Yobu

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36 37 38 39 40 41 42


-Reset+

Essuula 1

1 Waaliwo omusajja mu nsi Uzzi, erinnya lye Yobu; era omusajja oyo yatuukirira era nga wa mazima, era ng'atya Katonda ne yeewalanga obubi.
2 N'azaalirwa abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.
3 Era ebintu bye byali endiga kasanvu n'eŋŋamira enkumi ssatu n'emigogo gy'ente ebikumi bitaano n'endogoyi enkazi ebikumi bitaano n'abaddu bangi nnyo nnyini; omusajja oyo n'aba mukulu okusinga abaana bonna ab'ebuvanjuba.
4 Batabani be ne bagendanga ne bafumba embaga mu nnyumlia ya buli muntu ku lunaku lwe; ne batumanga ne bayitanga bannyinaabwe abasatu okulya n'okunywa nabo.
5 Awo olwatuuka ennaku z'embaga yaabwe bwe zaayitawo, Yobu n'atumanga n'abatukuzanga n'agolokokanga enkya mu makya, n'awangayo ebiweebwayo ebyokebwa ng'omuwendo gwabwe bonna bwe gwali: kubanga Yobu yayogera nti Mpozzi batabani bange boonoonye, ne beegaana Katonda mu mitima gyabwe. Bw'atyo Yobu bwe yakolanga olutata.
6 Awo olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo.
7 Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Awo, Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo eruuyi n'eruuyi.
8 Mukama n’agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali amufaanana mu nsi, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi:
9 Awo Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Yobu atiira bwereere Katonda?
10 Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n'ennyumba ye ne byonna by'alina, enjuyi zonna? owadde omukisa omulimu gw'engalo ze, n'ebintu bye byaze mu nsi:
11 Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by'alina, kale alikwegaanira mu maaso go.
12 Mukama n'agamba Setaani nti Laba, byonna by'alina biri mu mukono gwo; kyokka ku ye yennyini togolola mukono gwo, Awo Setaani n'ava awali Mukama.
13 Awo olunaku lwali lumu batabani be ne bawala be bwe, baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu,
14 omubaka n'ajja, eri Yobu n'ayogera nti Ente zibadde nga zirima, n'endogoyi nga ziziriraanye nga zirya;
15 Abaseba ne bazigwako ne bazitwala; weewaawo, basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira.
16 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti omuliro gwa Katonda gugudde nga guva mu ggulu, era gwokezza endiga n'abaddu ne gubazikiriza; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira.
17 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Abakaludaaya beefudde ebibiina bisatu, ne bagwa ku ŋŋamira, era bazitutte, weewaawo, era basse abaddu n'obwogi bw'ekitala; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira:
18 Yali ng'akyayogera, omulala n'ajja naye n'ayogera nti Batabani bo ne bawala bo baali nga baliira era nga banywera omwenge mu nnyumba ya muganda waabwe omukulu:
19 kale, laba, embuyaga nnyingi ne zijja nga ziva mu ddungu, ne zikuba ensonda ennya ez'ennyumba, n'egwa ku balenzi, era bafudde; nange nzekka nze mponyeewo omuntu omu okukubuulira:
20 Awo Yobu n'agolokoka n'ayuza omunagiro gwe n'amwa omutwe n'avuunama ku ttaka n'asinza;
21 n'ayogera nti Nava mu lubuto lwa mmange nga ndi mwereere, era ndiddayo nga ndi mwereere: Mukama ye yawa, era Mukama ye aggyawo; erinnya lya Mukama lyebazibwe.
22 Mu ebyo byonna Yobu teyayonoonanga, so teyavuma Katonda busirusiru.




Essuula 2

1 Awo nate olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n'ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama.
2 Mukama n'agamba Setaani nti Ova wa? Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n'okutambulatambula omwo wano ne wali.
3 Mukama n'agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira era ow'amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wasaakiriza gy'ali, okumuzikiririza obwereere.
4 Setaani n'addamu Mukama n'ayogera nti Eddiba olw'eddiba, weewaawo, byonna omuntu by'alina alibiwaayo olw'obulamu bwe.
5 Naye kaakano golola omukono gwo, okome ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go.
6 Mukama n'agamba Setaani nti Laba, ali mu mukono gwo; kyokka mulekere obulamu bwe.
7 Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe.
8 N'addiranga olugyo okweyaguza; n'atuulanga mu vvu.
9 Awo mukazi we n'amugamba nti Okyanyweza obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe.
10 Naye n'amugamba nti Oyogera ng'omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! Tunaaweebwanga ebirungi mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibi? mu ebyo byonna Yobu teyayonoona na mimwa gye.
11 Awo mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne bajja buli muntu ng'ava mu kifo kye ye; Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi: ne balagaana wamu okujja okumukaabirako n'okumukubagiza.
12 Awo bwe baayimusa amaaso gaabwe, nga bakyali wala ne batamumanya ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba; ne bayuza buli muntu omunagiro gwe, ne bafuumuulira enfuufu ku mitwe gyabwe eri ggulu.
13 Awo ne batuula wamu naye ku ttaka ne bamala ennaku musanvu emisana n'ekiro, ne wataba amugamba kigambo: kubanga baalaba ennaku ze nga nnyingi nnyo.




Essuula 3

1 Awo Yobu n'alyoka ayasama akamwa n'akolimira olunaku lwe:
2 Yobu n'addamu n'ayogera nti
3 Olunaku lukolimirwe kwe nnazaalirwa, N'ekiro ekyayogera nti Omwana ow'obulenzi ali mu lubuto.
4 Olunaku olwo lube ekizikiza; Katonda aleme okulutunuulira ng'ayima waggulu, So n'omusana guleme okulwakira.
5 Ekizikiza n'ekisiikirize eky'okufa biruyite olw'abyo; Ekire kirutuuleko: Byonna ebiddugaza obudde birutiise.
6 Ekiro ekyo ekizikiza ekikutte kikinyage: So luleme okusanyukira mu nnaku ez'omu mwaka; Luleme okutuuka mu muwendo gw'emyezi.
7 Laba, ekiro ekyo kibe kigumba; Luleme okujjirwa eddoboozi ery'essanyu.
8 Abo balukolimire abakolimira obudde, Abeeteeseteese okusaggula goonya.
9 Emmunyeenye ez'ekiro kyalwo zibeeko ekizikiza: Lunoonye omusana, naye lugubulwe; So terutunuulira bikowe bya nkya:
10 Kubanga terwaggala nzigi za lubuto lwa mmange. So terwakisa maaso gange obuyinike.
11 Kiki ekyandobera okufa okuva mu lubuto? Kiki ekyandobera okuta obulamu bwe nnava mu byenda?
12 Amaviivi ganzikiririza ki? Oba amabeere, okugayonka?
13 Kubanga kaakano nandigalamidde ne nsirika; Nandyebase; bwe ntyo bwe nnandiwummudde:
14 Wamu ne bassekabaka n'abakungu b'ensi, Abeezimbira mu matongo;
15 Oba wamu n'abalangira abaalina ezaabu, Abajjuzanga ennyumba zaabwe effeeza:
16 Oba ng'omwana omusowole akwekebwa sandibaddewo; Ng'abaana abawere abatalabanga ku musana n'akatono.
17 Eyo ababi bakoma okuteganya; Era eyo abakoowu gye bawummulira.
18 Eyo abasibe gye bessiza awamu; Tebawulira ddoboozi lya mukoza.
19 Omuto n'omukulu bali eyo; N'omuddu aba wa ddembe eri mukama we.
20 Alaba obuyinike aweerwa ki omusana? N'obulamu abuweerwa ki oyo alumiddwa omwoyo;
21 Abeegomba okufa, naye ne kutajja; Ne bakusima okusinga obugagga obukwekeddwa;
22 Abasanyuka ennyo nnyini, Ne bajaguza, bwe bayinza okulaba entaana?
23 Omuntu akwekeddwa ekkubo lye aweerwa ki omusana, Era Katonda gw'akomedde olukomera?
24 Kubanga okusinda kwange kujja nga sinnalya, N'okuwuluguma kwange kufukibwa ng'amazzi.
25 Kubanga kye ntidde kinjijako, N'ekyo kye nkankanira kijja gye ndi.
26 Sessa so sitereera so siwummula; Naye ennaku zijja.




Essuula 4

1 Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2 Omuntu bw'anaagezaako okwogera naawe, onoonyiiga? Naye ani ayinza okuzibiikiriza obutayogera?
3 Laba, wayigirizanga bangi, Era wanywezanga emikono eminafu.
4 Ebigambo byo byamuwaniriranga oyo eyali agudde, Era wawanga amaanyi amaviivi agaddirira.
5 Naye kaakano kituuse gy'oli n'ozirika; Kikukomako ne weeraliikirira.
6 Okutya kwo Katonda si bwe bwesige bwo, N'amakubo go amagolokofu si kwe kusuubira kwo?
7 Nkwegayiridde, jjukira, ani eyali abuze nga taliiko musango? Oba abatuukirivu baali bamaliddwawo wa?
8 Nga bwe nnalaba, abo abakabala obujeemu, Ne basiga obuyinike, era bye bakungula.
9 Bazikirira olw'omukka gwa Katonda, Era bamalibwawo olw'okuwuuma kw'obusungu bwe.
10 Okuwuluguma kw'empologoma n'eddoboozi ly'empologoma enkambwe, N'amannyo g'empologoma ento gamenyeka.
11 Empologoma enkulu efa omuyiggo nga gugibuze, N'abaana b'empologoma ne basaasaana.
12 Kale ekigambo kyandeeterwa kyama, N'okutu kwange ne kutoola okuwuuma kwakyo.
13 Mu kulowooza okuva mu kwolesebwa okw'ekiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu.
14 Entiisa n'enkwata n'okukankana, Amagumba gange gonna n'okunyegenya ne ganyegenya.
15 Awo omwoyo ne guyita ku maaso gange; Enviiri ez'omubiri gwange ne zinva ku mutwe.
16 Gwayimirira buyimirizi, naye ne siyinza kwetegereza bwe gufaanana; Ekifaananyi kyali mu maaso gange: Waaliwo okusirika, ne mpulira eddoboozi eryogera nti
17 Omuntu afa alisinga Katonda obutuukirivu? Omuntu aliba mulongoofu okukira eyamukola?
18 Laba, teyeesiga baddu be; Ne bamalayika be abalanga obusirusiru:
19 T'alisinga nnyo kubanga abo abasula mu nnyumba ez'ettala, Omusingi gwabwe guli mu nfuufu, Ababetentebwa okusooka ekiwojjolo!
20 Bazikiririra mu kiseera ekiri wakati w'enkya n'akawungeezi: Babula emirembe gyonna nga tewali akissaako mwoyo.
21 Omugwa gwabwe ogw'eweema tegusimbulwa munda yaabwe? Bafa, era awatali magezi.




Essuula 5

1 Koowoola nno; waliwo anaakuyitaba? Era ani ku batukuvu gw'onookyukira?
2 Kubanga okweralirira kutta omusirusiru, Nobuggya butta atalina magezi.
3 Nalaba omusirusiru ng'asimba emmizi: Naye amangu ago ne nkolimira ekifo ky'abeeramu.
4 Abaana be baba wala n'emirembe, Era babetentebwa mu mulyango, So tewali wa kubawonya.
5 Omwaka gwabwe omuyala agulya, N'aguggya ne mu maggwa, N'omutego guwankirawankira ebintu byabwe.
6 Kubanga okulaba ennaku tekuva mu nfuufu, So n'obuyinike tebuva mu ttaka;
7 Naye abantu bazaalirwa obuyinike, Ng'ensasi bwe zibuuka waggulu.
8 Naye nze, njagala okunoonya Katonda, Era njagala okulekera Katonda ensonga yange:
9 Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Eby'ekitalo ebitabalika:
10 Atonnyesa enkuba ku nsi, N'asindika amazzi ku nnimiro:
11 Awo n'agulumiza abo abatoowazibwa; N'abo abali mu nnaku ne basitulibwa ne baba mirembe.
12 Atta enkwe ez'abagerengetanya, Emikono gyabwe ne gitayinza kutuukiriza bye batandise.
13 Akwasa abagezi olukwe lwabwe bo: N'okuteesa kw'ab'ekyejo kumenyekera ddala.
14 Baba n'ekizikiza emisana, Era bawammanta mu ttuntu nga kiro.
15 Naye alokola mu kitala eky'akamwa kaabwe, Alokola eyeetaaga mu mukono gw'ow'amaanyi.
16 Kale omwavu n'aba n'okusuubira, Obutali butuukirivu ne buziba akamwa kaabwo.
17 Laba aweereddwa mukisa omuntu Katonda gw'akangavvula: Kale tonyooma kubuulirira kw'Omuyinza w'ebitu byonna.
18 Kubanga ye alumya era ye anyiga; Ye afumita era engalo ze z'eziwonya.
19 Anaakuwonyanga mu buyinike omukaaga; Weewaawo, mu musanvu tewaabenga bubi obunaakukomangako.
20 Mu njala anaakununulanga obutafa; Ne mu ntalo anaakuwonyanga mu maanyi g'ekitala.
21 Onookwekebwanga awali okubambula kw'olulimi; So tootyenga kuzikirira bwe kunajjanga.
22 Onoosekereranga okuzikirira n'enjala; So tootyenga nsolo za ku nsi.
23 Kubanga onoolagaananga endagaano n'amayinja ag'omu ttale; N'ensolo ez'omu nsiko zinaabanga n'emirembe gy'oli.
24 Era onoomanyanga ng'eweema yo eri mirembe; Era onoolambulanga ekisibo kyo n'otobulwa kintu.
25 Era onoomanyanga ng'ezzadde lyo linaabanga kkulu. N'enda yo ng'omuddo ogw'ettale.
26 Olituuka mu ntaana yo ng'owezezza emyaka mmingi. Ng'ekinywa ky'eŋŋaano bwe kijja mu ntuuko zaakyo.
27 Laba, ekyo twakikenneenya, bwe kiri bwe kityo. Kiwulire okimanye olyoke obeere bulungi.




Essuula 6

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Singa okweraliikirira kwange kupimiddwa, N'ennaku zange singa ziteekeddwa mu minzaani wamu!
3 Kubanga kaakano zandisinze obuzito omusenyu ogw'ennyanja: Ebigambo byange kye bivudde bibeera eby'okwanguyiriza.
4 Kubanga obusaale bw'Omuyinza w'ebintu byonna buli munda yange, N'obusagwa bwabwo omwoyo gwange gubunywa: Eby'entiisa ebya Katonda bisimba ennyiriri okulwana nange.
5 Entulege ekaaba bw'eba n'omuddo? Oba ente eŋooŋa awali emmere yaayo?
6 Ekitaliimu nsa kiriika awatali munnyo? Oba olububi lw'eggi luliko bwe luwooma?
7 Emmeeme yange egaana okubikomako; Biriŋŋanga ebyokulya eby'omuzizo gye ndi.
8 Singa nnyinza okuweebwa kye nsaba; Katonda singa ampadde kye nneegomba !
9 Katonda singa asiimye okumbetenta; Singa ayanjuluzza engalo ze n'ammalawo!
10 Kale bwe nnandibadde n'okusanyusibwa nga mmaze Weewaawo, nandijaguzizza olw'okulumwa awatali kusaasirwa: Kubanga sigaananga bigambo bya Mutukuvu.
11 Amaanyi gange kye ki, nnindirire? N'enkomerero yange kye ki, ngumiikirize?
12 Amaanyi gange maanyi ga mayinja? Oba omubiri gwange gwa kikomo?
13 Si kubanga sirina kinnyamba mu nze? N'okukola okw'amaanyi kugobeddwa ddala gye ndi?
14 Ayagala okuzirika agwana mukwano gwe okumukola eby'ekisa; Era n'oyo aleka okutya Omuyinza w'ebintu byonna.
15 Baganda bange balimbyerimbye ng'akagga, Ng'olusalosalo lw'obugga oluggwaawo:
16 Obuddugala olw'amazzi agakutte, Era omuzira mwe gwekweka:
17 Buli lwe bubuguma, ne bubula: Ebbugumu bwe libaawo, bumalibwawo okuva mu kifo kyabwo.
18 Essafaali ezitambula ku mabbali gaabwo ne zikyama; Bambuka mu ddungu ne bazikirira.
19 Essafaali z'e Tema zaatunula, Ebibiina eby'e Seeba byabulindirira.
20 Baakwatibwa ensonyi kubanga baasuubira; Bajja eyo ne baswazibwa.
21 Kubanga kaakano temuliiko kye muli; Mulaba ekitiisa ne mutya.
22 Nali mbagambye nti Mpa? Oba nti Muweeyo ku bintu byammwe ekirabo ku lwange?
23 Oba nti Mumponye mu mukono gw'omulabe? Oba nti Munnunule mu mukono gw'abajoozi?
24 Munjigirize nange naasirika: Era muntegeeze bwe kiri kye nnasobya.
25 Ebigambo eby'obugolokofu nga bya maanyi! Naye okuwakana kwammwe kunenya ki?
26 Mulowooza okunenya ebigambo? Kubanga okwogera kw'oyo atalina ssuubi biriŋŋanga empewo.
27 Weewaawo, mwandikubidde obululu atalina kitaawe, Ne mukwano gwammwe mwandimuviisizzaamu amagoba.
28 Kale nno mukkirize okuntunuulira; Kubanga mazima sijja kulimba mu maaso gammwe.
29 Muddeeyo, mbeegayiridde, waleme okubaawo ebitali bya nsonga; Weewaawo, muddeeyo nate, ensonga yange nnungi.
30 Ku lulimi lwange kuliko ebitali bya nsonga? Amatama gange tegayinza kwawula bigambo ebireeta akabi?




Essuula 7

1 Abantu tebalina lutalo ku nsi? N'ennaku zaabwe tezifaanana nnaku z'oyo akolera empeera?
2 Ng'omuddu ayaayaanira ennyo ekisiikirize, Era ng'oyo akolera empeera bw'asuubira empeera ye:
3 Bwe ntyo nange bwe mmazibwa emyezi egitaliiko kye gigasa, N'ebiseera eby'ekiro ebinkooya byanteekerwawo.
4 Bwe ngalamira ne njogera nti Naayimuka ddi? naye ekiro kirwawo; Era nsula nneekubiira okukeesa obudde.
5 Omubiri gwange gwambadde envunyu n'amafunfugu; Eddiba lyange liziba ne litulika nate.
6 Ennaku zange ziwulukuka mangu okusinga obutanta bw'omulusi w'engoye, Era ziggwaawo awatali ssuubi.
7 Woowe, jjukira ng'obulamu bwange mpewo: Amaaso gange tegakyalaba nate birungi.
8 Eriiso ly'oyo andaba terikyandaba nate: Amaaso go galiba ku nze, naye nga siriiwo.
9 Ekire nga bwe kiggwaawo ne kibula, Bw'atyo n'oyo akka mu magombe taalinnyenga kuvaayo.
10 Taddenga nate mu nnyumba ye, So n'ekifo kye tekiimumanyenga nate.
11 Kyennaava nnema okuziyiza akamwa kange; Naayogeza obubalagaze bw'omwoyo gwange; Neemulugunyisa obuyinike bw'emmeeme yange.
12 Nze nnyanja, oba lukwata, N'okussaako n'onzisaako abankuuma?
13 Bwe njogera nti Ekitanda kyange kinansanyusa, Ekiriri kyange kinaawummuza okwemulugunya kwange;
14 Kale n'olyoka ontiisa n'ebirooto, N'onkanga n'okwolesebwa:
15 Emmeeme yange n'okweroboza ne yeeroboza okutugibwa, N'okufa okusinga amagumba gange gano.
16 Ntamiddwa obulamu bwange; saagala kuba mulamu ennaku zonna: Ndeka; kubanga ennaku zange teziriimu.
17 Omuntu kye kiki, ggwe okumukuza, Era ggwe okumussaako omwoyo gwo.
18 N'okumujjira buli nkya, N'okumukema buli kaseera?
19 Olituusa wa obutanziyangako maaso, N'obutandekanga okumala okumira amalusu gange?
20 Oba nga nnyonoonye, nkukola ki ggwe, ggwe alabirira abantu? Kiki ekyakunteesaawo okuba sabbaawa gy'oli, N'okuzitowa ne nneezitoowerera nze nzekka?
21 Era kiki ekikulobera okusonyiwa okusobya kwange n'okuggyawo obutali butuukirivu bwange? Kubanga kaakano naagalamira mu nfuufu; Naawe olinnoonyeza ddala, naye nze nga siriiwo.




Essuula 8

1 Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2 Olituusa wa okwogera ebyo? Era ebigambo eby'omu kamwa ko birituusa wa okuba ng'empewo ey'amaanyi?
3 Katonda anyoola omusango? Oba Omuyinza w'ebintu byonna anyoola ensonga?
4 Abaana bo oba nga baamwanoona, Ye n'abagabula mu mukono gw'okusobya kwabwe:
5 Bw'onokkiriza okunoonyeza ddala Katonda, Ne weegayirira Omuyinza w'ebintu byonna;
6 Singa obadde mulongoofu era wa mazima; Teyandiremye nno okukuzuukukira, N'awa omukisa ekifo omubeera obutuukirivu bwo.
7 Okusooka kwo newakubadde nga kwali kutono, Naye enkomerero yo ey'oluvannyuma yandyeyongedde nnyo.
8 Kubanga buuza ab'emirembe egyasooka, nkwegayiridde, Okenneenye ebyo bajjajjaabwe bye baanoonyeza ddala:
9 (Kubanga tuli ba jjo, so tetuliiko kye tumanyi, Kubanga ennaku zaffe ze tumala ku nsi kisiikirize:)
10 Bo tebalikuyigiriza ne bakubuulira, Ne boogera ebigambo ebiva mu mutima gwabwe?
11 Ekitoogo kiyinza okukula awatali bitosi? Olulago luyinza okumera awatali mazzi?
12 Nga lukyali lubisi nga terunnatemebwa, Luwotoka okusooka omuddo omulala gwonna.
13 Bwe gatyo bwe gabeera amakubo ga bonna abeerabira Katonda; N'essuubi ly'oyo atatya Katonda binaabulanga:
14 Obwesige bwe bunaakutukanga, N'ekyo kye yeesiga ngoye za nnabbubi.
15 Aneesigamanga ku nnyumba ye, naye teeyimirirenga: Anaaginywererangako, naye teegumenga.
16 Ayerera mu maaso g'enjuba, N'amalagala ge galanda okubuna olusuku lwe.
17 Emmizi gye gikwata ku kifunvu, Alaba ekifo eky'amayinja.
18 Bw'anaazikirizibwanga okuva mu kifo kye, Awo kinaamwegaananga nga kyogera nti Sikulabangako.
19 Laba, eryo lye ssanyu ery'ekkubo lye, N'abalala baliroka okuva mu ttaka.
20 Laba, Katonda taasuulenga muntu eyatuukirira. So taawanirirenga abo abakola obubi.
21 Bw'alimala alijjuza akamwa ko enseko, N’emimwa gyo okwogerera waggulu.
22 Abakukyawa balyambala ensonyi; N’eweema ey’ababi teribaawo nate.




Essuula 9

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda?
3 Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi.
4 Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa?
5 Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe.
6 Anyeenya ensi okuva mu kifo kyayo, Empagi zaayo ne zikankana.
7 Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye.
8 Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja.
9 Akola Nabaliyo, Entungalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo.
10 Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika.
11 Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera.
12 Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki?
13 Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we.
14 Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye?
15 Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange.
16 Singa nkoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddoboozi lyange.
17 Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere.
18 Taŋŋanyenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze.
19 Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani ananteekerawo ekiseera?
20 Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuukirira, kanantegeeza okuba omukyamu.
21 Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange.
22 Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi.
23 Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi.
24 Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi : Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani?
25 Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba.
26 Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo.
27 Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo:
28 Awo nga ntidde obuyinike bwange bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango.
29 Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere?
30 Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya;
31 Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa.
32 Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango.
33 Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi.
34 Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga:
35 Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka.




Essuula 10

1 Emmeeme yange enyiye obulamu bwange; Naafukumula okwemulugunya kwange; Naayogeza kkabyo lya mmeeme Yange.
2 Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga; Ntegeeza kyova owakana nange.
3 Okiyita kirungi ggwe okujooga, Okunyooma omulimu gw'engalo zo, N'oyakira okuteesa kw'ababi?
4 Olina amaaso ag'omubiri, Oba ggwe olaba ng'abantu bwe balaba?
5 Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez'abantu, Oba emyaka gyo ng'ennaku ez'abantu,
6 N'okubuuza n'obuuza obutali butuukirivu bwange, N'onoonya okwonoona kwange,
7 Newakubadde ng'omanyi nga ssiri mubi; So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo?
8 Emikono gyo gye gyammumba, gye gyankola Wamu eruuyi n'eruuyi; naye onzikiriza.
9 Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng'ettaka; Era olinziza nate mu nfuufu?
10 Tonzituludde ng'amata, N'onkwasa ng'amata amakalu?
11 Wannyambaza eddiba n'omubiri, Era wangatta wamu n'amagumba n'ebinywa.
12 Wampa obulamu n'okuganja, N'okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange.
13 Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo; Mmanyi ng'ekyo kiri naawe:
14 Bwe nnyonoona, kale oneetegereza, So tolinziyako butali butuukirivu bwange.
15 Bwe mba omubi, nga zinsanze; Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange; Nga nswazibwa nnyo Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba.
16 Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng'empologoma: Era nate weeraga ow'ekitalo gye ndi.
17 Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze, N'onnyongerako okunyiiga kwo; Ebikyukakyuka n'obulwa biri nange.
18 Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto? Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye:
19 Nandibadde ng'atabangawo; Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana.
20 Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo, Ondeke nsanyusibweko katono,
21 Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo, Ye nsi ey'ekizikiza n'ey'ekisiikirize eky'okufa;
22 Ensi ey'ekizikiza ekikutte, ng'ekizikiza kyennyini bwe kiri; Ensi ey'ekisiikirize eky'okufa awatali kuteekateeka, Era omusana gwayo guliŋŋanga ekizikiza.




Essuula 11

1 Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2 Olufulube lw'ebigambo terugwana kuluddamu? N'omuntu omwogeziyogezi agwana okumuwa obutuukirivu?
3 Okwenyumiriza kwo kwandisirisizza abantu? Era bw'oduula, tewaabeewo anaakukwasa ensonyi?
4 Kubanga oyogera nti Okuyigiriza kwange kulongoofu, Nange ndi mulungi mu maaso go.
5 Naye Katonda singa ayogedde, N'ayasamya emimwa gye eri ggwe:
6 Era singa akwolesezza ebyama eby'amagezi, Nga ga ngeri nnyingi mu kukola okw'amaanyi! Kale tegeera Katonda ng'akutaatira so si ng'obutali butuukirivu bwo bwe bwasaanira.
7 Oyinza okulaba Katonda olw'okunoonya? Oyinza okulaba Omuyinza w'ebintu byonna n'omumalayo?
8 Kyenkana eggulu obugulumivu; oyinza kukola ki? Kisinga amagombe okugenda wansi; oyinza kumanya ki?
9 Ekigero kyakwo kisinga ensi obuwanvu, Era kisinga ennyanja obugazi:
10 Bw'anaayitamu n'asiba abantu, N'abayita okujja okusalirwa omusango, kale ani ayinza okumuziyiza?
11 Kubanga amanyi abantu abataliiko kye bagasa: Era alaba n'obutali butuukirivu newakubadde nga tabulowooza.
12 Naye omuntu ataliiko ky'agasa talina kutegeera, Weewaawo, abantu bazaalibwa ng'omwana w'entulege.
13 Bw'onooteekateekanga obulungi omutima gwo, N'ogololanga emikono gyo eri ye;
14 Obujeemu oba nga buli mu mukono gwo, buteekenga wala, So n'obutali butuukirivu bulemenga okubeera mu weema zo;
15 Kale toolemenga kuyimusa maaso go awatali bbala; Weewaawo, onootereeranga so tootyenga:
16 Kubanga oneerabiranga ennaku ze walaba; Onoozijjukiranga ng’amazzi agayiseewo:
17 N'obulamu bwo bunaatangalanga okusinga ettuntu; Newakubadde nga waliwo ekizikiza, bunaabanga ng’obw'enkya.
18 Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri; Weewaawo, onoomagamaganga n'owummula mirembe.
19 Era onoogalamiranga so tewaabenga anaakutiisanga; Weewaawo, bangi abanaakwegayiriranga.
20 Naye amaaso g'ababi ganaggwangawo, N’obuddukiro bunaababulanga, N'essuubi lyabwe linaabanga kuta mukka.




Essuula 12

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini, Era amagezi galifiira wamu nammwe.
3 Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka; Mmwe temunsinga: Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng'ebyo?
4 Ninga omuntu asekererwa eri munne, Omusajja eyakaabira Katonda n'amuddamu: Omusajja ow'ensonga era eyatuukirira asekererwa.
5 Mu kulowooza kw'oyo eyessa mulimu okunyooma akabi; Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n'ekigere kyabwe.
6 Eweema ez'abanyazi ziraba omukisa, N'abo abanyiiza Katonda baba mirembe; Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe.
7 Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza; N'ennyonyi ez'omu bbanga, zinaakubuulira:
8 Oba yogera n'ettaka, linaakuyigiriza; N'ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola.
9 Ani atamanyi mu ebyo byonna, Ng'omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?
10 Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw'oyo, N'omukka gw'abantu bonna.
11 Okutu tekukema bigambo, Era ng'amatama bwe galega ku mmere yaago?
12 Amagezi gaba n'abasajja abakadde, N'okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi.
13 Eri ye eriyo amagezi n'amaanyi; yalina okuteesa ebigambo n'okutegeera.
14 Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate; Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo.
15 Laba, aziyiza amazzi ne gakala; Nate agasindika ne gavuunika ensi.
16 Eri ye eriyo amaanyi n'okukolera ddala; Alimbibwa n'alimba babe.
17 Atwala abateesa b'ebigambo nga banyagiddwa, N'abalamuzi abafuula abasirusiru.
18 Asumulula olujegere lwa bakabaka, Era asiba ekiwato kyabwe n'olukoba.
19 Atwala bakabona nga banyagiddwa, Era amegga ab'amaanyi.
20 Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe, N'abakadde abaggyako okutegeera kwabwe.
21 Afuka okunyoomebwa ku balangira, Era asumulula olukoba olw'ab'amaanyi.
22 Ayolesa eby'obuziba ng'abiggya mu kizikiza, Era ayerula ekisiikirize eky'okufa.
23 Ayaza amawanga, era agazikiriza: Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo.
24 Abakulu b'abantu ab'omu nsi abaggyako omwoyo, Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo.
25 Bawammantira mu kizikiza awatali musana, Era abatagassa ng'omutamiivu.




Essuula 13

1 Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna, Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera.
2 Bye mumanyi era nange mbimanyi: Mmwe temunsinga.
3 Mazima naayogera n'Omuyinza w'ebintu byonna, Era njagala okuteesa ne Katonda.
4 Naye mmwe mugunja eby'obulimba, Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa.
5 Singa musirikidde ddala! Lwe mwandibadde n'amagezi.
6 Muwulire nno ensonga yange, Mutege okutu eri okuwoza kw'emimwa gyange.
7 Munawolereza Katonda nga mwogera ebitali bya songa, Era nga muleeta eby’obulimba?
8 Munaamutya kitiibwa? Munaayomberera Katonda?
9 Kirungi ye okubakebera? Oba ng'omuntu bw'alimba munne munaamulimba ye?
10 Talirema kubanenya, Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama.
11 Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa N'entiisa ye teribagwako?
12 Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu, Enkomera zammwe nkomera za ttaka.
13 Musirike mundeke njogere, Ebinaayagala okujja binjijire.
14 Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange, Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange?
15 Newakubadde ng'anzita era naye naamulindiriranga: Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge.
16 Era ekyo kye kinaabanga obulokozi bwange; Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge.
17 Muwulire nnyo ebigambo byange, N'ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe.
18 Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange; Mmanyi nga ndi mutuukirivu.
19 Ani anaawakana nange? Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka.
20 Kyokka tonkola bigambo bibiri, Kale ne sseekweka amaaso go:
21 Nziyaako omukono gwo gumbeere wala; So n'entiisa yo ereme okunkanga.
22 Kale koowoola ggwe nange naayitaba; Oba leka njogere naawe onziremu.
23 Obutali butuukirivu bwange n'ebibi byange byenkana wa obungi? Ntegeeza okusobya kwange n'okwonoona kwange.
24 Okisiza ki amaaso go, N'ompita omulabe wo?
25 Onoococca essubi eritwalibwa empewo? Era onooyigganya ebisasiro ebikaze?
26 Kubanga ompandiikira ebigambo eby'ekkabyo, Era onsisa obutali butuukirivu obw'omu buto bwange:
27 N'ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna; Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange:
28 Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo, Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.




Essuula 14

1 Omuntu azaalibwa omukazi wa nnakku si nnyigi, era ajjude obuyinike.
2 Amulisa ng'ekimuli n'atemebwa: Era adduka ng'ekisiikirize so tabeerera.
3 Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw'atyo, N'ondeeta mu musango nze naawe?
4 Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali korongoofu? tewali n'omu.
5 Kubanga ennaku ze zaateesebwa, omuwendo gw'emyezi gye guli naawe, Era wamuteekerawo ensalo ze z'atayinza kusukkako;
6 Muggyeeko amaaso go awummule, Okutuusa lw'alimala olunaku lwe ng'akolera empeera.
7 Kubanga waliwo essuubi ery'omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate, Era ng'ettabi lyagwo etto teririfa.
8 Ekikolo kyagwo newakubadde nga kikaddiwa mu ttaka, N'ekikonge kyagwo ne kifiira mu nsi;
9 Naye olw'akaloosa k'amazzi gulimulisa, Ne gusuula amatabi ng'ekisimbe.
10 Naye omuntu afa era ayongobera: Weewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa?
11 Ng'amazzi bwe gaggweerera mu nnyanja, N'omugga nga bwe guggwaawo ne gukalira;
12 Bw'atyo n'omuntu agalamira n'atayimuka: Okutuusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka, So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.
13 Singa onkwese mu magombe, Singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita, Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n'onjijukira!
14 Omuntu bw'afa aliba mulamu nate? Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez'olutabaalo lwange, Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze.
15 Wandimpise, nange nandikuyitabye: Wandibadde n'okwegomba eri omulimu gw'emikono gyo.
16 Naye kaakano obala ebigere byange: Tolabirira kwonoona kwange?
17 Okusobya kwange kuteekeddwako akabonero mu nsawo, Era osibira ddala obutali butuukirivu bwange.
18 Era mazima olusozi olugwa luggwaawo, N'olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo;
19 Amazzi gasiriiza amayinja; Okwaajaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey'oku nsi: Era ozikiriza essuubi ery'omuntu.
20 Ennaku zonna ng'omuwangula, n'ayitawo; Owaanyisa amaaso ge n'omusindika.
21 Batabani be batuuka mu kitiibwa, ye nga takimanyi; Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategeera bwe bali.
22 Naye omubiri gwe oguli ku ye gulumwa, N'emmeeme ye eri munda ye enakuwala.




Essuula 15

1 Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti
2 Ow'amagezi yandizzeemu n'okumanya okutaliimu, N'ajjuza olubuto lwe n'embuyaga ez'ebuvanjuba?
3 Yandiwakanye n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa, Oba ng'ayogera ebitaliiko kye biyinza?
4 Weewaawo, omalawo okutya, Era oziyiza okwagala Katonda mu maaso ge.
5 Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, Era weeroboza olulimi lw'abagerengetanya.
6 Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga so si nze; Weewaawo, emimwa gyo ggwe ye mujulirwa eri ggwe.
7 Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe baakuzaala ensozi nga tezinnabaawo?
8 Wali owulidde okuteesa kwa Katonda okw'omu kyama? Era weeyita wa magezi wekka omu?
9 Kiki ky'omanyi ffe kye tutamanyi? Kiki ky'otegeera ekitali mu ffe?
10 Abameze envi n'abakadde ennyo bali wamu naffe, Abasinga ennyo kitaawo obukadde.
11 Okusanyusa kwa Katonda kutono, tekukumala, N'ekigambo ekyogera naawe empola?
12 Omutima gwo gukutwalira ki? N'amaaso go gatemeza ki?
13 N'okukyusa omwoyo gwo okulwana ne Katonda, N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko.
14 Omuntu kye kiki abeere omulongoofu? N'oyo azaalibwa omukazi abeere omutuukirivu?
15 Laba, teyeesiga batukuvu be; Weewaawo, eggulu si ddongoofu mu maaso ge.
16 Omugwagwa era omuvundu si ye asinga nnyo obutaba mulongoofu, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi!
17 Naakwolesa, mpulira; N'ekyo kye ndabye kye nnaabuulira:
18 (Ab'amagezi kye baabuuliranga Okuva ku bajjajjaabwe, ne batakikweka;
19 Abaaweebwa ensi bokka, So tewali munnaggwanga eyayita mu bo:)
20 Omubi aba lubuto lwa buyinike ennaku ze zonna, Gwe muwendo gw'emyaka egyamuterekerwa omujoozi.
21 Eddoboozi ery'entiisa liba mu matu ge; Bw'aba ng'alabye omukisa omunyazi alimugwako:
22 Takkiriza ng'alidda okuva mu kizikiza, Era ekitala kimulindirira:
23 Atambuliratambulira ekyokulya ng'ayogera nti Kiri ludda wa? Amanyi ng'olunaku olw'ekizikiza lweteeseteese, luli ku mukono gwe.
24 Okweraliikirira n'obubalagaze bimutiisa; Bimuwangula nga kabaka eyeeteeseteese okulwana:
25 Kubanga agolodde omukono gwe eri Katonda, N'agirira Omuyinza w'ebintu byonna eby'ekyejo;
26 Amufubutukirako ng'akakanyazizza ensingo ye, N'amakundi amanene ag'oku ngabo ze:
27 Kubanga abisse ku maaso ge obugevvu bwe, Era aleese ebifi by'amasavu ku mbiriizi ze;
28 Era yabeeranga mu bibuga eby'amatongo, Mu nnyumba omutali muntu, Ezaali zaagala okufuuka ebifunvu.
29 Taagaggawalenga so n'ebintu bye tebiibenga bya lubeerera, So n'ebibala byabwe tebiikutamenga okutuuka ku ttaka.
30 Taavenga mu kizikiza; Omuliro gunaakazanga amatabi ge, Era anaavangawo olw'omukka ogw'omu kamwa ke.
31 Aleme okwesiga ebitaliimu nga yeerimbalimba: Kubanga ebitaliimu bye binaabanga empeera ye.
32 Eneekomekkerezebwanga ebiro bye nga tebinnatuukirira, N'ettabi lye teriggumizenga.
33 Anaakunkumulanga ezabbibu ze ezitannaba kwengera ng'omuzabbibu, Era anaasinsimulanga ekimuli kye ng'omuzeyituuni.
34 Kubanga ekibiina ky'abatatya Katonda kinaabanga kigumba, Era omuliro gunaayokyanga eweema ezinaalwangamu enguzi.
35 Baba mbuto za bubi, ne bazaala obutali butuukirivu, N'olubuto lwabwe luteekateeka bukuusa.




Essuula 16

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti Mpulirizza bingi ebiri bwe bityo:
2 Mwenna muli basanyusa abatagasa.
3 Ebigambo ebitaliimu binaakoma? Oba kiki ekikusosonkereza n'okwanukula n'oyanukula?
4 Era nange nandiyinzizza okwogera nga mmwe bwe mwogera; Emmeeme yammwe singa ebadde mu kifo ky'emmeeme yange, Nandiyinzizza okutunga ebigambo okubanenya, N'okubanyeenyereza omutwe gwange.
5 Naye nandibawadde amaanyi n'akamwa kange, N'okusanyusa kw'emimwa gyange kwandikkakkanyizza obuyinike bwammwe.
6 Newakubadde nga njogera, obuyinike bwange tebunnakkakkana: Era newakubadde nga nzibiikiriza, mpummuzibwa ntya?
7 Naye kaakano ankooyezza: N'ekibiina kyange kyonna okizisizza.
8 Era onkwatidde ddala, ye mujulirwa gye ndi: N'obukovvu bwange bungolokokerako, bunnumiriza mu maaso gange.
9 Antaagudde n'ekiruyi kye, anjigganyizza; Era annumidde obujugu: Omulabe wange ankanulira amaaso.
10 Banjasamidde akamwa kaabwe; Bankubye empi nga banswaza: Bankuŋŋaanirako.
11 Katonda angabula eri atatya Katonda, Era ansuula mu mikono gy'ababi.
12 Nali mpeeraweera n'anjasaamu wakati; Weewaawo, yankwata mu nsingo n'antandaggira okummenyamenya: Era ansimbye okuba sabbaawa ye.
13 Abalasi be banzingizza enjuyi zonna, Ayasaamu ensigo zange so tasonyiwa; Afuka omususa gwange ku ttaka.
14 Agenda yeeyongera okummenyamenya; Anfubutukirako ng'omuzira.
15 Ntunze ebibukutu ku ddiba lyange, Era ntadde ejjembe lyange mu nfuufu.
16 Amaaso gange goonoonese olw'okukaaba amaziga, Ne ku bikowe byange kuliko ekisiikirize ky'okufa;
17 Newakubadde nga temuli kyejo mu ngalo zange, N'okusaba kwange kulongoofu.
18 Ai ensi, tobikka ku musaayi gwange, N'okukaaba kwange kuleme okubaako we kuliwummulira.
19 Ne kaakano, laba, omujulirwa wange ali mu ggulu, N'omuyima wange ali waggulu.
20 Mikwano gyange bannyooma: Naye eriiso lyange lifuuka amaziga eri Katonda;
21 Azibire ensonga y'omuntu eri Katonda, N'ey'omwana w'omuntu eri munne.
22 Kubanga emyaka si mingi bwe giriggwaako, Nditambula olugendo gye ssiriva okukomawo.




Essuula 17

1 Omwoyo gwange gumalibwawo, ennaku zange ziwedde, Entaana enneeteekeddeteekedde.
2 Mazima waliwo abakudaazi gye ndi, N'eriiso lyange libeera mu kusosonkereza kwabwe.
3 Leeta nno akakalu, onneeyimirire gy'oli wekka; Waliwo ani anaakwatagana nange mu mukono?
4 Kubanga okisizza omutima gwabwe obutategeera: Kyonoovanga olema okubagulumiza.
5 Oyo aloopa mikwano gye okuba omuyiggo, Era n'amaaso g'abaana be galiggwaawo.
6 Era anfudde ekigambo eky'obuwemu mu bantu; Era nfuuse ekyenyinyalwa mu lwatu.
7 Era n'eriiso lyange lizibye olw'okunakuwala, N'ebitundu byange byonna biri ng'ekisiikirize.
8 Abantu ab'amazima banaakungubazanga ekyo, N'ataliiko musango aneegolokosanga ku oyo atatya Katonda.
9 Era naye omutuukirivu anaakwatanga ekkubo lye, N'oyo alina emikono emirongoofu aneeyongerayongeranga okuba n'amaanyi,
10 Naye mukomeewo mwenna, mujje nno: So ssiirabe muntu wa magezi ku mmwe.
11 Ennaku zange ziwedde, okuteesa kwange kukutuddwa, Era n'okulowooza okw'omu mutima gwange.
12 Bafuusa ekiro okuba omusana: Omusana guliraana ekizikiza, bwe boogera bwe batyo.
13 Bwe nsuubira amagombe okuba ennyumba yange: Oba nga neeyaliiridde ekitanda kyange mu kizikiza;
14 Oba nga ŋŋambye okuvunda nti Ggwe kitange; N'envunyu nti Ggwe mmange era mwannyinaze;
15 Kale essuubi lyange liri ludda wa? N'essuubi lyange aliriraba ani?
16 Lirikka mu bisiba eby'amagombe, Okuwummula nga kumaze okubaawo omulundi gumu mu nfuufu.




Essuula 18

1 Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2 Mulituusa wa okuteega ebigambo? Musooke okulowooza, ne tulyoka twogera.
3 Ekituyisa ensolo kiki, Ne tufuuka abatali balongoofu mu maaso go?
4 Ggwe eyeetaagula olw'obusungu Ensi erirekebwa ku lulwo? Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo?
5 Weewaawo, omumuli gw'omubi gunaazikizibwanga, So n'olusasi olw'omuliro gwe terwakenga.
6 Omumuli gunaabanga kizikiza mu weema ye, N'ettabaaza ye eri waggulu we eneezaamizibwanga.
7 Ebigere eby'amaanyi ge binaafundikirwanga, N'okuteesa kwe ye kunaamusuulanga.
8 Kubanga ebigere bye ye bimusudde mu kitimba, Era atambulira ku mutego.
9 Ekyambika kinaamukwatanga ekisinziiro, N'akakunizo kinaamunywezanga.
10 Akamasu kamukwekeddwa mu ttaka, N'ekigu kimukwekeddwa mu kkubo.
11 Entiisa eneemukanga enjuyi zonna, Era eneemuyigganyanga ku bisinziiro bye.
12 Amaanyi ge ganaalumwanga enjala, N'obuyinike bunaamubangako ng'asejjera.
13 Bunaalyanga ebitundu by'omubiri gwe, Weewaawo, omubereberye w'okufa anaalyanga ebitundu bye.
14 Anaasimbulwanga mu weema ye gye yeesiga; Era anaaleetebwanga eri kabaka w'ebitiisa.
15 Ekitali kikye n'akatono kinaabanga mu weema ye: Ekibiriiti kinaamansirwanga ku kifo mwe yabeeranga,
16 Ekikolo kye kinaakaliranga ddala wansi, Ne waggulu ettabi lye linaatemebwangawo.
17 Ekijjukizo kye kinaabulanga ku nsi, So taabenga na linnya mu luguudo.
18 Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu musana, Era anaayigganyizibwanga okuva mu nsi.
19 Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be, Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga.
20 Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe, Ng'abo abaasooka bwe baatiisibwa.
21 Mazima ennyumba z'atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo, Era kino kye kifo ky'oyo atamanyi Katonda.




Essuula 19

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange, Ne mummeayamenya n'ebigambo?
3 Mwakanvumira emirundi kkumi: Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera.
4 N'okukyama newakubadde nga nkyamye, Okukyama kwange kubeera nange mwene.
5 Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze, Ne mundeetako ekivume kyange:
6 Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange, Era anzingizizza n'ekitimba kye.
7 Laba, njogerera waggulu olw'okujoogebwa, naye ne siwulirwa: Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
8 Azibye ekkubo lyange n'okuyinza ne ssiyinza kuyitamu, Era atadde ekizikiza mu makubo gange.
9 Anziyeeko ekitiibwa kyange, Era aggye engule ku mutwe gwange.
10 Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze: N'essuubi lyange alisimbudde ng'omuti.
11 Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze, Era ampita omu ku balabe be gy'ali.
12 Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze, Ne basiisira okuzingiza eweema yange.
13 Baganda bange abantadde wala, N'abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi:
14 Ab'ekika kyange baweddewo, Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde.
15 Abo ababeera mu nnyumba yange n'abazaana bange bampita mugenyi: Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe.
16 Mpita omuddu wange n'atanjitaba, Newakubadde nga mmwegayirira n'akamwa kange.
17 Omukka gwange mukazi wange tagumanyi, N'okwegayirira kwange abaana b'enda ya mmange tebakumanyi:
18 Era n'abaana abato bannyooma; Bwe nnyimuka banjogerako obubi.
19 Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa: N'abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange.
20 Eggumba lyange lyegatta n'eddiba lyange n'omubiri gwange, Era mponye n'eddiba ly'okumanayo gange.
21 Munsaasire, munsaasire, si mmwe mikwano gyange; Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko.
22 Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda, So n'omubiri gwange tegubamala?
23 Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa! Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
24 Singa byoleddwa ku lwazi N'ekkalaamu ey'ekyuma n'ekisasi okumala emirembe gyonna!
25 Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu, Era ku nkomerero ng'aliyimirira ku nsi:
26 Era eddiba ly'omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo, Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda:
27 Gwe ndiraba nze mwene, N'amaaso gange galimutunuulira so si mulala. Emmeeme yange emaliddwawo munda yange.
28 Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so! Kubanga ekikolo ky'ekigambo kirabise mu nze;
29 Mutyenga ekitala: Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw'ekitala. Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango.




Essuula 20

1 Awo Zofali Omunaamasi n'addamu n'ayogera nti
2 Ebirowoozo byange kyebiva binziramu, Olw'okwanguyiriza okuli mu nze.
3 Mpulidde okunenya okunswaza, Omwoyo ogw'okutegeera kwange ne gunziramu.
4 Ekyo tokimanyi obw'edda, Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka,
5 Ng'okuwangula kw'ababi kwa kuggwaawo mangu, Era ng'essanyu ly'abatamanyi Katonda lya kiseera buseera?
6 Obukulu bwe newakubadde nga bulinnya okutuuka mu ggulu, N'omutwe gwe gutuuka mu bire;
7 Naye anaabulanga emirembe gyonna ng'empitambi ye ye: Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa?
8 Anaavangawo ng'ekirooto, so taalabikenga: Weewaawo, anaagoberwanga ddala ng'okwolesebwa okw'ekiro.
9 Eriiso eryamulabanga teriimulabenga nate; So n'ekifo kye tekiimutunuulirenga nate.
10 Abaana be baneegonzanga eri abaavu, N'emikono gye ginaakomyangawo obugagga bwe.
11 Amagumba ge gajjudde obuvubuka bwe, Naye bunaagalamiranga naye mu nfuufu.
12 Obubi newakubadde nga bumuwoomera mu kamwa ke, Newakubadde ng'abukweka wansi w'olulimi lwe;
13 Newakubadde ng'abusonyiwa n'ataganya kubuta, Naye ng'akyaguguba nabwo mu kamwa ke;
14 Naye emmere ye mu byenda bye efuuse, Bwe busagwa bwe mbalasaasa munda ye.
15 Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate: Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe.
16 Anaanuunanga obusagwa bw'embalasaasa: Olulimi lw'omusota lunaamuttanga.
17 Taatunuulirenga migga, Emigga egikulukuta egy'omubisi gw'enjuki n'omuzigo.
18 Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga; So taasanyukenga ng'ebintu bwe biri by'afunye.
19 Kubanga yajooga abaavu n'abaleka; Yaggyawo ennyumba olw'amaanyi so taagizimbenga.
20 Kubanga teyamanya kutereera munda ye, Taawonyenga kintu ku ebyo by'asanyukira.
21 Tewasigala kintu ky'atalya; Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw'olubeerera.
22 Mu lufulube lw'ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku: Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutuukangako.
23 Bw'aba ng'anaatera okukkusa olubuto lwe, Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi, Era anaakitonnyesanga ku ye ng'alya.
24 Anaddukanga ekyokulwanyisa eky'ekyuma, N'omutego ogw'ekikomo gunaamufumitanga.
25 Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe: Weewaawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe; Ebitiisa bimuliko.
26 Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby'obugagga: Omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga; Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye.
27 Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe, N'ensi eneemugolokokerangako.
28 Ekyengera eky'omu nnyumba ye kinaavangawo, Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw'obusungu bwe.
29 Ogwo gwe mugabo gw'omuntu omubi oguva eri Katonda, N'obusika Katonda bwe yamuteekerawo.




Essuula 21

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Muwulire nnyo okwogera kwange; Era bino bibeere bya kubasanyusa.
3 Munzikirize, nange naayogera; Kale nga mmaze okwogera, mweyongere okuduula.
4 Nze neemulugunya eri abantu? Era ekyandindobedde okwesunaasuna kiki?
5 Munziseeko omwoyo, mwewuunye, Era muteeke omukono gwammwe ku kamwa kammwe.
6 Bwe njijukira obujjukizi neeraliikirira, Okwesisiwala ne kukwata omubiri gwange.
7 Ababi babeerera ki abalamu, Ne bakaddiwa ne baba ba maanyi mu buyinza?
8 Ezzadde lyabwe linywera gye bali bo nga balaba, N'enda yaabwe mu maaso gaabwe.
9 Ennyumba zaabwe ziba mirembe awatali kutya, So n'omuggo gwa Katonda tegubabaako,
10 Ente yaabwe ennume ezaala n'eteddirira; Ente yaabwe enkazi ezaala n'etesowola mwana gwayo.
11 Basindika abaana baabwe abato ng'ekisibo, N'abaana baabwe bazina.
12 Bayimbira ku bitaasa n'ennanga, Ne basanyukira eddoboozi ly'omulere.
13 Bamala ennaku zaabwe nga balabye omukisa, Mu kaseera ne bakka mu magombe.
14 Era naye ne bagamba Katonda nti Tuveeko; Kubanga tetwegomba kumanya makubo go.
15 Omuyinza w'ebintu byonna kye ki, ffe tumuweereze? Era bwe tunaamusabanga kinaatugasanga kitya?
16 Laba, omukisa gwabwe teguli mu mukono gwabwe: Okuteesa kw'ababi kundi wala.
17 Ettabaaza y'ababi ezikizibwa emirundi emeka? N'obuyinike bwabwe bubatuukako emirundi emeka? Katonda agaba ennaku mu busungu bwe emirundi emeka?
18 Baba ng'ebisasiro ebitwalibwa n'empewo, Era ng'ebisusunku embuyaga bye zitwala emirundi emeka?
19 Mwogera nti Katonda aterekera abaana be obutali butuukirivu bwe. Abasasule ye yennyini abumanye.
20 Amaaso ge galabe okuzikirira kwe ye, Era anywe ku busungu bw'Omuyinza w'ebintu byonna.
21 Kubanga asanyukira atya ennyumba ye emuddirira, Omuwendo gw'emyezi gye nga gukutuse wakati?
22 Waliwo anaayigirizanga Katonda okumanya? Kubanga asalira abo omusango abagulumizibwa.
23 Wabaawo omu afa ng'alina amaanyi ge gonna, Ng'aweereddeweeredde ddala ng'ateredde:
24 Amabeere ge gajjudde amata, N'obusomyo obw'amagumba ge nga bubisi.
25 N'omulala afa omwoyo gwe nga gumubalagala, So taleganga ku birungi.
26 Bombi bagalamira mu nfuufu, Envunyu n'ebabikkako.
27 Laba, mmanyi ebirowoozo byammwe, N'enkwe ze munsalira obubi.
28 Kubanga mwogera nti Ennyumba y'omukungu eri ludda wa? Era nti Eweema ababi mwe babeera eri ludda wa?
29 Temwababuuza abatambulira mu kkubo? Era temumanyi bubonero bwabwe?
30 Ng'omuntu omubi aterekerwa olunaku olw'okulabirako ennaku? Nga batwalibwa eri olunaku olw'obusungu?
31 Ani anaabuuliranga ekkubo lye mu maaso ge? Era ani anaamusasulanga bye yakola?
32 Naye anaatwalibwanga mu ntaana, Era anaakuumanga amalaalo.
33 Amafunfugu ag'omu kiwonvu ganaamuwoomeranga, N'abantu bonna banaawalulwanga ennyuma we, Nga bwe baamukulembera abatabalika.
34 Kale nno munsanyusiza mutya obwereere, Kubanga mu kuddamu kwammwe musigaddemu obulimba busa?




Essuula 22

1 Awo Erifaazi Omutemani n'addamu n'ayogera nti
2 Omuntu ayinza okugasa Katonda? Mazima ow'amagezi yeegasa yekka.
3 Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w'ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu? Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go?
4 Kubanga omutya kyava akunenya, Kyava asala omusango gwo?
5 Obubi bwo si bungi? So n'obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma.
6 Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy'obwereere, N'oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe.
7 Tonywesanga mazzi omukoowu, Era wamma omuyala emmere.
8 Naye ow'amaanyi ye yalya ensi; N'ow'ekitiibwa ye yagibeeramu.
9 Wasindika bannammwandu nga tebalina kintu, N'emikono gy'abatalina kitaabwe gyamenyeka.
10 Obukunizo kyebuva bukwetooloola, N'entiisa gy'otomanyiridde ekweraliikiriza,
11 Oba ekizikiza n'otoyinza kulaba, Amazzi amangi ne gakubikkako.
12 Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa? Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu!
13 Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki? Ayinza okusala omusango ng'ayima mu kizikiza ekikutte?
14 Ebire ebiziyivu bimubikkako n'okulaba talaba; Era atambulira mu kwekulungirira kw'eggulu.
15 Oyagala okukwata ekkubo ery'edda Abantu ababi lye baalinnyirangamu?
16 Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo, Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng'omugga:
17 Abaagambanga Katonda nti Tuveeko: Era nti Omuyinza w'ebintu byonna ayinza kutukolera ki?
18 Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi: Naye okuteesa kw'ababi kundi wala.
19 Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka; N'ataliiko musango abasekerera nnyo:
20 Ng'ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo, N'abo abafisseewo omuliro gubookezza.
21 Yiga nno obeere n'emirembe: Bw'otyo bw'onoobanga n'ebirungi.
22 Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke, Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo.
23 Bw'onookomangawo eri Omuyinza w'ebintu byonna, onoozimbibwanga; Bw'onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n'eweema zo.
24 N'oteeka ebibyo eby'obugagga mu nfuufu, Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag'omu bugga;
25 Kale Omuyinza w'ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo, Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy'oli.
26 Kubanga lw'onoosanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda.
27 Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga; Era onoosasulanga obweyamobwo.
28 Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy'oli; N'omusana gunaayakiranga amakubo go.
29 Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa; Era anaalokolanga eyeetoowaza.
30 Anaawonyanga n'oyo aba taliiko musango: Weewaawo, anaawonyezebwanga olw'obulongoofu bw'engalo zo.




Essuula 23

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Ne leero okwemulugunya kwange Okukubibwa kwange kusinga okusinda kwange obuzito.
3 Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira, Singa nnyinza okutuuka n'awali entebe ye!
4 Nandiriraanyizza ensonga yange mu maaso ge, Ne njijuza akamwa kange ensonga.
5 Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu, Ne ntegeera bye yandiŋŋambye.
6 Yandinnyombesezza olw'obukulu bw'obuyinza bwe? Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo.
7 Eyo ab'amazima bandiyinzizza okuwoza naye; Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange.
8 Laba, ntambula mu maaso, naye ye nga taliiyo; Ne ntambula ennyuma, naye ne ssiyinza kumulaba:
9 Ku mukono ogwa kkono, bw'akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba: Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n'okulaba ne ssiyinza kumulaba:
10 Naye amanyi ekkubo lye nkwata; Bw'alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.
11 Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye; Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama.
12 Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky'emimwa gye; Natereka ebigambo eby'akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira.
13 Naye ye alowooza bumu, era ani ayinza okumukyusa? Era emmeeme ye kye yeegomba ekyo ky'akola.
14 Kubanga atuukiriza ekyo ekyanteekerwawo: N'ebingi ebiri bwe bityo biri naye.
15 Kyenva neeraliikirira ye okubaawo; Bwe ndowooza mmutya.
16 Kubanga Katonda azirisiza omutima gwange. Era Omuyinza w'ebintu byonna anteganyizza:
17 Kubanga saazikirizibwa okusooka ekizikiza, So teyabikka ku kizikiza ekikutte eri amaaso gange.




Essuula 24

1 Omuyinza w'ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro? N'abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze?
2 Wabaawo abajjulula obubonero bw'ensalo; Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa.
3 Bagoba endogoyi ey'abatalina kitaabwe, Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo.
4 Bakyamya abeetaaga mu kkubo: Abaavu ab'omu nsi beekweka wamu.
5 Laba, ng'entulege mu ddungu Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby'okulya; Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe.
6 Basala emmere ey'ensolo zaabwe mu ttale; Era banoga ezabbibu ez'omubi.
7 Basula ne bakeesa obudde nga tebaliiko kye bambadde, So tebaliiko kye beebikka empewo nga zifuuwa.
8 Batoba n'oluwandaggirize olw'oku nsozi, Era bavumbagira olwazi nga babuliddwa we beggama.
9 Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere, Ne baggya omusingo ku mwavu:
10 N'okutambula ne batambula bwereere nga tebalina kye bambadde, Era enjala ng'ebalumye beetikka ebinywa;
11 Bakamulira amafuta mu bisenge by'abasajja abo; Balinya amasogolero gaabwe ne balumwa ennyonta.
12 Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi, Emmeeme y'abo abafumitiddwa n'ekaaba: Naye Katonda takibala okuba obusirusiru.
13 Abo bali ku muwendo gw'abo abajeemera omusana; Tebamanyi makubo gaagwo, So tebabeerera mu mpenda zaagwo.
14 Omussi agolokokera wamu n'omusana, atta omwavu ne yeetaaga; Era ekiro aba ng'omubbi.
15 Era n'eriiso ly'omwenzi lirindirira ekizikiza, Ng'ayogera nti Tewali liiso erinandaba: Ne yeefuula amaaso ge.
16 Mu kizikiza mwe basimira ennyumba: Beggalira emisana; Tebamanyi musana.
17 Kubanga obw'enkya buli ng'ekisiikirize eky'okufa eri abo bonna; Kubanga bamanyi ebitiisa eby'ekisiikirize eky'okufa.
18 Aba wa mbiro ng'amazzi; Omugabo gwabwe gukolimiddwa ku nsi: Takyukira awali ekkubo ery'ensuku z'emizabbibu.
19 Ekyeya n'ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira: N'amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona.
20 Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga ng'ewoomeddwa; Tajjukirwenga nate: Kale obutali butuukirivu bunaamenyekanga ng'omuti.
21 Alya omugumba atazaala; So takola nnamwandu bulungi.
22 Era awalula n'ab'amaanyi olw'obuyinza bwe: Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.
23 Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo; N'amaaso ge gali ku makubo gaabwe.
24 Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze; Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng'abalala bonna, Era basalibwa ng'emitwe gy'ebirimba by'eŋŋaano.
25 Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza nga ndi mulimba, N'afuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?




Essuula 25

1 Awo Birudaadi Omusuki n'addamu n'ayogera nti
2 Okufuga n'entiisa biri naye; Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu.
3 Eggye lye liriko gye likoma? Era ani ataviirwayo omusana gwe?
4 Kale omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi?
5 Laba, n'omwezi tegulina kumasamasa, N'emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge:
6 Okusinga ennyo omuntu, envunyu! N'omwana w'omuntu, olusiriŋŋanyi!




Essuula 26

1 Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti
2 Atalina buyinza ng'omubedde so! Omukono ogutalina maanyi ng'ogulokodde so!
3 Atalina magezi ng’omuweeredde so, N'oyatula bingi nnyo eby'okutegeera obulungi!
4 Ani gw'obuulidde ebigambo? N'omwoyo gwani oguwedde mu ggwe?
5 Abaafa bakankana wansi w'amazzi n'ababeera omwo.
6 Amagombe gali bwereere mu maaso ge, N'okuzikirira tekulina kye kwebikka.
7 Abamba obukiika obwa kkono mu bbanga ejjereere, Era awanika ensi awatali kintu.
8 Asiba amazzi mu bire bye ebiziyivu; Ekire ne kitayulika wansi we.
9 Aziba obwenyi bw'entebe ye, N'agyaliirako ekire kye.
10 Yassaawo embibi ku maaso g'amazzi, Okutuusa omusana n'ekizikiza we bikoma.
11 Empagi ez'eggulu zikankana ne zeewuunya olw'okunenya kwe.
12 Afuukuula ennyanja olw'obuyinza bwe, Era afumitira ddala Lakabu olw'okutegeera kwe.
13 Eggulu liyonjebwa olw'omwoyo gwe; Omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 Laba, gano ge mabbali gokka ag'amakubo ge: N'akagambo ke tumuwulirako nga katono! Naye okubwatuka okw'obuyinza bwe ani ayinza okukutegeera?




Essuula 27

1 Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n’ayogera nti
2 Nga Katonda bw'ali omulamu alidde ensonga yange; Era Omuyinza w'ebintu byonna, eyeeraliikiriza emmeeme yange;
3 (Kubanga obulamu bwange bukyali bulamba mu nze, n'omwoyo gwa Katonda guli mu nnyindo zange;)
4 Mazima emimwa gyange tegyogere butali butuukirivu, So n'olulimi lwange terwatule bulimba.
5 Katonda akiddize eri nze okubawa obutuukirivu: Okutuusa lwe ndifa ssiryeggyako obugolokofu bwange.
6 Obutuukirivu bwange mbunyweza so ssiibutenga: Omutima gwange tegunnenyenga nga nkyali mulamu.
7 Omulabe wange abe ng'omubi. N'oyo angolokokerako abe ng'atali mutuukirivu.
8 Kubanga essuubi ly'atamanyi Katonda kye ki, newakubadde nga yeefunira amagoba, Katonda bw'aggyawo obulamu bwe?
9 Katonda anaawuliranga okukaaba kwe, Ennaku bwe zinaamutuukangako?
10 Anaasanyukiranga Omuyinza w'ebintu byonna, N'akaabira Katonda mu biro byonna?
11 N'abayigiriza eby'omukono gwa Katonda; Ekiri n'Omuyinza w'ebintu byonna ssiikikweke.
12 Laba, mmwe mwenna mmwe bennyini mukirabye; Kale kiki ekyabafuulira ddala abataliiko kye mugasa?
13 Guno gwe mugabo gw'omuntu omubi eri Katonda, N'obusika, bw'abajoozi bwe baweebwa Omuyinza w'ebintu byonna.
14 Abaana be bwe beeyongera, beeyongerera ekitala; N'enda ye terikkuta mmere.
15 Abanaasigalangawo ku ye banaaziikibwanga mu kufa, ne bannamwandu be tebaakungubagenga.
16 Newakubadde ng'atuuma ffeeza ng'enfuufu, n'ategeka ebyambalo ng'ettaka;
17 Okutegeka ayinza okubitegeka, naye omutuukirivu ye alikyambala, Era ataliiko musango ye aligabana ffeeza.
18 Azimba ennyumba ye ng'ekiwojjolo, Era ng'ensiisira omukuumi gy'akola.
19 Agalamira nga mugagga, naye taakungulwenga; Azibula amaaso, kale nga takyaliwo.
20 Ebitiisa bimukwata ng'amazzi; Kibuyaga amutwala kyama kiro.
21 Embuyaga ez'ebuvanjuba zimutwalira ddala n'agenda; Ne zimuggya mu kifo kye lwa maanyi.
22 Kubanga Katonda alimukasuukirira n'atasaasira: Yandyagadde okudduka mu mukono gwe.
23 Abantu balimukubira mu ngalo, Era balimusooza ave mu kifo kye.




Essuula 28

1 Mazima waliwo gye basimira ffeeza, N'ekifo kya zaabu gye balongoosa.
2 Ekyuma kiggibwa mu ttaka, N'ekikomo bakisaanuusa okukiggya mu jjinja.
3 Abantu babibira ekizikiza, Ne bakenneenya okutuuka ku nsalo ekomererayo, Amayinja ag'ekizikiza ekikutte n'ag'ekisiikirize eky'okufa.
4 Basima obunnya obuli ewala n'abantu we batuula; Beerabirwa ekigere ekiyitawo: Balengejjera wala n'abantu, bawuubibwawuubibwa eruuyi n'eruuyi.
5 Ensi ye evaamu emmere: Era wansi evuunikibwa ng'ekivuunikibwa n'omuliro.
6 Amayinja gaayo kifo kya safiro, Era erina enfuufu eya zaabu.
7 Ekkubo eryo tewali nnyonyi eyigga erimanyi, So n'amaaso ga kamunyi tegalirabanga.
8 Ensolo ezaamalala teziririnnyangamu, So n'empologoma enkambwe teriyitangamu.
9 Agolola omukono gwe ku jjinja ery'embaalebaale; Avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Atema ensalosalo mu njazi; N'amaaso ge galaba buli kintu eky'omuwendo omungi.
11 Asiba emigga gireme okukulukuta; N'ekigambo ekyakisibwa akireeta awalaba.
12 Naye amagezi ganaalabikanga wa? N'ekifo eky'okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
13 Abantu tebamanyi muwendo gwago; So tegalabika mu nsi ey'abalamu.
14 Obuziba bwogera nti Tegali mu nze: N'ennyanja eyogera nti Tegali we ndi.
15 Tegafunika lwa zaabu, So ne ffeeza teripimibwa okugagula.
16 Tegayinzika kwenkanyankanyizibwa ne zaabu eya Ofiri, Ne onuku ey'omuwendo omungi oba safiro.
17 Zaabu n'endabirwamu tebiyinza kugenkana: So n'amakula aga zaabu ennungi tegaabenga buguzi bwago.
18 Tebaayogerenga ku kolali n'amayinja ag'endabirwamu: Weewaawo, omuwendo ogw'amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 Topazi eriva e Buwesiyopya teriigenkanenga, So tegenkanyankanyizibwenga ne zaabu ennungi.
20 Kale amagezi gava wa? N'ekifo okutegeera we kubeera kiri ludda wa?
21 Kubanga gakwekebwa amaaso g'abalamu bonna, Era gakisibwa ennyonyi ez'omu bbanga.
22 Okuzikirira n'Okufa kwogera nti Twawulira ekigambo kyago n'amatu gaffe.
23 Katonda ategeera ekkubo lyago, Era ye amanyi ekifo kyago.
24 Kubanga atunuulira okutuuka ku nkomerero z'ensi, Era alaba ebiri wansi w'eggulu lyonna;
25 Okukolera empewo ekigera; Weewaawo, apima amazzi n'ekipima.
26 Bwe yateekera enkuba etteeka, N'ekkubo ery'okumyansa okw'okubwatuka:
27 Awo n'alyoka agalaba n'agabuulira; Yaganyweza, weewaawo, n'agakenneenyeza ddala.
28 Era n'agamba abantu nti Laba, okutya Mukama okwo ge magezi; N'okuleka obubi kwe kutegeera.




Essuula 29

1 1 Awo Yobu n'aleeta nate olugero lwe n'ayogera nti
2 Singa mbadde nga bwe nnali mu myezi egyayita, Nga bwe nnali mu nnaku Katonda ze yandabirirangamu;
3 Ettabaaza ye lwe yayakiranga omutwe gwange, N'omusana gwe gwe gwantambuzanga okuyita mu kizikiza;
4 Nga bwe nnali ennaku zange nga zengedde, Ekyama kya Katonda bwe kyabanga ku weema yange;
5 Omuyinza w'ebintu byonna bwe yali ng'akyali nange, N'abaana bange nga bakyanneetoolodde;
6 Ebigere byange bwe byanaazibwanga n'omuzigo, N'olwazi bwe lwanfuukira emigga egy'amafuta!
7 Bwe nnafulumanga ne ŋŋenda eri omulyango mu kibuga, Bwe nnategekanga entebe yange mu luguudo,
8 Abalenzi bandabanga ne beekweka, Abakadde ne bayimukanga ne bayimirira;
9 Abakungu ne balekanga okwogera, Ne bateeka omukono gwabwe kamwa kaabwe;
10 Eddoboozi ery'abakulu ne lisirika, Olulimi lwabwe ne lwegatta n'ekibuno ky'akamwa kaabwe.
11 Kubanga okutu bwe kwampuliranga ne kulyoka kunneebaza; Era eriiso bwe lyandabanga ne liba mujulirwa wange:
12 Kubanga nawonyanga omwavu eyakaaba, Era n'atalina kitaawe eyabulwa ow'okumuyamba.
13 Omukisa gwanjijira oyo gwe yansabira eyali ayagala okuzikirira: Ne nnyimbisa olw'essanyu omutima gwa nnamwandu.
14 Nayambala obutuukirivu ne bumbikkako: Obutalya nsonga bwange ne buba ng'omunagiro n'engule.
15 Nabanga amaaso eri omuzibe, Era nabanga ebigere eri awenyera.
16 Nabanga kitaabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ssaamanya.
17 Era namenyanga atali mutuukirivu oluba, Ne nsika omuyiggo ne nguggya mu mannyo ge,
18 Kale ne njogera nti Ndifiira mu kisu kyange, Era naayongeranga ennaku zange ng'omusenyu:
19 Emmizi gyange giranze eri amazzi, N'omusulo gubeera ku ttabi lyange ne gukeesa obudde:
20 Ekitiibwa kyange kiggya gye ndi, N'omutego gwange guzzibbwa buggya mu mukono gwange.
21 Nze abantu bampulirizanga ne balinda, Ne basirikira okuteesa kwange.
22 Nga ndeese ebigambo bo ne batayogera nate; Okwogera kwange ne kubagwako.
23 Era bannindirira nga bwe balindirira enkuba; Era bayasama nnyo akamwa kaabwe ng'abayasamira enkuba eya ttoggo.
24 Bwe nnabasekeranga ne batakkiriza; N'omusana gw'amaaso gange tebaagusuula.
25 Neerobozanga ekkubo lyabwe ne ntuula ng'omukulu, Ne mbeera nga kabaka mu ggye, Ng'omuntu akubagiza abakungubaga.




Essuula 30

1 Naye kaakano be nsinga obukulu bansekerera, Bakitaabwe nabanyooma okubateeka wamu n'embwa ez'ekisibo kyange.
2 Weewaawo, amaanyi ag'emikono gyabwe gandingasizza ki? Abantu abaweddemu obuvubuka,
3 Bakoozimbye olw'okwetaaga n'enjala; Bameketa ettaka ekkalu mu kizikiza eky'okuzika n'okwonooneka.
4 Banoga enkunga awali ebisaka; N'enkolo ez'omwoloola ye mmere yaabwe.
5 Bagobebwa wakati mu bantu; Babalangira nga bwe balangira omubbi.
6 Kibagwanira okubeera mu njatika ez'omu biwonvu, Mu bunnya obw'omu ttaka n'obw'omu njazi.
7 Balirira mu bisaka, Wansi w'emyennyango we bakuŋŋaanira.
8 Baana ba basirusiru, weewaawo, baana ba basajja abatalina linnya; Baakubibwa emiggo ne bagobebwa mu nsi.
9 Kale kaakano nze nfuuse oluyimba lwabwe, Weewaawo, ndi kigambo kya buwemu gye bali.
10 Bantamwa, banneesamba, Tebaleka kumpandira malusu mu maaso.
11 Kubanga asumuludde omugwa gwe n'ambonyaabonya, Era basudde olukoba olugoba mu maaso gange.
12 Ku mukono gwange ogwa ddyo kugolokokera abalalulalu; Basindiikiriza ebigere byange, Era batuuma ku nze amakubo gaabwe ag'okuzikirira.
13 Boonoona ekkubo lyange, Bongera ku nnaku ze ndabye, Abantu ababulwa ow'okubayamba.
14 Bajja nga bayita mu kituli ekiwagule ekigazi: Wakati mu matongo bangwako.
15 Ebitiisa bikyuse okungwako, Bayigganya ekitiibwa kyange ng'empewo; N'omukisa gwange guweddewo ng'ekire.
16 Era kaakano emmeeme yange efukiddwa munda yange; Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zinkutte.
17 Ekiro amagumba gange gafumitibwa mu nze, N'obubalagaze obunnuma tebuwummula.
18 Olw'amaanyi amangi ag'endwadde yange ekyambalo kyange kyonoonese: Ensibira ddala ng'ekitogi ky'ekizibawo kyange.
19 Ansudde mu bitosi, Era nfuuse ng'enfuufu n'evvu.
20 Nkukaabira so tonziramu: Nayimirira, n'ontunuulira.
21 Okyuse okuba omukambwe gye ndi: Olw'amaanyi ag'omukono gwo onjigganya.
22 Onsitulira awali empewo n'ozinneebagazaako; Era onsaanuusizza mu kibuyaga,
23 Kubanga mmanyi ng'olintuusa mu kufa, N'eri ennyumba eyateekerwawo abalamu bonna.
24 Mazima taagololere mukono gwe ku kifuavu ky'ebyagwa; Newakubadde nga bibeera mu kuzikirira kwe, omuntu ayinza okulira olw'ebyo.
25 Saamukaabira amaziga oyo eyali mu nnaku? Emmeeme yange teyanakuwalira oyo eyeetaaga?
26 Bwe nnasuubira ebirungi, ebibi ne biryoka bijja; Era bwe nnalindirira omusana, ekizikiza ne kijja.
27 Ebyenda byange byesera ne bitawummula: Ennaku ez'okubonyaabonyezebwamu zintuuseeko.
28 Ntambula nga mpuubaala awatali njuba: Nnyimirira mu kkuŋŋaaniro ne nkuba enduulu bannyambe.
29 Ndi muganda w'ebibe, Ne bamaaya ndi munnaabwe.
30 Eddiba ery'omubiri gwange liddugadde, linsasambukako, N'amagumba gange gookeddwa n'ebbugumu.
31 Ennanga yange kyevudde ekyuka okuwuubaala, N'omulere gwange gufuuse ddoboozi ly'abo abakaaba amaziga.




Essuula 31

1 Nalagaana endagaano n’amaaso gange; Kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?
2 Kubanga omugabo gwa Katonda oguva waggulu kye kiki, N'obusika obw'Omuyinza w'ebintu byonna obuva engulu?
3 Si buyinike eri atali mutuukirivu, N'okulaba ennaku eri abakola eby'obujeemu?
4 Talaba makubo gange, N'abala ebigere byange byonna?
5 Oba nga nali ntambudde n'obutaliimu, Oba nga ekigere kyange kyanguye okukuusakuusa;
6 (Mpimibwe mu minzaani eyenkanankana, Katonda alyoke amanye obutayonoona bwange;)
7 Oba nga ekigere kyange kyali kikyamye mu kkubo, N'omutima gwange oba nga gwali gugoberedde amaaso gange, Era oba nga ebbala lyonna lyali lyegasse n'engalo zange:
8 Kale nze nsige, omulala alye; Weewaawo, emmere ey'omu nnimiro yange esimbulibwe.
9 Omutima gwange oba nga gwali gusendeddwa eri omukazi, Ne nteegera ku mulyango gwa munnange:
10 Kale mukazi wange aseere omulala, Era abalala bakutame ku ye.
11 Kubanga ekyo kyandibadde kya kivve; Weewaawo, kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza:
12 Kubanga muliro ogwokya ne guzikiriza, Era ogwagala okusimbula emmere yange yonna.
13 Oba nga nali nnyoomye ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Bwe bampawaabira:
14 Kale ndikola ntya, Katonda bw'aligolokoka? Era bw'alinjijira, ndimuddamu ntya?
15 Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu?
16 Oba nga nali nnyimye abaavu kye beegomba, Oba nali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu;
17 Oba nali ndidde akamere kange nzekka; So atalina kitaawe taliddeeko.
18 (Nedda, okuva mu buto bwange yakulira wamu nange nga kitaawe, Ne nnamwandu n'abanga mulezi we okuva mu lubuto lwa mmange;)
19 Oba nga nali ndabye n'omu ng'afa olw'okubulwa ebyambalo, Oba eyeetaaga nga talina kye yeebikka:
20 Ekiwato kye oba nga tekyanneebaza, Era oba nga tabugumye na byoya bya ndiga zange;
21 Oba nga nali nnyimusizza omukono gwange eri atalina kitaawe, Kubanga nalaba anannyamba mu mulyango:
22 Kale ekibegabega kyange kive ku nkwakwa, N'omukono gwange gukutuke okuva ku ggumba.
23 Kubanga obuyinike obuva eri Katonda bwabanga ntiisa gye ndi, Era olw'obukulu bwe ne ssibaako kye nnyinza kukola.
24 Oba nga nali nfudde zaabu okuba essuubi lyange, Era oba nga nali ŋŋambye zaabu ennungi nti Ggwe bwesige bwange;
25 Oba nga nali nsanyuse kubanga obugagga bwange bwali bungi, Era kubanga omukono gwange gwali gufunye bingi;
26 Oba nga nali ntunuulidde enjuba, Oba omwezi nga gutambulira mu kumasamasa;
27 Omutima gwange ne gusendebwa kyama, Akamwa kange ne kanywegera omukono gwange:
28 Era n'ekyo kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: Kubanga nandirimbye Katonda ali waggulu.
29 Oba nga nali nsanyukidde oyo eyankyawa ng'azikiridde, Oba nali neeyimusizza obubi bwe bwamulaba;
30 (Weewaawo, saaganya kamwa kange kwonoona Nga nsaba obulamu bwe nga nkolima;)
31 Abasajja ab'omu weema yange oba nga tebaayogera nti Ani ayinza okulaba omuntu atakkuse nnyama ye?
32 Omugenyi teyasulanga mu luguudo; Naye n'aggulirangawo enzigi zange omutambuze;
33 Oba nga nali mbisse ku kusobya kwange nga Adamu, Nga nkisa obutali butuukirivu bwange mu kifuba kyange;
34 Kubanga nali ntidde ekibiina ekinene, N'okunyoomebwa ebika ne kunkanga, N'okusirika ne nsirika ne ssiva mu mulyango.
35 Singa wabaddewo anampulira! (Laba, kano ke kabonero kange Omuyinza w'ebintu byonna anziremu;) Era mba kuba n'ekyo omulabe wange ky'ampawaabidde ky'awandiise!
36 Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange; Nandikyesibye nga kiremba.
37 Nandimubuulidde ebigere byange bwe byenkana omuwendo; Nandimusemberedde ng'omukungu.
38 Ensi yange bw'enempawaabira, N'ebibibi byayo ne bikaabira wamu amaziga;
39 Oba nga nali ndidde ebibala byamu awatali ffeeza, Oba nali nfiisizza bannyini yo:
40 Omwennyango gudde mu kifo ky'eŋŋaano. Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu biwedde.




Essuula 32

1 Awo abasajja abo abasatu ne baleka okuddamu Yobu, kubanga yaii mutuukirivu mu maasoge ye.
2 Awo obusungu bwa Eriku, mutabani wa Balakeri Omubuzi, ow'omu kika kya Laamu ne bulyoka bubuubuuka eri Yobu, kubanga yeeyita mntuukirivu so si Katonda.
3 Era obusungu bwe ne bubuubuuka n'eri mikwano gye bonsatule kubanga tebaalaba kya kuddamu, naye ne basalira Yobu okumusinga.
4 Era Eriku yali alindiridde okwogera ne Yobu, kubanga waaliwo abaamusinga obukulu.
5 Awo Eriku bwe yalaba nga mu kamwa k'abasajja abo abasatu temuli kya kuddamu, obusungu bwe ne bubuubuuka.
6 Awo Eriku mutabani wa Balakeri Omubuzi n'addamu n'ayogera nti Nze ndi muto, nammwe muli bakadde nnyo; Kyennavudde nzibiikiriza ne ssaŋŋanga kubalaga kye ndowooza.
7 Njogedde nti Ennaku ze zandyogedde, Olufulube lw'emyaka lwandiyigirizza amagezi.
8 Naye waliwo omwoyo mu bantu, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gubawa okutegeera.
9 Abakulu si be bagezi, So n'abakadde si be bategeera emisango.
10 Kyenvudde njogera nti Mumpulire; Era nange naalaga kye ndowooza.
11 Laba, nnindiridde ebigambo byammwe, Mpulirizza ensonga zammwe, Nga munoonya bye muba mwogera.
12 Weewaawo, nteze okutu eri mmwe, Era, laba, nga tewali asinze Yobu, Newakubadde azzeemu ebigambo bye ku mmwe.
13 Mwekuume muleme okwogera nti Tulabye amagezi; Mpozzi Katonda ayinza okumuwangula, si bantu:
14 Kubanga ebigambo bye tabyolekezza nze; So ssiimuddemu na kwogera kwammwe.
15 Basamaaliridde, tebakyayanukula: Tebalina kigambo kya kwogera.
16 Nange naalindirira, kubanga teboogera, Kubanga bayimirira buyimirizi nga tebakyayanukula?
17 Era nange naayanukula ebyange, Era nange naalaga kye ndowooza.
18 Kubanga njijudde ebigambo; Omwoyo gwange oguli mu nze gumpaliriza.
19 Laba, olubuto lwange luliŋŋanga omwenge ogutaliiko we gufulumira; Ng'amaliba amaggya lwagala okwabika.
20 Naayogera ndyoke mpeereweere; Naayasama emimwa gyange ne nziramu.
21 Nkwegayiridde, nneme okusosola mu bantu eri omuntu yenna; So ssiiwe muntu yenna mannya ganyumiikiriza.
22 Kubanga simanyi kuwa mannya ganyumiikiriza; Omutonzi wange yandinziyeewo mangu.




Essuula 33

1 Naye, Yobu, nkwegayiridde, wulira okwogera kwange, Era tega okutu kwo eri ebigambo byange byonna.
2 Laba nno, njasamye akamwa kange, Olulimi lwange lwogedde mu kamwa kange.
3 Ebigambo byange binaayatula obugolokofu bw'omutima gwange; N'emimwa gyange bye gimanyi bye ginaayogera awatali bukuusa.
4 Omwoyo gwa Katonda gwe gwankola, N'omukka gw'Omuyinza w'ebintu byonna gwe gumpa obulamu.
5 Oba, oyinza, nziraamu: Liraanya ebigambo byo mu maaso gange, oyimirire wakati.
6 Laba, ndi awali Katonda era nga ggwe bw'oli: Era nange nabumbibwa okuva mu ttaka.
7 Laba, entiisa yange teekukange, So n'okunyigiriza kwange tekuukuzitoowerere.
8 Mazima oyogedde nze nga mpulira, Nange mpulidde eddoboozi ly'ebigambo byo ng'oyogera nti
9 Ndi mulongoofu nga ssiriiko kusobya; Ssiriiko musango, so mu nze temuli butali butuukirivu:
10 Laba, anziyako ensonga, Ampita mulabe we;
11 Ateeka ebigere byange mu nvuba, Alabirira amakubo gange gonna.
12 Laba, naakuddamu, mu ekyo tolina nsonga; Kubanga Katonda asinga omuntu obukulu.
13 Kiki ekikuwakanya naye? Kubanga tabalirira muwendo gwa bigambo bye byonna.
14 Kubanga Katonda ayogera omulundi gumu, Weewaawo, emirundi ebiri, abantu newakubadde nga tebassaayo mwoyo.
15 Mu kirooto, mu kwolesebwa okw'omu kiro, Otulo otungi bwe tukwata abantu, Nga babongoota ku kitanda;
16 Awo n'alyoka aggula amatu g'abantu, N'ateeka akabonero ku kuyigirizibwa kwabwe,
17 Aggye abantu mu kuteesa kwabwe, Era akweke abantu amalala;
18 Aziyiza emmeeme ye okukka mu bunnya, N'obulamu bwe buleme okufa n'ekitala.
19 N'okulumwa kumukangavvula ku kitanda kye, N'okulwana okutamala mu magumba ge:
20 Obulamu bwe n'okutamwa ne butamwa emmere, N'emmeeme ye ekyokulya ekiyonjo.
21 Omubiri gwe gumalibwawo n'okuyinzika ne gutayinzika kulabibwa; N'amagumba ge agaali gatalabika ne gakukunala.
22 Weewaawo, emmeeme ye esemberera obunnya, N'obulamu bwe busemberera abazikiriza.
23 Oba waliwo wamu naye malayika, Omutegeeza, omu mu lukumi, Okwolesa abantu ebibagwanira;
24 Awo n'amukwatirwa ekisa n'ayogera nti Muwonye aleme okukka mu bunnya, Ndabye ekinunulo.
25 Omubiri gwe guliba muggya okusinga ogw'omwana omuto; Adda mu nnaku z'obuto bwe:
26 Asaba Katonda, era amukwatirwa ekisa; N'okulaba alaba amaaso ge n'essanyu: Era awa nate omuntu obutuukirivu bwe.
27 Ayimbira mu maaso g'abantu n'ayogera nti Nnyonoonye ne nnyoola ekyo ekyali ekirungi, So ssiriiko kye nnagasibwa:
28 Anunudde emmeeme yange obutakka mu bunnya. N'obulamu bwange bunaatunuuliranga omusana.
29 Laba, ebyo byonna Katonda abikola, Emirundi ebiri, weewaawo, n'esatu eri omuntu,
30 Okukomyawo emmeeme ye mu bunnya, Ayakirwe omusana ogw'abalamu.
31 Weetegereze nnyo, ai Yobu, ompulire: Sirika, nange naayogera.
32 Oba nga olina eky'okwogera nziraamu: Yogera, kubanga njagala okukufuula omutuukirivu.
33 Oba nga si weewaawo, mpulira: Sirika, nange naakuyigiriza amagezi.




Essuula 34

1 Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2 Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab'amagezi; Era mutege okutu gye ndi, mmwe abalina okutegeera.
3 Kubanga okutu kukema ebigambo, Ng'amatama bwe galega ku mmere.
4 Twerondere ekyo ekinaaba eky'ensonga: Tumanye fekka na fekka ebirungi bwe biri.
5 Kubanga Yobu ayogedde nti Nze ndi mutuukirivu, Era nti Katonda anziyeeko ensonga yange:
6 Newakubadde nga nnina ensonga mpitibwa mulimba; Ekiwundu kyange tekiwonyezeka, newakubadde nga ssiriiko kusobya.
7 Muntu ki afaanana Yobu, Anywa okunyoomebwa ng'amazzi?
8 Atambulira awamu n'abakola ebitali bya butuukirivu, Era atambulira awamu n'abasajja ababi.
9 Kubanga ayogedde nti Omuntu tekiriiko kye kimugasa Okusanyukira Katonda.
10 Kale mumpulire, mmwe abasajja abalina okutegeera: Kiddire eri awali Katonda, ye okukola obubi; N'awali Omuyinza w'ebintu byonna, ye okukola ebitali bya butuukirivu.
11 Kubanga alisasula omuntu omulimu gwe, Era alirabya buli muntu ng'amakubo ge bwe gali.
12 Weewaawo, mazima Katonda taakolenga bubi, So n'Omuyinza w'ebintu byonna taalyenga nsonga.
13 Ani eyamuteresa ensi okugikuuma? Oba ani eyateekateeka ebintu byonna bwe byenkana?
14 Bw'ateeka omutima gwe ku bantu, Bw'akuŋŋaanyiza gy'ali omwoyo gwe n'omukka gwe;
15 Byonna ebirina omubiri birizikiririra wamu, Abantu ne badda mu nfuufu.
16 Kale oba olina okutegeera, wulira kino: Wulira eddoboozi ly'ebigambo byange.
17 Akyawa eby'ensonga oyo alifuga? Era onoosalira oyo omutuukirivu era ow'amaanyi okumusinga?
18 Kirungi okugamba kabaka nti Ggwe oli mugwagwa? Oba abakungu nti Mmwe muli babi?
19 Okusinga ennyo si kirungi okugamba oyo atatya maaso ga balangira, So talowooza mugagga okusinga omwavu? Kubanga bonna mulimu gwa mikono gye.
20 Bafa mu kaseera akatono, mu ttuntu; Abantu bakankanyizibwa ne bayitawo, N'ab'amaanyi baggibwawo awatali mukono.
21 Kubanga amaaso ge gatunuulira amakubo ag'omuntu, Era alaba okutambula kwe kwonna.
22 Tewali kizikiza newakubadde ekisiikirize eky'okufa, Abakola ebitali bya butuukirivu we bayinza okwekweka.
23 Kubanga teyeetaaga kweyongera kulowooza omuntu, Atuuke mu maaso ga Katonda okusalirwa omusango.
24 Amenyamenya abasajja ab'amaanyi mu ngeri etenoonyezeka, Era assaawo abalala mu kifo kyabwe.
25 Kyava alabirira emirimu gyabwe; Era abavuunika kiro n'okuzikirizibwa ne bazikirizibwa.
26 Abakuba ng'ababi Mu maaso g'abalala aweeru;
27 Kubanga bakyama obutamugoberera, So tebayagala kussaayo mwoyo eri amakubo ge gonna:
28 N'okutuusa ne batuusa gy'ali okukaaba kw'omwavu, N'awulira okukaaba kw'abo ababonyaabonyezebwa.
29 Ye bw'awa okutereera, kale ani ayinza okusala omusango okusinga? Era ye bw'akweka amaaso ge, kale ani ayinza okumutunuulira? Oba nga ggwanga oba nga muntu, kyonna bwe bumu:
30 Omusajja atamanyi Katonda alemenga okufuga, Walemenga okubaawo anaateega abantu.
31 Kubanga waliwo eyali agambye Katonda, nti Mbonerezebbwa, sikyasobya nate:
32 Kye ssiraba kinjigirize: Oba nga nkoze obujeemu ssikyabukola nate?
33 Empeera ye eriba nga ggwe bw'oyagala n'okugaana n'ogigaana? Kubanga ggwe oba weeroboza so si nze: Kale yogera ekyo ky'omanyi.
34 Abantu abalina okutegeera baligamba nti Weewaawo, buli muntu ow'amagezi ampulira, anaŋŋamba nti
35 Yobu ayogera nga talina kumanya, N'ebigambo bye tebiriimu magezi,
36 Yobu singa akemeddwa okutuusa enkomerero, Kubanga ayanukula ng'abantu ababi.
37 Kubanga ayongera obujeemu ku kwonoona kwe, Akuba mu ngalo ze ng'ayima wakati mu ffe, Era ayongerayongera ebigambo bye okuwakanya Katonda.




Essuula 35

1 Era nate Eriku n'addamu n'ayogera nti
2 Olowooza ekigambo ekyo ye nsonga yo, Oba oyogera nti Obutuukirivu bwange businga obwa Katonda?
3 N'okwogera n'oyogera nti Kirikugasa ki? Era nti Ndifuna magoba ki ge ndiba nago okukira ge nnandifunye singa nayonoona?
4 Nze nnaakuddamu, Ne banno wamu naawe.
5 Tunuulira eggulu olabe; Era ttunuulira eggulu erikusinga obugulumivu.
6 Oba nga oyonoonye omukola ki? Okusobya kwo bwe kweyongerayongera, omukola ki?
7 Bw'oba n'obutuukirivu, omuwa ki? Oba aweebwa ki mu mukono gwo?
8 Obubi bwo buyinza okulumya omuntu nga ggwe bw'oli; N'obutuukirivu bwo buyinza okugasa omwana w'omuntu.
9 Olw'okujoogebwa okungi ennyo bakaaba; Bakuba enduulu bayambibwe olw'omukono ogw'ab'amaanyi.
10 Naye tewali ayogera nti Katonda Omutonzi wange ali ludda wa, Awa ennyimba ekiro;
11 Atuyigiriza okusinga ensolo ez'oku nsi, Era atuwa amagezi okukira ennyonyi ez'omu bbanga?
12 Bakaabira eyo, naye tewali addamu, Olw'amalala ag'abantu ababi.
13 Mazima Katonda taawulire bigambo ebitaliimu, So n'Omuyinza w'ebintu byonna tasseeyo mwoyo.
14 Kale aliwulira atya bw'oyogera nti tomulaba, Ensonga eri mu maaso ge, naawe omulindirira?
15 Naye kaakano kubanga tabonerezza na busungu bwe, So tassaayo nnyo omwoyo eri esukuti;
16 Yobu kyava ayasama akamwa ke okwogera ebigambo ebitaliimu; Ayongerayongera ebigambo awatali kumanya.




Essuula 36

1 Era nate Eriku ne yeeyongera n'ayogera nti
2 Sooka ondeke, nange naakunnyonnyola; Kubanga nkyaliko kye njagala okwogera ku lwa Katonda.
3 Naggya wala okumanya kwange, Era naamussaako obutuukirivu Omutonzi wange.
4 Kubanga mazima ebigambo byange si bya bulimba: Omuntu eyatuukirira mu kumanya ali naawe.
5 Laba, Katonda wa maanyi, so tanyooma mnntu yenna: Wa maanyi mu buyinza obw'okutegeera.
6 Takuuma bulamu bw'ababi: Naye abawa ababonyaabonyezebwa ebyabwe.
7 Taggya maaso ge ku batuukirivu Naye awali bakabaka ku ntebe Gy'abateeka emirembe gyonna ne bagulumizibwa.
8 Era bwe baba nga basibiddwa n'amasamba, Era nga bakwasibwa n'emigwa egy'okubonyabonyezebwa;
9 Kale n'abalaga omulimu gwabwe, N'okusobya kwabwe nga bagize eby'amalala.
10 Era aggulawo okutu kwabwe okuwulira okuyigirizibwa, N'abalagira bakomewo okuva mu butali butuukirivu.
11 Bwe bawulira ne bamuweereza, Banaamalanga ennaku zaabwe nga balabye omukisa, N'emyaka gyabwe nga basanyuka.
12 Naye bwe batawulira banaazikiriranga n'ekitala, Era banaafanga awatali kumanya.
13 Naye abo abatamanyi Katonda mu mutima batereka obusungu: Tebakuba nduulu bayambwe bw'abasiba.
14 Bafa nga bakyali bato, N'obulamu bwabwe buzikirira mu abo abatali balongoofu.
15 Awonya oyo abonyabonyezebwa olw'okubonyabonyezebwa kwe, Era aggula okutu kwabwe bwe bajoogebwa.
16 Weewaawo, yandikuggye mu kulaba ennaku N'akuyingiza mu kifo ekigazi awatali kunyigirizibwa; N'ekyo ekiteekebwa ku mmeeza yo kyandijjudde obugimu.
17 Naye ggwe ojjudde omusango gw'omubi: Omusango n'okusala eby'ensonga bikukwata.
18 Kubanga waliwo obusungu, weekuume oleme okutwalibwa n'obugagga So enguzi tekukyamyanga kubanga nnene.
19 Obugagga bwo bunaamala oleme okulaba ennaku, Oba obuyinza bwonna obw'amaanyi go?
20 Teweegomba kiro, Amawanga bwe gazikirizibwa mu kifo kyago.
21 Weekuume oleme okutunuulira obutali butuukirivu: Kubanga weerobozezza obwo okusinga okubonyabonyezebwa.
22 Laba, Katonda akola ebigulumivu mu buyinza bwe: Ani omuyigiriza afaanana ye?
23 Ani eyali amulagidde ekkubo lye? Oba ani ayinza okwogera nti Okoze ebitali bya butuukirivu?
24 Jjukira okugulumizanga omulimu gwe, Abantu gwe baayimbangako.
25 Abantu bonna baagutunuulira; Abantu baagulengera nga bayima wala.
26 Laba, Katonda mukulu, naffe tetumumanyi; Omuwendo gw'emyaka gye tegunoonyezeka.
27 Kubanga awalula waggulu amatondo g'amazzi, Agatonnya enkuba eva mu mukka gwe:
28 Eggulu ge liyiwa Ne ligatonnya ku bantu mangi nnyo.
29 Weewaawo, waliwo ayinza okutegeera ebire bwe bibambibwa, Okubwatuuka okw'omu weema ye?
30 Laba, yeeyaliirira omusana gwe okwetooloola; Era asaanikira ku nnyanja wansi.
31 Kubanga olw'ebyo asala emisango gy'amawanga; Agaba emmere nnyingi nnyo.
32 Abikka engalo ze n'enjota; Era aziragira zikube sabbaawa.
33 Eddoboozi lyazo linnyonnyola ebigambo bye, Era libuulira n'ente kibuyaga ayambuka.




Essuula 37

1 Era n'ekyo kikankanya omutima gwange, Ne gunyeenyezebwa okuva mu kifo kyagwo.
2 Muwulire okuwuuma kw'eddoboozi lye, N'okududuma okuva mu kamwa ke.
3 Akusindika wansi w'eggulu lyonna, N'okumyansa kwe kubuna enkomerero z'ensi.
4 Oluvannyuma lwakwo eddoboozi ne liwuluguma; Abwaluka n'eddoboozi ery'obukulu bwe: So tabiziyiza eddoboozi lye bwe liwulirwa.
5 Katonda abwatuka kitalo n'eddoboozi lye; Akola ebikulu bye tutayinza kutegeera.
6 Kubanga agamba omuzira nti Gwa ku nsi; Era bw'atyo bw'agamba oluwandaggirize, N'empandaggirize ez'enkuba ye ey'amaanyi.
7 Assa akabonero ku mukono gwa buli muntu; Abantu bonna be yatonda balyoke bakimanye.
8 Awo ensolo ne zigenda mu bwekwekero, Ne zibeera mu mpuku zaazo,
9 Mu kisenge eky'obukiika obwa ddyo mwe muva omuyaga: Empewo ne ziva mu bukiika obwa kkono.
10 Omukka gwa Katonda gwe guleeta omuzira: N'amazzi bwe genkana obugazi ne gakwata.
11 Weewaawo, ajjuza ekire ekiziyivu amazzi; Abamba ekire eky'enjota ze:
12 Era okuluŋŋamya kwe kwe kukikyusakyusa eruuyi n'eruuyi, Bikolenga byonna by'abiragira Kungulu ku nsi yonna okubeereka:
13 Oba nga kya kubuulirira, oba nga kya nsi ye, Oba nga kya kusaasira, kyava akireeta.
14 Ekyo kiwulire, ggwe Yobu: Yimirira buyimirizi, olowooze ebikolwa bya Katonda eby'ekitalo.
15 Omanyi Katonda bw'abikuutira, N'ayasa enjota ez'omu kire kye?
16 Omanyi okutereezebwa kw'ebire, Ebikolwa eby'ekitalo eby'oyo eyatuukirira mu kumanya?
17 Ebyambalo byo bwe bibuguma, Ensi ng'esirise olw'embuyaga ez'obukiika obwa ddyo?
18 Oyinza okubambira eggulu awamu naye, Amaanyi gaalyo genkana endabirwamu ensaanuuse?
19 Tuyigirize bye tuba tumugamba; Kubanga tetuyinza kuliraanya kwogera kwaffe olw'ekizikiza.
20 Anaabuulirwa nga njagala okwogera? Oba omuntu yandyagadde okumirwa?
21 Era kaakano abantu tebalaba musana ogumasamasa mu ggulu: Naye embuyaga ne ziyita ne ziryerula.
22 Mu bukiika obwa kkono mwe muva okuyakaayakana okuli nga zaabu: Katonda ayambadde ekitiibwa ekikanga.
23 Omuyinza w'ebintu byonna tetuyinza kumunoonya; asinga bonna obuyinza: Era mu musango ne mu butuukirivu obusukkirivu talibonyabonya.
24 Abantu kyebava bamutya: abassaako omwoyo abo bonna abalina emitima egy'amagezi.




Essuula 38

1 Awo Mukama n'alyoka addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
2 Ani ono aleeta akizikiza mu kuteesa N'ebigambo ebitaliimu kumanya?
3 Kale nno weesibe ekimyu ng'omusajja; Kubanga naakubuuza, naawe onziremu.
4 Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy'ensi? Yatula oba olina okutegeera.
5 Ani eyateesa ebigera byayo, oba nga omanyi? Oba ani eyagireegera omugwa?
6 Emisingi gyayo gyasibirwa ku ki? Oba ani eyassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery'oku nsonda;
7 Emmunyeenye ez'enkya bwe zaayimbira awamu, N'abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw'essanyu?
8 Oba ani eyasiba ennyanja n'enzigi, Bwe yawaguza ng'ekiva mu lubuto;
9 Bwe nnafuula ekire okuba ekyambalo kyayo, N'ekizikiza ekikutte okuba ebiwero eby'okubikka,
10 Bwe nnagiragira etteeka lyange, Ne nzisaawo ebisiba n'enzigi,
11 Ne njogera nti Wano w'okomanga so tosukkangawo; Era wano amayengo go ag'amalala we gaziyirizibwanga?
12 Wali olagidde enkya ennaku zo kasookedde zibaawo, Wali omanyisizza emmambya ekifo kyayo;
13 Ekwate enkomerero z'ensi, Era ababi bakunkumulwe okugivaamu?
14 Ewaanyisibwa ng'ebbumba wansi w'akabonero; N'ebintu byonna bikukunuka ng'ekyambalo:
15 N'ababi omusana gwabwe gubaggibwako, N'omukono ogugulumizibwa gumenyeka.
16 Wali oyingidde mu nsulo ez'ennyanja? Oba wali otambudde mu madubi ag'obuziba?
17 Enzigi ez'okufa zaali zikubikkuliddwa? Oba wali olabye enzigi ez'ekisiikirize eky'okufa?
18 Wali otegedde ensi bw'eri engazi? Yatula, oba nga obimanyi byonna.
19 Ekkubo liri ludda wa eridda mu nnyumba ey'omusana, N'ekizikiza ekifo kyakyo kiri ludda wa;
20 Ggwe okukiwerekera ku mbibi yaakyo? Era otegeere okutuuka ku nnyumba yaakyo?
21 Omanyi, kubanga wali ozaaliddwa mu biro ebyo; N'omuwendo gw'ennaku zo mungi!
22 Wali oyingidde mu mawanika g'amazzi amakwafu, Oba wali olabye amawanika ag'omuzira,
23 Ge nnaterekera ebiro eby'okulabiramu ennaku, Olunaku olw'olutalo n'obulwa?
24 Mu kkubo ki omusana mwe gwawukanira, Oba embuyaga ez'ebuvanjuba mwe zisaasaanira ku nsi?
25 Ani eyasalira amataba olusalosalo, Oba ekkubo ery'enjota ez'okubwatuka;
26 Okutonnyesa enkuba ku nsi okutali muntu; Mu ddungu omutali muntu n'omu;
27 Okukkusa ettaka eryazika eryalekebwa; N'okulosa omuddo omuto?
28 Enkuba erina kitaawe waayo? Oba ani eyazaala amatondo ag'omusulo?
29 Mu lubuto lw'ani omwava amazzi amakwafu? N'omusulo omukwafu omweru ogw'omu ggulu ani eyaguzaala?
30 Amazzi gakwekebwa nga gakwekeddwa n'amayinja. Ne kungulu ku buziba nga kukutte.
31 Oyinza okusiba ekikuukuulu kya Kakaaga, Oba okusumulula olukoba lw'Entungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emmunyeenye mu ntuuko zaazo? Oba oyinza okuluŋŋamya Nabaliyo n'abaana be?
33 Omanyi ebiragiro eby'omu ggulu? Oyinza okunyweza okufuga kwalyo mu nsi?
34 Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo eri ebire, Amazzi amangi ennyo gakubikkeko?
35 Oyinza okuweereza enjota zitambule, Ne zikugamba nti Ffe tuutuno?
36 Ani eyateeka amagezi mu bitundu eby'omunda? Oba ani eyawa emmeeme okutegeera?
37 Ani ayinza okubala ebire olw'amagezi? Oba ani ayinza okuttulula amaliba ag'omu ggulu,
38 Enfuufu bw'ekulukuta n'eba effunfugu, Amafunfugu ne geegattira ddala?
39 Onooyiggira empologoma enkazi omuyiggo? Oba onokkusa okwegomba kw'abaana b'empologoma,
40 Bwe zisula mu mpuku zaazo, Ne zibeera mu bisaka okuteega?
41 Ani alabira namuŋŋoona emmere ye, Abaana be bwe bakaabira Katonda, Ne batambulatambula olw'okubulwa ebyokulya?




Essuula 39

1 Omanyi ebiro embulabuzi ez'oku njazi mwe zizaalira? Oba oyinza okutegeera empeewo bwe ziba n'amawako?
2 Oyinza okubala emyezi gye zimala? Oba omanyi ebiro mwe zizaalira?
3 Zikutama, zizaala abaana baazo, Zeggyamu obubalagaze bwazo.
4 Abaana baazo bagejja, bakulira ebweru ku ttale; Bafuluma ne batadda.
5 Ani eyata entulege okuba ey'eddembe? Oba ani eyasumulula enkoba ez'entulege?
6 Nafuula ensiko okuba ennyumba yaayo, N'ensi ey'omunnyo okuba ekifo w'ebeera.
7 Enyooma oluyoogaano olw’omu kibuga, So tewulira kulekaana kwa mugobi.
8 Ensozi bwe zenkana obugazi lye ddundiro lyayo, Era enoonya buli kintu ekibisi.
9 Embogo enekkirizanga okukuweereza? Oba eneebeeranga awali ekisibo kyo?
10 Oyinza okusiba embogo n'olukoba lwayo ku kibibi? Oba eneerimanga ebiwonvu ng'ekuvaako ennyuma?
11 Onoogyesiganga kubanga amaanyi gaayo mangi? Oba onoogirekeranga omulimu gwo?
12 Onoogyesiganga okukomyawo ewuwo ensigo zo, N'okukuŋŋaanyanga eŋŋaano ey'omu gguuliro lyo?
13 Ekiwaawaatiro kya maaya kisanyuka; Naye ebiwaawaatiro bye n'ebyoya birina ekisa?
14 Kubanga aleka amagi ge ku ttaka, N'egabugumya mu musenyu,
15 Ne yeerabira ng'ekigere kiyinza okugabetenta, Oba ensolo ey'omu nsiko eyinza okugalinnyirira.
16 Akakanyalira abaana be ng'abatali babe: Newakubadde ng'ateganira bwereere talina kutya;
17 Kubanga Katonda yamuggyako amagezi, So tamuwadde kutegeera.
18 Bw'aba nga yeegulumizizza, Anyooma embalaasi n'oyo agyebagala.
19 Wawa embalaasi amaanyi gaayo? Wayambaza obulago bwayo n'olugiŋŋirima olukankana?
20 Wagibuusa ng'enzige? Ekitiibwa ky'okufugula kwayo kya ntiisa.
21 Etakulira mu kiwonvu, n'esanyukira amaanyi gaayo: Efuluma okusisinkana n'abasajja abakutte ebyokulwanyisa.
22 Esekerera okutya so tekeŋŋentererwa; so tedda nnyuma awali ekitala.
23 Omufuko guwulungutira ku yo, Effumu erimasamasa n'akasaale.
24 Emira ettaka n'obusungu n'ekiruyi; So tekkiriza nga lye ddoboozi ery'ekkondeere.
25 Ekkondeere buli lwe livuga, n'eyogera nti Bw'otyo N'ekonga olutalo nga lukyali wala, Okubwatuka kw'abaami n'okuleekaana.
26 Magga atumbiira na magezi go, N'abamba abiwaawaatiro bye eri obukiika obwa ddyo?
27 Empungu erinnya na kiragiro kyo, N'ekola ekisu kyayo waggulu?
28 Ebeera ku jjinja, n'ennyumba yaayo eri okwo, Ku linnyo ly'ejjinja n'ekifo eky'amaanyi.
29 Erengera omuyiggo ng'eyima okwo; Amaaso gaayo gagulaba nga guli wala.
30 Era n'abaana baayo banuuna omusaayi: Era awaba emirambo, gy'ebeera eyo.




Essuula 40

1 Era nate Mukama n'addamu Yobu n'ayogera nti
2 Aleeta ensonga ezitaliimu anaayombesa Omuyinza w'ebintu byonna? Awakanya Katonda akiwoze.
3 Awo Yobu n'alyoka addamu Mukama n'ayogera nti
4 Laba, siriimu ka buntu; n'akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.
5 Njogedde omulundi gumu, so ssiddemu; Weewaawo, emirundi ebiri, naye sseeyongere nate.
6 Awo Mukama n'addamu Yobu ng'ayima mu mbuyaga ez'akazimu n'ayogera nti
7 Weesibe nno ekimyu ng'omusajja: Naakubuuza, naawe onziremu.
8 N'okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n'obutuukirivu?
9 Oba olina omukono nga Katonda? Era oyinza okubwatuka n'eddoboozi erifaanana erirye?
10 Weeyonje nno n'okuwooma n'okutiibwa; Yambala ekitiibwa n'obukulu.
11 Fuka obusungu bwo okusukkiridde: Otunuulire buli muntu ow'amalala omujeeze.
12 Tunuulira buli muntu ow'amalala omukkakkanye; Olinnyirire ababi we bayimirira.
13 Bakise wamu mu nfuufu; Siba amaaso gaabwe mu kifo ekikisibwa.
14 Kale nange ne ndyoka nzikiriza ku ggwe Ng'omukono gwo gwe guyinza okukulokola.
15 Laba nno envubu gye nnatondera awamu naawe; Erya omuddo ng'ente.
16 Laba nno amaanyi gaayo gali mu kiwato kyayo, N'amawaggali gaayo gali mu binywa eby'omu lubuto lwayo.
17 Yeesagga omukira ng'omuvule: Ebinywa eby'omu kiwato kyayo byegatta wamu.
18 Amagumba gaayo galiŋŋanga enseke ez'ebikomo; Amagulu gaayo galiŋŋanga ebyuma ebisiba.
19 Ye ekulira amakubo ga Katonda: Ye yekka eyagitonda ayinza okugisembereza ekitala kye.
20 Mazima ensozi zigizaalira ebyokulya; Ensolo zonna ez'omu nsiko we zizannyira.
21 Egalamira wansi w'ebisiikirize by'emiti, Mu bwekwekero obw'omu ndago ne mu bitosi.
22 Ebisiikirize by'emiti bigibikkako; Emyerebu egy'omu bugga gigyetooloola.
23 Laba, omugga bwe gwanjaala, tekankana: Eguma omwoyo Yoludaani newakubadde nga gujjula ne gutuuka ku kamwa kaayo.
24 Waliwo anaagikwata bw'eba ng'etunula, Oba anaawummula ennyindo zaayo n'ekyambika?




Essuula 41

1 Oyinza okuggyangamu egoonya n'eddobo? Oba okunyigirizanga olulimi lwayo n'omugwa?
2 Oyinza okuyingizanga omugwa mu nnyindo zaayo? Oba okuwummulanga oluba lwayo n'eddobo?
3 Eneekwegayiriranga ebigambo bingi? Oba eneekugambanga ebigambo ebigonvu?
4 Eneeragaananga endagaano naawe, Ogitwalenga okuba omuddu emirembe gyonna?
5 Onoozannyanga nayo nga bw'ozannya n'ennyonyi? Oba onoogisibiranga abawala bo?
6 Ebibiina eby'abavubi binaagifuulanga obuguzi? Banaagigabaniranga mu basuubuzi?
7 Oyinza okujjuzanga eddiba lyayo ebyuma ebiriko amalobo, Oba omutwe gwayo emiwunda egiswaga ebyennyanja?
8 Giteekeko omukono gwo; Jjukira olutalo olemenga okweyongera okukola bw'otyo.
9 Laba, essuubi lyayo lya bwereere: Omuntu taakeŋŋentererwenga bw'agiraba obulabi?
10 Tewali mukambwe bw'atyo n'okwaŋŋanga n'ayaŋŋanga okugisaggula: Kale aluwa oyo ayinza okuyimirira mu maaso gange?
11 Ani eyasooka okumpa, nze mmusasule? Byonna ebiri wansi w'eggulu lyonna byange.
12 Siisirike olw'amagulu gaayo, Newakubadde amaanyi gaayo amangi, newakubadde okugattibwa kwayo okulungi.
13 Ani ayinza okugyambula ekyambalo kyayo eky'okungulu? Ani anaatuuka munda w'enkoba zaayo ebbiri?
14 Ani ayinza okuggulawo enzigi ez'amaaso gaayo? Entiisa yeetoolodde amannyo gaayo.
15 Amagamba gaayo ag'amaanyi ge malala gaayo, Nga gasibaganye ng'akabonero bwe kanyweza.
16 Erimu lyegatta n'ery'okubiri bwe lityo N'okuyinza empewo ne zitayinza kuyita wakati waago.
17 Geegasse gokka na gokka; Gakwatagana ne gatayinzika kwawulibwa.
18 Okwasimula kwayo kumyansaamu omusana, N'amaaso gaayo gafaanana ebikowe eby'enkya.
19 Mu kamwa kaayo muva emimuli egyaka, N'ensasi ez'omuliro zibuuka okuvaamu.
20 Mu nnyindo zaayo muva omukka, Ng'ogw'entamu etokota n'ogw'ebitoogo ebiggya.
21 Omukka gwayo gwasa amanda, Era omuliro guva mu kamwa kaayo.
22 Mu nsingo yaayo mubeera amaanyi, N'entiisa ezinira mu maaso gaayo.
23 Emiwula gy'ennyama yaayo gyegasse: Ginywerera ku yo: tegiyinza kusagaasagana.
24 Omutima gwayo guguma ng'ejjinja; Weewaawo, guguma ng'olubengo.
25 Bw'eyimuka ab'amaanyi batya: Olw'okwekanga nga baliko eddalu.
26 Bwe bagisimbako ekitala, tekiriiko kye kiyinza kukola; Newakubadde effumu newakubadde omuwunda newakubadde akasaale akasongovu.
27 Ebyuma ebiyita bisasiro, N'ebikomo miti mivundu.
28 Akasaale tekayinza kugiddusa: Amayinja agavuumuulibwa gafuuka ebiti eri yo.
29 Endoddo ziyitibwa ng'ebiti: Esekerera okuwulukuka kw'akasaale.
30 Ebitundu byayo ebya wansi biriŋŋanga engyo eziriko obwogi: Eteeka ng'eggaali ewuula ku bitosi.
31 Etokosa ennyanja ng'entamu: Efaananya ennyanja amafuta.
32 Emasamasisa ekkubo ennyuma waayo; Obuziba wandibulowoozezza okuba n'envi.
33 Tewali ekigyenkana ku nsi, Ekolebwa obutabaamu kutya.
34 Etunuulira buli kintu ekigulumivu: Ye kabaka w'abaana bonna ab'amalala.




Essuula 42

1 Awo Yobu n'addamu Mukama n'ayogera nti
2 Mmanyi nga ggwe oyinza byonna, Era nga tewali kigambo kye wateesa ekiziyizika.
3 Ani ono akisa okuteesa awatali kumanya? Kyennavudde njatula ebyo bye ssaategedde, Ebigambo eby'ekitalo ebyannemye bye ssaamanye.
4 Nkwegayiridde, wulira, nange ka njogere; Naakubuuza, naawe onziremu.
5 Nali nkuwuliddeko n'okuwulira kw'okutu; Naye kaakano eriiso lyange likulaba,
6 Kyenvudde neetamwa ne nneenenya Mu nfuufu n'evvu.
7 Awo olwatuuka Mukama bwe yamala okugamba Yobu ebigambo ebyo, Mukama n'agamba Erifaazi Omutemani nti Obusungu bwange bukubuubuukidde ggwe ne banno bombi: kubanga temunjogeddeeko ekigambo ekirina ensonga, ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde.
8 Kale nno mwetwalire ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu, mugende eri omuddu wange Yobu, muweeyo ekiweebwayo ekyokebwa; era omuddu wange Yobu anaabasabira; kubanga oyo gwe nnakkiriza nneme okubakola ng'obusirusiru bwammwe bwe buli; kubanga temunjogeddeko kigambo ekirina ensonga ng'omuddu wange Yobu bw'ayogedde:
9 Awo Erifaazi Omutemani ne Birudaadi Omusuki ne Zofali Omunaamasi ne bagenda ne bakola nga Mukama bw'abalagidde: kale Mukama n'akkiriza Yobu.
10 Awo Mukama n'akyusa obusibe bwa Yobu, bwe yasabira mikwano gye: Mukama n'awa Yobu okusinga emirundi ebiri ebyo bye yalina olubereberye.
11 Awo baganda be bonna ne bajja gy'ali ne bannyina bonna n'abo bonna be yamanyagananga nabo olubereberye, ne baliira emmere wamu naye mu nnyumba ye: ne bamukaabira ne bamukubagiza olw'obubi bwonna Mukama bwe yamuleetako: era buli muntu n'amuwa ekitundu ekya ffeeza, na buli muntu empeta eya zaabu.
12 Awo Mukama n'awa omukisa enkomerero ya Yobu okukira entandikwa ye: n'aba n'endiga kakumi mu enkumi nnya, n'eŋŋamira kakaaga, n'emigogo gy'ente lukumi n'endogoyi enkazi lukumi.
13 Era yalina abaana ab'obulenzi musanvu n'ab'obuwala basatu.
14 N'ow'olubereberye n’amutuuma erinnya Yemima; n'ow'okubiri erinnya lye Keeziya; n'ow'okusatu erinnya lye Kerenukappuki.
15 Awo mu nsi yonna ne watalabika abakazi abalungi okwenkana abawala ba Yobu: kitaabwe n'abawa obusika mu baganda baabwe.
16 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yobu n'awangaala emyaka kikumi mu ana, n'alaba batabani be n'abaana ba batabani be, bannakasatwe.
17 Awo Yobu n'afa nga mukadde ng'awezezza ennaku nnyingi.