Ebikolwa

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28


Essuula 1

1 Ekitabo eky'olubereberye nnakikola, munnange Teefiro, ekya byonna Yesu bye yasooka okukola n'okuyigiriza,
2 okutuusa ku lunaku luli bwe yamala okulagira ku bw'Omwoyo Omutukuvu abatume be yalonda n'atwalibwa mu ggulu.
3 Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira ebbanga ly'ennaku amakumi ana, ng'ayogera eby'obwakabaka bwa Katonda.
4 Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira gy'ali:
5 kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.
6 Awo bwe baakuŋŋaana ne bamubuuza nga bagamba nti Mukama waffe, mu biro bino mw'onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri?
7 N'abagamba nti Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye.
8 Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.
9 Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunuulira, n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe.
10 Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula;
11 abaayogera nti Abantu b’e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuulira mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.
12 Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku ssabbiiti.
13 Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baatuulanga; Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Simooni Zerote, ne Yuda omwana wa Yakobo.
14 Abo bonna baali nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakazi ne Malyamu nnyina Yesu, ne baganda be.
15 Mu nnaku ezo Peetero n'ayimirira wakati mu b'oluganda n’ayogera (ekibiina ky'abantu abaakuŋŋaana baali nga kikumi mu abiri) nti
16 Abasajja ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu;
17 kubanga yabalirwa wamu naffe, n'aweebwa omugabo gw'okuweereza kuno.
18 (Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika.
19 Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, ye nnimiro ey'omusaayi.)
20 Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti Ekibanja kye kizike, So kireme okubeerangamu omuntu: era nti Obukulu bwe buweebwe omulala.
21 Kale kigwanye mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna bwe yayingiranga n'avanga gye tuli Mukama waffe Yesu
22 okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.
23 Ne baloada babiri, Yusufu ayitibwa Balusaba, n'atuumibwa nate erinnya Yusito, ne Matiya.
24 Ne basaba, ne bagamba nti Ggwe, Mukama waffe, amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi,
25 aweebwe ekifo ky'okuweereza okwo n'obutume, Yuda bwe yasubwa agende mu kifo kye ye.
26 Ne babakubira obululu; akalulu ne kagwa ku Matiya; n’abalirwa wamu n'abatume ekkumi n'omu.
Essuula 2

1 Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka, bonna baali wamu mu kifo kimu.
2 Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng'empewo ewuuma n'amaanyi, ne kujjuza ennyumba yonna mwe baali batudde.
3 Ne kulabika ku bo ennimi ng'ez'omuliro nga zeeyawuddemu: buli lulimi ne lutuula ku muntu.
4 Bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne batanula okwogera ennimi endala, nga Omwoyo bwe yabawa okuzoogera.
5 Waaliwo mu Yerusaalemi Abayudaaya nga batudde, abantu abeegendereza, abaava mu buli ggwanga ly'abantu wansi w'eggulu.
6 Okuwuuma okwo bwe kwabaawo, ekibiina ne kikuŋŋaana ne kisamaalirira, kubanga baawulira buli muntu nga boogera mu lulimi lw'ewaabwe,
7 Ne bawuniikirira bonna, ne beewuunya, nga boogera nti Laba, bano bonna aboogera si Bagaliraaya.
8 Era kiki ffe buli muntu okuwulira olulimi lw'ewaffe gye twazaalibwa?
9 Abapaazi n'Abameedi, n'Abeeramiti, n'abali mu Mesopotamiya, mu Buyudaaya ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya,
10 mu Fulugiya ne mu Panfuliya, mu Misiri ne mu nsi ez'e Libuwa eziriraanye Kuleene, n'Abaruumi abagenyi, Abayudaaya n'abakyufu,
11 Abakuleete n'Abawalabu, tuwulira bano nga boogera mu nnimi zaffe eby'ekitalo ebya Katonda.
12 Bonna ne beewuunya ne babuusabuusa ne bagambagana nti Amakulu gaakyo kiki kino?
13 Naye abalala ne babasekerera ne bagamba nti Batamidde omwenge omusu.
14 Naye Peetero bwe yayimirira ne bali ekkumi n'omu, n'ayogerera waggulu n’abagamba nti Abasajja Abayudaaya n'abatuula mu Yerusaalemi mwenna, mutegeere kino, mutegere amatu ebigambo byange.
15 Kubanga bano tebatamidde, nga mmwe bwe mulowooza; kubanga ye ssaawa ey'okusatu ey'emisana.
16 Naye bino bye byayogerwa nnabbi Yoweeri nti
17 Olulituuka mu nnaku ez'oluvannyuma, bw'ayogera Katonda, Ndifuka ku omwoyo gwange ku balina omubiri bonna: Batabani bammwe ne bewala bammwe baliragula, N'abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa, N'abakadde bammwe baliroota ebirooto:
18 Weewaawo, ne ku baddu bange n'abazaana bange mu nnaku ziri Ndibafukira ku Mwoyo gwange, baliragula.
19 Ndireeta eby'ekitalo mu ggulu waggulu N'obubonero mu nsi wansi, Omusaayi n'omuliro n'okunyooka kw'omukka.
20 Enjuba erifuuka ekizikiza, N'omwezi okuba omusaayi, Olunaku lwa Mukama Olukulu olulitenderezebwa nga terunnaba kujja.
21 Olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka.
22 Abasajja Abaisiraeri, muwulire bigambo bino. Yesu Omunazaaleesi, omuntu eyabalagibwa Katonda mu bigambo eby'amaanyi n'eby'amagero n'obubonero, Katonda bye yamukozanga wakati mu mmwe, nga mmwe bwe mumanyi;
23 oyo bwe yaweebwayo nga Katonda bwe yasooka okuteesa n'okumanya, mwamutwala ne mumukomerera n'emikono gy'abantu ababi, ne mumutta.
24 Naye oyo Katonda yamuzuukiza, bwe yasumulula okulumwa kw'okufa: kubanga tekwayinza kumunyweza.
25 Kubanga Dawudi amwogerako nti Nnalaba Mukama ennaku zonna mu maaso gange, Kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo, nneme okusagaasagana.
26 Omutima gwange kyegwava gwesiima, olulimi lwange ne lusanyuka; Era n'omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi:
27 Kubanga tolindeka bulamu bwange mu Magombe, So toliwaayo Mutukuvu wo kuvunda.
28 Wanjigiriza amakubo g'obulamu; Olinjijuza essanyu n'amaaso go.
29 Abasajja ab'oluganda, nnyinza okwogerera n'obuvumu mu maaso gammwe ebya jjajjaffe omukulu Dawudi nti yafa n'aziikibwa, n'amalaalo ge gali waffe ne kaakano.
30 Kale, bwe yali nnabbi, bwe yamanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bazzukulu b'omu ntumbwe ze alituuzaako omuntu ku ntebe ye;
31 bwe yalaba olubereberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa mu Magombe so nga n'omubiri gwe tegwavunda.
32 Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, fenna ffe bajulirwa.
33 Awo bwe yalinnyisibwa ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n'aweebwa okusuubiza kw'Omwoyo Omutukuvu eri Kitaawe, afuse kino kye mulabye kaakano kye muwulidde.
34 Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye yayogera yennyini nti Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 Okutuusa lwe nditeeka abalabe bo okuba entebe y'ebigere byo.
36 Kale mazima bamanye ennyumba yonna eya Isiraeri nti Katonda yamufuula Mukama era Kristo, Yesu oyo gwe mwakomerera.
37 Awo bwe baawulira ebyo emitima gyabwe ne gibaluma, ne bagamba Peetero n'abatume abalala nti Abasajja ab'oluganda, tunaakola tutya?
38 Peetero n'abagamba nti Mwenenye, mubatizibwe buli muntu mu mmwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo okuggibwako ebibi byammwe, munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.
39 Kubanga okusuubizibwa kwammwe era kwa baana bammwe n'abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.
40 Era n'abategeeza mu bigambo ebirala bingi n'ababuulirira ng'agamba nti Mulokolebwe mu mirembe gino egyakyama.
41 Awo abakkiriza ekigambo kye ne babatizibwa: ne bongerwako ku lunaku luli abantu ng'enkumi ssatu.
42 Ne baba nga banyiikiriranga okuyigirizibwa kw'abatume, ne mu kusseekimu, ne mu kumenya emigaati ne mu kusaba.
43 Buli muntu n'atya: eby'amagero bingi n'obubonero ne bikolebwanga abatume.
44 Bonna abakkiriza baali wamu, ne baba nga bassa kimu mu byonna,
45 eby'obugagga byabwe n'ebintu bye baali nabyo ne babitunda ne bagabiranga bonna nga buli muntu bwe yali yeetaaga.
46 Nabo nga banyiikiriranga bulijjo n'omwoyo gumu mu yeekaalu, nga bamenya emigaati mu nnyumba eka, ne balyanga emmere n'essanyu n'omutima ogutalina bukuusa,
47 nga batenderezanga Katonda, nga basiimibwanga abantu bonna. Mukama n'abongerangako bulijjo abaalokokanga.
Essuula 3

1 Awo Peetero ne Yokaana ne balinnya mu yeekaalu mu ssaawa ey'okusabiramu, essaawa ey'omwenda.
2 Waaliwo omuntu omulema okuva mu lubuto lwa nnyina yali asituliddwa, gwe baateekanga bulijjo ku luggi lwa yeekaalu olwayitibwanga Olulungi, okusabanga effeeza abaayingiranga mu yeekaalu.
3 Oyo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n'asaba okuweebwa effeeza.
4 Peetero awamu ne Yokaana ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n'agamba nti Tutunuulire.
5 N'abawulira, ng'alowooza nti banaamuwa ekintu.
6 Naye Peetero n'agamba nti Effeeza ne zaabu sibirina; naye kye nnina kye nkuwa: mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, tambula.
7 N'amukwata ku mukono ogwa ddyo n'amuyimusa. Amangu ago ebigere bye n'obukongovvule ne bifuna amaanyi:
8 n'agolokoka mangu n'ayimirira n'atambula, n'ayingira nabo mu yeekaalu ng'atambula ng'abuuka ng'atendereza Katonda.
9 Abantu bonna ne bamulaba ng'atambula ng'atendereza Katonda,
10 ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku luggi Olulungi olwa yeekaalu okusabirizanga effeeza, ne bawuniikirira nnyo n'okwewuunya olw'ekyo ekimukoleddwa.
11 Bwe yali ng'akyekutte Peetero ne Yokaana, ekibiina kyonna ne baddukana gye baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi ekiyitibwa ekya Sulemaani nga beewuunya nnyo.
12 Awo Peetero bwe yalaba n'addamu ekibiina nti Abasajja Abaisiraeri, kiki ekibeewuunyisa bino? Mutwekaliririza ki amaaso ng'amaanyi gaffe ffe oba kutya kwaffe Katonda bye bimutambuzizza oyo?
13 Katonda wa Ibulayimu era owa Isaaka era owa Yakobo, Katonda wa bajjajjaffe, yagulumiza Mulenzi we Yesu, gwe mwawaayo ne mumwegaanira mu maaso ga Piraato, bwe yamalirira okumuta.
14 Naye mmwe ne mwegaana Omutukuvu era Omutuukirivu, ne mwagala okuweebwa omussi,
15 ne mutta Omukulu w'obulamu; oyo Katonda yamuzuukiza mu bafu: ffe bajulirwa baakyo.
16 Era olw'okukkiriza erinnya lye oyo gwe mulaba gwe mumanyi erinnya lye limuwadde amaanyi, n'okukkiriza okuli mu oyo kumuwadde obulamu buno obutuukiridde mu maaso gammwe mwenna.
17 Kale kaakano, ab'oluganda, mmanyi nga mwakola nga temumanyi, nga n'abakulu bammwe.
18 Naye Katonda bye yabuulira edda mu kamwa ka bannabbi bonna nga Kristo we alibonyaabonyezebwa, yabituukiriza bw'atyo.
19 Kale mwenenye, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe, ebiro eby'okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke;
20 naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu,
21 eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa mu biro eby'okulongoosezaamu byonna, Katonda bye yayogereranga mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu abaaliwo okuva ku lubereberye.
22 Musa yagamba nti Mukama Katonda alibayimiririza nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze; oyo mumuwuliranga byonna by'alibagamba.
23 Olulituuka buli mwoyo ogutawulira nnabbi oli gulizikirizibwa mu ggwanga.
24 Weewaawo ne bannabbi bonna n'abo okuva ku Samwiri n'abo abaamuddirira, bonna abaayogeranga, baabuuliranga eby'ennaku zino.
25 Mmwe muli baana ba bannabbi, era ab'endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe, ng'agamba Ibulayimu nti Ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'ensi mwe biriweerwa omukisa.
26 Okusooka gye muli Katonda, bwe yamala okuzuukiza Mulenzi we n'amutuma gye muli abawe omukisa, ng'akyusa buli muntu mu bibi byammwe.
Essuula 4

1 Bwe baali nga boogera n'ekibiina, ne bajja gye baali bakabona n'omukulu wa yeekaalu n'Abasaddukaayo,
2 nga banakuwadde nnyo kubanga baayigiriza ekibiina era baabuulira ku bwa Yesu okuzuukira mu bafu.
3 Ne babassaako emikono ne babassa mu kkomera okutuusa enkya: kubanga bwali buwungedde.
4 Naye abamu bangi abaawulira ekigambo ne bakkiriza, omuwendo gw'abasajja ne baba ng'enkumi ttaano.
5 Awo bwe bwakya enkya abakulu n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi:
6 ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegeezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu:
7 ne babateeka wakati, ne babuuza nti Maanyi ki oba linnya ki eribakoza mmwe ebyo?
8 Awo Peetero bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'abagamba nti Abakulu b'abantu n'abakadde,
9 bwe tubuulirizibwa leero olw'okukola obulungi omuntu omulwadde, ekimuwonyezza;
10 mutegeere mwenna n'ekibiina kyonna eky'Abaisiraeri nti mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakomerera mmwe, Katonda gwe yazuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe.
11 Oyo lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
12 So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.
13 Awo bwe baalaba obugumu bwa Peetero ne Yokaana, ne babategeera okuba abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo, ne beewuunya, ne babeetegereza nga baali wamu ne Yesu.
14 Era bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo, tebaalina kya kuddamu.
15 Naye ne balagira bave mu lukiiko, ne basala amagezi bokka nga bagamba nti
16 Tunaakola tutya abantu bano? Kubanga bakoze akabonero akayatiikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana.
17 Naye kireme okwongeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna.
18 Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu.
19 Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu ne babagamba nti Oba nga kirungi mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda, mwogere;
20 kubanga ffe tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba bye twawulira.
21 Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibiina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa.
22 Kubanga obukulu bwe yali ayise mu myaka amakumi ana omuntu eyakolerwa akabonero kano ak'okuwonyezebwa.
23 Bwe baateebwa ne bagenda mu kibiina kyabwe, ne bategeeza byonna bye bagambiddwa bakabona abakulu n'abakadde.
24 Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna,
25 ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi mulenzi wo nti Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, N'ebika birowoozezza ebitaliimu?
26 Bakabaka b'ensi baasimba ennyiriri, N'abakulu baakuŋŋaanira wamu Ku Mukama ne ku Kristo we:
27 Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku Mulenzi wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri,
28 bakole byonna omukono gwo n'okuteesa kwo bye byalagira edda okubaawo.
29 Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo,
30 bw'ogolola omukono gwo owonye, n'obubonero n'amagero bikolebwenga mu linnya lya Mulenzi wo omutukuvu Yesu.
31 Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
32 N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu ky'alina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.
33 N'amaanyi mangi abatume ne boogeranga okutegeeza kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. N'ekisa kingi ne kibeeranga ku bo bonna.
34 Kubanga tewaali mu bo eyeetaaganga; kubanga bonna abaalina ensuku oba ennyumba baazitundanga ne baleeta omuwendo gwazo ezaatundibwanga,
35 ne baguteeka ku bigere by'abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga.
36 Ne Yusufu abatume gwe baayita Balunabba (okutegeezebwa kwalyo nti) Mwana wa ssannyu Omuleevi, eyazaalirwa e Kupulo,
37 yalina ennimiro, n'agitunda n'aleeta effeeza n'agiteeka ku bigere by'abatume.
Essuula 5

1 Naye omuntu erinnya lye Ananiya ne Safira mukazi we n'atunda ebibye,
2 ne yeeterekerako ku muwendo, mukazi we naye ng'amanyi, n'aleetako kitundu butundu n'ateeka ku bigere by'abatume.
3 Naye Peetero n'agamba nti Ananiya, Setaani akujjulizza ki omutima gwo okulimba Omwoyo Omutukuvu, ne weeterekerako ku muwendo gw'ennimiro?
4 Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Kiki ekikuteesezza mu mutima okukola bw'oti? Tolimbye bantu, naye Katonda.
5 Ananiya bwe yawulira ebigambo ebyo, n'agwa n'atondoka. Entiisa nnyingi n'ekwata bonna abaawulira ebyo.
6 Abalenzi ne bayimuka ne bamuzinga, ne bamutwala ne bamuziika.
7 Awo olwatuuka waali wayiseewo essaawa ssatu mukazi we naye n'ayingira nga tamanyi bwe bibadde.
8 Peetero n'amuddamu nti Mbuulira, mwatunda ennimiro omuwendo bwe gutyo? N'agamba nti Weewaawo, bwe guti.
9 Naye Peetero n'amugamba nti Kiki ekibatabaganyizza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe.
10 Amangu ago n'agwa ku bigere bye, n'atondoka: abalenzi bwe baayingira ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika wamu ne bba.
11 Entiisa nnene n'ekwata ekkanisa yonna ne bonna abaawulira ebyo.
12 Obubonero n'eby'amagero bingi ne bikolebwanga n'emikono gy'abatume mu bantu; bonna baali mu kisasi kya Sulemaani n'omwoyo gumu.
13 So n'abalala tewaali n'omu eyayaŋŋanga okwegatta nabo; naye abantu ne babagulumizanga;
14 abakkiriza ne beeyongeranga okwegatta ne Mukama waffe, bangi abasajja n'abakazi;
15 n'okuleeta ne baleetanga mu makubo abalwadde ne babateekanga ku mikeeka ne ku bitanda, Peetero bw'anajja ekisiikirize kye kituuke ku bamu.
16 Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna.
17 Naye n'ayimuka kabona asinga obukulu ne bonna abaali naye (kye kitundu eky'Abasaddukaayo), ne bajjula obuggya,
18 ne bakwata abatume ne babateeka mu kkomera ly'abantu bonna.
19 Naye malayika wa Mukama ekiro n'aggulawo enzigi ez'ekkomera, n'abafulumya, n'agamba nti
20 Mugende, muyimirire, mubuulire mu yeekaalu abantu ebigambo byonna eby'obulamu buno.
21 Bwe baawulira ne bayingira mu yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n'ajja n'abaali naye, n'ayita olukiiko n'abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu kkomera okubaleeta.
22 Naye abaami abaagenda tebaabasanga mu kkomera, ne bakomawo, ne boogera
23 nga bagamba nti Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.
24 Bwe baawulira ebigambo ebyo omukulu wa yeekaalu ne bakabona abakulu, ne basoberwa mu bweraliikirivu bwabwe ekigambo kino nga bwe kijja okubuna.
25 Omuntu n'ajja n'ababuulira nti Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu.
26 Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja.
27 Ne babaleeta ne babateeka mu maaso g'olukiiko. Kabona asinga obukulu n'ababuuza
28 ng'agamba nti Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo.
29 Naye Peetero n'abatume ne baddamu ne bagamba nti Kigwana okuwulira Katonda okusinga abantu.
30 Katonda wa bajjajjaffe yazuukiza Yesu gwe mwatta mmwe bwe mwamuwanika ku muti.
31 Oyo Katonda yamulinnyisa ku mukono gwe ogwa ddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwaayo eri Isiraeri okwenenya n'okuggibwako ebibi:
32 naffe ffe bajulirwa b'ebigambo ebyo, era n'Omwoyo Omutukuvu, Katonda gwe yawa abamugondera.
33 Naye bo bwe baawulira ne balumwa nnyo, ne baagala okubatta.
34 Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera:
35 n'abagamba nti Abasajja Abaisiraeri, mwekuume eby'abantu bano, kye mugenda okubakolako.
36 Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti ye muntu omukulu, abantu nga bikumi bina ne beegatta naye: n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma.
37 Oluvannyuma lwe n'agolokoka Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana.
38 Ne kaakano mbagamba nti Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira;
39 naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda.
40 Ne bamuwulira: ne bayita abatume, ne babakuba, ne balagira obutayogeranga mu linnya lya Yesu, ne babata.
41 Awo ne bava mu maaso g'olukiiko nga basanyuka kubanga basaanyizibbwa okukwatibwa ensonyi olw'Erinnya.
42 Buli lunaku mu yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.
Essuula 6

1 Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe baabafissanga mu kuweereza okwa bulijjo.
2 Ekkumi n'ababiri ne bayita ekibiina ky'abayigirizwa, ne bagamba nti Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza.
3 Kale, ab'oluganda, mulonde abantu mu mmwe abasiimibwa musanvu, abajjudde Omwoyo Omutukuvu n'amagezi, be tunaateeka ku mulimu guno;
4 naye ffe tunaanyiikiranga mu kusaba n'okuweereza ekigambo.
5 Ekigambo ekyo ne kisiimibwa mu maaso g'ekibiina kyonna; ne balonda Suteefano, omuntu eyajjula okukkiriza n'Omwoyo Omutukuvu, ne Firipo, ne Pulokolo, ne Nikanoli, ne Timooni, ne Pammena, ne Nikolaawo, omukyufu ow'e Antiyokiya;
6 ne babateeka mu maaso g'abatume; ne basaba, ne babassaako emikono.
7 Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw'abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza.
8 Suteefano bwe yajjula ekisa n'amaanyi n'akolanga amagero n'obubonero obunene mu bantu.
9 Naye ne bayimuka abantu abamu ab'ekkuŋŋaaniro eriyitibwa ery'Abalibettino, n'ery'Abakuleene n'ery'Abalegezanderiya n'ery'Abakirukiya n'ery'Abasiya, nga bawakana ne Suteefano:
10 so tebaayinza kusobola magezi n'Omwoyo bye yayogeza.
11 Awo ne baweerera abantu abaagamba nti Twawulira oyo ng'ayogera ebigambo eby'okuvuma Musa ne Katonda.
12 Ne bakubiriza abantu, n'abakadde n'abawandiisi, ne bajja gy'ali, ne bamukwata, ne bamutwala mu lukiiko,
13 ne bayimiriza abajulirwa ab'obulimba abaagamba nti Omuntu oyo taleka kwogera bigambo ku kifo kino ekitukuvu n'amateeka:
14 kubanga twamuwulira ng'agamba nti Yesu Omunazaaleesi oyo alizikiriza ekifo kino, aliwaanyisa n'empisa ze twaweebwa Musa.
15 Bwe baamwekaliriza amaaso, bonna abaali batudde mu lukiiko ne bamulaba amaaso ge nga gafaanana ng'aga malayika.
Essuula 7

1 Kabona asinga obukulu n'ayogera nti Ebyo bwe biri bwe bityo?
2 Suteefano n'agamba nti Abasajja ab'oluganda era bassebo, muwulire. Katonda ow'ekitiibwa yalabikira jjajjaffe Ibulayimu ng'ali e Mesopotamiya, nga tannabeera Kalani,
3 n'amugamba nti Va mu nsi yannyo ne mu kika kyo, ogende mu nsi gye ndikulaga.
4 Awo n'ava mu nsi y'Abakaludaaya, n'abeera mu Kalani: oluvannyuma kitaawe bwe yamala okufa, n'amuggyayo n'amuleeta mu nsi eno mwe mutudde mmwe kaakano;
5 so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana.
6 Katonda n'ayogera bw'ati ng'ezzadde lye baliba bagenyi mu nsi y'abalala; balibafuula abaddu, balibakolera obubi emyaka bikumi bina.
7 N'eggwanga eriribafuula abaddu nze ndisala omusango gwalyo, bwe yayogera Katonda: n'oluvannyuma balivaayo balinsinziza mu kifo kino.
8 N'amuwa endagaano ey'okukomola: awo Ibulayimu n'azaala Isaaka, n'amukomolera ku lunaku olw'omunaana: ne Isaaka n'azaala Yakobo: ne Yakobo n'azaala bajjajja abakulu ekkumi n'ababiri.
9 Bajjajja abakulu bwe baakwatirwa Yusufu obuggya ne bamutunda mu Misiri. Katonda n'abeeranga naye,
10 n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna.
11 Enjala n'egwa ku nsi yonna ey'e Misiri n'eya Kanani, n'ellnaku nnyingi, so ne batalaba mmere bajjajjaffe.
12 Naye Yakobo bwe yawulira ng'emmere enkalu eri Misiri, n'atuma bajjajjaffe omulundi ogw'olubereberye:
13 n'omulundi ogw'okubiri Yusufu baganda be ne bamutegeera: ekika kya Yusufu ne kimanyibwa Falaawo.
14 Yusufu n'atuma n'ayita Yakobo kitaawe ne baganda be bonna, abantu nsanvu mu bataano.
15 Yakobo n'akkirira e Misiri, n'afiirayo, ye ne bajjajjaffe;
16 ne batwalibwa e Sekemu; ne baziikibwa mu ntaana Ibulayimu gye yagula omuwendo gw'effeeza ku baana ba Kamoli mu Sekemu.
17 Naye ng'ebiro eby'okusuubiza bwe byali okumpi, Katonda kwe yayatulira Ibulayimu, abantu ne beeyongera ne baala mu Misiri,
18 okutuusa kabaka omulala lwe yabaawo ku Misiri ataamanya Yusufu.
19 Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu.
20 Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.
21 Bwe yasuulibwa, muwala wa Falaawo n'amutwala n'amulera ng'omwana we.
22 Musa n'ayigirizibwa mu magezi gonna ag'e Misiri; n'abeera wa maanyi mu bigambo bye ne mu bikolwa bye.
23 Naye obukulu bwe yali alitera okutuusa emyaka amakumi ana, n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri.
24 Bwe yalaba omuntu akolwa obubi, n'amutaasa, n'amuwoolera eggwanga omuntu eyali akolwa obubi, n'akuba Omumisiri.
25 N'alowooza nti baganda be banaategeera nga Katonda agenda okubawa obulokozi mu mikono gye: naye tebaategeera.
26 Nate ku lunaku olw'okubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka?
27 Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe?
28 Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri jjo?
29 Musa n'adduka olw'ekigambo ekyo, n'abeera mugenyi mu nsi ya Midiyaani, gye yazaalira abaana babiri ab'obulenzi.
30 Awo emyaka amakumi ana bwe gyatuuka, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi.
31 Musa bwe yalaba ne yeewuunya ky'alabye. Bwe yasembera okwetegereza, ne wabaawo eddoboozi lya Mukama nti
32 Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira.
33 Mukama n'amugamba nti Sumulula engatto eziri mu bigere byo: kubanga mu kifo wano w'oyimiridde watukuvu.
34 Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri.
35 Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka.
36 Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka amakumi ana.
37 Oyo ye Musa oli eyagamba abaana ba Isiraeri nti Katonda alibaleetera nnabbi aliva mu baganda bammwe nga nze.
38 Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe:
39 bajjajjaffe gwe bataayagala kuwulira, naye baamusindika eri, ne baddayo e Misiri mu mitima gyabwe,
40 nga bagamba Alooni nti Tukolere bakatonda abalitukulembera: kubanga Musa oyo, eyatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde.
41 Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe.
42 Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka Emyaka amakumi ana mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri?
43 Ne musitula eweema ya Moloki, N'emmunyeenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga: Nange ndibatwala ennyuma w’e Babbulooni.
44 N'eweema ey'obujulirwa yali ne bajjajjaffe mu ddungu, nga bwe yalagira eyagamba Musa okugikola ng'engeri gye yalaba bwe yali:
45 bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi;
46 eyasiimibwa mu maaso ga Katonda, n'asaba okumunoonyeza aw'okutuuza Katonda wa Yakobo.
47 Naye Sulemaani n'amuzimbira ennyumba.
48 Naye Ali waggulu ennyo tatuula mu nnyumba ezaakolebwa n'emikono; nga nnabbi bw'ayogera nti
49 Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
50 Omukono gwange si gwe gwabikola ebyo byonna?
51 Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajja bammwe, nammwe bwe mutyo.
52 Nnabbi ki gwe bataayigganya bajjajjammwe? Battanga abaasooka okubuulira ebigambo eby'okujja kwe Omutuukirivu, gwe mumaze okuwaayo kaakano okumutta;
53 mmwe abaaweebwa amateeka nga bwe gaalagirwa bamalayika, so temwagakwata.
54 Awo bwe baawulira ebyo ne balumwa mu mitima gyabwe, ne bamulumira obujiji.
55 Naye bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'akaliriza amaaso mu ggulu, n'alaba ekitiibwa kya Katonda, ne Yesu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda;
56 n'agamba nti Laba, ntunuulidde eggulu nga libikkuse n'Omwana w'Omuntu ng'ayimiridde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda.
57 Ne baleekaana n'eddoboozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n'omwoyo gumu,
58 ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by'omulenzi, erinnya lye Sawulo.
59 Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n'agamba nti Mukama wange Yesu, twala omwoyo gwange.
60 N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti Mukama wange, tobabalira kibi kino. Bwe yamala okwogera ebyo ne yeebaka.
Essuula 8

1 Ne Sawulo yasiima okuttibwa kwe. Ne wabaawo ku lunaku olwo okuyigganyizibwa kunene ku kkanisa eyali mu Yerusaalemi. Bonna ne basaasaanira mu nsi z'e Buyudaaya n'e Samaliya, wabula abatume.
2 Abantu abaatya Katonda ne baziika Suteefano, ne bamukaabira nnyo.
3 Naye Sawulo n'agirira ekkanisa ekyejo kingi, ng'ayingira mu buli nju, ng'awalula abasajja n'abakazi n'abateeka mu kkomera.
4 Awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.
5 Firipo n'aserengeta mu kibuga eky'e Samaliya, n'ababuulira Kristo.
6 Ebibiina ne biwulira n'omwoyo gumu ebigambo Firipo by'ayogedde, bwe baawulira ne balaba eby'amagero ge yakolanga.
7 Kubanga bangi ku bo abaaliko dayimooni, ne babavangako nga bakaaba n'eddoboozi ddene: ne bawonanga bangi abaali balwadde okukoozimba n'abalema.
8 Essanyu lingi ne libeera mu kibuga omwo.
9 Naye waaliwo omuntu omu, erinnya lye Simooni, eyakolanga eddogo edda mu kibuga omwo n'awuniikirizanga eggwanga ly'e Samaliya, ng'agamba nti ye mukulu;
10 ne bamuwuliranga bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu, nga bagamba nti Omuntu ono ge maanyi ga Katonda agayitibwa Amangi.
11 Ne bamuwuliranga, kubanga ennaku nnyingi yabawuniikirizanga n'okuloga kwe.
12 Naye bwe bakkiriza Firipo ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda n'erinnya lya Yesu Kristo, ne babatizibwa abasajja n'abakazi.
13 Era ne Simooni yennyini n'akkiriza: bwe yamala okubatizibwa n'abeeranga wamu ne Firipo; bwe yalabanga eby'amagero n'obubonero obunene obwakolebwanga ne yeewuunya.
14 Awo abatume abaali mu Yerusaalemi bwe baawulira nga e Samaliya bakkirizza ekigambo kya Katonda, ne babatumira Peetero ne Yokaana.
15 Nabo bwe baatuuka ne babasabira okuweebwa Omwoyo Omutukuvu:
16 kubanga yali tannaba kubakkako n'omu ku bo: naye baabatizibwa bubatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
17 Awo ne babassaako emikono, ne baweebwa Omwoyo Omutukuvu.
18 Naye Simooni bwe yalaba ng'olw'okussibwako emikono gy'abatume baaweebwa Omwoyo Omutukuvu, n'abaleetera effeeza
19 ng'agamba nti Mumpe nange obuyinza buno buli gwe nnassangako emikono aweebwenga Omwoyo Omutukuvu.
20 Naye Peetero n'amugamba nti Effeeza yo ezikirire naawe, kubanga olowoozezza okufuna ekirabo kya Katonda n'ebintu.
21 Tolina mugabo newakubadde okugabana mu kigambo kino: kubanga omutima gwo si mugolokofu mu maaso ga Katonda.
22 Kale weenenye obubi bwo obwo, osabe Mukama waffe, mpozzi olisonyiyibwa ekirowoozo eky'omu mutima gwo.
23 Kubanga nkulaba oli mu mususa ogukaawa ne mu nvuba y'obubi.
24 Simooni n'addamu n'agamba nti Munsabire mmwe eri Mukama ebigambo ebyo bye mwogedde bireme okumbaako n'ekimu.
25 Awo bwe baamala okutegeeza n'okubuulira ekigambo kya Mukama waffe, ne baddayo e Yerusaalemi, ne babuulira enjiri mu mbuga nnyingi ez'Abasamaliya.
26 Naye malayika wa Mukama n'agamba Firipo ng'ayogera nti Golokoka, ogende obukiika obwa ddyo okutuuka mu kkubo eriserengeta okuva mu Yerusaalemi okutuuka e Ggaaza: ekkubo eryo lya ddungu.
27 N'agolokoka n'agenda: kale, laba, omuntu Omuwesiyopya, omulaawe omukungu wa Kandake kabaka omukazi ow'Abaesiyopya, eyali omuwanika w'ebintu bye byonna, yali azze e Yerusaalemi okusinza,
28 yali addayo n'atuula mu ggaali lye, n'asoma nnabi Isaaya.
29 Omwoyo n'agamba Firipo nti Sembera, weegatte n'eggaali eryo.
30 N'addukana Firipo n'amuwulira ng'asoma nnabbi Isaaya, n'agamba nti Obitegedde by'osoma?
31 N'agamba nti Nnyinza ntya, wabula nga waliwo anandagirira? Ne yeegayirira Firipo alinnye atuule naye.
32 Mu kifo awaawandiikibwa we yali asoma we wagamba nti Yatwalibwa okuttibwa ng'endiga, Era ng'omwana gw'endiga mu maaso g'omusazi w'ebyoya bwe gusirika, Bwekityo teyayasamya kamwa ke:
33 Mu kwetoowaza kwe omusango gwe gwaggibwawo: Ekika kye ani alikinnyonnyola? Kubanga obulamu bwe buggibwa mu nsi.
34 Omulaawe n'addamu Firipo n'agamba nti Nkwegayiridde, nnabbi yayogera ku ani ebigambo bino? Bibye yekka oba bya muntu mulala?
35 Firipo n'ayasama akamwa ke n'asookera ku kyawandiikibwa kino n'amubuulira Yesu.
36 Awo bwe baali batambula mu kkubo ne batuuka awali amazzi; omulaawe n'agamba nti Laba, amazzi; kiki ekindobera okubatizibwa?
37 (Firipo n'agamba nti Oba ng'okkirizza n'omutima gwo gwonna, kirungi. N'addamu n'agamba nti Nzikirizza Yesu Kristo nga ye Mwana wa Katonda.)
38 N'alagira eggaali okuyimirira: ne bakka bombi mu mazzi. Firipo n'omulaawe; n'amubatiza.
39 Bwe baava mu mazzi, Omwoyo gwa Mukama n'atwala Firipo, omulaawe n'atamulaba nate: kubanga yagenda ng'asanyuka.
40 Naye Firipo yalabikira mu Azoto: bwe yayita n'abuulira mu bibuga byonna okutuuka e Kayisaliya.
Essuula 9

1 Naye Sawulo bwe yali akyayogera ebigambo eby'okukanga n'eby'okutta abayigirizwa ba Mukama waffe, n'agenda eri kabona asinga obukulu,
2 n'amusaba ebbaluwa ez'okugenda e Ddamasiko, eri amakuŋŋaaniro, bw'alirabayo abantu ab'ekkubo, oba nga basajja oba bakazi, abasibe abaleete e Yerusaalemi.
3 Awo bwe yali ng'atambula, ng'anaatera okutuuka e Ddamasiko, amangu ago omusana oguva mu ggulu ne gumwakira okumwetooloola,
4 n'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?
5 N'agamba nti Ani ggwe, Mukama wange? Ye n'agamba nti Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe:
6 naye golokoka oyingire mu kibuga; onoobuulirwa ebikugwanidde okukola.
7 Naye abaali batambula naye ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga bawulidde eddoboozi naye ne batalaba muntu.
8 Sawulo n'agolokoka wansi, amaaso ge bwe gaazibuka, n'atalaba kintu: ne bamukwata ku mukono ne bamuleeta e Ddamasiko.
9 N'amala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya, wadde nga tanywa.
10 Yaliyo omuyigirizwa mu Ddamasiko, erinnya lye Ananiya; Mukama waffe n'amugamba mu kwolesebwa nti Ananiya. N'amugamba nti Laba, nze nzuuno, Mukama wange.
11 Mukama waffe n'amugamba nti Golokoka ogende mu kkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuulirize mu nnyumba ya Yuda omuntu erinnya lye Sawulo ow'e Taluso; kubanga, laba, asaba;
12 era alabye omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira, ng'amussaako emikono azibule.
13 Naye Ananiya n'addamu nti Mukama wange, omuntu oyo nnawulira ebigambo bye mu bangi, obubi bwe yakolanga abatukuvu be abali e Yerusaalemi bwe buli obungi:
14 ne wano alina obuyinza obuva eri bakabona abakulu okubasiba bonna abakusaba erinnya lyo.
15 Naye Mukama waffe n'amugamba nti Genda; kubanga oyo kye kibya ekironde gye ndi okutwalanga erinnya lyange mu maaso g'amawanga ne bakabaka n'abaana ba Isiraeri.
16 Kubanga ndimulaga ebigambo bwe biri ebingi ebimugwanidde okubonyaabonyezebwa olw'erinnya lyange.
17 Ananiya n'agenda n'ayingira mu nnyumba, bwe yamussaako emikono n'ayogera nti Ow'oluganda Sawulo, Mukama waffe antumye, Yesu eyakulabikira mu kkubo lye wafulumamu, ozibule, ojjuzibwe Omwoyo Omutukuvu.
18 Amangu ago ku maaso ge ne kuba ng'okuvuddeko amagamba, n'azibula, n'ayimirira n'abatizibwa:
19 bwe yatoola emmere n'afuna amaanyi. N'abeera n'abayigirizwa abaali mu Ddamasiko ennaku nnyingiko.
20 Amangu ago n'abuulira Yesu mu makuŋŋaaniro ng'oyo ye Mwana wa Katonda.
21 Bonna abaamuwulira ne beewuunya ne bagamba nti Si ye wuuno eyanyaganga mu Yerusaalemi abaasabanga erinnya eryo? kye kyamuleeta ne wano abasibe abatwale eri bakabona abakulu.
22 Naye Sawulo ne yeeyongeranga okuba n'amaanyi n'akwasanga ensonyi Abayudaaya abaali batuula e Ddamasiko, ng'ategeereza ddala nti oyo ye Kristo.
23 Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi, Abayudaaya ne bateesa okumutta.
24 Naye amagezi gaabwe Sawulo n'agamanya. Ne bateeganga ne ku nzigi emisana n'ekiro okumutta.
25 Naye abayigirizwa be ne bamutwala kiro ku kisenge, ne bamussiririza mu kisero.
26 Bwe yatuuka e Yerusaalemi n'agezaako okwegatta n'abayigirizwa: ne bamutya bonna, nga tebannaba kukkiriza nga naye muyigirizwa.
27 Naye Balunabba n'amutwala n'amuleeta eri abatume, n'abannyonnyola bwe yalaba Mukama waffe mu kkubo, era nti yayogera naye, ne bwe yabuulira n'obugumu mu Ddamasiko mu linnya lya Yesu.
28 N'abeeranga wamu nabo ng'ayingiranga ng'afulumanga mu Yerusaalemi,
29 ng'abuuliranga n'obugumu mu linnya lya Mukama waffe: n'ayogera n'awakananga n'Abakerenisiti: naye ne bagezaako okumutta.
30 Ab'oluganda bwe baategeera ne bamutwala e Kayisaliya, ne bamusindika e Taluso.
31 Awo ekkanisa eyali mu Buyudaaya bwonna ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya n'eba n'emirembe, ng'ezimbibwanga; era ng'etambuliranga mu kutya Mukama waffe ne mu ssanyu ery'Omwoyo Omutukuvu ne yeeyongera.
32 Awo olwatuuka Peetero bwe yali ng'ayita wonna wonna, n'aserengeta eri abatukuvu abaali batuula mu Luda:
33 n'asangayo omusajja erinnya lye Ayineya eyali yaakamaze ku kitanda emyaka munaana, olw'endwadde y'okukoozimba.
34 Peetero n'amugamba nti Ayineya, Yesu Kristo akuwonya: yimirira, weeyalire. Amangu ago n'ayimirira.
35 Bonna abaali batuula mu Luda ne mu Saloni ne bamulaba ne bakyukira Mukama waffe.
36 Awo waaliwo mu Yopa omukazi omuyigirizwa, erinnya lye Tabbiisa (okutegeezebwa kwalyo ayitibwa Doluka): omukazi oyo yali ajjudde ebikolwa ebirungi n’abintu bye yagabanga.
37 Olwatuuka mu nnaku ezo n'alwala n'afa: bwe baamala okumunaaza ne bamuteeka mu kisenge ekya waggulu.
38 Era kubanga Luda kyali kumpi ne Yopa, abayigirizwa bwe baawulira nga Peetero gyali, ne bamutumira abantu babiri nga bamwegayirira nti Tolwa, tuukirira gye tuli.
39 Peetero n'agolokoka n'agenda nabo. Bwe yatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu: ne bannamwandu bonna ne bayimirira kumpi naye, nga bakaaba nga boolesa ebizibawo n'ebyambalo Doluka bye yakolanga ng'akyali nabo.
40 Naye Peetero n'abafulumya bonna n'afukamira n’asaba; n'akyukira omulambo n'agamba nti Tabbiisa, yimirira. N'azibula amaaso ge; awo bwe yalaba Peetero, n'agolokoka n'atuula.
41 N'amuwa omukono n'amuyimusa; awo bwe yamala okuyita abatukuvu ne bannamwandu, n'amuleeta, nga mulamu.
42 Ne kitegeerwa mu Yopa kyonna; bangi ne bakkiriza Mukama waffe.
43 Awo olwatuuka n'alwayo ennaku nnyingi mu Yopa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba.
Essuula 10

1 Waaliwo omuntu mu Kayisaliya, erinnya lye Koluneeriyo, omwami w'ekitongole ekyayitibwanga Ekitaliano,
2 omwegendereza, atya Katonda awamu n'ennyumba ye yonna, eyagabanga ebintu ebingi mu bantu, n'asabanga Katonda ennaku zonna.
3 Oyo n'alaba mu kwolesebwa mu lwatu, nga mu ssaawa ey'omwenda ey'emisana, malayika wa Katonda ng'amuyingirira, ng'amugamba nti Koluneeriyo.
4 N'amwekaliriza amaaso n'atya n'agamba nti Kiki, Mukama wange? N'amugamba nti Okusaba kwo n'okugaba kwo birinnye olw'okujjukiza mu maaso ga Katonda.
5 Era kaakano tuma abantu e Yopa, oyiteyo omuntu Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero:
6 oyo yakyazibwa omuntu Simooni, omuwazi w'amaliba, n'ennyumba ye eriraanye ku nnyanja.
7 Malayika eyayogera naye bwe yagenda, yayita abaddu be babiri ab'omu nnyumba ne sserikale atya Katonda mu abo abaamuweerezanga buliijo:
8 bwe yamala okubategeeza ebigambo byonna n'abatuma e Yopa.
9 Awo ku lunaku olw'okubiri, bwe baali nga batambula abo, nga banaatera okutuuka ku kibuga, Peetero n'alinnya ku nju waggulu okusaba nga mu ssaawa ey'omukaaga.
10 N'alumwa enjala n'ayagala okulya. Naye bwe baali nga bajjula, omwoyo gwe ne guwaanyisibwa;
11 n'alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ne kimukkira nga kifaanana essuuka ennene, ng'ekwatiddwa ku birenge bina okussibwa, n'essibwa wansi:
12 omwali ebisolo byonna ebirina amagulu ana, n’eby'ewalula eby’ensi, n’ennyonyi ez’omu bbanga.
13 Eddoboozi ne lijja eri ye nti Golokoka, Peetero, osale olye.
14 Naye Peetero n'agamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga siryanga kya muzizo newakubadde ekibi.
15 Eddoboozi nate (ne lijja) gy'ali omulundi ogw'okubiri nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo.
16 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu: amangu ago ekintu ne kitwalibwa mu ggulu.
17 Awo Peetero bwe yabuusabuusa munda mu ye amakulu g'okwolesebwa kw'alabye bwe gali, laba, abantu abaatumibwa Koluneeriyo, bwe baamala okubuuza ennyumba ya Simooni, ne bayimirira ku luggi,
18 ne bayita ne babuuza nga Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero, yakyazibwa omwo.
19 Awo Peetero bwe yali alowooza ku kwolesebwa, Omwoyo n'amugamba nti Laba, abantu basatu bakunoonya.
20 Naye golokoka, okke ogende nabo nga tobuusabuusa: kubanga nze mbatumye.
21 Peetero n'akka eri abantu n'agamba nti Laba, nze nzuuno gwe munoonya: kiki ekibaleese?
22 Ne bagamba nti Koluneeriyo omwami, omuntu omutuukirivu, atya Katonda, eyasiimibwa mu ggwanga lyonna ery'Abayudaaya, yalabulwa malayika omutukuvu okukutumira okujja mu nnyumba ye, awulire ebigambo ebiva mu ggwe.
23 Awo n'abayingiza n'abaaniriza. Awo ku lunaku olw'okubiri Peetero n’agolokoka n'asitula wamu nabo, n'ab'oluganda abamu ab'omu Yopa ne bagenda naye.
24 Awo ku lunaku olw'okubiri ne bayingira mu Kayisaliya. Koluneeriyo yali ng'abalindirira ng'akuŋŋaanyizza ab'ekika kye n'abaali mikwano gye ennyo.
25 Awo Peetero bwe yali anaatera okuyingira Koluneeriyo n'amusisinkana, n'amufukaamirira ku bigere n’asinza.
26 Naye Peetero n'amuyimusa ng'agamba nti Yimirira; nange ndi muntu buntu.
27 Ng'ayogera naye n'ayingira n'asanga bangi nga bakuŋŋaanye,
28 n'abagamba nti Mumanyi nga si kirungi omuntu Omuyudaaya okwegatta n'ow'eggwanga eddala oba okujja gy'ali; era Katonda yandaga nnemenga okuyita amuntu yenna ow'omuzizo oba omubi.
29 Kyenvudde njija ne ssigaana bwe nnayitibwa. Kyeava mbuuza nti Kiki ekimpisizza?
30 Awo Koluneeriyo n’agamba nti Kaakano waakayitawo ennaku nnya nnali nga nsaba, okutuusa mu ssaawa eno okusaba okw'omu ssaawa ey'omwenda mu nnyumba yange; laba, omuntu n’ayimirira mu maaso gange eyalina engoye ezimamasa,
31 n'agamba nti Koluneeriyo, okusaba kwo kwawulirwa, okugaba kwo ne kujjukirwa mu maaso ga Katonda.
32 Kale tuma e Yopa, oyite Simooni, erinnya lye ery'okubiri Peetero: oyo yakyazibwa mu nnyumba ya Simooni omuwazi w'amaliba eri okumpi n’annyanja.
33 Awo amangu ago ne nkutumira: n'okola bulungi bw'ozze. Kale kaakano tuli wano fenna mu maaso ga Katonda tuwulire byonna by'olagiddwa Mukama.
34 Awo Peetero n'ayasamya akamwa ke n'agamba nti Mazima ntegedde nga Katonda tasosola mu bantu:
35 naye mu ggwanga lyonna lyonna amutya n'akola obutuukirivu amukkiriza.
36 Ekigambo kye yatumira abaana ba Isiraeri, ng'abuulirira emirembe mu Yesu Kristo (ye Mukama w'ebintu byonna)-
37 mmwe mukimanyi, ekyayogerwa ekyali mu Buyudaaya bwonna, ekyasookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw'okubatiza kwe yabuulira Yokaana,
38 Yesu Omunazaaleesi Katonda bwe yamufukaako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu n'amaanyi: eyatambulanga ng'akola bulungi, ng'awonya bonna abaajoogebwanga Setaani; kubanga Katonda yali naye.
39 Naffe tuli bajulirwa b'ebigambo byonna bye yakola mu nsi y'Abayudaaya ne mu Yerusaalemi; oyo ne bamutta bwe baamuwanika ku muti.
40 Oyo Katonda n'amuzuukiriza ku lunaku olw'okusatu n'amulaga mu lwatu,
41 si mu bantu bonna naye mu bajulirwa Katonda be yalonda olubereberye, be ffe abaalya ne tunywa naye bwe yamala okuzuukira mu bafu.
42 N'atulagira okubuulira abantu n'okutegeeza ng'oyo Katonda gwe yalagira okubeera omusazi w'omusango gw'abalamu n'abafu.
43 Oyo bannabbi bonna bamulangako nga buli amukkiriza aggibwako ebibi olw'erinnya lye.
44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako bonna abaawulira ekigambo.
45 Ne basamaalirira abakkiriza abakomole, bonna abajja ne Peetero, kubanga ne ku mawanga ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu kifukiddwa.
46 Kubanga baabawulira nga boogera ennimi ne bagulumiza Katonda. Awo Peetero n'addamu nti
47 Omuntu ayinza okugaana amazzi bano obutabatizibwa, bano abaweereddwa Omwoyo Omutukuvu nga ffe?
48 N'alagira babatizibwe okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo. Oluvannyuma ne bamwegayirira okumalayo ennaku nnyingiko.
Essuula 11

1 Abatume n'ab'oluganda abaali mu Buyudaaya ne bawulira ng'amawanga nabo bakkirizza ekigambo kya Katonda.
2 Awo Peetero bwe yayambuka e Yerusaalemi, bali abakomole ne bawakana naye
3 nga bagamba nti Wagenda mu bantu abatali bakomole n'olya nabo.
4 Naye Peetero n'atanula n'abannyonnyola kinnakimu ng'agamba nti
5 Nze nnali mu kibuga Yopa nga nsaba; omwoyo gwange ne guwaanyisibwa, ne ndaba mu kwolesebwa ekintu nga kikka ng'essuuka ennene, nga kikwatiddwa ku birenge ebina okussibwa nga kiva mu ggulu, ne kinjijira:
6 bwe nneekaliriza amaaso ne ndowooza ne ndaba ebisolo by'oku nsi ebirina amagulu ana n'ebisolo eby'omu nsiko, n'eby'ekulula n'ennyonyi ez'omu bbanga.
7 Era ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti Peetero, yimirira osale olye.
8 Naye neŋŋamba nti Nedda, Mukama wange; kubanga ekintu eky'omuzizo newakubadde ekibi tekiyingiranga mu kamwa kange n'akatono.
9 Naye eddoboozi ne linziramu omulundi ogw'okubiri nga liva mu ggulu nti Katonda bye yalongoosa tobifuulanga ggwe bya muzizo.
10 Ne kiba bwe kityo emirundi esatu; byonna ne birinnyisibwa nate mu ggulu.
11 Kale, laba, amangu ago abantu basatu baali nga bayimiridde mu maaso g'ennyumba mwe twali, abaatumibwa gye ndi okuva e Kayisaliya.
12 Omwoyo n'aŋŋamba okugenda nabo, obutayawula. Bano ab'oluganda omukaaga ne bagenda nange, ne tuyingira mu nnyumba y'oli;
13 n'atubuulira bwe yalaba malayika mu nnyumba ye ng'ayimiridde ng'agamba nti Tuma e Yopa oyite Simooni erinnya lye ery'okubiri Peetero;
14 alikubuulira ebigambo ebirikulokola ggwe n'ennyumba yo yonna.
15 Bwe nnali kye njije ntanule okwogera, Omwoyo Omutukuvu n'abagwako era nga bwe yasookera ku ffe.
16 Ne njijukira ekigambo kya Mukama waffe bwe yayogera nti Yokaana yabatiza na mazzi, naye mmwe mulibatizibwa na Mwoyo Mutukuvu.
17 Kale Katonda oba nga abawadde ekirabo ekyo nga ffe okwenkanankana, bwe twakkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, nze nnali ani eyandiyinzizza okuziyiza Katonda?
18 Bwe baawulira ebyo ne basirika, ne bagulumiza Katonda nga bagamba nti Kale Katonda; awadde n'ab'amawanga okwenenya okutuuka ku bulamu.
19 N'abo abaasaasaana mu kuyigganyizibwa okwaliwo ku Suteefano ne batambula okutuuka e Foyiniiki ne Kupulo ne Antiyokiya, ne batabuulira kigambo muntu mulala wabula Abayudaaya bokka.
20 Naye waaliwo abantu mu bo ab'e Kupulo n'ab'e Kuleene, abo bwe baatuuka mu Antiyokiya bo ne boogera n'Abayonaani, nga babuulira Mukama waffe Yesu.
21 N'omukono gwa Mukama waffe gwali nabo: ekibiina kinene eky'abakkiriza ne bakyukira Mukama waffe.
22 Ekigambo ekyo ne kiwulirwa okutuuka mu matu g'ekkanisa eyali mu Yerusaalemi; ne batuma Balunabba okutuuka mu Antiyokiya:
23 naye bwe yamala okutuuka n'alaba ekisa kya Katonda n'asanyuka, n'ababuulirira bonna nti Mumalirire mu mutima okwekwata ku Mukama waffe:
24 kubanga yali muntu mulungi, n'ajjula Omwoyo Omutukuvu n'okukkiriza. Ekibiina kinene ne kireetebwa eri Mukama waffe.
25 N'avaayo okugenda e Taluso okunoonya Sawulo:
26 bwe yamala okumulaba n'amuleeta mu Antiyokiya. Awo olwatuuka ne bamala mwaka mulamba nga bakuŋŋaana n'ekkanisa ne bayigiriza ekibiina kinene: abayigirizwa ne basooka okuyitibwa Abakristaayo mu Antiyokiya.
27 Mu nnaku ezo bannabbi ne bava e Yerusaalemi okutuuka Antiyoklya.
28 N'ayimirira omu ku bo, erinnya lye Agabo, n'abuulira ku bw'Omwoyo nti Waliba enjala nnyingi mu nsi zonna: nayo yabaawo ku mirembe gya Kulawudiyo.
29 Abayigirizwa, buli muntu nga bwe yalina ebintu, ne bateesa okuweereza ab'oluganda abaali batuula e Buyudaaya:
30 n'okukola ne bakola bwe batyo ne baweereza abakadde mu mukono gwa Balunabba ne Sawulo.
Essuula 12

1 Mu biro ebyo kabaka Kerode n'agolola emikono okukola obubi abamu ab'omu kkanisa.
2 N'atta n'ekitala Yakobo muganda wa Yokaana.
3 Awo bwe yalaba nga Abayudaaya bakisiimye, ne yeeyongera okukwata ne Peetero. Ze nnaku ez'emigaati egitazimbulukuswa.
4 Bwe yamala okumukwata, n'amussa mu kkomera, n'amuwaayo eri basserikale kkumi na mukaaga okumukuuma kinnabana, ng'ayagala okumutwala mu maaso g'abantu Okuyitako nga kuwedde.
5 Awo Peetero n'akuumirwa mu kkomera: naye ab'ekkanisa ne banyiikiranga okumusabira eri Katonda.
6 Ku lunaku Kerode lwe yali ayagala okumutwalayo, mu kiro ekyo Peetero yali nga yeebase wakati w'abaserikale babiri, ng'asibiddwa n'enjegere bbiri, abakuumi baali ku luggi nga bakuuma ekkomera.
7 Laba, malayika wa Mukama n'ayimirira w'ali, okutangaala ne kujjula ekisenge, n'akuba Peetero mu mbiriizi n'amuzuukusa ng'agamba nti Yimuka mangu. Enjegere ne ziva ku mikono ne zigwa.
8 Malayika n'amugamba nti Weesibe, oyambale engatto zo. N'akola bw'atyo. N'amugamba nti Yambala ekyambalo kyo, ongoberere.
9 N'afuluma, n'amugoberera; so teyamanya nga bya mazima malayika by'akoze, naye yalowooza nti alabye kwolesebwa.
10 Bwe baayita ku bakuumi abaasookerwako n'ab'okubiri ne batuuka ku luggi olw'ekyuma oluyitibwako okutuuka mu kibuga: ne lubaggukirawo lwokka: ne bafuluma ne bayita mu kkubo limu; amangu ago malayika n'amuleka.
11 Peetero bwe yeddamu n'agamba nti Kaakano ntegedde mazima nga Mukama waffe atumye malayika n'anziya mu mukono gwa Kerode ne mu kusuubira kwonna okw'eggwanga ly'Abayudaaya.
12 Bwe yalowooza n'ajja mu nnyumba ya Malyamu eyali nnyina Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko, mwe baali bakuŋŋaanidde abangi nga basaba.
13 Peetero bwe yakonkona ku luggi olw'omu mulyango omuzaana n'ajja okuyitaba, erinnya lye Looda.
14 Bwe yategeera eddoboozi lya Peetero n'ataggulawo luggi olw'essanyu, naye n'ayingira mbiro n'agamba nti Peetero ayimiridde ebweru ku luggi.
15 Ne bamugamha nti Olaluse. Naye n'akaliriza nti Weewaawo. Ne bagamba nti Ye malayika we.
16 Naye Peetero ne yeeyongera okukonkona: awo bwe baggulawo ne bamulaba ne basamaalirira.
17 Naye bwe yabawenya n'omukono okusirika, n'ababuulira Mukama waffe bw'amuggye mu kkomera. N'agamba nti Mubuulire ebyo Yakobo n'ab'oluganda. N'avaayo n'agenda mu kifo awalala.
18 Awo bwe bwakya enkya, basserikale ne beegugumula nnyo nti Peetero nno abadde ki?
19 Kerode bwe yamunoonya n'atamulaba n'abuuliriza abakuumi n'alagira okubatta. N'ava mu Buyudaaya okugenda e Kayisaliya n'atuula eyo.
20 N'asunguwalira nnyo ab'e Ttuulo n'ab'e Sidoni: ne bajja gy'ali n'omwoyo gumu; bwe baakwanagana ne Bulasito omukulu w'omu nnyumba ya kabaka, ne basaba okubawa emirembe, kubanga ensi yaabwe eriisibwa bya mu nsi ya kabaka.
21 Awo ku lunaku olwalagaanyizibwa Kerode n'ayambala ebyambalo eby'obwakabaka, n'atuula ku ntebe, n'abagamba ebigambo.
22 Abantu bonna ne boogerera waggulu nti Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.
23 Amangu ago malayika wa Mukama n'amukuba, kubanga tawadde Katonda kitiibwa: n'aliibwa envunyu, n'afa.
24 Naye ekigambo kya Katonda ne kikula ne kyeyongeranga.
25 Balunabba ne Sawulo ne bakomawo okuva e Yerusaalemi, bwe baamala okutuukiriza okuweereza kwabwe, ne baleeta Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko.
Essuula 13

1 Mu Antiyokiya mu kkanisa eyaliyo waaliwo bannabbi n'abayigiriza, Balunabba ne Simyoni eyali ayitibwa Niga, ne Lukiyo ow'e Kuleene ne Manaeni eyayonsebwa awamu ne Kerode owessaza, ne Sawulo.
2 Nga baweereza Mukama waffe n'okusiiba, Omwoyo Omutukuvu n'agamba nti Munnondere Balunabba ne Sawulo bakole omulimu gwe mbayitidde.
3 Awo ne basiiba ne basaba ne babassaako emikono ne babatuma.
4 Awo abo bwe baatumibwa Omwoyo Omutukuvu ne baserengeta e Serukiya; ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Kupulo.
5 Bwe baali mu Salamini ne babuulira ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya: ne babeera ne Yokaana okubaweereza.
6 Bwe baayita ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo, ne balaba omuntu omulogo, nnabbi ow'obulimba, Omuyudaaya, erinnya lye Balisa;
7 eyali awamu n'owessaza Omuruumi Serugiyo Pawulo, omuntu ow'amagezi. Oyo n'ayita Balunabba ne Sawulo, n'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda.
8 Naye Eruma omulogo (kubanga erinnya lye bwe livvuunulwa) n'awakana nabo, ng'ayagala okukyamya owessaza mu kukkiriza.
9 Naye Sawulo, era ye Pawulo, bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, bwe yamwekaliriza amaaso,
10 n'agamba nti Ggwe ajjudde obukuusa bwonna n'okukola obubi kwonna, omwana wa Setaani, omulabe w'obutuukirivu bwonna, tolireka kukyamya makubo ga Mukama waffe amagolokofu?
11 Kaakano, laba, omukono gwa Mukama waffe guli ku ggwe, onooba muzibe wa maaso nga tolaba njuba ebiro bingiko. Amangu ago ekifu ne kimugwako, n'enzikiza; n'awammanta n'anoonya abantu ab'okumukwata ku mukono.
12 Awo owessaza bwe yalaba bwe kibadde n'akkiriza nga yeewuunya nnyo okuyigiriza kwa Mukama waffe.
13 Awo Pawulo ne banne ne bawanika amatanga okuva mu Pafo, ne batuuka e Peruga eky'e Panfuliya: Yokaana n'abalekayo n'addayo e Yerusaalemi.
14 Naye bo bwe baayita okuva mu Peruga, ne batuuka mu Antiyokiya eky'e Pisidiya, ne bayingira mu kkuggaaniro ku lunaku lwa ssabbiiti ne batuula.
15 Bwe baamala okusoma amateeka n'ebya bannabbi, abakulu b'ekkuŋŋaaniro ne babatumira nga bagamba nti Abasajja ab'oluganda, oba mulina ekigambo eky'okubuulirira abantu, mwogere.
16 Pawulo n'ayimirira n'abawenya n'omukono n'agamba nti Abasajja Abaisiraeri, nammwe abatya Katonda, muwulire.
17 Katonda w'abantu bano Abaisiraeri yalonda bajjajjaffe, n'agulumiza abantu bwe baali abagenyi mu nsi y'e Misiri, n'abaggyayo n'omukono ogwagulumizibwa.
18 N'abagumiikiriza mu ddungu emyaka ng'amakumi ana.
19 Bwe yazikiriza amawanga omusanvu mu nsi ya Kanani, n'abawa ensi yaabwe okuba obutaka okutuusa emyaka ebikumi bina mu ataano.
20 Oluvannyuma lw'egyo n'abawa abalamuzi okutuuka ku nnabbi Samwiri.
21 Oluvannyuma ne baagala kabaka; Katonda n'abawa Sawulo omwana wa Kiisi wa mu kika kya Benyamini, n'amala emyaka amakumi ana.
22 Bwe yamuggyaawo oyo, n'abayimiririza Dawudi okuba kabaka waabwe, gwe yayogerako ng'amutegeeza nti Ndabye Dawudi, omwana wa Yese, omuntu ali ng'omutima gwange bwe gwagala, anaakolanga bye njagala byonna.
23 Oyo mu zzadde lye nga Katonda bwe yasuubiza, aleetedde Isiraeri Omulokozi Yesu,
24 Yokaana bwe yasooka okubuulira nga tannaba kujja okubatizibwa okw'okwenenya eri abantu bonna Abaisiraeri.
25 Naye Yokaana bwe yali anaatera okukomya olugendo lwe, n'agamba nti Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Naye laba, waliwo ajja ennyuma wange, gwe ssisaanira kusumulula ngatto ya mu kigere kye.
26 Ab'oluganda, abaana b'ekika kya Ibulayimu, nammwe mwenna abatya Katonda, ekigambo eky'obulokozi buno kyaweerezebwa waffe.
27 Kubanga abatuula mu Yerusaalemi n'abakulu baabwe bwe bataamumanya oyo newakubadde amaloboozi ga bannabbi agasomebwa buli ssabbiiti, kyebaava babituukiriza bwe baamusalira omusango.
28 Bwe bataalaba nsonga ya kumutta, ne basaba Piraato okumutta.
29 Awo bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako ne bamuwanula ku muti ne bamuteeka mu ntaana.
30 Naye Katonda n'amuzuukiza mu bafu:
31 n'abalabikira ennaku nnyingi abaayambuka naye okuva e Ggaliraaya okutuuka e Yerusaalemi, be bajulirwa be kaakano eri abantu.
32 Ffe tubabuulira ebigambo ebirungi, eby'okusuubiza okwasuubizibwa bajjajja nti
33 Katonda akutuukirizza eri abaana baffe bwe yazuukiza Yesu; era nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli ey'okubiri nti Ggwe mwana wange, nkuzadde leero.
34 Era kubanga yamuzuukiza mu bafu nga tagenda nate kuddayo mu kuvunda, yagamba bw'ati nti Ndibawa emikisa emitukuvu era egyenkalakkalira egya Dawudi.
35 Kubanga yayogera ne mu Zabbuli endala nti Toliwaayo Mutukuvu wo okuvunda.
36 Kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza mu biro bye nga Katonda bwe yateesa, ne yeebaka n'ateekebwa eri bajjajjaabe, n'avunda:
37 naye oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.
38 Kale, abasajja ab'oluganda, mutegeere nti ku bw'oyo okuggibwako ebibi kubuuliddwa;
39 byonna bye mutandiyinzizza kuggibwako mu mateeka ga Musa, ku bw'oyo buli akkiriza abiggibwako.
40 Kale mwekuume kireme okujja ku mmwe ekyayogerwa bannabbi nti
41 Laba, mmwe abanyooma, mwewuunye, mubule; Kubanga nze nkola omulimu mu nnaku zammwe Omulimu gwe mutalikkiriza newakubadde omuntu ng'agubabuulidde nnyo.
42 Bwe baafuluma ne babeegayirira okubabuulira ebigambo bino ku ssabbiiti ey'okubiri.
43 Ekibiina bwe kyasaasaana bangi ku Bayudaaya n'abakyufu abeegendereza ne bagoberera Pawulo ne Balunabba: nabo ne boogera nabo ne babasendanga okunyiikirira mu kisa kya Katonda.
44 Awo ku ssabbiiti ey'okubiri ne bakuŋŋaana nga kibuga kyonna okuwulira ekigambo kya Katonda.
45 Naye Abayudaaya bwe baalaba ekibiina, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, nga babivuma.
46 Pawulo ne Balunabba ne boogera n'obuvumu nti Kyagwana okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda mu mmwe. Kubanga mukisindiikiriza so temwiraba kusaanira bulamu obutaggwaawo, laba, tukyukira eri ab'amawanga.
47 Kubanga Mukama yatulagira bw’ati nti Nkuteeseewo okubanga omusana gw'amawanga, Obeerenga obulokozi okutuusa ku nkomerero y'ensi.
48 Ab'amawanga bwe baawulira ne basanyuka ne bagulumiza ekigambo kya Katonda: bonna ne bakkiriza abaali baterekeddwa obulamu obutaggwaawo.
49 Ekigambo kya Mukama waffe ne kibuna mu nsi eri yonna.
50 Naye Abayudaaya ne babaweerera abakyala abeegendereza ab'ekitiibwa, n'abakulu ab'omu kibuga, ne bayigganyisa Pawulo ne Balunabba, ne babagoba mu mbibi zaabwe.
51 Naye ne babakunkumulira enfuufu ey'omu bigere ne bajja okutuuka Ikoniyo.
52 Abayigirizwa ne bajjula essanyu n'Omwoyo Omutukuvu.
Essuula 14

1 Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamu mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani.
2 Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.
3 Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.
4 Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume.
5 Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,
6 bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo:
7 ne babeera eyo nga babuulira enjiri.
8 Mu Lusitula yaliyo omuntu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono.
9 Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka,
10 n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.
11 Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu.
12 Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubanga ye yasinga okwogera.
13 Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina.
14 Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu
15 nga bagamba nti Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu:
16 mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago:
17 naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’ebiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.
18 Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka.
19 Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
20 Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lunaku olw'okubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube.
21 Bwe baamala okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,
22 nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
23 Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.
24 Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya.
25 Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya;
26 ne bavaayo ne bawanika amatanga okutuuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.
27 Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.
28 Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa.
Essuula 15

1 Awo abantu ne bava e Buyudaaya ne bayigiriza ab'oluganda nti Bwe mutaakomolebwenga ng'empisa ya Musa bw'eri, temuyinza kulokoka.
2 Bwe waali empaka ennyingi n'okwawukana kw'endowooza wakati wa Pawulo ne Balunabba, ku luuyi olumu, n'abo abaava e Buyudaaya, ne balagira Pawulo ne Balunabba n'abalala ku bo okugenda e Yerusaalemi eri abatume n'abakadde olw'empaka ezo.
3 Awo abo bwe baamala okusibirirwa ab'ekkanisa ne bayita mu Foyiniiki ne Samaliya, nga bannyonnyolera ddala okukyuka kw'ab'amawanga: ne basanyusiza ddala ab'oluganda bonna.
4 Bwe baatuuka e Yerusaalemi, ab'ekkanisa n'abatume n'abakadde ne babasembeza, ne babuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo.
5 Naye ne bagolokoka abamu ab'omu kitundu ky'Abafalisaayo abakkiriza, nga bagamba nti Kigwana okubakomolanga n'okubalagira okukwatanga amateeka ga Musa.
6 Abatume n'abakadde ne bakuŋŋaana okwetegereza ekigambo ekyo.
7 Bwe waali okwawukana kw'endowooza kungi, Peetero n'ayimirira n'abagamba nti Abasajja ab'oluganda, mmwe mumanyi nti okuva mu nnaku ez'edda Katonda yalonda mu mmwe ab'amawanga bawulire mu kamwa kange ekigambo eky'enjiri ne bakkiriza.
8 Ne Katonda amanyi emitima n'abategeeza bwe yabawa Omwoyo Omutukuvu era nga ffe;
9 n'atayawula ffe nabo, bwe yalongoosa emitima gyabwe olw'okukkiriza.
10 Kale kaakano mukemera ki Katonda, okuteeka ekikoligo mu bulago bw'abayigirizwa bajjajjaffe kye bataayinza kutwala newakubadde ffe?
11 Naye tukkiriza okulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era nabo bwe batyo.
12 Ekibiina kyonna ne kisirika; ne bawulira Balunabba ne Pawulo nga bannyonnyola obubonero n'eby'amagero byonna Katonda bye yabakozanga mu mawanga.
13 Abo bwe baamala okusirika Yakobo n'addamu ng'agamba nti Abasajja ab'oluganda, mumpulire.
14 Simyoni annyonnyodde Katonda bwe yasooka okutunuulira amawanga okuggiramu erinnya lye abantu.
15 Ebigambo bya bannabbi bitabagana n'ebyo nga bwe kyawandiikibwa nti
16 Oluvannyuma lw'ebyo ndikyuka, Ndizimba nate eweema ya Dawudi eyagwa; Okumenyeka kwayo ndikuzimba nate, Era ndigigolokosa:
17 Abantu abasigalawo banoonye Mukama, N'amawanga gonna abayitibwa erinnya lyange ku bo,
18 Bw'ayogera Mukama, ategeeza ebyo byonna okuva ku lubereberye lw'ensi.
19 Kyenva nsalawo tuleme okuteganya abava mu mawanga okukyukira Katonda;
20 naye tubawandiikire beewalenga obugwagwa bw'ebifaananyi, n'obwenzi, n'ebitugiddwa, n'omusaayi.
21 Kubanga okuva edda Musa alina mu buli kibuga abamubuulira, ng'asomebwa mu makuŋŋaaniro buli ssabbiiti.
22 Awo ne bakisiima abatume n'abakadde wamu n'ekkanisa yonna okulonda abantu mu bo n'okubatuma e Antiyokiya ne Pawulo ne Balunabba; Yuda ayitibwa Balusaba ne Siira, abantu abakulu mu b'oluganda:
23 ne bawandiika ne bagikwasa mu mikono gyabwe nti Abatume n'ab'oluganda abakadde tulamusizza ab'oluganda abali mu Antiyokiya ne Busuuli ne Kirukiya abali mu mawanga:
24 kubanga tuwulidde nti abantu abaava ewaffe baabasasamaza n'ebigambo nga bakyusa emmeeme zammwe, be tutalagiranga;
25 tusiimye, bwe tutabaganye n'omwoyo gumu, okulonda abantu okubatuma gye muli wamu n'abaagalwa baffe Balunabba ne Pawulo,
26 abantu abaasingawo obulamu bwabwe olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.
27 Kyetuvudde tutuma Yuda ne Siira era abalibabuulira obumu bennyini n'akamwa.
28 Kubanga Omwoyo Omutukuvu yasiima naffe tuleme okubatikka omugugu omunene gwonna wabula bino ebigwana,
29 okwewalanga ebiweebwa eri ebifaananyi, n'omusaayi, n'ebitugiddwa, n'obwenzi: bwe muneekuumanga ebyo, munaabanga bulungi. Mweraba.
30 Awo bo bwe baasindikibwa ne bajja e Antiyokiya, ne bakuŋŋaanya ekibiina ne babakwasa ebbaluwa.
31 Bwe baasoma ne basanyuka olw'okubuulirirwa okwo.
32 Yuda ne Siira, kubanga nabo baali bannabbi, ne babuulirira ab'oluganda mu bigambo bingi, ne babagumya.
33 Bwe baamalayo ebiro, ne basiibulwa ab'oluganda n'emirembe okuddayo eri abaabatuma.
34 Naye Siira yasiima okusigalayo.
35 Naye Pawulo ne Balunabba ne balwayo mu Antiyokiya nga bayigirizanga era nga babuuliranga ekigambo kya Mukama waffe wamu n'abalala bangi era.
36 Ennaku bwe zaayitawo Pawulo n'agamba Balunabba nti Kale tuddeyo tulambule ab'oluganda mu buli kibuga gye twabuulira ekigambo kya Mukama waffe, tulabe nga bwe bali.
37 Balunabba era n’ayagala okutwala Yokaana erinnya lye ery'okubiri Makko:
38 naye Pawulo teyasiima kumutwala oyo eyabaleka mu Panfuliya n'atagenda nabo ku mulimu.
39 Ne wabaawo empaka nnyingi n'okwawukana ne baawukana, Balunabba n'atwala Makko n'awanika amatanga okugenda e Kupulo;
40 naye Pawulo n'alonda Siira, n'avaayo, ab'oluganda bwe baamusigira ekisa kya Mukama waffe.
41 N'ayita mu Busuuli ne Kirukiya ng'agumya ekkanisa.
Essuula 16

1 Era n'atuuka e Derube ne Lusitula: laba, yaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo, omwana w'omukazi Omuyudaaya eyakkiriza: naye kitaawe Muyonaani;
2 eyasiimibwa ab'oluganda abaali mu Lusitula ne Ikonio.
3 Oyo Pawulo n'ayagala okugenda naye; n'amutwala n'amukomola olw'Abayudaaya abaali mu bifo ebyo: kubanga bonna baamumanya nga kitaawe yali Muyonaani.
4 Bwe baali nga bayita mu bibuga ne babawa okukwatanga ebyalagirwa abatume n'abakadde abaali mu Yerusaalemi.
5 Awo ekkanisa ne zinywerera mu kukkiriza, ne zeeyongeranga ku muwendo buli lunaku.
6 Ne bayita mu nsi y'e Fulugiya ne Ggalatiya, kubanga baagaanibwa Omwoyo Omutukuvu okwogera ekigambo mu Asiya;
7 bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu Bisuniya, n'Omwoyo gwa Yesu n'atabaganya;
8 ne beekooloobya Musiya, ne batuuka e Tulowa.
9 Pawulo n'alaba okwolesebwa ekiro, omuntu Omumakedoni ng'ayimiridde era ng'amwegayirira ng'agamba nti Wunguka okutuuka e Makedoni otuyambe.
10 Bwe yamala okulaba okwolesebwa, amangu ago ne tusala amagezi okusitula okugenda e Makedoni, nga tutegeera nti Katonda atuyise okubabuulira enjiri.
11 Kyetwava tusaabala okuva e Tulowa ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Samoserakiya, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Neyapoli;
12 ne tuvaayo okutuuka e Firipi, kye kibuga eky'e Makedoni ekisookerwako mu njuyi ezo, ekyazimbibwa Abaruumi: ne tubeera mu kibuga omwo ne tulwamu ennaku.
13 Awo ku lunaku lwa ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda ku mugga bwe twalowooza nga yaliyo ekifo eky'okusabirangamu: ne tutuula ne twogera n'abakazi abaakuŋŋaana.
14 Awo omukazi erinnya lye Ludiya, omutunzi w'engoye ez'effulungu, wa mu kibuga Suwatira, eyasinzanga Katonda, n’atuwulira: Mukama waffe n'amubikkula omutima gwe okuwuliriza Pawulo bye yayogera.
15 Bwe yabatizibwa ye n'ennyumba ye, n'atwegayirira ng'agamba nti Oba nga munsiimye okuba omwesigwa eri Mukama waffe, muyingire mu nnyumba yange mubeere omwo. N'atuwaliriza.
16 Awo olwatuuka bwe twali tugenda wali awaasabirwanga, omuwala eyaliko dayimooni alagula n'atusanga, eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula.
17 Oyo bwe yagoberera Pawulo naffe n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Abantu bano baddu ba Katonda Ali waggulu ennyo, abababuulira ekkubo ery'obulokozi.
18 N'akolanga bw'atyo ennaku nnyingi. Naye Pawulo, bwe yanakuwala ennyo, n'akyuka n'agamba dayimooni nti Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo omuveeko. N'amuvaako mu kiseera ekyo.
19 Naye bakama be bwe baalaba ng'essuubi ly'ebintu byabwe liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babawalula okubatwala mu katale eri abakulu,
20 ne babatwala eri abalamuzi ne bagamba nti Abantu bano basasamaza nnyo ekibuga kyaffe, kubanga Bayudaaya
21 era bayigiriza empisa ez'omuzizo ffe okuzikwatanga newakubadde okuzikolanga kubanga tuli Baruumi.
22 Ekibiina ne kibagolokokerako wamu: abalamuzi ne babayuliza engoye zaabwe, ne balagira okubakuba emiggo.
23 Bwe baabakuba emiggo emingi ne babasindikira mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo:
24 oyo bwe yalagirwa bw'atyo n'abasindiikiriza mu kkomera ery'omunda, n'akomerera ebigere byabwe mu nvuba.
25 Naye ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira ne basaba ne bayimbira Katonda, abasibe ne babawulira;
26 amangu ago ne wabaawo ekikankano kinene n'emisingi gy'ekkomera ne gikankana: amangu ago enzigi zonna ne zigguka; n'ebyali bibasibye bonna ne bisumulukuka.
27 Omukuumi w'ekkomera n'azuukuka, bwe yalaba enzigi z'ekkomera nga zigguse n'asowola ekitala kye n'agenda okwetta, kubanga ng'alowooza nti abasibe babombye.
28 Naye Pawulo n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba nti Teweekola kabi: kubanga fenna tuli wano.
29 N'asaba ettabaaza n'addukana n'ayingira, n'avuunamira Pawulo ne Siira, ng'akankana,
30 N'abafulumya ebweru n'agamba nti Bassebo, kiŋŋwanidde kukola ntya okulokolebwa?
31 Ne bagamba nti Kkiriza Mukama waffe Yesu, onoolokoka ggwe n'ennyumba yo.
32 Ne bamubuulira ekigambo kya Mukama waffe ne bonna abaali mu nnyumba ye.
33 N'abatwala mu kiseera ekyo ekiro n'abanaaza emiggo; n'abatizibwa ye n'ennyumba ye yonna amangu ago.
34 N'abalinnyisa mu nnyumba ye, n'abaleetera emmeeza, n'asanyuka nnyo n'ennyumba ye yonna ng'akkirizza Katonda.
35 Naye bwe bwakya enkya, abalamuzi ne batuma basserikale baabwe nga bagamba nti Musumulule abantu abo.
36 Omukuumi w'ekkomera n'abuulira Pawulo ebigambo ebyo nti Abalamuzi batumye okubasumulula: kale kaakano mufulume, mugende n'emirembe.
37 Naye Pawulo n'abagamba nti Batukubidde mu maaso ga bantu nga tetunnasalirwa musango, nga tuli Bantu Baruumi ne batusindiikiriza mu kkomera; ne kaakano batuggyamu kyama? Nedda; naye bajje bennyini batufulumye.
38 Basserikale ne babuulira abalamuzi ebigambo bino: ne batya bwe baawulira nga Baruumi:
39 ne bajja ne babeegayirira, ne babafulumya, ne baagala bave mu kibuga.
40 Ne bafuluma mu kkomera, ne bayingira mu nnyumba ya Ludiya, ne balaba ab'oluganda ne babasanyusa ne bavaayo.
Essuula 17

1 Ne Bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya:
2 awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, mu ssabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa,
3 ng'abikkula ng'ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo.
4 Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ne Pawulo ne Siira; n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene n'abakyala abakulu si batono.
5 Naye Abayudaaya bwe baakwatibwa obuggya ne batwala abantu ababi ab'omu bakopi ne bakuŋŋaanyisa abantu ne basasamaza ekibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni ne baagala okubaleeta mu maaso g'abantu.
6 Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti Bano abavuunika ensi bazze ne wano;
7 ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti Waliwo kabaka omulala, Yesu.
8 Ne basasamaza ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo.
9 Bwe baamala okweyimiriza Yasooni n'abalala, ne babata.
10 Amangu ago ab'oluganda ne basindika ekiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
11 Naye bano baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.
12 Abamu bangi kyebaava bakkiriza, era n'abakazi abakyala Abayonaani n'abasajja si batono.
13 Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo era mu Beroya, era ne bajjayo ne baweerera ebibiina ne babasasamaza.
14 Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda okutuuka ku nnyanja: Siira ne Timoseewo ne babeera eyo.
15 Naye abaawerekera Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okugamba Siira ne Timoseewo bajje gy'ali amangu nga bwe bayinza, ne bagenda.
16 Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kijjudde ebifaananyi.
17 Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga.
18 Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono? Abamu ne bagamba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya: kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
19 Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bagamba nti Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?
20 Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g'ebigambo bino.
21 (Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba okuwuliranga ekigambo ekiggya.)
22 Pawulo n'ayimirira wakati wa Aleyopaago n'agamba nti Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.
23 Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira.
24 Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono,
25 so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;
26 yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe:
27 banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe:
28 kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye.
29 Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu.
30 Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya,
31 kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.
32 Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋoola; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.
33 Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati.
34 Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukazi erinnya lye Damali, n’abalala wamu nabo.
Essuula 18

1 Awo oluvannyuma lw'ebyo n'ava mu Asene n'atuuka e Kkolinso.
2 N'alaba omuntu Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalirwa mu Ponto, yali kyajje ave mu Italiya, ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulwawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Ruumi: n'ajja gye baali;
3 era kubanga baalina omulimu gumu n'abeeranga nabo ne bakolanga omulimu; kubanga omulimu gwabwe baali bakozi ba weema.
4 N'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro buli ssabbiiti, n'asendasendanga Abayudaaya n'Abayonaani.
5 Naye Siira ne Timoseewo bwe baava e Makedoni, Pawulo n'awalirizibwa ekigambo, ng'ategeeza Abayudaaya nga Yesu ye Kristo.
6 Bwe baamutangira ne bamuvuma, n’akunkumula engoye ze n'abagamba nti Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe: nze ndi mulongoofu: okutanula kaakano nnaagenda eri ab'amawanga.
7 N'avaayo, n'ayingira mu nnyumba y'omuntu erinnya lye Tito Yusito, atya Katonda, ennyumba ye eriraanye ekkuŋŋaniro.
8 Era Kulisupo, omukulu w'ekkuŋŋaaniro, n'akkiriza Mukama waffe n'ennyumba ye yonna; n'Abakkolinso bangi bwe baawulira ne bakkiriza ne babatizibwa.
9 Mukama waffe n'agamba Pawulo ekiro mu kwolesebwa nti Totya naye yogeranga, tosirikanga,
10 kubanga nze ndi wamu naawe; so tewali muntu anaakulumbanga okukukola obubi: kubanga nnina abantu bangi mu kibuga muno.
11 N'amalayo mwaka n'emyezi mukaaga ng'ayigirizanga ekigambo kya Katonda mu bo.
12 Naye Galiyo bwe yali nga ye wessaza ly'e Akaya, Abayudaaya ne balumba Pawulo n’omwoyo gumu ne bamuleeta awasalirwa emisango,
13 nga bagamba nti Ono asendasenda abantu okusinza Katonda ng'amateeka bwe gatalagira.
14 Naye Pawulo bwe yali agenda okwasama akamwa ke, Galiyo n'agamba Abayudaaya nti Singa wabaddewo okusobya oba kwonoona okubi, mmwe Abayudaaya, nandibagumiikirizza:
15 naye oba nga waliwo okubuuzagana okw'ebigambo: n'amannya n'amateeka agali mu mmwe, ekyo kyammwe: nze saagala kusala musango gw'ebyo.
16 N'abagoba awasalirwa emisango.
17 Bonna ne bakwata Sossene omukulu w'ekkuŋŋaaniro ne bamukubira awasalirwa emisango. Era Galiyo teyafaayo mu bigambo ebyo.
18 Pawulo n'amalayo ennaku nnyingi endala nate, n'asiibula ab'oluganda n'avaayo n'awanika amatanga okugenda e Busuuli, era wamu naye Pulisikira ne Akula; bwe yamala okumwera enviiri mu Kekereya; kubanga yeerayirira.
19 Ne batuuka mu Efeso, bali n'abaleka eyo; naye ye yennyini n'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'awakana n'Abayudaaya.
20 Bwe baamwagala okweyongera okutuula n'atakkiriza;
21 naye n'abasiibula n'agamba nti Ndikomawo nate gye muli Katonda ng'ayagadde, n'awanika amatanga n'avaayo mu Efeso.
22 N'agoba e Kayisaliya, n'alinnya n'alamusa ab'ekkanisa, n'aserengeta okutuuka Antiyokiya.
23 Bwe yamalayo ebiro si bingi n'avaayo, n'ayitira mu nsi y'e Ggalatiya n’e Fulugiya, ng'ava kumu, ng'agumya abayigirizwa bonna.
24 Awo omuntu Omuyudaaya erinnya lye Apolo eyazaalirwa mu Alegezandereya, omuntu eyayigirizibwa, oyo n'atuuka mu Efeso, eyali omugezi mu byawandiikibwa.
25 Oyo yali ng'abuuliddwa ekkubo lya Mukama waffe, ng'ayaka mu mwoyo n'ayogera n'ayigiriza nnyo ebigambo bya Yesu, ng'amanyi okubatiza kwa Yokaana kwokka:
26 oyo n'atanula okwogera n'obugumu mu kkuŋŋaaniro. Naye Pulisikira ne Akula bwe baawulira ne bamutwala gye bali, ne bongera okumutegeereza ddala ekkubo lya Katonda.
27 Bwe yayagala okuwunguka okutuuka Akaya, ab'oluganda ne bamugumya ne bawandiikira abayigirizwa okumusembeza: bwe yatuuka n'abayambanga nnyo abakkiriza olw'ekisa:
28 kubanga yasinganga Abayudaaya amaanyi amangi mu maaso g'abantu, ng'ategeezanga mu byawandiikibwa nga Yesu ye Kristo.
Essuula 19

1 Awo olwatuuka Apolo bwe yali e Kkolinso, Pawulo bwe yayitira mu njuyi eziri waggulu n'atuuka mu Efeso n'asanga abayigirizwa abamu:
2 n'abagamba nti Mwaweebwa Omwoyo Omutukuvu bwe mwakkiriza? Ne bamugamba nti Nedda, n'okuwulira tetuwuliranga nti waliwo Omwoyo Omutukuvu.
3 N'agamba nti Kale mwabatizibwa kuyingira mu ki? Ne bagamba nti Mu kubatizibwa kwa Yokaana.
4 Pawulo n'ayogera nti Yokaana yabatiza okubatiza okw'okwenenya, ng'agamba abantu bakkirize agenda okujja ennyuma we, ye Yesu.
5 Bwe baawulira ne babatizibwa okuyingira mu linnya lya Mukama waffe Yesu.
6 Pawulo bwe yabassaako emikono, Omwoyo Omutukuvu n'ajja ku bo, ne boogera ennimi ne balagula.
7 Abantu bonna baali nga kkumi na babiri.
8 N'ayingira mu kkuŋŋaaniro n'ayogeranga n'obuvumu okumala emyezi esatu, ng'awakananga era ng'asendasendanga olw'ebigambo eby'obwakabaka bwa Katonda.
9 Naye abamu bwe baakakanyala ne batawulira, nga bavumanga Ekkubo mu maaso g'ekibiina, n'ava gye baali, n'ayawula abayigirizwa, ng'awakaniranga buli lunaku mu ssomero lya Tulaano.
10 Ebyo ne bimala emyaka ebiri, ne bonna abaali batuula mu Asiya ne bawulira ekigambo kya Mukama waffe, Abayudaaya n'Abayonaani.
11 Katonda n'akolanga eby'amagero ebitalabwa buli lunaku mu mikono gya Pawulo,
12 n'abalwadde ne baleeterwanga ebiremba n'engoye ez'oku mubiri gwe, endwadde ne zibavangako, dayimooni n'abavangako.
13 Naye era abantu Abayudaaya abataliiko waabwe, abagoba dayimooni, ne beetulinkirira okwogera erinnya lya Mukama waffe Yesu ku abo abalina dayimooni, nga bagamba nti Mbalayiza Yesu Pawulo gw'abuulira.
14 Awo waaliwo abaana musanvu aba Sukewa Omuyudaaya kabona omukulu, abaakola bwe batyo.
15 Dayimooni n'addamu n'abagamba nti Yesu mmutegeera ne Pawulo mmumanyi; naye mmwe be ani?
16 Omuntu eyaliko dayimooni n'ababuukira n'abasinga bonna n'abayinza, n'okudduka ne badduka okuva mu nnyumba eri nga bali bwereere nga balina ebiwundu.
17 Ekyo ne kitegeerwa bonna Abayudaaya n'Abayonaani abaatuulanga mu Efeso; entiisa n'ebakwata bonna, erinnya lya Mukama waffe Yesu ne ligulumizibwa.
18 Era bangi ku bo abakkiriza ne bajja, ne baatula ne bategeeza ebikolwa byabwe.
19 Era bangi ku bo abaakolanga eby'obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna: ne babala omuwendo gwabyo ne balaba ebitundu bya ffeeza obukumi butaano.
20 Bwe kityo ekigambo kya Mukama waffe ne kyeyongeranga mu maanyi ne kiwangula.
21 Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n'alowooza mu mwoyo okuyitira mu Makedoni ne Akaya, n'okugenda e Yerusaalemi, ng'agamba nti Bwe ndimala okubeera eyo, era kiŋŋwanidde okulaba ne Ruumi.
22 N'atuma e Makedoni babiri ku abo abaamuweerezanga, Timoseewo ne Erasuto, ye yennyini n'alwayo ebiro si bingi mu Asiya.
23 Mu kiseera ekyo ne wabaawo akacwano si katono olw'Ekkubo.
24 Kubanga omuntu erinnya lye Demeteriyo, omuweesi wa ffeeza eyakolanga obusabo obwa ffeeza obwa Atemi n'afuniranga abaweesi amagoba si matono;
25 n'akuŋŋaanya abo n'abaakolanga emirimu egyo, n'agamba nti Abasajja, mumanyi nti omulimu ogwo obugagga bwaffe mwe buva;
26 mulaba era muwulira nga si mu Efeso mwokka naye nga mu Asiya yonna Pawulo oyo asenzesenze era akyusizza ekibiina kinene, ng'agamba nti Abakolebwa n'emikono si bakatonda.
27 Naye si ffe fekka tulabye akabi omulimu gwaffe okunyoomebwanga, era naye n'essabo lya Atemi katonda omukulu omukazi okulowoozebwanga nga si kintu, n'oyo n'okuggibwa n'aggibwa mu kitiibwa kye, asinzibwa Asiya yonna n'ensi zonna.
28 Bwe baawulira ne bajjula obusungu ne boogerera waggulu nga bagamba nti Atemi w'Abaefeso mukulu.
29 Ekibuga kyonna ne kijjula okwetabula kuno; ne bafubutuka n'omwoyo gumu okutuuka mu teyatero, bwe baamala okukwata Gayo ne Alisutaluuko, ab'e Makedoni, abaatambulanga ne Pawulo.
30 Pawulo bwe yayagala okuyingira mu bantu, abayigirizwa ne batamukkiriza.
31 Era abakulu abamu aba Asiya, abaali mikwano gye, ne bamutumira nga bamwegayirira aleme okwewaayo mu teyatero.
32 Abamu ne boogerera waggulu bulala, n'abalala bulala, kubanga ekibiina kyali kyetabudde, so n'abalala bangi ne batategeera nsonga ebakuŋŋaanyizza.
33 Ne baggya Alegezanda mu kibiina, Abayudaaya nga bamusindiikiriza. Alegezanda n'abawenya n'omukono n'ayagala okwennyonnyola eri abantu.
34 Naye bwe baamutegeera nga Muyudaaya, bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi limu okumala ng'essaawa bbiri nti Atemi w'Abaefeso mukulu.
35 Omuwandiisi bwe yasirisa ekibiina, n'agamba nti Abasajja Abaefeso, muntu ki atategeera ng'ekibuga ky'Abaefeso kye kikuuma essabo lya Atemi omukulu n'ekifaananyi ekyava eri Zewu.
36 Kale kubanga ebyo tebyegaanika, kibagwanidde mmwe okukkakkana n'obutakola kintu mu kwanguyiriza.
37 Kubanga muleese abantu bano abatanyaze bya mu ssabo so era tebavvodde katonda waffe omukazi.
38 Kale oba nga Demeteriyo n'abaweesi abali naye balina ekigambo ku muntu, enkiiko weeziri n'abaamasaza weebali: baloopagane.
39 Naye oba nga munoonya birala, binaasalirwa mu kkuŋŋaaniro eribaawo bulijjo.
40 Kubanga ddala tuyinza okutuukwako akabi olw'akeegugungo kano aka leero, kubanga tewali nsonga gye tuliyinza kuwoza olw'okukuŋŋaana kuno.
41 Bwe yayogera bw'atyo n'ayabulula ekibiina.
Essuula 20

1 Akacwano bwe kamala okukkakkana, Pawulo n'ayita abayigirizwa n'ababuulirira n'abasiibula, n'avaayo okugenda e Makedoni.
2 Bwe yayita mu njuyi ziri n'abategeeza ebigambo bingi, n'atuuka e Buyonaani.
3 Bwe yamalayo emyezi esatu, era Abayudaaya bwe baamusalira olukwe, bwe yali ng'agenda okuyita mu nnyanja okuddayo mu Makedoni.
4 Ne bagenda naye okutuuka mu Asiya Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo; n'Abasessaloniika Alisutaluuko ne Sekundo; ne Gayo Omuderube ne Timoseewo; n'AbasiyaTukiko ne Tulofiimo.
5 Bano ne bakulembera ne batulindirira mu Tulowa.
6 Ffe ne tuva mu Firipi ne tuwanika amatanga oluvannyuma lw'ennaku ez'emigaati egitazimbulukuswa, ne tubatuukako mu Tulowa mu nnaku ttaano; gye twamala ennaku omusanvu.
7 Awo ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkya, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi.
8 Ne wabaawo ettabaaza nnyingi mu kisenge ekya waggulu, mwe twakuŋŋaanira.
9 Omulenzi erinnya lye Yutuko n'atuula mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi; awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ng'akwatiddwa otulo tungi n'ava mu nju ey'okusatu, n'agwa, n'alondebwa ng'afudde.
10 Pawulo n'akka n'amugwako n'amuwambaatira n'agamba nti Temukuba biwoobe; obulamu bwe mwebuli munda.
11 N'alinnya n'amenya omugaati n'alyako n'alwawo ng'akyanyumya okutuusa enkya, n'alyoka avaayo.
12 Ne baleeta omulenzi nga mulamu, ne basanyuka si katono.
13 Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tugenda okutuuka e Aso, nga twagala eyo okusiika Pawulo: kubanga yali alagidde bw'atyo, ng'ayagala ye yennyini okuyita ku lukalu.
14 Bwe yatusanga mu Aso ne tumusiika, ne tuja e Mituleene.
15 Ne tuwanika amatanga okuvaayo ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka mu maaso ga Kiyo; ku Iw'okusatu ne tugoba ku Samo; ku lw'okuna ne tutuuka mu Mireeto.
16 Kubanga Pawulo yasiima okuyitira mu Efeso mu kyombo, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.
17 Bwe yali mu Mireeto n'atuma, mu Efeso n'ayita abakadde b'ekkanisa.
18 Bwe baatuuka gy'ali n'abagamba nti Mmwe mumanyi okuva ku lunaku olw'olubereberye bwe nnalinnya mu Asiya, bwe nnabanga nammwe mui biro byonna,
19 nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okukemebwa kwe nnalaba mu nkwe z'Abayudaaya:
20 bwe sseekekanga kubabuulira kigambo kyonna ekisaana, n'okubayigiririzanga mu maaso g'abantu ne mu buli nju,
21 nga ntegeeza Abayudaaya era n'Abayonaani okwenenya eri Katoada n'okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo.
22 Kaakano, laba, bwe nsibiddwa mu mwoyo, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi bye ndiraba eyo,
23 wabula nga Omwoyo Omutukuvu antegeeza mu buli kibuga; ng'agamba nti okusibibwa n'okubonyaabonyezebwa binnindiridde.
24 Naye obulamu bwange sibulowooza nga kintu, nga bwa muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize olugendo lwange n'okuweereza kwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga enjiri ey'ekisa kya Katonda.
25 Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyandaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka.
26 Kyenva mbategeeza leero nti nze ndi mulongoofu olw'omusaayi gwa bonna,
27 kubanga sseekekanga kubabuulira kuteesa kwa Katonda kwonna.
28 Mwekuumenga mmwe mwekka n'ekisibo kyonna Omwoyo Omutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n'omusaayi gwe yennyini.
29 Nze mmanyi nga bwe ndimala okuvaawo emisege emikambwe giriyingira mu mmwe, tegirisaasira kisibo;
30 era mu mmwe mwekka muliva abantu ngaboogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe.
31 Kale mutunule, mujjukire nga saalekanga kulabula n'amaziga buli muntu mu myaka esatu emisana n'ekiro.
32 Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abatukuzibwa.
33 Seegombanga ffeeza ya muntu yenna newakubadde zaabu newakubadde ekyambalo.
34 Mmwe mumanyi ng'emikono gino gye gyakolanga bye nneetaaga n'abo abali nange.
35 Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.
36 Bwe yayogera bw'atyo n'afukamira n'asabira wamu nabo bonna.
37 Ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu bulago Pawulo ne bamunywegera,
38 nga banakuwala okusinga byonna olw'ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako okutuuka ku kyombo.
Essuula 21

1 Awo olwatuuka bwe twamala okwawukana nabo ne tuvaayo, ne tukwata ekkubo eggolokofu okutuuka e Koosi, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Rodo, ne tuvaayo ne tutuuka e Patala.
2 Bwe twasanga ekyombo nga kiwunguka okugenda e Foyiniiki, ne tusaabala ne tugenda.
3 Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okusiikululira ebintu.
4 Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi.
5 Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako n'abakazi n'abaana abato okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba;
6 ne tusiibulagana, ne tusaabala mu kyombo, naye bo ne baddayo eka.
7 Naffe bwe twamala olugendo lwaffe okuva e Ttuulo ne tutuuka e Potolemaayi; ne tulamusa ab'oluganda ne tumala nabo olunaku lumu.
8 Ku lunaku olw'okubiri ne tuvaayo ne tutuuka e Kayisaliya: ne tuyingira mu nnyumba ya Firipo, omubuulizi w'enjiri, omu ku bali omusanvu, ne tutuula naye.
9 Naye oyo yalina abawala bana abatamanyi musajja abaalagulanga.
10 Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo.
11 N'ajja gye tuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.
12 Bwe twawulira ebyo, ffe era n'abantu ab'omu kifo kiri ne tumwegayirira aleme okulinnya mu Yerusaalemi.
13 Awo Pawulo n'alyoka addamu nti Mukola ki okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu.
14 Bwe yalema okuwulira ne tulekayo nga tugamba nti Mukama waffe ky’ayagala kikolebwe.
15 Awo oluvannyuma lw'ennaku ezo ne tusitula emigugu ne tulinnya e Yerusaalemi.
16 Era n'abayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, ne baleeta omuntu Munasoni ow'e Kupulo omuyigirizwa ow'edda, agenda okutusuza.
17 Bwe twatuuka mu Yerusaalemi ab'oluganda ne batusembeza n'essanyu.
18 Ku lunaku olw'okubiri Pawulo n'ayingira wamu naffe omwa Yakobo; era n'abakadde bonna baaliwo.
19 Bwe yamala okubalamusa n'ababuulira kinnakimu Katonda bye yakolanga mu mawanga mu kuweereza kwe.
20 Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti Olaba, ow'oluganda, enkumi bwe ziri mu Bayudaaya abantu abakkiriza; nabo bonna balina obuggya obw'amateeka:
21 abo babuulirwa ebigambo byo nti ggwe oyigiriza Abayudaaya bonna abali mu mawanga okuleka Musa, ng'ogamba baleme okukomolanga abaana abato newakubadde okutambuliranga mu mpisa.
22 Kale kiki kino? Tebaaleme kuwulira ng'ozze.
23 Kale kola nga bwe tukugamba: tulina abasajja bana abeerayirira ekirayiro;
24 obatwale abo otukuzibwe wamu nabo, obawe effeeza beemwe emitwe: bonna banaategeera ng'ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng'okwata amateeka.
25 Naye ab'amawanga abakkiriza twawandiika ne tusala omusango nti beekuumenga mu bintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiddwa n'obwenzi.
26 Awo Pawulo n'alyoka atwala abantu, ku lunaku olw'okubiri n'atukuzibwa wamu nabo n'ayingira mu yeekaalu okulaga ennaku ez'okutukuza bwe zituuse, okutuusa ekiweebwayo lwe kyaweebwayo olwa buli omu ku bo.
27 Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okutuuka, Abayudaaya abaava mu Asiya ne bamulaba mu yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata,
28 nga boogerera waggulu nti Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye muntu oli ayigiriza bonna buli kifo obubi ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu.
29 Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omuwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bateerera nti Pawulo amuleese mu yeekaalu.
30 Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mbiro; ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa yeekaalu: amangu ago enzigi ne ziggalwawo.
31 Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde.
32 Amangu ago n'atwala basserikale n'abaami n'aserengeta gye baali mbiro: nabo bwe baalaba omwami omukulu n'abaserikale ne baleka okukuba Pawulo.
33 Awo omwami omukulu n'alyoka asembera n'amukwata n'alagira okumusibya enjegere bbiri; n'abuuza nti ye ani, ne ky'akoze ki.
34 Abamu ab'omu kibiina ne boogerera waggulu bulala abalala bulala: bw'ataayinza kutegeera mazima olw'okuleekaana, n'alagira okumutwala mu kigo.
35 Bwe yatuuka ku madaala, n'alyoka asitulibwa basserikale olw'amaanyi g'ekibiina:
36 kubanga ekibiina ky'abantu baali bagoberera nga boogerera waggulu nti Mutte.
37 Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo n'agamba omwami omukulu nti Kirungi mbeeko kye nkubuulira? N'agamba nti Omanyi Oluyonaani?
38 Kale si ggwe Mumisiri oli mu nnaku ezaayita eyajeemesa abantu enkumi ennya ku Batemu bali, n'abatwala mu ddungu?
39 Naye Pawulo n’agamba nti Nze ndi muntu Muyudaaya, ow’e Taluso eky’omu Kirukiya, si wa mu kibuga ekitali kimanyifu: era nkwegayiridde, ndeka njogere n'abantu.
40 Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala n'awenya n'omukono abantu: bwe baamala okusiriikirira ddala, n'ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng'agamba nti
Essuula 22

1 Abasajja ab'oluganda ne bassebo, muwulire ensonga gye mbawoleza kaakano.
2 Bwe baawulira ng'abagambye mu lulimi Olwebbulaniya ne beeyongera okusirika: n'agamba nti
3 Nze ndi muntu Muyudaaya, eyazaalirwa mu Taluso eky'omu Kirukiya, naye eyalererwa mu kibuga muno ku bigere bya Gamalyeri, eyayigirizibwa ennyo mu mpisa z'amateeka ga bajjajja, ne mbeeranga n'obuggya bwa Katonda nga mmwe mwenna bwe muli leero:
4 ne njigganyanga ab'Ekkubo lino n'okubatta, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasajja n'abakazi;
5 era ne kabona asinga obukulu ye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakadde bonna: era nabo ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okugenda e Ddamasiko abo abaali eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe.
6 Awo olwatuuka bwe nnali nga ntambula nga nnaatera okutuuka e Ddamasiko, nga mu ttuntu, amangu ago omusana mungi ogwava mu ggulu ne gwaka ne gunneetooloola;
7 ne ngwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?
8 Nze ne nziramu nti Ggwe ani, Mukama wange? N'aŋŋamba nti Nze Yesu Omunazaaleesi gw'oyigganya ggwe.
9 Abaali awamu nange ne balaba omusana, naye ne batawulira ddoboozi ly'oyo eyayogera nange.
10 Ne ŋŋamba nti Nnaakola ntya, Mukama wange? Mukama waffe n'aŋŋamba nti Golokoka, ogende e Ddamasiko, onoobuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonna by'olagiddwa okukola.
11 Bwe ssaayinza kulaba olw'ekitiibwa ky'omusana guli, ne nkwatibwa ku mukono abo abaali nange ne ntuuka mu Ddamasiko.
12 Omuntu omu erinnya lye Ananiya atya Katonda mu mateeka, eyasiimibwa Abayudaaya bonna abatuula eyo,
13 n'ajja gye ndi n'ayimirira we ndi n'aŋŋamba nti Ow'oluganda Sawulo, zibula. Mu kiseera ekyo ne nzibula okumutunuulira.
14 N'agamba nti Katonda wa bajjajjaffe yakulonda dda otegeere ebyo by'ayagala, era olabe Omutuukirivu oli, era owulire eddoboozi eriva mu kamwa ke.
15 Kubanga onoobeeranga mujulirwa we eri abantu bonna ow'ebigambo by'olabye ne by'owulidde.
16 Kale kaakano ekikulwisa ki? Golokoka, obatizibwe onaaze ebibi byo, nga weegayirira erinnya lye.
17 Awo olwatuuka bwe nnakomawo e Yerusaalemi, bwe nnali nga nsaba mu yeekaalu, omwoyo gwange ne guwaanyisibwa
18 ne mmulaba ng'aŋŋamba nti Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebalikkiriza kutegeeza kwo ku nze.
19 Nange ne ŋŋamba nti Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti nze nnabateekanga mu makomera era nga nnabakubiranga mu buli kkuŋŋaaniro abakukkiriza:
20 era n'omusaayi ogw'omujulirwa wo Suteefano bwe gwayiibwa, nange kennyini nnali nga nnyimiridde awo, nga nsiimye, nga nkuuma ebyambalo byabwe abaamutta.
21 N'aŋŋamba nti Genda: kubanga nze ŋŋenda kukutuma wala mu b'amawanga.
22 Ne bamuwuliriza okutuusa ku kigambo kino, ne bayimusa amaloboozi gaabwe nga bagamba nti Aggibwe mu nsi afaanana bw'atyo: kubanga si kirungi abeere mulamu.
23 Bwe baali nga boogerera waggulu era nga bakasuka engoye zaabwe, era nga bafuumuulira waggulu enfuufu,
24 omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu kigo, ng'agamba okumukemereza n'emiggo alyoke ategeere ensonga gye bamulanze okwogerera waggulu ku ye bwe batyo.
25 Bwe baali nga bamaze okumusibya enkoba, Pawulo n'agamba omwami eyali amuyimiridde okumpi nti Si kya muzizo mmwe okukuba omuntu Omuruumi nga tannaba kusalirwa musango?
26 Omwami bwe yawulira n'agenda eri omwami omukulu n'amubuulira ng'agamba nti Ogenda kukola ki? kubanga omuntu ono Muruumi.
27 Omwami omukulu n'agenda gy'ali, n'amugamba nti Mbuulira, ggwe oli Muruumi? N'agamba nti Yee.
28 Omwami omukulu n'addamu nti Nze nnafuna Oburuumi buno n'ebintu bingi. Pawulo n'agamba nti Naye nze mmwe nnazaalirwa.
29 Awo amangu ago ne balyoka bamuleka abaali bagenda okumukemereza: era n'omwami omukulu n'atya bwe yamala oku tegeera nga Muruumi, era kubanga amusibye.
30 Naye ku lunaku olw'okubiri, bwe yayagala okumanya amazima ensonga Abayudaaya gye bamulanze okumuloopa, n'amusumulula n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna okukuŋŋaana, n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.
Essuula 23

1 Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'olukiiko n'agamba nti Abasajja ab'oluganda, nze nneegendereza n'omwoyo gwonna omulungi mu maaso ga Katonda okutuusa ku lunaku luno.
2 Pawulo n'alyoka amugamba nti Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?
3 Pawulo n'alyoka amugamba nti Katonda alikukuba, ggwe ekisenge ekyasiigibwa okutukula; era otudde okunsalira omusango ng'amateeka bwe gali, n'olagira okunkuba ng'amateeka bwe gatalagira?
4 Abaali bamuyimiridde okumpi ne bagamba nti Ovuma kabona asinga obukulu owa Katonda?
5 Pawulo n'agamba nti Mbadde simumanyi, ab'oluganda, nga ye kabona asinga obukulu: kubanga kyawandiikibwa nti Toyogeranga bubi ku mukulu w'abantu bo.
6 Naye Pawulo bwe yategeera ng'ekitundu ekimu kya Basaddukaayo n'eky'okubiri kya Bafalisaayo, n'ayogerera waggulu mu lukiiko nti Abasajja ab'oluganda, nze ndi Mufalisaayo mwana w'Abafalisaayo: nsalirwa omusango olw'essuubi n'okuzuukira kw'abafu.
7 Bwe yayogera bw'atyo ne wabaawo okuyomba Abafalisaayo n'Abasaddukaayo, ekibiina ne kyawukanamu.
8 Kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, newakubadde malayika, newakubadde omuzimu: naye Abafalisaayo baatula byombi.
9 Ne wabaawo okukaayana kungi: abawandiisi abamu ab'omu kitundu eky'Abafalisaayo ne bayimirira ne bawakana nga bagamba nti Tetulaba kibi ku muntu ono: era kinaaba kitya oba ng'omuzimu gwe gwogedde naye oba malayika?
10 Bwe waabaawo okuyomba okungi, omwami omukulu ng'atya Pawulo nga bagenda okumukutulamu, n'alagira ekitongole okukka wansi okumuggya wakati mu bo olw'amaanyi, okumuleeta mu kigo.
11 Awo mu kiro eky'okubiri, Mukama waffe n'ayimirira w'ali n'agamba nti Guma omwoyo: kuba nga bwe wategeeza ebigambo byange mu Yerusaalemi, era kikugwanidde okutegeeza bw'otyo ne mu Ruumi.
12 Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne balagaana ne beeyama obweyamo nga bagamba nti tebajja kulya newakubadde okunywa wabula nga bamaze kutta Pawulo.
13 Abeekobaana bwe batyo ne basukka amakumi ana.
14 Abo ne bajja eri bakabona abakulu n'abakadde ne bagamba nti Okwekolimira twekolimidde obutakomba ku kantu wabula nga tumaze kutta Pawulo.
15 Kale kaakano mmwe n'olukiiko mugambe omwami omukulu amuleete wansi gye muli ng'abaagala okwongera okumanya amazima g'ebigambo bye: naffe, anaaba nga tannaba kusembera, tweteeseteese okumutta.
16 Naye omwana wa mwannyina wa Pawulo n'awulira olukwe luno, n'ajja n'ayingira mu kigo, n'abuulira Pawulo.
17 Pawulo n'ayita omu ku baami n'amugamba nti Twala omulenzi ono eri omwami omukulu; kubanga alina ekigambo okumubuulira.
18 Awo oli n'amutwala n'amuleeta eri omwami omukulu n'agamba nti Pawulo omusibe yampise n'anneegayirira okukuleetera omulenzi ono, ng'alina ky'agenda okukubuulira.
19 Omwami omukulu n'amukwata ku mukono ne yeeyawula mu kyama n'amubuuza nti Bigambo ki by'olina okumbuulira?
20 N'agamba nti Abayudaaya bateesezza okukwegayirira okuleeta Pawulo enkya wansi mu lukiiko ng'agenda okwongera okumubuuza amazima g'ebigambo bye.
21 Kale ggwe tobakkiriza: kubanga abantu baabwe bamuteeze okusinga amakumi ana abeekolimidde obutalya newakubadde okunywa wabula nga bamaze okumutta; nabo kaakano beeteeseteese nga balindirira ggwe okubasuubiza.
22 Awo omwami omukulu n'asiibula omulenzi, bwe yamala okumukuutira nti Tobuulirako omuntu ng'ombuulidde ebigambo bino.
23 N'ayita babiri ku baami n'agamba nti Mutegeke basserikale ebikumi bibiri okugenda e Kayisaliya, n'ab'oku mbalaasi nsanvu, n'ab'amafumu ebikumi bibiri, mu ssaawa ey'okusatu ey'ekiro;
24 era babalabire ensolo balyoke beebagazeeko Pawulo era bamutwale mirembe eri Ferikisi owessaza.
25 N'awandiika ebbaluwa engeri eno nti
26 Kulawudiyo Lusiya alamusizza owessaza omulungi ennyo Ferikisi,
27 Omuntu oyo bwe yamala okukwatibwa Abayudaaya, bwe baali bagenda okumutta, ne njija n'ekitongole gye baali ne mbamuggyako, bwe nnategeera nga Muruumi.
28 Era bwe nnayagala okutegeera ensonga gye bamulanze okumuloopa, ne mmutwala mu lukiiko lwabwe.
29 Ne ndaba ng'aloopeddwa bya kubuuzibwa eby'omu mateeka gaabwe, naye nga tewali nsonga ya kumussa newakubadde okusibibwa.
30 Bwe bambuulira nti banaamusalira olukwe, amangu ago ne mmuweereza gy'oli; era ne ndagira abamuloopa okumuloopera mu maaso go.
31 Awo basserikale nga bwe baalagirwa ne batwala Pawulo ne bamuleeta mu kiro okutuuka mu Antipatuli.
32 Naye ku lunaku olw'okubiri ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda naye ne baddayo mu kigo:
33 abo bwe baatuuka e Kayisaliya ne bawa ebbaluwa owessaza era ne bamwanjulira Pawulo.
34 Bwe yamala okugisoma, n'abuuza essaza gye yava; bwe yabuulirwa nti yava mu Kirukiya,
35 n'agamba nti Ndikuwulira abakuloopa bwe balibaawo nabo: n'alagira okumukuumira mu nnyumba ya Kerode.
Essuula 24

1 Ennaku bwe zaayitawo ettaano, kabona asinga obukulu Ananiya n'aserengeta n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo Pawulo bye yaloopebwa.
2 Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atanula okumuloopa ng'agamba nti Kubanga twali tufunye emirembo mingi eri ggwe, n'ebigambo ebibi nga birongoosebbwa mu ggwanga lino olw'okulabirira kwo,
3 tubikkiriza ennaku zonna ne mu bifo byonna, Ferikisi omulungi ennyo, n'okwebaza kwonna.
4 Naye nneme okwongera okukukooya, nkwegayiridde otuwulire mu bigambo bitono olw'obulungi bwo.
5 Kubanga twalaba omuntu ono nga mubi nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, era ye mukulu w'ekitundu ky'Abanazaaleesi:
6 yagezaako okwonoona yeekaalu: ne tumukwata, ne twagala okumusalira omusango ng'amateeka gaffe bwe gali:
7 naye omwami omukulu Lusiya n'ajja n'atumuggyako mu mikono gyaffe n'amaanyi mangi,
8 bwe yalagira abamuvunaana okujja gy'oli: bw'onoomwebuuliza wekka onooyinza okutegeera bino byonna bye tumuvunaana.
9 Era n'Abayudaaya ne bamuloopa bumu nga bagamba nti bwe bityo bwe biri.
10 Awo owessaza bwe yamuwenya okwogera, Pawulo n'addamu nti Kubanga mmanyi ng'oli mulamuzi wa ggwanga lino okuva mu myaka mingi, nkuwoleza ebigambo byange n'omwoyo omugumu;
11 kubanga oyinza okutegeera ng'ennaku tezinnayita kkumi na bbiri! kasookedde nninnya e Yerusaalerni okusinza:
12 so tebansanganga mu yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesa ekibiina newakubadde mu kkuŋŋaaniro newakubadde mu kibuga.
13 So tebayinza kukakasa w'oli ebigambo bye banvunaana kaakano.
14 Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi;
15 nga nnina essuubi eri Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.
16 Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna.
17 Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo:
18 bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano;
19 abagwanidde okubeera w'oli n'okunnumiriza oba nga balina ekigambo ku nze.
20 Oba bano bayogere bennyini ekibi kye baalaba bwe nnayimirira mu lukiiko
21 wabula olw'eddoboozi lino erimu lye nnayogerera waggulu, nga nnyimiridde mu bo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno.
22 Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawo ng'agamba nti bw'aliserengeta Lusiya omwami omukulu, ndisala omusango gw'ebigambo byammwe.
23 N'alagira omwami okumukuuma n'okumuwa ebbanga; n'obutaziyiza muntu yenna ku mikwano gye, okumuweereza.
24 Naye ennaku bwe zaayitawo Ferikisi n'ajja ne mukazi we Dulusira, Omuyudaaya, n'ayita Pawulo n'amuwuliriza ku bigambo eby'okukkiriza Kristo Yesu.
25 Bwe yali ng'ateeza eby’obubutuukirivu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n’ebbanga, ndikuyita.
26 Era n'asuubira Pawulo okumuwa ebintu: kyeyava yeeyongeranga okumutumiranga okunyumyanga naye.
27 Naye bwe waayitiwo emkyaka ebiri, obwa Ferikisi ne buweebwa Polukiyo Fesuto; Ferikisi bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n’aleka Pawulo nga musibe.
Essuula 25

1 Awo Fesuto bwe yatuuka mu ssaza, bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ava mu Kayisaliya n'alinnya e Yerusaalemi.
2 Bakabona abakulu n'abakungu b'Abayudaaya ne bamubuulira Pawulo bye yaloopebwa; ne bamwegayirira,
3 nga baagala abakole obulungi ku ye, amutumire okujja e Yerusaalemi; bamuteegere mu kkubo okumutta.
4 Naye Fesuto n'addamu nti Pawulo akuumirwa mu Kayisaliya, naye ye yennyini yali ng'anaatera okuvaayo okugenda.
5 N'agamba nti Kale abakulu mu mmwe bagende nange, bamuvunaane oyo oba ng'aliko ekibi kyonna kyonna.
6 Bwe yamalayo ewaabwe ennaku ezitaasingawo munaana oba kkumi, n'aserengeta e Kayisaliya; ku lunaku olw'okubiri n'atuula ku ntebe esalirwako emisango, n'alagira okuleeta Pawulo.
7 Bwe yatuuka Abayudaaya abaava e Yerusaalemi ne bayimirira okumwetooloola, nga baleeta ebimuvunaanwa bingi era ebizibu, bye bataayinza kulumiriza;
8 Pawulo n'awoza nti Siyonoonanga mu mateeka g'Abayudaaya newakubadde ku yeekaalu newakubadde eri Kayisaali.
9 Naye Fesuto, bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n'addamu eri Pawulo n'agamba nti Oyagala okugenda e Yerusaalemi osalirwe eyo omusango gw'ebigambo bino mu maaso gange?
10 Naye Pawulo n'agamba nti Nnyimiridde awali entebe esalirwako emisango eya Kayisaali, we ŋŋwanidde okusalirwa omusango: siyonoonanga eri Abayudaaya, era nga naawe bw'otegeerera ddala obulungi.
11 Kale oba nga nnayonoona era nga nnakola ekigambo ekisaanidde okunzisa, sigaana kufa: naye oba nga bano ebigambo bye banvunaana nga tebiriiwo na kimu, tewali muntu ayinza okumpaayo mu bo. Njulira Kayisaali.
12 Fesuto bwe yamala okuteesa nabo mu lukiiko n'alyoka addamu nti Ojulidde Kayisaali: oligenda eri Kayisaali.
13 Awo bwe waayitawo ennaku, Agulipa kabaka ne Berenike ne batuuka e Kayisaliya, ne balamusa Fesuto.
14 Bwe baamalayo ennaku nnyingi, Fesuto n'abuulira kabaka ebigambo bya Pawulo ng'agamba nti Waliwo omuntu Ferikisi gwe yaleka nga musibe:
15 bwe nnali mu Yerusaalemi bakabona abakulu n'abakadde b'Abayudaaya ne bambuulira ebigambo bye, nga baagala okumusalira omusango.
16 Ne mbaddamu nti Si mpisa ya Baruumi okuwaayo omuntu abamuvunaana nga tebannaba kubaawo mu maaso ge, era nga tannaweebwa bbanga lya kuwoza bye bamuvunaana.
17 Awo bwe baakuŋŋaanira wano, saalwa n'akatono, naye ku lunaku olw'okubiri ne ntuula ku ntebe esalirwako emisango ne ndagira okuleeta omusajja oyo.
18 Bwe baayimirira abamuvunaana ne bataleeta nsonga ya bigambo bibi nga bwe nnali ndowooza;
19 naye baalina ku ye ebibuuzibwa mu ddiini yaabwe n'eby'omuntu Yesu eyafa, Pawulo gwe yayogerako okuba omulamu.
20 Nange bwe nnabulwa bwe nnaakebera ebyo, ne mmubuuza ng'ayagala okugenda e Yerusaalemi okusalirwayo omusango ogwa bino.
21 Naye Pawulo bwe yajulira okukuumibwa okusalirwa omusango eri Augusito, ne ndagira okumukuuma okutuusa lwe ndimuweereza eri Kayisaali.
22 Agulipa n'agamba Fesuto nti Nandyagadde nange okuwulira omuntu oyo. N'agamba nti Enkya onoomuwulira.
23 Awo ku lunaku olw'okubiri Agulipa ne Berenike bwe bajja n'ekitiibwa ekinene era bwe baayingira mu kifo awawulirirwa emisango wamu n'abaami abakulu n'abakungu ab'omu kibuga, Fesuto n'alagira Pawulo n'aleetebwa.
24 Fesuto n'agamba nti Agulipa kabaka nammwe mwenna abali wano naffe, mumulaba ono, ekibiina kyonna eky'Abayudaaya gwe banneegayiririra mu Yerusaalemi ne wano nga boogerera waggulu nti tekimugwanidde kuba mulamu nate.
25 Naye nze ne ntegeera nga takoze kigambo ekisaanidde okumussa: naye ye bwe yajulira Augusito ne nsala okumuweerezaayo.
26 Sirina kigambo ku ye eky'amazima okuwandiikira mukama wange. Kyenvudde mmuleeta we muli, era okusinga w'oli, ggwe kabaka Agulipa, bwe tunaamala okumukemereza ndyoke mbeere n'ekigambo eky'okuwandiika.
27 Kubanga ndaba nga kya busiru okuweereza omusibe n'obutabuulira nsonga eziri ku ye.
Essuula 26

1 Agulipa n'agamba Pawulo nti Okkirizibwa okuwoza ensonga zo. Awo Pawulo n'alyoka agolola omukono n'awoza nti
2 Bye nnavunaanibwa Abayudaaya byonna, kabaka Agulipa, nneesiimye kubanga ŋŋenda okubiwoza leero w'oli;
3 era okusinga kubanga omanyi empisa n'ebibuuzibwa byonna ebiri mu Bayudaaya: kyenva nkwegayirira ogumiikirize okumpulira.
4 Kale empisa zange okuva mu buto ezaasooka okubeeranga mu ggwanga lyaffe ne mu Yerusaalemi, Abayudaaya bonna bazimanyi;
5 abantegeera okusooka edda, singa baagala okutegeeza, bwe nneegenderezanga mu kitundu ekisinga obuzibu eky'eddiini yaffe, ne mbeera Mufalisaayo.
6 Kaakano nnyimiridde okusalirwa omusango olw'essubi Katonda lye yasuubiza bajjajjaffe;
7 lye basuubira okutuukako ebika byaffe ekkumi n'ebibiri, nga banyiikira okuweerezanga Katonda emisana n'ekiro: olw'essuubi eryo, kabaka, Abayudaaya kyebavudde bampawaabira.
8 Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?
9 Mazima nze nalowoozanga nzekka nga kiŋŋwanidde okukolanga obubi ebigambo bingi ku linnya lya Yesu Omunazaaleesi.
10 N'okukola ne nkolanga bwe ntyo e Yerusaalemi nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu baamu bangi, bwe nnaweebwa obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe battibwa, ne nzikiriza okubatta.
11 Era bwe nnababonerezanga emirundi mingi mu makuŋŋaaniro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuukai mu bibuga eby'ebweru.
12 Awo bwe nnali nga ŋŋenda e Ddamasiko nga nnina obuyinza n'okulagirwa okwava eri bakabona abakulu,
13 mu ttuntu, kabaka, ne ndaba mu kkubo omusana ogwava mu ggulu ogusinga okwaka kw'enjuba ne gumasamasa ne gunneetooloola n'abaali batambula nange.
14 Ne tugwa fenna wansi ne mpulira eddoboozi nga lyogera nange mu lulimi Olwebbulaniya nti Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? kye kizibu ggwe okusamba ku miwunda.
15 Nze ne ŋŋamba nti Ggwe ani, Mukama wange? Mukama waffe n'agamba nti Nze Yesu, gw'oyigganya ggwe.
16 Naye golokoka, oyimirire ku bigere byo: kyenvudde nkulabikira, nkulonde obeerenga omuweereza era omujulirwa w'ebyo mw'ondabidde era ow'ebyo mwe nnaakulabikiranga,
17 nga nkuwonya mu bantu ne mu b'amawanga, nze gye nkutuma okuzibula amaaso gaabwe,
18 bakyuke okuva mu kizikiza badde eri omusana n'okuvamu buyinza bwa Setaani badde eri Katonda, balyoke baweebwe okuggibwako ebibi n'obusika mu abo abatukuzibwa olw'okukkiriza nze.
19 Kale, kabaka Agulipa, saalema kugondera okwolesebwa okw'omu ggulu:
20 naye nnasooka okubuulira ab'omu Ddamasiko ne mu Yerusaalemi, era n'ensi yonna ey'e Buyudaaya n'ab'amawanga okwenenya n'okukyukira Katonda, nga bakolonga ebikolwa ebisaanidde okwenenya.
21 Abayudaaya kyebaava bankwata mu yeekaalu ne bagezaako okunzita.
22 Kale bwe nnafuna okubeerwa okwava eri Katonda, okutuusa ku lunaku luno nnyimiridde nga ntegeeza abato n'abakulu, nga soogera kigambo wabula bannabbi ne Musa bye baayogera nga bigenda okujja;
23 ne kigwanira Kristo okubonyaabonyezebwa; era ye bw’alisooka mu kuzuukira kw’abafu okubuulira omusana abantu n’ab’amawanga.
24 Bwe yawoza bw’atyo Fesuto n'agamba n'eddoboozi ddene nti Olaluse, Pawulo: okusoma okwo okungi kukukyusa okuba omulalu.
25 Naye Pawulo n'agamba nti Siraluse, Fesuto omulungi ennyo, naye njogera ebigambo eby'amazima eby'obuntu bulamu.
26 Kubanga kabaka amanyi ebigambo bino, gwe njogerera mu maaso ge n'obugumu. Kubanga mmanyi ebigambo bino tebyekwese eri kabaka n'ekimu; kubanga ekyo tekyakolebwa mu bubba.
27 Okkiriza bannabbi, kabaka Agulipa? Mmanyi ng'okkiriza.
28 Agulipa n'agamba Pawulo nti Oyagala okunsendasenda onfuule Omukristaayo;
29 Pawulo n'agamba nti Nandisabye Katonda olw'okusendasenda okutono oba okunene si ggwe wekka era naye ne bonna abampulira leero okufuuka nga nze awatali kusibibwa kuno.
30 Kabaka n'agolokoka n'owessaza ne Berenike n'abaali batudde awamu nabo;
31 bwe baddayo eka, ne boogera bokka na bokka nga bagamba nti Omuntu ono takoze ekisaanidde okumussa oba okumusibya.
32 Agulipa n'agamba Fesuto nti Omuntu ono yandiyinzizza okuteebwa, singa teyajulira Kayisaali.
Essuula 27

1 Awo bwe kyalagirwa ffe okuwanika amatanga okugenda Italiya, ne bawaayo Pawulo n'abasibe abalala abamu eri omwami, erinnya lye Yuliyo, ow'ekitongole kya Augusito.
2 Ne tusaabala mu kyombo eky'e Adulamutiyo ekyali kigenda ku njuyi z'e Asiya, ne tuvaayo, Alisutaluuko ow'e Makedoni ow'omu Ssessaloniika naye ng'ali naffe.
3 Ku lunaku olw'okubiri ne tugoba e Sidoni: Yuliyo n'akola bulungi Pawulo n'amukkiriza okugenda eri mikwano gye okumulabirira.
4 Ne tuvaayo ne tuyita ku mabbali ga Kupulo kubanga omuyaga gwali gutuva mu bwengula.
5 Bwe twayita mu nnyanja ey'e Kirukiya n'e Panfuliya; ne tutuuka e Mula eky’e Lukiya.
6 Omwami n'alabayo ekyombo eky'e Alegezanderiya nga kigenda Italiya; n'atusaabaza mu ekyo.
7 Bwe twagenda empola ennaku nnyingi ne tutuuka lwa mpaka ku Kunido, omuyaga bwe gwatulobera, ne tuyita ku mabbali ga Kuleete mu maaso ga Salumone;
8 ne tukiyitako lwa mpaka ne tutuuka mu kifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi; awaliraanye ekibuga Lasaya.
9 Bwe waayitawo ebiro bingi, obubi bwali bumaze okubaawo okugenda mu nnyanja kubanga ennaku ez'Okusiiba zaali ziyise, Pawulo n'abalabula
10 ng'abagamba nti Abasajja, ndaba nti olugendo luno lulibaamu okwonoonekerwa n'okufiirwa kungi si kwa bintu byokka n'ekyombo, era naye n'obulamu bwaffe.
11 Naye omwami n'akkiriza omugoba ne nnannyini kyombo okusinga Pawulo by'ayogedde.
12 Kubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu omuyaga, abamu bangi ne bateesa okuvaayo, mpozzi balyoke batuuke e Foyiniiki okwewogoma omuyaga; gwe mwalo ogw'e Kuleete ogutunuulira wakati w'obukiika n'ebuvanjuba, ne wakati w'obukiika obulala n'ebuvanjuba.
13 Empewo ez'omuggundu bwe zaakunta empola, ne balowooza nti bafunye kye babadde baagala, ne basimbula essiika ne bayita kumpi nnyo ne Kuleete.
14 Naye oluvannyuma lw'ebiro si bingi omuyaga ogulimu kibuyaga ogwavaayo oguyitibwa Ewulakulo ne gukunta:
15 ekyombo bwe kyakwatibwa ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tukireka ne tutwalibwa omuyaga.
16 Ne tweyuna mu mabbali g'akazinga akayitibwa Kawuda, ne tutegana okukwata eryato:
17 bwe baamala okulirinnyisa, ne baddira emigwa egy'okunyweza ekyombo ne bakisiba wansi. Bwe baatya okusuulibwa mu Suluti, ne bassa ebyali waggulu, ne batwalibwa omuyaga.
18 Bwe twategana ennyo n'omuyaga, ku lunaku olw'okubiri ne basiikulula ebintu,
19 era ku lw'okusatu ne basuula n'emikono gyabwe ebitwala ekyombo.
20 Era enjuba newakubadde emmunyeenye mu nnaku nnyingi nga tebyaka, era n'omuyaga si mutono ogwatukwata, oluvannyuma essuubi lyonna ery'okulokoka ne lituggwaamu.
21 Enjala bwe yali ennyingi, awo Pawulo n'alyoka ayimirira wakati waabwe n'agamba nti Kyabagwanira, abasajja, okumpulira obutava mu Kuleete, obutalaba kwonoonekerwa kuno n'okufiirwa.
22 Era kaakano mbabuulirira okuguma emyoyo; kubanga tewaabe mu mmwe anaafiirwa obulamu n'akatono wabula ekyombo.
23 Kubanga we ndi waayimiridde ekiro kino malayika wa Katonda, nze owuwe, gwe mpeereza,
24 ng'agamba nti Totya, Pawulo; kikugwanidde okuyimirira awali Kayisaali; era, laba, Katonda akuwadde bonna abagenda awamu naawe.
25 Kale mugume emyoyo, abasajja; kubanga nzikiriza Katonda nga kiriba nga bwe yaŋŋambye.
26 Naye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.
27 Naye ekiro eky'ekkumi n'ebina bwe kyatuuka, nga tusuukundirwa eruuyi n'eruuyi mu Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti banaatera okusemberera olukalu;
28 ne bagera ne balaba ebifuba amakumi abiri: bwe twagendako katono, ne bagera nate, ne balaba ebifuba kkumi na bitaano.
29 Bwe baatya okuseerera awali amayinja, ne basuula amasiika ana ku kiwenda ne balindirira bukye.
30 Abalunnyanja bwe baali baagala okudduka mu kyombo ne bamala okussa eryato mu nnyanja ng'abagenda okusuula amasiika ku nsanda,
31 Pawulo n'agamba omwami n'abaserikale nti Bwe bataabeere bano mu kyombo, mmwe temuuyinze kulokoka.
32 Basserikale ne balyoka basala emigwa egy'eryato ne balireka okugenda.
33 Awo bwe bwali bunaatera okukya, Pawulo n'abeegayirira bonna okulya ku mmere, ng'agamba nti Leero lunaku lwa kkumi na nnya ze mwakalindiririra nga musiiba ne mutalya kantu.
34 Kyenva mbeegayirira okulya ku mmere: kubanga okwo kunaabalokola: kubanga tewaabule luviiri ku mitwe gyammwe n'omu.
35 Bwe yamala okwogera bwatyo n'addira omugaati, ne yeebaliza Katonda mu maaso ga bonna n'agumenyamu n'atanula okulyako.
36 Bonna ne baguma emyoyo, nabo ne balyako.
37 Ne tuba fenna abaali mu kyombo emyoyo bikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga.
38 Bwe baamala okukkuta emmere, ekyombo ne bakiwewula nga basuula eŋŋaano mu nnyanja.
39 Bwe bwakya enkya, nga tebamanyi gye bali: naye ne balaba ekikono ekiriko omusenyu; ne bateesa, oba nga kiyinzika, okuseeza omwo ekyombo.
40 Ne bakutula amasiika, ne bagaleka mu nnyanja, mu kiseera ekyo bwe baasumulula emigwa egy'enkasi egoba, ne bawanika ettanga eri mu maaso eri empewo ne boolekera ku ttale.
41 Naye bwe baatuuka mu kifo amayengo abiri we gaasisinkana, ne baseeza ekyombo; ensanda n'eseera n'enywera n'etanyeenya, naye ekiwenda ne kizibikuka n'amaanyi g'amayengo.
42 Basserikale ne bateesa abasibe battibwe baleme okuwugirira okudduka.
43 Naye omwami bwe yayagala okuwonya Pawulo, n'abaziyiza okukola kye bateesezza; n'alagira abaayinza okuwuga okwesuulamu basooke okutuuka ku ttale;
44 n'abalala abaasigalawo, abamu ku mpero, n'abamu ku bintu by'ekyombo. Awo bwe batyo bonna ne batuuka ku ttale emirembe.
Essuula 28

1 Bwe twamala okulokoka ne tulyoka tutegeera ng'ekizinga kiyitibwa Merita.
2 Bannaggwanga ne batukola obulungi obutali bwa bulijjo: kubanga baakuma omuliro, ne batusembeza fenna olw'enkuba eyatonnya n'olw'empewo.
3 Naye Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku, n'agussa mu muliro, embalasaasa n'evaamu olw'ebbugumu n'emwerippa ku mukono.
4 Bannaggwanga bwe baalaba ekyekulula nga kireebeetera ku mukono, ne bagamba bokka na bokka nti Mazima omuntu ono mussi; newakubadde ng'alokose mu nnyanja, omusango tegumuganya kubeera mulamu.
5 Naye n'akunkumulira mu muliro ekyekulula n'atabaako kabi.
6 Naye bali ne balowooza nti anaazimba oba anaasinduka, okugwa eri nga mufu: naye bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira ne batalaba kibi ky'abaddeko, ne bakyuka ne bagamba nti katonda.
7 Waaliwo kumpi n'ekifo ekyo ensuku z'omuntu omukulu w'ekizinga, erinnya ne Pubuliyo: oyo n'atusembeza n'atujjanjabira n'ekisa ennaku ssatu.
8 Awo kitaawe wa Pubuliyo yali agalamidde, ng'alwadde omusujja n'ekiddukano ky'omusaayi: Pawulo n'ayingira mw'ali, n'asaba n'amussaako emikono n'amuwonya.
9 Ekyo bwe kyakolebwa, abalala nabo abaali ku kizinga abaalina endwadde ne bajja ne bawonyezebwa:
10 era abo ne batuwa ekitiibwa kinene; bwe twali tuvaayo ne baleeta ku lyato ebintu bye twetaaga.
11 Emyezi esatu bwe gyayitawo, ne tuviirayo mu kyombo eky'e Alegezanderiya, ekyali ku kizinga mu biro eby'omuyaga, akabonero kaakyo Ab'oluganda abalongo.
12 Ne tugoba mu Sulakusa ne tumalayo ennaku ssatu:
13 ne tuvaayo ne twetooloola ne tutuuka e Regio: bwe waayitawo olunaku lumu, empewo ez'omuggundu ne zikunta, ku lunaku olw'okubiri ne tutuuka e Putiyooli;
14 gye twasanga ab'oluganda ne batuyita okumala wamu nabo ennaku musanvu: awo bwe tutyo ne tutuuka e Ruumi
15 Ab'oluganda bwe baawulira ebigambo byaffe ne bavaayo okutusisinkana mu Katale ka Apiyo ne mu Bisulo Ebisatu: Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n'aguma omwoyo.
16 Bwe twayingira mu Ruumi, Pawulo n'alagirwa okubeera yekka wamu ne sserikale eyali amukuuma.
17 Awo bwe waayitawo ennaku ssatu, n'ayita abakulu b'Abayudaaya: bwe baamala okukuŋŋaana n'abagamba nti Nze, abasajja ab'oluganda, newakubadde nga saakola kibi ku bantu newakubadde ku mpisa za bajjajjaffe, naye nnasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abaruumi mu Yerusaalemi:
18 abo bwe baamala okunkemereza ne baagala okunsumulula, kubanga tewaali nsonga gye ndi ya kunzisa.
19 Naye Abayudaaya bwe baagaana, ne mpalirizibwa okujulira Kayisaali, si ng'alina ekigambo okuloopa eggwanga lyaffe.
20 Kale olw'ensonga eyo mbayise okundaba n'okwogera nange: kubanga olw'essuubi lya Isiraeri nsibiddwa n'olujegere luno.
21 Bo ne bamugamba nti Ffe so tetuweebwanga bbaluwa za bigambo byo okuva mu Buyudaaya, so tewali ku b'oluganda eyali azze n'atubuulira oba n'ayogera ekigambo ekibi ku ggwe.
22 Naye twagala okuwulira okuva gy'oli by'olowooza: kubanga ebigambo by'enzikiriza eno, tumanyi nti kiwerebwa wonna wonna.
23 Ne bamulaga olunaku ne bajja bangi gy'ali mu kisulo; n'abannyonnyola ng'ategeeza obwakabaka bwa Katonda, era ng'abakkirizisa ebigambo bya Yesu mu mateeka ga Musa ne mu bya bannabbi okusooka enkya okutuusa akawungeezi.
24 Abamu ne bakkiriza bye yayogera, abamu ne batakkiriza.
25 Bwe bataatabagana bokka na bokka, ne bagenda, Pawulo bwe yamala okwogera ekigambo kimu, nti Omwoyo Omutukuvu yagamba bulungi bajjajjammwe mu nnabbi Isaaya
26 ng'agamba nti Genda eri abantu bano, oyogere nti Okuwulira muliwulira, ne mutategeera; Okulaba muliraba, ne muteetegeereza:
27 Kubanga omutima gw'abantu bano gusavuwadde, N'amatu gaabwe bawulira bubi, N'amaaso gaabwe bagazibye; Baleme okulaba n'amaaso, N'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omutima gwabwe, N'okukyuka, Nze okubawonya.
28 Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezebbwa ab'amawanga : nabo balibuwulira.
29 Bwe yayogera ebigambo ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.
30 N'amalayo emyaka ebiri miramba ewuwe yekka mu nju gye yapangisa, n'asembezanga bonna abajjanga gy'ali,
31 ng'abuuliranga obwakabaka bwa Katonda, era ng'ayigirizanga n'obugumu bwonna ebigambo bya Mukama Yesu Kristo, n'ataziyizibwanga.