omuwandiisi ne Asaya omuddu wa kabaka ng'ayogera nti
21 Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abo abasigadde mu Isiraeri ne mu Yuda, eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obufukiddwa ku ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaakwatanga kigambo kya Mukama okukola nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
22 Awo Kirukiya n'abo kabaka be yali alagidde ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tokasi mutabani wa Kasula omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye bwe batyo.
23 Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti
24 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kye basomye mu maaso ga kabaka lwa Yuda:
25 kubanga banvuddeko ne bookera obubaane bakatonda abalala, bansuguwaze n'emirimu gyonna egy'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuvudde bufukibwa ku kifo kino so tebulizikira.
26 Naye kabaka wa Yuda abatumye okubuuza Mukama, bwe mutyo bwe muba mumugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Olw'ebigambo by'owulidde,
27 kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda bw'owulidde ebigambo bye ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo n'okaabira amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama.
28 Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino ne ku abo abakirimu. Ne baddiza kabaka ebigambo.
29 Awo kabaka n'atuma, n'akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n'ab'e Yerusaalemi.
30 Kabaka n’ayambuka mu nnyumba ya Mukama, n'abasajja bonna aba Yuda ne bonna abatuula mu Yerusaalemi ne bakabona n'Abaleevi n'abantu bonna, abakulu n'abato: n'asomera mu matu gaabwe ebigambo byonna eby'ekitabo eky'endagaano ekizuuliddwa mu nnyumba ya Mukama.
31 Kabaka n'ayimirira mu kifo kye, n'alagaanira endagaano mu maaso ga Mukama okutambulanga okugobereranga Mukama n'okukwatanga amateeka ge n'ebyo bye yategeeza n'ebiragiro bye n'omutima gwe gwonna n'emmeeme ye yonna, okutuukiriza ebigambo by'endagaano ebyawandiikibwa mu kitabo kino.
32 Awo n'awaliriza bonna abaalabika mu Yerusaalemi ne Benyamini okugyesibira. Abo abaali mu Yerusaalemi ne bakola ng'endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe, bwe yali.
33 Yosiya n'aggya emizizo gyonna mu nsi zonna ez'abaana ba Isiraeri, n'aweerezesa bonna abaalabika mu Isiraeri, okuweereza Mukama Katonda waabwe. Ennaku ze zonna tebaalekanga kugoberera Mukama, Katonda wa bajjajjaabwe.




Essuula 35

1 Awo Yosiya n'akwata Okuyitako eri Mukama mu Yerusaalemi: ne batta Okuyitako ku (lunaku) olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye.
2 N'ateeka bakabona mu ebyo bye baalagirwa n'abagumya omwoyo olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama.
3 N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, abatukuvu eri Mukama, nti Muteeke essanduuko entukuvu mu nnyumba Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri gye yazimba; tewakyabeera mugugu ku bibegabega byammwe: muweereze nno Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri.
4 Era mweteeketeeke ng'ennyumba za bakitammwe bwe ziri mu mpalo zammwe, ng'ekiwandiike bwe kiri ekya Dawudi kabaka wa Isiraeri n'ekiwandiike kya Sulemaani mutabani we.
5 Era muyimirire mu kifo ekitukuvu ng'ennyumba za bakitaabwe eza baganda bammwe abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, era wabeewo eri buli muntu omugabo ogw'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abaleevi.
6 Era mutte Okuyitako mwetukuze muteekereteekere baganda bammwe okukola ng'ekigambo kya Mukama bwe kiri mu mukono gwa Musa.
7 Awo Yosiya n'awa abaana b'abantu ku mbuzi abaana b'endiga n'ab'embuzi, zonna ez'ebiweebwayo ez'Okuyitako eri bonna abaali eyo okuweza obukumi busatu, n'ente enkumi ssatu: ezo zaali za ku bintu bya kabaka.
8 N'abakulu be ne bawa abantu okuba ekiweebwayo ku bwabwe, eri bakabona n'Abaleevi. Kirukiya ne Zekkaliya ne Yekyeri, abaafuga ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi bbiri mu lukaaga n'ente ebikumi bisatu.
9 Era Konaniya ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, ne bawa Abaleevi olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi ttaano n'ente ebikumi bitaano.
10 Bwe kutyo okuweereza ne kuteekebwateekebwa, bakabona ne bayimirira mu kifo kyabwe, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali.
11 Ne batta Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gwabwe, Abaleevi ne bazibaaga.
12 Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ente.
13 Ne bookya Okuyitako omuliro ng'ekiragiro bwe kyali: n'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu seffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu eri abaana b'abantu bonna.
14 Awo oluvannyuma ne beeteekerateekera bokka ne bakabona; kubanga bakabona batabani ba Alooni tebaalina bbanga olw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka ne bakabona batabani ba Alooni.
15 N'abayimbi batabani ba Asafu baali mu kifo kyabwe, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka; n’abaggazi baali ku buli luggi: tebeetaaga kuva ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
16 Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olwo okukwata Okuyitako n'okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali.
17 Abaana ba Isiraeri abaali eyo ne bakwata Okuyitako mu biro ebyo n'embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa, ennaku musanvu.
18 So tewabangawo Kuyitako okwafaanana okwo okwakwatibwa mu Isiraeri okuva ku biro bya Samwiri nnabbi; so tewabangawo ku bassekabaka ba Isiraeri eyakwata Okuyitako okufaanana okwo Yosiya kwe yakwata, ne bakabona n'Abaleevi ne Yuda yenna ne Isiraeri abaali eyo n’abo abaali mu Yerusaalemi.
19 Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'okufuga kwa Yosiya mwe baakwatira Okuyitako okwo.
20 Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya bwe yamala okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n'atabaala Kalukemisi mu kkubo lya Fulaati: Yosiya n'afuluma okulwana naye.
21 Naye n'atuma ababaka eri ye ng'ayogera nti Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? sitabaala ggwe leero wabula ennyumba gye nnwana nayo; era Katonda andagidde okwanguwa: va ku Katonda ali nange aleme okukuzikiriza.
22 Naye Yosiya n'ataganya kukyusa amaaso ge okumuvaako, naye ne yeefuula okulwana naye, n'atawulira bigambo bya Neeko ebyava eri akamwa ka Katonda, n'ajja okulwanira mu kivonvu Megiddo.
23 Abalasi ne balasa kabaka Yosiya; kabaka n'aganba abaddu be nti Munziyeewo; kubanga nfumitiddwa nnyo.
24 Awo abaddu be ne bamuggya nu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye ery'okubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yenna ne Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya.
25 Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya: n'abasajja bonna abayimbi n'abakazi abayimbi ne boogera ku Yosiya nu kukungubaga kwabwe ne leero; ne bakufuula etteeka mu Isiraeri: era, laba, kwawandiikibwa mu kukungubaga.
26 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'ebyo bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mutama,
27 n'ebikolwa bye ebyasooka n'eby'amalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.




Essuula 36

1 Awo abantu ab'omu nsi ne baddira Yekoyakaazi mutabani wa Yosiya ne bamufuula kabaka mu kifo kya kitaawe mu Yerusaalemi.
2 Yekoyakaazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri nu esatu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu mu Yerusaaemi.
3 Kabaka w'e Misiri n'amugoba ku ntebe e Yerusaalemi, n'aweesa ensi talanta eza ffeeza kikumi ne talanta eya zaabu.
4 Kabaka w'e Misiri n'afuula Eriyakimu muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi, n'awaanyisa erinnya lye n'alifuula Yekoyakimu. Neeko n'atwala Yekoyakaazi muganda we n'amutwala e Misiri.
5 Yekoyakimu yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu etaano bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerumalemi: n'akolanga ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi.
6 Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'amutabaala, n'amusiba mu masamba okumutwala e Babulooni.
7 Era Nebukadduneeza n'atwala ku bintu eby'omu myumba ya Mukama e Babulooni, n'abiteeka mu yeekaalu ye e Babulooni.
8 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakimu n'emizizo gye gye yakolanga n'ebyo ebyalabika mu ye, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda: Yekoyakini mutabani we n'amuddira mu bigere.
9 Yekoyakini yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyezi esatu ko ennaku kkumi mu Yerusaalemi: n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
10 Awo omwaka bwe gwadda kabaka Nebukadduneeza n'atuma n'amuleeta e Babulooni wamu n'ebintu ebirungi eby'omu nnyumba ya Mukama, n'afuula Zeddekiya muganda we kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.
11 Zeddekiya yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu gumu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka kkumi na gumu mu Yerusaalemi:
12 n'akola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama Katonda we ebibi; teyeetoowaza mu maaso ga Yeremiya nnabbi ng'ayogera ebiva mu kamwa ka Mukama.
13 Era n'ajeemera kabaka Nebukadduneeza eyali amulayizza Katonda: naye n'akakanyaza ensingo ye n'akalubya omutima gwe obutakyukira Mukama Katonda wa Isiraeri.
14 Era nate abakulu bonna aba bakabona n'abantu ne basobya nnyo okugobereranga emizizo gyonna egy'ab'amawanga; ne bagwagwawaza ennyumba ya Mukama gye yatukuza mu Yerusaalemi.
15 Mukama Katonda wa bajjajjaabwe n'abatumiranga mu babaka be, ng'agolokoka mu makya n'atuma; kubanga yasaasira abantu be n'ekifo mw'abeera:
16 naye ne baduuliranga ababaka ba Katonda ne banyoomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be okutuusa obusungu bwa Mukama lwe bwabaawo eri abantu be, ne watabaawo kuwona.
17 Kyeyava abaleetako kabaka w'Abakaludaaya, n'attira abalenzi baabwe n'ekitala mu nnyumba ey'ekigwa kyabwe, ne batasaasira mulenzi newakubadde omuwala, omukadde newakubadde akootakoota: bonna yabagabula mu mukono gwe.
18 N'ebintu byonna eby'omu nnyumba ya Katonda, ebikulu n'ebito, n'eby'obugagga eby'omu nnyumba ya Mukama n'eby'obugagga bya kabaka n'eby'abakulu be; ebyo byonna n'abireeta e Babulooni.
19 Ne bookya ennyumba ya Katonda ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi, ne bookya omuliro amayumba gaamu gonna, ne bazikiriza ebintu byamu byonna ebirungi.
20 N'abo abaali bawonye ekitala n'abatwala e Babulooni; ne baba baddu eri ye n'eri batabani be okutuusa ku kufuga kw'obwakabaka bw'Obuperusi:
21 okutuukiriza ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya okutuusa ensi lwe yasanyukira ssabbiiti zaayo: kubanga ennaku zonna ze yazikira yakwata ssabbiiti; okuweza emyaka nsanvu.
22 Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, n'okulangira n'alangira okubuna obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera nti
23 Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katanda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Mukama Katonda we abeere naye, ayambuke.