Engero

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31


-Reset+

Essuula 1

1 Engero za Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isiraeri:
2 Okumanyanga amagezi n'okuyigirizibwanga; Okwawulanga ebigambo eby'okutegeera;
3 Okukkiriza okuyigirizibwanga okukolanga eby'amagezi, Obutuukirivu n'okusalanga emisango n'okugobereranga ensonga;
4 Okuwanga abatalina magezi obukabakaba, Omulenzi abeerenga n'okumanya n'okuteesa:
5 Ow'amagezi awulire yeeyongerenga okuba n'okuyiga; Era omusajja alina okutegeera afune okuteesanga okutuufu.
6 Okutegeeranga olugero n'ekifaananyi; Ebigambo eby'abagezigezi n'ebikokko byabwe.
7 Mu kutya Mukama okumanya mwe kusookera: Naye abasirusiru banyooma amagezi n'okuyigirizibwanga.
8 Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, So tova mu tteeka lya nnyoko:
9 Kubanga binaabanga ngule ya kisa ku mutwe gwo, N'emikuufu egyetoolodde obulago bwo.
10 Mwana wange, abalina ebibi bwe bakusendasenda, Tokkirizanga.
11 Bwe boogera nti Jjangu tugende fenna, Tuteege omusaayi, Tugwire mu kyama ataliiko musango awatali nsonga;
12 Tubamire nga bakyali balamu ng'amagombe, Era nga bakyali balamba ng'abo abakka mu bunnya;
13 Tuliraba ebintu byonna eby'omuwendo omungi. Tulijjuza ennyumba zaffe omunyago;
14 Oneekubira akalulu wamu naffe; Fenna tunaabanga n'ensawo emu:
15 Mwana wange, totambuliranga mu kkubo wamu nabo: Ziyizanga ekigere kyo okuyitanga mu lugendo lwabwe:
16 Kubanga ebigere byabwe bidduka mbiro okugoberera obubi, Era byanguwa okuyiwa omusaayi.
17 Kubanga bategera bwereere ekitimba, Ennyonyi yonna ng'ekiraba:
18 Era abo bateega omusaayi gwabwe bo, Bagwira mu kyama obulamu bwabwe bo.
19 Bwe gatyo bwe gabeera amakubo aga buli muntu eyeegomba amagoba; Gaggyawo obulamu bwa bannyini go.
20 Amagezi googerera waggulu mu luguudo; Galeeta eddoboozi lyago mu bifo ebigazi;
21 Googerera waggulu mu kifo ekikulu eky'okukuŋŋaaniramu; Awayingirirwa mu miryango, Mu kibuga mwe galeetera ebigambo byago:
22 Mmwe abatalina magezi, mulituusa wa okwagalanga obutaba na magezi? N'abanyooma okusanyukiranga okunyooma, N'abasirusiru okukyawanga okumanya?
23 Mukyuke olw'okunenya kwange: Laba, naafukanga omwoyo gwange gye muli, Naabamanyisanga ebigambo byange.
24 Kubanga mpise, mmwe ne mugaana; Ngolodde omukono gwange, so tewali muntu assizzaayo mwoyo;
25 Naye mujjuludde okuteesa kwange kwonna, So temwagadde kunenya kwange n'akatono:
26 Era nange ndisekera ku lunaku kwe mulirabira ennaku; Ndikudaala entiisa yammwe bw'erituuka;
27 Entiisa yammwe bw'erituuka ng'omuyaga, N'ennaku ze muliraba bwe zirijja ng'embuyaga ez'akazimu; Okweraliikirira n'obubalagaze bwe biribajjira.
28 Kale bwe balinkaabira, naye siriddamu; Balinnoonya nnyo, naye tebalindaba:
29 Kubanga baakyawanga okumanya, So tebeerobozanga kutya Mukama:
30 Tebaayagalanga kuteesa kwange n'akatono; Baanyoomanga okunenya kwange kwonna:
31 Kyebaliva balya ku bibala eby'ekkubo lyabwe bo, Ne bakkuta enkwe zaabwe bo.
32 Kubanga okudda ennyuma okw'abatalina magezi kulibatta, N'okulaba omukisa okw'abasirusiru kulibazikiriza.
33 Naye buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe, Era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.

">


Essuula 2

1 Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo;
2 N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera;
3 Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya, N'oliriranga okutegeera.
4 Bw'onooganoonyanga nga ffeeza, N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa;
5 Kale lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda.
6 Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera:
7 Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona;
8 Alyoke akuume amakubo ag'omusango, Era awonye okutambula kw'abatukuvu be.
9 Kale lw'olitegeera obutuukirivu n'omusango, N'eby'ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi.
10 Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo;
11 Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga:
12 Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi, Eri abasajja aboogera eby'ekyejo;
13 Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza;
14 Abasanyuka okukola obubi, N'ekyejo eky'omubi kye kibawoomera;
15 Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'okugenda kwabwe kwenyoolanyoola:
16 Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye;
17 Aleka omukwano ogw'omu buto bwe, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we:
18 Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa, N'amakubo ge eri abafu:
19 Tewali abagenda gy'ali abadda nate, So tebatuuka mu makubo ag'obulamu:
20 Olyoke otambulirenga mu kkubo ery'abasajja abalungi, N'okwata empenda ez'abatuukirivu.
21 Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo.
22 Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.

">


Essuula 3

1 Mwana wange, teweerabiranga tteeka lyange; Naye omutima gwo gukwatenga ebiragiro byange;
2 Kubanga ennaku ennyingi n'emyaka egy'okuwangaala N'emirembe bye birikwongerwako.
3 Okusaasira n'amazima tebikulekanga: Bisibenga mu bulago bwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo:
4 Bw'onoolabanga bw'otyo okuganja n'okutegeera okulungi Mu maaso ga Katonda n'ag'abantu.
5 Weesigenga Mukama n'omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe:
6 Mwatulenga mu makubo go gonna, Kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.
7 Tobanga na magezi mu maaso go ggwe; Tyanga Mukama ove mu bubi:
8 Ekyo kye kinaabanga obulamu eri ekkundi lyo, N'obusomyo eri amagumba go.
9 Ossangamu ekitiibwa Mukama n'ebintu byo, N'ebibereberye ku bibala byo byonna:
10 Amawanika go bwe ganajjulanga bwe gatyo ekyengera, N'amasogolero go ganaayiikanga omwenge omusu.
11 Mwana wange, tonyoomanga kubuulirira kwa Mukama; So n'okunenya kwe kulemenga okukukooya:
12 Kubanga Mukama gw'ayagala gw'anenya; Era nga kitaawe omwana we gw'asanyukira.
13 Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi. N'oyo afuna okutegeera.
14 Kubanga obuguzi bwago businga obuguzi obwa ffeeza, N'amagoba gaago gakira zaabu ennungi.
15 Ga muwendo mungi okusinga amayinja amatwakaavu: So tewali kintu ky'oyinza okwegomba ebyenkanyankanyizibwa nago.
16 Okuwangaala kuli mu mukono gwago ogwa ddyo; Mu mukono gwago ogwa kkono mulimu obugagga n'ekitiibwa.
17 Amakubo gaago makubo ga kusanyukiramu, N'eŋŋendo zaago zonna mirembe.
18 Ago gwe muti ogw'obulamu eri abo abagakwata: Era alina omukisa buli muntu abeera nago.
19 Mukama yassaawo emisingi gy'ensi n'amagezi; Yanyweza eggulu n'okutegeera.
20 Ennyanja yayabika n'okumanya kwe, Eggulu ne litonnya omusulo.
21 Mwana wange, ebyo tebivanga ku maaso go; Kwatanga amagezi amatuufu n'okuteesa;
22 Bwe binaabanga bwe bityo obulamu eri emmeeme yo, N'obuyonjo eri obulago bwo.
23 Awo lw'olitambulira mu kkubo lyo mirembe, So n'ekigere kyo tekiryesittala.
24 Bw'onoogalamiranga tootyenga: Weewaawo, onoogalamiranga n'otulo two tunaakuwoomeranga.
25 Totyanga ntiisa gy'otomanyiridde, Newakubadde okuzikiriza okw'ababi bwe kujjanga:
26 Kubanga Mukama ye anaabanga obwesige bwo, Era ye anaakuumanga ekigere kyo olemenga okuwambibwa
27 Tommanga birungi abo abagwanira, Bwe kiri mu buyinza bw'omukono gwo okubikola.
28 Togambanga muliraanwa wo nti Genda okomewo, Enkya ndikuwa; Bwe kiri naawe.
29 Tosaliranga munno bubi, Kubanga abeera gy'oli mirembe
30 Toyombanga na muntu awatali nsonga, Oba nga taliiko bubi bw'akukoze.
31 Tokwatirwanga buggya omusajja ow'amawaggali, So teweerobozanga makubo ge gonna.
32 Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama: Naye ekyama kye kiri n'abagolokofu.
33 Ekikolimo kya Mukama kiri mu nnyumba ey'omubi: Naye awa omukisa ekifo abatuukirivu mwe babeera.
34 Mazima anyooma abanyoomi, Naye awa abeetoowaza ekisa.
35 Ab'amagezi balisikira ekitiibwa: Naye ensonyi ze ziriba okukuzibwa okw'abasirusiru.

">


Essuula 4

1 Baana bange, muwulirenga okuyigiriza kwa kitammwe, Mutegenga amatu okumanya okutegeera:
2 Kubanga mbawa okuyiga okulungi; Temuvanga mu tteka lyange.
3 Kubanga nali mwana eri kitange, Omugonvu era eyayagalibwanga nzekka mu maaso ga mmange.
4 Era yanjigirizanga n'aŋŋamba nti Omutima gwo gunywezenga ebigambo byange; Kwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu:
5 Funa amagezi, funa okutegeera; Togeerabiranga so tovanga mu bigambo eby'omu kamwa kange:
6 Togalekanga, nago ganaakukuumanga; Ogaagalanga nago ganaakulindanga.
7 Amagezi kye kigambo ekisinga obukulu; kale funa amagezi: Weewaawo funanga okutegeera n'ebyo byonna bye wafunanga.
8 Gagulumizenga nago galikukuza: Galikutuusa mu kitiibwa, bw'onoogawambaatiranga.
9 Galiwa omutwe gwo engule ey'obuyonjo: Galikugabira enkuufiira ey'obulungi.
10 Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; N'emyaka egy'obulamu bwo giriba mingi.
11 Naakuyigiriza ekkubo ery'amagezi; Naakuluŋŋamya mu makubo ag'obugolokofu.
12 Bw'onootambulanga ebigere byo tebiifundikirwenga; Era bw'onoddukanga teweesittalenga.
13 Nywerezanga ddala okuyigirizibwa; tokutanga: Kukwatenga; kubanga bwe bulamu bwo.
14 Toyingiranga mu kkubo ery'ababi, So totambuliranga mu lugendo olw'abasajja ababi.
15 Olwesambanga, toluyitangako; Okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso.
16 Kubanga tebeebaka wabula nga bamaze okukola akabi; N'otulo tubaggibwako wabula nga baliko be bagwisizza.
17 Kubanga balya emmere ey'obubi, Ne banywa omwenge ogw'okugira ekyejo.
18 Naye ekkubo ery'abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, Ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.
19 Ekkubo ery'ababi liriŋŋanga ekizikiza: Tebamanyi ekibeesittaza.
20 Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; Teganga okutu eri okwogera kwange.
21 Tebivanga ku maaso go; Bikuumirenga wakati mu mutima gwo.
22 Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, Era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna.
23 Onyiikiranga nnyo nnyini okukuumanga omutima gwo; Kubanga omwo mwe muva ensulo ez'obulamu.
24 Weggyengako akamwa akabambaavu, N'emimwa emikyamu ogyewalanga nnyo.
25 Amaaso go galuŋŋamirenga ddala, N'ebikowe byo bitunuulirenga ddala emberi yo.
26 Tereezanga ekkubo ery'ebigere byo, Era amagenda go gonna ganywerenga.
27 Tokyamiranga ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono: Ggyawo ekigere kyo obutakola bubi.

">


Essuula 5

1 Mwana wange, ssangayo omwoyo eri amagezi gange; Teganga okutu eri okutegeera kwange:
2 Olyoke okuumenga okuteesa, N'emimwa gyo gikwatenga okumanya.
3 Kubanga emimwa gy'omukazi omugenyi gitonnya omubisi gw'enjuki, N'akamwa ke kasinga amafuta obugonvu:
4 Naye enkomerero ey'oluvannyuma ekaawa ng'omususa, Esala ng'ekitala eky'obwogi obubiri.
5 Ebigere bye bikka mu kufa; Ebisinde bye bikwata amagombe;
6 N'okulaba talaba kkubo ttereevu ery'obulamu: Amakubo ge gasagaasagana, so takimanyi.
7 Kale nno, baana bange, mumpulirenga, So temuvanga mu bigambo eby'omu kamwa kange.
8 Ekkubo lyo limwesambire ddala, So tosembereranga luggi lwa nnyumba ye:
9 Olemenga okuwa abalala ekitiibwa kyo, N'emyaka gyo eri omukambwe.
10 Abagenyi balemenga okukkuta amaanyi go; N'emirimu gyo giremenga okubeera mu nnyumba y'omunnaggwanga;
11 Naawe n'onakuwala enkomerero yo ng'etuuse Ennyama yo n'omubiri gwo bwe birimalibwawo,
12 N'oyogera nti Nga nakyawanga okuyigirizibwa, Omutima gwange ne gunyoomanga okunenyezebwa;
13 So saagonderanga ddoboozi lya bayigiriza bange, So saateganga kutu kwange eri abo abanjigirizanga!
14 Nabulako katono okuba mu bubi bwonna Wakati mu kkuŋŋaaniro n'ekibiina.
15 Onyweranga amazzi mu kidiba kyo ggwe, N'amazzi agakulukuta mu luzzi lwo ggwe.
16 Ensulo zo zandisaasaanidde ddala, Emigga egy'amazzi ne giba mu nguudo?
17 Gabeereranga ddala gago wekka, So si ga bagenyi wamu naawe.
18 Ensulo yo ebeerenga n'omukisa; Era sanyukiranga omukazi ow'omu buvubuka bwo.
19 Ng'ennangaazi ekwagala n'empeewo ekusanyusa, Amabeere ge gakumalenga mu biro byonna; Era osanyukirenga bulijjo okwagala kwe.
20 Kubanga lwaki ggwe okusanyukiranga omukazi omugenyi, mwana wange, N'ogwa mu kifuba ky'atali wuwo?
21 Kubanga amakubo g'abantu gali mu maaso ga Mukama, Era atereeza eŋŋendo ze zonna.
22 Obutali butuukirivu bwe ye bulikwata omubi, Era alisibibwa n'emigwa egy'okwonoona kwe,
23 Alifa olw'okubulwa okuyigirizibwa; Era olw'obusirusiru bwe obungi aliwaba.

">


Essuula 6

1 Mwana wange, oba nga weeyimirira muliraanwa wo, N'okubira omugenyi mu ngalo,
2 Ebigambo eby'omu kamwa ko bikukwasizza, Ebigambo eby'omu kamwa ko bikuteze.
3 Kale nno, mwana wange, kola kino weerokole, Kubanga ogudde mu mukono gwa muliraanwa wo; Genda weetoowaze otayirire muliraanwa wo.
4 Toganyanga maaso go kwebaka Newakubadde ebikowe byo okubongoota.
5 Weerokole ng'empeewo bw'eva mu mukono gw'omuyizzi, Era ng'ennyonyi bw'eva mu mukono gw'omutezi.
6 Genda eri enkolooto, ggwe omugayaavu; Lowooza empisa zaayo obeerenga n'amagezi:
7 Eyo terina mwami, Newakubadde omulabirizi newakubadde afuga,
8 Naye ne yeeterekera ebyayo ebyokulya mu biro eby'okukunguliramu, N'ekuŋŋaanya emmere yaayo mu mwaka.
9 Olituusa wa okwebakanga, ggwe omugayaavu? Oligolokoka ddi mu tulo two?
10 Wakyaliwo okwebaka okutono n'okubongoota okutono, N'okufunya emikono okutono okwebaka:
11 Bwe kityo obwavu bwo bulijja ng'omunyazi, N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.
12 Omuntu ataliiko ky'agasa, omusajja ow'obutali butuukirivu; Atambula ng'alina akamwa akabambaavu;
13 Atemya amaaso, ayogeza bigere bye, Abagula n'engalo ze;
14 Obubambaavu buli mu mutima gwe, asala obubi olutata; Asiga okukyawagana nga tamanyiridde;
15 Ennaku z'aliraba kyeziriva zijja nga tamanyiridde; Amangu ago alimenyeka, awatali kuwonyezebwa.
16 Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by'akyawa; Weewaawo, musanvu bya muzizo gy'ali:
17 Amaaso ag'amalala, olulimi olulimba, N'engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango;
18 Omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, Ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima;
19 Omujulirwa w'obulimba ayogera eby'obulimba, N'oyo asiga okukyawagana mu b'oluganda.
20 Mwana wange, okwatanga ekiragiro kya kitaawo, So tolekanga tteeka lya nnyoko:
21 Bisibenga ennaku zonna ku mutima gwo, Binywezenga mu bulago bwo.
22 Bw'onootambulanga, linaakukulemberanga; Bw'oneebakanga, linaakukuumanga: Era bw'onoozuukukanga, linaayogeranga naawe.
23 Kubanga etteeka ttabaaza; ekiragiro musana; N'okunenya kw'oyo akuyigiriza lye kkubo ery'obulamu:
24 Okukuumanga eri omukazi omubi, Eri okunyumiriza kw'olulimi lw'omugenyi.
25 Teweegombanga bulungi bwe mu mutima gwo; So n'ebikowe bye biremenga okukukwasa.
26 Kubanga olw'omukazi omwenzi omuntu afuuka mmere bumere: N'omukazi omwenzi ayigga obulamu obw'omuwendo omungi.
27 Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, Ebyambalo bye ne bitaggya?
28 Oba omuntu ayinza okutambulira ku manda agookya, Ebigere bye ne bitasiriira?
29 Bw'atyo bw'abeera ayingira eri omukazi wa munne; Buli amukomako talirema kubonerezebwa.
30 Abantu tebanyooma mubbi oba ng'abba Okukkusa emmeeme ye ng'alumiddwa enjala:
31 Naye bw'anaalabikanga, anaagattanga emirundi musanvu; Anaawangayo ebintu byonna eby'omu nnyumba ye.
32 Ayenda ku mukazi talina kutegeera: Ayagala okuzikiriza obulamu bwe ye ye akola bw'atyo.
33 Alifuna ebiwundu n'okunyoomebwa; N'ekivume kye tekirisangulibwa.
34 Kubanga obuggya kye kiruyi ky'omusajja; So talisaasira ku lunaku olw'okuwalanirako eggwanga.
35 Talissaayo mwoyo eri ekinunulo kyonna; So talinyiigulukuka newakubadde ng'owa ebirabo ebingi.

">


Essuula 7

1 Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Oterekanga ebiragiro byange ewuwo.
2 Okwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu; N'etteeka lyange ng'emmunye ey'eriiso lyo.
3 Bisibenga ku mukono gwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo.
4 Gambanga amagezi nti Ggwe mwannyinaze; Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe:
5 Bikukuumenga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye.
6 Kubanga nalingiza mu ddirisa ery'ennyumba yange Mu mulimu omuluke ogw'omu ddirisa;
7 Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Omuvubuka atalina kutegeera,
8 Ng'ayita mu luguudo kumpi ku mugguukiriro gwe, N'agenda mu kkubo eridda mu nnyumba ye;
9 Mu kizikiza, obudde nga buwungedde; Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi.
10 Kale, laba, ne wamusisinkana omukazi Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya.
11 Muyombi era mukakanyavu; Ebigere bye tebibeera mu nnyumba ye:
12 Oluusi aba mu nguudo, oluusi mu bifo ebigazi, Era ateegera ku buli mugguukiriro.
13 Awo n'amukwata n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti
14 Ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe ziri wange; Leero mmaze okusasula obweyamo bwange.
15 Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, Okunyiikira okunoonya amaaso go, era nkulabye.
16 Njaze ekitanda kyange n'amagodooli, N'engoye ez'amakuubo eza ppamba w’e Misiri.
17 Mpunyisizza bulungi ekiriri kyange N'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa.
18 Jjangu tukkute okwagala okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala.
19 Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala:
20 Yagenda ng'atwala ensawo eya ffeeza; Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.
21 Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda n'okwegonza okw'emimwa gye.
22 Amangu ago agenda amugobeberera, Ng'ente bw'egenda okusalibwa, Oba ng'amasamba bwe gagenda okukangavvula omusirusiru;
23 Okutuusa akasaale lwe kalifumita ekibumba kye; Ng'ennyonyi bw'eyanguwa okugwa mu kyambika, So tamanyi ng'alifiirwa obulamu bwe.
24 Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo eby'omu kamwa kange.
25 Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze.
26 Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Weewaawo, ababe abattibwa ggye ddene.
27 Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe. Nga likka mu bisenge eby'okufa.

">


Essuula 8

1 Amagezi tegoogerera waggulu N'okutegeera tekuleeta ddoboozi lyakwo?
2 Enguudo we zisibuka mu kkubo Mu masaŋŋanzira we gayimirira;
3 Ku mabbali g'emiryango awayingirirwa mu kibuga, Abantu we bayingirira awali enzigi googerera waggulu:
4 Mmwe abasajja, mbakoowoola; N'eddoboozi lyange liri eri abaana b'abantu.
5 Mmwe abatalina magezi, mutegeerenga obukabakaba; Nammwe, abasirusiru, mubeerenga n'omutima ogutegeera.
6 Muwulire, kubanga naayogera ebigambo ebirungi ennyo; N'okwasama emimwa gyange kunaavaamu eby'ensonga.
7 Kubanga akamwa kange kanaayogera eby'amazima; N'obubi bwa muzizo eri emimwa gyange.
8 Ebigambo byonna eby'omu kamwa kange biri mu butuukirivu; Mu byo temuli kintu ekikyamakyama newakubadde ekyenyodde.
9 Byonna byangu eri oyo ategeera, Era bya nsonga eri abo abalaba okumanya.
10 Mukkirize okuyigiriza kwange so si ffeeza; N'okumanya okukira zaabu ennonde.
11 Kubanga amagezi gasinga amayinja amatwakaavu; N'ebintu byonna ebiyinzika okwegombebwa tebyenkanyankanyizibwa nago.
12 Nze amagezi nfudde obukabakaba okuba ennyumba yange Era nnoonya okumanya n'okuteesa.
13 Okutya Mukama kwe kukyawa obubi; Amalala n'essukuti n'ekkubo ebbi N'akamwa akabambaavu bye nkyawa.
14 Okuteesa kwange n'okumanya okutuufu: Nze ndi kutegeera; nnina amaanyi.
15 Ku bwange bakabaka bafuga, Abalangira ne bateeka eby'obutuukiruvu.
16 Ku bwange abalangira bafuga, N'abakungu, abalamuzi bonna ab'oku nsi:
17 Njagala abo abanjagala; N’abo abanyiikira okunnoonya balindaba.
18 Obugagga n’ekitiibwa biri nange; Wewaawo, obugagga obw’enkalakkalira n’obutuukirivu.
19 Ebibala byange bisinga zaabu obulungi, weewaawo, zaabu ennungi; N'amagoba gange gakira ffeeza ennonde.
20 Ntambulira mu kkubo ery'obutuukirivu, Wakati mu mpenda ez'okusala emisango:
21 Ndyoke mpe abo abanjagala okusikira ebintu, Era njijuze amawanika gaabwe.
22 Mukama yali nange ekkubo lye we lyasookera, Okusooka emirimu gye egy'edda.
23 Nateekebwawo okuva emirembe n'emirembe, okuva ku lubereberye, Ensi nga tennabaawo.
24 Nga tewannabaawo buziba, nazaalibwa; Ensulo ezijjudde amazzi nga tezinnabaawo.
25 Ensozi nga tezinnaba kussibwawo, Nasooka obusozi okuzaalibwa:
26 Ye nga tannatonda nsi newakubadde ennimiro, Newakubadde enfuufu ey'ensi eyasooka.
27 Bwe yanyweza eggulu, nze naliyo: Bwe yakulunga amaaso g'obuziba:
28 Bwe yanyweza eggulu waggulu: Ensulo ez'ennyanja bwe zaafuuka ez'amaanyi: omubi yeetonnyezaako ebbala.
29 Bwe yawa ennyanja ensalo yaayo, Amazzi galemenga okusobya ekiragiro kye: Bwe yalamba emisingi gy'ensi:
30 Kale nze nga ndi awo gy'ali ng'omukoza: Era bulijjo yansanyukiranga, Nga njaguliza bulijjo mu maaso ge;
31 Nga nsanyukira ensi ye ebeerekamu; N'essanyu lyange lyali n'abaana b'abantu.
32 Kale nno, baana bange, mumpulirenga: Kubanga balina omukisa abakwata amakubo gange.
33 Muwulirenga okuyigirizibwa mubenga n’amagezi, So temugagaananga.
34 Alina omukisa omuntu ampulira, Ng'atunuulira bulijjo ku nzigi zange, Ng'alinda awali emifuubeeto gy'enzigi zange.
35 Kubanga buli alaba nze alaba bulamu, Era alifuna okuganja eri Mukama.
36 Naye oyo annyonoona asobya obulamu bwe ye: Bonna abakyawa nze baagala okufa.

">


Essuula 9

1 Amagezi gazimbye ennyumba yaago, Gatemye empagi zaago musanvu:
2 Gasse ensolo zaago; gatabudde omwenge gwago; Era gategese emmeeza yaago.
3 Gasindise abawala baago, googerera waggulu. Ku bifo eby'omu kibuga ebisinga obugulumivu,
4 Nti Buli atalina magezi akyamire muno: Oyo abulwa okutegeera gamugamba nti
5 Mujje mulye ku mmere yange, Era munywe ku mwenge gwe ntabudde.
6 Mulekenga, mmwe abatalina magezi, mubeerenga abalamu; Era mutambulirenga mu kkubo ery'okutegeera.
7 Anenya omukudaazi yeeswaza: N'oyo abuulirira omubi yeetonnyezaako ebbala.
8 Tobuuliriranga mukudaazi aleme okukukyawa: Buuliriranga ow'amagezi, anaakwagalanga.
9 Yigirizanga ow'amagezi, aneeyongeranga okuba n'amagezi: Yigirizanga omutuukirivu, aneeyongeranga okuyita.
10 Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera: N'okumanya oyo Omutukuvu kwe kutegeera.
11 Kubanga ku bwange ennaku zo ziryongerwa, N’emyaka egy’obulamu bwo girisukkirizibwa.
12 Oba nga olina amagezi, weebeera n’amagezi wekka: Era bw’onoonyoomanga, kuliba ku ggwe wekka.
13 Omukazi omusirisiru aleekaana; Talina magezi, so taliiko ky'amanyi.
14 Era atuula ku mulyango gw'ennyumba ye, Ku ntebe mu bifo eby'omu kibuga ebigulumivu,
15 Okuyita abo abayitawo, Abakwatira ddala amakubo gaabwe,
16 Nti Buli atalina magezi akyamire muno: N'oyo abulwa okutegeera amugamba nti
17 Amazzi amabbe ge gawooma, N'emmere eriirwa mu kyama ye esanyusa.
18 Naye tamanyi ng'abafu bali eyo: Ng'abagenyi be bali mu buziba bw'emagombe.

">


Essuula 10

1 Engero za Sulemaani. Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
2 Obugagga obw'obubi tebuliiko kye bugasa: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
3 Mukama taalekenga mmeeme ya mutuukirivu okufa enjala: Naye okwegomba kw'ababi akusindika eri.
4 Ayavuwala oyo akola n'omukono oguddiridde: Naye omukono gw'abanyiikivu guleeta obugagga.
5 Akungulira mu kyeya mwana wa magezi: Naye oyo eyeebakira mu biro eby'okukunguliramu ye mwana akwasa ensonyi.
6 Emikisa giba ku mutwe gw'omutuukirivu: Naye ekyejo kibikka ku kamwa k'ababi.
7 Ekijjukizo ky'omutuukirivu kirina omukisa: Naye erinnya ly'ababi lirivunda.
8 Alina omutima ogw'amagezi anakkirizanga ebiragiro: Naye omubuyabuya aligwa.
9 Atambulira mu bugolokofu ye atambula emirembe: Naye akyamya amakubo ge alimanyibwa.
10 Atemya eriiso eleeta ennaku: Naye omusirusiru omubuyabuya aligwa.
11 Akamwa k'omutuukirivu nsulo ya bulamu: Naye ekyejo kibikka ku kamwa k'ababi.
12 Okukyawa kuleeta ennyombo: Naye okwagala kubikka ku byonoono byonna.
13 Mu mimwa gy'oyo alina okwawula mulabikamu amagezi: Naye omuggo gwa mabega g'oyo abulwa okutegeera.
14 Ab'amagezi batereka okumanya: Naye akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira okutavaawo.
15 Ebintu eby'omugagga kye kibuga kye eky'amaanyi: Abaavu okuzikirira kwabwe bwavu bwabwe.
16 Omulimu ogw'omutuukirivu guleeta bulamu; Ekyengera eky'omubi kireeta kwonoona.
17 Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa akyama.
18 Oyo akisa okukyawa wa mimwa gya bulimba; N'oyo awaayiriza musirusiru.
19 Mu lufulube lw'ebigambo temubula kusobya: Naye oyo aziyiza emimwa gye akola eby'amagezi.
20 Olulimi lw'omutuukirivu ffeeza nnonde: Omutima gw'ababi tegugasa nnyo.
21 Emimwa gy'omutuukirivu giriisa bangi: Naye abasirusiru bafa olw'okubulwa okutegeera.
22 Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, So tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.
23 Okukola obubi muzannyo gwa musirusiru: Era bwe gatyo amagezi bwe gabeera eri omuntu alina okutegeera.
24 Omubi ky'atya kirimujjira: N'ekyo abatuukirivu kye beegomba balikiweebwa.
25 Empewo ez'akazimu bwe ziyita, kale omubi nga takyaliwo: Naye omutuukirivu musingi gwa lubeerera.
26 Ng'omwenge omukaatuufu bwe gugira amannyo, era ng'omukka bwe gugira amaaso, N'omugayaavu bw'agira bw'atyo abo abamutuma.
27 Okutya Mukama kuwangaaza: Naye emyaka gy'ababi girisalibwako.
28 Essuubi ery'abatuukirivu liriba ssanyu: Naye okusuubira kw'ababi kulizikirira.
29 Ekkubo lya Mukama kigo eri omugolokofu; Naye kuzikirira eri abo abakola ebitali bya butuukirivu.
30 Omutuukirivu tajjululwenga ennaku zonna: Naye ababi tebalibeera mu nsi.
31 Akamwa k'omutuukirivu kazaala amagazi: Naye olulimi olubambaavu lulimalibwawo.
32 Emimwa gy'omutuukirivu gigaanyi ebikkirizibwa: Naye omumwa gw'ababi gwogera bubambaavu.

">


Essuula 11

1 Eminzaani ey'obulimba ya muzizo eri Mukama: Naye ekipima ekituufu ky'asanyukira.
2 Amalala lwe gajja, lwe wajja n'ensonyi: Naye amagezi gaba n'abeetoowaza.
3 Obutayonoona obw'abagolokofu bulibaluŋŋamya: Naye obubambaavu bw'abo abasala enkwe bulibazikiriza.
4 Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw'obusungu: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
5 Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye.
6 Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Abo abasala enkwe balikwasibwa n'ettima lyabwe bo.
7 Omuntu omubi bw'afanga, okusuubira kwe kuzikiriranga: N'essuubi ery'obutali butuukikirivu libula.
8 Omutuukirivu awonyezebwa mu nnaku, Omubi n'adda mu kifo kye.
9 Atamanyi Katonda azikiriza munne n'akamwa ke: Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya.
10 Abatuukirivu bwe balaba ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe babula, wabaawo okuleekaana.
11 Omukisa ogw'abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga: Naye akamwa k'ababi ke kakisuula.
12 Anyooma munne abulwa amagezi: Naye omuntu alina okutegeera asirika.
13 Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Naye oyo alina omwoyo omwesigwa akisa ekigambo.
14 Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
15 Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi alibalagalwa: Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira.
16 Omukazi ow'ekisa aguguba n'ekitiibwa: N'abasajja ab'amawaggali baguguba n'obugagga.
17 Asaasira akola bulungi emmeeme ye ye: Naye omukambwe ateganya omubiri gwe ye.
18 Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira.
19 Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu: N'oyo agoberera obubi yetta yekka.
20 Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama: Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira b'asanyukira.
21 Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, omuntu omubi taliwona kubonerezebwa: Naye ezzadde ery'abatuukirivu liriwonyezebwa.
22 Ng'ekyobuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina kuteesa.
23 Abatuukirivu kye beegomba birungi bisa: Naye ababi kye basuubira busungu.
24 Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi.
25 Emmeeme egabagaba eneegejjanga: N'oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini.
26 Amma eŋŋaano, abantu balimukolimira: Naye omukisa gunaabanga ku mutwe gw'oyo agitunda.
27 Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anoonyanga n'okuganja: Naye akenneenya ettima, linaamujjiranga.
28 Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaayeranga ng'amalagala amabisi.
29 Ateganya ennyumba ye ye alisikira empewo: N'omusirisuru aliba muddu w'oyo alina omutima ogw'amagezi.
30 Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu.
31 Laba, omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: Omubi n'omwonoonyi tebalisinga nnyo?

">


Essuula 12

1 Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋanga ensolo.
2 Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe embi alimusalira omusango okumusinga.
3 Omuntu taanywezebwenga lwa bubi: Naye emmizi gy'abatuukirivu tegijjululwenga ennaku zonna.
4 Omukazi eyeegendereza ngule eri bba: Naye aswaza kivundu mu magumba ge.
5 Ebirowoozo eby'abatuukirivu bya nsonga: Naye ababi bye bateesa bulimba.
6 Ebigambo eby'ababi bya kutega musaayi: Naye akamwa k'abagolokofu kalibawonya.
7 Ababi bameggebwa ne babula: Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira.
8 Omuntu alisiimibwa ng'amagezi ge bwe gali: Naye oyo alina omutima omukyamu alinyoomebwa.
9 Oyo atayitibwa ka buntu, era alina omuddu, Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa era abulwa eby'okulya.
10 Omuntu omutuukirivu alowooza obulamu bw'ensolo ye: Naye okusaasira kw'ababi kukambwe.
11 Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abataliiko kye bagasa abuliddwa okutegeera.
12 Omubi yeegomba ekitimba ky'abasajja ab'ekyejo: Naye ekikolo eky'abatuukirivu kibala ebibala.
13 Mu kusobya kw'emimwa mulimu ekyambika eri omuntu ow'ekyejo:
14 Omuntu alikkuta ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: N'ebikolwa eby'emikono gy'omuntu alibisasulibwa.
15 Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awulira okuweererwa ebigambo.
16 Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu akisa ensonyi.
17 Ayatula eby'amazima ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa.
18 Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza ng'okufumita okw'ekitala: Naye olulimi lw'ab'amagezi kwe kulaama.
19 Omumwa ogw'amazima gunaanywezebwanga emirembe gyonna: Naye olulimi olulimba lwa kaseera buseera.
20 Okudyeka kuli mu mitima gy'abo abateesa obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu.
21 Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba: Naye ab'ekyejo balikkuta obubi.
22 Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama: Naye abo abakola eby'amazima b'asanyukira.
23 Omuntu omutegeevu akisa okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru gulaalika obusirusiru.
24 Omukono gw'abanyiikivu gulifuga: Naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw'obuddu.
25 Ennaku bwe ziba mu mutima gw'omuntu zigukutamya; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa.
26 Omutuukirivu aba musaale eri munne: Naye ekkubo ery'ababi libawabya.
27 Omuntu omugayaavu tayokya ekyo ky'akutte ng'ayigga; Naye ebintu eby'omuwendo omungi eby'abantu biba bya munyiikivu.
28 Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu; Ne mu luwenda lw'abo temuli kufa.

">


Essuula 13

1 Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa.
2 Omuntu anaalyanga ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: Naye emmeeme ey'abasala enkwe eneeryanga kugirirwa kyejo.
3 Akuuma akamwa ke anyweza obulamu bwe: Naye ayasama ennyo akamwa ke aliba n'okuzikirira.
4 Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba n'eteba na kintu: Naye emmeeme ey'abanyiikivu eneegejjanga.
5 Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba: Naye omuntu omubi mugwagwa, era akwatibwa ensonyi.
6 Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu: Naye ekyejo kisuula oyo alina ebibi.
7 Wabaawo eyeegaggawaza, naye nga talina kintu: Wabaawo eyeeyavuwaza, naye ng'alina obugagga bungi.
8 Obugagga bwe bwe bununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, tawulira kukanga kwonna.
9 Omusana ogw'abatuukirivu gusanyuka: Naye ettabaaza ey'ababi erizikizibwa.
10 Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abateesa obulungi.
11 Obugagga obufunibwa olw'ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa: Naye oyo akuaanya ng'akola emirimu aliba n'okwala.
12 Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu.
13 Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo atya ekiragiro aliweebwa empeera.
14 Etteeka ery'omugezigezi nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa.
15 Okutegeera okulungi kuleeta okuganja: Naye ekkubo ery'abasala enkwe bbi.
16 Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya: Naye omusirusiru ayaliira obusirusiru.
17 Omubaka ow'ekyejo agwa mu bubi: Naye omutume omwesigwa kwe kulaama.
18 Obwavu n'ensonyi biriba by'oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa.
19 Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme: Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru.
20 Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye munnaabwe w'abasirusiru alibalagalwa.
21 Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi.
22 Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu.
23 Mu nnimiro ez'abaavu mulimu emmere nnyingi: Naye wabaawo azikirizibwa olw'obutagoberera nsonga.
24 Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali.
25 Omutuukirivu alya, emmeeme ye n’ekkuta: Naye olubuto lw'ababi lulirumwa enjala.

">


Essuula 14

1 Buli mukazi ow'amagezi azimba ennyumba ye. Naye omusirusiru agyabya n'emikono gye ye.
2 Atambulira mu bugolokofu bwe atya Mukama: Naye akyamakyama mu makubo ge amunyooma.
3 Mu kamwa k'omusirusiru mulimu omuggo ogw'amalala: Naye emimwa gy'ab'amagezi ginaabakuumanga.
4 Eteri nte ekisibo kiba kirongoofu: Naye amaanyi g'ente galeeta okwala kungi.
5 Omujulirwa omwesigwa talimba: Naye omujulirwa ow'obulimba ayogera eby'okuwaayiriza.
6 Anyooma anoonya amagezi n'atagalaba: Naye okumanya kwangu eri oyo alina okutegeera.
7 Yingira mu masso g'omusirusiru, Toolabe ku ye mimwa gya kumanya.
8 Okutegeera ekkubo lye ge magezi g'omutegeevu: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe kulimba.
9 Abasirusiru bakudaalira omusango: Naye mu bagolokofu mulimu ekisa.
10 Omutima gumanya okulumwa kwagwo; So n'omugenyi teyeetabula mu ssanyu lyagwo.
11 Ennyumba ey'ababi erisuulibwa: Naye eweema ey'abagolokofu eneebanga n'omukisa.
12 Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo ge makubo ag'okufa.
13 Ne bwe guseka omutima gunakuwala; N'enkomerero y'okuseka buyinike.
14 Adda ennyuma mu mutima gwe alikkuta amakubo ge ye: N'omuntu omulungi alikkuta ye yennyini.
15 Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: Naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.
16 Omuntu ow'amagezi atya n'ava mu bubi: Naye omusirusiru aba n'ettitimbuli, era yeeyinula.
17 Ayanguwa okusunguwala alikola eby'obusirusiru: N'omuntu asala enkwe embi akyayibwa.
18 Abatalina magezi basikira obusirusiru: Naye abategeevu bassibwako engule kwe kumanya.
19 Ababi bakutamira abalungi; N'ab'ekyejo awali emiryango egy'abatuukirivu.
20 Omwavu ne munne amukyawa: Naye omugagga alina emikwano mingi:
21 Anyooma munne ayonoona: Naye asaasira abaavu alina omukisa.
22 Abagunja obubi tebawaba? Naye okusaasirwa n'amazima binaabanga byabwe abagunja obulungi.
23 Omulimu gwonna guliko kye gugasa: Naye okubuyabuya kw'emimwa kwavuwaza bwavuwaza.
24 Obugagga bwabwe ye ngule ey'ab'amagezi: Naye obusirusiru bw'abasirusiru busirusiru bwereere.
25 Omujulirwa ow'amazima awonya emmeeme z'abantu: Naye aleeta eby'obulimba akyamya.
26 Mu kutya Mukama mulimu okuguma ennyo omwoyo: N'abaana be baliba n'obuddukiro.
27 Okutya Mukama nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa.
28 Mu lufulube lw'abantu mwe muli ekitiibwa kya kabaka: Naye okubulwa abantu kwe kuzikirira kw'omulangira:
29 Alwawo okusunguwala alina okutegeera kungi: Naye alina omwoyo ogwanguyiriza agulumiza obusirusiru.
30 Omutima omutuufu bwe bulamu obw'omubiri: Naye obuggya kwe kuvunda kw'amagumba.
31 Ajooga omwavu avuma Omutonzi we: Naye asaasira oyo eyeetaaga amussaamu ekitiibwa.
32 Omubi asindikibwa wansi mu kwonoona kwe: Naye omutuukirivu alina essuubi mu kufa kwe:
33 Amagezi gabeera mu mutima gw'oyo alina okutegeera: Naye ekiri ku kitundu eky'abasirusiru eky'omunda kimanyisibwa.
34 Obutuukirivu bugulumiza eggwanga; Naye ekibi kivumisa eggwanga lyonna.
35 Omuddu akola eby'amagezi ye aganja eri kabaka: Naye obusungu bwe bunaabanga eri oyo akwasa ensonyi.

">


Essuula 15

1 Okuddamu n'eggonjebwa kukyusa ekuruyi: Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu.
2 Olulimi lw'ab'amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana: Naye akamwa k'abasirusiru kayiwa obusirusiru.
3 Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi.
4 Olulimi oluwonya muti gwa bulamu: Naye bwe luba n'obukyamu, omwoyo gumenyeka.
5 Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye oyo assaayo omwoyo eri okunenya afuna obutegeevu.
6 Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku.
7 Emimwa gy'ab'amagezi gibunya okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola.
8 Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira.
9 Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu.
10 Waliwo okubuulirirwa okuzibu eri oyo aleka ekkubo lyennyini: Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa.
11 Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale emitima gy'abaana b'abantu tegisinga nnyo?
12 Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Tayagala kugenda eri ab'amagezi:
13 Omutima ogujaguza gusanyusa amaaso: Naye obuyinike obw'omutima bwe bumenya omwoyo.
14 Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye akamwa k'abasirusiru emmere yaako busirusiru.
15 Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo.
16 Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga bungi obuliko obuyinike.
17 Amaluma awali okwagalaaa Gasinga ente eya ssava awali okukyawagana.
18 Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka.
19 Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo.
20 Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.
21 Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera aluŋŋamya amagenda ge.
22 Awatali magezi okuteesa kufa: Naye kunywerera mu lufulube lw'abo abateesa ebigambo.
23 Omuntu asanyukira okuddamu okw'omu kamwa ke: N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi!
24 Eri ow'amagezi ekkubo ery'obulamu lyambuka waggulu, Alyoke ave mu magombe wansi.
25 Mukama alisimbula ennyumba ey'ab'amalala: Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu.
26 Okusala enkwe embi kwa muzizo eri Mukama: Naye ebigambo ebisanyusa biba birongoofu.
27 Ayaayaanira amagoba ateganya ennyumba ye ye: Naye akyawa enguzi ye anaabanga omulamu.
28 Omutima gw'omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula: Naye akamwa k'ababi kafuka ebitasaana.
29 Mukama aba wala ababi: Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu.
30 Omusana ogw'amaaso gusanyusa omutima: N'ebigambo ebirungi bigezza amagumba.
31 Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu Kunaabeeranga mu b'amagezi.
32 Agaana okubuulirirwa anyooma emmeeme ye: Naye oyo awulira okunenya afuna okutegeera.
33 Okutya Mukama amagezi kwe gayigiriza; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.

">


Essuula 16

1 Okutegeka omutima kugwanira muntu: Naye okwanukula kw'olulimi kuva eri Mukama.
2 Amakubo gonna ag'omuntu gaba malongoofu mu maaso ge ye: Naye Mukama apima emyoyo.
3 Emirimu gyo giterese Mukama, N'ebirowoozo byo binaanywezebwanga.
4 Mukama yakolera buli kintu omulimu gwakyo: Weewaawo, era n'ababi yabakolera olunaku olw'okulabirako ennaku.
5 Buli muntu alina omutima ogw'amalala wa muzizo eri Mukama: Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, taliwona kubonerezebwa.
6 Okusaasira n'amazima bye birongoosa obutali butuukirivu: Era okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.
7 Amakubo ag'omuntu bwe gasanyusa Mukama, Atabaganya naye era n'abalabe be.
8 Akatono akaliko obutuukirivu Kakira amagoba mangi wamu n'ebitali bya nsonga.
9 Omutima gw'omuntu guteesa ekkubo lye: Naye Mukama ye aluŋŋamya ebigere bye.
10 Obulaguzi buba mu mimwa gya kabaka: Akamwa ke tekalisobya mu kusala omusango.
11 Ebigera n'eminzaani ebituufu biba bya Mukama: Ebipima byonna eby'omu nsawo mulimu gwe.
12 Okukola obubi kwa muzizo eri bakabaka: Kubanga obutuukirivu bwe bunyweza entebe.
13 Emimwa emituukirivu bakabaka gye basanyukira; Era baagala oyo ayogera eby'ensonga.
14 Obusungu bwa kabaka babaka ba kufa: Naye omuntu ow'amagezi alibukkakkanya.
15 Mu musana ogw'amaaso ga kabaka mwe muli obulamu; N'okuganza kwe kire kya mu ttoggo.
16 Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu! Weewaawo, okufuna okutegeera kulondebwa okukira ffeeza.
17 Olugendo olw'abagolokofu kuleka bubi: Akuuma ekkubo lye awonya emmeeme ye.
18 Amalala gakulembera okuzikirira, N'omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
19 Aba n'omwoyo ogwetoowaza wamu n'abaavu Akira agereka omunyago wamu n'ab'amalala.
20 Assaayo omwoyo eri ekigambo anaalabanga ebirungi: Era buli eyeesiga Mukama alina omukisa.
21 Alina omutima ogw'amagezi banaamuyitanga mutegeevu: N'obuwoomerevu bw'emimwa bwongera okuyiga.
22 Okutegeera luzzi lwa bulamu eri nnyini kwo: Naye abasirusiru obusirusiru bwabwe bwe bubabuulirira.
23 Omutima gw'ow'amagezi guyigiriza akamwa ke, Ne gwongera okuyiga ku mimwa gye.
24 Ebigambo ebisanyusa bisenge bya njuki, Biwoomera emmeeme, era bwe bulamu eri amagumba.
25 Waliwo ekkubo omuntu ly'ayita eddungi, Naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.
26 Omululu gw'omukozi gumukolera emirimu. Kubanga akamwa ke kamwegayirira.
27 Omuntu ataliiko ky'agasa agunja ettima: Era mu mimwa gye mubaamu omuliro ogusonsomola.
28 Omuntu omubambaavu asiga empaka: Era omulyolyomi akyayisa ab'omukwano ennyo.
29 Omuntu ow'ekyejo asendasenda munne, N'amutwala mu kkubo eritali ddungi.
30 Aziba amaaso, kwe kuteesa ebigambo eby'obubambaavu: Aluma emimwa atuukiriza obubi.
31 Omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, Gunaalabikanga mu kkubo ery'obutuukirivu.
32 Alwawo okusunguwala asinga ab'amaanyi; N'afuga omwoyo gwe akira amenya ekibuga.
33 Akalulu kasuulibwa mu lugoye olw'omu kifuba; Naye okulagira kwako kwonna kuva eri Mukama.

">


Essuula 17

1 Akamere akaluma awamu n'obutereevu Kakira ennyumba ejjudde embaga omuli okuyomba.
2 Omuddu akola eby'amagezi alifuga omwana akwasa ensonyi, Era aliba n'omugabo ogw'obusika mu b'oluganda.
3 Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu: Naye Mukama ye akema emitima.
4 Akola obubi assaayo omwoyo eri emimwa emibi; N'omulimba awulira olulimi olw'ettima.
5 Akudaalira omwavu avvoola Omutonzi we: N'oyo asanyukira obuyinike taliwona kubonerezebwa.
6 Abaana b'abaana ngule ya bakadde; N'abaana ekitiibwa kyabwe bakitaabwe.
7 Okwogera ebikulu tekusaanira musirusiru: Kale emimwa egirimba gisaanira gitya omulangira?
8 Ekirabo jjinja lya muwendo mungi mu maaso g'oyo ali nakyo: Gye kikyukira yonna kiraba omukisa.
9 Abikka ku kusobya anoonya okwagala: Naye ayeeyereza ekigambo akyayisa ab'omukwano ennyo.
10 Okunenya kuyingira nnyo mu nnyini kutegeera Okusinga emiggo kikumi bwe giyingira mu musirisuru.
11 Omuntu omubi anoonya bujeemu bwereere; Omubaka omukambwe kyaliva atumibwa okumukwata.
12 Eddubu enyagiddwako abaana baayo esisinkane n'omuntu, Aleme okusisinkana n'omusirusiru mu busirusiru bwe.
13 Asasula obubi olw'obulungi, Obubi tebuliva ku nnyumba ye.
14 Okutanula okuyomba kuli ng'omuntu bw'aggulira amazzi: Kale olekanga okuwakana nga tewannabaawo kuyomba.
15 Awa omubi obutuukirivu n'oyo asalira omutuukirivu okumusinga, Bombi benkana okuba ab'omuzizo eri Mukama.
16 Kiki ekibeesaawo omuwendo mu mukono gw'omusirusiru okugula amagezi, Nga talina kutegeera?
17 Ow'omukwano ayagala mu biro byonna, Era ow'oluganda yazaalirwa obuyinike.
18 Omuntu abulwa okutegeera akuba mu ngalo, N'afuuka omuyima mu maaso ga munne.
19 Ayagala okuyomba ayagala okusobya: Agulumiza ennyo omulyango gwe anoonya okuzikirira.
20 Alina omutima omubambaavu taliiko bulungi bw'alaba: N'oyo alina olulimi olukyamu agwa mu bubi.
21 Azaala omusirusiru yeereetako obuyinike: Era kitaawe w'omusirusiru talina ssanyu.
22 Omutima ogujaguza ddagala ddungi: Naye omwoyo ogumenyese gukaza amagumba.
23 Omuntu omubi aggya enguzi mu kifuba, Okukyamya amakubo ag'okusala omusango.
24 Amagezi gaba mu maaso g'oyo alina okutegeera: Naye amaaso g'omusirusiru gaba mu njuyi z'ensi ezikomererayo.
25 Omwana omusirusiru buyinike bwa kitaawe, Era bubalagaze bwa mukazi eyamuzaala.
26 Era okubonereza omutuukirivu si kulungi, Newakubadde okukuba abalungi ng'obalanga obugolokofu bwabwe,
27 Aziyiza ebigambo bye alina okumanya: N'oyo alina omwoyo ogw'emmizi muntu mutegeevu.
28 Era n'omusirusiru bw'asirika bamuyita wa magezi: Bw'abuniza emimwa gye bamulowooza nga mutegeevu.

">


Essuula 18

1 Eyeeyawula anoonya kye yeegomba yekka, Era alalukira amagezi gonna amatuufu.
2 Omusirusiru tasanyukira kutegeera, Naye omutima gwe gwebikkule bwebikkuzi.
3 Omubi bw'ajja, n'okunyooma kujja, Era awamu n'okuswazibwa ne wajja n'okuvumibwa.
4 Ebigambo eby'omukamwa k'omuntu mazzi ga buziba: Oluzzi olw'amagezi mugga ogukulukuta.
5 Okukkiriza amaaso g'omubi si kulungi, Newakubadde okugoba omutuukirivu bw'awoza.
6 Emimwa gy'omusirusiru giyingira mu nnyombo, Akamwa ke ne kasaba emiggo.
7 Akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira kwe, N'emimwa gye kye kyambika eky'emmeeme ye.
8 Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto.
9 Era n'oyo atenguwa ng'akola emirimu Ye muganda w'oyo azikiriza.
10 Erinnya lya Mukama kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n'aba mirembe.
11 Omugagga obugagga bwe kye kibuga kye eky'amaanyi, Era bbugwe muwanvu mu kulowooza kwe ye.
12 Okuzikiriza nga tekunnabaawo omutima gw'omuntu gwegulumiza, Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.
13 Addamu nga tannawulira, Busirusiru n'ensonyi gy'ali.
14 Omwoyo gw'omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe; Naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?
15 Omutima gw'omutegeevu gufuna okumanya; N'okutu kw'ab'amagezi kunoonya okumanya.
16 Ekirabo eky'omuntu kimuseguliza, Era kimutuusa mu maaso g'abakulu.
17 Asooka okuwoza afaanana nga ye mutuukirivu; Naye munne n'ajja n'amukebera.
18 Akalulu kalekesaayo ennyombo, Era kalamula ab'amaanyi.
19 Ow'oluganda anyiize kizibu okumufuna okusinga ekibuga eky'amaanyi: Era ennyombo eziri bwe zityo ziri ng'ebisiba eby'ekigo.
20 Olubuto lw'omuntu lulikkuta ebibala eby'akamwa ke; Ekyengera eky'omu mimwa gye kirimumala.
21 Okufa n'obulamu biba mu buyinza bw'olulimi; N'abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22 Alaba omukazi okumufumbirwa alaba ekirungi, Era afuna okuganja eri Mukama.
23 Omwavu yeegayirira: Naye omugagga addamu n'ebboggo.
24 Akwana emikwano emingi yeereetako okuzikirira: Naye waliwo ow'omukwano eyeegatta ennyo okusinga ow'oluganda.

">


Essuula 19

1 Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira ow'emimwa emikyamu era omusirusiru.
2 Era emmeeme obutaba na kumanya si kirungi; N'oyo ayanguyiriza n'ebigere bye ayonoona.
3 Obusirusiru bw'omuntu bwe buvuunika ekkubo lye; N'omutima gwe gunyiigira Mukama.
4 Obugagga bwongera emikwano mingi: Naye omwavu akyawagana ne mukwano gwe.
5 Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; N'oyo ayogera eby'okudyeka talirokoka.
6 Bangi abalimusaba omugabagabanyi obuganzi: Era buli muntu aba mukwano gw'oyo awa ebirabo.
7 Omwavu baganda be bonna bamukyawa: Mikwano gye tebasinga nnyo kumwewala! Abayigganya n'ebigambo, naye nga bagenze.
8 Afuna amagezi ayagala emmeeme ye: Anyweza okutegeera aliraba ebirungi.
9 Omujulirwa ow'obulimba taliwona kubonerezebwa; Naye ayogera eby'obulimba alizikirira.
10 Okwekanasa tekusaanira musirusiru; Kale omuddu okufuga abalangira kusaana kutya?
11 Okuteesa kw'omuntu kwe kumulwisaawo okusunguwala; Era okusonyiwa ekyonoono kye kitiibwa kye.
12 Obusungu bwa kabaka buli ng'okuwuluguma kw'empologoma; Naye obuganzi bwe musulo ku ssubi.
13 Omwana omusirusiru nnaku za kitaawe: N'okuyomba kw'omukazi kwe kutonnya olutata.
14 Ennyumba n'obugagga bwe busika obuva eri bakitaabwe: Naye omukazi omutegeevu ava eri Mukama.
15 Obugayaavu buleeta otulo tungi; N'omuntu atakola mulimu alirumwa enjala.
16 Akuuma ekiragiro akuuma emmeeme ye: Naye atassaayo mwoyo eri amakubo ge alifa.
17 Asaasira omwavu awola Mukama, Era alimusasula nate ekikolwa kye ekirungi.
18 Kangavvulanga omwana wo, kubanga essuubi weeriri; So teweegomba kuzikirira kwe.
19 Omuntu ow'ekiruyi ekingi aliriwa: Kubanga bw'olimuwonya kirigwanira okukola bw'otyo nate omulundi ogw'okubiri.
20 Wuliranga okuteesa, okkirizenga okuyigirizibwa, Obeere n'amagezi enkomerero yo ng'etuuse.
21 Mu mutima gw'omuntu mulimu okufumiitiriza kungi; Naye okuteesa kwa Mukama kwe kunaanyweranga.
22 Omuntu ekimwagaza kisa kye: N'omwavu akira omulimba.
23 Okutya Mukama kuleeta bulamu: N'oyo ali nakwo anaabeereranga awo nga kumumala; Talijjirwa bubi.
24 Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya, So tayagala na kuguzza nate ku kamwa ke.
25 Kuba omunyoomi, atalina magezi anaayiga obutegeevu: Era buulirira alina okutegeera; era anaategeera okumanya.
26 Anyaga kitaawe n'agoba nnyina, Ye mwana akwasa ensonyi era aleeta ekivume.
27 Mwana wange, lekanga okuwulira okuyigirizibwa, Okuleeta okukyama obukyami okuva mu bigambo eby'okumanya.
28 Omujulirwa ataaliiko ky'agasa akudaalira omusango: N'akamwa k'ababi kamira obutali butuukirivu.
29 Emisango gyategekerwa abanyoomi, N'emiggo gyategekerwa amabega g'abasirusiru.

">


Essuula 20

1 Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi; Era buli akyama olw'ebyo talina magezi.
2 Entiisa ya kabaka kuwuluguma kwa mpologoma: Amusunguwaza ayonoona obulamu bwe ye.
3 Omuntu eyeewala ennyombo yeefunira ekitiibwa: Naye buli musirusiru ayagala okuyombanga.
4 Omugayaavu taganya kulima olwa ttoggo; Kyanaavanga asabiriza okukungula nga kutuuse n'ataba na kintu.
5 Okuteesa okw'omu mutima gw'omuntu kuli ng'amazzi ag'omu luzzi oluwanvu; Naye omuntu alina okutegeera alikusena.
6 Abantu bangi abalirangira buli muntu ekisa kye ye: Naye omuntu omwesigwa ani ayinza okumulaba?
7 Omuntu omutuukirivu atambulira mu butayonoona bwe, Abaana be abaddawo balina omukisa.
8 Kabaka atudde ku ntebe esalirwako emisango Asaasaanya obubi bwonna n'amaaso ge.
9 Ani ayinza okwogera nti Nnongoosezza omutima gwange, Ndi mulongoofu mu kwonoona kwange?
10 Ebipima ebitenkana n'ebigera ebitenkana Byombi bya muzizo eri Mukama.
11 Era n'omwana omuto yeemanyisa olw'ebikolwa bye, Omulimu gwe oba nga mulongoofu, oba nga mulungi.
12 Okutu okuwulira, n'eriiso eriraba, Mukama ye yakola byombi.
13 Toyagalanga kwebaka oleme okutuuka mu bwavu; Zibulanga amaaso go, onokkutanga emmere.
14 Tekiriiko kye kigasa, tekiriiko kye kigasa, bw'ayogera agula: Naye ng'amaze okugenda n'alyoka yeenyumiriza.
15 Waliwo zaabu n'amayinja amatwakaavu mangi nnyo: Naye emimwa egy'okumanya kya buyonjo kya muwendo mungi.
16 Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era obowenga oyo eyeeyimirira b'atamanyi.
17 Emmere ey'obulimba ewoomera omuntu; Naye oluvannyuma akamwa ke kalijjula omusenyu.
18 Buli kigambo ky'omalirira kinywezebwa na kuteesa: Era tabaalanga n'okukulemberwa okw'amagezi.
19 Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Kale teweetabulanga n'oyo ayasama ennyo emimwa gye.
20 Akolimira kitaawe oba nnyina, Ettabaaza ye erizikizibwa mu kizikiza ekikutte zigizigi.
21 Obusika buyinzika okufunibwa amangu olubereberye; Naye enkomerero yaabwo teriba na mukisa.
22 Toyogeranga nti Ndisasula obubi: Lindiriranga Mukama naye anaakuwonyanga.
23 Ebipima ebitenkana bya muzizo eri Mukama; Ne minzaani ey'obulimba si nnungi.
24 Amagenda g'omuntu gava eri Mukama; Kale nno omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lye?
25 Kyambika eri omuntu, okwogera ng'ayanguyiriza nti Kitukuvu, Awo ng'amaze okweyama n'alyoka abuuza.
26 Kabaka ow'amagezi awewa ababi, Era abaleetako nnamuziga ewuula.
27 Omwoyo gw'omuntu ye ttabaaza ya Mukama, Ekebera ebitundu byonna eby'olubuto eby'omunda.
28 Okusaasira n'amazima biwonya kabaka: Era okusaasira kwe kuwanirira entebe ye.
29 Abalenzi ekitiibwa kyabwe maanyi gaabwe: N'abakadde omutwe oguliko envi bwe bulungi bwabwe.
30 Emiggo egiruma gimalawo obubi: N'enga zituuka mu bitundu eby'olubuto eby'omunda.

">


Essuula 21

1 Omutima gwa kabaka guli mu mukono gwa Mukama ng'emigga: Agukyusa gy'ayagala yonna.
2 Buli kkubo ery'omuntu ddungi mu maaso ge ye: Naye Mukama ye apima emitima.
3 Okukola eby'ensonga n'eby'omusango Kukkirizibwa Mukama okusinga ssaddaaka.
4 Amaaso ageegulumiza n'omutima ogw'amalala, Ye ttabaaza ey'ababi, kwe kwonoona.
5 Ebirowoozo eby'omunyiikivu bireeta bungi bwereere Naye buli muntu ayanguyiriza ayanguya okwetaaga obwetaazi.
6 Okufuna obugagga n'olulimi olulimba Mukka ogutwalibwa eruuyi n'eruuyi; ababunoonya banoonya okufa.
7 Ekyejo eky'ababi kiribamalawo; Kubanga bagaana okukola eby'ensonga.
8 Ekkubo ly'oyo eyeebinise omusango likyamakyama nnyo nnyini: Naye omulongoofu omulimu gwe mulungi.
9 Beeranga ku nnyumba waggulu awafunda Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.
10 Emmeeme y'omubi yeegomba obubi: Munne taganja n'akamu mu maaso ge.
11 Omunyoomi bw'abonerezebwa, atalina magezi agafuna: Era ow'amagezi bw'ayigirizibwa aweebwa okumanya.
12 Omuntu omutuukirivu alowooza ennyumba ey'omubi; Ababi bwe basuulibwa ne babula.
13 Aziba amatu ge omwavu bw'akaaba, Era naye alikaaba, naye taliwulirwa.
14 Ekirabo eky'omu kyama kikkakkanya obusungu, N'ekitone eky'omu kifuba kikkakkanya ekiruyi ekingi.
15 Okukolanga eby'ensonga ssanyu lya mutuukirivu. Naye kuzikirira eri abakola ebitali bya butuukirivu.
16 Omuntu awaba okuva mu kkubo ery'okutegeera Aliwummulira mu kkuŋŋaaniro ery'abafu.
17 Ayagala essanyu anaabanga mwavu: Ayagala omwenge n'amafuta taabenga mugagga.
18 Omubi aba kinunulo kya mutuukirivu; N'oyo asala enkwe adda mu kifo ky'abagolokofu.
19 Beeranga mu nsi ey'eddungu Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
20 Mu nnyumba ey'omutuukirivu mulimu obugagga obw'omuwendo omungi n'amafuta; Naye omusirusiru abumira.
21 Agoberera obutuukirivu n'okusaasira Alaba obulamu n'obutuukirivu n'ekitiibwa.
22 Omuntu ow'amagezi alinnya mu kibuga eky'ab'amaanyi, N'akkakkanya amaanyi ag'obugumu bwakyo.
23 Buli akuuma akamwa ke n'olulimi lwe Akuuma emmeeme ye obutalaba nnaku.
24 Omuntu ow'amalala eyeegulumiza, erinnya lye munyoomi, Akolera emirimu mu ttitimbuli ery'amalala.
25 Okwegomba okw'omugayaavu kumutta; Kubanga emikono gye gigaana okukola emirimu.
26 Wabaawo ayaayaana ennyo okuzibya obudde: Naye omutuukirivu awa n'atamma.
27 Ssaddaaka ey'ababi ya muzizo: Bw'agireeta n'emmeeme embi, tesinga nnyo kuba ya muzizo?
28 Omujulirwa ow'obulimba anaabulanga: Naye omuntu awulira anaayogeranga nga tewali amulimbulula.
29 Omuntu omubi akakanyaza amaaso ge: Naye omugolokofu aliraanya amakubo ge.
30 Tewali magezi newakubadde okutegeera Newakubadde okuteesa ku Mukama.
31 Embalaasi etegekerwa olunaku olw'olutalo. Naye okuwangula kuva eri Mukama.

">


Essuula 22

1 Erinnya eddungi lya kulondebwa okusinga obugagga obungi, N'okuganja n'okwagalwa okusinga ffeeza ne zaabu.
2 Omugagga n'omwavu baalabagana: Mukama ye yabatonda bonna.
3 Omuntu omutegeevu alaba akabi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.
4 Obugagga n'ekitiibwa n'obulamu Ye mpeera ey'okwetoowazanga n'okutyanga Mukama.
5 Amaggwa n'ebyambika biri mu kkubo ery'omubambaavu: Akuuma emmeeme ye alibibeera wala.
6 Manyiiza omwana omuto mu kkubo erimugwanira okutambuliramu, Awo newakubadde nga mukadde talirivaamu.
7 Omugagga afuga abaavu, N'eyeewola aba muddu w'awola.
8 Asiga obutali butuukirivu alikungula obuyinike: N'omuggo ogw'obusungu bwe guliggwaawo.
9 Alina eriiso erigabaagaba anaabanga n'omukisa; Kubanga awa omwavu ku mmere ye.
10 Gobanga omunyoomi, n'okuyomba kunaavangawo; Weewaawo, okuwakana n'okuswazibwa birikoma.
11 Ayagala omutima omulongoofu, Olw'ekisa eky'omu mimwa gye kabaka kyanaavanga abeera mukwano gwe.
12 Amaaso ga Mukama gakuuma oyo alina okumanya, Naye asuula ebigambo eby'omuntu asala enkwe.
13 Omugayaavu ayogera nti Empologoma eri bweru: N'attirwa mu nguudo.
14 Akamwa k'abakazi abagenyi bunnya buwanvu: Akyayibwa Mukama aligwa omwo.
15 Obusirusiru busibibwa mu mutima gw'omwana omuto; Naye omuggo ogukangavvula gulibugobera wala okuva gy'ali.
16 Ajooga omwavu okwongera ku magoba ge, N'oyo agabira omugagga batuuka mu kwetaaga bwetaazi.
17 Tega okutu kwo owulire ebigambo eby'ab'amagezi, Era ssaayo omutima gwo eri okumanya kwange.
18 Kubanga kigambo kya ssanyu bw'obeera nabyo mu nda yo, Bwe binywerera wamu ku mimwa gyo.
19 Obwesige bwo bube eri Mukama, Kyenvudde nkubimanyisa leero ggwe.
20 Sikuwandiikidde birungi nnyo nnyini Eby'okuteesa n'eby'okumanya;
21 Okukutegeeza ebigambo eby'amazima bwe bitabuusibwabuusibwa, Olyoke obaddize ebigambo eby'amazima abo abakutuma?
22 Tonyaganga mwavu kubanga mwavu, So tojooganga abonyaabonyezebwa mu mulyango:
23 Kubanga Mukama ye aliwoza ensonga yaabwe, Era abo ababanyaga alibanyagako obulamu.
24 Tokwananga muntu wa busungu: Togendanga na muntu ow'ekiruyi:
25 Olemenga okuyiga amakubo ge, N'ofunira emmeeme yo ekyambika.
26 Tobanga ku muwendo gw'abo abakuba mu ngalo, Newakubadde ogw'abo abeeyimirira amabanja:
27 Oba nga tolina kya kusasula, Lwaki akuggirawo ekitanda kyo wansi wo?
28 Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda, Bajjajjaabo ke baasimba.
29 Olaba omuntu anyiikira mu mulimu gwe? aliyimirira mu maaso ga bakabaka; Taliyimirira mu maaso ga bakopi.

">


Essuula 23

1 Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Olowoolezanga ddala oyo ali mu maaso go;
2 Era weeteekenga akambe ku bulago bwo, Oba nga oli muntu muluvu.
3 Teweegombanga nva ze ennungi; Kubanga bye byokulya eby'obulimba.
4 Teweekooyanga okuba omugagga; Vanga ku magezi go ggwe.
5 Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ebuuka mu bbanga.
6 Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So teweegombanga nva ze nnungi:
7 Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe.
8 Ennoga gy'olidde onoogisesema, N'ofiirwa ebigambo byo ebirungi.
9 Toyogeranga omusirusiru ng'awulira; Kubanga anaanyooma amagezi ag'ebigambo byo.
10 Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga mu nnimiro ez'abatalina bakitaabwe:
11 Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe.
12 Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya.
13 Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa.
14 Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe.
15 Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi, Omutima gwange gunaasanyuka, ogwange:
16 Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Emimwa gyo bwe gyogera eby'ensonga.
17 Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde:
18 Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo.
19 Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo.
20 Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Mu abo abeevuubiika ennyama:
21 Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina.
22 Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye.
23 Gulanga amazima, so togatundanga; Weewaawo, amagezi n'okuyigirizibwa n'okutegeera.
24 Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaabanga n'essanyu.
25 Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, N'omukazi eyakuzaala ajaguzenga.
26 Mwana wange, mpa omutima gwo, N'amaaso go gasanyukirenga amakubo gange.
27 Kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu; N'omukazi omugenyi bunnya bwa kanyigo.
28 Weewaawo; ateega ng'omunyazi, Era ayaza abasala enkwe mu bantu.
29 Ani alaba obuyinike? ani alaba ennaku? ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyusa amaaso?
30 Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge omutabule.
31 Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola:
32 Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa.
33 Amaaso go galiraba eby'ekitalo, N'omutima gwo gulyogera ebigambo eby'obubambaavu.
34 Weewaawo, oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti.
35 Bankubye, bw'olyogera bw'otyo, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Ndyebaka ddi? naagunoonya nate omulundi ogw'okubiri.

">


Essuula 24

1 Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga okuba awamu nabo:
2 Kubanga omutima gwabwe guteesa okujooga, N'emimwa gyabwe gyogera ku ttima.
3 Amagezi ge gazimbya ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza:
4 N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa.
5 Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya ayongera obuyinza.
6 Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe.
7 Amagezi magulumivu nnyo, galema omusirusiru: Tayasama kamwa ke mu mulyango.
8 Agunja okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima.
9 Okulowooza kw'omusirusiru kwonoona: Era omunyoomi wa muzizo eri abantu.
10 Bw'ozirika ku lunaku olw'okulabirako obuyinike, Amaanyi go nga matono.
11 Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa, N'abo abagenda okuttibwa obalekanga.
12 Bw'onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino: Oyo apima emitima takirowooza? N'oyo akuuma emmeeme yo takimaayi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli?
13 Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byazo ebiwoomera amatama go.
14 Onoomanyanga ng'amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo: Oba ng'ogalabye, awo walibaawo empeera, N'essuubi lyo teririmalibwawo.
15 Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu:
16 Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n'ayimuka nate: Naye ababi obuyinike bubasuula.
17 Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga:
18 Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'akyusa obusungu bwe okumuvaako.
19 Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; So tokwatirwanga buggya ababi:
20 Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettabaaza ey'ababi erizikizibwa.
21 Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: So teweetabulanga n'abo abaagala okujjululajjulula.
22 Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi?
23 Era na bino bigambo bya bagezigezi. Okusosola mu bantu bw'osala emisango si kirungi.
24 Agamba omubi nti Ggwe mutuukirivu; Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamutamwanga:
25 Naye abo abamunenya be baliba n'essaayu, N'omukisa omulungi gulibatuukako.
26 Addamu eby'ensonga Anywegera emimwa.
27 Teekateekanga omulimu gwo ebweru, Ogwetegekerenga mu nnimiro; Oluvannyuma n'olyoka ozimba ennyumba yo.
28 Tolumirizanga munno awatali asonga: So tolimbanga na mimwa gyo.
29 Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw'ankoze nze; Ndisasula omusajja oyo ng'omulimu gwe bwe gubadde.
30 Nayita ku nnimiro ey'omugayaavu, N'olusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera;
31 Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lusuuliddwa.
32 Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Nalaba ne mpeebwa okuyigirizibwa.
33 Wakyaliwo okwebaka kutono, okubongoota kutono, Okufunya engalo okwebaka kutono:
34 Bwe kityo obwavu bwo bulituuka ng'omunyazi; N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.

">


Essuula 25

1 Era na zino ngero za Sulemaani, abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baawandiika.
2 Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda: Naye okukebera ekigambo kye kitiibwa kya bakabaka.
3 Eggulu nga bwe ligenda ennyo waggulu, n'ensi nga bw'egenda ennyo wansi. N'omutima gwa bakabaka tegunoonyezeka.
4 Ggyangamu amasengere mu ffeeza, Ne muvaamu ekibya eky'omulongoosa:
5 Ggyangawo ababi mu maaso ga kabaka, N'entebe ye erinywezebwa mu butuukirivu.
6 Teweekuza mu maaso ga kabaka, So toyimiriranga mu kifo eky'abakulu:
7 Kubanga waakiri bakugambe nti Yambuka wano; N'otossibwa wansi mu maaso g'omulangira, Amaaso go gwe galabye.
8 Tofulumanga mangu okuwakana, Olemenga okubulwa ku nkomerero by'oba okola, Munno ng'akuswazizza.
9 Wozanga ensonga yo ne munno yennyini, So tobikkulanga kyama kya beene:
10 Akiwulira alemenga okukuvuma, Okuswala kwo ne kutavangawo.
11 Ekigambo ekyogerwa nga bwe kisaanye Kiri ng'amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.
12 Ng'empeta ey'omukutu eya zaabu n'ekyobuyonjo ekya zaabu ennungi, Ow'amagezi anenya bw'abeera bw'atyo eri okutu kw'okugonda.
13 Ng'empewo eya serugi bw'ebeera mu biro eby'okukunguliramu, Omubaka omwesigwa bw'abeera bw'atyo eri abo abamutuma; Kubanga aweezaweeza emmeeme ya bakama be,
14 Ng'ebire n'empewo awatali nkuba, Bw'atyo bw'abeera oyo eyeenyumiriza olw'ebirabo bye ng'alimba.
15 Okugumiikiriza okulwawo ennyo kwe kusendasenda omukulu, N'olulimi olugonvu lumenya eggumba.
16 Olabye omubisi gw'enjuki? lyangako ogunaakumala obumazi; Olemenga okugukkuta n'ogusesema.
17 Ekigere kyo tekirinnyanga mirundi mingi mu nnyumba ya munno; Alemenga okukunyiwa n'akukyawa.
18 Omuntu awaayiriza munne Nnyondo n'ekitala n'akasaale ak'obwogi.
19 Okwesiga omuntu atali mwesigwa mu biro eby'okulabiramu ennaku Linnyo erimenyese n'okugulu okusowose.
20 Ng'omuntu ayambula ekyambalo mu biro eby'empewo, era ng'omwenge omukaatuufu, oguli ku luvu, Bw'atyo bw'abeera oyo ayimbira ennyimba omutima oguliko obuyinike.
21 Omulabe wo bw'alumwanga enjala, omuwanga emmere ey'okulya; Era bw'alumwanga ennyonta, omuwanga amazzi okunywa:
22 Kubanga olikuma amanda ag'omuliro ku mutwe gwe, Era Mukama alikuwa empeera.
23 Embuyaga ez'obukiika obwa kkono zireeta enkuba: N'olulimi olulyolyoma bwe luleeta bwe lutyo amaaso agaliko obusungu.
24 Beeranga waggulu ku nnyumba awafunda, Olemenga okubeera n'omukazi omuyombi mu nnyumba engazi.
25 Ng'amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, Ebigambo ebirungi ebiva mu nsi ey'ewala bwe biba bwe bityo.
26 Ng'oluzzi olutabanguse, n'ensulo eyonoonese, Omuntu omutuukirivu bw'abeera bw'atyo bw'asegulira omubi.
27 Si kirungi okulyanga omubisi gw'enjuki omungi: Bwe kityo abantu okunoonya ekitiibwa kyabwe bo si kitiibwa.
28 Ataziyiza mwoyo gwe Ali ng'ekibuga ekimenyese so nga tekirina bbugwe.

">


Essuula 26

1 Ng'omuzira bwe gutasaana mu kyeya, era ng'enkuba mu biro eby'okukunguliramu, N'ekitiibwa bwe kityo tekisaanira musirusiru.
2 Ng'enkazaluggya mu kuwaba kwayo, era ng'akataayi mu kubuuka kwako, Bwe kityo n'ekikolimo eky'obwereere tekiggwa.
3 Oluga lusaanira mbalaasi, olukoba lusaanira ndogoyi, N'omuggo gusaanira mabega ga basirusiru.
4 Toddangamu musirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Era naawe olemenga okumufaanana.
5 Oddangamu omusirusiru ng'obusirusiru bwe bwe buli, Alemenga okuba ow'amagezi mu kulowooza kwe ye.
6 Aweereza ebigambo mu mukono gw'omusirusiru Yeesalako ebigere, era anywa okufiirwa.
7 Amagulu wo erimu amayinja ag'omuwendo omungi eri mu kifunvu eky'amayinja, Bw'atyo bw'abeera oyo assaamu ekitiibwa omusirusiru.
9 Ng'eriggwa erifumita omukono gw'omutamiivu, Olugero bwe lubeera bwe lutyo mu kamwa k'abasirusiru.
10 Ng'omulasi afUMita bonna, Bw'abeera bw'atyo oyo agulirira omusirusiru, n'oyo agulirira abo abayitawo.
11 Ng'embwa edda ku bisesemye byayo, Bw'abeera bw'atyo omusirusiru addiŋŋana mu busirusiru bwe.
12 Olaba omuntu ow'amagezi mu kulowooza kwe ye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
13 Omugayaavu ayogera nti Waliwo empologoma mu kkubo; Empologoma eri mu nguudo.
14 Ng'oluggi bwe lukyukira ku ŋŋango zaalwo, Omugayaavu bw'akyukira bw'atyo ku kitanda kye.
15 Omugayaavu annyika omukono gwe mu kibya; Okuguzza nate ku kamwa ke kumukooyesa.
16 Omugayaavu alina amagezi mu kulowooza kwe ye Okukira abantu omusanvu abayinza okuleeta ensonga.
17 Ayitawo ne yeeraliikirira olw'empaka ezitali zize Aliŋŋanga akwata embwa ku matu.
18 Ng'omutalu akasuka emimuli, N'obusaale, n'okufa;
19 Bw'atyo bw'abeera omuntu alimba munne, N'ayogera nti Sizannya buzannya?
20 Enku nga zibuze omuliro kyeguva guzikira: Era awabuze omugeyi, okuyomba kuggwaawo.
21 Ng'amanda bwe gakwata ebisiriiza ebyokya n'enku nga bwe zikoleeza omuliro, Omuntu omuyombi bw'akoleeza bw'atyo oluyombo.
22 Ebigambo eby'omugeyi biri ng'ebiwundu, Era bikka mu bisenge eby'omu lubuto.
23 Emimwa eminyiikivu n'omutima omubi Biri ng'ekintu eky'ebbumba ekibikkiddwako amasengere aga ffeeza.
24 Akyawa akuusakuusa n'emimwa gye, Naye atereka obulimba mu ye:
25 Bw'ayogeranga eky'okwegonza, tomukkirizanga: Kubanga mu mutima gwe mulimu eby'emizizo musanvu:
26 Okukyawa kwe newakubadde nga kwebikkako obukuusa, Obubi bwe bulyolesebwa mu lwatu mu maaso g'ekibiina.
27 Buli asima obunnya, aligwa omwo: N'oyo ayiringisa ejjinja, liridda ku ye.
28 Olulimi olulimba lukyawa abo be lwafumita; N'akamwa akanyumiriza kaleeta okuzikirira.

">


Essuula 27

1 Teweenyumirizanga bya nkya; Kubanga tomanyi bwe binaaba olunaku bye luyinza okuzaala.
2 Omundi akutenderezenga, so si kamwa ko ggwe; Omugenyi, so si mimwa gyo ggwe.
3 Ejjinja lizitowa, n'omusenyu muzito; Naye okweraliikirira kw'omusirusiru kubisinga byombi obuzito.
4 Obusungu bukambwe, n'ekiruyi mukoka; Naye ani ayinza okuyimirira awali obuggya?
5 Okunenya mu lwatu Kusinga obulungi okwagala okukisibwa.
6 Ebiwundu eby'omukwano byesigwa: Naye okunywegera kw'omulabe kuba kungi nnyo nnyini.
7 Emmeeme ekkuse etamwa ebisenge by'enjuki: Naye emmeeme erumiddwa enjala buli kintu ekikaawa ekiyita kiwoomerevu.
8 Ng'ennyonyi ewaba okuva mu kisu kyayo, Bw'atyo bw'abeera omuntu awaba okuva mu kifo kye.
9 Amafuta ag'omugavu n'eby'akaloosa bisanyusa omutima: Obuwoomerevu bw'omukwano gw'omuntu bwe busanyusa bwe butyo obuva mu kuteesa okw'omu mwoyo gwe.
10 Mukwano gwo ggwe ne mukwano gwa kitaawo tobaabuliranga; So togendanga mu nnyumba ya muganda wo ku lunaku kw'olabira obuyinike: Muliraanwa wo akuli okumpi akira ow'oluganda ali ewala.
11 Mwana wange, beeranga n'amagezi osanyusenga omutima gwange. Ndyokenga nziremu oyo anvuma.
12 Omuntu omutegeevu alaba obubi ne yeekweka: Naye abatalina magezi bayitawo buyisi ne bafiirwa.
13 Twalanga ekyambalo ky'oyo eyeeyimirira gw'atamanyi; Era mubowenga oyo eyeeyimirira omukazi omugenyi.
14 Eyeebaza mukwano gwe n'eddoboozi eddene, ng'agolokoka enkya mu makya, Kinaayitibwanga kikolimo gy'ali.
15 Okutonnya olutata, obudde nga bwa nkuba nnyingi, N'omukazi omuyombi bw'afaanana:
16 Ayagala okumuziyiza aziyiza empewo, N'omukono gwe ogwa ddyo gulwana n'amafuta.
17 Ekyuma kiwagala kyuma; Bw'atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe.
18 Buli alima omutiini anaalyanga ku bibala byagwo; N'oyo aweereza mukama we anassibwangamu ekitiibwa.
19 Ng'amaaso bwe goolekera amaaso mu mazzi, Bwe gutyo omutima gw'omuntu bwe gwolekera omuntu.
20 Amagombe n'okuzikirira tebikkutanga ennaku zonna; N'amaaso g'abantu tegakkutanga ennaku zonna.
21 Entamu erongoosa ya ffeeza, n'ekikoomi kya zaabu, N'omuntu akemebwa lwa kumutendereza.
22 Ne bw'osekula omusirusiru mu kinu n'omusekuzo mu kasooli omusekule, Era naye obusirusiru bwe tebuumuvengako.
23 Obeeranga munyiikivu okumanya embuzi zo bwe ziri, Okeberanga nnyo ente zo:
24 Kubanga obugagga si bwa lubeerera; Era engule ebeerera awo okutuusa emirembe gyonna?
25 Omuddo omukalu gutwalibwa n'essubi eggonvu lirabika, N'emiddo egy'oku nsozi bagiyingiza.
26 Abaana b'endiga baba ba kukwambaza, N'embuzi gwe muwendo gw'ennimiro:
27 Era walibaawo amata ag'embuzi; aganaamalanga okukuliisa n'okuliisa ab'omu nnyumba yo, N'ebyokulya eby'abawala bo.

">


Essuula 28

1 Ababi badduka nga tewali muntu agoberera: Naye abatuukirivu baguma emyoyo ng'empologoma.
2 Olw'okusobya kw'ensi bakabaka baamu baba bangi: Naye olw'abantu abalina okutegeera n'okumanya okunywera kwayo kulyongerwako.
3 Omuntu eyeetaaga ajooga abaavu Nkuba ewemmenta etalekaawo mmere yonna.
4 Abo abaleka amateeka batendereza ababi: Naye abo abakwata amateeka bayomba nabo.
5 Abantu ababi tebategeera musango: Naye abo abanoonya Mukama bategeera byonna.
6 Omwavu atambulira mu butayonoona bwe Akira obulungi ow'amakubo amakyamu, newakubadde nga mugagga.
7 Buli akwata amateeka mwana wa magezi: Naye aba mukwano gw'abantu abaluvu akwasa kitaawe ensonyi.
8 Ayongera ku bintu bye olw'amagoba n'ebisalirwa Akuŋŋaanyiza oyo asaasira abaavu.
9 Akyusa okutu kwe obutawulira mateeka, N'okusaba kwe kwa muzizo.
10 Buli akyamya abagolokofu mu kkubo ebbi Aligwa ye yennyini mu bunnya bwe ye: Naye abo abatuukirira balisikira ebirungi.
11 Omugagga aba wa magezi mu kulowooza kwe ye; Naye omwavu alina okutegeera amukebera.
12 Abatuukirivu bwe bawangula, wabaawo ekitiibwa ekinene: Naye ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka.
13 Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n'akuleka alifuna okusaasirwa.
14 Alina omukisa omuntu atya mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi.
15 Ng'empologoma ewuluguma n'eddubu etambulatambula; Bw'abeera bw'atyo omukulu omubi afuga abantu abaavu.
16 Omulangira atalina kutegeera aba mujoozi nnyo era: Naye oyo akyawa omululu aliwangaala ennaku nnyingi.
17 Omuntu eyeebinise omusaayi ogwa buli muntu yenna Aliddukira mu bunnya; tewabangawo muntu amuziyiza.
18 Buli atambula n'obugolokofu aliwonyezebwa: Naye ow'amakubo amakyamu aligwa mangu ago.
19 Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abantu abataliiko kye bagasa aliba n'obwavu obulimumala.
20 Omuntu omwesigwa aliba n'okwebazibwa kungi: Naye ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa.
21 Okusosola mu bantu si kulungi: Newakubadde omuntu okusobya olw'akamere obumere.
22 Alina eriiso ebbi ayanguwa okugoberera obugagga, So tamanyi ng'okwetaaga kulimutuukako.
23 Anenya omuntu oluvannyuma alyeyongera okuganja Okusinga oyo anyumiriza n'olulimi.
24 Buli anyaga kitaawe oba nnyina n'ayogera nti Si musango; Oyo ye munne w'omuzikiriza.
25 Ow'omwoyo ogw'omululu aleeta oluyombo: Naye eyeesiga Mukama aligejja.
26 Eyeesiga omutima gwe ye musirisiru: Naye atambula n'amagezi ye aliwonyezebwa.
27 Agabira omwavu teyeetaagenga: Naye akisa amaaso ge anaabanga n'ebikolimo bingi.
28 Ababi bwe bagolokoka, abantu beekweka: Naye bwe bazikirira, abatuukirivu beeyongera.

">


Essuula 29

1 Omuntu akakanyaza ensingo ye bw'anenyezebwa emirundi emingi Alimenyeka nga tamanyiridde awatali kuwonyezebwa.
2 Abatuukirivu bwe beeyongera, abantu basanyuka: Naye omuntu omubi bw'afuga, abantu basinda.
3 Buli ayagala amagezi asanyusa kitaawe: Naye oyo abeera n'abakazi abenzi amalawo ebintu bye.
4 Kabaka anyweza ensi lwa kusala misango: Naye asolooza enguzi agisuula.
5 Omuntu anyumiriza munne Ategera ebigere bye ekitimba.
6 Mu kusobya kw'omuntu omubi mulimu ekyambika: Naye omutuukirivu ayimba n'asanyuka.
7 Omutuukirivu yeetegereza ensonga ey'abaavu: Naye omubi talina kutegeera okugimanya.
8 Abantu abanyooma basasamaza ekibuga: Naye abantu ab'amagezi bakyusa obusungu ne buvaawo.
9 Omuntu ow'amagezi bw'aba n'empaka n'omuntu omusirusiru, Oba nga asunguwala oba nga aseka, tewaliba kuwummula.
10 Abayagala omusaayi bakyawa oyo eyatuukirira: N'omugolokofu banoonya obulamu bwe.
11 Omusirusiru ayatula obusungu bwe bwonna: Naye omuntu ow'amagezi abuziyiza n'abukkakkanya.
12 Omukulu bw'awulira eby'obulimba, Abaddu be bonna baba babi.
13 Omwavu n'omujoozi balabagana: Mukama ayakira amaaso gaabwe bombi.
14 Kabaka asalira abaavu emisango n'obwesigwa, Entebe ye eneenywezebwanga emirembe gyonna.
15 Omuggo n'okunenya bireeta amagezi: Naye omwana gwe balekera awo akwasa nnyina ensonyi.
16 Ababi bwe beeyongera, okusobya kweyongera: Naye abatuukirivu balitunuulira okugwa kwabwe.
17 Buuliriranga omwana wo, anaakuwanga okuwummula; Weewaawo, anaasanyusanga emmeeme yo.
18 Awatali kwolesebwa, abantu basuula okuziyizibwa: Naye akwata amateeka alina omukisa.
19 Omuddu taganya kubuulirirwa lwa bigambo: Kubanga ne bw'ategeera talissaayo mwoyo.
20 Olaba omuntu ayanguyiriza ebigambo bye? Omusirusiru asuubirwa okukira ye.
21 Alera omuddu we nga yeekanasa okuva mu buto bwe Alimufuukira omwana ku nkomerero.
22 Omuntu ow'obusungu aleeta ennyombo, N'ow'ekiruyi okusobya kwe kuba kungi nnyo nnyini.
23 Amalala ag'omuntu galimutoowaza: Naye alina omwoyo ogwetoowaza alifuna ekitiibwa.
24 Buli assa ekimu n'omubi akyawa obulamu bwe ye: Awulira okulayizibwa n'atabaako ky'ayogera.
25 Okutya abantu kuleeta ekyambika: Naye buli eyeesiga Mukama anaabanga mirembe.
26 Bangi abaagala okuganja eri omukulu: Naye omusango gw'omuntu guva eri Mukama.
27 Omuntu atali wa nsonga wa muzizo eri abatuukirivu: N'oyo akwata ekkubo eggolokofu wa muzizo eri ababi.

">


Essuula 30

1 Ebigambo bya Aguli mutabani wa Yake; ebyalagulwa. Omusajja agamba Isyeri, Isyeri ne Ukali;
2 Nti Mazima nninga ensolo okusinga omuntu yenna, So sirina kutegeera kwa muntu:
3 So siyiganga magezi, So sirina kumanya kw'oyo Omutukuvu.
4 Ani eyali alinnye mu ggulu n'akka? Ani eyali akuŋŋaanyizza empewo mu bikonde bye? Ani eyali asibye amazzi mu kyambalo kye? Ani eyali anywezezza enkomerero zonna ez'ensi. Erinnya lye ye ani, n'omwana we erinnya lye ye ani, oba ng'omanyi?
5 Buli kigambo kya Katonda kikemebwa: Aba ngabo eri abo abamwesiga.
6 Toyongeranga ku bigambo bye, Aleme okukunenyanga naawe n'olabika ng'omulimba.
7 Nkusabye ebigambo bibiri; Tonnyima nga sinnafa:
8 Ggyangawo ebigambo ebitaliimu n'eby'obulimba bibe wala nange: Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga:
9 Nneme okukkutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama ye ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba, Ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.
10 Towaayirizanga muddu eri mukama we, Alemenga okukukolimira naawe n'olowoozebwa ng'ozizza omusango.
11 Waliwo abantu abakolimira kitaabwe; So tebasabira nnyaabwe omukisa.
12 Waliwo abantu ababa abalongoofu mu maaso gaabwe bo, Era naye tebanaazibwako empitambi yaabwe.
13 Waliwo abantu, amaaso gaabwe nga malalambavu! N'ebikowe byabwe bigulumizibwa.
14 Waliwo abantu amannyo gaabwe bitala, n'amasongezo gaabwe bwambe, Okulya abaavu okubamalawo ku nsi, n'abeetaaga mu bantu.
15 Ekinoso kirina abawala baakyo babiri aboogerera waggulu nti Mpa, mpa. Waliwo ebintu bisatu ebitakkuta ennaku zonna, Weewaawo, ebina ebitayogera nti Lekera awo:
16 Amagombe; n'olubuto olugumba; N'ensi etekkuta mazzi; N'omuliro ogutayogera nti Lekera awo.
17 Eriiso erikudaalira kitaawe, Ne linyooma okugondera nnyina, Bannamuŋŋoona ab'omu kiwonvu baliriggyamu, N'empungu ziririrya.
18 Waliwo ebigambo bisatu eby'ekitalo ebinnema, Weewaawo, ebina bye ssimanyi:
19 Ekkubo ery'empungu mu bbanga; Ekkubo ery'omusota ku lwazi; Ekkubo ery'eryato wakati mu nnyanja; N'ekkubo ery'omusajja n'omuwala.
20 Bwe lityo bwe libeera ekkubo ery'omukazi omwenzi; Alya n'asangula ku mimwa gye, N'ayogera nti Siriiko bubi bwe nkoze.
21 Ensi ekankanira ebigambo bisatu, Era ebina by'eteyinza kugumiikiriza:
22 Omuddu bw'aba kabaka; N'omusirusiru bw'akkuta emmere;
23 Omukazi omugwagwa bw'afumbirwa; N'omuzaana asikira mugole we.
24 Waliwo ebintu bina ebitono ku nsi, Naye birina amagezi mangi nnyo nnyini:
25 Enkolooto lye ggwanga eritalina maanyi, Naye zeeterekera emmere yaazo mu kyeya;
26 Obumyu buntu bunafu, Naye bwezimbira ennyumba zaabwo mu mayinja;
27 Enzige tezirina kabaka, Naye zitabaala zonna bibiina bibiina;
28 Omunya gukwata n'engalo zaagwo, Naye gubeera mu mayumba ga bakabaka.
29 Waliwo ebintu bisatu ebyesimba obulungi mu kutambula kwabyo, Weewaawo, ebina ebyesimba obulungi mu kugenda:
30 Empologoma esinga ensolo zonna amaanyi, So tewali gy'esegulira yonna;
31 Embwa enjizzi; era n'embuzi ennume; Ne kabaka atagolokokerwako.
32 Oba ng'okoze eby'obusirusiru nga weegulumiza, Oba ng'olowoozezza obubi, Teekanga omukono gwo ku kamwa ko.
33 Kubanga okusunda amata kuleeta omuzigo, N'okunyigiriza ennyindo kuleeta omusaayi: N'okunyigiriza kw'obusungu bwe kutyo kuleeta oluyombo.

">


Essuula 31

1 Ebigambo bya kabaka Lemweri; ebyalagulwa nnyina bye yamuyigiriza.
2 Kiki, mwana wange? era kiki, ai mwana w'olubuto lwange? Era kiki, ai mwana w'obweyamo bwange?
3 Towanga bakazi amaanyi go, Newakubadde amakubo go eri ekyo ekizikiriza bakabaka.
4 Si kwa bakabaka, ai Lemweri, si kwa bakabaka okunywanga omwenge; So si kwa balangira okwogeranga nti Ekitamiiza kiri ludda wa?
5 Balemenga okunywa ne beerabira amateeka, Ne banyoola omusango gw'omuntu yenna abonyaabonyezebwa.
6 Mumuwenga ekitamiiza oyo ayagala okufa, N'omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike:
7 Anywenga yeerabirenga obwavu bwe, Alemenga okujjukira nate ennaku ze.
8 Yasamanga akamwa ko olwa kasiru, Okuwoza ensonga y'abo bonna abalekebwa nga tebalina bannaabwe.
9 Yasamanga akamwa ko osalenga emisango egy'ensonga, Osalirenga emisango omwavu n'eyeetaaga.
10 Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Kubanga omuwendo gwe gusinga wala amayinja amatwakaavu.
11 Omutima gwa bba gumwesiga, So taabulwenga magoba.
12 Amukola bulungi so si bubi Ennaku zonna ez'obulamu bwe.
13 Anoonya ebyoya by'endiga ne ppamba, N'akola emirimu n'engalo ze n’essanyu.
14 Ali ng'amaato ag'abasuubuzi; Emmere ye agiggya wala.
15 Era agolokoka nga bukyali bwa kiro, N'awa ab'omu nnyumba ye ebyokulya, N'agabira abawala be emirimu gyabwe.
16 Alowooza ennimiro n'agiguia: Asimba olusuku olw'emizabbibu n'ebibala eby'emikono gye.
17 Yeesiba n'amaanyi, N'anyweza emikono gye.
18 Alaba ng'obuguzi bwe bulimu ettunzi: Ettabaaza ye tezikira kiro.
19 Ateeka engalo ze ku muggo ogubaako ppamba, Emikono gye ne gikwata akati akalanga.
20 Ayanjululiza omwavu omukono gwe: Weewaawo, agololera emikono gye oyo eyeetaaga.
21 Omuzira tagutiira ab'omu nnyumba ye; Kubanga ab'omu nnyumba ye bonna bambadde olugoye olumyufu.
22 Yeekolera amagodooli; Ebyambalo bye bafuta nnungi n'olugoye olw'effulungu.
23 Bba amanyibwa mu miryango, Bw'atuula mu bakadde ab'ensi.
24 Atunga ebyambalo ebya bafuta n'abitunda; N'awa omusuubuzi enkoba.
25 Amaanyi n'okutiibwa bye byambalo bye; Era asekerera ebiro ebigenda okujja.
26 Ayasama akamwa ke n'amagezi; N'etteeka ery'ekisa liba ku lulimi lwe.
27 Alabirira nnyo empisa ez'ab'omu nnyumba ye, So talya mmere ya kugayaala.
28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa; Ne bba, n'amutendereza ng'ayogera nti
29 Abawala bangi abaakola eby'okwegendereza, Naye ggwe obasinga bonna.
30 Okuganja kulimba n'obulungi tebuliiko kye bugasa: Naye omukazi atya Mukama ye anaatenderezebwanga.
31 Mumuwenga ku bibala eby'emikono gye; N'emirimu gye gimutenderezenga mu miryango.