Mikka

1 2 3 4 5 6 7


Essuula 1

1 Ekigambo kya Mukama ekyaja eri Mikka, Omumolasuuti, mu mirembe gya Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, kye yalaba ku Samaliya ne ku Yerusaalemi.
2 Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n'ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abe mujulirwa eri mmwe, Mukama ng'ayima mu yeekaalu ye entukuvu.
3 Kubanga, laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi.
4 N'ensozi zirisaanuuka wansi we n'enkonko ziryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maaso g'omuliro, ng'amazzi agayiikira awali ebbanga.
5 Olw'okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? si Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi?
6 Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ng'ebizabbibu ebisimbe; nange ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo.
7 Ebifaananyi byakyo byonna birisekulwasekulwa n'empeera zaakyo zonna ziryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yazikuŋŋaanya nga ziva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi.
8 Kyendiva mpowoggana, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambudde engoye zange era nga ndi bwereere; ndikaaba ng'ebibe, ndijoonajoona nga bamaaya.
9 Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi.
10 Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba amaziga n'akatono: ku Besuleyafula nneekulukuunyizza mu nfuufu.
11 Muyite muveeyo, ggwe abeera mu Safiri, ng'oli bwereere, era ng'okwatibwa ensonyi; oyo abeera mu Zanani tavuddeemu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikuggyako ekikondo kyakyo.
12 Kubanga oyo abeera mu Malosi yeeraliikirira ng'alindirira ebirungi; kubanga akabi kasse, kavudde eri Mukama ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi.
13 Siba eggaali ku mbalaasi esinga embiro, ggwe abeera mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookera eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byalabika mu ggwe.
14 Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, eky'okusiibula; ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri.
15 Nkyagenda okuleeta gy'oli, ggwe abeera mu Malesa, oyo aliba nnannyini ggwe; ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka era ku Adulamu.
16 Weemwe osalire enviiri abaana abakusanyusa; gaziya ekiwalaata kyo ng'empungu; kubanga bakuggiddwako bagenze mu kusibibwa.
Essuula 2

1 Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku biriri byabwe! obudde bwe bukva, babukola, kubanga buli mu buyinza bw'emikono gyabwe.
2 N'abo abeegomba ebyalo ne babinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe.
3 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggyamu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga bino bye biro ebibi.
4 Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange; ng'akinziyako! agabira abajeemu ebyalo byaffe.
5 Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omugwa, akalulu bwe kamugwako, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
6 Temulagulanga, bwe batyo bwe balagula. Tebaliragulira abo; ebivume tebiriggibwawo;
7 kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo, nti Omwoyo gwa Mukama gufunze? bino bye bikolwa bye? Ebigambo byange tebiwoomera oyo atambula n'obugolokofu?
8 Naye mu nnaku zino abantu bange bayimuse ng'abalabe; muggyako essuuka ku ngoye z'abo abayita nga tebaliiko kye batya, ng'abantu abatayagala kulwana.
9 Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; ku baana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna.
10 Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'empitambi ezikiriza, era n'okuzikiriza okutenkanika.
11 Omuntu atambula n'omwoyo ogw'okulimba, bw'alimba ng'ayogera nti Ndikulagulira eby'omwenge n'ebitamiiza, ye aliba omulaguzi ow'abantu bano.
12 Sirirema kukuŋŋaanya ab'ewammwe bonna, ggwe Yakobo; sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng'endiga eza Bozula; ng'ekisibo ekiri wakati w'eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi.
13 Oyo awagula ayambuse mu maaso gaabwe; bawagudde bayise batuuse ku luggi olwa wankaaki, era bafulumidde omwo; era kabaka waabwe ayise mu maaso gaabwe, Mukama abakulembedde.
Essuula 3

1 Ne njogera nti Muwulire, mbeegayiridde, mmwe abakulu ba Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri; si kwammwe okumanya omusango?
2 abakyawa ebirungi, era abaagala ebibi; ababaggyako eddiba lyabwe n'omubiri gwabwe ku magumba gaabwe;
3 era abalya omubiri gw'abantu bange; ne bababaagako eddiba lyabwe n'amagumba gaabwe bagamenya; weewaawo, babatiimatiima ng'ebigenda mu kibya, era ng'ennyama ey'omu ntamu.
4 Mu biro ebyo banaakaabiriranga Mukama, so tebaddengamu; weewaawo, anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola obubi mu bikolwa byabwe.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama ku bannabbi abakyamya abantu bange; abaluma n'amannyo gaabwe, era bayogerera waggulu nti Mirembe; na buli agaana okuwa mu bumwa bwabwe, n'okukuma bamukumira olutalo; nti
6 Kyekiriva kibeera ekiro gye muli, muleme okwolesebwa; era ekizikiza kiriba gye muli, muleme okulagula; era enjuba erigwira bannabbi, era obudde buliddugala ku bo.
7 N'abalabi balikwatibwa ensonyi, n'abalaguzi baliswala; weewaawo, bonna balibikka ku mimwa gyabwe; kubanga tewali kuddamu kwa Katonda.
8 Naye mazima nze njijudde amaanyi olw'omwoyo gwa Mukama, n'omusango n'obuzira, mbuulire Yakobo okwonoona kwe era mbuulire Isiraeri ebibi bye:
9 Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango, era abalya ensonga zonna.
10 Bazimba Sayuuni n'omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n'obukyamu.
11 Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe effeeza; naye bo balyesigama ku Mukama nga boogera nti Mukama tali wakati waffe? akabi tekalitutuukako.
12 Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'omutala ku bwammwe, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n'olusozi olw'ennyumba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.
Essuula 4

1 Naye mu nnaku ez'oluvannyuma olulituuka olusozi olw'ennyumba ya Mukama luliba lunywevu ku ntikko y'ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu.
2 Era amawanga mangi agaligenda, ne googera nti Mujje twambuke eri olusozi lwa Mukama, n'eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; naye alituyigiriza eby'enguudo ze, naffe tulitambulira mu makubo ge; kubanga mu Sayuuni mwe muliva amateeka n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.
3 Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaanyi agali ewala; era baliweesa ebitala byabwe okuba enkumbi n'amafumu gaabwe okuba ebiwabyo; eggwanga teririyimusa ekitala ku ggwanga, so tebaayigenga kulwana nate.
4 Naye balituula buli muntu mu muzabbibu gwe ne mu mutiini gwe; so tewalibaawo abakanga; kubanga akamwa ka Mukama w'eggye ke kakyogedde.
5 Kubanga amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya Mukama Katonda waffe emirembe n'emirembe.
6 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuŋŋaanya omukazi awenyera, era ndireeta oyo agobebwa n'oyo gwe nnalabisa ennaku;
7 era ndifuula oyo eyawenyera ekitundu ekyasigalawo n'oyo eyasuulibwa ewala ndimufuula eggwanga ery'amaanyi; era Mukama anaabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka kaakano era n'emirembe gyonna,
8 Era naawe, ggwe ekigo eky'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, kulituuka gy'oli; weewaawo; okufuga okw'edda kulidda, obwakabaka obw'omuwala wa Yerusaalemi.
9 Lwaki nno okukaaba ennyo? tewali kabaka gy'oli, omuteesa wo abula? obubalagaze ne bukukwata nga omukazi alumwa okuzaala.
10 Lumibwa, sindika, ggwe omuwala wa Sayuuni, nga omukazi alumwa okuzaala; kubanga kaakano oliva mu kibuga, olisiisira ku ttale, era olituuka e Babulooni; eyo gy'orokokera; eyo Mukama gy'alinunulira mu mukono gw'abalabe bo.
11 Ne kaakano amawanga magi agakuŋŋaana okulwana naawe, googera nti Ayonooneke, era amaaso affe gatunuulire ebyo bye gaagala ga bituuse ku Sayuuni.
12 Naye tebamanyi birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesa kwe; kubanga bakuŋŋaanyizza ng'ebinywa by'ettaano ku gguuliro lye.
13 Yimuka, owuule, ggwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula ejjembe lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; naawe olimenyaameya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi zonna.
Essuula 5

1 Kaakano oneekuŋŋaanya bibiina bibiina, ggwe omuwala w'ebibiina; atuzingizizza ffe; balikuba iluyi omulamuzi wa Isiraeri n'onuggo.
2 Naye ggwe Besirekemu Efulasa, ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo.
3 Kyaliva abawaayo okutuusa ku biro alumwa okuzaala lw'alizaala: kale baganda be abasigalawo balikomawo eri abaana ba Isiraeri.
4 Naye aliyimirira aliriisa ekisibo kye mu maanyi ga Mukama, mu bukulu obw'erinnya lya Mukama Katonda we; era balibeerera awo; kubanga mu nnaku ezo anaabanga mukulu okutuusa ku nkomerero z’ensi.
5 Era omuntu oyo aliba mirembe gyaffe; Omwasuli bw'aliyingira mu nsi y'ewaff'e, bw'alitanbula mu mayumba gaffe, kale tulimuyimusizaako abasumba musanvu, n’abantu munaana ab'ekitiibwa.
6 Nabo balyonoona ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe baliba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaffe era bw'alitambula mu nsalo z'ewaffe.
7 Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiriba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, ng'empandaggirize ku muddo; ezitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebazirwisaawo.
8 Era aba Yakobo abalisigalawo baliba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma mu nsolo ez'omu kibira, ng'empologoma ento mu bisibo by'endiga; bw'eyitamu, erinnyirira era etaagulataagula so tewali mulokozi.
9 Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n'abakukyawa bonna bazikirire.
10 Era kiriba ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndikuggyamu wakati embalaasi zo; era ndizikiriza amagaali go;
11 era ndizikiriza ebibuga eby'omu nsi y'ewammwe, ndisuula wansi ebigo byo byonna;
12 era ndiggyamu obulogo mu mukono gwo; so toliba na baganga nate;
13 era ndikuggyamu wakati ebifaananyi byo ebyole n'empagi zo; so tolisinza nate emirimu egy'engalo zo.
14 Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikiriza ebibuga byo.
15 Era ndiwalana eggwanga n'obusungu n'ekiruyi ku mawanga agatawulira.
Essuula 6

1 Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera; nti Yimuka, yomba mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo.
2 Muwulire, mmwe ensozi, ennyombo za Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina ennyombo n'abantu be, aliwoza ne Isiraeri.
3 Mmwe abantu bange, mbakoze ki? nali mbakooyezza naki? munnumirize.
4 Kubanga nakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu.
5 Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.
6 Najja naki eri Mukama ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamaze omwaka gumu?
7 Mukama alisiima endiga eza seddume enkumi oba emigga egy'amafuta obukumi? mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange?
8 Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby'ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo?
9 Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, n'ow'amagezi aliraba erinnya lyo; muwulire omuggo, n'oyo bw'ali agulagidde.
10 Ebintu eby'omuwendo eby'obubi bikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo?
11 Ndiba mulongoofu bwe mba ne minzaani ey'obubi n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba?
12 Kubanga abagagga baakyo bajjudde ekyejo, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe:
13 Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; nkuzisizza olw'ebibi byo.
14 Olirya, so tolikkuta; era okutoowazibwa kwo kuliba wakati wo; era olijjulula, naye tolitwala mirembe; era ky'otwala ndikiwaayo eri ekitala.
15 Olisiga, naye tolikungula; olirinnyirira zeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola, naye tolinywa ku mwenge.
16 Kubanga ebyalagirwa Omuli bikuumibwa, era ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufnule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo eky'okuduulirwa; nammwe mulitwala ebivume by'abantu bange.
Essuula 7

1 Zinsanze! kubanga nfaanana nga lwe bamala okulonda emmere yonna ennungi, ng'ezabbibu ezeerebwa mu lusuku; tewakyali kirimba eky'okulya; emmeeme yange yeegomba ettiini esooka okwengera.
2 Omwegendereza abuze mu nsi, so tewali mugolokofu mu bantu: bonna bateega okuyiwa omusaayi, bayigga buli muntu muganda we n'ekitimba.
3 Engalo zaabwe zikwata ku by'obubi okunyiikira okubikola; omulangira asaba, omulamuzi ayagala okuweebwa empeera; n'omukulu ayogera ekibi ekibeera mu mmeeme ye: bwe batyo bwe babirukira awamu.
4 Oyo ku abo asinga obulungi afaanana ng'omweramannyo, omugolokofu ku abo asinga obubi olukomera lw'amaggwa: olunaku olw'abakuumi bo, lwe lw'okulabwako, lutuuse: kaakano we wanaaba okweraliikirira kwabwe.
5 Temwesiga wa mukwano, temulowoozanga mukulembeze nga mwesigwa; kuuma enzigi z'akamwa ko eri oyo agalamira mu kifuba kyo.
6 Kubanga omwana tassaamu kitiibwa kitaawe, omuwala akikinalira ku nnyina, muka mwana ku nnyazaala we; ab'omu nju be baba abalabe b'omuntu.
7 Naye ku bwange naatunuuliranga Mukama; naalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange anampuliranga.
8 Tonsanyukirako, omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi.
9 Naagumiikirizanga obusungu bwa Mukama kubanga mmujeemedde; okutuusa lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango: alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe.
10 Kale omulabe wange alikiraba, alikwatibwa ensonyi; eyaŋŋamba nti Mukama Katonda wo ali ludda wa? Amaaso gange galimulabako; kaakano alirinnyirirwa ng'ebitosi eby'omu nguudo.
11 Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! ku lunaku luli ekiragiro kiritwalibwa ewala.
12 Ku lunaku luli baliva mu Bwasuli ne mu bibuga bya Misiri balituuka gy'oli, era baliva mu Misiri okutuuka ne ku Mugga, n'okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi.
13 Naye ensi eriba kifulukwa, ku lw'abo ababeera omwo, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe.
14 Liisa abantu bo n'omuggo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababeera bokka, mu kibira wakati wa Kalumeeri: baliire mu Basani ne mu Gireyaadi nga mu nnaku ez'edda.
15 Nga bwe nnakola mu nnaku bwe wava mu nsi ya Misiri, ndimwolesa eby'ekitalo.
16 Amawanga galiraba, galikwatirwa ensonyi amaanyi gaabwe gonna; baliteeka engalo zaabwe ku kamwa kaabwe, amatu gaabwe galiziba.
17 Balikomba ku nfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva nga bakankana mu bwekwekero bwabwe: balijja eri Mukama Katonda waffe nga batekemuka era balitya ku lulwo.
18 Ani Katonda nga ggwe asonyiwa obubi, ayita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? talemera mu busungu bwe emirembe gyonna kubanga asanyukira okusaasira.
19 Alikyuka alitusaasira; alisamba okwonoona kwaffe n'ekigere; era olisuula ebibi byabwe byonna mu buziba bw'ennyanja.
20 Olikolera Yakobo amazima, olikolera Ibulayimu ekisa, bye walayirira bajjajjaffe okuva mu nnaku ez'edda.