Malaki

Essuula: 1 2 3 4


-Reset+

Essuula 1

1 Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyajjira mu Malaki.
2 Nnabaagala, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Watwagala otya? Esawu teyali muganda wa Yakobo? bw'ayogera Mukama: era naye nnamwagala Yakobo;
3 naye Esawu nnamukyawa, ne nfuula ensozi ze okuba amatongo, ne mpa obusika bwe ebibe eby'omu ddungu.
4 Kubanga Edomu ayogera nti Tukubiddwa wansi, naye tulidda ne tuzimba ebifo ebyazika; bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bo balizimba, naye nze ndyabya: era abantu banaabayitanga nti Nsalo ya bubi, era nti Bantu Mukama b'anyiigira ennaku zonna.
5 Era amaaso gammwe galiraba, ne mwogera nti Mukama agulumizibwe okusukka ensalo ya Isiraeri.
6 Omwana assaamu ekitiibwa kitaawe, n'omuddu mukama we: kale oba nga ndi kitammwe, ekitiibwa kyange kiri ludda wa? era oba nga ndi mukama kitammwe okutiibwa kwange kuli ludda wa? Mukama w'eggye bw'agamba mmwe, Ai bakabona abanyooma erinnya lyange. Era mwogera nti Twali tunyoomye tutya erinnya lyo?
7 Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonese. Era mwogera nti Twakwonoona tutya? Kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama teriimu ka buntu.
8 Era bwe muwaayo enzibe y'amaaso okuba ssaddaaka, nga si bubi! era bwe muwaayo ewenyera n'endwadde, nga si bubi! Kale nno gitonere oyo akutwala; anaakusanyukira? oba anakkiriza amaaso go? bw'ayogera Mukama w'eggye.
9 Kale nno mbeegayiridde musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa: ebyo byabaawo ku bwammwe: waliwo ku mmwe gw'anakkirizaako amaaso ge? bw'ayogera Mukama w’eggye.
10 Mu mmwe singa mubaddemu n'omu eyandiggaddewo enzigi, muleme okukuma omuliro ku kyoto kyange obwereere! Sibasanyukira n'akatono, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sikkirize kiweebwayo eri omukono gwammwe.
11 Kubanga okuva enjuba gy'eva okutuusa gy'egwa erinnya lyange kkulu mu b'amawanga; era obubaane buweerwayo mu buli kifo eri erinnya lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu: kubanga erinnya lyange kkulu mu b'amawanga, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Naye mmwe mulivumisa kubanga mwogera nti Emmeeza ya Mukama eyonoonese, n'ebibala byayo, ye mmere ye, teriimu ka buntu.
13 Era mwogera nti Laba, omulimu guno nga guyinze! era mugisoozezza, bw'ayogera Mukama w'eggye; era muleese ekyo ekyanyagibwa olw'amaanyi, n'ekiwenyera, n'ekirwadde; bwe mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nnandikkirizza ekyo mu mukono gwammwe? bw'ayogera Mukama.
14 Naye oyo alimba akolimirwe, alina ennume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo ssaddaaka eri Mukama ekintu ekiriko obulema: kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'erinnya lyange lya ntiisa mu b'amawanga.

">


Essuula 2

1 Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe.
2 Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe: weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo.
3 Laba, ndinenya ensigo ku lwammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe,obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo.
4 Awo mulimanya nga nze nnaweereza ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebeere ne Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
5 Endagaano yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange.
6 Etteeka ery'amazima lyabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gye: yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu.
7 Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era bandinoonyezza amateeka mu kamwa ke: kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye.
8 Naye mmwe mukyuse mukyamye mu kkubo; musittazizza bangi mu mateeka; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
9 Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, nga bwe mutakwata makubo gange naye ne mussaayo omwoyo eri amaaso g'abantu mu mateeka.
10 Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? tukuusizakuusiza ki buli muntu muganda we, nga twonoona endagaano ya bajjajjaffe?
11 Yuda akuusizzakuusizza, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi: kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.
12 Akola bw'atyo Mukama alimuzikiririza oyo azuukuka n'oyo ayitaba, okuva mu weema za Yakobo, n'oyo awaayo ekiweebwayo , eri Mukama w'eggye:
13 Era na kino nakyo mukikola: mubikka ekyoto kya Mukama amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, n'okussaayo n'atassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo so takikkiriza mu mukono gwammwe ng'asiimye.
14 Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano.
15 Era teyakola omu? newakubadde ng'alina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe.
16 Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.
17 Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti Twamukooya tutya? Kubanga mwogera nti Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda nnannyini musango ali ludda wa?

">


Essuula 3

1 Laba, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange: era Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka w'endagaano gwe musanyukira, laba, ajja; bw'ayogera Mukama w'eggye.
2 Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? era ani aliyimirira ye bw'alirabika? kubanga aliŋŋanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi:
3 era alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.
4 Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo.
5 Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; nnamwandu n'atalina kitaawe, en abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye.
6 Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.
7 Okuva ku nnaku za bajjajjammwe nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nt Tunadda tutya?
8 Omuntu alinyaga Katonda? naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti Twakunyaga tutya? Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.
9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze; eggwanga lino lyonna.
10 Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bwayogera Mukama w'eggye, oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga weguligya.
11 Era ndinenya omuli ku lwanmwe, so talizikiriza bibala bya ttaka lyammwe; so n'omuzabbibu gwanmwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.
13 Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu eri nze, bw'ayogera Mukama. Era naye mwogera nti Twakwogerako tutya?
14 Mwayogera nti Okuweereza Katonda kwa bwereere: era kugasa ki nga tukutte ebyo bye yakuutira, era nga tutambulidde mu maaso ga Mukama w'eggye nga tutokooteredde?
15 Era kaakano ab'amalala betuyita ab'omukisa: weewaawo, bo abakola obubi bazimbibwa; weewaawo, bakema Katonda ne bawonyezebwa.
16 Awo abo abaatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka: Mukama n'awuliriza n'awulira, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abaatya Mukama ne balowooza erinya lye.
17 Era baliba bange, bw’ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we ye amuweereza.
18 Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.

">


Essuula 4

1 Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.
2 Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.
3 Era mulirinnyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye.
4 Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagiririra ku Kolebu olwa Isiraeri yenna, ebiragiro n'emisango.
5 Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka.
6 Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.