2 Abasessaloniika

1 2 3


Essuula 1

1 Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekkanisa ey'Abasessaloniika mu Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo;
2 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu ku mmwe mwenna mwekka na mwekka kweyongera;
4 naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona kwe muzibiikiriza;
5 ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera:
6 oba nga kya nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya,
7 era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab'obuyinza bwe,
8 mu muliro ogwaka, ng'awalana eggwanga abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu:
9 abalibonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n'emirembe okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge,
10 bw'alijja okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli.
11 Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize n'amaanyi buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu ogw'okukkiriza;
12 erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye, ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.
Essuula 2

1 Naye tubeegayirira, ab'oluganda, olw'okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo n'olw'okukuŋŋaana kwaffe gy'ali;
2 obutasagaasagana mangu mu magezi gammwe, newakubadde okweraliikirira newakubadde olw'omwoyo, newakubadde olw'ebbaluwa efaanana ng'evudde gye tuli, nti olunaku lwa Mukama waffe lutuuse;
3 omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga olunaku olwo terulijja wabula ng'okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow'okwonoona nga alimala okubikkulwa, omwana w'okuzikirira,
4 aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda.
5 Temujjukira, nga bwe nnali nga nkyali gye muli, nababuulira ebyo?
6 Era ne kaakano ekirobera mukimanyi, alyoke abikkuke mu ntuuko ze.
7 Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola: wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo.
8 Awo omujeemi oli n'alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kw'okujja kwe;
9 naye okujja kw'oyo kuli mu kukola kwa Setaani n'amaanyi gonna n'obubonero n'eby'amagero eby'obulimba,
10 n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga tebakkiriza kwagala mazima, balyoke balokoke.
11 Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby'obulimba:
12 bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.
13 Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima
14 bye yabayitira n'enjiri yaffe olw'okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.
15 Kale nno ab'oluganda, muyimirirenga, era munywezenga bye mwaweebwa ne muyigirizibwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaffe.
16 Naye Mukama waffe Yesu Kristo yennyini, ne Katonda Kitaffe, eyatwagala n'atuwa okusanyusa okutaggwaawo n'essuubi eddungi mu kisa,
17 abasanyuse emitima gyammwe aginywezenga mu buli kikolwa n'ekigambo ekirungi.
Essuula 3

1 Ebisigaddeyo, ab'oluganda, mu tusabirenga ekigambo kya Mukama waffe, kiwulukuke, kiweebwenga ekitiibwa, era nga mu mmwe;
2 era tulokoke eri abantu abatalina magezi, ababi; kubanga okukkiriza si kwa bonna.
3 Naye Mukama waffe mwesigwa, alibanyweza, anaabakuumanga eri omubi.
4 Era twesiga Mukama waffe mu bigambo byammwe, nga mukola bye tulagira era munaabikolanga.
5 Era Mukama waffe aluŋŋamyenga emitima gyammwe okutuuka mu kwagala kwa Katonda ne mu kugumiikiriza kwa Kristo.
6 Era tubalagira, ab'oluganda mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe.
7 Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bwe kibagwanira okutugobereranga: kubanga tetwalemwa kutambula bulungi mu mmwe;
8 so tetulyanga mmere ya muntu yenna ya bwereere, naye mu kufuba n’okukoowa twakolanga emirimu ekiro n'emisana obutazitoowerera muntu ku mmwe:
9 si kubanga tetulina buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'ekyokulabirako mulyoke mutugobererenga.
10 Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bwagaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.
11 Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala.
12 Abali bwe batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu balyoke balyenga emmere yaabwe bo.
13 Naye mmwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola obulungi.
14 Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.
15 So temumulowoozanga nga mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda.
16 Era Mukama waffe ow'emirembe yennyini abawenga emirembe ennaku zonna mu bigambo byonna. Mukama waffe abeerenga nammwe mwenna.
17 Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna: bwe ntyo bwe mpandiika.
18 Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna.