Zekkaliya

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14


-Reset+

Essuula 1

1 Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti
2 Mukama asunguwalidde nnyo bajjajjammwe.
3 Kyova obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama.
4 Muleme okuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baagambiranga waggulu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi; so tebaawulira so tebampuliriza, bw'ayogera Mukama.
5 Bajjajjammwe bali ludda wa? ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna?
6 Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'atyo bwe yatukola.
7 Olunaku olw'amakumi abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti
8 Natunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'ennyuma we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru.
9 Awo ne njogera nti Ai mukama wange, ebyo biki? Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Naakwolesa ebyo bwe biri.
10 Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi.
11 Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.
12 Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti Ai Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu?
13 Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu.
14 Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Yogerera waggulu ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi.
15 N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo.
16 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.
17 Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.
18 Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana.
19 Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ago maki? N'anziramu nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.
20 Mukama n'anjolesa abaweesi bana.
21 Ne njogera nti Abo bajja kukola ki? N'ayogera nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.

">


Essuula 2

1 Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze.
2 Ne njogera nti Ogenda wa ggwe? N'aŋŋamba nti Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.
3 Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana
4 n'amugamba nti Ddukanako; mugambe omuvubuka oyo nti Yerusaalemi kiribaamu abantu balifikka mu bbugwe kubanga abantu bangi n'eby'omu bisibo bingi wakati mu kyo.
5 Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.
6 Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiika obwa kkbno, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.
7 Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babulooni.
8 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunyi y'eriiso lye.
9 Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.
10 Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange naabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.
11 Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange: nange naabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.
12 Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.
13 Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.

">


Essuula 3

1 N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we.
2 Mukama n'agamba Setaani nti Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?
3 Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika.
4 N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti Mumwambuleko engoye ez'ekko. N'agamba Yosuwa nti Laba, nkuyisizzaako obubi bwo; nange naakwambaza ebyambalo ebitenkanika.
5 Ne njogera nti Bamutikkire ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamutikkira ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye malayika wa Mukama n'ayimirira awo.
6 Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo eky'okusembereramu mu banno abayimiridde.
8 Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange Ettabi.
9 Kubanga laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu.
10 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.

">


Essuula 4

1 Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa ng'omuntu bw'azuukusibwa mu tulo twe.
2 N'aŋŋamba nti Olabye ki Ne njogera nti Ntunudde, era, laba, ekikondo eky'ettabaaza ekya zaabu kyonna n'ekibya kyakyo nga kiri waggulu ku kyo n'ettabaaza zaakyo omusanvu; ettabaza eziri waggulu waakyo, buli ttabaaza ng'eriko emimiro musanvu:
3 n'emizeyituui ebiri ku mabbali eruuyi n'eruuyi ogumu ku mukono ogwa ddyo ogw'ekibya, ogumu ku mukono gwakyo ogwa kkono.
4 Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange ne njogera nti Ebyo biki mukama wange?
5 Malayika eyali ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti Tomanyi ebyo bwe biri? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.
6 N'addamu n'aŋŋamba nti Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi nga kyogera nti Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye.
7 Olusozi olunene ggwe, weeyita ki? mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa.
8 Nate ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti
9 Emikono gya Zerubbaberi girasizza ennyumba eyo; era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli.
10 Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; gaddukanaddukana mu nsi zonna.
11 Ne nziramu ne mmugamba nti Emizeyituuni gino ebiri kye ki ku mukono ogwa ddyo ogw'ekikondo eky'ettabaaza ne ku mukono gwakyo ogwa kkono?
12 Ne nziramu omulundi ogw'okubiri ne mmugamba nti Amatabi gano abiri maki ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu ageemalamu gokka amafuta aga zaabu?
13 N'anziramu n'ayogera nti Tomanyi ago bwe gali? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.
14 Awo n'ayogera nti Ago be baana babiri ab'amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna.

">


Essuula 5

1 Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka.
2 N'aŋŋamba nti Olabye ki ggwe? Ne nziramu nti Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka; obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi.
3 N'aŋŋamba nti Ekyo kye kikolimo ekifuluma okubunya ensi yonna: kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aligobwamu ku luuyi lwayo olumu; era ng'ekyo bwe kiri, buli alayira aligobwamu ku luuyi lwayo olulala.
4 Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira erinnya lyange obulimba; era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.
5 Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti Kale yimusa amaaso go, olabe kino ekifuluma bwe kiri.
6 Ne njogera nti Ekyo kiki? N'ayogera nti Ekyo ye efa efuluma. Era n'ayogera nti Amaaso gaabwe bwe gali bwe gatyo ku nsi yonna;
7 (era, laba, ettalanta ey'essasi yasitulibwa;) n'oyo ye mukazi ng'atuula munda wa efa.
8 N'ayogera nti Ono bwe Bubi; n'amusuula wansi munda mu efa: n'ateeka omusinga gw'essasi ku kamwa kaayo.
9 Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiro ebya kasida; ne basitula efa mu bbanga ly'ensi n'eggulu.
10 Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Abo efa bagitwala wa?
11 N'aŋŋamba nti Okumuzimbira ennyumba mu nsi ya Sinaali; nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye.

">


Essuula 6

1 Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri; n'ensozi nsozi za bikomo.
2 Ku ggaali ery'olubereberye kwaliko embalaasi za lukunyu; ne ku ggaali ery'okubiri kwaliko embalaasi enzirugavu;
3 ne ku ggaali ery'okusatu kwaliko embalaasi enjeru; ne ku ggaali ery'okuna kwaliko embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru.
4 Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ebyo biki, mukama wange?
5 Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu eziva okuyimirira mu maaso ga Mukama w'ensi zonna.
6 Liri eririko embalaasi enzirugavu livuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; n'enjeru zaavaayo ennyuma waazo; n'ezitobeseemu obwoya obweru zavaayo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo.
7 N'eza kikuusikuusi zaavaayo nga zaagala okugenda zitambuletambule mu nsi; n'ayogera nti Muveeyo, mutambuletambule mu nsi. Awo ne zitambulatambula mu nsi.
8 Awo n'ankoowoola n'aŋŋamba nti Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono banzikakkanyirizza omwoyo mu nsi ey'obukiika obwa kkono.
9 Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti
10 Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babulooni;
11 era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu;
12 omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama:
13 oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.
14 N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu yeekaalu ya Mukama.
15 Era abaali ewala balijja balizimba mu yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.

">


Essuula 7

1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya ku lunaku olw'okuna olw'omwezi ogw'omwenda, mu Kisuleevu.
2 Awo aba Beseri baali batumye Salezeeri ne Legemumereki n'abantu baabwe kwegayirira ekisa kya Mukama,
3 n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti Nandikaabidde amaziga mu mwezi ogw'okutaano nga neeyawudde nga bwe nnakola mu myaka gino egyenkana wano?
4 Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
5 Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu, nze mwansiibira nze n'akatono?
6 Era bwe mulya ne bwe munywa, temweriira mwekka, temwenywera mwekka?
7 Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiika obwa ddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu?
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya, nga kyogera nti
9 Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti Musalenga emisango egy'ensonga, era mukolenga buli muntu muganda we ekisa n'okusaasira;
10 era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era muleme okulowoozanga obubi omuntu yenna eri munne mu mutima gwammwe.
11 Naye ne bagaana okuwulira ne baggyawo ekibegabega ne basiba amatu gaabwe baleme okuwulira.
12 Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa banaabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye.
13 Awo olwatuuka bwe yayogerera waggulu, nabo ne bagaana okuwulira; bwe kityo balikaaba, nange ndigaana okuwulira, bwe yayogera Mukama w'eggye;
14 naye ndibasaasaanyiza n'embuyaga ez'akazimu wakati w'amawanga ge batamanyanga. Awo ensi n'eyonooneka ennyuma waabwe, omuntu yenna alemenga okuyitamu wadde okuddamu; kubanga baagifuula amatongo ensi eyeegombebwa.

">


Essuula 8

1 Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi: nkikwatirwa ebuggya n'ekiruyi ekingi.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nkiddiddemu Sayuuni, naabeeranga wakati mu Yerusaalemi: era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu.
4 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abakadde, abasajja n'abakazi, balituula ate mu nguudo za Yerusaalemi, buli muntu ng'akutte omuggo mu mukono gwe kubanga akaddiye nnyo.
5 N'enguudo ez'ekibuga zirijjula abalenzi n'abawala nga bazannyira mu nguudo zaakyo.
6 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe kiriba ekitalo mu maaso g'ekitundu ky'abantu abo ekirisigalawo mu nnaku ziri, kyandibadde kya kitalo ne mu maaso gange? bw'ayogera Mukama w'eggye.
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndirokola abantu bange okuva mu nsi ey'ebuvanjuba n'okuva mu nsi ey'ebugwanjuba:
8 ndibaggyayo, nabo banaabeeranga wakati mu Yerusaalemi; nabo banaabanga bantu bange, nange naabeeranga Katonda waabwe mu mazima ne mu butuukirivu.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku lwe baalasa ennyumba ya Mukama w'eggye, ye yeekaalu, ezimbibwe.
10 Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne.
11 Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna.
13 Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi.
14 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe baansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa;
15 Bwe ntyo ate ndowoozezza mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n'ennyumba ya Yuda; temutya.
16 Ebigambo bye munaakolanga bye bino; mubuuliraganenga eby'amazima buli muntu ne munne; musalenga emisango egy'ensonga n'emisango egy'emirembe mu miryango gyammwe:
17 so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.
18 Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
19 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Okusiiba okw'omu mwezi ogw'okuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda okusanyuka n'okujaguza n'embaga ennungi; kale mwagalenga amazima n'emirembe.
20 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo amawanga ne gajja n'abo ababeera mu bibuga ebingi;
21 era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda.
22 Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama.
23 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.

">


Essuula 9

1 Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummula kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri: eri Mukama;
2 era ne Kamasi ekiriraanye nakyo: Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo. Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu ennungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
3 Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu nnungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
4 Laba, Mukama alikigoba mu byakyo, alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja; era kiryokebwa omuliro.
5 Asukulooni kiriraba kiritya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula nu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
6 Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era Abafirisuuti ndibaloga amalala.
7 Era ndiggyamu omusaayi mu kamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukungu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi.
8 Nange naasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange.
9 Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n'akayana omwana gw'endogoyi.
10 Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
11 Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.
12 Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira: nti ndikuddiza emirundi ebiri.
13 Kubanga nneewetedde Yuda: omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyina abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira.
14 Era Mukama alirabika waggulu gye bali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiika obwa ddyo.
15 Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ng'ensonda ez'ekyoto.
16 Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye.
17 Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavukuba, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.

">


Essuula 10

1 Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empandaggirize, buli muntu omuddo mu ttale.
2 Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga; babonaabona kubanga tewali musumba.
3 Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye; ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.
4 Eri ye erivaayo ejjinja ery'oku nsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu.
5 Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala.
6 Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.
7 N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.
8 Ndibayitiriza ndibakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe baayala.
9 Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.
10 Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; so tewalibalabikira bbanga.
11 Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.
12 Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama.

">


Essuula 11

1 Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo.
2 Kuba ebiwoobe, ggwe omuberoosi, kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese: mukube ebiwoobe, mmwe emyera gya Basani, kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde.
3 Eddoboozi ery'ebiwoobe eby'abasumba! kubanga obulungi bwabwe bwonoonese: eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento kubanga amalala ga Yoludaani goonoonese.
4 Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti Liisa ekisibo eky'okuttibwa;
5 bannyini zo be bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde: so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.
6 Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we: nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.
7 Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, weewaawo, ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Ekisanyukirwa; omulala ne ngutuuma nti Ebisiba; ne ndiisa ekisibo.
8 Ne nziyawo abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange baali bagikooyezza, n'emmeeme yaabwe nayo n'entamwa nze.
9 Awo ne njogera nti Siribaliisa; ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane ekimu omubiri gwa kinnaakyo.
10 Ne ntwala omuggo gwange Ekisanyukirwa ne ngusala wakati ndyoke ndibye endagaano yange gye nnalagaana n'amawanga gonna.
11 Ne gumenyeka ku lunaku olwo: bwe kityo abanaku ab'omu kisibo abaali bampulira ne bategeera nga kino kye kigambo kya Mukama.
12 Ne mbagamba nti Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange ebitundu asatu eby'effeeza.
13 Mukama n'aŋŋamba nti Bisuulire omubumbi, omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14 Awo ne nsala wakati omuggo gwange ogw'okubiri Ebisiba, ndibye oluganda eri Yuda ne Isiraeri.
15 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru.
16 Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alityemulatyemula ebinuulo byazo.
17 Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa aleka ekisibo ekitala kiriba ku mukono gwe ne ku liiso lye erya ddyo; omukono gwe gulikalira, n'eriiso lye erya ddyo lirizibira ddala.

">


Essuula 12

1 Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama oguli ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye, nti
2 Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe eky'okuta gatta, eri amawanga gonna enjuyi zonna, era eriba n'eri Yuda bwe bazingiza Yerusaalemi.
3 Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa nnyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa.
4 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga.
5 N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti Abali mu Yerusaalemi ge maanyi gange mu Mukama w'eggye Katonda waabwe.
6 Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro oluli mu nku, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono: oliboolyawo Yerusaalemi kiribaawo nate mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi.
7 Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda.
8 Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era ennyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe.
9 Awo olulituuka ku lunaku luli ndinoonya okuzikiriza amawanga gonna agatabaala Yerusaalemi.
10 Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita: era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.
11 Ku lunaku luli balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng'ebiwoobe ebya Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni.
12 Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka;
13 ekika eky'ennyumba ya Leevi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'Abasimeeyi kyokka, ne bakazi baabwe bokka;
14 ebika byonna ebisigalawo, buli kika kyokka, ne bakazi baabwe bokka.

">


Essuula 13

1 Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi.
2 Awo olulituuka ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu.
3 Awo olulituula omuntu ng'akyagenda okulagula kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mulamu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimufumita bw'alagula.
4 Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe:
5 naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange.
6 N'omu alimugamba nti Ebiwundu ebiri wakati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange.
7 Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato.
8 Awo olulituuka mu nsi yonna bw'ayogera Mukama, ebitundu byayo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo.
9 N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndibakema nga zaabu bw'ekemebwa: balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange.

">


Essuula 14

1 Laba, olunaku lwa Mukama lujja, omwandu gwo bwe guli gerekerwa mu ggwe wakati.
2 Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi balikwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa okufugibwa obuddu; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekirimalibwawo mu kibuga.
3 Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo.
4 Era aliyimirira n'ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n'olusozi olwa Zeyituuni lulyatika wakati waalwo ebuvanjuba n'ebugwanjuba, era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo; ekitundu ekimu eky'olusozi kirijjulukuka okugenda obukiika obwa kkono, n'ekitundu kyalwo ekimu okugenda obukiika obwa ddyo.
5 Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda: era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe.
6 Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza,
7 naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro: naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana.
8 Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey'ebuvanjuba n'ekitundu kyago mu nnyanja ey'ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttoggo.
9 Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu.
10 Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogw'olubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
11 Era abantu balibeera mu kyo, so nga tewakyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo mirembe.
12 Na kino kye kibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
13 Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne.
14 Era ne Yuda alirwana ne Yerusaalemi; era obugagga obw'amawanga gonna agaliraanyeewo bulikuŋŋaana, zaabu n'effeeza n'ebyambalo, bingi nnyo nnyini.
15 Era bwe kityo bwe kiriba ekibonoobono eky'embalaasi n'eky'ennyumbu n'eky'eŋŋamira n'eky'endogoyi n'ensolo zonna eziriba mu bisulo biri, ng'ekibonoobono ekyo bwe kiriba.
16 Awo olulituuka buli muntu asigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira.
17 Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera.
18 Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira.
19 Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ebisiisira.
20 Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti OBUTUKUVU ERI MUKAMA; era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto.
21 Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo: era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye.