Nekkemiya

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13


-Reset+

Essuula 1

1 Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya. Awo olwatuuka mu mwezi Kisulevu mu mwaka ogw'amakumi abiri, bwe nnali nga ndi mu Susani olubiri,
2 Kanani omu ku baganda bange n'ajja, ye n'abasajja abamu abaava mu Yuda; ne mbabuuza ebigambo by'Abayudaaya abaawona, abaali basigadde mu busibe, n'ebigambo by'e Yerusaalemi.
3 Ne baŋŋamba nti Ekitundu ekifisseewo abasigadde mu busibe eyo mu ssaza balabye ennaku nnyingi n'okuvumibwa: era bbugwe wa Yerusaalemi amenyesemenyese, n'emiryango gyakyo gyokeddwa omuliro.
4 Awo olwatuuka bwe nnawulira ebigambo ebyo ne ntuula ne nkaaba amaziga, ne nnakuwalira ennaku ezimu; ne nsiiba ne nsaba mu maaso ga Katonda w'eggulu,
5 ne njogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama Katonda w'eggulu, Katonda omukulu ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira eri abo abamwagala ne bakwata ebiragiro bye:
6 okutu kwo kuwulire nno, n'amaaso go gazibuke, owulire okusaba kw'omuddu wo kwe nsaba mu maaso go mu biro bino emisana n'ekiro, olw'abaana ba Isiraeri abaddu bo, nga njatula ebibi eby'abaana ba Isiraeri bye twakwonoona: weewaawo, nze n'ennyumba ya kitange twayonoona.
7 Twakola eby'obukyamu ennyo gy'oli, so tetwakwata biragiro newakubadde amateeka newakubadde emisango bye walagira omuddu wo Musa.
8 Nkwegayiridde, jjukira ekigambo kye walagira omuddu wo Musa ng'oyogera nti Bwe munaasobyanga, naabasaasaanyizanga ddala mu mawanga:
9 naye bwe munaakomangawo gye ndi ne mukwatanga ebiragiro byange ne mubikolanga, newakubadde ng'abammwe abaagobebwa nga banaabanga ku nkomerero y'eggulu, naye naabakuŋŋaanyanga okubaggyayo, ne mbaleetanga mu kifo kye nneeroboza okutuuza omwo erinnya lyange.
10 Kale bano be baddu bo era be bantu bo be wanunula n'obuyinza bwo obungi n'omukono gwo ogw'amaanyi.
11 Ai Mukama, nkwegayiidde okutu kwo kuwulire nno okusaba kw’omuddu wo n’okw’abaddu bo abasanyukira okutya erinnya lyo: owe omuddu wo omukisa leero, omuwe okusaasirwa mu maaso g'omusajja ono. (Era nali ndi musenero wa kabaka.)




Essuula 2

1 Awo olwatuuka mu mwezi Nisani mu mwaka ogw'amakumi abiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, omwenge bwe gwali guli mu maaso ge, ne nsitula omwenge ne nguwa kabaka. Era obw'edda bwonna nga sinakuwaliranga mu maaso ge.
2 Kabaka n'aŋŋamba nti Kiki ekinakuwazizza amaaso go, okulwala nga tolwadde? kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw'omu mutima. Awo ne ndyoka ntya nnyo.
3 Ne ŋŋamba kabaka nti Kakaba abe omulamu emirembe gyonna: kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala, ekibuga, ekifo eky'amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n'emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?
4 Awo kabaka n'aŋŋamba nti Weegayirira ki? Awo ne nsaba Katonda w'eggulu.
5 Ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, era oba ng'omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky'amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.
6 Kabaka n'aŋŋamba, (kaddulubaale naye ng'atudde naye,) nti Olugendo lwo luliba lwa nnaku mmeka? era olidda ddi? Awo kabaka n'asiima okuntuma; ne mmulaga ekiseera.
7 Era nate ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw'anaasiima, mpeebwe ebbaluwa eri abaamasaza abali emitala w'omugga, bampiseemu ntuuke mu Yuda;
8 n'ebbaluwa eri Asafu omukuumi w'ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez'enzigi z'ekigo eky'ennyumba era eza bbugwe w'ekibuga n'ez'ennyumba gye ndiyingira. Kabaka n'ampa olw'omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze.
9 Awo ne njija eri abaamasaza abaali emitala w'omugga ne mbawa ebbaluwa za kabaka. Era kabaka yali atumye nange abaami b'eggye n'abeebagala embalaasi.
10 Awo Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni bwe baakiwulira, ne kibanakuwaza nnyo kubanga omusajja azze okugezaako okuyamba abaana ba Isiraeri.
11 Awo ne njija e Yerusaalemi ne mmalayo ennaku ssatu.
12 Ne ngolokoka kiro, nze n'abasajja si bangi wamu nange; so saabuulirako muntu Katonda wange kye yateeka mu mutima gwange okukolera Yerusaalemi: so nga tewaali nsolo nange wabula ensolo gye nneebagala.
13 Ne nvaamu kiro mu luggi olw'omu kiwonvu, nga nkwata ekkubo ery'oluzzi olw'ogusota n'omulyango ogw'obusa, ne nneetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyamenyekamenyeka, n'emiryango gyakyo gyali gyokeddwa omuliro.
14 Awo ne nneeyongerayo eri omulyango ogw'oluzzi n'ekidiba kya kabaka: naye nga tewali kkubo ensolo gye nneebagadde ly'eneeyitamu.
15 Awo ne nnyambuka kiro awali akagga, ne nneetegereza bbugwe; ne nkyuka ne nnyingira mu mulyango ogw'omu kiwonvu, ne nkomawo bwe ntyo.
16 Abakulu ne batamanya gye nnagenda newakubadde kye nnakola; era nnali sinnababuulira Abayudaaya newakubadde bakabona newakubadde abakungu newakubadde abafuga newakubadde abalala abaakola omulimu.
17 Awo ne mbagamba nti Mulaba bwe tuli obubi, Yerusaalemi bwe kizise, n'enzigi zaakyo zookeddwa omuliro: mujje tuzimbe bbugwe wa Yerusaalemi, tuleme okuba nate ekivume.
18 Ne mbabuulira omukono gwa Katonda wange bwe gwali omulungi ku nze; era n'ebigambo bya kabaka bye yambuulira. Ne boogera nti Tugolokoke tuzimbe. Awo ne banyweza emikono gyabwe olw'omulimu ogwo omulungi
19 Naye Sanubalaati Omukoloni ne Tobiya omuddu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batusekerera nnyo, ne batunyooma ne boogera nti Kigambo ki kino kye mukola? mwagala okujeemera kabaka?
20 Awo ne mbaddamu ne mbagamba nti Katonda w'eggulu ye alituwa omukisa; ffe abaddu be kyetuliva tugolokoka ne tuzimba naye mmwe temulina mugabo newakubadde ebyammwe newakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.




Essuula 3

1 Awo Eriyasibu kabona asinga obukulu n'agolokoka wamu ne baganda be bakabona, ne bazimba omulyango ogw'endiga; ne bagutukuza, ne basimba enzigi zaagwo; okutuuka ku kigo kya Kammeya kwe baakoma okugutukuza, okutuuka ku kigo kya Kananeri.
2 Era abasajja ab'e Yeriko be baamuddirira okuzimba. Era Zakkuli mutabani wa Imuli ye yabaddirira okuzimba.
3 N'omulyango ogw'ebyennyanja batabani ba Kassenaa be baaguzimba; baateekawo emiti gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
4 Era Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Mesullamu mutabani wa Berekiya mutabani wa Mesezaberi ye yabaddirira okuddaabiriza. Era Zadoki mutabani wa Baana ye yabaddirira okuddaabiriza.
5 Era Abatekowa be baabaddirira okuddaabiriza; naye abakungu baabwe tebassaawo nsingo ku mulimu gwa mukama waabwe.
6 N'omulyango ogw'edda Yoyada mutabani wa Paseya ne Mesullamu mutabani wa Besodeya be baaguddaabiriza; baateekawo emiti gyagwo, ne basimba enzigi zaagwo n'ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
7 Era Meratiya Omugibyoni ne Yadoni Omumeronoosi, abasajja ab'e Gibyoni, n'ab'e Mizupa, eky'omu ssaza ly'omukulu w'emitala w'omugga, be baabaddirira okuddaabiriza.
8 Wuziyeeri mutabani wa Kalukaya, abaweesi ba zaabu, be baamuddirira okuddaabiriza. Era Kananiya omu ku bafumba kalifuwa ye yamuddirira okuddaabiriza, ne banyweza Yerusaalemi, okutuuka ku bbugwe omugazi.
9 Era Lefaya mutabani wa Kuuli omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi ye yabaddirira okuddaabiriza.
10 Era Yedaya mutabani wa Kalumafu ye yabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba ye ye. Era Kattusi mutabani wa Kasabuneya ye yamuddirira okuddaabiriza.
11 Malukiya mutabani wa Kalimu ne Kassubu mutabani wa Pakasumowaabu ne baddaabiriza ekituli ekirala n'ekigo eky'ebikoomi.
12 Era Sallumu mutabani wa Kallokesi omukulu w'ekitundu ky'essaza lya Yerusaalemi, ye ne bawala be, ye yamuddirira okuddaabiriza.
13 Omulyango ogw'omu kiwonvu Kanuni n'abaali mu Zanowa be baaguddaabiriza; ne baguzimba ne basimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, n'ekituli eky'oku bbugwe eky'emikono olukumi okutuuka ku mulyango ogw'obusa.
14 N'omulyango ogw'obusa Malukiya mutabani wa Lekabu omukulu w'essaza ly'e Besukakkeremu ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo.
15 N'omulyango ogw'oluzzi Salluni mutabani wa Kolukoze omukulu w'essaza ly'e Mizupa ye yaguddaabiriza; oyo ye yaguzimba n'agubikkako n'asimba enzigi zaagwo, ebisiba byagwo n'ebyuma byagwo, ne bbugwe ow'oku kidiba kya Sera ekiriraanye olusuku lwa kabaka okutuuka ku madaala agaserengeta okuva mu kibuga kya Dawudi.
16 Nekkemiya mutabani wa Azubuki omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Besuzuli ye yamuddirira okuddaabiriza okutuuka ku kifo ekyolekera amalaalo ga Dawudi nokutuuka ku kidiba ekyasimibwa n'okutuuka ku nnyumba y'abasajja ab'amaanyi.
17 Abaleevi, Lekumu mutabani wa Baani, be baamuddirira okuddaabiriza. Kasabiya omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira ye yamuddirira okuddaabiriza olw'essaza lye.
18 Baganda baabwe, Bawayi mutabani wa Kenadadi omukulu w'ekitundu ky'essaza ly'e Keyira, be baamuddirira okuddaabiriza.
19 Ne Ezeri mutabani wa Yesuwa omukulu w’e Mizupa ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera awalinnyirwa mu ggwanika ery'ebyokulwanyisa (bbugwe) w'awetera.
20 Baluki mutabani wa Zabbayi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ng'anyiikira nnyo, okuva bbugwe w'awetera okutuuka ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu kabona asinga obukulu.
21 Meremoosi mutabani wa Uliya mutabani wa Kakkozi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku luggi lw'ennyumba ya Eriyasibu okutuuka ku nkomerero y'ennyumba ya Eriyasibu.
22 Ne bakabona abasajja ab'omu lusenyi be baamuddirira okuddaabiriza.
23 Benyamini ne Kassubu be baabaddirira okuddaabiriza okwolekera ennyumba yaabwe. Azaliya mutabani wa Maaseya mutabani wa Ananiya ye yabaddirira okuddaabiriza ku mabbali g'ennyumba ye ye.
24 Binnuyi mutabani wa Kenadadi ye yamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala okuva ku nnyumba ya Azaliya okutuuka bbugwe w'awetera ne ku nsonda.
25 Palali mutabani wa Uzayi ye yaddaabiriza okwolekera bbugwe w'awetera n'ekigo ekyazimbibwa ku nnyumba ey'engulu eya kabaka eriraanye oluggya olw'abambowa. Pedaya mutabani wa Palosi ye yamuddirira okuddaabiriza.
26 (Era Abanesinimu baabanga mu Oferi okutuuka ku kifo ekyolekera omulyango ogw'amazzi ebuvanjuba n'ekigo ekyazimbibwako.)
27 Abatekowa be baamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala ekyolekera ekigo ekinene ekyazimbibwako n'okutuuka ku bbugwe w’e Oferi.
28 Engulu w'omulyango ogw'embalaasi bakabona we baddaabiriza, buli muntu okwolekera ennyumba ye ye.
29 Zadoki mutabani wa Immeri ye yabaddirira okuddaabiriza, okwolekera ennyumba ye ye. Ne Semaaya mutabani wa Sekaniya omuggazi w'omulyango ogw'ebuvanjuba ye yamuddirira okuddaabiriza.
30 Kananiya mutabani wa Seremiya ne Kanuni omwana ow'omukaaga owa Zalafu be bamuddirira okuddaabiriza ekituli ekirala. Mesullamu mutabani wa Berekiya ye yamuddirira okuddaabiriza okwolekera ekisenge kye.
31 Malukiya omu ku baweesi ba zaabu ye yamuddirira okuddaabiriza okutuusa ku nnyumba ey'Abanesinimu n'ey'abasuubuzi okwolekera omulyango gwa Kammifukaadi n'okutuusa awalinnyirwa ku nsonda.
32 Era wakati w'awalinnyirwa ku nsonda n'omulyango ogw'endiga abaweesi ba zaabu n'abasuubuzi we baddaabiriza.




Essuula 4

1 Naye olwatuuka Sanubalaati bwe yawulira nga tuzimba bbugwe, n'asunguwala n'abaako ekiruyi kingi n'aduulira Abayudaaya.
2 N'ayogerera mu maaso ga baganda be n'eggye ly'e Samaliya n'agamba nti Abayudaaya bano abanafu bakola ki? baagala okwekomera? baagala okuwaayo ssaddaaka? baagala okumalira ku lunaku lumu? baagala okuzuukiza amayinja okugaggya mu bifunvu eby'ebisasiro, kubanga gookeddwa?
3 Awo Tobiya Omwamoni yali naye n'ayogera nti N'ekyo kye bazimba ekibe bwe kinaalinnyayo kinaasuula bbugwe waabwe ow'amayinja.
4 Wulira, ai Katonda waffe; kubanga tunyoomeddwa: era zza ekivume kyabwe ku mutwe gwabwe bo, obagabule okunyagibwa mu nsi ey'obusibe:
5 so tobikka ku butali butuukirivu bwabwe, n'ekibi kyabwe kireme okusangulibwa mu maaso go: kubanga bakusunguwazizza mu maaso g'abazimbi.
6 Awo ne tuzimba bbugwe; bbugwe yenna n'agattibwa wamu okutuusa we yenkana obugulumivu: kubanga abantu bassaayo omwoyo eri omulimu.
7 Naye olwatuuka Sanubalaati ne Tobiya n'Abawalabu n'Abamoni n’Abasudodi bwe baawulira ng'omulimu ogw'okuddaabiriza bbugwe wa Yerusaalemi gugenda gweyongera, era ng'ebituli bitanudde okuzibibwa, kale ne basunguwala nnyo;
8 ne beekobaana bonna wamu okujja okulwana ne Yerusaalemi n'okukisasamaza.
9 Naye ne tusaba okusaba kwaffe eri Katonda waffe ne tussaawo abakuumi eri bo emisana n'ekiro ku lwabwe.
10 Yuda n'ayogera nti Amaanyi g'abo abeetikka emigugu gaweddewo era waliwo ebisasiro bingi; n'okuyinza ne tutayinza kuzimba bbugwe.
11 Abalabe baffe ne boogera nti Tebalimanya so tebaliraba, okutuusa lwe tuliyingira mu bo wakati, ne tubatta, ne tulekesaayo omulimu.
12 Awo olwatuuka Abayudaaya abaabaliraana bwe bajja, ne batugamba emirundi kkumi nga bayima mu bifo byonna nti Kibagwanira okudda gye tuli.
13 Kyennava nzisaawo abantu mu njuyi eza wansi ez'omu bbanga eryali ennyuma wa bbugwe, mu mpungu, kyennava nzisaawo abantu ng'enda zaabwe bwe zaali nga balina ebitala byabwe n'amafumu gaabwe n'emitego gyabwe.
14 Ne ntunula ne ngolokoka ne ŋŋamba abakungu n'abakulu, n'abantu abalala nti Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow'entiisa, mulwanirire baganda bammwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe, bakazi bammwe n'ennyumba zammwe.
15 Awo olwatuuka abalabe baffe bwe baawulira nga kimanyiddwa gye tuli, era nga Katonda asse okuteesa kwabwe, ne tulyoka tudda fenna ku bbugwe, buli muntu ku mulimu gwe.
16 Awo olwatuuka okuva mu biro ebyo n'okweyongerayo ekitundu ky'abaddu bange ne bakolanga omulimu ogwo n'ekitundu ne bakwatanga amafumu n'engabo n'emitego n'ebizibawo eby'ebyuma; abakulu ne babanga ennyuma w'ennyumba yonna eya Yuda.
17 Abo abaazimbanga bbugwe n'abo abeetikkanga emigugu ne beebinikanga, buli muntu ng'akola omulimu n'omukono gwe gumu, n'ogw'okubiri nga gukutte ekyekulwanyisa kye;
18 n'abazimbi, buli muntu ekitala kye nga kisibiddwa mu kiwato kye n'azimbanga bw'atyo. N'oyo eyafuuwanga ekkondeere n'abeeranga nange.
19 Ne ŋŋamba abakungu n'abakulu n'abantu abalala nti Omulimu munene mugazi, naffe twesudde amabanga ku bbugwe, omu ng'amuli wala munne:
20 mu buli kifo gye munaawuliriranga eddoboozi ly'ekkondeere, mutudduukiririranga eyo; Katonda waffe ye anaatulwaniriranga.
21 Awo ne tukolanga omulimu: ekitundu kyabwe ne bakwatanga amafumu obudde, we bwakeereranga n'emmunyeenye lwe zaalabikanga.
22 Era mu biro ebyo ne ŋŋamba bwe ntyo abantu nti Buli muntu n'omuddu we asulenga mu Yerusaalemi babeerenga bakuumi gye tuli ekiro, era bakolenga omulimu emisana.
23 Awo ne tutayambulanga byambalo byaffe nze newakubadde baganda bange newakubadde abaddu bange newakubadde abasajja abambowa abangobereranga, n'omu ku ffe, buli muntu yagendanga emugga ng'akutte ekyokulwanyisa kye.




Essuula 5

1 Awo ne wabaawo olukaayano olunene olw'abantu ne bakazi baabwe eri baganda baabwe Abayudaaya.
2 Kubanga waaliwo abaayogera nti Ffe, batabani baffe ne bawala baffe, tuli bangi: tufune eŋŋaano tulyenga tube abalamu.
3 Era ne wabaawo abaayogera nti Tusingawo ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu n'ennyumba zaffe: tufunenga eŋŋaano olw'enjala.
4 Era ne wabaawo abaayogera nti Twewola effeeza ey'emusolo gwa kabaka nga tusinzeewo ennimiro zaffe n'ensuku ez'emizabbibu.
5 Naye kaakano omubiri gwaffe guli ng'omubiri gwa baganda baffe, abaana baffe bali ng'abaana baabwe: era, laba, batabani baffe ne bawala baffe tubaleeta mu buddu okuba abaddu, era abamu ku bawala baffe bamaze okuleetebwa mu buddu: so tetuliiko kye tunaakola; kubanga ennimiro zaffe n'ensuku zaffe ez'emizabbibu zirina balala.
6 Awo ne nsunguwala nnyo bwe nnawulira olukaayano lwabwe n'ebigambo bino.
7 Awo ne ndyoka nteesa nzekka ne nnyomba n'abakungu n'abakulu ne mbagamba nti Muweesa amagoba, buli muntu muganda we. Ne mbakuŋŋaanya okukuŋŋaana okunene.
8 Ne mbagamba nti ffe nga bwe twayinza twanunula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannaggwanga; nammwe mwagala n'okutunda baganda bammwe, naffe twandiba guze? Awo ne basirika ne batalaba kigambo.
9 Era ne njogera nti Ekigambo kye mukola si kirungi: temwanditambulidde mu kutya Katonda waffe, olw'okuvuma kwa bannaggwanga abalabe baffe?
10 Era nange bwe ntyo baganda n'abaddu bange mbawola effeeza n'eŋŋaano olw'amagoba. Mbeegayiridde, tuleke amagoba ago.
11 Mbeegayiridde, mubaddize leero ennimiro zaabwe n'ensuku zaabwe ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni n'ennyumba zaabwe, era n'ekitundu eky'ekikumi ekya ffeeza n'eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta bye mubaweesa.
12 Awo ne boogera nti Tunaabizza, so tetulibasalira kintu; bwe tutyo bwe tunaakola nga bw'oyogera. Awo ne mpita bakabona ne mbalayiza nga banaakola nga bwe basuubizza.
13 Era ne nkunkumula olugoye olw'omu kifuba kyange ne njogera nti Katonda akunkumulire bw'atyo mu nnyumba ye ne mu mulimu gwe buli muntu atatuukiriza kusuubiza kuno; bw'atyo bw'aba akunkumulwa amalibwemu. Ekibiina kyonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama. Abantu ne bakola ng'okusuubiza kuno bwe kwali.
14 Era okuva mu biro lwe nnateekebwawo okuba omukulu waabwe mu nsi ya Yuda, okuva ku mwaka ogw'amakumi abiri okutuuka ku mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka, gye myaka ekkumi n'ebiri, nze ne baganda bange tetulyanga ku mmere ey'omukulu.
15 Naye abakulu ab'edda abansooka baasoloozanga abantu bye baalyanga ne babasaliranga emmere n'omwenge obutassaako sekeri eza ffeeza amakumi ana; weewaawo, n'abaddu baabwe baafuganga abantu: naye nze si bwe nnakolanga olw'okutya Katonda.
16 Weewaawo, era nanyiikiranga okukola omulimu ogwa bbugwe ono, so tetwagula nsi yonna: n'abaddu bange bonna ne bakuŋŋaanira eyo eri omulimu.
17 Era ku Bayudaaya n'abakulu, abasajja kikumi mu ataano baabanga ku mmeeza yange obutassaako abo abajja gye tuli nga bava mu bannaggwanga abatwetoolodde.
18 Era ebyafumbibwanga eby'olunaku olumu ente emu n'endiga ennonde mukaaga; era enkoko zanfumbirwanga, n'omulundi gumu buli nnaku kkumi omwenge ogw'engeri zonna: era naye newakubadde nga byali bwe bityo saabasalira mmere ya mukulu, kubanga obuddu bwabazitoowerera abantu bano.
19 Ai Katonda wange, jjukira gye ndi olw'obulungi byonna bye nkoledde abantu bano.




Essuula 6

1 Awo olwatuuka bwe baabuulira Sanubalaati ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n'abalabe baffe abalala nga nzimbye bbugwe, era nga tewakyali kituli ekisigadde omwo; (newakubadde nga nali nga sinnasimba nzigi mu miryango mu biro ebyo;)
2 awo Sanubalaati ne Gesemu ne bantumira nga boogera nti Jjangu tulabaganire mu kaalo akamu ak'omu lusenyi lwa Ono. Naye nga baalowooza okunkola obubi.
3 Ne mbatumira ababaka nga njogera nti Nkola omulimu omunene n'okuyinza siyinza kuserengeta: omulimu gwandirekeddwayo ki, nze nga nguvuddeko ne nserengeta gye muli?
4 Ne bantumira bwe batyo emirundi ena; ne mbaddamu bwe ntyo.
5 Awo Sanubalaati n'antumira omuddu we bw'atyo omulundi ogw'okutaano ng'alina mu mukono gwe ebbaluwa etezingiddwa mu mukono gwe;
6 omwawandiikibwa nti Mu mawanga mulimu ebigambo era Gasimu akyogera nga ggwe n'Abayudaaya mwagala okujeema; kyova ozimba bbugwe: era oyagala okuba kabaka waabwe, ebigambo ebyo bwe byogera bwe bityo.
7 Era otaddewo ne bannabbi ab'okubuulira ebigambo byo e Yerusaalemi nga boogera nti Mu Yuda mulimu kabaka: kale nno kabaka alibuulirwa ng'ebigambo ebyo bwe biri. Kale nno jjangu tuteese fembi.
8 Awo ne mmutumira nga njogera nti Tewakolebwanga bigambo nga bw'otogera naye obigunze mu mutima gwo ggwe.
9 Kubanga bonna banditutiisizza nga boogera nti Emikono gyabwe girifuuka minafu okuva ku mulimu guleme okukolebwa. Naye kaakano, ai Katonda, nyweza ggwe emikono gyange.
10 Awo ne nnyingira mu nnyunba ya Semaaya mutabani wa Deraaya mutabani wa Meketaberi eyasibibwa; n'ayogera nti Tulabaganire mu nnyumba ya Katonda munda wa yeekaalu, era tuggalewo enzigi za yeekaalu: kubanga banajja okukutta; weewaawo, mu kiro mwe banajjira okukutta.
11 Ne njogera nti Omusajja eyenkana awo nga nze nandidduse? era ani eyenkana nga nze eyandiyingidde mu yeekaalu okuwonya obulamu bwe? siiyingiremu.
12 Ne ntegeera, era, laba, Katonda teyamutuma: naye yandagulako obunnabbi buno: era Tobiya ne Sanubalaati baali bamuguliridde.
13 Kyeyava aguliririrwa ntye nkole bwe ntyo nnyonoone, babeeko kwe banaggya ensonga ey'ebigambo ebibi, banvume.
14 Ai Katonda wange, jjukira Tobiya ne Sanubalaati ng'ebikolwa byabwe ebyo bwe byali, era ne nnabbi omukazi Nowadiya, ne bannabbi abalala abandintiisizza.
15 Bwe kityo bbugwe n'aggwa okukola ku lunaku olw'amakumi abiri mu ttaano olw'omwezi Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu biri.
16 Awo olwatuuka abalabe baffe bonna bwe baawulira bwe batyo, bannaggwanga bonna abatwetoolodde ne batya ne baggweeramu ddala omwoyo mu maaso gaabwe bo: kubanga baalaba ng'omulimu guno gwakolebwa Katonda waffe.
17 Era mu nnaku ezo abakungu ba Yuda ne baweereza Tobiya ebbaluwa nnyingi, ebbaluwa za Tobiya ne zijja gye bali.
18 Kubanga mu Yuda mwalimu bangi abamulayirira kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala; ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya.
19 Era ne boogera ku bikolwa bye ebirungi mu maaso gange, ne bamubuulira ebigambo byange. Tobiya n'aweereza ebbaluwa okuntiisa.




Essuula 7

1 Awo olwatuuka bbugwe bwe yaggwa okuzimba, era nga mmaze okusimba enzigi, n'abaggazi n'abayimbi n'Abaleevi nga balondeddwa,
2 awo muganda wange Kanani ne Kananiya omukulu w'ekigo ne mbakwasa Yerusaalemi: kubanga yali musajja mwesigwa, era yatyanga Katonda okusinga bangi.
3 Ne mbagamba nti Enzigi za Yerusaalemi teziggalwangawa ng'omusana tegunnakangaalukuka; era bwe bayimirira nga bakuuma baggalengawo enzigi, era muzinywezenga n'ebisiba: era mussengawo abakuumi ku abo abali mu Yerusaalemi, buli muntu mu luwalo lwe, era buli muntu ng'ayolekera ennyumba ye.
4 Era ekibuga kyali kigazi era kinene: naye abantu abaali omwo baali batono, n'ennyumba nga tezizimbiddwa.
5 Katonda wange n'akiteeka mu mutima gwange okukuŋŋaanya abakungu n'abakulu n'abantu babalibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Ne ndaba ekitabo eky'okuzaalibwa kw'abo abaasooka okwambuka, ne ndaba, nga kiwandiikiddwamu nti
6 Bano be baana b'essaza abaayambuka okuva mu bunyage bw'abo abaatwaiibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
7 abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Azaliya, Laamiya, Nakamani, Moluddekaayi, Birusani, Misuperesi, Biguvayi, Nekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja ab'oku bantu ba Isiraeri:
8 abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri.
9 Abaana ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri.
10 Abaana ba Ala, lukaaga mu ataano mu babiri.
11 Abaana ba Pakasumowaabu, ow'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi mu munaana
12 Abaana ba Eramu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana.
13 Abaana ba Zattu, lunaana mu ana mu bataano.
14 Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga.
15 Abaana ba Binnuyi, lukaaga mu ana mu munaana.
16 Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu munaana.
17 Abaana ba Azugaadi, enkumi bbiri mu ebikumi bisatu mu abiri mu babiri.
18 Abaana ba Adotukamu, lukaaga mu nkaaga mu musanvu.
19 Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu nkaaga mu musanvu.
20 Abaana ba Adini, lukaaga mu ataano mu bataano.
21 Abaana ba Ateri, owa Keezeekiya, kyenda mu munaana.
22 Abaana ba Kasumu, ebikumi bisatu mu abiri mu munaana.
23 Abaana ba Bezayi, ebikumi bisatu mu abiri mu bana.
24 Abaana ba Kalifu, kikumi mu kkumi mu babiri.
25 Abaana ba Gibyoni, kyenda mu bataano.
26 Abasajja ab'e Besirekemu ne Netofa, kikumi mu kinaana mu munaana.
27 Abasajja ab'e Anasosi; kikumi mu abiri mu munaana.
28 Abasajja ab'e Besuwazumavesi, amakumi ana mu babiri.
29 Abasajja ab'e Kiriyasuyalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu.
30 Abasajja ab'e Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu.
31 Abasajja ab'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri.
32 Abasajja ab'e Beseri ne Ayi, kikumi mu abiri mu basatu.
33 Abasajja ab'e Nebo eky'okubiri, amakumi ataano mu babiri.
34 Abaana ba Eramu ow'okubiri, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana.
35 Abaana ba Kalimu, ebikumi bisatu mu abiri.
36 Abaana ba Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano.
37 Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu omu.
38 Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lwenda mu asatu.
39 Bakabona: abaana ba Yedaya, ow'oku nnyumba ya Yesuwa; lwenda mu nsanvu mu basatu.
40 Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri.
41 Abaana ba Pasukuli, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu.
42 Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi mu musanvu.
43 Abaleevi: abaana ba Yesuva ow'e Kadumyeri, ow'oku baana ba Kodeva, nsanvu mu bana.
44 Abayimbi: abaana ba Asafu, kakumi mu ana mu munaana
45 Abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, kikumi mu asatu mu munaana.
46 Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi;
47 abaana ba Keriso, abaana ba Siya, abaana ba Padoni;
48 abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Salumayi;
49 abaana ba Kanani, abaana ba Gidderu, abaana ba Gakali;
50 abaana ba Leyaya, abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda;
51 abaana ba Gazzamu, abaana ba Uzza, abaana ba Paseya;
52 abaana ba Besayi abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefusesimu;
53 abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli;
54 abaana ba Bazulisi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa;
55 abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema;
56 abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.
57 Abaana b'abaddu ba Sulemaani; abaana ba Sotayi, abaana ba Soferesi, abaana ba Perida;
58 abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi;
59 abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Amoni.
60 Abanesinimu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
61 Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddoni, ne Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe newakubadde okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
62 abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ana mu babiri.
63 Ne ku bakabona: abaana ba Kobaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi, eyawasa omukazi ow'oku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya lyabwe.
64 Abo ne banoonya okuwandiikibwa kwabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne kutalabika: kyebaava babawoola ne babagoba mu bwakabona.
65 Tirusaasa n'abagamba baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa kabona lw'aliyimirira alina Ulimu ne Sumimu.
66 Ekibiina kyonna wamu yali obukumi buna mu enkumi bbiri mu bikumi bisatu mu nkaaga,
67 obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe asanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri mu ana mu bataano.
68 Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe ebikumi bibiri mu ana mu ttaano;
69 eŋŋamira zaabwe ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri.
70 Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo eri omulimu. Tirusaasa n'awaayo mu ggwanika daliki eza zaabu lukumi, ebibya amakumi ataano, ebyambalo bya bakabona ebikumi bitaano mu asatu.
71 Era abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne bawaayo mu ggwanika ery'omulimu daliki eza zaabu obukumi bubiri, ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri mu bikumi bibiri.
72 N'ebyo abantu abalala bye baawa byali daliki ezaabu obukumi bubiri ne laateri eza ffeeza enkumi bbiri, n'ebyambalo bya bakabona nkaaga mu musanvu.
73 Awo bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'abamu ku bantu n'Abanesinimu ne Isiraeri yenna ne babeeranga mu Bibuga byabwe. Awo omwezi gw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga byabwe.




Essuula 8

1 Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu mu kifo ekigazi ekyayolekera omulyango gw'amazzi; ne bagamba Ezera omuwandiisi okuleeta ekitabo eky'amateeka ga Musa Mukama ge yalagira Isiraeri.
2 Ezera kabona n’aleeta amateeka mu maaso g'ekibiina, abasajja era n'abakazi ne bonna abaayinza okuwulira n'okutegeera, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu.
3 Awo n'asoma omwo mu maaso g’ekifo ekigazi ekyayolekera omulyango ogw'amazzi, okuva enkya ku makya okutuusa ettuntu, abasajja n'abakazi nga weebali, n'abo abayinza okutegeera; abantu bonna ne batega amatu okuwulira ekitabo eky'amateeka.
4 Ezera omuwandiisi n'ayimirira ku kituuti eky'emiti kye baali bakoledde omulimu ogwo; n'okumuliraana ne wayimirira Mattisiya ne Sema ne Anaya ne Uliya ne Kirukiya ne Maaseya ku mukono gwe ogwa ddyo; ne ku mukono gwe ogwa kkono Pedaya ne Misayeri ne Malukiya ne Kasumu ne Kasubaddana, Zekkaliya ne Mesullamu.
5 Awo Ezera n'ayanjululiza ekitabo mu maaso g'abantu bonna; (kubanga yali waggulu w'abantu bonna;) kale bwe yakyanjuluza, abantu bonna ne bayimirira:
6 Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu. Abantu bonna ne baddamu nti Amiina, Amiina, nga bayimusa emikono gyabwe: ne bakutama emitwe gyabwe ne basinza Mukama nga bavuunamye amaaso gaabwe.
7 Era Yesuwa ne Baani ne Serebiya ne Yamini ne Akkubu ne Sabbesayi ne Kodiya ne Masseya ne Kerita ne Azaliya ne Yozabadi ne Kanani ne Peraya n'Abaleevi ne bategeeza abantu amateeka: abantu ne bayimirira mu kifo kyabwe.
8 Ne basoma mu kitabo mu mateeka ga Katonda okuwulikika; ne baleeta amakulu n'okutegeera ne bategeera ebyasomebwa.
9 Awo Nekkemiya Tirusaasa ne Ezera kabona omuwandiisi n'Abaleevi abaayigirizanga abantu ne bagamba abantu bonna nti Olunaku luno lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba maziga. Kubanga abantu bonna baakaaba amaziga bwe baawulira ebigambo eby'omu mateeka.
10 Awo n'abagamba nti Mweddireyo, mulye amasavu, munywe ebiwoomerevu, muweereze oyo emigabo atategekeddwa kintu: kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe: so temunakuwala; kubanga essanyu lya Mukama ge maanyi gammwe.
11 Awo Abaleevi ne basirisa abantu bonna nga boogera, nti Musirike, kubanga olunaku luno lutukuvu; so temunakuwala.
12 Awo abantu bonna ne beddirayo okulya n'akunywa n'okuwereeza emigabo n'okusanyuka essanyu lingi, kubanga bategedde ebigambo ebibabuuliddwa.
13 Awo ku lunaku olw'okubiri ne wakuŋŋaana emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abantu bonna, bakabona n'Abaleevi, awali Ezera omuwandiisi, okutega amatu eri ebigambo eby'amateeka.
14 Ne balaba ebyawandiikibwa mu mateeka Mukama bwe yalagirira mu Musa, abaana ba Isiraeri basulenga mu nsiisira mu mbaga ey'omu mwezi ogw'omusanvu:
15 bategeezenga era balangirirenga mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi nti Mufulume ku lusozi, mukime amatabi g'emizeyituuni, n'amatabi ag'emizeyituuni egy'omu nsiko, n'amatabi g'emikadasi, n'amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, okukola ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.
16 Awo abantu ne bafuluma ne bagaleeta ne beekolera ensiisira, buli muntu waggulu ku nnyumba ye ne mu mpya zaabwe ne mu mpya z'ennyumba ya Katonda ne mu kifo ekigazi eky'oku mulyango ogw'amazzi ne mu kifo ekigazi eky'okumulyango gwa Efulayimu.
17 Awo ekibiina kyonna eky'abo abaali bakomyewo okuva mu bunyage ne bakola ensiisira ne basula mu nsiisira: kubanga okuva mu nnaku za Yesuwa mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku luli abaana ba Isiraeri tebaakolanga bwe batyo. Ne wabaawo essanyu lingi nnyo.
18 Era buli lunaku ng'asookera ku lunaku olw'olubereberye n'amalira ku lunaku olw'enkomerero n'asomanga mu kitabo eky'amateeka ga Katonda. Ne bakwatira embaga ennaku musanvu; ne ku lunaku olw'omunaana ne wabaawo okukuŋŋaana okutukuvu, ng'ekiragiro bwe kiri.




Essuula 9

1 Awo ku lunaku olw'abiri mu nnya olw'omwezi guno abaana ba Isirieri baali bakuŋŋaanye nga basiiba era nga bambadde ebibukutu era nga basaabye ettaka.
2 Awo ezzadde lya Isiraeri ne beeyawula mu bannaggwanga bonna, ne bayimirira ne baatula ebibi byabwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaabwe.
3 Ne bayimirira mu kifo kyabwe ne basoma mu kitabo eky'amateeka ga Mukama Katonda waabwe ne bamala ekitundu ky'olunaku eky'okuna; n'ekitundu eky'okuna ekirala ne baatula, ne basinza Mukama Katonda waabwe.
4 Awo ne wayimirira ku madaala g'Abaleevi Yesuwa ne Baani ne Kadumyeri ne Sebaniya ne Bunni ne Serebiya ne Baani ne Kenani, ne bakaabira Mukama Katonda waabwe n'eddoboozi ddene.
5 Awo Abaleevi, Yesuwa ne Kadumyeri ne Baani ne Kasabuneya ne Serebiya ne Kodiya ne Sebaniya ne Pesakiya ne boogera nti Muyimirire mwebaze Mukama Katonda wammwe okuva emirembe gyonna n'okutuusa emirembe gyonna: era erinnya lyo ery'ekitiibwa lyebazibwe erigulumizibwa okusinga okwebaza kwonna n'okutendereza.
6 Ggwe Mukama, ggwe wekka; ggwe wakola eggulu, eggulu erya waggulu, n'eggye lyalyo lyonna, ensi n'ebintu byonna ebiri okwo, ennyanja ne byonna ebiri omwo, era ggwe obikuuma byonna; n'eggye ery'omu ggulu likusinza.
7 Ggwe Mukama Katonda yennyini, eyalonda Ibulayimu n'omuggya mu Uli ey'Abakaludaaya, n'omuwa erinnya Ibulayimu;
8 n'olaba omutima gwe nga mwesigwa mu maaso go, n'olagaana naye endagaano okuwa ensi ey'Omukanani n'Omukiiti n'Omwamoli n'Omuperizi n'Omuyebusi n'Omugirugaasi, okugiwa ezzadde lye, era otuukirizza ebigambo byo kubanga ggwe mutuukirivu.
9 Era walaba okubonaabona kwa bajjajjaaffe mu Misiri n'owulira okukaaba kwabwe ku ttale ly'Ennyanja Emmyufu;
10 n'olaga obubonero n'eby'amagero ku Falaawo n'abaddu be bonna n'abantu bonna ab'omu nsi ye; kubanga wamanya nga baabakola eby'amalala; ne weefunira erinnya nga bwe kiri leero.
11 Era wayawula mu nnyanja mu maaso gaabwe n'okuyita ne bayita wakati mu nnyanja ku lukalu; n'abo abaabagoberera n'obakasuka mu buziba ng'ejjinja bwe likasukibwa mu mazzi ag'amaanyi.
12 Era nate n'obaluŋŋamya ng'oyima mu mpagi ey'ekire emisana; era ng'oyima mu mpagi ey'omuliro ekiro, okubamulisiza mu kkubo lye baba bayitamu.
13 Era wakka ku lusozi Sinaayi, n'oyogera nabo ng'oyima mu ggulu; n'obawa ensala entuufu n'amateeka ag’amazima, ebyakuutirwa ebirungi n'ebiragiro:
14 n'obamanyisa ssabbiiti yo entukuvu, n'obalagira ebiragiro n'amateeka ne tawuleeti mu mukono gwa Musa omuddu wo:
15 n'obawanga emmere eyava mu ggulu olw'enjala yaabwe, n'obaggira amazzi mu lwazi olw'ennyonta yaabwe, n'obalagira bayingire okulya ensi gye wayimusiza omukono gwo okubawa.
16 Naye bo ne bajjajjaaffe ne bakola eby'amalala, ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne batawulira biragiro byo,
17 ne bagaana okugonda so tebajjukira bya magero byo bye wakola mu bo; naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe, ne bassaawo omwami nga bajeemye okuddayo mu buddu bwabwe: naye ggwe Katonda eyeeteeseteese okusonyiwa, ow'ekisa era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa ennyo ekisa, n'otobaleka.
18 Weewaawo, bwe baakola ennyana ensaanuuse, ne boogera nti Ono ye Katonda wo eyakuggya mu Misiri, era nga bakoze ebinyiiza ennyo;
19 naye ggwe olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobaleka mu ddungu: empagi ey'ekire teyabavangako emisana okubaluŋŋamiza mu kkubo; newakubadde empagi ey'omuliro ekiro okubamulisiza n'okubalaga ekkubo lye baba bayitamu.
20 Era wawa omwoyo gwo omulungi okubayigiriza, so tewabammanga manu yo mu kamwa kaabwe, n'obawa amazzi olw'ennyonta yaabwe.
21 Weewaawo, wabaliisiza emyaka amakumi ana mu ddungu, ne batabulwanga kintu; ebyambalo byabwe tebyakaddiwanga n'ebigere byabwe tebyazimbanga.
22 Era wabawa obwakabaka n'amawanga ge wagaba ng'emigabo gyabwe bwe gyali: kale ne balya ensi ya Sikoni, ensi ya kabaka w’e Kesuboni, n'ensi ya Ogi kabaka w’e Basani.
23 Era n'abaana baabwe wabaaza ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'obayingiza mu nsi gye wagambako bajjajjaabwe nga baligiyingira okugirya.
24 Kale abaana ne bayingira ne balya ensi, n'owangula abaali mu nsi mu maaso gaabwe, Abakanani, n'obawaayo mu mikono gyabwe, ne bakabaka baabwe n'amawanga ag'omu nsi, babakole nga bwe bayagala.
25 Ne bamenya ebibuga ebyaliko enkomera, n'ensi engimu, ne balya ennyumba ezajjula ebirungi byonna, ebidiba ebyabajjibwa, ensuku ez'e emizabbibu, n'ez'emizeyituuni, n'emiti egibala ebibala mingi nnyo: awo ne balya ne bakkuta, ne bagejja ne basanyukiranga obulungi bwo obungi.
26 Era naye ne batagondanga ne bakujeemeranga ne basuulanga amateeka go ennyuma w'amabega gaabwe, ne battanga bannabbi bo abaabanga abajulirwa eri bo okubakyusa nate gy'oli, ne bakolanga ebinyiiza ennyo.
27 Kyewava obagabulanga mu mukono gw'abalabe baabwe abaabeeraliikirizanga: kale mu kiseera mwe baalabira ennaku bwe baakukaabiranga, n'obawuliranga ng'oyima mu ggulu; era ng'okusaasira kwo okutali kumu bwe kwali n'obawanga abalokozi abaabalokolanga mu mukono gw'abalabe baabwe.
28 Naye bwe baamalanga okuwummula, ne beeyongeranga okukola obubi mu maaso go: kyewava obalekanga mu mukono gw'abalabe baabwe n'okufuga ne babafuga: naye bwe baakomangawo ne bakukaabira, n'owulira, ng'oyima mu ggulu; n'obawonyanga emirundi mingi ng'okusaasira kwo bwe kwali;
29 n'obanga mujulirwa eri bo olyoke obakomyengawo eri amateeka go: naye ne bakolanga eby'amalala ne batawuliranga mateeka go, naye ne basobyanga emisango gyo, (egyo omuntu bw'agikola, anaabanga mulamu mu gyo,) ne baggyangawo ekibegabega, ne bakakanyazanga ensingo yaabwe, ne batayagalanga kuwulira.
30 Naye n'obagumiikiririzanga emyaka mingi, n'obanga mujulirwa eri bo n'omwoyo gwo mu bannabbi bo: naye ne batayagalanga kutega kutu: kyewava obagabulanga mu mukono gw'amawanga ag'omunsi.
31 Naye olw'okusaasira kwo okutali kumu n'otobamalirangawo ddala, so tewabalekanga; kubanga ggwe oli Katonda wa kisa era ow'okusaasira.
32 Kale nno, Katonda waffe, Katonda omukulu, ow'amaanyi, ow'entiisa, akwata endagaano n'okusaasira, okutegana kwonna kuleme okufaanana okutono mu maaso go, okwatubangako, ku bassekabaka baffe, ku bakungu baffe, ne ku bakabona baffe, ne ku bannabbi baffe, ne ku bajjajjaffe, ne ku bantu bo bonna, okuva ku mirembe gya bakabaka b'e Bwasuli na buli kati.
33 Naye ggwe mutuukirivu mu byonna ebyatubangako kubanga wakolanga eby'amazima, naye ffetwakolanga obubi:
34 so ne bassekabaka baffe n'abakungu baffe ne bakabona baffe ne bajjajjaffe tebaakwatanga mateeka go so tebaawuliranga biragiro byo n'emisango gyo bye wategeeza eri bo.
35 Kubanga tebaakuweerezanga mu bwakabaka bwabwe, ne mu bulungi bwo obungi bwe wabawa, ne mu nsi ennene engimu gye wawa mu maaso gaabwe, so tebaakyukanga okuleka ebikolwa byabwe ebibi.
36 Laba, tuli baddu leero, n'ensi gye wawa bajjajjaffe, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu, laba, tuli baddu omwo.
37 Era ewa amagoba mangi bakabaka be wassaawo okutufuga olw'okwonoona kwaffe: era balina obuyinza ku mibiri gyaffe, n'ebisibo byaffe, nga bwe basiima, naffe tulabye ennaku nnyingi.
38 Era naye ebyo byonna newakubadde nga bibaddewo tulagaana endagaano ey'enkalakkalira, ne tugiwandiika; abakungu baffe n'Abaleevi baffe ne bakabona baffe ne bagissaako akabonero.




Essuula 10

1 Era abo abassaako akabonero be bano, Nekkemiya Tirusaasa, mutabani wa Kakaliya, ne Zeddekiya;
2 Seraya, ne Azaliya ne Yeremiya;
3 ne Pasukuli ne Amaliya ne Malukiya;
4 ne Kattusi ne Sebaniya ne Malluki;
5 ne Kalimu ne Meremoosi ne Obadiya;
6 ne Danyeri ne Ginnesoni ne Baluki;
7 ne Messulamu ne Abiya ne Miyamini;
8 ne Maaziya ne Birugayi ne Semaaya: abo be baali bakabona.
9 N'Abaleevi amannya gaabwe, Yesuwa mutabani wa Azaniya ne Binnuyi ow'oku baana ba Kenadadi ne Kadumyeri;
10 ne baganda baabwe, Sebaniya ne Kodiya ne Kerita ne Peraya ne Kanani;
11 ne Mikka ne Lekobu ne Kasabiya;,
12 ne Zakkuli ne Serebiya ne Sebaniya;
13 ne Kodiya ne Baani ne Beninu.
14 Abakulu b'abantu: Palosi ne Pakasumowaabu ne Eramu ne Zattu ne Baani;
15 ne Bunni ne Azugaadi ne Babayi;
16 ne Adoniya ne Biguvayi ne Adini;
17 ne Atera ne Keezeekiya ne Azzuli;
18 ne Kodiya ne Kasumu ne Bezayi;
19 ne Kalifu ne Anasosi ne Nobayi;
20 ne Magupiyasi ne Mesullamu ne Keziri;
21 ne Mesezaberi ne Zadoki ne Yadduwa;
22 ne Peratiya ne Kanani ne Anaya;
23 ne Koseya ne Kananiya ne Kassubu;
24 ne Kallokesi ne Piruka ne Sobeki;
25 ne Lekumu ne Kasabuna ne Maaseya;
26 ne Akiya ne Kanani ne Anani;
27 ne Malluki ne Kallimu ne Baana.
28 N'abantu abalala bonna, bakabona n'Abaleevi n'abaggazi n'abayimbi n'Abanesinimu n'abo bonna abeeyawula mu mawanga ag'omu nsi eri amateeka ga Katonda, bakazi baabwe, batabani baabwe, ne bawala baabwe, buli muntu eyalina okumanya n'okutegeera;
29 ne beegatta ne baganda baabwe, abakungu baabwe, ne beegwanyiza ekikolimo n'ekirayiro okutambuliranga mu mateeka ga Katonda agaaweerwa mu Musa omuddu wa Katonda, n'okukwatanga n'okukolanga ebiragiro byonna ebya Mukama, Mukama waffe, n'emisango gye n'amateeka ge;
30 era tulemenga okuwa bawala baffe amawanga ag'omu nsi, newakubadde okutwaliranga batabani baffe bawala baabwe;
31 era amawanga ag'omu nsi bwe banaaleetanga ebintu oba ebyokulya byonna okutundira ku lunaku olwa ssabbiiti, obutagulaaniranga nabo ku ssabbiiti newakubadde ku lunaku olutukuvu: era nga tunaalekanga omwaka ogw'omusanvu, n'okubanjanga ebbanja lyonna.
32 Era ne tweteekerawo amateeka okwesaliranga buli mwaka ekitundu eky'okusatu ekya sekeri olw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Katonda waffe;
33 olw'emigaati egy'okulaga n'olw'ekiweebwayo eky'obutta ekitaggwaawo n'olw'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaggwaawo, eby'oku ssabbiiti n'eby'oku myezi egyakaboneka, n'olw'embaga egyateekebwawo, n'olw'ebintu ebitukuvu n'olw'ebiweebwayo olw'ekibi okutangirira Isiraeri, n'olw'emirimu gyonna egy'omu nnyumba ya Katonda waffe.
34 Ne tukuba obululu, bakabona n'Abaleevi n'abantu, olw'ekiweebwayo eky'enku, okuzireetanga mu nnyumba ya Katonda waffe ng'ennyumba za bakitaffe bwe zaali mu biseera ebyalagirwa buli mwaka, okwokeranga ku kyoto kya Mukama Katonda waffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka:
35 n'okuleetanga ebibala ebibereberye eby'ettaka lyaffe, n'ebibereberye eby'ebibala byonna eby'oku miti egy'engeri zonna buli mwaka mu nnyumba ya Mukama:
36 era n'ababereberye ku batabani baffe ne ku bisibo byaffe nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, n'ebibereberye ku nte zaffe ne ku ndiga zaffe okuleetanga mu nnyumba ya Katonda waffe eri bakabona abaaweererezanga mu nnyumba ya Katonda waffe:
37 era nga tunaaleetanga ebibereberye eby'omugoyo gwaffe n'ebiweebwayo byaffe ebisitulibwa, n'ebibala eby'oku miti egy'engeri zonna, omwenge n'amafuta, eri bakabona mu bisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe; n'ebitundu eby'ekkumi eby'ettaka lyaffe eri Abaleevi; kubanga abo, Abaleevi, be baaweebwa ebitundu eby'ekkumi mu bibuga byonna gye tulimira.
38 Era kabona mutabani wa Alooni anaabanga wamu n'Abaleevi, Abaleevi bwe banaaweebwanga ebitundu eby'ekkumi: era Abaleevi banaaleetanga ekitundu eky'ekkumi eky'oku bitundu eby'ekkumi mu nnyumba ya Katonda waffe, mu bisenge mu nnyumba ey'okuterekamu eby'obugagga.
39 Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Leevi banaaleetanga ekiweebwayo ekisitulibwa eky'eŋŋaano n'eky'omwenge n'eky'amafuta mu bisenge omuli ebintu eby'omu kifo ekitukuvu, ne bakabona abaweereza n'abaggazi n'abayimbi: so tetuulekenga nnyumba ya Katonda waffe.




Essuula 11

1 Awo abakulu b'abantu ne babeeranga mu Yerusaalemi: era n'abantu abalala ne bakuba obululu okuggya omu ku kkumi okumuleeta okubeera mu Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, ne bali omwenda okubeera mu bibuga ebirala.
2 Awo abantu ne beebaza abasajja bonna abeeronda ku bwabwe okubeera mu Yerusaalemi.
3 Era bano be bakulu b'essaza abaabeeranga mu Yerusaalemi: naye mu bibuga bya Yuda ne mubeeramu buli muntu mu butaka bwe mu bibuga byabwe, Isiraeri, bakabona n'Abaleevi n'Abanesinimu n'abaana b'abaddu ba Sulemaani.
4 Ne mu Yerusaalemi ne mubeeramu abamu ku baana ba Yuda ne ku baana ba Benyamini. Ku baana ba Yuda: Ataya mutabani wa Uzziya mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Amaliya mutabani wa Sefatiya mutabani wa Makalaleri ow'oku baana ba Pereezi;
5 ne Maaseya mutabani wa Baluki mutabani wa Kolukoze mutabani wa Kazaya mutabani wa Adaya mutabani wa Yoyalibu mutabani wa Zekkaliya omwana w'Omusiiro.
6 Batabani ba Pereezi bonna abaabeera mu Yerusaalemi baali ebikumi bina mu nkaaga mu munaana abasajja abazira.
7 Era bano be batabani ba Benyamini: Sallu mutabani wa Mesullamu mutabani wa Yowedi, mutabani wa Pedaya mutabani wa Kolaya mutabani wa Maaseya mutabani wa Isiyeri mutabani wa Yesaya.
8 Awo oluvannyuma lw'oyo Gabbayi ne Sallayi, olwenda mu amakumi abiri mu munaana.
9 Ne Yoweeri, mutabani wa Zikuli ye yali omulabirizi waabwe: ne Yuda mutabani wa Kassenuwa ye yali ow'okubiri okufuga ekibuga.
10 Ku bakabona: Yedaya mutabani wa Yoyalibu ne Yakini
11 ne Seraya mutabani wa Kirukiya mutabani wa Mesullamu mutabani wa Zadoki mutabani wa Merayoosi mutabani wa Akitubu, omukulu w'ennyumba ya Katonda,
12 ne baganda baabwe abaakolanga omulimu ogw'omu nnyumba, olunaana mu abiri mu babiri: ne Adaya mutabani wa Yerokamu mutabani wa Peraliya mutabani wa Amuzi mutabani wa Zekkaliya mutabani wa Pasukuli mutabani wa Malukiya,
13 ne baganda be, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ebikumi bibiri mu ana mu babiri: ne Amasusaayi mutabani wa Azaleri mutabani wa Azayi mutabani wa Mesiremoosi mutabani wa Immeri,
14 ne baganda baabwe, abasajja ab'amaanyi abazira, kikumi mu abiri mu munaana: ne Zabudyeri mutabani wa Kaggedolimu ye yali omulabirizi waabwe.
15 Ne ku Baleevi: Semaaya mutabani wa Kassubu mutabani wa Azulikamu mutabani wa Kasabiya mutabani wa Bunni;
16 ne Sabbesayi ne Yozabadi, ku bakulu b'Abaleevi abaalabiriranga emirimu egy'ebweru egy'ennyumba ya Katonda;
17 ne Mattaniya mutabani wa Mikka mutabani wa Zabudi mutabani wa Asafu eyali omukulu okuleeterezanga okwebaza bwe baasabanga, ne Bakubukiya ow'okubiri mu baganda be; ne Abuda mutabani wa Sammuwa mutabani wa Galali mutabani wa Yedusuni.
18 Abaleevi bonna abaali mu kibuga ekitukuvu baali ebikumi bibiri mu kinaana mu bana.
19 Era nate abaggazi, Akkubu ne Talumooni ne baganda baabwe abaakuumanga emiryango baali kikumi mu nsanvu mu babiri.
20 N'Abaisiraeri bonna abalala, ku bakabona Abaleevi, baabanga mu bibuga byonna ebya Yuda, buli muntu mu busika bwe.
21 Nave Abanesinimu ne babeeranga mu Oferi: ne Zika ne Gisupa be baali abakulu b'Abanesinimu.
22 Ne Uzzi mutabani wa Baani mutabani wa Kasabiya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikka, ow'oku baana ba Asafu abayimbi, ye yali omulabirizi w'Abaleevi e Yerusaalemi okulongoosa emirimu egy'omu nnyumba ya Katonda.
23 Kubanga kabaka yali alagidde ebigambo byabwe, era yali akuutidde abayimbi eby'enkalakkalira nga buli lunaku bwe lwetaaga.
24 Ne Pesakiya mutabani wa Mesezaberi ow'oku baana ba Zeera mutabani wa Yuda yabanga ku mukono gwa kabaka olw'ebigambo byonna eby'abantu.
25 N'olw'ebyalo n'ennimiro zaako, abamu ku baana ba Yuda ne babeeranga mu Kirasualuba ne mu bibuga byako, ne mu Diboni n'ebibuga byako, ne mu Yekabuzeeri n'ebyalo byako:
26 ne mu Yesuwa ne mu Molada ne Besupereti;
27 ne mu Kazalusuali ne mu Beeruseba ne mu bibuga byako;
28 ne mu Zikulagi ne mu Mekona n'ebibuga byako;
29 ne mu Enulimmoni ne mu Zola ne mu Yalamusi;
30 Zanowa ne Adulamu n'ebyalo byako, Lakisi n'ennimiro zaako, Azeka n'ebibuga byako. Bwe batyo bwe baasiisira okuva e Beeruseba okutuuka ku kiwonvu kya Kinomu.
31 Abaana ba Benyamini nabo ne babeeranga okuva e Geba n'okweyongerayo e Mikumasi ne Ayiya, ne Beseri n'ebibuga byako;
32 Anasosi ne Nobu ne Ananiya;
33 Kazoli ne Laama ne Gittayimu;
34 ne Kadidi ne Zeboyimu ne Neballati;
35 ne Loodi ne Ono, ekiwonvu eky'abakozi.
36 Ne ku Baleevi ebisanja ebimu eby'omu Yuda ne bigattibwa ne Benyamini.




Essuula 12

1 Era bano be bakabona n'Abaleevi abaayambuka ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yesuwa, Seraya ne Yeremiya ne Ezera;
2 ne Amaliya ne Malluki ne Kattusi;
3 ne Sekaniya ne Lekumu ne Meremoosi;
4 ne Iddo ne Ginnesoyi ne Abiya;
5 ne Miyamini ne Maadiya ne Biruga;
6 ne Semaaya ne Yoyalibu ne Yedaya;
7 ne Sallu ne Amoki ne Kirukiya ne Yedaya. Abo be baali abakulu ba bakabona n’aba baganda baabwe mu nnaku za Yesuwa.
8 Era nate Abaleevi; Yesuwa ne Binnuyi ne Kadumyeri ne Serebiya ne Yuda ne Mattaniya eyali omukulu w'okwebaza, ye ne baganda be.
9 Era Bakubukiya ne Unni baganda baabwe ne baboolekera mu bisanja.
10 Yesuwa n'azaala Yoyakimu, Yoyakimu n'azaala Eriyasibu, Eriyasibu n'azaala Yoyaada,
11 Yoyaada n'azaala Yonasaani, Yonasaani n'azaala Yadduwa.
12 Mu nnaku za Yoyakimu ne wabaawo bakabona emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe; owa Seraya, Meraya; owa Yeremiya, Kananiya;
13 owa Ezera, Mesullamu; owa Amaliya, Yekokanani;
14 owa Malluki, Yonasaani; owa Sebaniya, Yusufu;
15 owa Kalimu, Aduna; owa Merayoosi, Kerukayi;
16 owa Iddo, Zekkaliya; owa Ginaesoni, Mesullamu;
17 owa Abiya, Zikuli; owa Miniyamini, owa Mowadiya, Pirutayi;
18 owa Biruga, Sammuwa; owa Semaaya, Yekonasani;
19 n'owa Yoyalibu, Mattenayi; owa Yedaya, Uzzi;
20 owa Sallayi, Kallayi; owa Amoki, Eberi;
21 owa Kirukiya, Kasabiya; owa Yedaya, Nesaneeri.
22 Abaleevi mu nnaku za Eriyasibu, Yoyada ne Yokanani ne Yadduwa, ne bawandiikibwa nga gye mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe: era ne bakabona, Daliyo Omuperusi nga ye kabaka.
23 Batabani ba Leevi, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, ne bawandiikibwa mu kitabo eky'ebyomumirembe okutuusa ku nnaku za Yokanani mutabani wa Eriyasibu.
24 N'abakulu b'Abaleevi: Kasabiya ne Serebiya ne Yesuwa mutabani wa Kadumyeri ne baganda baabwe nga baboolekedde okutenderezanga n'okwebazanga ng'ekiragiro bwe kyali ekya Dawudi omusajja wa Katonda, ekisanja nga kyolekera ekisanja.
25 Mattaniya ne Bakubukiya ne Obadiya ne Mesullamu ne Talumooni ne Akkubu be baali abaggazi nga bakuuma amawanika ag'oku miryango.
26 Abo be baaliwo mu biro bya Yoyakimu mutabani wa Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne mu biro bya Nekkemiya owessaza, n'ebya Ezera kabona omuwandiisi.
27 Awo bwe baatukuza bbugwe wa Yerusaalemi, ne banoonya Abaleevi mu bifo byabwe byonna, okubaleeta e Yerusaalemi, okukwata embaga ey'okutukuza n'essanyu, nga beebaza era nga bayimba, nga balina ebitaasa n'entongooli n'ennanga.
28 Abaana b'abayimbi ne bakuŋŋaana, okuva mu lusenyi olwetoolodde Yerusaalemi ne mu byalo eby'Abanetofa;
29 era ne mu Besugirugaali ne mu nnimiro ez'oku Geba ne Azumaveesi kubanga abayimbi baali beezimbidde ensiisira okwetooloola Yerusaalemi.
30 Awo bakabona n'Abaleevi ne beerongoosa; ne balongoosa abantu n'emiryango ne bbugwe.
31 Awo ne nnyambusa abakulu ba Yuda ku bbugwe, ne nteekawo ebibiina bibiri ebinene abeebaza ne batambula nga basimbye ennyiriri; ekimu nga kitambulira ku mukono ogwa ddyo ku bbugwe mu kkubo ery'omulyango ogw'obusa:
32 n'oluvannyuma lwabwe Kosaaya n'atambula n'ekitundu eky'abakulu ba Yuda,
33 ne Azaliya ne Ezera ne Mesullamu
34 ne Yuda ne Benyamuu ne Semaaya ne Yeremiya,
35 n'abamu ku baana ba bakabona nga balina amakondeere: Zekkaliya mutabani wa Yoaasaani mutabani wa Semaaya mutabani wa Mattaniya mutabani wa Mikaaya mutabani wa Zakkuli mutabani wa Asafu;
36 ne baganda be, Semaaya ne Azaleeri ne Miralayi ne Giralayi ne Maayi ne Nesaneeri ne Yuda ne Kanani, nga balina ebivuga ebya Dawudi omusajja wa Katonda; ne Ezera omuwandiisi ng'abaknlembedde:
37 ne bayita mu mulyango ogw'oluzzi n'okusimba mu maaso gaabwe ne balinnya ku lutindo olw'ekibuga kya Dawudi, bbugwe w'ayambukira waggulu w'ennyumba ya Dawudi okutuusa ku mulyango ogw'amazzi ebuvanjuba.
38 N'ekibiina eky'okubiri eky'abo abeebaza ne bagenda okubasisinkana, nange nga mbavaako ennyuma, wamu n'ekitundu ky'abantu ku bbugwe engulu w'ekigo eky'ebikoomi, okutuusa ku bbugwe omugazi;
39 era engulu w'omulyango gwa Efulayimu, n'awali omulyango omukadde, n'awali omulyango ogw'ebyennyanja, n'ekigo kya Kananeri, n'ekigo kya Kameya, okutuusa ku mulyango ogw'endiga: ne bayimirira buyimirizi mu mulyango ogw'abakuumi.
40 Awo ebibiina byombi eby'abo abeebaliza mu nnyumba ya Katonda ne biyimirira, nange n'ekitundu ky'abakulu wamu nange:
41 ne bakabona, Eriyakimu ne Maaseya ne Miniyamini ne Mikaaya ne Eriwenayi ne Zekkaliya ne Kananiya nga balina amakondeere;
42 ne Maaseya ne Semaaya ne Ereyazaali ne Uzzi ne Yekokanani ne Malukiya ne Eramu ne Ezera. Abayimbi ne bayimba n'eddoboozi ddene, Yezulakiya nga ye mukulu waabwe.
43 Ne bawaayo ssaddaaka enkulu ku lunaku olwo ne basanyuka; kubanga Katonda yali abasanyusizza essanyu lingi; era n'abakazi n'abaana abato ne basanyuka: awo essanyu ery'e Yerusaalemi n'okuwulirwa ne liwulirirwa wala.
44 Awo ku lunaku olwo ne balonda abantu okuba abakulu b'enju ez'amawanika olw'ebiweebwayo ebisitulibwa, olw'ebibala ebibereberye, n'olw'ebitundu eby'ekkumi, okuzikuŋŋaanyizaamu ng’ennimiro ez'oku bibuga bwe zaali, emigabo egyalagirwa bakabona n'Abaleevi mu mateeka: kubanga Yuda yasanyuka olwa bakabona n'Abaleevi abaaweereza.
45 Era baakwata ebisanja bya Katonda waabwe n'ebisanja eby’okulongoosa, era bwe batyo bwe baakola n'abayimbi n'abaggazi ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali n'ekya Sulemaani mutabani we.
46 Kubanga mu nurembe gya Dawudi ne Asafu edda waabangawo omukulu w'abayimbi, n'ennyimba ez'okutenderezanga dokwebazanga Katonda.
47 Era Isiraeri yenna mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya ne bawa emigabo gy'abayimbi n'abaggazi ng'ebyagwaniranga buli lunaku bwe byali: ne batukulizanga Abaleevi; Abaleevi ne batukulizanga batabani ba Alooni.




Essuula 13

1 Ku lunaku olwo ne basoma mu kitabo kya Musa mu matu g'abantu; ne basanga nga kyawandiikibwa omwo Omwamoni n'Omumowaabu obutayingiranga mu kkuŋŋaaniro lya Katonda emirembe gyonna;
2 kubanga tebaasisinkana baana ba Isiraeri nga balina emmere n'amazzi, naye ne bagulirira Balaamu eri bo okubakolimira: era naye Katonda waffe n'afuula ekikolimo okuba omukisa.
3 Awo olwatuuka bwe baawulira amateeka, ne balyoka baawula mu Isiraeri ekibiina kyonna eky'abannaggwanga.
4 Era ebyo nga tebinnabaawo Eriyasibu kabona eyalondebwa okuba omukulu w'ebisenge eby'omu nnyumba ya Katonda waffe, bwe yali mukoddomi wa Tobiya,
5 Yali amutegekedde ekisenge ekinene, gye baateekeranga edda ebiweebwayo eby'obutta, n'omugavu, n'ebintu, n'ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, Abaleevi bye baaweebwanga olw'ekiragiro n'abayimbi n'abaggazi n'ebiweebwayo ebisitulibwa ebya bakabona.
6 Naye mu biro ebyo byonna nze nga siri Yerusaalemi: kubanga mu mwaka ogw'amakumi asatu mu ebiri ogwa Alutagizerugizi kabaka w’e Babulooni ne ŋŋenda eri kabaka, awo nga wayiseewo ennaku, ne ndaga kabaka:
7 ne njija e Yerusaalemi ne ntegeera obubi Eriyasibu bwe yali akoze olwa Tobiya, ng'amutegekera ekisenge mu mpya ez'ennyumba ya Katonda.
8 Ne kinnakuwaza nnyo: kyennava nkasuka ebweru ebintu byonna eby'omu nnyumba ebya Tobiya okubiggya mu kisenge.
9 Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge: ne nzizaayo eyo ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda n'ebiweebwayo eby'obutta n'omugavu.
10 Ne ntegeera nga Abaleevi baali tebannaweebwa migabo gyabwe; awo Abaleevi n'abayimbi abaakolanga omulimu nga baddukidde buli muntu mu kyalo kye.
11 Awo ne mpakanya abakulu ne njogera nti Kiki ekiresezza ennyumba ya Katonda? Ne mbakuŋŋaanya ne mbateeka mu kifo kyabwe.
12 Awo Abayuda bonna ne baleeta ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano n'omwenge n'amafuta eri amawanika.
13 Ne nzisaawo abawanika ku mawanika, Seremiya kabona ne Zadoki omuwandiisi, ne ku Baleevi, Pedaya: ne Kanani ye yabaddirira mutabani wa Zakkuli mutabani wa Mattaniya kubanga baalowoozebwa okuba abeesigwa, n'omulimu gwabwe kugabiranga baganda baabwe.
14 Onjijukiranga, ai Katonda wange, olw'ekigambo ekyo, so tosangula bikolwa byange ebirungi bye nnakolera ennyumba ya Katonda wange n'olw'ebyo ebikwatirwa omwo.
15 Mu biro ebyo ne ndaba mu Yuda abantu nga basambira ku ssabbiiti amasogolero, era nga bayingiza ebinywa, era nga babiteeka ku ndogoyi zaabwe; era n'omwenge n'ezabbibu n'ettiini n'emigugu egy'engeri zonna gye bayingiza mu Yerusaalemi ku lunaku olwa ssabbiiti: ne mba omujulirwa eri bo ku lunaku kwe baatundira ebyokulya.
16 Era mwabeeramu abasajja ab’e Ttuulo abaayingizanga ebyennyanja n'ebintu eby'engeri zonna, ne babaguliza ku ssabbiiti abaana ba Yuda ne mu Yerusaalemi.
17 Awo ne ndyoka mpakanya abakungu ba Yuda ne mbagamba nti Kibi ki kino kye mukola ne mwonoona olunaku olwa ssabbiiti?
18 Bajjajjammwe si bwe baakolanga bwe batyo, era Katonda waffe teyatuleetako bubi buno bwonna ne ku kibuga kino? era naye mmwe mweyongera okuleeta obusungu ku Isiraeri nga mwonoona ssabbiiti.
19 Awo olwatuuka ekizikiza bwe kyasooka okukwata enzigi ez'e Yerusaalemi ssabbiiti ng'eneebaako enkya, ne ndagira okuggalawo enzigi, ne ndagira obutaziggulawo okutuusa ssabbiiti lw'eriggwaako: ne nteeka abamu ku baddu bange ku nzigi, baleme okuyingiza omugugu gwonna ku lunaku olwa ssabbiiti.
20 Awo abasuubuzi n'abatunzi b'ebintu eby'engeri zonna ne basula ebweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri.
21 Ne ndyoka mbeera omujulirwa eri bo ne mbagamba nti Kiki ekibasuza okwetooloola bbugwe? bwe mulikola bwe mutyo nate, ndibakwata. Awo okuva ku lunaku olwo ne batajjira nate ku ssabbiiti.
22 Awo ne ndagira Abaleevi okwerongoosa, era okujja okukuuma enzigi okutukuza olunaku olwa ssabbiiti. Onjijukiriranga, ai Katonda wange, na kino, onsonyiwe ng'okusaasira kwo bwe kwenkana obungi.
23 Mu biro ebyo era ne ndaba Abayudaaya abaali bawasizza abakazi ba Asudodi n'aba Amoni n'aba Mowaabu:
24 n'abaana baabwe baayogeranga ekitundu lulimi lwa Asudodi so tebaayinza kwogera lulimi lwa Bayudaaya, naye ng'olulimi olwa buli ggwanga bwe lwali.
25 Awo ne mbawakanya ne mbakolimira ne nkubako abamu ne nkuunyuula enviiri zaabwe ne mbalayiza Katonda nti Temuwanga batabani baabwe bawala bammwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, newakubadde mmwe bennyini.
26 Sulemaani kabaka wa Isiraeri teyayonoonanga mu ebyo? naye mu mawanga mangi temwali kabaka amwenkana, era yayagalibwa Katonda we, era Katonda n'amufuula kabaka wa Isiraeri yenna: era nate n'oyo abakazi ab'amawanga ne bamwonoonyesa.
27 Kale tunaabawulira mmwe okukolanga obubi obwenkanidde awo okusobya Katonda waffe nga tuwasa abakazi ab'amawanga?
28 Era omu ku batabani ba Yoyada mutabani wa Eriyasibu kabona omukulu, yali mukoddomi wa Sanubalaati Omukoloni: kyennava mmugoba gye ndi.
29 Obajjukiranga, ai Katonda wange, kubanga baayonoona obwakabona n'endagaano ey'obwakabona n'ey'Abaleevi.
30 Bwe ntyo bwe nnabalongoosa eri bannaggwanga bonna, ne nteekawo ebisanja bya bakabona n'eby'Abaleevi, buli muntu mu mulimu gwe;
31 n'olwekiweebwayo eky'enku mu biro ebyateekebwawo; n'olw'ebibala ebibereberye. Onjijukiranga, ai Katonda wange, okunkola obulungi.