-Reset+

Essuula 1

1 Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw'ababi, Newakubadde okuyimirira mu kkubo ly'abo abalina ebibi, Newakubadde okutuula ku ntebe y'abanyooma.
2 Naye amateeka ga Mukama ge gamusanyusa; Era mu mateeka ge mw'alowooleza emisana n'ekiro.
3 Naye alifaanana ng'omuti ogwasimbibwa okumpi n'ensulo ez'amazzi, Ogubala emmere yaagwo mu ntuuko zaayo, Era amalagala gaagwo tegawotoka; Na buli ky'akola, akiweerwako omukisa.
4 Ababi si bwe batyo; Naye bali ng'ebisusunku, empewo bye zifuumuula.
5 Ababi kyebaliva balema okuyimirira mu musango, Newakubadde abalina ebibi mu kkuŋŋaaniro ly'abatuukirivu.
6 Kubanga Mukama amanyi ekkubo ly'abatuukirivu: Naye ekkubo ly'ababi liribula.

">


Essuula 2

1 Kiki ekibagugumusizza ab'amawanga, N'abantu kiki ekibalowoozesezza ekitaliimu?
2 Bakabaka ab'ensi beeteeseteese, N'abafuga bateesezza ebigambo wamu, Ku Mukama ne ku Masiya we nga boogera nti
3 Ka tumenyemenye enjegere zaabwe, Tusuule wala emigwa gyabwe.
4 Atuula mu ggulu aliseka, Mukama alibaduulira.
5 Mu biro biri alibagamba mu busungu bwe, Alibateganya mu kiruyi kye ekingi:
6 Naye naateeka kabaka wange Ku lusozi lwange olutukuvu Sayuuni.
7 Ekiragiro ndikibuulira: Mukama yaŋŋamba nti Ggwe oli mwana wange; Leero nkuzadde.
8 Onsabe nze, nange ndikuwa amawanga okubeera obusika bwo, N'ensonda ez'ensi okubeera amatwale go.
9 Olibimenya n'omuggo ogw'ekyuma; Olibyasayasa ng'entamu ey'omubumbi.
10 Kale kaakano mubeere n'amagezi, mmwe bakabaka: Muyige, mmwe abasala omusango gw'ensi.
11 Muweereze Mukama n'okutya, Era musanyuke n'okukankana.
12 Munywegere omwana, aleme okusunguwala, nammwe ne mubula mu kkubo, Kubanga obusungu bwe bulibuubuuka mangu. Balina omukisa bonna abamweyuna ye.

">


Essuula 3

1 Mukama, abalabe bange nga beeyongedde! Abagolokoka okunnumba bangi.
2 Bangi aboogera ku mmeeme yange Nti Talina kuyambwa mu Katonda. (Seera)
3 Naye ggwe, Mukama, oli ngabo enkuuma; Ekitiibwa kyange, era ayimiriza omutwe gwange.
4 N'eddoboozi lyange, nkoowoola Mukama, Naye anziramu okuva ku lusozi lwe olutukuvu. (Seera)
5 Naagalamira ne nneebaka; Ne nzuukuka; kubanga Mukama ye ankuuma.
6 Siritya bukumi bwa bantu, Abaneetooloola okunnumba.
7 Golokoka, ai Mukama: ondokole, ai Katonda wange: Kubanga wakuba abalabe bange bonna ku ttama, Wamenya amannyo g'ababi.
8 Obulokozi buli eri Mukama: Omukisa gwo gubeere ku bantu bo. (Seera)

">


Essuula 4

1 Onziremu bwe nkukaabira, ai Katonda ow'obutuukirivu bwange; Wansumulula bwe nnali mu nnaku; Onsaasire, ompulire okusaba kwange.
2 Mmwe abaana b'abantu, mulituusa wa okukyuusa ekitiibwa kyange mu nsonyi? Mulituusa wa okwagala ebitaliimu, n'okugoberera eby'obulimba? (Seera)
3 Naye mutegeere nga Mukama yeeterekedde atya Katonda: Mukama anaawuliranga bwe nnaamukoowoolanga.
4 Muyimirire nga mutya, muleme okwonoona: Mulowooze mu mutima gwammwe ku kitanda kyammwe, musiriikirire. (Seera)
5 Muweeyo sadaaka ez'obutuukirivu, Era mwesige Mukama.
6 Waliwo bangi aboogera nti Ani alitulaga ekintu ekirungi? Mukama, ggwe oyimuse omusana ogw'amaaso go ku ffe.
7 Otadde essanyu mu mutima gwange, okusinga ery'omu kyengera ky'emmere n'omwenge gwabwe.
8 Mu butatya naagalamiranga ne nneebaka: Kubanga ggwe wekka, Mukama, ontuusa mu mirembe.

">


Essuula 5

1 Wulira ebigambo byange, ai Mukama, Osseeyo omwoyo eri ebirowoozo byange.
2 Wulira eddoboozi ly'okukaaba kwange, Kabaka wange, era Katonda wange: Kubanga nkusaba ggwe.
3 Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula.
4 Kubanga toli Katonda asanyusibwa obubi: Ebitasaana tebiituulenga gy'oli.
5 Abeenyumiriza tebaayimirirenga mu maaso go: Okyawa bonna abakola, ebitali bituukirivu.
6 Olizikiriza aboogera eby'obulimba: Mukama akyawa omuntu atta n'alimbalimba.
7 Naye ku lwange mu bungi bw'ekisa kyo naayingiranga mu nnyumba yo: Mu kukutya naasinzanga nga njolekera yeekaalu yo entukuvu.
8 Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange; Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange.
9 Kubanga tewali bwesigwa mu mimwa gyabwe: Omwoyo gwabwe bubi busa: Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Beegonza n'olulimi lwabwe.
10 Obasseeko omusango, ai Katonda; Bagwe olw'okuteesa kwabwe bo: Obasindike mu kwonoona kwabwe okungi; Kubanga bakujeemedde ggwe.
11 Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12 Kubanga oliwa omutuukirivu omukisa; Ai Mukama, olimwetoolooza ekisa ng'engabo.

">


Essuula 6

1 Ai Mukama; tonnenya mu busungu bwo, So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2 Onsaasire, ai Mukama; kubanga mpotokedde ddala: Ai Mukama, omponye; kubanga amagumba gange geeraliikiridde.
3 Era n'emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo: Naawe, ai Mukama, olituusa wa?
4 Komawo, ai Mukama, ondokole emmeeme yange: Omponye olw'ekisa kyo:
5 Kubanga tewali akujuukirira mu kufa: Ani alikwebaliza mu magombe?
6 Okusinda kwange kunkooyezza; Buli kiro nkulukusa ekiriri kyange; Ekitanda kyange nkitobya n'amaziga.
7 Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala; Likaddiye olw'abalabe bange bonna.
8 Muveewo we ndi, mwenna abakola ebitali bituukirivu; Kubanga Mukama awulidde eddoboozi ly'okukaaba kwange.
9 Mukama awulidde okwegayirira kwange; Mukama anakkirizanga okusaba kwange.
10 Abalabe bange bonna baliswazibwa, balyeraliikirira nnyo: Balidda ennyuma, baliswazibwa mangu.

">


Essuula 7

1 Ai Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe: Ondokole eri abo bonna abangoba, omponye:
2 Aleme okutaagula emmeeme yange ng'empologoma, Okugitaagulataagula, nga tewali anamponya.
3 Ai Mukama, Katonda wange, oba nga nakola bwe ntyo; Oba nga obutali butuukirivu buli mu mikono gyange;
4 Oba nga namuwalana obubi eyali n'emirembe gye ndi; (Nedda, naye nawonya eyali omulabe wange obwereere:)
5 Ankyawa ayigganye emmeeme yange, agituukeko: Anninnyirire obulamu bwange wansi mu ttaka, Asse ekitiibwa kyange mu nfuufu. (Seera)
6 Golokoka, ai Mukama, mu busungu bwo, Weesimbe ku bukambwe obw'abalabe bange: Era onzuukukire; walagira omusango.
7 Era ekkuŋŋaaniro ery'amawanga likwetooloole: Okomewo waggulu okubafuga
8 Mukama aweereza omusango amawanga: Osale omusango gwange, ai Mukama, olw'obutuukiriw bwange n'amazima gange agali mu nze.
9 Singa obubi obw'ababi buweddewo, naye abatuukirivu ggwe obanyweze: Kubanga Katonda ow'obutuukirivu ageza emitima n'emmeeme.
10 Engabo yange eri ne Katonda, Alokola abalina omutima ogw'amazima.
11 Katonda ye musazi w'emisango omutuukirivu, Era ye Katonda alina obusungu buli lunaku.
12 Omuntu bw'atakyuka, aliwagala ekitala kye; Aleeze omutego gwe, aguteeseteese.
13 Era amuteekeddeteekedde ebintu ebitta; Emisaale gye agiteekako omuliro.
14 Laba, alina olubuto olw'obubi; Weewaawo, eggwako lye lye ttima, era azadde obulimba.
15 Yakola obunnya, yabusima, Era agudde mu lusalosalo lwe yakola.
16 Ettima lye liriddira ku mutwe gwe ye, N'ekyejo kye kirituuka ku bwezinge bwe.
17 Neebazanga Mukama olw'obutuukirivu bwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo.

">


Essuula 8

1 Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.
2 Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga.
3 Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw'engalo zo, Omwezi n'emmunyeenye, bye walagira;
4 Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira?
5 Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo.
6 Wamufuza emirimu egy'emikono Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye:
7 Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko;
8 Ennyonyi eza waggulu, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, Buli kintu ekiyita mu makubo ag'ennyanja.
9 Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna!

">


Essuula 9

1 Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna; Naayolesanga ebikolwa byo eby'ekitalo byonna.
2 Naasanyukanga naajagulizanga mu ggwe: Naayimbanga okutendereza erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo.
3 Abalabe bange bwe badda ennyuma, Beesittala ne bazikirira mu maaso go.
4 Kubanga ggwe wayamba ensonga yange n'ebigambo byange; Watuula ku ntebe, ng'osala omusango ogw'ensonga.
5 Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, Wasangula erinnya lyabwe emirembe n'emirembe.
6 Abalabe baweddewo, baviibwamu emirembe egitaggwaawo; N'ebibuga bye wamenya. Era n'ekijjukizo kyabyo kizikiridde.
7 Naye Mukama abeererawo emirembe egitaggwaawo: Ateeseteese entebe ye okusala omusango.
8 Naye alisala omusango ogw'ensi zonna mu butuukirivu, Aliwa omusango amawanga mu mazima.
9 Era Mukama anaabeeranga kigo ekiwanvu eri abayigganyizibwa, Ekigo ekiwanvu mu biro eby'ennaku;
10 N'abo abamanyi erinnya lyo baneesiganga ggwe; Kubanga ggwe, Mukama, tonnabaleka abakunoonya.
11 Muyimbe okutendereza Mukama, atuula mu Sayuuni: Mubuulire ebikolwa bye mu bantu.
12 Kubanga oyo avunaana omusaayi abajjukira: Teyeerabira kukaaba kw'abaavu.
13 Onsaasire, ai Mukama; Laba okubonaabona kwange kwe bankola abankyaye, Ggwe annyimusa ku miryango egy'olumbe;
14 Ndyoke njolesenga ettendo lyo lyonna: Mu miryango egy'omuwala wa Sayuuni Naasanyukiranga obulokozi bwo.
15 Amawanga gagudde mu bunnya bwe baasima: Mu kyambika kye baatega ekigere kyabwe mwelukwatiddwa:
16 Mukama yeetegeezezza, atuukirizza omusango: Omubi akwatibwa mu mirimu gy'emikono gye. (Kiggayoni. Seera
17 Ababi balidda mu magombe. Ge mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 Kubanga abaavu tebeerabirwenga ennaku zonna, So essuubi ery'abawombeefu teriibulenga emirembe gyonna.
19 Golokoka, ai Mukama; abantu balemenga okuwangula: Amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 Obatiise, ai Mukama: Amawanga geetekeere nga bantu buntu. (Seera)

">


Essuula 10

1 Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby'ennaku?
2 Mu malala ag'omubi omwavu ayigganyizibwa nnyo: Bakwatibwe mu nkwe ze baateesa.
3 Kubanga omubi yeenyumiriza olw'okwegomba kw'omutima gwe, N'omukodo yeegaana, era anyooma Mukama.
4 Omubi mu malala ag'amaaso ge ayogera nti Talivunaana. Ebirowoozo bye byonna nti Tewali Katonda.
5 Amakubo ge makakanyavu ennaku zonna; Emisango gyo giri waggulu nnyo gy'atayinza kugirabira: Abalabe be bonna abasooza.
6 Ayogera mu mutima gwe nti Sirisagaasagana: Okutuusa emirembe gyonna siriraba nnaku.
7 Akamwa ke kajjudde okukolima n'okulimba n'okujooga: Wansi w'olulimi lwe waliwo ettima n'obutali butuukirivu:
8 Atuula mu mateegero ag'ebyalo: Mu bwekweko atta abatalina misango: Amaaso ge agatunuuliza ku munafu mu kyama.
9 Yeekweka mu tteegero ng'empologoma mu mpuku yaayo: Yeekisa okukwata omwavu: Akwatira ddala omwavu, ng'amuwalulira mu kyambika kye.
10 Akutama, akootakoota, Abasajja be ab'amaanyi ne basuula abanafu.
11 Ayogera mu mutima gwe nti Katonda yeerabidde: Akweka amaaso ge; tagenda kukiraba.
12 Golokoka, ai Mukama; ai Katonda oyimuse omukono gwo: Teweerabira mwavu.
13 Lwaki omubi okunyoomanga Katonda, N'okwogera mu mutima gwe nti Tolivunaana?
14 Walaba; kubanga otunuulira ettima n'obukyayi, okussaako omukono gwo: Omunafu yeewaayo gy'oli; Wabanga omubeezi w'abo abataliiko kitaabwe.
15 Menya omukono gw'omubi; Omuntu omubi onoonyeze ddala obubi bwe okutuusa obutabusangamu.
16 Mukama ye kabaka emirembe n'emirembe: Amawanga gazikiridde mu nsi ye.
17 Mukama, wawulira abawombeefu kye bayagala: Onooteekateekanga omutima gwabwe, onoowulizanga okutu kwo:
18 Okusalira omusango abataliiko kitaabwe n'abajoogebwa. Omuntu, ye w'omu nsi, aleke okubeera n'entiisa.

">


Essuula 11

1 Mukama gwe nneesiga: Mugamba mutya emmeeme yange nti Ddukira ku lusozi lwammwe ng'ennyonyi?
2 Kubanga, laba, ababi batega omutego, Bateekateeka akasaale ku lugoye, Balasize mu nzikiza abalina omutima ogw'amazima.
3 Oba nga emisingi girizikirizibwa, Kiki omutuukirivu ky'ayinza okukola?
4 Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu, Mukama, entebe ye eri mu ggulu; Amaaso ge galaba abaana b'abantu, ebikowe bye bibakema.
5 Mukama akema abatuukirivu: Naye omubi n'oyo ayagala eby'amaanyi emmeeme ye ebakyawa.
6 Ku babi anaatonnyesanga ebyambika; Omuliro n'ekibiriiti n'empewo ezookya binaabeeranga omugabo ogw'ekikompe kyabwe.
7 Kubanga Mukama mutuukirivu; ayagala eby'obutuukirivu: Abalina omwoyo ogw'amazima baliraba amaaso ge.

">


Essuula 12

1 Yamba, Mukama; kubanga atya Katonda aggwaawo; Kubanga abakkiriza bakendeera mu baana b'abantu.
2 Boogera ebitaliimu buli muntu ne munne: Boogera n'emimwa eginyumiriza n'emitima ebiri:
3 Mukama alimalawo emimwa gyonna eginyumiriza, N'olulimi olwogera ebikulu:
4 Aboogedde nti N'olulimi lwaffe tuliwangula; Emimwa gyaffe gye gyaffe: atufuga ye ani?
5 Olw'okunyagibwa kw'abaavu, olw'okusinda kw'abanafu, Kaakano naagolokoka, Mukama bw'ayogera; Naamuteeka mu mirembe gwe basooza.
6 Ebigambo bya Mukama bye bigambo ebirongoofu; Nga ffeeza egezebwa mu kyoto ku nsi, Erongoosebwa emirundi omusanvu.
7 Onoobakuumanga, ai Mukama, Onoobawonyanga mu mirembe gino ennaku zonna.
8 Ababi batambula ku njuyi zonna, Obugwagwa bwe bugulumizibwanga mu baana b'abantu.

">


Essuula 13

1 Olituusa wa, ai Mukama, okunneerabiranga emirembe gyonna? Olituusa wa okunkisanga amaaso go?
2 Ndituusa wa okuteesanga mu mmeeme yange, Nga ndaba ennaku mu mutima gwange obudde okuziba? Alituusa wa omulabe wange okugulumizibwanga ku nze?
3 Lowooza onziremu, ai Mukama Katonda wange: Yakira amaaso gange, nneme okwebaka okufa;
4 Omulabe wange alemenga okwogera nti Mmuwangudde: Abankyawa balemenga okujaguza nga nsagaasagana.
5 Naye nneesize okusaasira kwo; Omutima gwange gunaasanyukiranga obulokozi bwo:
6 Naayimbiranga Mukama, Kubanga ankoledde obulungi obungi.

">


Essuula 14

1 Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti Siwali Katonda. Bavunze, bakoze ebikolwa eby'obugwagwa; Siwali akola obulungi.
2 Mukama yatunuulira ng'ayima mu ggulu abaana b'abantu, Okulaba nga waliwo abaategeera, Abaanoonya Katonda.
3 Bonna bakyamye; boonoonese empitambi wamu; Siwali akola obulungi, newakubadde n'omu.
4 Bonna abakola obutali butuukirivu tebalina magezi? Abalya abantu bange nga bwe balya emmere, So tebakoowoola Mukama.
5 Eri baalina obuti bungi : Kubanga Katonda ali mu mirembe gy'abatuukirivu.
6 Mukwasa ensonyi okuteesa kw'omwavu, Kubanga Mukama kye kiddukiro kye:
7 Singa obulokozi bwa Isiraeri buvudde mu Sayuuni! Mukama bw'alizzaayo obusibe obw'abantu be, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.

">


Essuula 15

1 Mukama, anaatuulanga mu weema yo ye ani? Anaabeeranga ku lusozi lwo olutukuvu ye ani?
2 Oyo atambulira mu bugolokofu, era akola obutuukirivu, Era ayogera eby'amazima mu mutima gwe.
3 Atawaayiriza n'olulimi lwe, So mukwano gwe tamukola bubi, So takkiriza kibi ku muliraanwa we.
4 Amaaso ge ganyooma omubi; Naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa. Bw'alayira ne bw'afiirwa takyuka.
5 Atawolera bintu bye magoba. So taweebwa mpeera ku atalina musango. Oyo akola ebyo taasagaasaganenga emirembe gyonna.

">


Essuula 16

1 Onkuume, ai Katonda: kubanga nkwesiga ggwe.
2 ŋŋambye Mukama nti Ggwe oli Mukama wange: Sirina bulungi bwonna awatali ggwe.
3 Abatukuvu abali mu nsi, Abo be basinga obulungi, be nsanyukira essanyu lyange lyonna.
4 Okunakuwala kwabwe kunaayongerwangako abo abawaanyisa Mukama olwa katonda Omulala: Esaddaaka zaabwe ez'okunywa ez'omusaayi ssiiziwengayo. So ssiitwalenga mannya gaabwe mu mimwa gyange.
5 Mukama gwe mugabo ogw'obusika bwange n'ogw'ekikompe kyange: Gwe okuuma ebyange.
6 Emigwa ginguddeko mu bifo ebirungi; Mazima nnina obusika obulungi.
7 Neebazanga Mukama, anteeserezza ebigambo: Mazima, emmeeme yange enjigiriza mu biseera eby'ekiro.
8 Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.
9 Omutima gwange kyeguva gusanyuka n'ekitiibwa kyange kijaguza: Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu mirembe.
10 Kubanga tolireka mmeeme yange mu magombe; So toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda.
11 Onondaganga ekkubo ery'obulamu: Gy'oli waliwo essanyu erituukirira; Mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe n'emirembe.

">


Essuula 17

1 Wulira ensonga ey'obutuukirivu, ai Mukama, lowooza okukaaba kwange; Tega okutu owulire okusaba kwange, okutava mu mimwa egy'obukuusa.
2 Omusango gwange guve w'oli; Amaaso go gatunuulire obutuukirivu.
3 Wagezaako omutima gwange; wajja gye ndi ekiro; Wankema, n'otolaba kigambo; Mmaliridde akamwa kange obutayonoonanga.
4 Mu bikolwa by'abantu, olw'ekigambo eky'emimwa gyo Neekuumanga mu makubo ag'abantu abalina ekyejo
5 Olugendo lwange lwanywera mu makubo go, Ebigere byange tebiseereranga.
6 Nkukoowodde, kubanga ggwe ononziramu, ai Katonda: Ontegere okutu kwo, ompulire bye njogera.
7 Laga ekisa kyo eky'ekitalo, ggwe alokola abakwesiga, Mu abo ababagolokokerako, n'omukono gwo ogwa ddyo.
8 Onkuume ng'emmunye ey'eriiso, Onkise mu kisiikirize eky'ebiwawaatiro byo,
9 Mu babi abannyaga, Mu balabe bange abaagala okunzita, abanzingiza.
10 Babikkiddwa amasavu gaabwe: N'akamwa kaabwe boogera eby'amalala.
11 Kaakano batuzingizizza mu bigere byaffe: Bakaliriza amaaso gaabwe okutusuula wansi.
12 Afaanana ng'empologoma eyaayaanira omuyiggo gwayo, Era ng'omwana gw'empologoma ogw'ekisa we guteegera.
13 Golokoka, ai Mukama, Omuyimirire mu maaso, omumegge wansi: Omponye emmeeme yange eri omubi n'ekitala kyo;
14 Eri abantu n'omukono gwo, ai Mukama, Eri abantu ab'ensi, abalina omugabo gwabwe mu bulamu buno, N'olubuto lwabwe olujjuza obugagga bwo: Banyiye abaana, N'ebintu byabwe ebisigalawo babirekera abaana baabwe.
15 Nze amaaso go ndigalaba mu butuukirivu: Ndimatira bwe ndizuukuka n'ekifaananyi kyo.

">


Essuula 18

1 Nkwagala ggwe, ai Mukama, amaanyi gange.
2 Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga; Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu.
3 Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa: Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange.
4 Emigwa egy'okufa gyansiba, N'ebitaba eby'obutatya Katonda byantiisa.
5 Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Emitego egy'olumbe gyankwasa.
6 Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge.
7 Ensi n'eryoka ekankana n'esagaasagana, Era n'emisingi gy'ensozi ne gikankana ne ginyeenyezebwa, Kubanga asunguwadde.
8 Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze, N'omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya: Ne gukoleeza amanda.
9 Era n'eggulu n'alikutamya, n'akka; N'ekizikiza ekinene ne kiba wansi w'ebigere bye.
10 Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Era n'abuuka mangu ku biwaawaatiro eby'empewo.
11 Ekizikiza n'akifuula eky'okwekwekamu, eweema ye emwetoolodde; Ekizikiza eky'amazzi, ebire ebikutte eby'omu ggulu.
12 Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ebire bye ebikutte ne biyita, Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
13 Era Mukama n'abwatuka mu ggulu N'oyo ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye; Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro.
14 N'alasa obusaale bwe n'abasaasaanya; N'alasa enjota nnyingi n'abeeraliikiriza.
15 Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi ne gyeruka, Mu kunenya kwo, ai Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo,
16 Yatuma okuva waggulu, n'antwala; N'ampalula mu mazzi amangi.
17 Yamponya eri mulabe wange ow'amaanyi, N'eri abo abankyawa, kubanga bansinza amaanyi nze.
18 Banjijira ku lunaku olw'akabi kange: Naye Mukama ye yannyweza.
19 Era n'anfulumya mu kifo ekigazi; Yamponya, kubanga yansanyukira.
20 Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde.
21 Kubanga nakwata amakubo ga Mukama, Ne ssireka Katonda wange n'obubi.
22 Kubanga emisango gye gyonna gyali mu maaso gange, So amateeka ge saagaggyaawo gye ndi.
23 Era nali eyatuukirira gy'ali. Ne nneekuuma mu bubi bwange.
24 Mukama kyavudde ansasula, ng'obutuukirivu bwange bwe buli, Emikono gyange nga bwe giri emirungi mu maaso ge.
25 Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira;
26 Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu; N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza.
27 Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa; Naye amaaso ag'amalala onoogatoowazanga.
28 Kubanga ggwe olikoleeza ettabaaza yange. Mukama Katonda wange alimulisa mu kizikiza kyange.
29 Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina; Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo.
30 Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kyakettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga.
31 Kubanga ani Katonda, wabula Mukama? Era ani olwazi, wabula Katonda waffe?
32 Katonda ansibya amaanyi, Era atuukiriza ekkubo lyange.
33 Afuula ebigere byange ng'eby'empeewo: Era angulumiza mu bifo byange ebya waggulu.
34 Anjigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo.
35 Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, N'obuwombeefu bwo bungulumizizza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange, N'ebisinziiro byange tebiseereranga.
37 Ndigoberera abalabe bange, ne mbatuukako: So ssirikomawo nga tebannazikirizibwa.
38 Ndibafumitira ddala ne batayinza kuyimuka: Baligwa wansi w'ebigere byange.
39 Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Obafukamizza mu maaso gange abannyimukirako.
40 Era abalabe bange obakyusizza amabega gaabwe gye ndi, Ndyoke nzikirize abankyawa.
41 Baakoowoola, naye tewaali mulokozi: Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu.
42 Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbasuula ng'ebitosi eby'omu nguudo.
43 Omponyezza mu kuyomba kw'abantu; Onfudde omutwe gw'amawanga; Abantu be ssaamanyanga balimpeereza.
44 Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera: Bannaggwanga balinjeemulukukira.
45 Bannaggwanga baliggwaawo, Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana.
46 Mukama mulamu; olwazi lwange atenderezebwe; Era agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange :
47 Ye Katonda ampalanira eggwanga Era awangula amawanga ngafuge.
48 Amponya eri abalabe bange: Weewaawo, ongulumiza ku abo abannyimukirako: Ondokola eri omuntu ow'ekyejo
49 Kyennaavanga nkwebaza ggwe, ai Mukama, mu mawanga, Naayimbanga okutendereza erinnya lyo.
50 Obulokozi bukulu bw'awa kabaka we; Era amukolera eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe.

">


Essuula 19

1 Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: N'ebbanga libuulira emirimu gy'emikono gye.
2 Omusana gugamba ebigambo omusana, N'ekiro kiraga amagezi ekiro.
3 Siwali bigambo newakubadde olulimi; Eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y'ensi. Abiteekeddemu enjuba eweema,
5 Eri ng'awasa omugole ng'ava mu nju ye, Era esanyuka ng'ow'amaanyi okuyita mu lugendo lwayo.
6 Evaayo ku nkomerero y'eggulu, Ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo: So tewali kintu ekikwekebwa mu kwokya kwayo.
7 Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: Okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi.
8 Okuyigiriza kwa Mukama kwabutuukirivu, okusanyusa omutima: Ekiragiro kya Mukama kirongoofu, ekyakira amaaso.
9 Entiisa ya Mukama nnungi, ya lubeerera emirembe gyonna: Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala:
10 Bisaanira okubiyaayaanira okusinga ezaabu, era n'ezaabu ennyingi ennungi: Biwoomerera okusinga omubisi gw'enjuki n'ebisenge byagwo.
11 Era ebyo bye birabula omuddu wo: Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.
12 Ani ayinza okukebera ebyonoono bye? Onnongoose mu bibi ebikisibwa.
13 Era ne mu by'amalala oziyize omuddu wo; Bireme okumpangula: bwe ntyo bwe nnaabanga eyatuukirira, So omusango ogw'okwonoona okunene tegulinsinga.
14 Ebigambo eby'omu kamwa kange n'okulowooza okw'omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.

">


Essuula 20

1 Mukama akuddemu ku lunaku olw'okunakuwala; Erinnya lya Katonda wa Yakobo likugulumizenga waggulu;
2 Akuweerezenga okubeerwa mu kifo ekitukuvu, Akuwenga amaanyi agava mu Sayuuni;
3 Ajjukirenga bye wawaayo byonna, Akkirizenga ssaddaaka yo enjokye; (Seera)
4 Akuweenga omutima gwo kye gwagala, Atuukirizenga okuteesa kwo kwonna.
5 Tunaawangulanga mu bulokozi bwo, Ne mu linnya lya Katonda waffe tunaawanikanga ebendera zaffe: Mukama atuukirizenga by'osaba byonna.
6 Kaakano mmanyi nga Mukama alokola oyo gwe yasiiga amafuta; Alimuddamu ng'ayima mu ggulu lye ettukuvu N'obulokozi obuwonya obw'omukono gwe ogwa ddyo.
7 Abalala beesiga amagaali, n'abalala beesiga embalaasi: Naye ffe tunaayogeranga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8 Bakutamye bo ne bagwa: Naye ffe tugolokose, ne tuyimirira.
9 Lokola, Mukama: Kabaka atuddemu bwe tukoowoola.

">


Essuula 21

1 Kabaka anaasanyukiranga amaanyi go, ai Mukama; N'obulokozi bwo ng'anaabujagulizanga nnyo!
2 Omuwadde omutima gwe kye gwagala, So tomummye emimwa gye kye gisabye. (Seera)
3 Kubanga omusisinkanye n'eby'omukisa eby'obulungi: Omuteekako ku mutwe gwe engule ey'ezaabu ennungi.
4 Yakusaba obulamu, n'obumuwa; Era n'ennaku ennyingi ez'emirembe n'emirembe.
5 Ekitiibwa kye kingi mu bulokozi bwo: Ekitiibwa n'obukulu obimussaako.
6 Kubanga omuteekawo okuba omukisa omungi emirembe gyonna: Omusanyusa essanyu mu maaso go.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama, N'olw'ekisa ky'oyo ali waggulu ennyo taasagaasaganenga.
8 Omukono gwo gulituuka ku balabe bo bonna: Omukono gwo ogwa ddyo gulituuka ku abo abakukyawa.
9 Olibafaananya ng'ekikoomi ekyaka mu biro eby'obusungu bwo. Mukama alibamira mu kiruyi kye, N'omuliro gulibalya.
10 Ebibala byabwe olibizikiriza ku nsi, N'ezzadde lyabwe mu baana b'abantu.
11 Kubanga baakuteeseza obubi: Baasala olukwe, lwe bataayinza kukola.
12 Kubanga olibazza ennyuma, Oliteekateeka engoye zo ez'omutego ku maaso gaabwe.
13 Ogulumizibwenga, ai Mukama, mu maanyi go: Tulyoke tuyimbenga tutenderezenga obuyinza bwo.

">


Essuula 22

1 Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundesezza? Lwaki okubeera ewala obutanzibira, obutawulira bigambo eby'okukaaba kwange?
2 Ai Katonda wange, nkoowoola emisana, naawe n'otoddamu; Era n'ekiro, so ssisirika.
3 Naye ggwe oli mutukuvu, Ggwe atuula mu matendo ga Isiraeri.
4 Bajjajja baffe baakwesiganga ggwe: Beesiganga, naawe n'obawonya.
5 Baakukoowoolanga ggwe, ne bawonyezebwanga: Baakwesiganga ggwe, ne batakwasibwanga nsonyi.
6 Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, so ssiri muntu; Abasajja gwe bavuma, n'abantu gwe banyooma.
7 Bonna abandaba bansekerera ne banduulira: Bansooza n'emimwa gyabwe, banyeenya omutwe, nga boogera nti
8 Yeeweeyo eri Mukama; ye amulokole: Amuwonye, kubanga amusanyukira.
9 Naye ggwe wanziya mu lubuto lwa mmange: Ggwe wanneesiza bwe nnali nga nkyali ku mabeere ga mmange.
10 Neeyuna ggwe okuva mu kuzaalibwa kwange: Ggwe oli Katonda wange okuva mu lubuto lwa mmange.
11 Tombeera wala; kubanga akabi kali kumpi; Kubanga tewali anannyamba.
12 Zisseddume nnyingi zinneetoolodde: Zisseddume ez'amaanyi ez'e Basani zinzingizizza.
13 Banjasamidde akamwa kaabwe, Ng'empologoma etaagulataagula ewuluguma.
14 Nfukibwa ng'amazzi, N'amagumba gange gonna gasowose. Omutima gwange guli ng'obubaane; Gusaanuuse wakati mu byenda byange.
15 Amaanyi gange gakaliridde ng'olugyo; N'olulimi lwange lwegatta n'emba zange; Era ondeese mu nfuufu ey'okufa.
16 Kubanga embwa zinneetoolodde: Ekibiina ky'abo abakola obubi bantaayizizza; Bampummudde engalo zange n'ebigere byange.
17 Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso:
18 Bagabana ebyambalo byange, Ne bakuba akalulu ku lugoye lwange:
19 Naye tobeera wala, ai Mukama: Ai ggwe annyamba, yanguya okunzibira.
20 Wonya emmeeme yange eri ekitala; Ne kaganzi kange eri amaanyi g'embwa:
21 Ondokole mu kamwa k'empologama; Era ne mu mayembe g'embogo wanziramu.
22 Naabuuliranga erinnya lyo eri baganda bange: Wakati mu kibiina naakutenderezanga.
23 Mmwe abatya Mukama, mumutenderezenga; Mmwe mwenna ezzadde lya Yakobo, mumugulumizenga; Mumutyenga mmwe mwenna ezzadde lya Isiraeri.
24 Kubanga teyanyooma so teyakyawa nnaku z'oyo anakuwala; So teyamukisa amaaso ge; Naye bwe yamukoowoola, n'awulira.
25 Mu ggwe mwe muva ettendo lyange mu kibiina ekinene: Ndisasula obweyamo bwange mu maaso g'abo abamutya.
26 Abawombeefu balirya ne bakkuta: Balitendereza Mukama abamunoonya: Omutima gwammwe gubeerenga mulamu emirembe gyonna.
27 Enkomerero zonna ez'ensi zirijjukira ne zikyukira Mukama: N'ebika byonna eby'amawanga birisinza mu maaso go.
28 Kubanga obwakabaka bwa Mukama: Naye ye afuga amawanga.
29 Abagevvu bonna ab'ensi balirya ne basinza: N'abo abakka mu nfuufu balimufukaamirira, Ye atayinza kuwonya mmeeme ye okufa.
30 Ezzadde lirimuweereza; Kiribuulirwa ku Mukama okutuusa ku mirembe egigenda okujja.
31 Balijja ne babuulira obutuukirivu bwe Eri abantu abalizaalibwa, nga ye abukola:

">


Essuula 23

1 Mukama ye musumba wange; seetaagenga:
2 Angalamiza mu ddundiro ery'omuddo omuto: Antwala ku mabbali ag'amazzi amateefu.
3 Akomyawo emmeeme yange: Annuŋŋamya mu makubo ag'obutuukirivu ku lw'erinnya lye.
4 Era newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky'ekisiikirize eky'olumbe, Siritya kabi konna; kubanga ggwe oli nange: Oluga lwo n'omuggo gwo bye binsanyusa.
5 Onteekerateekera emmeeza mu maaso g'abalabe bange: Onsiize amafuta ku mutwe; ekikompe kyange kiyiwa.
6 Obulungi n'ekisa tebiiremenga kugenda nange ennaku zonna ez'obulamu bwange: Nange naatuulanga mu nnyumba ya Mukama okutuusa ku nnaku nnyingi.

">


Essuula 24

1 Ensi ya Mukama, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu.
2 Kubanga yagisimba ku nnyanja, Yaginyweza ku mazzi amangi.
3 Ani alirinnya ku lusozi lwa Mukama? Era ani aliyiminira mu kifo kye ekitukuvu?
4 Oyo alina emikono emirungi, n'omutima omulongoofu; Atayimusanga mmeeme ye eri ebitaliimu, So teyalayiriranga bwereere.
5 Oyo anaaweebwanga Mukama omukisa, Era n'obutuukirivu anaabuweebwanga Katonda ow'obulokozi bwe.
6 Egyo gye mirembe gy'abo abamunoonya, Abanoonya amaaso go, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
7 Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Nammwe muyimuke, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
8 Kabaka ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'amaanyi ow'obuyinza Mukama ow'obuyinza mu kulwana.
9 Muyimuse emitwe gyammwe, mmwe enzigi; Kale, mugiyimuse, mmwe bawankaaki abataggwaawo: Ne Kabaka ow'ekitiibwa anaayingira.
10 Kabaka oyo ow'ekitiibwa ye ani? Mukama ow'eggye, Oyo ye Kabaka ow'ekitiibwa. (Seera)

">


Essuula 25

1 Gy'oli, ai Mukama, nnyimusiza emmeeme yange.
2 Ai Katonda wange, naakwesiganga ggwe, Toŋŋanya kukwatibwa nsonyi; Abalabe bange tobaganya kumpangula.
3 Era siwali akulindirira anaakwatibwanga ensonyi: Abo banaakwatibwanga ensonyi abasala enkwe ez'obwereere.
4 Ondage amakubo go, ai Mukama; Onjigirize empenda zo.
5 Onnuŋŋamye mu mazima go, onjigirize; Kubanga ggwe oli Katonda ow'obulokozi bwange; Ggwe gwe nnindirira obudde okuziba.
6 Jjukira, ai Mukama, okusaasira kwo okulungi n'ekisa kyo; Kubanga byaliwo edda n'edda lyonna.
7 Tojjukira bibi bya buvubuka bwange, newakubadde ebyonoono byange: Onjijukire ng'ekisa kyo bwe kiri, Olw'obulungi bwo, ai Mukama.
8 Mukama ye mulungi era wa mazima: Kyanaavanga ayigiriza ekkubo abalina ebibi.
9 Abawombeefu anaabaluŋŋamyanga mu musango: Era abawombeefu anaabayigirizanga ekkubo lye.
10 Amakubo gonna aga Mukama kye kisa n'amazima Eri abo abeekuuma endagaano ye n'okutegeeza kwe:
11 Olw'erinnya lyo, ai Mukama, Onsonyiwe obubi bwange, kubanga bunene.
12 Omuntu atya Mukama aluwa? Oyo gw'anaayigirizanga mu kkubo ly'anaasiimanga.
13 Emmeeme ye eneetuulanga mu mirembe; N'ezzadde lye linaasikiranga ensi.
14 Ekyama kya Mukama kiri mu abo abamutya; Era anaabalaganga endagaano ye.
15 Amaaso gange gatunuulira Mukama ennaku zonna; Kubanga ye anaggyanga ebigere byange mu kyambika.
16 Onkyukire, onsaasire; Kubanga ndekeddwa omu ne mbonaabona.
17 Ennaku ez'omutima gwange zeeyongedde: Kale onziye mu bibonoobono byange.
18 Lowooza ennaku zange n'okutegana kwange; Era onsonyiwe ebibi byange byonna.
19 Lowooza abalabe bange, kubanga bangi; Era bankyawa obukyayi obukambwe.
20 Kale onkuumenga emmeeme yange, omponyenga: Toŋŋanyanga kukwatibwa nsonyi, kubanga nkwesiga ggwe.
21 Obutuukirivu n'amazima binkuumenga, Kubanga nnindirira ggwe.
22 Nunula Isiraeri, ai Katonda, Mu bibonoobono bye byonna.

">


Essuula 26

1 Onsalire omusango, ai Mukama, kubanga natambuliranga mu butuukirivu bwange: Era neesiganga Mukama obutabuusabuusa.
2 Onkebere, ai Mukama, onkeme; Ongezeeko emmeeme yange n'omutima gwange.
3 Kubanga ekisa kyo kiri mu maaso gange; Era natambuliranga mu mazima go.
4 Saatuulanga wamu na bantu abataliimu; So ssiiyingirenga wamu na bakuusakuusa.
5 Ekibiina ky'abo abakola obubi nkikyawa, So siituulenga wamu na babi.
6 Naanaabanga mu ngalo zange mu butayonoona; Bwe nneetooloolanga bwe ntyo ekyoto kyo, ai Mukama:
7 Ndyoke mpulirizenga eddoboozi ery'okwebaza, Njogerenga ku bikolwa byo byonna eby'ekitalo:
8 Mukama, njagala ekisulo eky'omu nnyumba yo, N'ekifo ekitiibwa kyo kye kituulamu,
9 Tonoga mmeeme yange wamu n'abalina ebibi, Newakubadde obulamu bwange wamu n'abantu ab'omu nsi:
10 Emikono gyabwe girimu ettima, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gujjudde enguzi.
11 Naye nze naatambuliranga mu butuukirivu bwange: Onnunule, era onsaasire.
12 Ekigere kyange kiyimiridde mu kifo ekitereevu: Mu bibiina neebazanga Mukama.

">


Essuula 27

1 Mukama gwe musana gwange n'obulokozi bwange; gwe nnaatyanga ye ani? Mukama ge maanyi ag'obulamu bwange; anankankanyanga ye ani?
2 Abakola obubi bwe bannumba okulya omubiri gwange, Be balabe bange era abankyawa, ne beesittala ne bagwa.
3 Newakubadde ng'eggye lisiisidde okunnwanyisa, Omutima gwange teguutyenga: Newakubadde ng'entalo zimbaddeko, Era ne mu ezo naagumanga omwoyo.
4 Ekigambo kimu nkisabye Mukama, kye nnaanoonyanga; Okutuulanga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez'obulamu bwange, Okutunuuliranga obulungi bwa Mukama, n'okubuuzanga mu yeekaalu ye.
5 Kubanga ku lunaku olw'okunakuwala alinkuuma mu kyama mu nnyumba ye: Awakwekerwa mu weema ye we alinkisiza; Alinnyimusa ku lwazi.
6 Ne kaakano omutwe gwange gunaayimusibwa ku balabe bange abanneetoolodde; Era naawaayo mu weema ye ssaddaaka ez'okusanyuka; Naayimbanga, weewaawo, naayimba okutendereza Mukama.
7 Wulira, ai Mukama, bwe nkaaba n'eddoboozi lyange: Era onsaasire, onziremu.
8 Bwe wagamba nti Munoonye amaaso gange; omutima gwange gwakugamba nti Amaaso go, Mukama, naaganoonyanga.
9 Tonkisa amaaso go; Togoba muddu wo mu busungu: Ggwe wabeeranga omubeezi wange; Tonsuula, so tondeka, ai Katonda ow'obulokozi bwange.
10 Kubanga kitange ne mmange bandese, Naye Mukama ananjijanjabanga.
11 Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; Era onnuŋŋamyenga mu luwenda olulabika, Olw'abalabe bange.
12 Tompaayo eri abalabe bange okunkola bye baagala: Kubanga abawaayiriza bangolokokeddeko, n'abo abassa omukka ogw'obukambwe.
13 Nandizirise, singa sakkiriza okulaba obulungi bwa Mukama mu nsi ey'abalamu.
14 Lindirira Mukama: Ddamu amaanyi, ogume omwoyo gwo; Weewaawo, lindirira Mukama.

">


Essuula 28

1 Ggwe, ai Mukama, naakukoowoolanga; Olwazi lwange, togaana kumpulira: Nneme okuba ng'abo abakka mu bunnya, Oba nga ononsiriikirira.
2 Wulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange, bwe nkukaabirira, Bwe nnyimusa emikono gyange eri ekifo ekitukuvu ky'oyogereramu.
3 Tompalulira wamu n'ababi, N'abo abakola obutali butuukirivu; Aboogera eby'emirembe ne bannaabwe, Naye ettima nga liri mu mitima gyabwe.
4 Obawe ng'emirimu gyabwe bwe giri era ng'obubi obw'ebikolwa byabwe: Obawe ng'emikono gyabwe bwe gikola; Obasasule bye basaanidde.
5 Kubanga tebalowooza mirimu gya Mukama, Newakubadde emikono gye bye gikola, Alibamenyaamenya so talibazimba.
6 Atenderezebwe Mukama, Kubanga awulidde eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
7 Mukama ge maanyi gange era ye ngabo yange; Omutima gwange gwamwesiganga oyo, ne mbeerwa: Omutima gwange kyeguva gusanyuka ennyo; Era naamutenderezanga n'oluyimba lwange.
8 Mukama ge maanyi gaabwe, Era kye kiddukiro eky'obulokozi eri oyo gwe yasiiga amafuta.
9 Lokola abantu bo, owenga omukisa ab'obusika bwo: Obaliisenga, obawanirirenga emirembe gyonna.

">


Essuula 29

1 Mumuwe Mukama, mmwe abaana b'abazira, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
2 Mumuwe Mukama ekitiibwa erinnya lye kye lisaanira; Mumusinze Mukama mu butuukirivu obuwooma.
3 Eddoboozi lya Mukama liri ku mazzi: Katonda ow'ekitiibwa abatuka, Ye Mukama, ku mazzi amangi.
4 Eddoboozi lya Mukama lya maanyi; Eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Weewaawo, Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 Era agizinyisa ng'ennyana; Lebanooni ne Siriyoni ng'ennyana y'embogo,
7 Eddoboozi lya Mukama lyawula ennimi ez'omuliro.
8 Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 Eddoboozi lya Mukama lizaaza empeewo, Era likunkumulira ddala amabira, Era mu yeekaalu ye buli kintu kyogera nti Ekitiibwa.
10 Mukama yatuula nga kabaka ku Mataba; Weewaawo, Mukama atuula nga kabaka emirembe gyonna.
11 Mukama aliwa amaanyi abantu be; Mukama omukisa gw'aliwa abantu be gye mirembe.

">


Essuula 30

1 Naakugulumizanga, ai Mukama; kubanga onnyimusizza, N'otobampanguza abalabe bange.
2 Ai Mukama Katonda wange, Naakukoowoola, naawe n'omponya.
3 Ai Mukama, walinnyisa emmeeme yange okuva mu magombe: Omponyezza okufa, nneme okukka mu bunnya.
4 Mumuyimbirenga Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be, N'erinnya lye ettukuvu mulyebazenga.
5 Kubanga obusungu bwe buyita mangu; Mu kisa kye mwe muli obulamu: Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, Naye essanyu lijja obudde nga bukedde.
6 Nze bwe nnaweebwa omukisa, ne njogera nti Sirisagaasagana emirembe gyonna.
7 Ggwe, Mukama, mu kisa kyo wali onywezezza olusozi lwange: N'okisa amaaso go; ne nneeraliikirira.
8 Ne nkukoowoola ggwe, ai Mukama; Era Mukama ne mwegayirira;
9 Omusaayi gwange guligasa gutya, bwe ndikka mu bunnya? Enfuufu eneekutenderezanga? eneebuuliranga amazima go?
10 Wulira, ai Mukama, onsaasire: Mukama, ggwe beera omubeezi wange.
11 Onfuulidde okunakuwala kwange okuzina; Onziyeeko ebibukutu byange, onnyambazizza essanyu:
12 Ekitiibwa kyange kiryoke kikuyimbirenga okukutendereza, so kiremenga okusirika. Ai Mukama Katonda wange, naakwebazanga emirembe gyonna.

">


Essuula 31

1 Ai Mukama, nkwesiga ggwe; nneme okuswazibwanga emirembe gyonna: Ondokole mu butuukirivu bwo.
2 Ontegere okutu kwo; yanguya okundokola: Obeerenga gye ndi olwazi olw'amaanyi, ennyumba enkomere okumponya,
3 Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange; Kale ku lw'erinnya lyo onkulembere onnuŋŋamye.
4 Onziye mu kyambika kye banteze enkiso; Kubanga ggwe oli bbugwe wange.
5 Mpaayo omwoyo gwange mu mukono gwo: Ggwe wannunula, ai Mukama, ggwe Katonda ow'amazima.
6 Nkyawa abo abalowooza ebigambo eby'obulimba ebitaliimu: Naye neesiga Mukama.
7 Naasanyukanga, naajaguzanga olw'okusaasira kwo: Kubanga walaba ebibonoobono byange; Wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku:
8 So tewanziyiza kukwatibwa mukono ogw'omulabe; Ebigere byange wabissa mu kifo ekigazi.
9 Onsaasire, ai Mukama, kubanga zinsanze: Eriiso lyange liweddemu olw'okunakuwala weewaawo, emmeeme yange n'omubiri gwange.
10 Kubanga obulamu bwange buyita n'okutegana, n'emyaka gyange giyita n'okusinda. Amaanyi gange gampweddemu olw'okwonoona kwange, n’amagumba gange gakozze.
11 Ku lw'abalabe bange bonna nfuuse ekivume, Weewaawo, eri abaliraanwa bange ennyo, era nfuuse entiisa eri mikwano gyange: Abandaba mu kkubo ne banziruka.
12 Nneerabiddwa ng'omufu atalowoozebwa: Nfaanana ng'ekibya ekyatise.
13 Kubanga nawulira okuwaayiriza kw'abangi, Ensisi yanneetooloola: Bwe baali bateesa ebigambo awamu ku nze, Ne basala amagezi okunziyako obulamu bwange.
14 Naye nakwesiga ggwe, ai Mukama: Nayogera nti Ggwe Katonda wange.
15 Entuuko zange ziri mu mukono gwo: Ondokole mu mukono gw'abalabe bange n'abo abanjigganya.
16 Amaaso go gaakire omuddu wo: Ondokole mu kisa kyo.
17 Nnemenga okukwatibwa ensonyi, ai Mukama; kubanga nkukoowodde ggwe: Ababi bakwatibwenga era basirikenga mu magombe.
18 Emimwa egy'obulimba gisiruwalenga; Egyogera ku batuukirivu n'ekyejo, N'amalala n'okunyooma.
19 Obulungi bwo nga bungi bwe waterekera abo abakutya, Bwe wakolera abakwesiga, mu maaso g'abaana b'abantu!
20 Gy'oli awakwekebwa w'onoobakisanga enkwe z'abantu: Onoobakuumiranga mu weema mu kyama eri ennimi eziyomba.
21 Atenderezebwenga Mukama: Kubanga andaze ekisa kye eky'ekitalo mu kibuga ekiriko ekigo.
22 Nze nayogera nga nnyanguyiriza nti Nzikiridde mu maaso go: Naye wawulira eddoboozi ery'okwegayirira kwange bwe nnakukoowoola.
23 Kale mumwagalenga Mukama, mwenna abatukuvu be: Mukama awonya abeesigwa, Era asasulira ddala mu bungi akola eby'amalala.
24 Muddengamu amaanyi, mugumenga omwoyo gwammwe, Mwenna abasuubira mu Mukama.

">


Essuula 32

1 Aweereddwa omukisa asonyiyiddwa ekyonoono kye n'ekibi kye kikwekeddwa.
2 Aweereddwa omukisa Mukama gw'atabalira butali butuukirivu. Ne mu mwoyo gwe temuli bukuusa.
3 Bwe nnasirikanga, amagumba gange gaakaddiwanga, Olw'okukaaba kwange obudde okuziba.
4 Kubanga emisana n'ekiro omukono gwo gwanzitoowereranga: Amazzi gange ne gakaliranga ng'olw'omusana ogw'ekyeya.(Seera)
5 Ne nkwatulira ekibi kyange, n'obutali butuukirivu bwange ne ssibukweka: Nayogera nti Mukama naamwatulira ebyonoono byange; Naawe n'onsonyiwa obutali butuukirivu obw'ekibi kyange. (Seera)
6 Ku lw'ekyo buli atya Katonda akusabenga mu biro by'oyinza okulabikiramu: Mazima mu ntaba ez'amazzi amangi tebalituuka gy'ali.
7 Oli bwekweko bwange; ononkuumanga mu kulaba ennaku; Ononneetooloozanga ennyimba ez'obulokozi. (Seera)
8 Naakuyigirizanga naakulanganga mu kkubo ly'onooyitangamu: Naakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.
9 Temuba nga mbalaasi, n'ennyumbu, ezitalina magezi: Ezigwanira okusibibwa ekyuma n'olukoba okuziziyiza, Awatali ebyo, tezirijja gy'oli.
10 Ababi banaalabanga ennaku nnyingi: Naye oyo eyeesiga Mukama okusaasirwa kunaamwetooloolanga.
11 Musanyukire Mukama, mujaguze, mmwe abatuukirivu: Mwogerere waggulu olw'essanyu, mwenna abalina omutima ogw'amazima.

">


Essuula 33

1 Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu: Okutendereza kusaanira abalina omwoyo ogw'amazima.
2 Mumwebaze Mukama n'ennanga: Muyimbe okumutendereza n'ennanga ey'engoye kkumi.
3 Mumuyimbire oluyimba oluggya; Mukube ennanga n'amagezi n'eddoboozi ddene.
4 Kubanga ekigambo kya Mukama kigolokofu; N'omulimu gwe gwonna (agukola) mu bwesigwa.
5 Ayagala obutuukirivu n'amazima: Ensi ejjudde ekisa kya Mukama.
6 Mu kigambo kya Mukama eggulu lyakolebwa; N'eggye lyamu lyonna (lyakolebwa) n'omukka ogw'akamwake.
7 Amazzi ag'omu nnyanja agakuŋŋaanya ng'entuumo: Atereka amadubi mu mawanika.
8 Ensi zonna zityenga Mukama: Bonna abali mu nsi zonna bamukankanirenga.
9 Kubanga yayogera ne kikolebwa; Yalagira ne kinywera.
10 Mukama aggyawo okuteesa kw'amawanga: Adibya ebirowoozo by'abantu.
11 Okuteesa kwa Mukama kunywera ennaku zonna, N'ebirowoozo by'omutima gwe okutuusa emirembe gyonna.
12 Eggwanga eririna Mukama okuba Katonda waalyo liweereddwa omukisa; Abantu be yalonda okuba obusika bwe ye.
13 Mukama alengera ng'ayima mu ggulu; Atunuulira abaana b'abantu bonna;
14 Ng'ayima mu kifo eky'ekisulo kye alaba Ku abo abali mu nsi bonna;
15 Abumba emitima gyabwe bonna, Alowooza ebikolwa byabwe byonna.
16 Tewali kabaka alokoka olw'eggye okuba eringi: Omuzira tawonyezebwa maanyi mangi.
17 Embalaasi kye kintu ekitaliimu ku bulokozi: So teewonyenga muntu olw'amaanyi gaayo amangi.
18 Laba, eriiso lya Mukama liri ku abo abamutya, Ku abo abasuubira mu kusaasira kwe;
19 Okuwonyanga emmeeme yaabwe okufa, N'okubakuumanga abalamu mu njala.
20 Emmeeme yaffe erindiridde Mukama: Oyo ye mubeezi waffe, era ye ngabo yaffe.
21 Kubanga omutima gwaffe gunaasanyukira oyo, Kubanga twesize erinnya lye ettukuvu.
22 Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerenga ku ffe, Nga ffe bwe tusuubira mu ggwe.

">


Essuula 34

1 Neebazanga Mukama mu biro byonna: Ettendo lye liri mu kamwa kange bulijjo.
2 Emmeeme yange eneenyumiririzanga mu Mukama: Abawombeefu baliwulira, balisanyuka.
3 Mumukuze Mukama wamu nange, Tugulumize erinnya lye fenna.
4 Nanoonya Mukama, n'anziramu, N'andokola mu kutya kwange kwonna.
5 Baamutunuulira, ne balaba omusana: Era amaaso gaabwe tegaakwatibwenga nsonyi emirembe gyonna.
6 Omunaku ono yakoowoola, Mukama n'amuwulira, N'amulokola mu nnaku ze zonna.
7 Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, N'abalokola.
8 Mulege mutegeere Mukama nga mulungi: Aweereddwa omukisa oyo amwesiga.
9 Mutyenga Mukama, mmwe abatukuvu be: Kubanga tebabulwa kintu abamutya.
10 Obwana bw'empologoma bubulwa ne bulumwa enjala: Naye abanoonya Mukama tebaabulwenga kintu kirungi kyonna.
11 Mujje, mmwe abaana abato, mumpulire: Naabayigirizanga okutya Mukama.
12 Muntu ki ayagala obulamu, Era eyeegomba ennaku (ennyingi), alyoke alabe obulungi?
13 Ziyizanga olulimi lwo mu bubi, N'emimwa gyo obutoogeranga bukuusa.
14 Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga.
15 Amaaso ga Mukama galaba abatuukirivu, N'amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 Obwenyi bwa Mnkama buba ku abo abakola obubi, Amalemu okujjukirwa kwabwe mu nsi.
17 Abatuukirivu baakoowoola, Mukama n'awulira, N'abalokola mu nnaku zaabwe zonna.
18 Mukama ali kumpi n'abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo oguboneredde.
19 Ebibonoobono eby'omutuukirivu bye bingi: Naye Mukama amulokola mu byonna.
20 Akuuma amagumba ge gonna: Linnaago erimu terimenyeka.
21 Obubi bulitta omubi: N'abo abakyawa omutuukirivu balisingibwa omusango.
22 Mukama anunula emmeeme y'abaddu be: So tewali mu bo abamwesiga alisingibwa omusango.

">


Essuula 35

1 Wakana, ai Mukama, n'abo abawakana nange: Lwana n'abo abalwana nange.
2 Kwata engabo n'akagabo, Oyimirire okunnyamba.
3 Era sowola n'effumu, ozibire ekkubo abo abanjigganya: Ogambe emmeeme yange nti Nze bulokozi bwo.
4 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe abanjigganya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma beeraliikirizibwe abateesa okunkola obubi.
5 Babeere ng'ebisusunku ebitwalibwa n'empewo, Era malayika wa Mukama ng'abagoba.
6 Ekkubo lyabwe libeere ekizikiza n'obuseerezi. Era malayika wa Mukama ng'abayigganya.
7 Kubanga awatali nsonga bankisizza mu bunnya ekyambika kyabwe, Awatali nsonga basimidde emmeeme yange.
8 Okuzikirira kumujjeko nga talaba; N'ekyambika kye kye yakisa kimukwate ye yennyini: Akigwemu n'okuzikirira:
9 N'emmeeme yange erisanyukira Mukama: Erijaguliza obulokozi bwe.
10 Amagumba gange gonna galyogera nti Mukama, ani afaanana nga ggwe, Awonya omwavu eri oyo amusinga amaanyi, Awonya omwavu n'omunafu eri oyo amunyaga?
11 Abajulirwa abatali batuukirivu bagolokose; Bambuuza ebigambo bye ssimanyi.
12 Bansasula obubi ku lw'obulungi, Okweraliikiriza emmeeme yange.
13 Naye nze, bwe baalwala, nayambala bibukutu: Ne nteganya emmeeme yange n'okusiiba; N'okusaba kwange ne kudda mu kifuba kyange.
14 Ne mba nga bwe nnaakubadde, singa yali mukwano gwange oba muganda wange: Ne nkutama ne nnakuwala ng'afiiriddwa nnyina:
15 Naye bwe nnawenyera nze, ne basanyuka, ne bakuŋŋaana: Abagwagwa ne bankuŋŋaanirako, ne ssimanya; Ne banjuza, ne batalekaayo:
16 Ng'abo abatatya Katonda abaduula mu mbaga, Bwe baaluma obujigi bwe batyo, nga bansunguwalira.
17 Mukama, olituusa wa okutunula obutunuzi? Wonya emmeeme yange mu kuzikiriza kwabwe, Kaganzi kange mu mpologoma.
18 Ndikwebaliza mu kibiina ekinene: Ndikutenderereza mu bantu abangi.
19 Abo abalabe bange baleme okunsanyukirako n'obulimba: Era abankyawa awatali nsonga baleme okutemya ekikowe.
20 Kubanga teboogera mirembe: Naye bateesa ebigambo eby'obulimba ku abo abatereera mu nsi.
21 Era banjasaamiririra ddala akamwa kaabwe; Ne boogera nti Ggwe, ggwe, eriiso lyaffe lyakiraba.
22 Ggwe wakiraba, si Mukama; tosirika: Ai Mukama, tombeera wala.
23 Golokoka, ozuukuke okunsalira omusango, Era olw'ensonga yange, Katonda wange era Mukama wange.
24 Onsalire omusango, ai Mukama Katonda wange, ng'obutuukirivu bwo bwe buli; So tobaganya kunsanyukirako;
25 Baleme okwogera mu mutima gwabwe nti Bw'otyo bwe twagala bwe tutyo: Baleme okwogera nti Tumumize bugobo.
26 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna abasanyukira nze okulaba akabi: Bambale ensonyi n'okunyoomebwa abanneegulumirizaako.
27 Boogerere waggulu olw'essanyu, bajaguze, abayamba ensonga yange ey'obutuukirivu: Era boogerenga bulijjo eri Mukama agulumizibwe, Asanyukira omukisa ogw'omuddu we.
28 N'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo, Ne ku ttendo lyo obudde okuziba.

">


Essuula 36

1 Ekyonoono ky'omubi kyogerera mu mutima gwange nti Tewali kutya Katonda mu maaso ge.
2 Kubanga yeenyumiririza mu maaso ge ye, Ng'obutali butuukirivu bwe tebulirabika ne bukyayibwa.
3 Ebigambo eby'akamwa ke bwe butali butuukirivu n'obulimba: Alese okuba n'amagezi n'okukola obulungi.
4 Ateesa obutali butuukirivu ku kitanda kye; Yeeteeka mu kkubo eritali ddungi; Takyawa bubi.
5 Ekisa kyo, ai Mukama, kiri mu ggulu Obwesige bwo bubuna ebbanga.
6 Obutuukirivu bwo buli ng'ensozi za Katonda; Emisango gyo bwe buziba obunene: Ai Mukama, ggwe owonya abantu n'ebisolo.
7 Ekisa kyo, ai Katonda, nga kya muwendo mungi! Era abaana b'abantu baddukira wansi w'ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo.
8 Banakkusibwanga ddala obugevvu obw'ennyumba yo. Era onoobanywesanga ku mugga ogw'essanyu lyo.
9 Kubanga w'oli we wali oluzzi olw'obulamu: Mu musana gwo naffe mwe tunaalabiranga omusana.
10 Kale yongera ekisa kyo eri abo abakumanya; N'obutuukirivu bwo eri abo abalina omutima ogw'amazima.
11 Toganya kigere kya malala okunjijirako, Newakubadde omukono gw'omubi okungoba.
12 Eri gye bagudde abakola obutali butuukirivu; Bameggeddwa wansi, so tebaayinzenga kuyimuka.

">


Essuula 37

1 Teweeraliikiriranga lw'abo abakola obubi, So tokwatibwanga buggya ku abo abakola ebitali bya butuukirivu.
2 Kubanga balisalwa mangu ng'essubi, Baliwotoka ng'omuddo ogumera.
3 Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; Beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa.
4 Era sanyukiranga Mukama: Naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba.
5 Olugendo lwo oluyiringisizenga ku Mukama; Era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga.
6 Era anaayolesanga obutuukirivu bwo ng'omusana, N'omusango gwo ng'ettuntu.
7 Sirika eri Mukama, omulindirirenga n'okugumiikiriza: Teweeraliikiriranga lw'oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, Olw'omuntu atuukiriza enkwe ez'obubi.
8 Lekanga obusungu, ovenga mu kiruyi: Teweeraliikiriranga; okwagala obwagazi okuleta obubi.
9 Kubanga abakola obubi balizikirizibwa: Naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi.
10 Kubanga waliba akaseera katono, n'omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo.
11 Naye abawombeefu balisikira ensi: Era banaasanyukiranga emirembe emingi.
12 Omubi yeekoba ku mutuukirivu, Era aluma bujigi ng'amusunguwalidde.
13 Mukama alimusekerera: Kubanga alaba ng'olunaku lwe lujja.
14 Ababi basowodde ekitala, baleeze omutego gwabwe; Okusuula omwavu n'omunafu, Okutta abo abatambulira mu kkubo n'amazima.
15 Ekitala kyabwe kirifumita omutima gwabwe bo, N'emitego gyabwe girimenyeka.
16 Ebitono omutuukirivu by'alina Bisinga obugagga obw'ababi abangi.
17 Kubanga emikono gy'ababi girimenyeka: Naye Mukama anyweza abatuukirivu.
18 Mukama amanyi ennaku z'abo abatuukiridde: N'obusika bwabwe bunaabeeranga bwa mirembe gyonna.
19 Tebaakwatibwenga nsonyi mu biro eby'akabi: Ne mu nnaku ez'enjala banakkutanga.
20 Naye ababi balibula, N'abalabe ba Mukama baliba ng'ekisinga amasavu mu birundibwa: Balibula; balibulira ddala mu mukka.
21 Omubi yeewola, n'atasasula nate: Naye omutuukirivu akola eby'ekisa, agaba.
22 Kubanga abaweebwa omukisa gwe balisikira ensi; N'abo abakolimirwa ye balizikirizibwa.
23 Olugendo olw'omuntu lunywezebwa Mukama; Era asanyukira ekkubo lye.
24 Newakubadde ng'agwa, talisuulirwa ddala wansi: Kubanga Mukama amunyweza n'omukono gwe.
25 Nali muto, kaakano nkaddiye; Naye , sirabanga mutuukirivu ng'alekeddwa, Newakubadde ezzadde lye nga basaba emmere.
26 Obudde okuziba akola eby'ekisa, n'awola; N'ezzadde lye liweebwa omukisa.
27 Ovenga mu bubi, okolenga obulungi; Obeerengawo emirembe n'emirembe.
28 Kubanga Mukama ayagala ensonga, Era taleka batukuvu be; Bakuumibwa emirembe gyonna: Naye ezzadde ery'omubi lirizikirizibwa.
29 Abatuukirivu balisikira ensi, Banaagibeerangamu emirembe gyonna.
30 Akamwa k'omutuukuivu koogera eby'amagezi, N'olulimi lwe lubuulira ensonga.
31 Amateeka ga Katonda we gabeera mu mutima gwe; Mu lugendo lwe lwonna taaseererenga.
32 Omubi atunuulira omutuukirivu, Ng'ayagala okumutta.
33 Mukama talimuleka mu mukono gwe, So talimusinza bw'alisalirwa omusango.
34 Lindiriranga Mukama, okwatenga ekkubo lye, Naye alikugulumiza okusikira ensi: Ababi bwe balizikirizibwa oliraba.
35 Nalaba omubi ng'alina obuyinza obungi, Era ng'agulumidde ng'omuti ogumeze ku ttaka lyagwo.
36 Naye bwe baayita, laba, taliiwo: Era namunoonya, naye teyalabika.
37 Weekalirizenga oyo atuukiridde, olabenga ow'amazima: Kubanga enkomerero ey'omuntu oyo mirembe.
38 Aboonoonyi, bo balizikirizibwa bonna: Enkomerero ddala ey'omubi erizikirizibwa.
39 Naye obulokozi obw'abatuukirivu buva eri Mukama: Oyo kye kigo kyabwe mu biro eby'okulabiramu ennaku.
40 Era Mukama abayamba, n'abawonya: Abawonya eri ababi, n'abalokola, Kubanga beeyunye oyo.

">


Essuula 38

1 Ai Mukama, tonnenya mu busungu bwo: So tombuuliririra mu kiruyi kyo ekibuubuuka.
2 Kubanga obusaale bwo bunkwatidde ddala, N'omukono gwo gunnyigirizza nnyo.
3 Temuli bulamu mu mubiri gwange olw'okunyiiga kwo; So temuli kuwona mu magumba gange olw'okwonoona kwange.
4 Kubanga obutali butuukirivu bwange buyiise ku mutwe gwange. Ng'omugugu omunene bunzitooweredde bunnemye.
5 Ebiwundu byange biwunya era bivunze, Olw'obusirusiru bwange.
6 Nnumiddwa, nkutamizibbwa nnyo; Ntambula nga nkaaba obudde okuziba.
7 Kubanga ekiwato kyange kijjudde okwokya; So temuli bulamu mu mubiri gwange.
8 Nnyongobera, mmenyesemenyese: Mpulugumye olw'okweraliikirira kw'omutima gwange.
9 Mukama, bye njagala byonna biri mu maaso go; N'okusinda kwange tekukukisibwa.
10 Omutima gwange guntundugga, amaanyi gange gampweddemu: Omusana ogw'amaaso gange, era nagwo gumbuze.
11 Abanjagala ne mikwano gyange beewala ekibonoobono kyange; Ne baganda bange bayimirira wala.
12 Era n'abo abanjigganya obulamu bwange banteega; N'abo abaagala nze okulaba akabi boogera eby'ettima, Era balowooza eby'obulimba obudde okuziba.
13 Naye nze, ng'omuzibe w'amatu, ssiwulira; Era nninga omusiru atayasama kamwa ke.
14 Mazima, nninga omuntu atawulira, Ne mu kamwa ke temuli kunenya.
15 Kubanga eri ggwe, ai Mukama, gye nsuubira: Oliddamu, ai Mukama Katonda wange.
16 Kubanga nayogera nti Baleme okunsanyukirako: Ekigere kyange bwe kiseerera, banneegulumirizaako.
17 Kubanga nze ndi kumpi n'okuwenyera, N'ennaku zange ziri mu maaso gange bulijjo.
18 Kubanga naayatulanga obutali butuukirivu bwange; Naanakuwalanga olw'okwonoona kwange.
19 Naye abalabe bange balamu, balina amaanyi: N'abo abankyawa olw'obulimba beeyongedde.
20 Era n'abo abasasula obubi olw'obulungi. Be balabe bange, kubanga ngoberera ebigambo ebirungi.
21 Tondeka, ai Mukama: Ai Katonda wange, tombeera wala.
22 Yanguwa okunnyamba, Ai Mukama, obulokozi bwange.

">


Essuula 39

1 Nayogera nti Neekuumanga amakubo gange, Nnemenga okwonoonya olulimi lwange: Naasibanga akamwa kange n'olukoba, Omubi ng'ali mu maaso gange.
2 Nasiruwala obutayogera, nasirika, newakubadde ebirungi saabyogera; Okunakuwala kwange ne kweyongera.
3 Omutima gwange ne gwaka munda yange; Bwe nnali ndowooza, omuliro ne gukoleera: Ne ndyoka njogera n'olulimi lwange:
4 Mukama, ontegeeze enkomerero yange, N'ekigera eky'ennaku zange bwe kiri; Ntegeere bwe ndi omumenyefu.
5 Laba, ennaku zange wazikola ng'enta; N'obulamu bwange buli nga si kintu gy'oli: Mazima, buli muntu, bw'anywerera ddala, mukka bukka. (Seera)
6 Mazima buli muntu atambula mu kifaananyi ekitaliimu. Mazima, beeraliikiririra bwereere: Akuuma obugagga, so tamanya agenda okubutwala.
7 Ne kaakano, Mukama, nnindirira ki? Mu ggwe mwe nnina essuubi.
8 Onziye mu byonoono byange byonna; Tonfuula kivume kya basirusiru.
9 Nasiruwala, saayasamya kamwa kange; Kubanga wakikola.
10 Onzigyeko omuggo gwo: Mmaliddwamu amaanyi olw'okukuba kw'omukono gwo.
11 Bw'obuuliriranga omuntu n'okunenya olw'obutali butuukirivu, Omumaliramu ddala obulungi bwe, ng'ennyenje: Mazima, buli muntu mukka. (Seera)
12 Wulira okusaba kwange, ai Mukama, okkirize okukaaba kwange; Tosirikira maziga gange: Kubanga nze ndi mugenyi gy'oli, Omutambuze, nga bajjajja bange bonna bwe baali.
13 Onsaasire, ndyoke nziremu amaanyi, Nga sinnava muno ne ssibeerawo.

">


Essuula 40

1 Nalindirira Mukama n'okugumiikiriza; N'antegera okutu, n'ampulira okukaaba kwange.
2 Era n'anziya mu bunnya obw'okuzikirira, mu bitositosi; N'ateeka ebigere byange ku lwazi, n'anyweza okugenda kwange.
3 Era n'oluyimba oluggya alussizza mu kamwa kange, kwe kutendereza Katonda waffe: Bangi abanaalabanga, ne batya, Ne beesiga Mukama.
4 Aweereddwa omukisa omuntu eyeesiga Mukama, N'atabassaamu ekitiibwa ab'amalala newakubadde abakyamira mu bulimba.
5 Ebikolwa eby'ekitalo bye wakola, ai Mukama Katonda wange, bingi, N'ebirowoozo byo ebiri gye tuli: Tebiyinzika kukulongookera kinnakimu; Singa mbadde njagala okubibuulira n'okubyogerako, Tebibalika obungi.
6 Ssaddaaka n'ebiweebwayo tobisanyukira; Amatu gange ogawulizza: Ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'ebibi tewabyagala.
7 Ne ndyoka njogera nti Laba nzize; Mu muzingo ogw'ekitabo ekyampandiikwako:
8 Nsanyuka okukola by'oyagala, ai Katonda wange; Weewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.
9 Mbuulidde obutuukirivu mu kibiina ekinene; Laba, ssiibunizenga mimwa gyange, Ai Mukama, ggwe omanyi.
10 Sikwekanga butuukirivu bwo mu mutima gwange munda; Mbuulidde obwesige bwo n'obulokozi bwo: Ekisa kyo n'amazima go sibikisanga ekibiina ekinene.
11 Naawe, ai Mukama, tonnyima kusaasira kwo okulungi: Ekisa kyo n'amazima go binkuumenga ennaku zonna.
12 Kubanga obubi obutabalika bunneetoolodde, Obutali butuukirivu bwange buntuuseeko n'okuyinza ne ssiyinza kutunula waggulu; Businga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi, era omutima gwange gundese.
13 Kkiriza, ai Mukama, okumponya: Yanguwa okunnyamba, ai Mukama.
14 Bakwatibwe ensonyi baswazibwe bonna wamu. Abanoonya emmeeme yange okugizikiriza: Bazzibwe ennyuma banyoomebwe Abo abasanyukira nze okulaba akabi.
15 Balekebwe olw'ensonyi zaabwe Abo abansooza.
16 Bonna abakunoonya bakusanyukire bajaguze: Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Mukama agulumizibwe.
17 Naye nze ndi mwavu, neetaaga; Mukama andowooza: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Tolwawo, ai Katonda wange.

">


Essuula 41

1 Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu: Mukama alimulokola ku lunaku olw'akabi.
2 Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga, era anaaweebwanga omukisa mu nsi; So tomuwangayo eri abalabe be okumukola bye baagala.
3 Mukama anaamujjanjabanga ng'ayongobera ku kitanda: Ggwe olongooseza ddala ekiriri kye bw'alwala.
4 Nayogera nti Ai Mukama, onsaasire: Omponye emmeeme yange: kubanga nnyonoonye ggwe.
5 Abalabe bange banjogerako obubi nti Alifa ddi, erinnya lye ne libula?
6 Era ne bw'ajja okundaba, ayogera ebitaliimu; Omutima gwe gwekuŋŋaanyiza obutali butuukirivu: Bw'ava mu nnyumba, abubuulira.
7 Bonna abankyawa bangeyera wamu: Bateesa ebigambo okunkola akabi.
8 Boogera nti Endwadde embi emukutte: Kaakano bw'agalamidde, tagenda kugolokoka nate.
9 Era ne munnange mukwano gwange nze, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, Ansitulidde ekisinziiro kye.
10 Naye ggwe, ai Mukama, onsaasire, ongolokose, Ndyoke mbawalanire eggwanga.
11 Kyenvudde mmanya ng'onsanyukira, Kubanga omulabe wange tampangula.
12 Naye nze, onnyweza nze mu butuukirivu bwange, Era onteeka mu maaso go ennaku zonna.
13 Atenderezebwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuusa emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.

">


Essuula 42

1 Ng'empeewo bw'ewejjawejja olw'amazzi, Bw'etyo n'emmeeme yange bw'ewejjawejja ku lulwo, ai Katonda.
2 Emmeeme yange erumwa enjala ku lwa Katonda, ku lwa Katonda omulamu: Ndituuka ddi ne ndabika mu maaso ga Katonda?
3 Amaziga gange ye mmere yange emisana n'ekiro, Bwe baŋŋamba obudde okuziba nti Katonda wo ali luda wa?
4 Bino mbijjukira, ne nfuuka emmeeme yange munda yange, Bwe nnagenda n'ekibiina, ne mbatwala mu nnyumba ya Katonda, N'eddoboozi ery'essanyu n'ery'okutendereza, ekibiina ekyegendereza olunaku.
5 Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza Olw'obulamu obw'amaaso ge.
6 Ai Katonda wange, emmeeme yange ekutamye munda yange: Kyenva nkujjuukirira mu nsi ya Yoludaani, Ne ku nsozi Kerumooni, ne ku kasozi Mizali,
7 Obuziba bukoowoola obuziba amazzi go ageefuukuula bwe gayira: Amayengo go gonna n'amasingiisira go gampiseeko.
8 Naye Mukama anaalagiranga ekisa kyo emisana, N'ekiro oluyimba lwe lunaabeeranga nange. Kwe kusaba Katonda ow'obulamu bwange.
9 Ndigamba Katonda olwazi lwange nti Kiki ekikunneerabizza? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?
10 Ng'ekitala mu magumba gange, abalabe bange banvuma; Nga baŋŋamba obutayosa nti Katonda wo ali ludda wa?
11 Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange, era Katonda wange.

">


Essuula 43

1 Onsalire omusango, ai Katonda, era ompolereze ensonga eri eggwanga eritatya Katonda: Ondokole eri omuntu ow'obulimba atali mutuukirivu.
2 Kubanga ggwe oli Katonda wa maanyi gange; kiki ekikunsuuzizza ewala? Lwaki nze okugenda nga nkaaba olw'okujooga kw'omulabe?
3 Kale otume omusana gwo n'amazima go; ebyo binnuŋŋamye: Bindeete ku lusozi lwo olutukuvu, Ne mu weema zo.
4 Ne ndyoka ŋŋenda ku kyoto kya Katonda, Eri Katonda essanyu lyange eritasingika; Ne ku nnanga ndikutendereza, ai Katonda, Katonda wange.
5 Kiki ekikukutamizza, emmeeme yange? Kiki ekikweraliikiriza munda yange? Suubira eri Katonda: kubanga edda ndimutendereza, Bwe bulamu obw'amaaso gange; era Katonda wange.

">


Essuula 44

1 Twawuliranga n'amatu gaffe; ai Katonda, bajjajja baffe baatubuuliranga, Emirimu gye wakolanga mu nnaku zaabwe, mu nnaku ez'edda.
2 Amawanga wagagobamu n'omukono gwo, n'obasigamu bo; Wabonyaabonya amawanga, n'ogasaasaanyiza ddala.
3 Kubanga tebaalya nsi olw'ekitala kyabwe, Newakubadde omukono gwabwe si gwe gwabalokola: Wabula omukono gwo ogwa ddyo n'engalo zo, n'omusana ogw'amaaso go, Kubanga baalaba ekisa eri ggwe.
4 Ggwe oli kabaka wange, ai Katonda: Lagira obulokozi eri Yakobo.
5 Ku bubwo tulisindika abalabe baffe wansi: Olw'erinnya lyo tulirinnyirira abo abatugolokokerako ffe.
6 Kubanga ssiryesiga mutego gwange, So ekitala kyange si kye kirindokola.
7 Naye ggwe watulokola eri abalabe baffe, Era wabaswaza abatukyawa.
8 Mu Katonda mwe twenyumiririza obudde okuziba, Era tuneebazanga erinnya lyo emirembe gyonna. (Seera)
9 Naye kaakano otusudde wala, otukwasizza ensonyi; So totabaala n'eggye lyaffe.
10 Otuzza nnyuma eri abalabe: N'abo abatukyawa beenyagira.
11 Watuwaayo ng'endiga okuba ennyama; Watusaasaanya mu mawanga.
12 Abantu bo obatundira bwereere, So n'omuwendo gwabwe togwongezezza ku bugagga bwo.
13 Otufuula ekivume eri abaliraanwa baffe, Ekinyoomebwa, ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.
14 Otufuula olugero mu mawanga, Okunyeenyezebwa kw'omutwe mu bantu.
15 Obudde okuziba okunyoomebwa kwange kunjolekedde, N'ensonyi ez'amaaso gange zinsaanikidde,
16 Olw'eddoboozi ly'oyo aboggola, avuma; Olw'omulabe n'olw'oyo awalana eggwanga.
17 Ebyo byonna bitutuuseeko; naye tetukwerabidde, So tetukoze bya bulimba mu ndagaano yo.
18 Omutima gwaffe teguzze nnyuma, So ebigere byaffe tebikyamye kuva mu kkubo lyo;
19 Ne we watumenyaamenya ennyo mu kifo eky'ebibe, N'otusaanikiza ekisiikirize eky'okufa.
20 Oba nga twerabidde erinnya lya Katonda waffe, Oba tugolodde emikono gyaffe eri katonda omuggya,
21 Ekyo Katonda talikikenneenya? Kubanga ebyama eby'omu mutima abimanyi.
22 Era tuttibwa obudde okuziba okulangibwa ggwe; Tuli ng'endiga ez'okusalibwa.
23 Zuukuka, kiki ekikwebasa, ai Mukama? Golokoka, totusuulanga wala emirembe gyonna.
24 Kiki ekikukwesezza amaaso go, N'ebibonoobono byaffe n'okujoogebwa n'obyerabira?
25 Kubanga emmeeme yaffe ekutamye mu nfuufu: Olubuto lwaffe lwegasse n'ettaka.
26 Golokoka okutuyamba, Otununule olw'ekisa kyo.

">


Essuula 45

1 Omutima gwange gujjudde musera ekigambo ekirungi: Njogera ebigambo bye mpandiise bya kabaka: Olulimi lwange ye kkalaamu ey'omuwandiisi omwangu.
2 Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo: Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna.
3 Weesibe ekitala kyo mu kiwato kyo, ggwe ow'amaanyi. Kye kitiibwa kyo n'obukulu bwo.
4 Ne mu bukulu bwo weebagale owangule, Olw'amazima n'obuwombeefu n'obutuukirivu: N'omukono gwo ogwa ddyo gulikuyigiriza eby'entiisa.
5 Obusaale bwo bwa bwogi; Amawanga gagwa wansi mu maaso go; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka.
6 Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna: Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.
7 Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno.
8 Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa mooli ne akaloosi ne kasiya; Mu mayumba ag'amasanga ennanga zikusanyusizza.
9 Mu bakyala bo mulimu abambejja: Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri.
10 Wulira, omuwala, olowooze, otege okutu kwo; Era weerabire ekika kyammwe, n'ennyumba ya kitaawo;
11 Bw'atyo kabaka anaayagalanga obulungi bwo: Kubanga ye Mukama wo; era omusinze.
12 N'omuwala wa Ttuulo alijja n'ekirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu balikwegayirira ekisa kyo.
13 Omuwala wa kabaka munda mu lubiri wa kitiibwa kyereere: Olugoye lwe lukoleddwamu ne zaabu.
14 Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde eby'amabala: Bawala banne abamugoberera Banaaleetebwa gy'oli.
15 Banaaleetebwa n'okusanyuka n'okujaguza: Banaayingira mu nnyumba ya kabaka.
16 Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna.
17 Najjukizanga erinnya lyo emirembe gyonna: Amawanga kyeganaavanga kwebaza emirembe n'emirembe.

">


Essuula 46

1 Katonda kye kiddukiro n'amaanyi gaffe, Omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku.
2 Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw'eneekyukanga, N'ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw'ennyanja;
3 Amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekuluumululanga, N'ensozi ne bwe zinaakankananga n'okwetabula kwayo. (Seera)
4 Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, Ekifo ekitukuvu eky'eweema z'oyo ali waggulu ennyo.
5 Katonda ali wakati waakyo; tekiisagaasaganenga: Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.
6 Amawanga gaayoogaana, obwakabaka ne bwetabula: Yaleeta eddoboozi lye, ensi n'esaanuuka.
7 Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)
8 Mujje, mulabe ebikolwa bya Mukama, Okuzikiriza kwe yaleeta mu nsi.
9 Aggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y'ensi; Amenya omutego, n'effumu alikutula; N'amagaali agookya omuliro.
10 Musirike mumanye nga nze Katonda: Naagulumizibwanga mu mawanga, Naagulumizibwanga mu nsi.
11 Mukama w'eggye ali wamu naffe; Katonda wa Yakobo kye kiddukiro kyaffe. (Seera)

">


Essuula 47

1 Mukale mukube mu ngalo, mmwe amawanga gonna; Mwogerere waggulu eri Katonda n'eddoboozi ery'okuwangula.
2 Kubanga Mukama ali waggulu ennyo wa ntiisa: Ye kabaka omukulu: afuga ensi zonna.
3 Alijeemula abantu ne tubafuga, N'amawanga aligassa wansi w'ebigere byaffe.
4 Alitulondera obusika bwaffe, Okuwooma kwa Yakobo gwe yayagala. (Seera)
5 Katonda alinaye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.
6 Muyimbe okutendereza Katonda, muyimbe okumutendereza; Muyimbe okutendereza Kabaka waffe, muyimbe okumutendereza:
7 Kubanga Katonda ye Kabaka w'ensi zonna: Muyimbe okumutendereza n'amagezi.
8 Katonda afuga amawanga: Katonda atuula ku ntebe ye entukuvu.
9 Abalangira ab'amawanga bakuŋŋaanye. Okubeera abantu ba Katonda wa Ibulayimu: Kubanga engabo ez'ensi za Katonda; Agulumizibwa nnyo.

">


Essuula 48

1 Mukama mukulu, agwanira okutenderezebwa ennyo, Mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
2 Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiika obwa kkono, Ekibuga kya kabaka omukulu.
3 Katonda yeetegeezezza mu mayumba gaakyo nga kye kiddukiro.
4 Kubanga, laba, bakabaka baakuŋŋaana, Ne bayitamu wamu.
5 Ne bakiraba, ne balyoka beewuunya; Ne batya, ne baanguwa okugenda.
6 Ensisi n'ebakwatira omwo; N'okulumwa, ng'omukazi azaala.
7 Omuyaga oguva ebuvanjuba Ogumenyesa amaato ag'e Talusiisi.
8 Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo mu kibuga kya Mukama w'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe: Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera)
9 Twajjuukirira ekisa kyo, ai Katonda, Wakati mu yeekaalu yo.
10 Ng'erinnya lyo bwe liri, ai Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi: Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
11 Olusozi Sayuuni lusanyuke, Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo.
12 Mutambule okwetooloola Sayuuni, mukibunye: Mubale ebigo byakyo.
13 Mwekalirize enkomera zaakyo. Mulowooze amayumba gaakyo; Mulyoke mubibuulire emirembe egigenda okujja.
14 Kubanga Katonda oyo ye Katonda waffe emirembe n'emirembe: Ye anaabeeranga omusaale waffe okutuusa ku kufa.

">


Essuula 49

1 Kino mukiwulire, mmwe amawanga gonna; Mutege okutu, mmwe mwenna abali mu nsi:
2 Abakopi era n'abakulu, Abagagga n'abaavu awamu.
3 Akamwa kange kanaayogera amagezi; N'omutima gwange gunaalowooza eby'okumanya.
4 Okutu kwange naakutegera olugero: Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga.
5 Lwaki nze okutya mu nnaku ez'akabi, Obutali butuukirivu bwe buneetooloola ku bisinziiro byange?
6 Abeesiga obugagga bwabwe, Ne beenyumiriza olw'ebintu byabwe ebingi;
7 Mu abo siwali ayinza okununula muganda we n'akatono, Newakubadde okuwa Katonda omuwendo gwe:
8 (Kubanga ekinunulo eky'emmeeme yaabwe kizibu, Era ekigwanira okulekebwanga emirembe gyonna:)
9 Alyoke awangaalenga ennaku zonna, Alemenga okulaba okuvunda,
10 Kubanga alaba ng'ab'amagezi bafa, Atamanyi n'omusirusiru bazikirira wamu, N'obugagga bwabwe ne babulekera abalala:
11 lowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna, Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.
12 Naye omuntu tabeerera mu kitiibwa: Ali ng'ensolo ezizikirira.
13 Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe: Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera)
14 Bateekerwawo magombe ng'ekisibo; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe: Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu.
15 Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alinzikiriza. (Seera)
16 Totyanga ggwe omuntu bw'agaggawala, Ekitiibwa eky'ennyumba ye bwe kyeyongera:
17 Kubanga bw'alifa talitwala kintu: Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera:
18 Newakubadde nga yayita emmeeme ye ey'omukisa bwe yali ng'akyali mulamu, Era abantu bakutendereza bwe weekolera wekka obulungi,
19 Alikka mu mirembe gya bajjajja be; Tebaliraba musana nate.
20 Omuntu alina ekitiibwa n’atategeera, Ali ng'ensolo ezizikirira.

">


Essuula 50

1 Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasizza.
2 Okuva mu Sayuuni, obulungi obutuukiridde, Katonda amasamasizza.
3 Katonda waffe alijja, so talisirika; Omuliro gulirya mu maaso ge, Omuyaga omungi gulimwetooloola.
4 Alikoowoola eggulu waggulu, N'ensi, alyoke asalire abantu be omusango:
5 Mukuaanye abatukuvu bange awamu we ndi; Abaalagaana nange endagaano n'essaddaaka.
6 N'eggulu liribuulira obutuukirivu bwe; Kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini. (Seera)
7 Muwulire, abantu bange, nange naayogera; Ggwe Isiraeri, nange naakutegeeza; Nze Katonda, Katonda wo.
8 Siikunenye lwa ssaddaaka zo; N'ebyokebwa byo biri mu maaso gange bulijjo.
9 Siriggya seddume mu nnyumba yo. Newakubadde embuzi ennume mu bisibo byo.
10 Kubanga buli nsolo ey'omu kibira yange, N'ente ez'oku nsozi lukumi.
11 Ennyonyi zonna ez'oku nsozi nzimanyi: N'ensolo ez'omu nsiko zange.
12 Singa nnumwa enjala, sandikubuulidde: Kubanga ensi yange, n'okujjula kwayo.
13 Nze naalyanga ennyama eya seddume, Oba naanywanga omusaayi gw'embuzi?
14 Owenga Katonda ssaddaaka ey'okwebaza; Osasulenga obweyamo bwo ali waggulu ennyo:
15 Era onkoowoolenga ku lunaku olw'okulaba ennaku; Ndikuwonya, naawe olingulumiza nze!
16 Naye omubi Katonda amugamba nti Ofaayo ki okubuulira amateeka gange, N'oyingiza endagaano yange mu kamwa ko?
17 Kubanga okyawa okuyigirizibwa, N'ebigambo byange obisuula ennyuma wo.
18 Bwe walaba omubbi walagaana naye, Era wassa ekimu n'abenzi.
19 Owaayo akamwa ko eri obubi, N'olulimi lwo lukola eby'obulimba.
20 Otuula ng'ovuma muganda wo; Era owaayiriza omwana wa nnyoko.
21 Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
22 Kale mulowooze kino, mmwe abeerabira Katonda, Nneme okubataagulataagula, okubulawo alibawonya:
23 Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.

">


Essuula 51

1 Onsaasire, ai Katonda, mu kisa kyo; Mu bungi obw'okusaasira kwo sangula ebyonoono byange byonna.
2 Onnaalize ddala mu bubi bwange, Onnongoose mu kwonoona kwange.
3 Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso go bulijjo.
4 Ggwe, ggwe wekka, ggwe nnayonoona. Ne nkola ekibi mu maaso go: Obeere omutuukirivu bw'oyogera, Osinge omusango bw'osala.
5 Laba, nze natondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
6 Laba, ggwe oyagala eby'omunda eby'amazima; Era mu mwoyo ogutalabika onommanyisa amagezi.
7 Ontukuze n'ezoobu, nange naaba mulungi: Onnaaze, nange naaba mutukuvu okusinga omuzira.
8 Ompulize essanyu n'okwesiima; Amagumba ge wamenya gasanyuke.
9 Okise amaaso go mu bibi byange, Osangule ebyonoono byange byonna.
10 Ontondemu omutima omulongoofu, ai Katonda; Onzizeemu omwoyo omulungi munda yange.
11 Tongoba w'oli; So tonziyaako omwoyo gwo omutukuvu.
12 Onkomezeewo essanyu ery'obulokozi bwo: Onnyweze n'omwoyo ogw'eddembe.
13 Ne ndyoka njigiriza amakubo go aboonoonyi; N'abalina ebibi balikyukira gy'oli.
14 Omponye mu musango gw'omusaayi, ai Katonda, ggwe Katonda ow'obulokozi bwange;
15 Ai Mukama, yasamya emimwa gyange; N'akamwa kange kalyolesa ettendo lyo
16 Kubanga tosanyukira ssaddaaka; naakukuwadde; Ebiweebwayo ebyokebwa tebikuwoomera.
17 Ssaddaaka za Katonda ye mmeeme emenyese: Omutima ogumenyese era oguboneredde, ai Katonda, toogugayenga.
18 Okole bulungi Sayuuni, nga bw'oyagala: Okolere Yerusaalemi bbugwe.
19 N'olyoka osanyukira ssaddaaka ez'obutuukirivu, eby'okwokya n'eby'okwokya ebiramba: Ne balyoka bawaayo ente ku kyoto kyo.

">


Essuula 52

1 Lwaki okwenyumiriza mu ttima, ggwe omuzira? Okusaasira kwa Katonda kwa lubeerera.
2 Olulimi lwo luteesa eby'obubi obwereere; Ng'akamwano ak'obwogi, lukola n'obulimba.
3 Oyagala ebibi okusinga ebirungi, N'okulimba okusinga okwatula amazima. (Seera)
4 Oyagala ebigambo byonna ebiruma, Ggwe olulimi olw'obulimba.
5 Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. (Seera)
6 Era n'abatuukirivu baliraba, balitya, Balimusekerera, nga boogera nti
7 Laba, ye wuuyo ataafuula Katonda maanyi ge; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Ne yeenyweza mu bubi bwe.
8 Naye nze nfaanana ng'omuzeyituuni oguloka ennyo mu nnyumba ya Katonda: Neesiga okusaasira kwa Katonda emirembe n'emirembe.
9 Naakwebazanga ennaku zonna, kubanga ggwe wakola bw'otyo : Era naalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.

">


Essuula 53

1 Omusirisiru ayogedde mu mutima gwe nti Tewali Katonda. Bavunze, bakoze obubi obw'omuzizo; Tewali akola bulungi.
2 Katonda yatunula ku baana b'abantu ng'ayima mu ggulu, Alabe nga waliwo abategeera, Abanoonya Katonda.
3 Buli muntu mu abo azze ennyuma; bonna bagwagwawadde wamu; Tewali akola bulungi, tewali n'omu.
4 Abakola obubi tebalina magezi? Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere, Ne batakaabira Katonda.
5 Awatali kya kutya we batiira ennyo: Kubanga Katonda asaasaanyizza amagumba g'oyo akukolako olusiisira; Obakwasizza ensonyi, kubanga Katonda yabagoba.
6 Singa obulokovu bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni! Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.

">


Essuula 54

1 Ndokola, ai Katonda, n'erinnya lyo, Onsalire omusango mu maanyi go.
2 Wulira okusaba kwange, ai Katonda; Otege okutu eri ebigambo eby'akamwa kange.
3 Kubanga bannaggwanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange: Tebateese Katonda mu maaso gaabwe. (Seera)
4 Laba, Katonda ye mubeezi wange: Mukama ali wamu n'abo abanyweza emmeeme yange.
5 Aliwalana obubi obwo ku balabe bange: Obazikirize mu mazima go.
6 Ssaddaaka ey'omwoyo ogw'eddembe gye ndikuwa ggwe: Neebazanga erinnya lyo, ai Mukama, kubanga ddungi.
7 Kubanga anziye mu kweraliikirira kwonna; N'eriiso lyange lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange.

">


Essuula 55

1 Tega okutu eri okusaba kwange, ai Katonda; So teweekweka obutawulira kwegayirira kwange.
2 Mpulira, onziremu: Okwemulugunya kwange kunteganya, ne nsinda;
3 Olw'eddoboozi ly'omulabe, Olw'okujooga kw'ababi; Kubanga bansuulako ebikolwa ebibi, Era banjigganya mu busungu.
4 Omwoyo gunnuma nnyo munda yange: N'entiisa ey'okufa enguddeko.
5 Okutya n'okukankana kuntuuseeko, N'okwekanga kunnumbye.
6 Ne njogera nti Singa mbadde n’ebiwaawaatiro ng'ejjiba Nandibuuse, ne ŋŋenda, ne mpummula.
7 Laba, nandikyamidde wala, Nandisuze mu ddungu. (Seera)
8 Nandyanguye okudduka mu kiddukiro Okuva mu muyaga n'empewo ennyingi.
9 Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe: Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga.
10 Emisana n'ekiro batambulatambula ku bbugwe waakyo: Era obubi n'ettima biri wakati mu kyo.
11 Okwonoona kuli wakati mu kyo: Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo.
12 Kubanga omulabe si ye yanvuma; Nandiyinzizza okugumiikiriza: So si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako; Nandyekwese mu maaso ge:
13 Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambula nange, mukwano gwange gwe namanyiira ennyo.
14 Twateesanga ebigambo n'essanyu fembi, Twatambulanga mu nnyumba ya Katonda n'ekibiina.
15 Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu: Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.
16 Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga.
17 Akawungeezi n'enkya ne mu ttuntu neemulugunyanga ne nsindanga: Naye anaawuliranga eddoboozi lyange.
18 Yanunula emmeeme yange mu mirembe mu lutalo olwali lugenda okunsinga: Kubanga abaali balwana nange bangi.
19 Katonda aliwulira, alibaddamu, ye oyo abeerera edda n'edda lyonna, (Seera) Alibaddamu abo abatalaba biggya, Abatatya Katonda.
20 Yagolola emikono gye ku abo abaali batabaganye naye: Yanyooma endagaano ye.
21 Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo, Naye omutima gwe kulwana: Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, Naye byali bitala ebisowoddwamu.
22 Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.
23 Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira: Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe; Naye nze neesiganga ggwe.

">


Essuula 56

1 Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze: Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.
2 Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: Kubanga abalwana nange n'amalala bangi.
3 Buli lwe nnaatyanga, Neesiganga ggwe.
4 Mu Katonda ndyebaza ekigambo kye: Katonda gwe nneesize, siritya; Ab'omubiri bayinza kunkola ki?
5 Bakyusa ebigambo byange okuzibya obudde: Ebirowoozo byabwe byonna bimbaako olw'obubi.
6 Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.
7 Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.
8 Ggwe obala okutambulatambula kwange: Oteeke amaziga gange mu kasumbi ko; Tegawandiikibwa mu kitabo kyo?
9 Abalabe bange ne balyoka badda ennyuma ku lunaku lwe ndikaabiriramu: Kino kye mmanyi, nga Katonda ali ku lwange.
10 Mu Katonda nditendereza ekigambo kye: Mu Mukama nditendereza ekigambo kye.
11 Katonda gwe nneesize, siritya; Abantu bayinza okunkola ki?
12 Ebirayiro byo biri ku nze, ai Katonda: Ndisasula ssaddaaka ez'okwebaza eri ggwe.
13 Kubanga wawonya emmeeme yange okufa: Tewawonya bigere byange okwesittala? Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda mu musana ogw'abantu abalamu.

">


Essuula 57

1 Onsaasire, ai Katonda, onsaasire; Kubanga emmeeme yange yeeyuna ggwe: Weewaawo, mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nneeyunanga, Okutuusa ebibonoobono ebyo lwe biriggwaawo.
2 Ndikoowoola Katonda ali waggulu ennyo; Katonda ankolera byonna.
3 Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Oyo ayagala okummira bw'anvuma; (Seera) Katoada alituma okusaasira kwe n'amazima ge.
4 Emmeeme yange eri mu mpologoma; Ngalamidde mu abo abaaka n'omuliro, Be baana b'abantu, amannyo gaabwe ge mafumu n'obusaale, N'olulimi lwabwe kye kitala eky'obwogi:
5 Bakugulumize, ai Katonda, okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.
6 Bateekeddeteekedde akatimba ebigere byange; Emmeeme yange ekutamye: Bansimidde obunnya mu kkubo lyange; Babuguddemu wakati bo bennyini. (Seera)
7 Omutima gwange gunywedde, ai Katonda, omutima gwange gunywedde: Ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby'okutendereza.
8 Zuukuka, ggwe ekitiibwa kyange; zuukuka, entongooli n'ennanga: Nze nzekka naazuukuka enkya mu matulutulu.
9 Ndikwebaliza ggwe, ai Mukama, mu bantu: Ndiyimba eby'okukutendereza ggwe mu mawanga.
10 Kubanga ekisa kyo kingi, kituuka mu ggulu, N'amazima go gatuuka mu bbanga.
11 Bakugulumize, ai Katonda, Okusinga eggulu; Ekitiibwa kyo kibeere ku nsi zonna.

">


Essuula 58

1 Okwogera mwogera eby'obutuukirivu nga musirika? Musala omusango ogw'amazima, mmwe abaana ba bantu?
2 Naye mu mitima gyammwe mukola eby'obubi; Ettima ery'emikono gyammwe gwe musango gwe musala mu nsi.
3 Ababi bakyama okuva mu lubuto: Bwe bazaalibwa, amangu ago ne beekooloobya, nga boogera eby'obulimba.
4 Obusagwa bwabwe buli ng'obusagwa obw'omusota: Bali nga ssalambwa eritawulira erizibikira amatu gaalyo;
5 Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya.
6 Ai Katonda, omenye amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe: Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, ai Mukama.
7 Basaanuuke ng'amazzi agakulukuta amangu: Bw'ateeba n'obusaale bwe, babe nga bazikirizibwa.
8 Babe ng'ekkovu erisaanuuka eriggwaawo: Era ng'omwana omukazi gw'ataasa, atalabanga ku musana.
9 Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Aligaggirawo ddala n'embuyaga, amabisi n'ago agaaka gonna.
10 Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo: Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi.
11 Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa: Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.

">


Essuula 59

1 Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange: Ongulumize eri abo abangolokokerako.
2 Ondokole eri abo abakola obutali butuukirivu, Omponye eri abo abaagala omusaayi.
3 Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba: Si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama.
4 Baddukana, beeteekateeka nga sikoze bubi: Ozuukuke onnyambe, olabe.
5 Ggwe, ai Mukama Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, Ogolokoke obuulirire amawanga gonna: Tosaasiranga muntu yenna omwonoonyi omubi. (Seera)
6 Bakomawo akawungeezi, bakaaba ng'embwa, Beetooloola ekibuga.
7 Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe: Kubanga boogera nti Ani awulira?
8 Naye ggwe, Mukama, olibasekerera; Oliduulira amawanga gonna.
9 Ai amaanyi gange, naakulindiriranga ggwe: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu.
10 Katonda ow'okusaasirwa kwange anankulemberanga: Katonda anandabyanga bye njagala nga bituuse ku balabe bange.
11 Tobatta, abantu bange baleme okwerabira: Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ai Mukama engabo yaffe.
12 Olw'okwonoona kw'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, Bakwatibwe nga beenyumiriza, Era n'olw'okukolima n'obulimba bye boogera.
13 Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate: Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi. (Seera)
14 Era akawungeezi bakomewo, bakaabe ng'embwa, Beetooloole ekibuga.
15 Balitambulatambula nga banoonya emmere, Balikeesa obudde bwe batalikkuta.
16 Naye nze naayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, naayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya: Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange.
17 Ggwe, ai amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda wa kusaasirwa kwange.

">


Essuula 60

1 Ai Katonda, otusudde, otumenyeemenye; Wasunguwala; otukomyewo, tukwegayiridde.
2 Wakankanya ensi; wagyasa: Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga.
3 Abantu bo obalaze ebigambo ebizibu: otunywesezza omwenge ogw'okutagatta.
4 Owadde ebendera abo abakutya, Eyolesebwe olw'amazima. (Seera)
5 Muganzi wo alyoke awonyezebwe, Lokola n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
6 Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
7 Gireyaadi wange, era Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
8 Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto yange: Ggwe Firisutiya, yogerera waggulu ku lwange.
9 Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu?
10 Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.
11 Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
12 Katonda ye anaatukozanga eby'obuzira: Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga ku balabe baffe.

">


Essuula 61

1 Owulire okukaaba kwange, ai Katonda; Olowooze okusaba kwange.
2 Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga; omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.
3 Kubanga wali kiddukiro gye ndi, Ekigo eky'amaanyi eri omulabe.
4 Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera)
5 Kubanga ggwe, ai Katonda, owulidde obweyamo bwange: Ompadde obusika bw'abo abaagala erinnya lyo.
6 Olyongera ku nnaku ez'obulamu bwa kabaka: Emyaka gye giriba ng'emirembe emingi.
7 Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna: Kale teekateeka ekisa n'amazima, biryoke bimuwonye.
8 Ne ndyoka nnyimba okutendereza erinnya lyo ennaku zonna; Ntuukirize buli lunaku obweyamo bwange.

">


Essuula 62

1 Emmeeme yange erindirira Katonda yekka: Oyo obulokozi bwange mwe buva.
2 Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Kye kigo kyange ekiwanvu; sirisagaasagana nnyo.
3 Mulituusa wa okulumba omuntu, Okumutta, mmwe mwenna, Ng'ekisenge ekyewunzise, ng'olukomera oluyuuguuma?
4 Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe; Basanyukira eby'obulimba: Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe, naye bakolima munda.
5 Emmeeme yange, lindirira Katonda yekka; Kubanga oyo okusubira kwange mwe kuva.
6 Ye yekka lye jjinja lyange era bwe bulokozi bwange: Oyo kye kigo kyange ekiwanvu: sirisagaasagana.
7 Awali Katonda we wali obulokozi bwange n'ekitiibwa kyange: Ejjinja ery'amaanyi gange n'ekiddukiro kyange biri mu Katonda.
8 Mumwesige ye mu biro byonna, mmwe abantu; Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge:
9 Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba: Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa:
10 Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga: Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo.
11 Katonda yayogera omulundi gumu, Mpulidde bwe ntyo emirundi ebiri; Nga Katonda ye nannyini buyinza:
12 Era ggwe, ai Mukama, olina okusaasira: Kubanga osasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli.

">


Essuula 63

1 Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya. Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
2 Bwe ntyo bwe nnakutunuuliranga mu watukuvu, Okulaba obuyinza bwo n'ekitiibwa kyo.
3 Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
4 Bwe ntyo bwe nnaakwebazanga nga nkyali mulamu: Naayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5 Emmeeme yange enekkusibwanga ng'obusomyo n'amasavu; N'akamwa kange kanaakutenderezanga n'emimwa egisanyuka;
6 Bwe nnaakujjuukiriranga ku kitanda kyange, Bwe nnaakulowoolezanga mu bisisimuka eby'ekiro.
7 Kubanga wabeera mubeezi wange, Era mu kisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo mwe nnaasanyukiranga.
8 Emmeeme yange efuga okukugoberera: Omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9 Naye abo abanoonya emmeeme yange okugizikiriza, Baligenda wansi w'ettaka.
10 Baliweebwayo eri amaanyi ag'ekitala: Balibeera mugabo gwa bibe.
11 Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.

">


Essuula 64

1 Owulirenga eddoboozi lyange, ai Katonda, mu kwemulugunya kwange: Okuumenga obulamu bwange nnemenga okutya omulabe.
2 Onkweke eri abakozi b'obubi abateesa mu kyama; N'eri okuyoogaana kw'abo abakola ebitali bya butuukirivu:
3 Abawagadde olulimi lwabwe ng'ekitala, Abateebye obusaale bwabwe bye bigambo eby'obukambwe:
4 Balasize oyo eyatuukirira mu bifo eby'ekyama: Baamulasa nga talaba, ne batatya.
5 Bagumyagana emyoyo mu kuteesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti Anaagiraba ani?
6 Banoonya ebitali bya butuukirivu; boogera nti Tumaze okunoonyeza ddala nga tufuba: N'okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biri ng'obuziba.
7 Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n’akasaale nga tebalowooza.
8 Bwe batyo bwe baneesittazibwanga, olulimi lwabwe bennyini nga lubagwisa: Bonna abanaabalabanga banaanyeenyanga emitwe gyabwe.
9 Era abantu bonna banaatyanga; Ne batendera omulimu gwa Katonda, Ne balowooza n'amagezi bye yakola.
10 Omutuukirivu anaasanyukiranga Mukama, era anaamwesiganga; Era bonna abalina emitima egy'amazima baneenyumirizanga.

">


Essuula 65

1 Ettendo likulindirira, ai Katonda, mu Sayuuni: Era ggwe gwe banaatuukiririzanga obweyamo.
2 Ai ggwe awulira okusaba, Bonna abalina omubiri balijja gy'oli.
3 Ebitali bya butuukirivu binsinze: Okwonoona kwaffe olikunaaliza ddala.
4 Alina omukisa oyo gw'olonda, era gw'osembeza gy'oli. Abeerenga mu mpya zo: Tunakkusibwanga obulungi obw'ennyumba yo, Awatukuvu mu yeekaalu yo.
5 N'ebigambo eby'entiisa olituddamu mu butuukirivu, Ai Katonda ow'obulokozi bwaffe; Ggwe enkomerero zonna ez'ensi gwe zeesiga, N'abo abali ewala ku nnyanja:
6 Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge: Nga yeesiba obuyinza:
7 Asirisa okuwuuma kw'ennyanja, Okuwuuma kw'amayengo gaayo, N'okuyoogaana kw'amawanga.
8 Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo: Ggwe osanyusa emiryango gy'enkya n'egy'akawungeezi.
9 Okyalira ensi, n'ogifukirira, Ogigaggawaza nnyo; Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi: Obalabira eŋŋaano, ng'omaze okulongoosa ensi bw'otyo.
10 Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi; Olongoosa ebibibi byayo: Ogigonza n'oluwandaggirize; Okuwa omukisa okumera kwayo.
11 Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo; N'amakubo go gatonnyesa obugimu.
12 Gatonnyesa mu malundiro ag'omu ddungu: N'obusozi bwesiba essanyu.
13 Amalundiro gambala ebisibo; Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano: Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba.

">


Essuula 66

1 Leeta eddoboozi ery'essanyu eri Katonda, ensi yonna:
2 Yimbira waggulu ekitiibwa eky'erinnya lye: Gulumiza ettendo lye libe n'ekitiibwa.
3 Gamba Katonda nti Emirimu gyo nga gya ntiisa! Olw'obuyinza bwo obungi abalabe bo balikujeemukira.
4 Ensi yonna erikusinza, Erikuyimbira ggwe; Baliyimbira erinnya lyo. (Seera)
5 Mujje mulabe emirimu gya Katonda; Ye w'entiisa mu by'akola eri abaana b'abantu.
6 Ennyanja yagifuula olukalu: Baayita mu mugga n'ebigere: Awo we twamusanyukirira.
7 Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga: Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)
8 Kale, mmwe amawanga, mumwebazenga Katonda waffe, Muwulize eddoboozi erimutendereza:
9 Akwatirira emmeeme yaffe obutafa, Era ataganya bigere byaffe okusagaasagana.
10 Kubanga ggwe, ai Katonda, watugeza: Watukema nga bwe bakema effeeza.
11 Watuyingiza mu kitimba; Wateeka omugugu omuzito ku biwato byaffe.
12 Weebagaza abantu okulinnya ku mitwe gyaffe; Twayita mu muliro ne mu mazzi; Naye watuggyamu n'otuyingiza mu kifo eky'obugagga.
13 Naayingira mu nnyumba yo n'ebiweebwayo ebyokebwa, Naakusasula obweyamo bwange,
14 Emimwa gyange bwe gyayogera, N'akamwa kange bwe kaayatula, bwe nnalaba ennaku.
15 Naakuwa ebyokwokya ebya ssava, N'ebyokwoteza eby'endiga eza seddume; Naawaayo ente n'embuzi. (Seera)
16 Mujje muwulire, mwenna abatya Katonda, Nange ne mbuulira bye yakolera emmeeme yange.
17 Namukoowoola n’akamwa kange, Era yatenderezebwa n'olulimi lwange.
18 Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu mu mutima gwange, Mukama taawulire:
19 Naye mazima Katonda awulidde; Alowoozezza eddoboozi ery'okusaba kwange.
20 Katonda yeebazibwe, Atagobye kusaba kwange, so tannyimye kusaasira kwe.

">


Essuula 67

1 Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa. Atwakizenga amaaso ge; (Seera)
2 Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi, Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga.
4 Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu: Kubanga olisalira abantu emisango egy'ensonga, Era olifugira amawanga mu nsi. (Seera)
5 Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga,
6 Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7 Katonda anaatuwanga omukisa; N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga.

">


Essuula 68

1 Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge.
2 Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo: Ng'envumbo bw'esaanuuka ku muliro, Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda.
3 Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda: Weewaawo, bajaguze n'essanyu.
4 Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye: Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; YA lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge.
5 Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango, Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu.
6 Katonda awa abawuulu ennyumba: Aggya abasibe (mu kkomera) okulaba ebirungi: Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze.
7 Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula mu ddungu; (Seera)
8 Ensi n'ekankana, Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri.
9 Ggwe, ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye.
10 Ekibiina kyo kyatuula omwo: Ggwe, ai Katonda; wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo.
11 Mukama yawa ekigambo: Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye eringi.
12 Bakabaka b'eggye badduka, badduka: Omukazi asigala eka ye agaba omunyago.
13 Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu?
14 Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni.
15 Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu.
16 Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna.
17 Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n’enkumi: Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu.
18 Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo.
19 Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera)
20 Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa.
21 Naye Katonda alifumita omutwe gw'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango.
22 Mukama yayogera nti Ndikomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja:
23 Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lubeerenga n'omugabo gwalwo eri abalabe bo.
24 Balabye bw'otambula, ai Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu.
25 Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa.
26 Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe ab'oluzzi lwa Isiraeri.
27 Waliwo Benyamini omuto abafuga, Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo, Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali.
28 Katonda wo alagidde amaanyi go: Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera.
29 Olwa yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo.
30 Onenye ensolo ey'omu bitoogo, Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga, Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo; Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo.
31 Abalangira baliva mu Misiri; Kuusi eryanguwa okugolola emikono gye eri Katonda.
32 Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera)
33 Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi.
34 Mumuwe Katonda amaanyi: Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu.
35 Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu: Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe.

">


Essuula 69

1 Ndokola, ai Katonda; Kubanga amazzi gayingidde ne gatuuka ku mmeeme yange.
2 Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira: Ntuuse mu buziba amazzi amangi we gampitirako.
3 Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze: Amaaso gange ganzibye nga nnindirira Katonda wange.
4 Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi: Abaagala okunzikiriza, kubanga be balabe bange awatali nsonga, ba maanyi: Ne ndyoka nziza kye saabaggyaako.
5 Ai Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange: N'okwonoona kwange tekukisibwa ggwe.
6 Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, ai Mukama Katonda ow'eggye: Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, ai Katonda wa Isiraeri.
7 Kubanga banvuma okunnanga ggwe; Ensonyi zibisse amaaso gange.
8 Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange, Era atali mumanyi eri abaana ba mmange.
9 Kubanga obuggya obw'ennyumba yo bundidde; N'ebivume by'abo abakuvuma ggwe binguddeko.
10 Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n'esiiba enjala, Ekyo kye kyanvumya.
11 Bwe nnayambala ebibukutu, Ne mbafuukira eŋŋombo.
12 Abatuula mu mulyango banjogerako, Era ndi luyimba lwa batamiivu.
13 Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, ai Mukama, mn kiseera eky'okukkiririzaamu: Ai Katonda, mu kusaasira kwo okungi, Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo.
14 Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira: Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag'eddubi.
15 Amazzi amangi galeme okumpangula, Newakubadde obuziba buleme okummira; Newakubadde obunnya buleme okunzibira akamwa kaabwo.
16 Onziremu, ai Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi: Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire.
17 So tokisa amaaso go omuddu wo; Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu.
18 Osemberere emmeeme yange, oginunule: Ompe eddembe olw'abalabe bange.
19 Ggwe omanyi bwe nvumibwa, bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa: Abalabe bange bonna bali mu maaso go.
20 Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku: Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu: Era abanansanyusa, naye ne siraba.
21 Era bampa omususa okuba emmere yange; Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu,
22 Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gye bali; Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego.
23 Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba; Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna.
24 Obafukengako ekiruyi kyo, N'obusungu bwo obukambwe bubatuukengako.
25 Ennyumba yaabwe erekebwenga, So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe.
26 Kubanga baayigganya oyo gw'okubye; Era boogera ku nnaku zaabo b'ofumise.
27 Oyongerenga obubi ku bubi bwabwe: So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo.
28 Basangulibwenga okuva mu kitabo ky'obulamu, So balemenga okuwandiikibwa awamu n'abatuukirivu.
29 Naye nze ndi mwavu, munaku: Obulokozi bwo, ai Katonda, bungulumize waggulu.
30 Naatenderezanga erinnya lya Katonda n'oluyimba, Naamugulumizanga n'okwebaza.
31 Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente, Ente erina amayembe n'ebinuulo.
32 Abawombeefu bakirabye ne basanyuka: Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu.
33 Kubanga Mukama awulira abaavu, So tanyooma basibe be.
34 Eggulu n'ensi bimutenderezenga, Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu.
35 Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, era alizimba ebibuga bya Yuda; Nabo balituula omwo, ne bagirya
36 Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira; N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo.

">


Essuula 70

1 Oyanguwe, ai Katonda, okundokola; Oyanguwe okunnyamba, ai Mukama.
2 Bakwatibwe ensonyi baswale Abanoonya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma bajeezebwe Abasanyukira okufiirwa kwange.
3 Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe Aboogera nti Nyenya, nyenya.
4 Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga; N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Katonda agulumizibwenga.
5 Naye nze ndi mwavu, sirina kintu; Oyanguwe okujja gye ndi, ai Katonda: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Ai Mukama, tolwawo.

">


Essuula 71

1 Ggwe, ai Mukama, ggwe nneesiga: Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna.
2 Ondokole mu butuukirivu bwo, omponye: Ontegere okutu, ondokole.
3 Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo: Walagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
4 Omponye, ai Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
5 Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, ai Mukama Katonda: Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
6 Ggwe wampanirira okuva mu lubuto: Ggwe wanziya mu byenda bya mmange: Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
7 Nninga ekitalo eri abantu abangi; Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi.
8 Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, N'ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9 Tonsuula mu biro eby'obukadde; Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
10 Kubanga abalabe bange banjogerako; N'abo abateega emmeeme yange bateesa wamu,
11 Nga boogera nti Katonda amulese: Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.
12 Ai Katonda, tombeera wala: Ai Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13 Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange; Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.
14 Naye naasuubiranga ennaku zonna, Era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
15 Akamwa kange kanaatenderanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sigumanyi.
16 Najjanga n'ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda: Naayogeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17 Ai Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero naabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
18 Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
19 Era n'obutuukirivu bwo, ai Katonda, bugulumivu nnyo: Ggwe eyakola ebikulu, Ai Katonda, afaanana nga ggwe ani?
20 Ggwe eyatulaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olituzuukiza nate, Era olitulinnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.
21 Oyongerenga ggwe obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse.
22 Era naakutenderezanga n'endere, Amazima go ge nnaatenderezanga, ai Katonda wange: Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga, Ai ggwe Omumkuvu wa Isiraeri.
23 Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza; N'emmeeme yange gye wanunula.
24 Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde: Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.

">


Essuula 72

1 Owenga kabaka emisango gyo, ai Katonda Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka.
2 Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutuukirivu, N'abaavu bo egy'ensonga.
3 Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe, N'obusozi, mu butuukirivu.
4 Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu, Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu, Era anaamenyaamenyanga omujoozi.
5 Banaakutyanga ng'enjuba ekyaliwo, Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna.
6 Alikka ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa: Ng'empandaggirize ezifukirira ensi.
7 Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo.
8 Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, Era okuva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
9 Abatuula mu ddungu balimufukaamirira; N'abalabe be balikomba enfuufu.
10 Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku Bizinga banaaleetanga ebirabo: Bakabaka w’e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone.
11 Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge: Amawanga gonna ganaamuweerezanga.
12 Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga: N'omwavu atalina mubeezi.
13 Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.
14 Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n'ettima: N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge:
15 Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e banaamusabiranga Syeba: Era abantu bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde.
16 Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaayuuganga nga Lebanooni: N'ab'ekibuga banaameranga ng'omuddo ogw'oku nsi.
17 Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba: N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa.
18 Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, Akola eby'amagero yekka:
19 N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye. Amiina, era Amiina.
20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde.

">


Essuula 73

1 Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, Eri abo abalina emitima emirongoofu.
2 Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa; Okutambula kwange kwabulako katono okuseerera.
3 Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya, Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa.
4 Kubanga bafa tebalumwangako: Naye amaanyi gaabwe ganywera.
5 Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala:
6 Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo.
7 Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
8 Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi: Boogera ebikulu.
9 Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu, N'olulimi lwabwe lutambulatambula mu nsi.
10 Abantu be kyebava bakomawo wano: N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala.
11 Era boogera nti Katonda amanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?
12 Laba, abo be babi; Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna.
13 Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona;
14 Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya.
15 Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo; Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo.
16 Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyanteganya ne kinnema;
17 Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero.
18 Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi: Obasuulira ddala ne bazikirira.
19 Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono Entiisa zibamalirawo ddala.
20 Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
21 Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange yanfumita;
22 Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera; Nali nsolo mu maaso go.
23 Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
24 Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.
25 Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe.
26 Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
27 Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka.
28 Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.

">


Essuula 74

1 Ai Katonda, kiki ekyatusuuza ennaku zonna? Kiki ekinyoosa obusungu bwo eri endiga ez'ettale lyo?
2 Ojjukire ekibiina kyo kye wagula edda, Kye wanunula okuba ekika eky'obusika bwo; N'olusozi Sayuuni, lwe watuulangamu.
3 Oyimuse ebigere byo ogende mu bifulukwa ebitavaawo, Obubi bwonna omulabe bwe yakola mu watukuvu.
4 Abalabe bo bawulugumye wakati mu kibiina kyo; Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.
5 Bafaananye ng'abantu abayimusa Embazzi okutema ekisaka eky'omu kibira.
6 Ne kaakano bamenyaamenya emirimu gyawo gyonna emyole N'embazzi n'ennyondo.
7 Bookezza omuliro awatukuvu wo; Banyoomye ennyumba ey'erinnya lyo ne bagisuula wansi.
8 Boogedde mu mitima gyabwe nti Tubazikiririze ddala bonna bonna: Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu nsi.
9 Tetukyalaba bubonero bwaffe; Tewakyali nnabbi n'omu; So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo gye birituusa okubaawo.
10 Ai Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma? Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna?
11 Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo? Oguggye mu kifuba kyo obazikirize.
12 Naye Katonda ye Kabaka wange edda n'edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi.
13 Wayawula ennyanja n'amaanyi go: Wamenya emitwe gy'ensolo mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata, Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu.
15 Wasalamu ensulo n'omukka: Wakaza emigga eminene.
16 Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba.
17 Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi.
18 Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, ai Mukama, Era ng'eggwanga essirusiru liboggoledde erinnya lyo.
19 Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna.
20 Ojjukire endagaano: Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima.
21 Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde: Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo.
22 Golokoka, ai Katonda, weewolereze ensonga yo, Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma.
23 Teweerabira ddoboozi lya balabe bo: Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.

">


Essuula 75

1 Tukwebaza, ai Katonda; Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi: Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo.
2 Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo, Ndisala emisango egy'ensonga.
3 Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo: Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera)
4 Nagamba ab'ekyejo nti Temugiranga kyejo: N'ababi nti Temuyimusanga jjembe:
5 Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba, Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiika obwa ddyo.
7 Naye Katonda ye mulamuzi: Atoowaza ono, n'oli amugulumiza.
8 Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa.
9 Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna, Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo.
10 Era n'amayembe gonna ag'ababi naagazikirizanga; Naye amayembe g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga.

">


Essuula 76

1 Mu Yuda Katonda amanyibwa: Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
2 Era mu Salemi eweema ye mweri, N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni.
3 Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego, Engabo, n'ekitala, n'olutalo. (Seera
4 Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez'omunyago.
5 Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; So mu bantu ab'amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe.
6 Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo, Eggaali era n'embalaasi n'ebyebasibwa otulo otw'okufa.
7 Ggwe, ggwe ogwanira okutiibwa: Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala?
8 Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu; Ensi n'etya, n'esirika;
9 Katonda bwe yagolokoka okusala omusango, Okulokola abawombeefu bonna abali mu nsi. (Seera)
10 Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza: Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
11 Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe: Bonna abamwetoolodde baleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa.
12 Alizikiriza omwoyo gw'abalangira: Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi.

">


Essuula 77

1 Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange; Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga.
2 Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.
3 Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira: Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera)
4 Okwata ku maaso gange nga gatunula: Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
5 Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda.
6 Njijukira oluyimba lwange ekiro Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
7 Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate?
8 Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?
9 Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera)
10 Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.
11 Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.
12 Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.
13 Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?
14 Ggwe Katonda akola eby'amagero: Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
15 Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera)
16 Amazzi gaakulaba, ai Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya: Era n'obuziba ne bukankana.
17 Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne lireeta eddoboozi : Era n'obusaale bwo ne bubuna.
18 Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna: Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.
19 Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika.
20 Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni.

">


Essuula 78

1 Muwulire, mmwe abantu bange, okulagira kwange: Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange.
2 Naayasama akamwa kange mu lugero: Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda:
3 Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.
4 Tetuubikisenga baana baabwe, Nga tubuulira emirembe egijja amatendo ga Mukama, N'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola.
5 Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babitegeezenga abaana baabwe:
6 Emirembe egijja gibimanye, be baana abaali bagenda okuzaalibwa; Abaali bagenda okugolokoka n'okubibuulira abaana baabwe:
7 Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge:
8 So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Emirembe emikakanyavu, emijeemu; Emirembe egitalongoosa bulungi omutima gwagyo, N'omwoyo gwagyo nga tegunywera eri Katonda.
9 Abaana ba Efulayimu, nga balina ebyokulwanyisa n'emitego, Ne bakyuka ennyuma ku lunaku olw'olutalo.
10 Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge;
11 Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga.
12 Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.
13 Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo.
14 Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro.
15 Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
16 Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga.
17 Naye ne banyiikira nate okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.
18 Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe Nga basaba emmere olw'okwegomba kwabwe.
19 Era naye baayogera obubi ku Katonda; Baagamba nti Katonda ayinza okuteekateeka emmeeza mu ddungu?
20 Laba, yakuba ejjinja amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Era ayinza okuwa n'omugaati? Alirabira ennyama abantu be?
21 Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala: Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bunyooka ku Isiraeri:
22 Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe.
23 Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu;
24 N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu.
25 Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga ebyokulya n'abakkusa.
26 N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu: Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiika obwa ddyo.
27 Era n'abatonnyeseza ennyama ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja:
28 N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29 Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba.
30 Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe,
31 Obusungu bwa Katonda ne bulinnya ku bo, Ne bubattamu abasinga obunene, Ne buzikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32 Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne boonoona nate, Ne batakkiriza bya magero bye.
33 Kyeyava amalawo ennaku zaabwe okuzifuula obutaliimu, N'emyaka gyabwe mu kutya.
34 Bwe yabatta, bwe baabuuzabuuza okumunoonya: Ne bakomawo ne bakeeranga okunoonya Katonda.
35 Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.
36 Naye baamunyumiriza na kamwa kaabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe.
37 Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.
38 Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atazikiriza: Weewaawo, emirundi emingi yabayisaako obusungu bwe, N'atakubiriza busungu bwe bwonna.
39 Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; Empewo eziyita ne zitadda nate.
40 Emirundi nga mingi gye baakamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
41 Ne bakyuka nate ne bakema Katonda, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.
42 Tebajjukira mukono gwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.
43 Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;
44 N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.
45 N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza.
46 Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige.
47 N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira.
48 Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'endiga zaabwe eri enjota ezaaka.
49 Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, Ekibiina kya bamalayika abaleeta obubi.
50 Yakubira obusungu bwe ekkubo, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwabwe eri olumbe;
51 N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu:
52 Naye n'aggyamu abantu be ye ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo.
53 N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya: Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.
54 N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.
55 Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.
56 Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batakwata bye yategeeza;
57 Naye ne bakyuka ennyuma ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe: Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.
58 Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.
59 Katonda bwe yawulira bw'atyo n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri:
60 N'afuluka mu weema ey'omu Siiro, Eweema gye yali ateese mu bantu;
61 N'awaayo amaanyi ge mu busibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe.
62 Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe:
63 Omuliro ne gulya abavubuka baabwe; N'abawala baabwe ne batab na luyimba lwa kufumbirwa.
64 Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.
65 Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge.
66 N'akuba abalabe be ne baddayo ennyuma: N'abakwasa ensonyi ezitaggwaawo.
67 Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu;
68 Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga:
71 Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
72 Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye.

">


Essuula 79

1 Ai Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye yeekaalu yo entukuvu; Basudde Yerusaalemi entuumo n'entuumo.
2 Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi.
3 Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi: Ne wataba muntu wa kubaziika.
4 Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde.
5 Ai Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro?
6 Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7 Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye.
8 Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga: Kubanga tujeezebwa nnyo.
9 Otuyambe, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo: Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo.
10 Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika
11 Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;
12 Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe Ekivume kye baakuvuma ggwe, ai Mukama.
13 Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo Tunaakwebazanga ennaku zonna: Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.

">


Essuula 80

1 Ai Omusumba wa Isiraeri, wulira, Ggwe aluŋŋamya Yusufu ng'ekisibo; Ggwe atuula wakati wa bakerubi, yakira ddala.
2 Mu maaso ga Efulayimu ne Benyamini ne Manase, kubiriza amaanyi go, Ojje otulokole.
3 Otukyuse nate, ai Katonda; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
4 Ai Mukama Katonda ow'eggye, Olituusa wa okusunguwalira okusaba kw'abantu bo?
5 Wabaliisa emmere ey'amaziga, Era wabawa amaziga amangi okunywa.
6 Otufuula oluyombo eri baliraanwa baffe: N'abalabe baffe baseka bokka na bokka.
7 Otukyuse nate, ai Katonda ow'eggye; Era oyase amaaso go, naffe tulirokoka.
8 Waggya omuzabbibu mu Misiri: Wagobamu amawanga, n'ogusimba.
9 Wasaawa mu maaso gaagwo, Ne gusimba nnyo emmizi, ne gujjula ensi.
10 Ensozi ne zibikkibwa n'ekisiikirize kyagwo, N'amatabi gaagwo ne gaba ng'emivule gya Katonda.
11 Gwaloka amatabi gaagwo okutuusa ku nnyanja N'ensibuko zaagwo okutuusa ku Mugga.
12 Kiki ekyakumenyesa enkomera zaagwo, Bonna abayita mu kkubo ne bagunogako?
13 Embizzi eva mu kibira egunyaga, N'ensolo ez'omu nsiko zigulyako.
14 Okyuke nate, tukwegayiridde, ai Katonda ow'eggye: Otunuulire wansi ng'oyima mu ggulu, olabe, ojjire omuzabbibu ogwo.
15 N'ekikolo omukono gwo ogwa ddyo kye gwasimba, N'ettabi lye weekolera ery'amaanyi.
16 Gwokeddwa omuliro, gutemeddwa ddala: Bazikirira amaaso go bwe gabanenya.
17 Omukono gwo gube ku musajja ow'omukono gwo ogwa ddyo, Ku mwana w'omuntu gwe weekolera ow'amaanyi.
18 Naffe tetulidda nnyuma okukuleka: Otuzuukize ggwe, naffe tunaakaabiranga erinnya lyo.
19 Otukyuse, nate, ai Mukama Katonda ow'eggye; Oyase amaaso go, naffe tulirokoka.

">


Essuula 81

1 Muyimbirenga waggulu Katonda amaanyi gaffe: Muleetenga eddoboozi ery'essanyu eri Katonda wa Yakobo.
2 Mwanukulenga oluyimba, muleetenga ekitaasa, Ennanga ennungi era n'amadinda.
3 Mufuuwenga ekkondeere omwezi nga kye gujje guboneke, Omwezi nga gwa ggabogabo, ku lunaku lwaffe olutukuvu olw'embaga.
4 Kubanga eryo lye tteeka eri Isiraeri, Ekiragiro kya Katonda wa Yakobo.
5 Yakiteeka mu Yusufu okuba obujulirwa, Bwe yabuna ensi y'e Misiri: Gye nnawuulira olulimi lwe ssaamanya.
6 N'aggya ekibegabega kye ku mugugu; Engalo ze ne zisumattulwa mu bibbo.
7 Wakoowoola bwe wali mu nnaku, nange ne nkuwonya; Ne nkuddiramu mu kifo eky'ekyama eky'okubwatuka: Nakukemera ku mazzi ag'e Meriba. (Seera)
8 Muwulire, mmwe abantu bange, nange naabategeeza: Ggwe Isiraeri, singa okkiriza okumpulira!
9 Temuubenga katonda munnaggwanga mu ggwe; So toosinzenga katonda munnaggwanga yenna.
10 Nze Mukama Katonda wo, Eyakuggya mu nsi y'e Misiri: Yasama nnyo akamwa ko, nange naakajjuza.
11 Naye abantu bange tebaawulira ddoboozi lyange; So Isiraeri teyanjagala n'akatono.
12 Nange ne mbaleka okugoberera obukakanyavu bw'omutima gwabwe, Batambulirenga mu kuteesa kwabwe bo.
13 Singa abantu bange bakkiriza okumpulira, Singa Isiraeri akkiriza okutambulira mu makubo gange!
14 Nandiwangudde mangu abalabe baabwe, Nandikyusizza omukono gwange ku abo abalwana nabo.
15 Abakyawa Mukama bandimujeemulukukidde: Naye ekiseera kyabwe kyandibadde kya mirembe gyonna.
16 Era yandibaliisizza n'obugimu obw'eŋŋaano: Era nandikukkusizza n'omubisi gw'enjuki oguva mu jjinja.

">


Essuula 82

1 Katonda ayimirira mu kibiina kya Katonda; Asala emisango mu bakatonda.
2 Mulituusa wa okusalanga emisango egitali gya nsonga, N'okusalirizanga ababi? (Seera)
3 Musalirenga emisango omwavu n'oyo atalina kitaawe: Mugattenga oyo ali mu nnaku n'atalina bintu.
4 Muwonyenga omwavu n'oyo eyeetaaga: Mubalokolenga mu mukono gw'omubi.
5 Tebamanya so tebategeera; Batambulatambula mu kizikiza: Emisingi gyonna egy'ensi gisagaasagana.
6 Nayogera nti Muli bakatonda, Era mwenna muli baana b'oyo ali waggulu ennyo.
7 Era naye munaafanga ng'abantu, Era munaagwanga ng'omu ku balangira.
8 Golokoka, ai Katonda, osalire ensi omusango: Kubanga olisikira amawanga gonna.

">


Essuula 83

1 Ai Katonda, tosirika nate: Toleka kwogera, so tobeererawo, ai Katonda.
2 Kubanga, laba, abalabe bo bayoogaana: N'abo abakukyawa bayimusizza omutwe.
3 Basala enkwe ku bantu bo, Bateesa wamu obubi ku bantu bo abakweke.
4 Boogedde nti Mujje tubazikirize balemenga okuba eggwanga; Erinnya lya Isiraeri liremenga okujjukirwa nate.
5 Kubanga bateesezza wamu n'omwoyo gumu; Balagaana endagaano ku ggwe:
6 Eweema za Edomu n'ez'Abaisimaeri; Mowaabu, n'Abakagale;
7 Gebali, ne Amoni, ne Amaleki; Firisutiya awamu n'abo abatuula mu Ttuulo:
8 Era n'Obwasuli bwegasse nabo; Bayambye abaana ba Lutti. (Seera)
9 Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
10 Obakole nga bwe wakola Midiyaani; nga Sisera, nga Yabini, ku mugga Kisoni;
11 Abakungu baabwe obafaananye nga Olebu ne Zeebu; Weewaawo, abalangira baabwe bonna nga Zeba ne Zalumunna:
12 Abaayogera nti Twetwalire fekka Ennyumba za Katonda tuzirye.
13 Ai Katonda wange, obafuule ng'enfuufu ey'akazimu; Ng'ebisasiro empewo bye zitwala.
14 Ng'omuliro ogwokya ekibira, Era ng'ennimi z'omuliro ezookya ensozi;
15 Obayigganye bw'otyo ne kibuyaga wo, Era obatiise n'empewo zo.
16 Jjuza amaaso gaabwe okweraliikirira; Banoonyenga erinnya lyo, ai Mukama.
17 Bakwatibwenga ensonyi, batyenga ennaku zonna; Weewaawo, beeraliikirirenga bazikirirenga:
18 Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo YAKUWA, Oli waggulu nnyo ng'ofuga ensi yonna.

">


Essuula 84

1 Eweema zo nga nnungi, Ai Mukama ow'eggye.
2 Emmeeme yange yeegomba, era ezirise olw'empya za Mukama; Omutima gwange n'omubiri gwange bikaabira Katonda omulamu.
3 Weewaawo, enkazaluggya yeerabidde ennyumba, N'akataayi ekisu mwe kanaabiikiranga obwana bwako, Bye byoto byo, ai Mukama ow'eggye, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa abatuula mu nnyumba yo: Banaakutenderezanga. (Seera)
5 Alina omukisa omuntu amaanyi ge bwe gaba mu ggwe; Enguudo ezigenda mu Sayuuni nga ziri mu mutima gwe.
6 Nga bayita mu kiwonvu eky'amaziga bakifuula ekifo eky'ensulo; Weewaawo, ddumbi akibikkako n'omukisa.
7 Bava mu maanyi ne baggukira mu maanyi, Buli muntu mu bo alabika mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Ai Mukama Katonda ow'eggye, wulira okusaba kwange: Otege okutu, ai Katonda wa Yakobo. (Seera)
9 Tunula, ai Katonda engabo yaffe, Olabe amaaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
10 Kubanga olunaku lumu mu mpya zo lusinga olukumi. Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange Okusinga okutuula mu weema ez'obubi.
11 Kubanga Mukama Katonda ye njuba, ye ngabo: Mukama anaagabanga ekisa n'ekitiibwa: Tammenga kintu kirungi kyonna abo abeegendereza.
12 Ai Mukama ow'eggye, Alina omukisa omuntu akwesiga ggwe.

">


Essuula 85

1 Mukama, watunuulira ensi yo n'ekisa: Wazza obusibe bwa Yakobo.
2 Wasonyiwa obutali butuukirivu obw'abantu bo, Wabikka ku kibi kyabwe kyonna. (Seera)
3 Waggyawo obusungu bwo bwonna: Wakyuka n'oleka ekiruyi kyo ekikambwe:
4 Otukyuse, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe. Era okunyiiga kwo kuggweewo eri ffe.
5 Onootuusunguwaliranga ennaku zonna? Onootuusanga obusungu bwo emirembe gyonna?
6 Tolituzuukiza nate, Abantu bo bakusanyukirenga ggwe?
7 Otulage okusaasira kwo, ai Mukama, Otuwe obulokozi bwo.
8 Ka mpulire Katonda Mukama by'anaayogera: Kubanga anaabuulira abantu be emirembe, n'abatukuvu be: Naye baleme okukyama nate mu busirusiru.
9 Mazima obulokozi bwe buba kumpi abo abamutya; Ekitiibwa kiryoke kituulenga mu nsi yaffe.
10 Okusaasira n'amazima birabaganye; Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye.
11 Amazima galose mu ttaka; N'obutuukirivu butunudde ku nsi nga buyima mu ggulu.
12 Weewaawo, Mukama anaagabanga ebirungi; N'ensi yaffe eneereetanga ekyengera kyayo.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga; Era bunaakubiranga ebigere bye ekkubo.

">


Essuula 86

1 Otege okutu kwo, ai Mukama, onziremu; Kubanga nze ndi mwavu, sirina bintu.
2 Okuume emmeeme yange; kubanga nze ntya Katonda: Ai ggwe Katonda wange, olokole omuddu wo akwesiga.
3 Onsaasire, ai Mukama; Kubanga nkukoowoola ggwe okuzibya obudde.
4 Osanyuse emmeeme y'omuddu wo; Kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe, ai Mukama.
5 Kubanga ggwe, Mukama, oli mulungi, oyanguwa okusonyiwa, Era ojjula ekisa eri abo bonna abakukoowoola.
6 Otege okutu, ai Mukama, eri okusaba kwange; Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange.
7 Ku lunaku olw'okunakuwala kwange ndikukoowoola; Kubanga olinziramu.
8 Tewali afaanana nga ggwe mu bakatonda, ai Mukama; So tewali bikolwa ebiri ng'ebibyo.
9 Amawanga gonna ge wakola galijja, galisinza mu maaso go, ai Mukama; Era galigulumiza erinnya lyo.
10 Kubanga ggwe mukulu, era okola eby'ekitalo: Ggwe Katonda wekka.
11 Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go: Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.
12 Naakutenderezanga, ai Mukama Katonda wange, n'omutima gwange gwonna; Era naagulumizanga erinnya lyo emirembe gyonna.
13 Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi; Era wawonya emmeeme yange mu bunnya obuli wansi ennyo.
14 Ai Katonda, ab'amalala bangolokokeddeko, N'ekibiina eky'abatemu banoonyezza emmeeme yange, So tebakutadde ggwe mu maaso gaabwe.
15 Naye ggwe, ai Mukama, oli Katonda ajjula okusaasira, ow'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusaasira n'amazima amangi.
16 Onkyukire, onsaasire; Owe omuddu wo amaanyi go, Olokole omwana w'omuzaana wo.
17 Ondage akabonero olw'obulungi; Abankyaye bakalabe bakwatibwe ensonyi. Kubanga ggwe, ai Mukama, onnyambye, era onsanyusizza.

">


Essuula 87

1 Emisingi gye giri ku nsozi entukuvu.
2 Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni Okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.
3 Eby'ekitiibwa bikwogerwako, Ggwe ekibuga kya Katonda. (Seera)
4 Ndyogera ku Lakabu ne Babulooni nga bali mu abo abammanyi: Laba Firisutiya, ne Ttuulo, ne Esiyoopya; Oyo Yazaalirwa omwo.
5 Weewaawo, kiryogerwa ku Sayuuni nti Gundi ne gundi baazaalirwa omwo; N'oyo ali waggulu ennyo alikinyweza yennyini.
6 Mukama alibala, bw'aliwandiika amawanga, Nti Gundi yazaalirwa omwo. (Seera)
7 Abayimba era n'abo abazina (balyogera nti) Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.

">


Essuula 88

1 Ai Mukama, Katonda ow'obulokozi bwange, Naakaabiranga emisana n'ekiro mu maaso go:
2 Okusaba kwange kuyingire w'oli; Otege okutu kwo eri okukaaba kwange:
3 Kubanga emmeeme yange ejjudde ennaku, N'obulamu bwange busemberera e magombe.
4 Bambalira wamu n'abo abakka mu bunnya; Nninga omuntu atalina mubeezi:
5 Asuulibwa mu bafu, Ali ng'abattibwa abagalamira mu ntaana, B'otojjukira nate; Era bayawukana n'omukono gwo.
6 Ontadde mu bunnya obuli wansi ennyo, Mu bifo eby'enzikiza, mu buziba.
7 Obusungu bwo bunyigiriza nnyo, Era ombonyabonyezza n'amayengo go gonna. (Seera)
8 Onjawukanyirizza wala n'abo be mmanyi; Onfudde ekitama eri abo: Nsibiddwa, so siyinza kuvaamu.
9 Eriiso lyange likulukuse olw'okunakuwala: Nkukaabira buli lunaku, ai Mukama, Ntega engalo zange eri ggwe.
10 Oliraga abafu eby'amagero? Abaafa baligolokoka balikutendereza? (Seera)
11 Ekisa kyo kiribuulirirwa mu magombe? N'obwesigwa bwo mu kuzikirira?
12 Eby'amagero byo birimanyirwa mu kizikiza? N'obutuukirivu bwo mu nsi ey'okwerabira?
13 Naye ggwe, ai Mukama, gwe nkaabira, Era buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga mu maaso go.
14 Mukama, kiki ekikusuuza emmeeme yange? Kiki ekikunkwesa amaaso go?
15 Mbonyaabonyezebwa, nfaanana okufa okuva mu buto bwange: Entiisa zo bwe zimbaako, ne nneeraliikirira nnyo.
16 Obusungu bwo obukambwe buntuuseeko; Entiisa zo zinzingizizza.
17 Banneetooloola ng'amazzi okuzibya obudde; Bantaayiza eruuyi n'eruuyi wamu.
18 Abanjagala ne mikwano gyange obaawukanyizza wala nange, N'abo be mmanyi mu kizikiza.

">


Essuula 89

1 Naayimbanga ku kusaasira kwa Mukama ennaku zonna: N'akamwa kange naategeezanga ab'emirembe gyonna obwesigwa bwo.
2 Kubanga njogedde nti Okusaasira kunaanywezebwanga okutuusa emirembe n'emirembe; Era ne mu ggulu onoosimbanga obwesiswa bwo.
3 Ndagaanye endagaano n'abalonde bange, Ndayiridde Dawudi amuddu wange;
4 Ezzedde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna, N'entebe yo naagizimbiranga ddala emirembe gyonna. (Seera)
5 N'eggulu linaatenderezanga eby'amagero byo, ai Mukama; Era n'obwesigwa bwo mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu.
6 Kubanga ani mu ggulu gwe bayinza okugeraageranya ne Mukama? Ani ku baana b'abakulu ali nga Mukama.
7 Ye Katonda atiibwa ennyo mu lukiiko olw'abatukuvu, Agwaana okutiibwa okusinga bonna abamwetooloola?
8 Ai Mukama Katonda ow'eggye, Ani ow'amaanyi, afaanana nga ggwe, ai YA? N'obwesigwa bwo bukwetooloola.
9 Ggwe ofuga amalala g'ennyanja: Amayengo gaayo bwe gagolokoka, ogateesa.
10 Wamenyaamenya Lakabu ng'omuntu attibwa; Wasaasaanya abalabe bo n'omukono ogw'amaanyi go.
11 Eggulu liryo, era n'ensi yiyo: Ebintu byonna n'okujjula kwabyo wabiteekawo.
12 Obukiika obwa kkono n'obwa ddyo wabutonda: Taboli ne Kerumooni zisanyukira erinnya lyo.
13 Olina omukono ogw'amaanyi: Engalo zo za maanyi, n'omukono gwo ogwa ddyo gugulumizibwa.
14 Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe yo: Okusaasira n'amazima bikulembera amaaso go.
15 Balina omukisa abantu abamanyi eddoboozi ery'essanyu: Ai Mukama, batambulira mu musana gw'amaaso go.
16 Basanyukira erinnya lyo okuzibya obudde; Era bagulumizibwa mu butuukirivu bwo.
17 Kubanga ggwe oli kitiibwa ky’amaanyi gaabwe: N'olw'ekisa kyo ejjembe lyaffe linaagulumizibwanga.
18 Kubanga Mukama ye nannyini ngabo yaffe; Era Omutukuvu wa Isiraeri ye nannyini kabaka waffe.
19 Mu biro biri wagambira abatukuvu bo mu kwolesebwa, N'oyogera nti Ntadde obuyambi ku muntu ow'amaanyi; Ngulumizizza omuntu eyalondebwa mu bantu.
20 Ndabye Dawudi omuddu wange; Mmufuseeko amafuta gange amatukuvu:
21 Engalo zange zinaanywezebwanga gy'ali; N'omukono gwange gunaamuwanga amaanyi.
22 Omulabe taamujoogenga: Newakubadde omwana w'obubi taamubonyeebonyenga.
23 Nange naasuulanga abanaalwananga naye mu maaso ge, Era naakubanga abanaamukyawanga.
24 Naye obwesigwa bwange n'okusaasira kwange binaabanga naye; Ne mu linnya lyange ejjembe lye linaagulumizibwanga.
25 Era naateekanga omukono gwe ku nnyanja, N'omukono gwe ogwa ddyo ku migga.
26 Anankaabiranga nti Ggwe kitange, Katonda wange, era ejjinja ery'obulokozi bwange.
27 Era ndimufuula omubereberye wange, Asinga bakabaka ab'ensi.
28 Naamuterekeranga okusaasira kwange emirembe n'emirembe, N'endagaano yange eneenyweranga gy'ali.
29 Era naawangaazanga ezzadde lye emirembe gyonna, N'entebe ye ng'ennaku ez'eggulu.
30 Abaana be bwe banaalekanga amateeka gange, Ne batatambuliranga mu misango gyange;
31 Bwe banaanyoomanga ebiragiro byange, Ne batakwatanga mateeka gange;
32 Nange najjiranga okwonoona kwabwe n'omuggo, N'obutali butuukirivu bwabwe n'okukuba.
33 Naye siimuggirengako ddala kusaasira kwange, So siiganyenga bwesigwa bwange okuweebuuka.
34 Siimenyenga ndagaano yange, Sijjululenga kigambo ekyava mu mimwa gyange.
35 Omulundi gumu nalayira obutuukirivu bwange; Siimulimbenga Dawudi.
36 Ezzadde lye linaabeereranga emirembe gyonna, N'entebe ye ng'enjuba mu maaso gange.
37 Eneenywezebwanga ennaku zonna ng'omwezi, Era ng'omujulirwa omwesigwa mu ggulu. (Seera)
38 Naye wasuula n'ogoba N'osunguwalira oyo gwe wafukako amafuta.
39 Wakyawa endagaano ey'omuddu wo. Wanyooma engule ye n'ogisuula wansi.
40 Wamenyaamenya enkomera ze zonna; Wayabya ebigo bye.
41 Bonna abayita mu kkubo bamunyaga: Afuuse ekivume eri baliraanwa be.
42 Ogulumizizza omukono ogwa ddyo ogw'abalabe be; Osanyusizza abamukyaye bonna.
43 Weewaawo, okyamizza obwogi bw'ekitala kye, So tomuyimirizizza mu lutalo.
44 Omazeewo okumasamasa kwe, N'osuulira ddala entebe ye wansi.
45 Osaze ku nnaku ez'obuvubuka bwe: Omubisseeko ensonyi. (Seera)
46 Olituusa wa, ai Mukama, okwekwekanga ennaku zonna? Obusungu bwo bulituusa wa okubuubuukanga ng'omuliro?
47 Ojjukire, nkwegayiridde, ekiseera kyange bwe kiri ekitono: Abaana b'abantu bonna nga wabatondera ebitaliimu!
48 Omuntu aluwa aliba omulamu ataliraba kufa, Alyewonya emmeeme ye mu buyinza bw'amagombe? (Seera)
49 Mukama, okusaasira kwo okw'edda kuli luuyi wa, Kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo?
50 Jjukira, Mukama, abaddu bo bwe bavumibwa; Bwe nsitula mu kifuba kyange ekivume eky'amawanga gonna ag'amaanyi;
51 Abalabe bo kye bavuma, ai Mukama, Kye bavuma ebigere by'oyo gwe wafukako amafuta.
52 Mukama yeebazibwenga emirembe n'emirembe. Amiina, era Amiina.

">


Essuula 90

1 Mukama, ggwe wali kifo kyaffe eky'okutuulamu Mu mirembe gyonna.
2 Ensozi nga tezinnazaalibwa, Era nga tonnabumba nsi n'ebintu Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.
3 Osindika abantu mu kuzikirira; Era oyogera nti Muddeeyo, mmwe abaana b'abantu.
4 Kubanga emyaka olukumi mu maaso go Giri ng'olwajjo olwayita, Era ng'ekisisimuka ky'ekiro.
5 Obatwalira ddala nga mukoka; bali ng'otulo: Enkya bali ng'omuddo ogumera.
6 Enkya guloka, gumera; Akawungeezi nga gusaliddwa, era nga guwotose.
7 Kubanga obusungu bwo butumalawo, Era bw'onyiiga ne tweraliikirira.
8 Otadde obutali butuukirivu bwaffe mu musana gw'amaaso go, Ebibi byaffe eby'ekyama mu musana gw'amaaso go.
9 Kubanga ennaku zaffe zonna ziyita mu busungu bwo; Emyaka gyaffe giggwaawo ng'ekirowoozo.
10 Ennaku z'emyaka gyaffe gye myaka nsanvu, Era naye amaanyi gaweza emyaka ekinaana; Naye amalala gaabwe kwe kutegana n'okunakuwala kwereere; Kubanga gayita mangu, naffe ne tubula.
11 Ani amanyi obuyinza obw'obusungu bwo, N'okunyiiga nga bw'ogwanira okutiibwa?
12 Otuyigirize tubalenga bwe tutyo ennaku zaffe, Tulyoke tufune omutima omugezigezi.
13 Okomewo, ai Mukama; olituusa wa? Era wejjuse mu bigambo eby'abaddu bo.
14 Otukkuse enkya n'okusaasira kwo; Tusanyukenga, tujaguzenga, ennaku zaffe zonna.
15 Otusanyuse ng'ennaku bwe ziri ze watubonyaabonyezangamu Era ng'emyaka bwe giri gye twalabirangamu obubi.
16 Omulimu gwo gulabikirenga abaddu bo, N'ekitiibwa kyo kirabikenga ku baana baabwe.
17 Era n'obulungi bwa Mukama Katonda waffe bubeerenga ku ffe: Era otunywerezenga emirimu gy'emikono gyaffe.

">


Essuula 91

1 Atuula mu kifo eky'ekyama eky'oyo ali waggluu ennyo Ye anaabeeranga wansi w'ekisiikirize eky'Omuyinza w'ebintu byonna.
2 Naayogeranga ku Mukama nti Oyo kye kiddukiro kyange, era kye kigo kyange: Katonda wange gwe nneesiga.
3 Kubanga oyo ye anaakulokolanga mu mutego ogw'omuyizzi, Ne mu kawumpuli omubi.
4 Anaakubikkangako n'ebiwaawaatiro bye, Era wansi w'ebyoya bye w'onoddukiranga: Amazima ge ye ngabo, ge gakuuma.
5 Tootyenga lwa ntiisa ya kiro Newakubadde akasaale akagenda emisana;
6 Olw'olumbe olutambulira mu kizikiza, Newakubadde olw'okuzikiriza okufaafaaganya mu ttuntu.
7 Abantu olukumi baligwira ku lubiriizi lwo, Era akakumi ku mukono gwo ogwa ddyo; Tekulikusemberera ggwe.
8 Naye olitunula n'amaaso go, Oliraba empeera y'ababi.
9 Kubanga ggwe, ai Mukama, oli kiddukiro kyange Omufudde oyo ali waggulu ennyo ekigo kyo w'otuula;
10 Tewali kabi akalikubaako, so tewali kibonoobono ekirisemberera eweema yo.
11 Kubanga alikulagiririza bamalayika be, Bakukuume mu makubo go gonna.
12 Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.
13 Olirinnya ku mpologoma ne ku ssalambwa; Olisamba empologoma ento n'omusota wansi w'ebigere byo.
14 Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: Ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 Alinkaabira, nange ndimuyita; Naabeeranga wamu naye bw'anaanakuwalanga: Ndimuwonya, ndimuwa ekitiibwa.
16 Ndimuwangaaza nnyo, ndimukkusa obulamu, Era ndimulaga obulokozi bwange.

">


Essuula 92

1 Kirungi okwebazanga Mukama, N'okuyimba okutenderezanga erinnya lyo, ggwe ali waggulu ennyo:
2 Okwolesanga ekisa kyo enkya, N'obwesigwa bwo buli kiro.
3 N'ekivuga ekirina enkoba ekkumi, era n'amadinda: N'eddoboozi ery'okusinza ery'ennanga.
4 Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n'omulimu gwo: Naajagulizanga emirimu gy'emikono gyo.
5 Emirimu gyo nga mikulu, ai Mukama Ebirowoozo byo bya buziba nnyo.
6 Omuntu ali ng'ensolo tamanyi kino, So nga n'omusirusiru takitegeera:
7 Ababi bwe baloka ng'omuddo, Era abakozi b'obubi bonna bwe babeera; Kyebava beera bazikirizibwe emirembe gyonna:
8 Naye ggwe, ai Mukama, ogulumizibwanga emirembe n'emirembe.
9 Kubanga, laba, abalabe bo, ai Mukama, Kubanga, laba, abalabe bo balizikirira; Abakozi b'obubi bonna balisaasaanyizibwa.
10 Naye ogulumizizza ejjembe lyange ng'ery'embogo: Nfukiddwako amafuta amaggya.
11 Era eriiso lyange Lirabye bye njagala nga bituuse ku balabe bange, Amatu gange gawulidde bye njagala nga bituuse ku abo abakola obubi abangolokokerako.
12 Omutuukirivu alyera ng'olukindu; Alikula ng'omuvule mu Lebanooni.
13 Abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama Balyerera mu mpya za Katonda waffe.
14 Baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; Balijjula amazzi, baligejja:
15 Balage nga Mukama mutuukirivu; Oyo lye jjinja lyange, so mu ye temuli butali butuukirivu.

">


Essuula 93

1 Mukama afuga; ayambadde obukulu: Mukama ayambadde, yeesibye amaanyi: Era ensi enywedde n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana.
2 Entebe yo yanywera edda n'edda lyonna: Obeererawo okuva emirembe n'emirembe.
3 Amazzi gayimusizza, Ai Mukama, Amazzi gayimusizza eddoboozi lyago; Amazzi gayimusa amayengo gaago.
4 Okusinga amaloboozi ag'amazzi amangi, Amayengo amanene ag'oku nnyanja, Mukama ali waggulu asinza amaanyi.
5 Bye wategeeza bya mazima ddala: Obutukuvu busaanira emmyumba yo, Ai Mukama, emirembe n'emirembe.

">


Essuula 94

1 Ai Mukama, ggwe Katonda nannyini kuwalana, Ggwe Katonda nannyini kuwalana, omasizemasize ddala.
2 Weeyimuse, ggwe asalira ensi emisango: Owe ab'amalala ebibagwanira.
3 Mukama, ababi balituusa wa, Ababi balituusa wa okuwangula?
4 Boogera ebitaliimu, n'eby'amalala: Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.
5 Bamenyaamenya abantu bo, ai Mukama, Era babonyaabonya obusika bwo.
6 Batta nnamwandu ne munnaggwanga, Era batta atalina kitaawe.
7 Ne boogera nti Mukama taalabe, So Katonda wa Yakobo taalowooze.
8 Mulowooze, mmwe abali ng'ensolo mu bantu: Nammwe abasirusiru, muligeziwala ddi?
9 Eyateekawo okutu, taliwulira? Eyabumba eriiso, taliraba?
10 Abonereza amawanga, talikangavvula, Ayigiriza abantu amagezi?
11 Mukama amanyi ebirowoozo by'abantu, Nga mukka.
12 Alina omukisa omuntu gw'obonereza, ai Mukama, Era gw'oyigiriza ebiva mu mateeka go;
13 Olyoke omuwummuze aleme okulaba ebiro eby'ennaku, Okutuusa obunnya lwe bulisimirwa ababi.
14 Kubanga Mukama talisuula bantu be, So talireka busika bwe.
15 Kubanga omusango gulidda mu butuukirivu: Ne bonna abalina emitima egy'amazima balibugoberera.
16 Ani anangolokokera ku abo abakola obubi? Ani anannyimiririra ku bakozi b'ebitali bya butuukirivu?
17 Singa Mukama teyali mubeezi wange, Emmeeme yange yanditudde mangu awali okusirika.
18 Bwe nnayogera nti Ekigere kyange kiseerera, Okusaasira kwo, ggwe Mukama, ne kumpanirira.
19 Mu birowoozo byange ebingi ebiri mu nze Okusanyusa kwo kumpoomera emmeeme yange.
20 Abafuga ababi balissa ekimu naawe, Abalagira eby'ettima mu mateeka?
21 Bakuŋŋaana okulumba emmeeme y'omutuukirivu, Ne basala omusango okusinga omusaayi ogutaliiko kabi.
22 Naye Mukama yabanga kigo kyange ekiwanvu; Era Katonda wange lye jjinja lye nneeyuna.
23 Era abaleeseeko obutali butuukirivu bwabwe bo, Era alibazikiriza mu bubi bwabwe; Mukama Katonda waffe alibazikiriza.

">


Essuula 95

1 Mujje, tuyimbire Mukama: Tuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ejjinja ery'obulokozi bwaffe.
2 Tujje mu maaso ge n'okwebaza, Tumuyimbire n'eddoboozi ery'essanyu ne zabbuli.
3 Kubanga Mukama ye Katonda omukulu, Era Kabaka omukulu asinga bakatonda bonna.
4 Enkonko z'ensi ziri mu mukono gwe; N'entikko z'ensozi nazo zizze.
5 Ennyanja yiye, era yagikola; N'emikono gye gye gyabumba olukalu.
6 Mujje, tusinze, tuvuuname; Tufukamire mu maaso ga Mukama Omutonzi waffe:
7 Kubanga ye Katonda waffe, Naffe tuli bantu ba ttale lye, era endiga ez'omu mukono gwe. Leero, oba nga munaawulira eddoboozi lye,
8 Temukakanyaza mitima gyammwe, nga e Meriba, Nga ku lunaku olw'e Masa mu ddungu:
9 Bajjajja bammwe bwe bankema, Ne bangeza, ne balaba omulimu gwange.
10 Emyaka amakumi ana nanyiikaalira ab'emirembe giri, Ne njogera nti Be bantu abakyama mu mutima gwabwe, So tebamanya makubo gange:
11 Kyennava ndayira mu busungu bwange, Nga tebaliyingira mu kiwummulo kyange.

">


Essuula 96

1 Muyimbire Mukama oluyimba oluggya: Mumuyimbire Mukama, mmwe ensi zonna.
2 Mumuyimbire Mukama, mwebaze erinnya lye: Mwolesenga obulokozi bwe buli lunaku buli lunaku.
3 Mubuulirenga ekitiibwa kye mu mawanga, Eby'amagero bye mu bantu bonna.
4 Kubanga Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo: Agwana okutiibwanga okusinga bakatonda bonna.
5 Kubanga bakatonda bonna ab'amawanga bye bifaananyi: Naye Mukama ye yakola eggulu.
6 Ekitiibwa n'obukulu biri mu maaso ge: Amaanyi n'obulungi biri mu watukuvu we.
7 Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby'amawanga, Mumuwe Mukama ekitiibwa n'amaanyi.
8 Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: Muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.
9 Kale mumusinze Mukama mu bulungi obw'obutukuvu. Mukankane mu maaso ge, mmwe ensi zonna.
10 Mwogerere mu mawanga nti Mukama afuga: Era n'ensi enywera n'okuyinza n'eteyinza kusagaasagana: Alisalira amawanga emisango egy'ensonga.
11 Eggulu lisanyuke, era n'ensi ejaguze; Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo;
12 Ennimiro ejaguze, n'ebigirimu byonna; Emiti gyonna egy'omu kibira ne giryoka giyimba olw'essanyu;
13 Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja; Kubanga ajja okusalira ensi emisango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'amazima ge.

">


Essuula 97

1 Mukama afuga; ensi esanyuke: Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi.
2 Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe ye.
3 Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n’eruuyi.
4 Enjota ze zaamulisa ensi: Ensi n'eraba n'ekankana.
5 Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna.
6 Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye.
7 Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna.
8 Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, ai Mukama.
9 Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna.
10 Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi.
11 Omusana gwasigirwa omutuukirivu, N'essanyu oyo alina omutima ogw'amazima.
12 Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.

">


Essuula 98

1 Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya; Kubanga akoze eby'amagero: Engalo ze eza ddyo, n'omukono gwe omutukuvu bimuleetedde obulokozi.
2 Mukama amanyisizza obulokozi bwe: Obutuukirivu bwe abwolekerezza ddala mu maaso g'amawanga.
3 Ajjukidde okusaasira kwe n'obwesigwa bwe eri ennyumba ya Isiraeri: Enkomerero zonna ez'ensi zirabye obulokozi bwa Katonda waffe.
4 Muyimbe n'eddoboozi ery'essanyu eri Mukama, mmwe ensi zonna: Muleete oluyimba muyimbe olw'essanyu, weewaawo, muyimbe eby'okutendereza.
5 Muyimbe okutendereza Mukama n'ennanga; N'ennanga era n'eddoboozi eriyimba.
6 N'amakondeere n'eddoboozi ery'akagombe Muleete eddoboozi ery'essanyu mu maaso ga Kabaka, Mukama.
7 Ennyanja ewuume, n'okujjula kwayo; Ensi zonna, n'abo abazituulamu;
8 Amazzi gakube mu ngalo; Ensozi ziyimbire wamu olw'essanyu;
9 Mu maaso ga Mukama, kubanga ajja okusalira ensi omusango: Alisalira ensi emisango egy'ensonga, Aliramula amawanga n'obutuukirivu.

">


Essuula 99

1 Mukama afuga; amawanga gakankane; Atuula wakati wa bakerubi; ensi esagaasagane.
2 Mukama mukulu mu Sayuuni; Era ali waggulu okusinga amawanga gonna.
3 Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery'entiisa. Ye mutukuvu.
4 Era amaanyi ga kabaka gaagala omusango ogw'ensonga; Ggwe onyweza obutuukirivu, Otuukiriza omusango n'obutuukirivu mu Yakobo.
5 Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Era musinzizenga ku ntebe y'ebigere bye: Ye mutukuvu.
6 Musa ne Alooni mu bakabona be, Ne Samwiri mu abo abakoowoola erinnya lye; Baakaabira Mukama, n'abayitaba.
7 Yayogerera nabo mu mpagi ey'ekire: Baakwata bye yategeeza; n'ekiragiro kye yabawa.
8 Wabaddamu, ai Mukama Katonda waffe: Wali Katonda abasonyiwa, Newakubadde nga wabawalana eggwanga olw'ebikolwa byabwe.
9 Mumugulumizenga Mukama Katonda waffe, Musinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu; Kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

">


Essuula 100

1 Muleetere Mukama eddoboozi ery'essaayu, mmwe ensi zonna.
2 Mumuweereze Mukama n'essanyu: Mujje mu maaso ge n'okuyimba.
3 Mumanye nga Mukama ye Katonda: Oyo ye yatutonda, naffe tuli babe; Tuli bantu be, era endiga ez'omu ddundiro lye.
4 Muyingire mu miryango gye n'okwebaza, Ne mu mpya ze n'okutendereza. Mumwebaze, mukuze erinnya lye.
5 Kubanga Mukama mulungi; okusaasira kwe kwa lubeerera; N'obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.

">


Essuula 101

1 Naayimbanga ku kusaasira ne ku musango: Ggwe, ai Mukama, gwe nnaayimbiranga okutendereza.
2 Naatambuliranga n'amagezi mu kkubo ettuukirivu: Woowe, olijja gye ndi ddi? Naatambuliranga mu nnyumba yange n'omutima ogutuukiridde.
3 Siiteekenga kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange: Nkyawa omulimu gw'abo abakyama; Tegwegattenga nange:
4 Omutima ogutawulira gulindekera ddala: Sirimanya kintu kyonna kibi.
5 Awaayiririza munne mu kyama, oyo n'azikirizanga: Alina amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala siimugumiikirizenga.
6 Amaaso gange ganaatunuuliranga abeesigwa ab'omu nsi, batuulenga wamu nange: Atambulira mu kkubo ettuukirivu ye anampeerezanga.
7 Akola eby'obulimba talituula mu nnyumba yange: Ayogera ebitali bya mazima talinywera mu maaso gange.
8 Buli nkya naazikirizanga ababi bonna ab'omu nsi; Mmalewo bonna abakola ebitali bya butuukirivu baggweewo mu kibuga kya Mukama.

">


Essuula 102

1 Wulira okusaba kwange, ai Mukama, Okukaaba kwange kutuuke gy'oli.
2 Tonkisa maaso go ku lunaku olw'okunakuwala kwange: Otege okutu kwo we ndi; Ku lunaku lwe nkoowoolerako ompitabe mangu.
3 Kubanga ennaku zange ziggwaawo ng'omukka, N'amagumba gange gookebwa ng'omumuli.
4 Omutima gwange gwokeddwa, guwotose ng'omuddo; Kubanga neerabira okulya emmere yange.
5 Olw'eddoboozi eryokusinda kwange Amagumba gange geegasse n'omubiri gwange.
6 Nninga kimbala ow'omu dduungu Nfuuse ng'ekiwuugulu eky'omu nsiko.
7 Ntunula, era nfuuse Ng'enkazaluggya etuula ku kitikkiro yokka.
8 Abalabe bange bazibya obudde okunvuma; Abandalukidde bandayira.
9 Kubanga ndidde evvu ng'omugaati, Era ntabudde kye nnywedde n'amaziga.
10 Olw'okunyiiga kwo n'obusungu bwo: Kubanga wannonda n'onsuula.
11 Ennaku zange ziri ng'ekisiikirize ekiggwaawo; Era mpotose ng'omuddo.
12 Naye ggwe, ai Mukama, onoobeereranga ennaku zonna: N'ekijjukizo kyo okutuusa emirembe gyonna.
13 Oligolokoka, olisaasira Sayuuni: Kubanga obudde butuuse okumusaasira, Weewaawo, obudde obwalagirwa butuuse.
14 Kubanga abaddu bo basanyukira amayinja ge, Era basaasira enfuufu ye.
15 Bwe gatyo amawanga gonna galitya erinnya lya Mukama, Ne bakabaka bonna ab'ensi balitya ekitiibwa kyo:
16 Kubanga Mukama azimbidde ddala Sayuuni, Alabikidde mu kitiibwa kye;
17 Alowoozezza okusaba kw'abo abafiiriddwa, So tanyoomye kusaba kwabwe.
18 Ekyo kiriwandiikirwa emirembe egirijja: N'eggwanga eriritondebwa liritendereza Mukama.
19 Kubanga atunuulidde wansi ng'ayima ku watukuvu we awagulumivu; Mukama yalaba ensi ng'ayima mu ggulu;
20 Okuwulira okusinda kw'omusibe; Okusumulula abo abateekerwawo okufa;
21 Abantu balyoke batenderenga erinnya lya Mukama mu Sayuuni N'ettendo lye mu Yerusaalemi;
22 Amawanga bwe galikuŋŋaana awamu, N'amatwale, okuweereza Mukama.
23 Yakendeeza ku maanyi gange mu kkubo; Yasala ku nnaku zange.
24 Ne njogera nti Ai Katonda wange, tontwalira ddala ng'ennaku zange tezinnaggwaawo: Emyaka gyo gibeerera emirembe gyonna.
25 Edda n'edda watandika ensi; N'eggulu gwe mulimu gw'emikono gyo.
26 Ebyo biriggwaawo, naye ggwe onoobeereranga: Weewaawo, ebyo byonna birikaddiwa ng'ekyambalo; Olibiwaanyisa ng'ekyambalo, n'ebyo biriwaanyisibwa:
27 Naye ggwe oba bumu, N'emyaka gyo tegirikoma.
28 Abaana b'abaddu bo banaabeerangawo. N'ezzadde lyabwe linaanywezebwanga mu maaso go.

">


Essuula 103

1 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; Ne byonna ebiri munda yange, mwebaze erinnya lye ettukuvu.
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, So teweerabira birungi bye byonna:
3 Asonyiwa ebikolwa byo byonna ebitali bya butuukirivu; Awonya endwadde zo zonna;
4 Anunula obulamu bwo buleme okuzikirira; Akussaako engule ey'ekisa n'okusaasira okulungi:
5 Akkusa akamwa ko ebirungi; Obuvubuka bwo ne budda obuggya ng'empungu.
6 Mukama akola eby'obutuukirivu, Atuukiriza emisango ku lw'abo bonna abajoogebwa.
7 Yamanyisa Musa amakubo ge, N'ebikolwa bye eri abaana ba Isiraeri.
8 Mukama ajjudde okusaasira n'ekisa, Alwawo okusunguwala, alina okusonyiwa okungi.
9 Taanenyenga ennaku zonna; So taabenga na busungu mirembe gyonna.
10 Tatukoze ng'ebibi byaffe bwe biri, So tatusasudde ng'ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
11 Kuba eggulu nga bwe liri waggulu okusinga ensi, N'okusaasira kwe bwe kuli okungi bwe kutyo eri abo abamutya.
12 Ebuvanjuba n'ebugwanjuba bwe biri ewala, Bw'atyo bw'atutadde ewala ebyonoono byaffe:
13 Nga kitaabwe bw'asaasira abaana be, Ne Mukama bw'asaasira bw'atyo abamutya.
14 Kubanga amanyi omubiri gwaffe; Ajjukira nga ffe tuli nfuufu.
15 Omuntu, ennaku ze ziri ng'omuddo; Ng'ekimuli eky'omu nsiko, bw'ayera bw'atyo.
16 Kubanga empewo zikikuntako, ne kiba nga kigenze; N'ekifo kyakyo tekirikimanya nate.
17 Naye okusaasira kwa Mukama kwava mu mirembe gyonna era kulituuka mu mirembe gyonna eri abamutya, N'obutuukirivu bwe eri abaana b'abaana;
18 Eri abo abakwata endagaano ye, N'eri abo abajjukira ebiragiro bye okubikola.
19 Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; N'obwakabaka bwe bufuga byonna.
20 Mumwebaze Mukama, mmwe bamalayika be: Mmwe abazira ab'amaanyi, abatuukiriza ekigambo kye, Nga muwulira eddoboozi ery'ekigambo kye.
21 Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna eggye lye; Abaweereza be, abakola by'ayagala.
22 Mumwebaze Mukama, mmwe mwenna emirimu gye, Mu bifo byonna by'afugiramu: Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.

">


Essuula 104

1 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ai Mukama Katoada wange, oli mukulu nnyo; Oyambadde ekitiibwa n'obukulu.
2 Eyeebikka omusana ng'ekyambalo; Atimba eggulu ng'eggigi:
3 Asimba empagi ez'enju ze mu mazzi; Afuula ebire eggaali lye; Atambulira ku biwaawaatiro by'empewo:
4 Afuula ababaka be empewo; N'abaweereza be omuliro ogwaka:
5 Eyasimba emisingi gy'ensi, Ereme okusagaasagananga emirembe gyonna.
6 Wagibikkako ennyanja ng'ekyambalo; Amazzi ne gayimirira waggulu w'ensozi.
7 Ggwe bwe wanenya ne gadduka; Eddoboozi ery'okubwatuka kwo bwe lyawulirwa ne ganguwa okugenda;
8 Gaalinnya ku nsozi, gaaserengetera mu biwonvu, Ne gatuuka mu kifo kye wagateekerawo.
9 Wagalagira ensalo gye gatayinza kusukkako; Galeme okudda nate okubikka ku nsi.
10 Aleeta enzizi mu biwonvu; Zikulukuta mu nsozi:
11 Zinywesa ensolo zonna ez'omu nsiko; Entulege ziwona ennyonta.
12 Ennyonyi ez'omu ggulu kwe zituula ku ezo, Ziyimbira mu matabi.
13 Afukirira amazzi ensozi ng'ayima mu nju ze: Ensi n'ekkuta ebibala eby'emirimu gyo.
14 Amereza ente essubi, N'omuddo okuweereza abantu; Balyoke baggyenga emmere mu ttaka;
15 N'omwenge ogusanyusa omutima gw'abantu, N'amafuta ganyirizenga amaaso ge, N'emmere ewa omuntu amaanyi omutima gwe.
16 Emiti gya Mukama gikkuta; Emivule gya Lebanooni gye yasimba;
17 Ennyonyi gye zikoleramu ebisu byazo: Kasida, emiberoosi ye nnyumba ye.
18 Ensozi empanvu ziba za mbulabuzi; Amayinja kye kiddukiro ky'obumyu.
19 Yateekerawo omwezi ebiro: Enjuba emanyi okugwa kwayo.
20 Ggwe oleeta ekizikiza, ekiro ne kibaawo; Ensolo zonna ez'omu kibira mwe zifulumira nga zisooba.
21 Empologoma ento zivuumira gye zinaalya, Era zinoonya emmere yaazo eri Katonda.
22 Enjuba n'evaayo, ne zigenda, Ne zeebaka mu mpuku zaazo.
23 Abantu ne bagenda ku mulimu gwabwe N'okutegana kwabwe okutuusa akawungeezi.
24 Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi Wagikola gyonna mu magezi: Ensi ejjudde obugagga bwo.
25 Ennyanja eri, ennene engazi, Omuli ebyewalula ebitabalikika, Ebisolo ebitono era n'ebinene.
26 Eri amaato gye gayitako; Lukwata mwali, gwe wakola okuzannyira omwo.
27 Ebyo byonna bikulindirira ggwe, Obiwe emmere yaabyo mu ntuuko zaayo.
28 Gy'obiwa gye bikuŋŋaanya; Oyanjuluza engalo, ne bikkuta ebirungi.
29 Okisa amaaso go, ne byeraliikirira; Obiggyamu omukka gwabyo, ne bifa, Ne bidda mu nfuufu yaabyo.
30 Otuma omwoyo gwo, ne bitondebwa; Era ofuula obuggya amaaso g'ettaka.
31 Ekitiibwa kya Mukama kibeere kya kubeerera; Mukama asanyukire emirimu gye:
32 Atunuulira ensi, n'ekankana; Akwata ku nsozi, ne zinyooka.
33 Naayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
34 Okulowooza kwange kumuwoomerenga: Naasanyukiranga Mukama.
35 Ababi bazikirire baggweewo ku nsi, Aboonoonye baleme okubeerawo nate. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 105

1 Mumwebazenga Mukama, mukaabirenga erinnya lye; Mumanyisenga ebikolwa bye mu mawanga.
2 Mumuyimbirenga, muyimbenga okumutendereza; Mwogerenga ku by'amagero bye byonna.
3 Mwenyumirizenga olw'erinnya lye ettukuvu: Omutima gw'abo abanoonya Mukama gusanyukenga.
4 Munoonyenga Mukama n'amaanyi ge; Munoonyenga amaaso ge ennaku zonna.
5 Mujjukirenga eby'amagero bye bye yakola; Eby'ekitalo bye, n'emisango egy'akamwa ke;
6 Mmwe ezzadde lya Ibulayimu omuddu we, Mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Oyo ye Mukama Katonda waffe: Emisango gye gibuna ensi zonna.
8 Ajjukira endagaano ye ennaku zonna. Ekigambo kye yalagira emirembe olukumi;
9 Endagaano gye yalagaana ne Ibulayimu, N'ekirayiro kye yalayirira Isaaka;
10 N'ekyo naakinyweza eri Yakobo okuba etteeka, Eri Isiraeri, okuba endagaano eteriggwaawo:
11 Ng'ayogera nti Ggwe ndiwa ensi ya Kanani, Omugabo ogw'obusika bwammwe:
12 Bwe baali abantu abatono omuwendo gwabwe: Weewaawo, abatono ennyo, era abo batambuze omwo;
13 Ne batambulatambula mu mawanga agatali gamu, Nga bava mu bwakabaka ne baggukira mu bantu abalala.
14 Teyaganya muntu kuboonoona; Weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe;
15 Ng'ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, So temukolanga bubi bannabbi bange.
16 N'ayita enjala okugwa ku nsi; N'amenya omuggo gwabwe gwonna, ye mmere yaabwe.
17 Yabakulembeza omuntu; Yusufu yatundibwa okuba omuddu:
18 Ebigere bye baabirumya enjegere; Yagalamira ng'asibiddwa n'ebyuma:
19 Okutuusa ekigambo kye lwe kyatuukirira; Ekigambo kya Mukama kyamukemanga.
20 Kabaka yatuma n'amusumulula; Ye yafuga amawanga, n'amuteera ddala.
21 N'amufuula omukulu w'ennyumba ye, N'amuteresa ebintu bye byonna:
22 Okusiba abalangira be bw'ayagala, N'okuyigiriza amagezi abakadde be.
23 Era ne Isiraeri n'ajja mu Misiri; Yakobo n'atuula mu nsi ya Kaamu.
24 N'ayongera nnyo abantu be, N'abawa amaanyi okusinga abalabe baabwe.
25 N'akyusa omutima gwabwe okukyawa abantu be, Okukuusakuusa abaddu be.
26 N'atuma Musa omuddu we, Ne Alooni gwe yalonda.
27 Ne bassa mu bo obubonero bwe, N'eby'amagero mu nsi ya Kaamu.
28 N'aleeta ekizikiza, ekizikiza ne kikwata; Ne bajeemera ebigambo bye.
29 N'afuula amazzi gaabwe omusaayi, N'atta ebyennyanja byabwe.
30 Ensi yaabwe n'ejjula ebikere, Mu nju za bakabaka baabwe.
31 N'ayogera, ebitole eby'ensowera ne bijja, N'ensekere mu nsalo zaabwe zonna.
32 N'abawa omuzira mu kifo ky'enkuba, N'omuliro ogwaka mu nsi yaabwe.
33 Era n'akuba n'emizabbibu n'emitiini gyabwe; N'amenya emiti egy’omu nsalo zaabwe.
34 N'ayogera, enzige ne zijja, N'obuwuka, era ebyo tebyabalikika omuwendo gwabyo.
35 Ne birya buli muddo ogwali mu nsi yaabwe, Ne birya ebibala eby'ettaka lyabwe.
36 Era n’akuba n'ababereberye bonna abaali mu nsi yaabwe, Abaali basinga amaanyi mu bazira baabwe bonna.
37 N'abaggyamu nga balina effeeza n'ezaabu: So tewaali muntu munafu omu mu bika bye.
38 Misiri n’esanyuka bwe baagenda; Kubanga entiisa yaabwe yali ebaguddeko.
39 N'ayanjuluza ekire okubabikkangako; N'omuliro gubaakirenga ekiro.
40 Ne basaba, n'aleeta obugubi, N'abakkusa emmere ey'omu ggulu.
41 N'ayasa ejjinja, amazzi ne gatiiriika; Ne gakulukuta mu bifo ebikalu.
42 Kubanga yajjukira ekigambo kye ekitukuvu, Ne Ibulayimu omuddu we.
43 N'aggyamu abantu be n'essanyu, N'abatonde be n'okuyimba.
44 N'abawa ensi ez'amawanga; Ne batwala ne balya emirimu egy'amawanga:
45 Balyoke bakwatenga ebiragiro bye, Beekuumenga amateeka ge. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 106

1 Mumutendereze Mukama. Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Ani ayinza okwatula ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama, Oba okwolesa ettendo lye lyonna?
3 Balina omukisa abakwata omusango, N'oyo akola eby'obutuukirivu mu biro byonna.
4 Onjijukire, ai Mukama, n’ekisa ky'olina eri abantu bo; Nkwegayiridde, onjijire n'obulokozi bwo:
5 Ndabe abalonde bo nga balaba omukisa, Nsanyukire essanyu ery'eggwanga lyo. Neenyumirize wamu n'obusika bwo.
6 Twayonoona ffe ne bajjajjaffe, Twakola ebitali bya butuukirivu, twakola obubi.
7 Bajjajjaffe tebaategeera bya magero byo mu Misiri; Ne batajjukira kusaasira kwo okungi; Naye ne bajeemera ku nnyanja, ku Nnyanja Emmyufu.
8 Era naye n’abalokola olw'erinaya lye, Amanyise obuyinza bwe obungi.
9 Era n'anenya Ennyanja Emmyufu, n'ekalira: Awo n'abayisa mu buziba, nga mu ddungu.
10 N'abalokola eri omukono gw'oyo eyabakyawa, N'abanunula mu mukono gw'omulabe.
11 Amazzi ne gabikka ku balabe baabwe: Ne watasigalawo n'omu.
12 Ne balyoka bakkiriza ebigambo bye; Ne bayimba okumutendereza.
13 Beerabira mangu emirimu gye; Tebaalindirira kuteesa kwe:
14 Naye ne beegombera nnyo mu lukoola, Ne bakemera Katonda mu ddungu.
15 N'abawa bye baasaba; Naye n'aleeta obukovvu mu mmeeme yaabwe.
16 Era obuggya ne bubakwatira Musa mu lusiisira, Ne Alooni omutukuvu wa Mukama.
17 Ensi n'eyasama n'emira Dasani. N'ebikka ku kibiina kya Abiraamu.
18 Omuliro ne gwaka mu kibiina kyabwe; Ennimi zaagwo ne zookya ababi.
19 Ne bakolera ennyana mu Kolebu, Ne basinza ekifaananyi ekisaanuuse.
20 Bwe batyo ne bawaanyisa ekitiibwa kyabwe Okuba ekifaananyi ky'ente erya omuddo.
21 Ne beerabira Katonda omulokozi waabwe, Eyakolera ebikulu mu Misiri;
22 Eby'amagero mu nsi ya Kaamu, N'eby'entiisa ku Nnyanja Emmyufu.
23 Kyeyava ayogera ng'alibazikiriza, Singa Musa omulonde we teyayimirira mu maaso ge mu kituli, Okuzzaayo obusungu bwe, aleme okubazikiriza.
24 Weewaawo, baanyooma ensi ey'okwesiima, Tebakkiriza kigambo kye;
25 Naye ne beemulugunya mu weema zaabwe, Ne batawulira ddoboozi lya Mukama.
26 Kyeyava ayimusa omukono gwe gye bali, Ng'alibasuulira mu ddungu:
27 Era ng'aligwisa ezzadde lyabwe mu mawanga, Era ng'alibasaasaanya mu nsi.
28 Era ne beegatta ne Baalipyoli, Ne balya ssaddaaka ez'abafu.
29 Bwe batyo bwe baamusunguwazanga n'ebikolwa byabwe; Kawumpuli n'agwa mu bo.
30 Finekaasi n'alyoka ayimirira n'atuukiriza omusango: Kawumpuli n'aziyizibwa bw'atyo.
31 Ekyo ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Okutuusa emirembe gyonna egitaliggwaawo.
32 Era ne bamunyiiriza ku mazzi ag'e Meriba, N'okulaba Musa n'alaba obubi ku lwabwe:
33 Kubanga baali baagala okujeemera omwoyo gwe, N'ayogera ebitali bya magezi n'emimwa gye.
34 Tebaazikiriza mawanga, Nga Mukama bye yabalagira;
35 Naye ne beegatta n'amawanga, Ne bayiga emirimu gyabwe:
36 Ne baweereza ebifaananyi byabwe; Ebyabafuukira ekyambika.
37 Weewaawo, baawangayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bassetaani.
38 Ne bayiwa omusaayi ogutaliiko kabi, gwe musaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe, Be baawangayo eri ebifaananyi bya Kanani; Ensi n'eyonooneka n'omusaayi.
39 Bwe batyo ne babaako empitambi olw'emirimu gyabwe, Ne bagenda bayenda mu bikolwa byabwe.
40 Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka eri abantu be, N'atamwa obusika bwe.
41 N'abawaayo mu mukono gw'amawanga; N'abo abaabakyawa ne babafuga.
42 Era abalabe baabwe ne babajooga, Ne bajeemulwa wansi w'omukono gwabwe.
43 Emirundi emingi yabawonya; Naye ne baagala okujeema mu kuteesa kwabwe, Ne bajeezebwa mu butali butuukirivu bwabwe.
44 Era naye n'atunuulira ennaku zaabwe, Bwe yawulira okukaaba kwabwe:
45 N'abajjuukirira endagaano ye, Ne yejjusa ng'okusaasira kwe bwe kuli okungi.
46 Era n'ababasaasiza Bonna abaabatwalanga mu busibe.
47 Otulokole, ai Mukama Katonda waffe, Otukuŋŋaanye tuve mu mawanga, Okwebazanga erinnya lyo ettukuvu, N'okujagulizanga ettendo lyo.
48 Yeebazibwenga Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva emirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna.

">


Essuula 107

1 Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Abanunule ba Mukama boogera bwe batyo, Be yanunula mu mukono gw'omulabe;
3 N'abakuŋŋaanya mu nsi nnyingi, Mu buvanjuba ne mu bugwanjuba, Mu bukiika obwa kkono ne mu bwa ddyo:
4 Baakyamira mu ddungu mu kkubo omutali bantu; Ne batalaba kibuga kya kutuulamu.
5 Baalumibwa enjala n'ennyonta, Emmeeme yaabwe n'ezirika mu bo.
6 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abawonya mu kweraliikira kwabwe.
7 Era n'abaluŋŋamiza mu kkubo eggolokofu, Batuuke mu kibuga eky'okutuulamu.
8 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
9 Kubanga akkusa emmeeme eyeegomba, N'emmeeme erumwa ennyonta agijjuza ebirungi.
10 Abo abaatuula mu kizikiza ne mu kisiikirize eky'okufa, Nga basibibwa n’ennaku n'ekyuma;
11 Kubanga baajeemera ebigambo bya Katonda, Ne banyooma okuteesa kw'oyo ali waggulu ennyo:
12 Kyeyava azitoya omutima gwabwe n'okutegana; Ne bagwa, so nga tewali anaabayamba.
13 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
14 N'abaggya mu kizikiza n'ekisiikirize eky'okufa, N'amenyaamenya enjegere zaabwe.
15 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu.
16 Kubanga yamenya enzigi ez'ebikomo, N'atemera ddala ebisiba eby'ebyuma:
17 Abasirusiru olw'okwonoona kwabwe, N'olw'obutali butuukirivu bwabwe, babonyaabonyezebwa.
18 Emmeeme yaabwe etamwa emmere yonna yonna; Ne basemberera emiryango egy'okufa.
19 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abalokola mu kweraliikirira kwabwe.
20 Atuma ekigambo kye, n’abawonya, N'abaggya mu kuzikirira kwabwe.
21 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu!
22 Era bawengayo ssaddaaka ez'okwebaza, Era batenderenga ebikolwa bye n'okuyimba.
23 Abaserengetera ku nnyanja mu maato, Abakola emirimu awali amazzi amangi;
24 Abo balaba ebikolwa bya Mukama, N'eby'amagero bye mu buziba.
25 Kubanga alagira, n'akunsa omuyaga, Oguyimusa amayengo gaagwo.
26 Balinnya mu ggulu, ne bakka nate mu ddubi: Emmeeme yaabwe esaanuuka olw'ennaku.
27 Beesunda eruuyi n'eruuyi, era batagatta ng'omutamiivu, N'amagezi gonna nga gababuze.
28 Ne balyoka bakaabira Mukama mu nnaku zaabwe, N'abaggya mu kweraliikirira kwabwe.
29 Alaaza omuyaga, Amayengo gaagwo ne gateeka.
30 Ne balyoka basanyuka kubanga bawummula; N'alyoka abaleeta mu mwalo gwe baagala okutuukamu.
31 Kale singa abantu batendereza Mukama olw'obulungi bwe, N'olw'eby'amagero bye eri abaana b'abantu
32 Era bamugulumizenga mu kkuŋŋaaniro ery'abantu, Era bamutenderezenga awali ekituuti eky'abakadde.
33 Afuula emigga eddungu, N'enzizi azifuula ettaka ekkalu;
34 Ensi ebala agifuula olukoola olw'omunnyo, Olw'obubi bwabo abatuula omwo.
35 Eddungu alifuula ekidiba eky'amazzi, N'ensi enkalu ensulo ez'amazzi.
36 Omwo mw'atuuza abalumwa enjala, Balongoosenga ekibuga eky'okutuulamu;
37 Era basigenga ennimiro, basimbenga emizabbibu, Beefunirenga ebibala eby'ekyengera.
38 Era n'abawa omukisa, n'okweyongera ne beeyongeranga nnyo; N'ataganya nte zaabwe okukendeera.
39 Nate, ne baweebuuka ne bajeezebwa Olw'okujoogebwa, n'okweraliikirira, n'okunakuwala.
40 Anyoomesa nnyo abalangira, Era abakyamiza mu nsiko omutali kkubo.
41 Era naye agulumiza omwavu okuva mu nnaku. N'amukolera ebika ng'ekisibo.
42 Abatuukirivu balibiraba, balisanyuka; N'obutali butuukirivu bwonna buliziba akamwa kaabwo.
43 Buli alina amagezi anaalowoozanga ebyo, Era banaafumiitirizanga okusaasira kwa Mukama.

">


Essuula 108

1 Omutima gwange gunywedde, ai Katonda; Naayimba, weewaawo, naayimba okutendereza, naayimba n'ekitiibwa kyange.
2 Muzuukuke, mmwe amadinda n'ennanga: Nze naakeera nnyo okuzuukuka.
3 Naakwebazanga ggwe, ai Mukama, mu mawanga: Era naayimbanga okukutendereza mu bantu.
4 Kubanga okusaasira kwo kungi, kusinga eggulu: N'amazima go gatuuka mu ggulu.
5 Ogulumizibwe, ai Katonda, okusinga eggulu: N'ekitiibwa kyo okusinga ensi zonna.
6 Muganzi wo alyoke awone, Olokole n'omukono gwo ogwa ddyo, otuddemu.
7 Katonda yayogera mu butukuvu bwe nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.
8 Gireyaadi wange; Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
9 Mowaabu kye kinaabirwamu kyange; Edomu ndimukasukira engatto Yange Ndyogerera waggulu ku Firisutiya.
10 Ani alinnyingiza mu kibuga eky'amaanyi? Ani eyandeeta mu Edomu?
11 Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.
12 Otuyambe eri omulabe: Kubanga obuyambi bw'abantu tebuliimu.
13 Katonda ye alitukoza eby'obuzira: Kubanga oyo ye alinnyirira ku balabe baffe.

">


Essuula 109

1 Tosirika, ai Katonda gwe ntendereza;
2 Kubanga akamwa k'ababi n'akamwa k'obulimba bakanjasamidde: Boogedde nange n'olulimi olulimba.
3 Era banneetooloola n'ebigambo eby'okukyawa, Ne balwana nange awatali nsonga.
4 Olw'okwagala kwange bafuuse balabe bange: Naye nze nsaba.
5 Era bansasudde obubi olw'obulungi, N'okukyawa olw'okwagala kwange.
6 Omusseeko omuntu omubi: Omulabe ayimirirenga ku mukono gwe ogwa ddyo.
7 Bw'asalirwa omusango, afulume nga gumusinze; Era okusaba kwe kufuuke ekibi.
8 Ennaku ze zibe ntono; Omulala alye obukulu bwe.
9 Abaana be babe nga tebalina kitaabwe, Ne mukazi we nnamwandu.
10 Abaana be babe mmomboze, basabirizenga; Banoonyenga emmere mu bifo byabwe ebyazika.
11 Omunyazi atege byonna by'alina; B'atamanyi banyageenyage emirimu gye.
12 Anaamwongerako ekisa amubule; Anaasaasira abaana be nga tebalina kitaabwe naye abule.
13 Ezzadde lye lizikirizibwe; Mu mirembe egirijja amannya gaabwe gasaangulibwe.
14 Obutali butuukirivu bwa bajjajjaabe bujjukirwe eri Mukama: So ekibi kya nnyina kireme okusangulibwa.
15 Bibeerenga mu maaso ga Mukama ennaku zonna, Azikirize okujjukirwa kwabwe ku nsi.
16 Kubanga teyajjukira kusaasira, Naye n'ayigganya omuntu omwavu eyeetaaga, N'oyo eyalina omutima ogumenyese, okubatta.
17 Weewaawo, yayagala okukolima, ne kutuuka gy'ali; So teyasanyukira kusaba mukisa, ne gumuba wala.
18 Era yayambala okukolima ng'ekyambalo kye, Ne kuyingira mu nda ye ng'amazzi, Era ng'amafuta mu magumba ge.
19 Kubenga gy'ali ng'ekyambalo ky'ayambala, Era kubenga ng'olukoba lwe yeesiba ennaku zonna.
20 Eyo ye mpeera ey'abalabe bange eva eri Mukama, N'abo aboogera obubi ku mmeeme yange.
21 Naye olongoose ebyange, ai Katonda Mukama, olw'erinnya lyo: Kubanga okusaasira kwo kulungi, omponye.
22 Kubanga nze ndi mwavu, nneetaga, N'omutima gwange gufumitiddwa munda yange.
23 ŋŋendedde ddala ng'ekisiikirize bwe kiggwaawo: Nkuunta ng'enzige.
24 Amaviivi gange ganafuwadde olw'okusiiba; N'omubiri gwange guweebuuse obutagejja.
25 Era nfuuse ekivume gye bali: Bwe bandaba, banyeenya omutwe gwabwe.
26 Onnyambe, ai Mukama Katonda wange; Nkwegayiridde ondokole ng'okusaasira kwo bwe kuli.
27 Balyoke bategeere ng'ogwo gwe mukono gwo: Nga ggwe, Mukama, wakikola.
28 Bo bakolime, naye ggwe ompe omukisa: Bwe baligolokoka, balikwatibwa ensonyi, naye omuddu wo alisanyuka.
29 Abalabe bange bambale okuswazibwa, Era beebikke ensonyi zaabwe ng'ekikunta.
30 Neebazanga nnyo Mukama n'akamwa kange; Weewaawo, naamutenderezanga mu kibiina.
31 Kubanga anaayimiriranga ku mukono ogwa ddyo ogw'omwavu, Okumulokola eri abo abasalira omusango emmeeme ye.

">


Essuula 110

1 Mukama agamba mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo.
2 Mukama alisindika omuggo ogw'amaanyi go okuva mu Sayuuni: Ggwe fugira wakati mu balabe bo.
3 Abantu bo beewaayo n'omwoyo ogutawalirizibwa ku lunaku olw'obuyinza bwo: Mu bulungi obw'obutukuvu, olina omusulo ogw'obuvubuka bwo, Oguva mu lubuto lw'enkya.
4 Mukama yalayira, so talyejjusa, Nti Ggwe oli kabona emirembe gyonna Ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.
5 Mukama ku mukono gwo ogwa ddyo Alifumita bakabaka ku lunaku olw'obusungu bwe.
6 Alisala emisango mu mawanga, Alijjuza ebifo emirambo; Alifumita omutwe mu nsi ennyingi.
7 Alinywa ku nsulo eri mu kkubo: Kyaliva ayimusa omutwe.

">


Essuula 111

1 Mumutendereze Mukama. Neebazanga Mukama n'omutima gwange gwonna, Mu kibiina eky'abatuukirivu abateesa, ne mu kkuŋŋaaniro.
2 Emirimu gya Mukama mikulu, Ginoonyezebwa abo bonna abagisanyukira.
3 Omulimu gwe gwa kitiibwa, gwa bukulu: N'obutuukirivu bwe bubeerera enurembe gyonna.
4 Ajjukizizza emirimu gye egy'ekitalo: Mukama wa kisa, ajjudde okusaasira.
5 Awa emmere abo abamutya: Anajjukiranga endagaano ye emirembe gyonna.
6 Alaze abantu be obuyinza obw'emirimu gye, Ng'abawa obusika obw'amawanga.
7 Emirimu egy'emikono gye ge mazima n'omusango; Ebiragiro bye byonna binywera.
8 Biteekebwawo emirembe n'emirembe, Bikolebwawo mu mazima n'obutuukirivu.
9 Yawa abantu be okununulwa; Yalagira endagaano ye emirembe gyonna: Erinnya lye ttukuvu, lya kitiibwa.
10 Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera; Balina okutegeera okulungi bonna abakola bwe batyo; Ettendo lye libeerera emirembe gyonna.

">


Essuula 112

1 Mumutendereze Mukama. Alina omukisa oyo atya Mukama, Asanyukira ennyo amateeka ge.
2 Ezzadde lye linaabanga lya maanyi ku nsi: Ezzadde ly'abatuukirivu linaabanga n'omukisa.
3 Ebintu n'obugagga biri mu nnyumba ye: N'obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna.
4 Eri omutuukirivu omusana gujja awali ekizikiza: Oyo wa kisa, ajjudde okusaasira, era ye mutuukirivu.
5 Alaba ebirungi oyo akola eby'ekisa, awola; Alinyweza ensonga ye bw'alisalirwa omusango.
6 Kubanga taasagaasaganenga emirembe gyonna; Omutuukirivu anajjukirwanga ennaku zonna ezitaliggwaawo.
7 Taatyenga bigambo bya bubi: Omutima gwe gunywera, nga gwesiga Mukama.
8 Omutima gwe gutereera, taatyenga, Okutuusa lw'aliraba by'ayagala nga bituuse ku balabe be.
9 Agabye, awadde abaavu; Obutuukirivu bwe bubeerera emirembe gyonna: Ejjembe lye lirigulumizibwa n'ekitiibwa.
10 Omubi alibiraba, alirumwa omwoyo; Aliruma obujiji n'amannyo ge: alinyolwa: Omubi by'ayagala birifa.

">


Essuula 113

1 Mumutendereze Mukama. Mutendereze, mmwe abaddu ba Mukama, Mutendereze erinnya lya Mukama.
2 Erinnya lya Mukama lyebazibwenga Okuva leero okutuusa emirembe gyonna.
3 Okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba Erinnya lya Mukama ligwana okutenderezebwanga.
4 Mukama ali waggulu okusinga amawanga gonna, N'ekitiibwa kye okusinga eggulu.
5 Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, Alina entebe ye waggulu.
6 Eyeetoowaza okutunuulira Ebiri mu ggulu ne mu nsi?
7 Ayimusa omwavu mu nfuufu, Agolokosa omunafu mu lubungo;
8 Amutuuze wamu n'abalangira, Wamu n'abalangira ab'abantu be.
9 Atuuza mu nju omukazi omugumba, N'amusanyusa ng'amuzaazizza abaana. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 114

1 Isiraeri bwe yava mu Misiri, Ennyumba ya Yakobo mu bantu ab'olulimi olulala;
2 Yuda n'abeera awatukuvu we, Isiraeri amatwale ge.
3 Ennyanja n'eraba ekyo, n'edduka Yoludaani n'agobebwa okudda ennyuma.
4 Ensozi ne zibuuka ng'endiga eza seddume, N'obusozi obutono ng'obuliga.
5 Wali otya, ggwe ennyanja, okudduka? Naawe Yoludaani, okudda ennyuma?
6 Mmwe ensozi, okubuuka ng'endiga eza seddume; Mmwe obusozi obutono, ng'obuliga?
7 Kankana, ggwe ensi, awali Mukama, Awali Katonda wa Yakobo;
8 Eyafuula ejjinja ekidiba eky'amazzi, Ery'embaalebaale oluzzi olw'amazzi.

">


Essuula 115

1 Si ffe, ai Mukama, si ffe, Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwa ekitiibwa Olw'okusaasira kwo, n'olw'amazima go.
2 Kiki ekinaaba kiboogeza ab'amawanga Nti Katonda waabwe ali ludda wa kaakano?
3 Naye Katonda waffe ali mu ggulu: Akoze bye yayagala byonna.
4 Ebifaananyi byabwe ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
5 Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
6 Birina amatu, naye tebiwulira; Birina ennyindo, naye tebiwunyiriza;
7 Birina engalo, naye tebizikwasa kintu; Birina ebigere, naye tebitambula; So tebyogeza bulago bwabyo.
8 Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga.
9 Ggwe Isiraeri, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
10 Ggwe ennyumba ya Alooni, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
11 Mmwe abatya Mukama, mwesigenga Mukama: Ye mubeezi waabwe, ye ngabo yaabwe.
12 Mukama atujjukidde; alituwa omukisa; Aliwa omukisa ennyumba ya Isiraeri; Aliwa omukisa ennyumba ya Alooni.
13 Aliwa omukisa abo abatya Mukama, Abato era n'abakulu.
14 Mukama ayongerenga bulijjo okubaaza Mmwe n'abaana bammwe.
15 Mmwe muweereddwa Mukama omukisa, Eyakola eggulu n'ensi.
16 Eggulu lye ggulu lya Mukama; Naye ensi yagiwa abaana b'abantu.
17 Abafu tebatendereza Mukama, Newakubadde abo bonna abakka mu kusirika;
18 Naye ffe tuneebazanga Mukama Okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 116

1 Mmwagala Mukama, kubanga awulidde Eddoboozi lyange n'okwegayirira kwange.
2 Kubanga antegedde okutu, Kyennaavanga mmukoowoola nga nkyali mulamu.
3 Emigwa egy'okufa gyansiba. N'okulumwa kw'emagombe kwankwata: Ne ndaba ennaku n'okutegana.
4 Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama; Nti Ai Mukama, nkwegayiridde, omponye emmeeme yange.
5 Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Weewaawo, Katonda waffe alina okusaasira.
6 Mukama akuuma abo abatalina nkwe: Najeezebwa, n'andokola.
7 Komawo mu kiwummulo kyo, ggwe emmeeme yange; Kubanga Mukama akukoledde eby'ekisa ekingi.
8 Kubanga omponyezza emmeeme yange okufa, Amaaso gange obutakaaba maziga, N'ebigere byange obutagwa.
9 Naatambuliranga mu maaso ga Mukama Mu nsi y'abalamu.
10 Nzikiriza, kubanga ndyogera: Nabonyaabonyezebwa nnyo:
11 Ne njogera nga nnyanguwa Nti Abantu bonna bulimba.
12 Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebirungi bye byonna eri nze?
13 Nditoola akakompe ak'obulokozi, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
14 Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna.
15 Okufa kw'abatukuvu be Kwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama.
16 Ai Mukama, mazima nze ndi muddu wo: Nze ndi muddu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumuludde ebyansiba.
17 Ndikuwa ssaddaaka ey'okwebaza, Era ndikaabira erinnya lya Mukama.
18 Ndisasula obweyamo bwange eri Mukama, Weewaawo, mu maaso g'abantu be bonna;
19 Mu mpya z'ennyumba ya Mukama, Wakati mu ggwe, ggwe Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 117

1 Mumutendereze Mukama, mmwe amawanga gonna; Mumugulumize, mmwe abantu bonna.
2 Kubanga okusaasira kwe kungi eri ffe: N'amazima ga Mukama gabeerera emirembe gyonna, Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 118

1 Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Isiraeri ayogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Ennyumba ya Alooni eyogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 Abo abamutya Mukama boogere kaakano Nti okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 Bwe nnali mu nnaku ne nkaabira Mukama: Mukama n'anjitaba, n'anteeka mu kifo ekigazi.
6 Mukama ali ku luuyi lwange; siritya: Abantu bayinza kunkola ki?
7 Mukama ali ku luuyi lwange mu abo abannyamba: Kyendiva ndaba bye njagala nga bituuse ku abo abankyaye.
8 Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abantu.
9 Kirungi okwesiganga Mukama Okusinga okwesiga abalangira.
10 Amawanga gonna ganneetoolodde: Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
11 Ganneetoolodde; weewaawo, ganneetoolodde; Mu linnya lya Mukama ndigazikiriza.
12 Banneetoolodde ng'enjuki; bazikidde ng'omuliro ogw'omu maggwa: Mu linnya lya Mukama ndibazikiriza.
13 Bansoya nnyo okungwisa: Naye Mukama n'annyamba.
14 Mukama ge maanyi gange, lwe luyimba lwange; Era afuuse obulokozi bwange.
15 Eddoboozi ery'essanyu era ery'obulokozi liri mu weema ez'abatuukirivu; Omukono ogwa dddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
16 Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gugulumizibwa: Omukono ogwa ddyo ogwa Mukama gukola eby'obuzira.
17 Sirifa, naye naabeeranga mulamu, Era naabuuliranga omirimu gya Mukama.
18 Mukama ambonerezza nnyo: Naye tangabulanga eri okufa.
19 Munzigulirewo enzigi ez'obutuukirivu: Naaziyingiramu, ne nneebaza Mukama.
20 Olwo lwe luggi lwa Mukama; Abatuukirivu be baliyingiramu.
21 Naakwebazanga, kubanga onzizeemu, Era ofuuse obulokozi bwange.
22 Ejjinja abazimbi lye baagaana Lifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
23 Ekyo Mukama ye yakikola; Kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lwe yakola; Tunaasanyuka, tunaajaguliza okwo.
25 Olokole kaakano, tukwegayiridde, ai Mukama: Ai Mukama, tukwegayiridde, oweereze omukisa kaakano.
26 Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama: Tubasabidde omukisa nga tuyima mu nnyumba ya Mukama.
27 Mukama ye Katonda, era atuwadde omusana Musibe ssaddaaka n'emigwa,musibe ku mayembe g'ekyoto.
28 Ggwe oli Katonda wange, nange naakwebazanga: Ggwe oli Katonda wange, naakugulumizanga.
29 Kale mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

">


Essuula 119

1 Balina omukisa abo abatuukirira mu kkubo, Abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 Balina omukisa abo abeekuuma bye yategeeza, Abamunoonya n'omutima gwonna.
3 Weewaawo, abo tebakola ebitali bya butuukirivu; Batambulira mu makubo ge.
4 Watukuutira ebiragiro byo, Tubikwatenga nnyo.
5 Singa amakubo gange ganywedde Okukwata amateeka go!
6 Bwe ntyo bwe siikwatibwenga nsonyi, Bwe nnaalowoozanga bye walagira byonna.
7 Naakwebazanga n'omutima ogutalina bukuusa, Bwe ndiba nga njize emisango gyo egy'ensonga.
8 Naakwatanga amateeka go: Nkwegayiridde, tondekera ddala.
BEESI
9 Omuvubuka anaalongoosanga atya ekkubo lye? Nga yeegendereza ng'ekigambo kyo bwe kiri.
10 N'omutima gwange gwonna nkunoonyezza: Nkwegayiridde, nneme okukyama okuleka bye walagira.
11 Nterese ekigambo kyo mu mutima gwange, Nneme okwonoona mu maaso go.
12 Weebazibwa, ai Mukama: Onjigirizenga amateeka go.
13 N'emimwa gyange mbuulidde Emisango gyonna egy'akamwako.
14 Nsanyukidde ekkubo ly'ebyo bye wategeeza, Nga asanyukira obugagga bwonna.
15 Naafumiitirizanga ebiragiro byo. Era naalowoozanga amakubo go.
16 Naasanyukiranga amateeka go: Seerabirenga kigambo kyo.
GIMERI
17 Onkolere omuddu wo eby'ekisa ekingi, mbeerenga omulamu; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga ekigambo kyo.
18 Onzibule amaaso gange, ndabe Eby'ekitalo ebiva mu mateeka go.
19 Nze ndi mutambuze mu nsi: Tonkisa bye walagira.
20 Emmeeme yange ekutuse olw'okuyaayaana Kw'eyaayaanira emisango gyo ebiro byonna.
21 Onenyezza ab'amalala abakolimirwa, Abakyama okuleka bye walagira.
22 Onzigyeko okuvumibwa n'okunyoomebwa; Kubanga neekuumye bye wategeeza.
23 Era n'abalangira batuula ne banjogerako obubi: Naye omuddu wo nafumiitiriza amateeka go.
24 Era bye wategeeza bye nsanyukira, Era ebyo be bantu be nteesa nabo.
DALESI
25 Emmeeme yange yeegasse n'enfuufu: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kyo bwe kiri.
26 Nayatula amakubo gange, naawe n'onziramu: Onjigirize amateeka go.
27 Ontegeeze ntegeere ekkubo ery'ebiragiro byo: Ne ndyoka nfumutiriza emirimu gyo egy'ekitalo.
28 Emmeeme yange esaanuuse olw'okunyiikaala: Ompe amaanyi ng'ekigambo kyo bwe kiri.
29 Onziyeko ekkubo ery'obulimba: Era ompe amateeka go n'ekisa.
30 Neerobozezza ekkubo ery'obwesigwa: Emisango ngitadde mu maaso gange.
31 Neegatta n'ebyo bye wategeeza: Ai Mukama, tonkwasa nsonyi.
HE
32 Naddukiranga mu kkubo ly'ebyo bye walagira, Bw'oligaziya omutima gwange.
33 Onjigirize, ai Mukama, ekkubo ery'amateeka go; Nange naalyekuumanga okutuusa enkomerero.
34 Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go; Weewaawo, naagakwatanga n'omutima gwange gwonna.
35 Ompise mu kkubo ly'ebyo bye walagira: Kubanga mu eryo mwe nsanyukira.
36 Okyuse omutima gwange eri ebyo bye wategeeza, So si eri kwegomba.
37 Owunjule amaaso gange galemenga okulaba ebitaliimu, Era onzuukize mu makubo go.
38 Onyweze ekigambo kyo eri omuddu wo, Ky'eky'okutyanga ggwe.
39 Ompunjulire ekivume kye ntya; Kubanga emisango gyo mirungi.
40 Laba, neegombanga ebiragiro byo: Onzuukirize mu butuukirivu bwo.
VAWU
41 Era n'okusaasira kwo kutuuke gye ndi, ai Mukama, Bwe bulokozi bwo, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
42 Bwe ntyo bwe ndiba n'eky'okuddamu eri oyo anvuma; Kubanga neesiga ekigambo kyo.
43 So toggiramu ddala kigambo kya mazima mu kamwa kange; Kubanga naasuubiranga emisango gyo.
44 Bwe ntyo bwe nnaakwatanga amateeka go ennaku zonna Emirembe n'emirembe.
45 Era naatambulanga nga neeyabya; Kubanga nnoonyezza ebiragiro byo.
46 Era naayogeranga ku ebyo bye wategeeza mu maaso ga bakabaka, Ne sikwatibwa nsonyi.
47 Era naasanyukiranga ebyo bye walagira, Bye nnaayagalanga:
48 Era naayimusanga engalo zange eri ebyo bye walagira, bye nnaayagalanga: Era naafumiitirizanga mateeka go.
ZAYINI
49 Ojjukire ekigambo eri omuddu wo, Kubanga wansuubiza.
50 Eryo lye ssanyu lyange bwe mbonyaabonyezebwa: Kubanga ekigambo kyo kinzuukizizza.
51 Ab'amalala bansekeredde nnyo: Naye ne sseekooloobyanga okuva mu mateeka go.
52 Njijukidde emisango gyo egy'edda, ai Mukama, Ne nneesanyusa.
53 Obusungu obubuubuuka bunkutte, Olw'ababi abaleka amateeka go.
54 Amateeka go ge nnyimbirako Mu nnyumba ey'okutambula kwange.
55 Najjukiranga erinnya lyo ekiro, ai Mukama, Era nakwatanga amateeka go.
56 Ekigambo kino kyange, Okukuumanga ebiragiro byo.
KEESI
57 Mukama gwe mugabo gwange: Nayogera nga naakwatanga ebigambo byo.
58 Nasaba ekisa kyo n'omutima gwange gwonna: Onsaasire ng'ekigambo kyo bwe kiri.
59 Nalowooza amakubo gange, Ne nkyusa ebigere byange eri ebyo bye wategeeza.
60 Nayanguwa ne sirwawo, Okukwata ebyo bye walagira.
61 Emigwa egy'ababi gimbisse; Naye seerabidde mateeka go.
62 Mu ttumbi naagolokokanga okukwebaza Olw'emisango gyo egy'ensonga.
63 Nze ndi munne w'abo bonna abakutya, N'abo abakwata ebiragiro byo.
64 Ai Mukama, ensi ejjudde okusaasira kwo: Onjigirize amateeka go.
TEESI
65 Okoledde ebirungi omuddu wo, Ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
66 Onjigirizenga okusala emisango egy'ensonga n'okutegeera; Kubanga nakkirizanga ebyo bye walagira.
67 Nga sinnabonyaabonyezebwa, nakyama; Naye kaakano nkwata ekigambo kyo.
68 Oli mulungi, era okola ebirungi; Onjigirizenga amateeka go.
69 Ab'amalala banjiiyirizzaako eky'obulimba: N'omutima gwange gwonna neekuumanga ebiragiro byo.
70 Omutima gwabwe gugezze ng'amasavu; Naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Kwangasa okubonyaabonyezebwa; Ndyoke njige amateeka go.
72 Amateeka g'akamwa ko gampoomera nze Okusinga ebitundu eby'ezaabu n'effeeza enkumi n'enkumi.
YODI
73 Engalo zo ze zankola, ze zammumba: Ompe amagezi, njigenga ebyo bye walagira.
74 Abakutya banandabanga ne basanyuka; Kubanga naasuubiranga elugambo kyo.
75 Mmanyi, ai Mukama, ng'emisango gyo gya nsonga, Era nga wambonyaabonya olw'obwesigwa.
76 Nkwegayiridde, ekisa kyo ekirungi kinsanyuse, Ng'ekigambo kyo bwe kiri eri omuddu wo.
77 Okusaasira kwo okulungi kujje gye ndi, mbeerenga omulamu: Kubanga amateeka go ge gansanyusa.
78 Ab'amalala bakwatibwe ensonyi; kubanga bammegga awatali nsonga. Naye naafumiitirizanga ebiragiro byo.
79 Abakutya bankyukire, Era balitegeera bye wategeeza.
80 Omutima gwange gutuukirire mu mateeka go; Nnemenga okukwatibwa ensonyi.
KAFU
81 Emmeeme yange ezirise olw'obulokozi bwo: Naye nsuubira ekigambo kyo.
82 Amaaso gange gakulukuse olw'ekigambo kyo, Nga njogera nti Olinsanyusa ddi?
83 Kubanga nfuuse ng'eddiba eriwanikibwa mu mukka; Naye seerabira mateeka go.
84 Ennaku ez'omuddu wo ziri mmeka? Olituukiriza ddi omusango ku abo abanjigganya?
85 Ab'amalala bansimidde obunnya Abatagoberera mateeka go.
86 Bye walagira byonna bya bwesigwa: Banjigganya awatali nsonga: ggwe onnyambe.
87 Baabulako katono banzikirize ku nsi; Naye ne sireka biragiro byo.
88 Onzuukize ng'ekisa kyo ekirungi bwe kiri; Bwe ntyo bwe nnaakwatanga akamwa ko bye kategeeza.
LAMEDI
89 Emirembe gyonna, ai Mukama, Ekigambo kyo kinyweredde mu ggulu.
90 Obwesigwa bwo bubeerera emirembe gyonna: Wanyweza ensi, n'ebeererawo.
91 Bikyaliwo leero nga bwe walagira; Kubanga ebintu byonna baddu bo.
92 Singa amateeka go si ge gansanyusa, Nandizikiridde bwe nnabonyaabonyezebwa.
93 Seerabirenga biragiro byo ennaku zonna; Kubanga wanzuukiza n'ebyo.
94 Nze ndi wuwo, ondokole; Kubanga naanoonyanga ebiragiro byo.
95 Ababi bannindiridde okunzikiriza; Naye nze naalowoozanga bye wategeeza.
96 Ndabye ebintu byonna ebyatuukirira gye bikoma; Naye ekiragiro kyo kigazi nnyo.
MEMU
97 Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumiitiriza okuzibya obudde.
98 Bye walagira bingeziwaza okusinga abalabe bange; Kubanga bali wamu nange ennaku zonna.
99 Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; Kubanga bye wategeeza bye ndowooza.
100 Ntegeera okukira abakadde, Kubanga neekuumanga ebiragiro byo.
101 Naaziyizanga ebigere byange obutatambula mu kkubo ebbi lyonna, Ndyoke nkwatenga ekigambo kyo.
102 Seekooloobyanga kuleka misango gyo; Kubanga ggwe wanjigirizanga.
103 Ebigambo byo nga bimpoomera mu kibuno kyange! Bisinga omubisi gw'enjuki mu kamwa kange!
104 Ebiragiro byo bye binfunya okutegeera: Kyenvudde nkyawa buli kkubo ery'obulimba.
NUUNI
105 Ekigambo kyo ye ttabaaza eri ebigere byange, N'omusana eri ekkubo lyange.
106 Nalayira, era nkikakasizza kino, Nga naakwatanga emisango gyo egy'ensonga.
107 Mbonyaabonyezebwa nnyo; Onzuukize, ai Mukama, ng'ekigambo kyo bwe kiri.
108 Okkirize, nkwegayiridde, ebyo akamwa kange bye kaakuwa, ai Mukama, nga tekaawalirizibwa, Era onjigirizenga emisango gyo.
109 Emmeeme yange eri mu mukono gwange ennaku zonna; Naye seerabira mateeka go.
110 Ababi bantegedde omutego; Naye sikyamanga kuleka biragiro byo.
111 Bye wategeeza mbitutte okuba obusika obutaliggavaawo; Kubanga ebyo bye binsanyusa omutima gwange.
112 Mpese omutima gwange okutuukiriza amateeka go, Emirembe gyonna, okutuusa enkomerero.
SAMEKI
113 Nkyaye abo abalina emyoyo egy'obulimba; Naye amateeka go ge njagala.
114 Ggwe oli kifo kyange kye nneekwekamu, n'engabo yange: Nsuubira ekigambo kyo.
115 Mugende mumbeere wala, mmwe abakozi b'obubi; Ndyoke neekuumeaga Katonda wange bye yalagira.
116 Ompanirire ng'ekigambo kyo bwe kiri, mbeerenga omulamu; Nneme okukwatibwanga ensonyi olw'essuubi lyange.
117 Ggwe ompanirire, nange naabeerangawo mirembe, Era neegenderezanga amateeka go ennaku zonna.
118 Onyoomye abo bonna abakyama okuleka amateeka go; Kubanga obukuusakuusa bwabwe bulimba.
119 Omalawo ababi bonna ab'ensi ng'amasengere: Kyenvudde njagala ebyo bye wategeeza.
120 Omubiri gwange gukankana olw'okukutya; Era ntya emisango gyo.
AYINI
121 Nkoze eby'omusango n'eby'obutuukuivu: Tondekera abo abanjooga.
122 Weeyimirire omuddu wo olw'obulungi: Ab'amalala baleme okunjooganga.
123 Amaaso gange ganzibye olw'obulokozi bwo, N'olw'ekigambo kyo ekituukirivu.
124 Okole omuddu wo ng'okusaasira kwo bwe kuli, Era onjigirizenga amateeka go.
125 Nze ndi muddu wo, ompe okutegeera; Ndyoke mmanye ebyo bye wategeeza.
126 Obudde butuuse Mukama okukola emirimu; Kubanga badibiza amateeka go.
127 Kyenvudde njagala ebyo bye walagira Okusinga ezaabu, weewaawo, okusinga ezaabu ennungi.
128 Kyenvudde ndowooza ebiragiro byo byonna eby'ebigambo byonna nga bya nsonga; Era nkyaye buli kkubo ery'obulimba.
PE
129 Bye wategeeza bya kitalo: Emmeeme yange kyeva ebyekuuma.
130 Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.
131 Nayasama nnyo akamwa kange ne mpeevuuma; Kubanga nayaayaanira ebyo bye walagira.
132 Onkyukire, onsaasire, Nga bw'oyisa okusaasira abo abaagala erinnya lyo.
133 Oluŋŋamizenga ebigere byange mu kigambo kyo; So obutali butuukirivu bwonna buleme okunfuganga.
134 Onnunule nneme okujoogebwanga abantu: Bwe ntyo bwe nnaakwataaga ebiragiro byo.
135 Oyakize amaaso go omuddu wo; Era onjigirizenga amateeka go.
136 Amaaso gange gakulukuta emigga gy’amazzi, Kubanga tebakwata mateeka go.
TIZADDE
137 Oli mutuukirivu, ai Mukama, N'emisango gyo gya nsonga.
138 Walagira bye wategeeza mu butuukirivu Ne mu bwesigwa ddala ddala.
139 Obuggya bwange bunzikirizza, Kubanga abalabe bange beerabidde ebigambo byo.
140 Ekigambo kyo kirongoofu nnyo; Omuddu wo kyava akyagala.
141 Nze ndi muto, nnyoomebwa: Naye seerabira biragiro byo.
142 Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu obw'emirembe gyonna, N'amateeka go ge mazima.
143 Ennaku n'okulumwa bindabye: Naye bye walagira bye binsanyusa.
144 Bye wategeeza bya butuukirivu emirembe gyonna: Ompe okutegeera, nange naabeeranga mulamu.
KOOFU
145 Nkoowodde n'omutima gwange gwonna; ompitabe, ai Mukama: Naakuumanga amateeka go.
146 Nkukoowodde; ondokole, Nange naakwatanga ebyo bye wategeeza.
147 Nakeera emmambya nga tennasala, ne nkoowoola: Nasuubira ebigambo byo.
148 Amaaso gange gaasooka ebisisimuka by'ekiro, Nfumiitirize ekigambo kyo.
149 Owulire eddoboozi lyange ng'ekisa kyo bwe kiri: Onzuukize, ai Mukama, ng'emisango gyo bwe giri:
150 Basembera abagoberera obubi; Bali wala amateeka go.
151 Ggwe oli kumpi, ai Mukama; Ne byonna bye walagira ge mazima.
152 Edda n'edda namanyanga olw'ebyo bye wategeeza, Nga wabinyweza emirembe gyonna.
REESI
153 Olowoozenga okubonaabona kwange, omponye; Kubanga seerabira mateeka go.
154 Ompolereze ensonga yange, onnunule: Onzuukize ng'ekigambo kyo bwe kiri.
155 Obulokozi buba wala ababi; Kubanga tebanoonya mateeka go.
156 Okusaasira kwo okulungi kungi, ai Mukama: Onzuukize ng'emisango gyo bwe giri.
157 Abanjigganya n'abankyawa bangi: Naye seekooloobyanga kuleka bye wategeeza.
158 Nalaba abo abakola eby'enkwe, ne nnakuwala; Kubanga tebakwata kigambo kyo.
159 Olowooze bwe njagala ebiragiro byo: Onzuukize, ai Mukama, ng'ekisa kyo bwe kiri.
160 Ekigambo kyo kyonna kyonna mazima; N'emisango gyo egy'ensonga gyonna gyonna gibeerera emirembe gyonna.
SINI
161 Abalangira banjigganyizza awatali nsonga; Naye omutima gwange gutya nnyo ebigambo byo.
162 Nsanyukira ekigambo kyo, Ng'alaba omunyago omungi.
163 Nkyaye obulimba, mbutamwa; Naye amateeka go ge njagala.
164 Emirundi musanvu buli lunaku nkutendereza; Olw'emisango gyo egy'ensonga.
165 Abaagala amateeka go balina emirembe mingi; So tebaliiko kibeesittaza.
166 Nsuubidde obulokozi bwo, ai Mukama, Era nkoze bye walagira.
167 Emmeeme yange yakwatanga bye wategeeza; Era mbyagala kitalo.
168 Naakwatanga ebiragiro byo n'ebyo bye wategeeza; Kubanga amakubo gange gonna gali mu maaso go.
TAWU
169 Okukaaba kwange kusemberenga mu maaso go, ai Mukama: Ompe okutegeeranga ng'ekigambo kyo bwe kiri.
170 Okwegayirira kwange kujjenga mu maaso go: Omponye ng'ekigambo kyo bwe kiri.
171 Emimwa gyange gyogere ettendo; Kubanga onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange luyimbe ku kigambo kyo; Kubanga bye walagira byonna bwe butuukirivu.
173 Omukono gwo gube nga gweteeseteese okunnyamba; Kubanga nneerobozza ebiragiro byo.
174 Njaayaanidde obulokozi bwo, ai Mukama; Era amateeka go ge gansanyusa.
175 Emmeeme yange ebeerenga ennamu, era eneekutenderezanga; N'emisango gyo ginnyambenga.
176 Nakyama ng'endiga ebuze; noonya omuddu wo; Kubanga seerabira bye walagira.

">


Essuula 120

1 Mu kunakuwala kwange nakoowoola Mukama, N'ampitaba.
2 Omponye emmeeme yange, ai Mukama, eri emimwa egy'obulimba, N'eri olulimi olw'obukuusakuusa.
3 Oliweebwa ki, olyongerwako ki nate, Ggwe olulimi olw'obukuusakuusa?
4 Obusaale obw'obwogi obw'abazira, Era n'amanda ag'entaseesa.
5 Zinsanze, kubanga ntambulira mu Meseki Kubanga ntuula mu weema za Kedali!
6 Emmeeme yange yaakamaze ennaku nnyingi okutuula Awamu n'oyo akyawa emirembe.
7 Nze njagala emirembe: Naye bwe njogera, baagala okulwana.

">


Essuula 121

1 Naayimusa amaaso gange eri ensozi: Okubeerwa kwange kuliva wa?
2 Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.
3 Taliganya kigere kyo okusagaasagana: Akukuuma taabongootenga.
4 Laba, akuuma Isiraeri Taabongootenga so teyeebakenga.
5 Mukama ye mukuumi wo: Mukama kye kisiikirize kyo ku mukono gwo ogwa ddyo.
6 Enjuba terikwokya emisana, Newakubadde omwezi ekiro.
7 Mukama anaakukuumanga eri obubi bwonna; Ono ye anaakuumanga emmeeme yo.
8 Mukama anaakukuumanga amagenda go n'amadda, Okuva leero n'okutuuka emirembe gyonna.

">


Essuula 122

1 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti Tugende mu nnyumba ya Mukama.
2 Ebigere byaffe biyimiridde Munda mu miryango gyo, ggwe Yerusaalemi;
3 Ggwe Yerusaalemi, eyazimbibwa Okuba ekibuga ekigattiddwa awamu:
4 Ebika gye birinnya, bye bika bya Mukama, Okuba obujulirwa eri Isiraeri, Okwebazanga erinnya lya Mukama.
5 Kubanga baateeka omwo entebe ez'okusalirako omusango, Entebe ez'ennyumba ya Dawudi.
6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe: Baliraba omukisa abakwagala.
7 Emirembe gibeere mu bisenge byo, N'omukisa mu mayu go.
8 Ku lwa baganda bange ne bannange Naayogera kaakano nti Emirembe gibeere mu ggwe.
9 Olw'ennyumba ya Mukama Katonda waffe Naagezangako okukukola obulungi.

">


Essuula 123

1 Eri ggwe nnyimusa amaaso gange, Ai ggwe atuula mu ggulu.
2 Laba, amaaso g'abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe, Amaaso g'omuzaana nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, N'amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, Okutuusa lw'alitusaasira.
3 Otusaasire, ai Mukama, otusaasire: Kubanga tujjudde nnyo okunyoomebwa
4 Emmeeme yaffe ejjudde nnyo Okuduulirwa abo abalina emirembe, N'okunyoomebwa abo abalina amalala.

">


Essuula 124

1 Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Isiraeri ayogere kaakano;
2 Singa Mukama si ye yali ku luuyi lwaffe, Abantu bwe baatugolokokerako:
3 Banditumize, nga tukyali balamu, Obusungu bwabwe lwe bwatubuubuukirako:
4 Amazzi ganditutwalidde ddala, Mukoka yandiyise ku mmeeme yaffe:
5 Amazzi ag'amalala gandiyise ku mmeeme yaffe.
6 Mukama yeebazibwe, Atatugabudde okuba emmere eri amannyo gaabwe.
7 Emmeeme yaffe ewonye ng'ennyonyi mu mutego ogw'abatezi: Omutego gukutuse, naffe tuwonye.
8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, Eyakola eggulu n'ensi.

">


Essuula 125

1 Abeesiga Mukama Baliŋŋanga olusozi Sayuuni, olutajjulukuka, naye lunywera emirembe gyonna.
2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, Ne Mukama bw'atyo bwe yeetooloola abantu be, Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.
3 Kubanga omuggo ogufuga ogw'obubi tegulibeererawo ku mugabo ogw'abatuukirivu; Abatuukirivu balemenga okugolola emikono gyabwe okukola ebitasaana:
4 Obakolenga ebirungi, ai Mukama, abalungi, N'abo abalina emitima egitali gya bukuusa.
5 Naye abo abeekooloobya mu makubo gaabwe agakyamye, Mukama alibafulumya wamu n'abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibeere ku Isiraeri.

">


Essuula 126

1 Mukama bwe yazza nate obusibe bwa Sayuuni, Ne tufaanana ng'abo abaloota.
2 Akamwa kaffe ne kalyoka kajjula enseko, N'olulimi lwaffe okuyimba: Ne balyoka boogerera mu mawanga Nti Mukama abakoledde ebikulu.
3 Mukama atukoledde ebikulu; Kyetuvudde tusanyuka.
4 Ozze nate obusibe bwaffe, ai Mukama, Ng'emigga mu bukiika obwa ddyo.
5 Abasiga nga bakaaba amaziga balikungula nga basanyuka.
6 Newakubadde nga yagenda ng'akaaba, ng'atwala ensigo; Alidda nate n'essanyu, ng'aleeta ebinywa bye.

">


Essuula 127

1 Mukama bw'atazimba nnyumba, Abagizimba bakolera bwereere: Mukama bw'atakuuma kibuga, Omukuumi atunuulirira bwereere.
2 Mukolera bwereere bwe mukeera okugolokoka, era bwe mulwawo ennyo okwebaka; Era bwe mulya emmere ey'okutegana: Kubanga bw'abawa bw'atyo otulo abaagalwa be.
3 Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: N'ebibala eby'olubuto ye mpeera ye.
4 Ng'obusaale bwe buli mu mukono gw'omuzira, Abaana ab'omu buvubuka bwe bali bwe batyo.
5 Alina omukisa omuntu omufuko gwe bwe gujjula abo: Tebaakwatibwenga nsonyi, Bwe banaayogereranga n'abalabe baabwe mu mulyango.

">


Essuula 128

1 Alina omukisa buli atya Mukama, Atambulira mu makubo ge.
2 Kubanga onoolyanga emirimu egy'emikono gyo: Oliba wa mukisa, era oliraba ebirungi.
3 Mukazi wo aliba ng'omuzabbibu ogubala mu nju ez'omunda mu nnyumba yo: Abaana bo ng'amatabi g'omuzeyituuni nga beetooloola emmeeza yo.
4 Laba, bw'atyo bw'aliweebwa omukisa omuntu Atya Mukama.
5 Mukama anaakuwanga omukisa ng'ayima mu Sayuuni: Naawe onoolabanga ebirungi nga bijja ku Yerusaalemi ennaku zonna ez'obulamu bwo.
6 Weewaawo, oliraba abaana b'abaana bo. Emirembe gibeere ku Isiraeri.

">


Essuula 129

1 Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange Isiraeri ayogere kaakano;
2 Emirundi mingi gye baakambonyaabonyeza okuva mu buto bwange: Naye ne batampangula.
3 Abakabala baakabala omugongo gwange; Baatema ensalosalo empanvu,
4 Mukama mutuukirivu: Asazeesaze emigwa egy'ababi.
5 Bakwatibwe ensonyi, bazzibwe ennyuma, Bonna abakyawa Sayuuni.
6 Babe ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, Oguwotoka nga tegunnakula:
7 Omukunguzi n'atajjuza ogwo omukono gwe, Newakubadde asiba ebinywa ekifuba kye.
8 Newakubadde abayita teboogera Nti Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe; Tubawadde omukisa mu linnya lya Mukama.

">


Essuula 130

1 Mu buziba nkukaabidde ggwe, ai Mukama.
2 Mukama, owulire eddoboozi lyange: Amatu go galowooze Eddoboozi ery'okwegayirira kwange.
3 Mukama, bw'onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?
4 Naye waliwo okusonyiwa w'oli, Olyoke otiibwenga.
5 Nnindirira Mukama, emmeeme yange erinda, Era ekigambo kye kye nsuubira.
6 Emmeeme yange eyaayaanira Mukama, Okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya; Weewaawo, okusinga abakuumi bwe bayaayaanira obudde okukya.
7 Ggwe Isiraeri, suubiranga Mukama; Kubanga awali Mukama we wali okusaasira, Era awali ye we wali okununula okungi.
8 Era oyo alinunula Isiraeri Mu butali butuukirivu bwe bwonna.

">


Essuula 131

1 Mukama omutima gwange si gwa malala, newakubadde amaaso gange tegeegulumiza; So sitambulira mu bigambo ebikulu. Newakubadde mu bigambo eby'ekitalo ebinnema.
2 Mazima ŋŋonzezza emmeeme yange, ngisirisizza; Ng'omwana avudde ku mabeere awali nnyina, N'emmeeme yange eri we ndi bw'etyo ng'omwana avudde ku mabeere.
3 Ggwe Isiraeri suubiranga Mukama Okuva leero n'okutuusa emirembe gyonna.

">


Essuula 132

1 Mukama, ojjuukirire Dawudi Okubonaabona kwe kwonna.
2 Bwe yalayirira Mukama, Ne yeeyama Omuzira wa Yakobo:
3 Mazima siriyingira mu weema ey'ennyumba yange, So siririnnya ku kiriri kyange;
4 Siriwa amaaso gange okwebaka, Newakubadde enkowekowe zange Otulo;
5 Okutuusa lwe ndimulabira Mukama ekifo, Eweema ey'Omuzira wa Yakobo.
6 Laba, twagiwulirako mu Efulasa: Twagiraba mu nnimiro ey'ekibira.
7 Tuliyingira mu weema ze; Tulisinziza awali entebe y'ebigere bye.
8 Golokoka, ai Mukama, oyingire mu kifo kyo eky'okuwummuliramu; Ggwe, n'essanduuko ey'amaanyi go.
9 Bakabona bo bambale obutuukirivu; N'abatukuvu bo boogerere waggulu olw'essanyu.
10 Ku lw'omuddu wo Dawudi Togoba maaso g'oyo gwe wafukako amafuta.
11 Mukama yalayirira Dawudi mu mazima; Talikyuka kugaleka: Ku bibala eby'omubiri gwo nditeeka ku ntebe yo.
12 Abaana bo bwe banakkirizanga okwekuuma endagaano yange N'obujulirwa bwange bwe nnaabayigirizanga, Era n'abaana baabwe banaatuulanga ku ntebe yo emirembe gyonna.
13 Kubanga Mukama yeeroboza Sayuuni; Yakiyaayaanira okukituulamu.
14 Kino kye kifo kye mpummuliramu ennaku zonna: Wano we nnaatuulanga; kubanga nayaayaanirawo.
15 Naakiwanga omukisa mungi ekyengera kyakyo: Nakkusanga abaavu baakyo emmere.
16 Era ne bakabona baakyo ndibambaza obulokozi: N'abatukuvu baakyo balyogerera waggulu olw'essanyu.
17 Eyo gye ndyanyisiza ejjembe lya Dawudi: Namuteekerawo ettabaaza eyo gwe nnafukako amafuta.
18 Abalabe be ndibambaza ensonyi: Naye ku mutwe gwe engule ye eriraba omukisa.

">


Essuula 133

1 Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, Ab'oluganda okutuula awamu nga batabaganye!
2 Kuliŋŋanga amafuta ag'omuwendo omungi agali ku mutwe, Agaakulukutira mu kirevu, Mu kirevu kya Alooni; Agaaserengetera ku lukugiro lw'ebyambalo bye;
3 Ng'omusulo gwa Kerumooni, Ogukkira ku nsozi za Sayuuni: Kubanga eyo Mukama gye yalagirira omukisa, Bwe bulamu obw'emirembe n'emirembe.

">


Essuula 134

1 Mulabe, mumwebaze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, Abayimirira ekiro mu nnyumba ya Mukama.
2 Muyimuse engalo zammwe eri awatukuvu, Mumwebaze Mukama.
3 Mukama akuwe omukisa ng'ayima mu Sayuuni; Oyo eyakola eggulu n'ensi.

">


Essuula 135

1 1 Mumutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama, Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama:
2 Mmwe abayimirira mu nnyumba ya Mukama, Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe.
3 Mumutendereze Mukama; kubanga Mukama mulungi: Muyimbe okutendereza erinnya lye; kubanga lya ssanyu.
4 Kubanga Mukama yeeroboza Yakobo okuba owuwe, Ne Isiraeri okuba ow'envuma ye yekka.
5 Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu, Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna.
6 Buli ky'ayagadde Mukama akikoze, Mu ggulu ne mu nsi, mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna.
7 Anyoosa omukka okuva ku nkomerero z'ensi; Aleetera enjota enkuba; Afulumya empewo mu mawanika ge.
8 Eyakuba ababereberye ab'e Misiri, Ab'abantu era n'ab'ensolo.
9 Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri, Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna.
10 Eyakuba amawanga amangi, N'atta bakabaka ab'amaanyi;
11 Sikoni kabaka w'Abamoli, Ne Ogi kabaka w'e Basani, N'amatwale gonna aga Kanani:
12 N'agaba ensi yaabwe okuba obusika, Obusika eri Isiraeri abantu be.
13 Erinnya lyo, ai Mukama, libeerera ennaku zonna; N'ekijjukizo kyo, ai Mukama, okutuusa emirembe gyonna.
14 Kubanga Mukama alisalira omusango abantu be, Era alyejjusa mu bigambo eby'abaddu be.
15 Ebifaananyi eby'amawanga ye ffeeza, ye zaabu, Omulimu ogw'emikono gy'abantu.
16 Birina obumwa, naye tebyogera; Birina amaaso, naye tebiraba;
17 Birina amatu, naye tebiwulira; So tewali mukka mu bumwa bwabyo.
18 Ababikola balibifaanana; Weewaawo, buli abyesiga.
19 Mmwe ennyumba ya Isiraeri, mumwebaze Mukama: Mmwe ennyumba ya Alooni, mumwebaze Mukama:
20 Mmwe ennyumba ya Leevi, mumwebaze Mukama: Mmwe abatya Mukama, mumwebaze Mukama.
21 Mukama yeebazibwe okuva mu Sayuuni, Atuula mu Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 136

1 Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 Mumwebaze Katonda wa bakatonda: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
3 Mumwebaze Mukama w'abaami: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
4 Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
5 Oyo eyakola eggulu n'amagezi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
6 Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
7 Oyo eyakola ebyaka ebikulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
8 Enjuba okufuga emisana: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
9 Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
10 Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 N'engalo ez'amaanyi, n'omukono omugolole: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
13 Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 N'ayisa Isiraeri wakati mu yo: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
15 Naye n'asuulira Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
16 Oyo eyaluŋŋamiza abantu be mu ddungu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 Oyo eyakuba bakabaka abakulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
18 N'atta bakabaka abaatiikirivu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
19 Sikoni kabaka w'Abamoli: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
20 Ne Ogi kabaka w'e Basani: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
21 N'agaba ensi yaabwe okuba obusika: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
22 Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
23 Eyatujjukira bwe twajeera: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna:
24 N'atuwonya eri abalabe baffe: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 Awa ebyokulya ebirina emibiri byonna: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.
26 Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu: Kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.

">


Essuula 137

1 Okumpi n'emigga egy'e Babulooni, Twatuulawo wansi, weewaawo, ne tukaaba amaziga: Bwe twajjukira Sayuuni.
2 Ku miti egyali wakati mu kyo Ne tuwaaikako ennanga zaffe.
3 Kubanga abaatutwala mu busibe baatulagirira eyo okuyimba, N'abaatunyaga baatulagira okuseka, Nti Mutuyimbireko ku nnyimba za Sayuuni.
4 Tunaayimbanga tutya oluyimba lwa Mukama Mu nsi eteri yaffe?
5 Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi, Omukono gwange ogwa ddyo gwerabirenga amagezi gaagwo.
6 Olulimi lwange lwegattenga n'ekibuno kyange, Bwe ssiikujjukirenga; Bwe ssaagalenga Yerusaalemi Okusinga essanyu lyange ekkulu.
7 Ojjukire, ai Mukama, ku baana ba Edomu Olunaku olw'e Yerusaalemi; Abaayogera nti Kisuule, kisuule, Era n’emisingi gyakyo.
8 Ggwe omuwala ow'e Babulooni, agenda okuzikirizibwa; Aliba n'omukisa oyo alikuwalana ggwe, Nga bwe watukola ffe.
9 Aliba n'omukisa oyo alikwata abaana bo abato, alibakasuka ku jjinja.

">


Essuula 138

1 Nneebazanga n'omutima gwange gwonna: Mu maaso ga bakatonda naayimbanga okukutendereza.
2 Nnaasinzizanga eri yeekaalu yo entukuvu, Era nneebazanga erinnya lyo olw'ekisa kyo n'olw'amazima go: Kubanga ogulumizizza ekigambo kyo okusinga erinnya lyo lyonna.
3 Ku lunaku lwe nnakaabirirako wampitaba, N'oŋŋumya n'amaanyi mu mmeema yange.
4 Bakabaka bonna ab'ensi balikwebaza, ai Mukama, Kubanga bawulidde ebigambo eby'akamwa ko.
5 Weewaawo, baliyimba ku makubo ga Mukama; Kubanga ekitiibwa kya Mukama kingi.
6 Kuba Mukama newakubadde nga ye mukulu, naye n'alowooza abeetoowaza: Naye ab'amalala abamanya ng'ayima wala.
7 Newakubadde nga ntambulira wakati mu nnaku, olinzuukiza; Oligolola omukono gwo ku busungu bw'abalabe bange, N'omukono gwo ogwa ddyo gulindokola.
8 Mukama alituukiriza ebigambo ebinfaako: Okusaasira kwo, ai Mukama, kubeerera emirembe gyonna; Toleka mirimu gya mikono gyo ggwe.

">


Essuula 139

1 Ai Mukama, wannoonya nze, wammanya.
2 Omanyi bwe ntuula, era bwe ngolokoka, Otegeera okulowooza kwange nga kukyali wala.
3 Onoonyeza ddala ekkubo lyange n'okwebaka kwange, Era omanyi amagenda gange gonna.
4 Kubanga simuli kigambo mu lulimi lwange, Laba, ai Mukama, ggwe ky'otomanyira ddala.
5 Onzingizizza mu maaso n'ennyuma, Era ontaddeko omukono gwo.
6 Okumanya okuliŋŋanga okwo kwa kitalo, kunnema; Kwa waggulu, siyinza kukutuukako.
7 Naagenda wa okuva eri omwoyo gwo? Oba naddukira wa amaaso go?
8 Bwe nnaalinnya mu ggulu, nga gy'oli: Bwe nnaayala obuliri bwange mu magombe, laba, nga gy'oli.
9 Bwe nnaatoola ebiwaawaatiro eby'enkya, Ne ntuula mu bifo eby'ennyanja ebiri ewala ennyo;
10 Newakubadde eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, N'omukono gwo ogwa ddyo gunankwata.
11 Bwe ndyogera nti Enzikiza teereme kumbikkako, N'omusana ogunneetoolodde gunaaba ekiro;
12 Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, Naye ekiro kyaka ng'omusana: Kubanga enzikiza n'omusana bifaanana w'oli.
13 Kubanga ggwe olina omwoyo gwange: Wambikkako mu lubuto lwa mmange.
14 Naakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: Emirimu gyo gya kitalo; N'ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.
15 Tewakisibwa mubiri gwange, Bwe nnakolerwa mu kyama, Bwe nnatondebwa n'amagezi amangi mu bya wansi eby'ensi.
16 Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, Ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa.
17 Era n'ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu nga bingi!
18 Bwe mba mbibaze, bisinga omusenyu omuwendo: Bwe nzuukuka, nga nkyali wamu naawe.
19 Tolirema kutta babi, ai Katonda: Kale muve gye ndi, mmwe abasajja abayaayaanira omusaayi.
20 Kubanga bakwogerako bubi, N'abalabe bo balayirira bwereere erinnya lyo.
21 Sibakyawa abo, ai Mukama, abakukyawa ggwe? Sinyiigira abo abakugolokokerako?
22 Mbakyawa okukyawa okutuukiridde Mbayita balabe bange.
23 Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: Onkeme, omanye ebirowoozo byange:
24 Olabe ng'ekkubo lyonna ery'obubi liri mu nze, Era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.

">


Essuula 140

1 Omponye, ai Mukama, eri omubi; Onkuume eri omutemu:
2 Abayiiya ettima mu mutima gwabwe; Bakuŋŋaananga bulijjo okulwana.
3 Basongodde olulimi lwabwe ng'omusota; Obusagwa bw'essalambwa buli wansi w'emimwa gyabwe. (Seera)
4 Onkuume, ai Mukama, eri emikono gy'ababi; Omponye eri omutemu: Abateesezza okukyamya ebigere byange olw'amaanyi.
5 Ab'amalala bantegedde omutego n'emigwa; Bayaze ekitimba mu kkubo: Bantegedde ebyambika. (Seera)
6 Nagamba Mukama nti Ggwe oli Katonda wange: Owulire eddoboozi ery'okwegayirira kwange, ai Mukama.
7 Ai Katonda Mukama, amaanyi ag'obulokozi bwange. Wambikka ku mutwe gwange ku lunaku olw'olutalo.
8 Tokkiriza, ai Mukama, omubi by'ayagala; Toyamba lukwe lwe olubi; baleme okwegulumizanga. (Seera)
9 Omutwe gwabwe abanneetooloola, Ettima ery'emimwa gyabwe bo libabikkengako.
10 Amanda agookya gabagweko: Basuulibwe mu muliro; Mu bunnya obuwanvu, baleme okugolokokanga nate.
11 Ayogera obubi taanywerenga mu nsi: Obubi bunaayigganyanga omutemu okumusuula.
12 Mmanyi nga Mukama aliwoza omusango gw'abo ababonyaabonyezebwa, N'ensonga ey'abanaku.
13 Abatuukirivu tebalirema kwebaza linnya lyo: Ab'amazima balituula w'oli.

">


Essuula 141

1 Mukama, nkukaabidde; oyanguwe okujja gye ndi: Owulire eddoboozi lyange, bwe nkukaabira.
2 Okusaba kwange kuteekebwe mu maaso go ng'omugavu; Okugololwa kw'emikono gyange kube nga ssaddaaka ey'akawungeezi.
3 Ossengawo okulabirira, ai Mukama, ku kamwa kange: Okuumenga omulyango gw'emimwa gyange.
4 Tokyusanga mutima gwange eri ekibi kyonna. Okugenderera ebikolwa eby'obubi Awamu: n'abo abakola ebitali bya butuukirivu: So nnemenga okulya ku mmere yaabwe empoomerevu.
5 Omutuukirivu ankubenga nga kwa kisa; Era ambuulirirenga, ng'amafuta ku mutwe; Omutwe gwange gulemenga okugagaana: Kuba newakubadde, mu bubi bwabwe okusaba kwange kunaabeererangawo.
6 Abalamuzi baabwe basuulibwa ku mabbali g'ejjinja; Nabo baliwulira ebigambo byange; kubanga biwoomerevu.
7 Ng'omuntu bw'akabala ng'atema ettaka, N'amagumba gaffe bwe gatyo gasaasaanidde ku kamwa k'amagombe.
8 Kubanga amaaso gange gatunuulira ggwe, ai Katonda Mukama: Nkwesiga ggwe; toleka mmeeme yange nga teriiko anannyamba.
9 Onkuume eri omutego gwe bantegedde, N'eri ebyambika by'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 Ababi bagwe mu bitimba byabwe bo, Naye nze nga mpona.

">


Essuula 142

1 Nkaabira Mukama n'eddoboozi lyange; N'eddoboozi lyange neegayirira Mukama.
2 Nfuka mu maaso ge ebinneemulugunyisizza; Ndaga mu maaso ge ebinnakuwazizza;
3 Omwoyo gwange bwe gwazirika munda yange, ggwe wamanya ekkubo lyange. Mu kkubo lye ntambuliramu bankwekeddemu omutego.
4 Mutunule ku mukono gwange ogwa ddyo, mulabe; kubanga tewali muntu ammanyi: Ekiddukiro kimbuze; tewali muntu ayagala emmeeme yange:
5 Nakukoowoola ggwe, ai Mukama; Nayogera nti Ggwe oli kiddukiro kyange, Omugabo gwange mu nsi ey'abalamu.
6 Owulire okukaaba kwange; kubanga njeezebwa nnyo: Omponye eri abo abanjigganya; kubanga bansinga amaanyi.
7 Oggyeemu emmeeme yange mu kkomera, neebazenga erinnya lyo: Abatuukirivu balinneetooloola; Kubanga olinkolera eby'ekisa ekingi.

">


Essuula 143

1 Owulire okusaba kwange, ai Mukama; otege okutu eri okwegayirira kwange. Mu bwesigwa bwo ompitabe, ne mu butuukirivu bwo.
2 So tosalanga musango gwa muddu wo; Kubanga mu maaso go tewali muntu mulamu alisinga.
3 Kubanga omulabe anjigganyizza emmeeme yange; Akubye obulamu bwange n'abusuula wansi: Antuuzizza mu bifo eby'enzikiza ng'abo abaafa edda.
4 Omwoyo gwange kyeguvudde guzirika munda yange; Omutima gwange munda yange teguliiko anannyamba.
5 Njijukira ennaku ez'edda; ndowooza ebikolwa byo byonna: Nfumiitiriza omulimu ogw'engalo zo.
6 Nnyanjuluza engalo zange eri ggwe: Emmeeme yange ekulumirwa ennyonta, ng'ensi ekooye. (Seera)
7 Oyanguwe okumpitaba, ai Mukama; omwoyo gwange guggwaawo: Tonkisa maaso go; nneme okufuuka ng'abo abakkira mu bunnya.
8 Ompulizenga enkya ekisa kyo ekirungi; kubanga neesiga ggwe: Ontegeeze ekkubo eriŋŋwanira okutambuliramu; kubanga nnyimusa emmeeme yange eri ggwe.
9 Omponye, ai Mukama, eri abalabe bange: Nziruka okujja w'oli okwekisa.
10 Onjigirize okukolanga by'oyagala; kubanga ggwe oli Katonda wange: Omwoyo gwo mulungi; onnuŋŋamize mu nsi ey'obutuukirivu.
11 Onzuukize, ai Mukama, olw'erinnya lyo: Mu butuukirivu bwo oggyemu emmeeme yange mu nnaku.
12 Era mu kisa kyo ekirungi ozikirize abalabe bange, Omalewo bonna ababonyaabonya emmeeme yange; Kubanga ndi muddu wo.

">


Essuula 144

1 Yeebazibwe Mukama ejjinja lyange, Ayigiriza emikono gyange entalo, n'engalo zange okulwana.
2 Ekisa kyange ekirungi era ekigo kyange, Ennyumba yange empanvu, era omulokozi wange; Engabo yange, era oyo gwe nneesiga, Ajeemulula abantu bange be ntwala.
3 Mukama, omuntu kiki, ggwe okumumanya? Oba omwana w'omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4 Omuntu aliŋŋanga omukka: Ennaku ze ziriŋŋanga ekisiikirize ekiggwaawo.
5 Okutamye eggulu lyo, ai Mukama, okke: Okwate ku nsozi, zinaanyooka.
6 Okasuke enjota, obasaasaanye; Olase obusaale bwo, obateganye.
7 Ogolole omukono gwo ng'oyima waggulu; Omponye, onziye mu mazzi amangi, mu mukono gwa bannaggwanga;
8 Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
9 Naakuyimbiranga ggwe oluyimba oluggya, ai Katonda: N'ennanga erina enkoba ekkumi naayimbanga okukutendereza.
10 Ye wuuyo awa bakabaka obulokozi: Awonya Dawudi omuddu we eri ekitala ekiruma.
11 Omponye, onziye mu mukono gwa bannaggwanga, Akamwa kaabwe koogera ebitaliimu, N'omukono gwabwe ogwa ddyo gwe mukono ogwa ddyo ogw'obulimba.
12 Batabani baffe bwe baliba ng'emiti egikuze nga bakyali bavubuka; N'abawala baffe ng'amayinja ag'omu nsonda agabajjibwa nga bwe bagabajjira mu lubiri;
13 Amawanika gaffe bwe galijjula, nga galina ebintu eby'engeri zonna; N'endiga zaffe bwe zirizaala enkumi n'obukumi ku ttale lyaffe;
14 Ente zaffe bwe ziriba n'emigugu eminene; Nga tewali kuwagula, newakubadde okufuluma, So nga tewali kuyoogaana mu nguudo zaffe;
15 Balina omukisa abantu ababeera bwe batyo: Balina omukisa abantu abalina Katonda waabwe ye Mukama.

">


Essuula 145

1 Naakugulumizanga, Katonda wange, ai Kabaka; Era neebazanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
2 Buli lunaku naakwebazanga; Era naatenderezanga erinnya lyo emirembe n'emirembe.
3 Mukama mukulu, era agwana okutenderezebwa ennyo N'obukulu bwe tebunoonyezeka.
4 Emirembe ginaasuutanga emirimu gyo eri emirembe, Era ginaatenderanga ebikolwa byo eby'amaanyi.
5 Ku bukulu obw'ekitiibwa obw'ettendo lyo, Ne ku mirimu gyo egy'ekitalo, kwe nnaalowoozanga.
6 Era abantu banaayogeranga ku bikolwa byo eby'entiisa nga bya maanyi; Nange naategeezanga obukulu bwo.
7 Banaayatulanga obulungi bwo obungi bwe bujjukirwa, Era banaayimbanga ku butuukirivu bwo.
8 Mukama wa kisa ajjudde okusaasira; Alwawo okusunguwala era wa kusonyiwa kungi.
9 Mukama mulungi eri bonna; N'okusaasira kwe okulungi kubuna emirimu gye gyonna.
10 Emirimu gyo gyonna ginaakwebazanga, ai Mukama; N'abatukuvu bo banaakweyanzanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa eky'obwakabaka bwo, Banaanyumyanga ku buyinza bwo;
12 Okumanyisanga abaana b'abantu ebikolwa bye eby'amaanyi, N'ekitiibwa eky'obukulu obw'obwakabaka bwe.
13 Obwakabaka bwo bwe bwakabaka obutaliggwaawo, N'okufuga kwo kunaabeereranga emirembe gyonna.
14 Mukama awanirira abagwa bonna, Era ayimiriza abakutama bonna.
15 Amaaso g'ebintu byonna gakulindirira; Naawe obiwa emmere yaabyo mu ntuuko zaabyo.
16 Oyanjuluza engalo zo, N’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.
17 Mukama mutuukirivu mu makubo ge gonna, Era wa kisa mu mirimu gye gyonna.
18 Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira, Bonna abamukaabira n'amazima.
19 Anaatuukirizanga abo kye baagala abamutya; Era anaawuliranga okukaaba kwabwe anaabalokolanga.
20 Mukama akuuma abo bonna abamwagala; Naye ababi bonna alibazikiriza.
21 Akamwa kange kanaayogeranga ettendo lya Mukama; Era ne byonna ebirina emibiri byebazenga erinnya lye ettukuvu emirembe n'emirembe.

">


Essuula 146

1 Mumutendereze Mukama. Tendereza Mukama, ggwe emmeeme yange.
2 Nga nkyali mulamu, naatenderezanga Mukama: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.
3 Temwesiganga balangira, Newakubadde omwana w'omuntu, omutali buyambi bwonna.
4 Omukka gwe gumuvaamu, n'adda mu ttaka lye; Ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.
5 Alina omukisa oyo alina Katonda wa Yakobo okuba omubeezi we, Asuubira Mukama Katonda we:
6 Eyakola eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebibirimu byonna; Akwata amazima ennaku zonna:
7 Abatuukiririza omusango abajoogebwa; Awa emmere abalumwa enjala; Mukama asumulula abasibe;
8 Mukama azibula amaaso g'abazibe; Mukama ayimiriza abakutama; Mukama ayagala abatuukirivu;
9 Mukama akuuma bannaggwanga; Awanirira atalina kitaawe ne nnamwandu; Naye ekkubo ery'ababi alivuunikirira ddala.
10 Mukama anaafuganga ennaku zonna, Katonda wo, ggwe Sayuuni, okutuusa emirembe gyonna. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 147

1 Mumutendereze Mukama; Kubanga kulungi okuyimba okutenderezanga Katonda waffe; Kubanga kwa ssanyu, era ettendo liwooma.
2 Mukama azimbira ddala Yerusaalemi; Akuŋŋaanya wamu abagobebwa ab'omu Isiraeri.
3 Awonya abalina emitima egimenyese, Era asiba ebiwundu byabwe.
4 Abala emmunyeenye omuwendo gwazo; Azituuma zonna amannya gaazo.
5 Mukama waffe mukulu, era obuyinza bwe bwa maanyi; Okutegeera kwe tekulowoozekeka.
6 Mukama awanirira abawombeefu: Asindika wansi ababi.
7 Mumuyimbire Mukama n'okwebaza; Muyimbe n'ennanga okutendereza Katonda waffe;
8 Abikka ku ggulu n'ebire, Ateekerateekera ensi enkuba, Amereza omuddo ku nsozi.
9 Awa ensolo emmere yaazo, Ne bannamuŋŋoona abato abakaaba.
10 Tasanyukira maanyi ga mbalaasi: Teyeesiimira amagulu g'omuntu.
11 Mukama yeesiimira abo abamutya, Abo abasuubira okusaasira kwe.
12 Tendereza Mukama, ggwe Yerusaalemi; Tendereza Katonda wo, ggwe Sayuuni.
13 Kubanga anywezezza ebisiba by'enzigi zo; Awadde omukisa abaana bo munda yo.
14 Aleeta emirembe mu nsalo zo; Akujjuza obugimu obw'eŋŋaano.
15 Aweereza ekiragiro kye ku nsi; Ekigambo kye kidduka embiro nnyingi.
16 Agabula omuzira ng'ebyoya by'endiga; Amansira omusulo ogukutte empewo ng'evvu.
17 Aweereza amazzi ge agakutte ng'obukunkumuka: Ani ayinza okuyimirira awali empewo ze?
18 Atuma ekigambo kye, n'abisaanuusa: Akunsa empewo ze, amazzi ne gakulukuta.
19 Alaga Yakobo ekigambo kye, Amateeka ge n'emisango gye eri Isiraeri.
20 Takolanga bw'atyo ggwanga lyonna: N'emisango gye tebagimanyanga. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 148

1 Mumutendereze Mukama Mumutendereze Mukama, mmwe abayima mu ggulu: Mumutendereze mu bifo ebya waggulu.
2 Mumutendereze, mmwe bamalayika be bonna: Mumutendereze, mmwe eggye lye lyonna.
3 Mumutendereze, mmwe enjuba n'omwezi: Mumutendereze, mmwe emmunyeenye zonna ezaaka.
4 Mumutendereze, mmwe eggulu ly'eggulu, Nammwe amazzi agali waggulu w'eggulu.
5 Bitendereze erinnya lya Mukama: Kubanga yalagira, ne bitondebwa.
6 Era yabinyweza okutuusa emirembe n'emirembe: Yateeka etteeka eritaridiba.
7 Mumutendereze Mukama, mmwe abali mu nsi, Mmwe balukwata, n'ebifo byonna eby'obuziba:
8 Omuliro n'omuzira, serugi n'omukka: Omuyaga ogutuukiriza ekigambo kye:
9 Ensozi n'obusozi bwonna; Emiti egibala n'emivule gyonna:
10 Ensolo n'ente zonna; Ebyewalula n'ennyonyi ezibuuka:
11 Bakabaka b'ensi n'amawanga gonna; Abalangira n'abalamuzi bonna ab'ensi:
12 Abavubuka n'abawala; Abakadde n'abato:
13 Batendereze erinnya lya Mukama; Kubanga erinnya lye yekka lye ligulumizibwa: Ekitiibwa kye kiri kungulu ku nsi ne ku ggulu.
14 Era agulumizizza ejjembe ery'abantu be, Ettendo eryabatukuvu be bonna; Be baana ba Isiraeri, abantu abamuli okumpi: Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 149

1 Mumutendereze Mukama. Mumuyimbire Mukama oluyimba oluggya, N'ettendo lye mu kkuŋŋaaniro ery'abatukuvu:
2 Isiraeri asanyukire oyo eyamukola: Abaana ba Sayuuni bajagulize kabaka waabwe.
3 Batendereze erinnya lye nga bazina: Bayimbe okumutendereza n'ekitaasa n'ennanga.
4 Kubanga Mukama asanyukira abantu be: Aliwonya abawombeefu n'obulokozi.
5 Abatukuvu bajagulize ekitiibwa: Bayimbirenga olw'essanyu ku bitanda byabwe.
6 Ettendo eggulumivu lya Katonda libenga mu bulago bwabwe, N'ekitala eky'obwogi obubiri mu ngalo zaabwe;
7 Okuwalana eggwanga ku mawanga, N'okubonyaabonya abantu;
8 Okusiba bakabaka baabwe n'enjegere, N'abakungu baabwe n'ebisiba eby'ebyuma;
9 Okubatuukirizaako omusango ogwawandiikibwa: Abatukuvu be bonna balina ekitiibwa ekyo. Mumutendereze Mukama.

">


Essuula 150

1 Mumutendereze Mukama. Mumutendereze Katonda mu watukuvu we: Mumutendereze mu bbanga ery'amaanyi ge.
2 Mumutendereze olw'ebikolwa bye eby'amaanyi: Mumutendereze ng'obukulu bwe obulungi bwe buli.
3 Mumutendereze n'eddoboozi ery'ekkondeere: Mumutendereze n'amadinda n'ennanga.
4 Mumutendereze n'ekitaasa n'okuzina: Mumutendereze n'ebyo ebirina engoye n'endere:
5 Mumutendereze n'ebitaasa ebivuga ennyo: Mumutendereze n'ebitaasa eby'eddoboozi ettono.
6 Buli ekirina omukka kimutendereze Mukama. Mumutendereze Mukama.